quranm◉

Hizb 22

Range
from 10:53 to 11:23
Surahs covered
Okuvvuunula
80 Okuvvuunula

◉

10:53

وَيَسۡتَنۢبِـُٔونَكَ أَحَقٌّ هُوَۖ قُلۡ إِي وَرَبِّيٓ إِنَّهُۥ لَحَقّٞۖ وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ ﴿53﴾

Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Katonda).

10:54

وَلَوۡ أَنَّ لِكُلِّ نَفۡسٖ ظَلَمَتۡ مَا فِي ٱلۡأَرۡضِ لَٱفۡتَدَتۡ بِهِۦۗ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۖ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡقِسۡطِ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿54﴾

Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi.

10:55

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ أَلَآ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿55﴾

Abange, mazima bya Katonda, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi.

10:56

هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿56﴾

Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa.

10:57

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَتۡكُم مَّوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَشِفَآءٞ لِّمَا فِي ٱلصُّدُورِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿57﴾

Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza.

10:58

قُلۡ بِفَضۡلِ ٱللَّهِ وَبِرَحۡمَتِهِۦ فَبِذَٰلِكَ فَلۡيَفۡرَحُواْ هُوَ خَيۡرٞ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ ﴿58﴾

Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya.

10:59

قُلۡ أَرَءَيۡتُم مَّآ أَنزَلَ ٱللَّهُ لَكُم مِّن رِّزۡقٖ فَجَعَلۡتُم مِّنۡهُ حَرَامٗا وَحَلَٰلٗا قُلۡ ءَآللَّهُ أَذِنَ لَكُمۡۖ أَمۡ عَلَى ٱللَّهِ تَفۡتَرُونَ ﴿59﴾

Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Katonda gwe mutemerera.

10:60

وَمَا ظَنُّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿60﴾

Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza.

10:61

وَمَا تَكُونُ فِي شَأۡنٖ وَمَا تَتۡلُواْ مِنۡهُ مِن قُرۡءَانٖ وَلَا تَعۡمَلُونَ مِنۡ عَمَلٍ إِلَّا كُنَّا عَلَيۡكُمۡ شُهُودًا إِذۡ تُفِيضُونَ فِيهِۚ وَمَا يَعۡزُبُ عَن رَّبِّكَ مِن مِّثۡقَالِ ذَرَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَلَآ أَصۡغَرَ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرَ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٍ ﴿61﴾

Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.

10:62

أَلَآ إِنَّ أَوۡلِيَآءَ ٱللَّهِ لَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿62﴾

Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala.

10:63

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَكَانُواْ يَتَّقُونَ ﴿63﴾

(Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda.

10:64

لَهُمُ ٱلۡبُشۡرَىٰ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ لَا تَبۡدِيلَ لِكَلِمَٰتِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿64﴾

Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu.

10:65

وَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّ ٱلۡعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعًاۚ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿65﴾

Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi.

10:66

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَمَا يَتَّبِعُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ شُرَكَآءَۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ ﴿66﴾

Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza.

10:67

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ ﴿67﴾

Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira.

10:68

قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۖ هُوَ ٱلۡغَنِيُّۖ لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنۡ عِندَكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭ بِهَٰذَآۚ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿68﴾

Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi.

10:69

قُلۡ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ لَا يُفۡلِحُونَ ﴿69﴾

Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima.

10:70

مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿70﴾

Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.

10:71

وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ نُوحٍ إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ إِن كَانَ كَبُرَ عَلَيۡكُم مَّقَامِي وَتَذۡكِيرِي بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَعَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡتُ فَأَجۡمِعُوٓاْ أَمۡرَكُمۡ وَشُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُنۡ أَمۡرُكُمۡ عَلَيۡكُمۡ غُمَّةٗ ثُمَّ ٱقۡضُوٓاْ إِلَيَّ وَلَا تُنظِرُونِ ﴿71﴾

Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza.

10:72

فَإِن تَوَلَّيۡتُمۡ فَمَا سَأَلۡتُكُم مِّنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِۖ وَأُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿72﴾

Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu.

10:73

فَكَذَّبُوهُ فَنَجَّيۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ وَجَعَلۡنَٰهُمۡ خَلَـٰٓئِفَ وَأَغۡرَقۡنَا ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَاۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُنذَرِينَ ﴿73﴾

(Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa.

10:74

ثُمَّ بَعَثۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِۦ رُسُلًا إِلَىٰ قَوۡمِهِمۡ فَجَآءُوهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَمَا كَانُواْ لِيُؤۡمِنُواْ بِمَا كَذَّبُواْ بِهِۦ مِن قَبۡلُۚ كَذَٰلِكَ نَطۡبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلۡمُعۡتَدِينَ ﴿74﴾

Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka e nsalo.

10:75

ثُمَّ بَعَثۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِم مُّوسَىٰ وَهَٰرُونَ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ بِـَٔايَٰتِنَا فَٱسۡتَكۡبَرُواْ وَكَانُواْ قَوۡمٗا مُّجۡرِمِينَ ﴿75﴾

Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Firawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi.

10:76

فَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ مِنۡ عِندِنَا قَالُوٓاْ إِنَّ هَٰذَا لَسِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿76﴾

Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu.

10:77

قَالَ مُوسَىٰٓ أَتَقُولُونَ لِلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَكُمۡۖ أَسِحۡرٌ هَٰذَا وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّـٰحِرُونَ ﴿77﴾

Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero).

10:78

قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا لِتَلۡفِتَنَا عَمَّا وَجَدۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَا وَتَكُونَ لَكُمَا ٱلۡكِبۡرِيَآءُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا نَحۡنُ لَكُمَا بِمُؤۡمِنِينَ ﴿78﴾

Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza.

10:79

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ ٱئۡتُونِي بِكُلِّ سَٰحِرٍ عَلِيمٖ ﴿79﴾

Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu.

10:80

فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ ﴿80﴾

Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala.

10:81

فَلَمَّآ أَلۡقَوۡاْ قَالَ مُوسَىٰ مَا جِئۡتُم بِهِ ٱلسِّحۡرُۖ إِنَّ ٱللَّهَ سَيُبۡطِلُهُۥٓ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُصۡلِحُ عَمَلَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿81﴾

Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi.

10:82

وَيُحِقُّ ٱللَّهُ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿82﴾

Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde.

10:83

فَمَآ ءَامَنَ لِمُوسَىٰٓ إِلَّا ذُرِّيَّةٞ مِّن قَوۡمِهِۦ عَلَىٰ خَوۡفٖ مِّن فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِمۡ أَن يَفۡتِنَهُمۡۚ وَإِنَّ فِرۡعَوۡنَ لَعَالٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿83﴾

Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi.

10:84

وَقَالَ مُوسَىٰ يَٰقَوۡمِ إِن كُنتُمۡ ءَامَنتُم بِٱللَّهِ فَعَلَيۡهِ تَوَكَّلُوٓاْ إِن كُنتُم مُّسۡلِمِينَ ﴿84﴾

Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda).

10:85

فَقَالُواْ عَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡنَا رَبَّنَا لَا تَجۡعَلۡنَا فِتۡنَةٗ لِّلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿85﴾

(Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi.

10:86

وَنَجِّنَا بِرَحۡمَتِكَ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿86﴾

Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaakaafuwala.

10:87

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰ وَأَخِيهِ أَن تَبَوَّءَا لِقَوۡمِكُمَا بِمِصۡرَ بُيُوتٗا وَٱجۡعَلُواْ بُيُوتَكُمۡ قِبۡلَةٗ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿87﴾

Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza.

10:88

وَقَالَ مُوسَىٰ رَبَّنَآ إِنَّكَ ءَاتَيۡتَ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَأَهُۥ زِينَةٗ وَأَمۡوَٰلٗا فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا رَبَّنَا لِيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِكَۖ رَبَّنَا ٱطۡمِسۡ عَلَىٰٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ وَٱشۡدُدۡ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُواْ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ ﴿88﴾

Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa).

10:89

قَالَ قَدۡ أُجِيبَت دَّعۡوَتُكُمَا فَٱسۡتَقِيمَا وَلَا تَتَّبِعَآنِّ سَبِيلَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿89﴾

(Katonda) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda).

10:90

وَجَٰوَزۡنَا بِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡبَحۡرَ فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ وَجُنُودُهُۥ بَغۡيٗا وَعَدۡوًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَدۡرَكَهُ ٱلۡغَرَقُ قَالَ ءَامَنتُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱلَّذِيٓ ءَامَنَتۡ بِهِۦ بَنُوٓاْ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَأَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿90﴾

Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse.

10:91

ءَآلۡـَٰٔنَ وَقَدۡ عَصَيۡتَ قَبۡلُ وَكُنتَ مِنَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿91﴾

(Firawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi.

10:92

فَٱلۡيَوۡمَ نُنَجِّيكَ بِبَدَنِكَ لِتَكُونَ لِمَنۡ خَلۡفَكَ ءَايَةٗۚ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلنَّاسِ عَنۡ ءَايَٰتِنَا لَغَٰفِلُونَ ﴿92﴾

Kale nno olwa leero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe).

10:93

وَلَقَدۡ بَوَّأۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ مُبَوَّأَ صِدۡقٖ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ فَمَا ٱخۡتَلَفُواْ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿93﴾

Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu.

10:94

فَإِن كُنتَ فِي شَكّٖ مِّمَّآ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ فَسۡـَٔلِ ٱلَّذِينَ يَقۡرَءُونَ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكَۚ لَقَدۡ جَآءَكَ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ ﴿94﴾

Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammad) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa.

10:95

وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿95﴾

Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa e bigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa.

10:96

إِنَّ ٱلَّذِينَ حَقَّتۡ عَلَيۡهِمۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿96﴾

Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza.

10:97

وَلَوۡ جَآءَتۡهُمۡ كُلُّ ءَايَةٍ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ ﴿97﴾

Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma.

10:98

فَلَوۡلَا كَانَتۡ قَرۡيَةٌ ءَامَنَتۡ فَنَفَعَهَآ إِيمَٰنُهَآ إِلَّا قَوۡمَ يُونُسَ لَمَّآ ءَامَنُواْ كَشَفۡنَا عَنۡهُمۡ عَذَابَ ٱلۡخِزۡيِ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَمَتَّعۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ حِينٖ ﴿98﴾

Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe.

10:99

وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ لَأٓمَنَ مَن فِي ٱلۡأَرۡضِ كُلُّهُمۡ جَمِيعًاۚ أَفَأَنتَ تُكۡرِهُ ٱلنَّاسَ حَتَّىٰ يَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ ﴿99﴾

Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza.

10:100

وَمَا كَانَ لِنَفۡسٍ أَن تُؤۡمِنَ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَيَجۡعَلُ ٱلرِّجۡسَ عَلَى ٱلَّذِينَ لَا يَعۡقِلُونَ ﴿100﴾

Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Katonda, era Katonda assa ekibi ku abo abatategeera.

10:101

قُلِ ٱنظُرُواْ مَاذَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَا تُغۡنِي ٱلۡأٓيَٰتُ وَٱلنُّذُرُ عَن قَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ ﴿101﴾

Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza.

10:102

فَهَلۡ يَنتَظِرُونَ إِلَّا مِثۡلَ أَيَّامِ ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلِهِمۡۚ قُلۡ فَٱنتَظِرُوٓاْ إِنِّي مَعَكُم مِّنَ ٱلۡمُنتَظِرِينَ ﴿102﴾

Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira.

10:103

ثُمَّ نُنَجِّي رُسُلَنَا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ كَذَٰلِكَ حَقًّا عَلَيۡنَا نُنجِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿103﴾

Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza.

10:104

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي شَكّٖ مِّن دِينِي فَلَآ أَعۡبُدُ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلَٰكِنۡ أَعۡبُدُ ٱللَّهَ ٱلَّذِي يَتَوَفَّىٰكُمۡۖ وَأُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿104﴾

Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza.

10:105

وَأَنۡ أَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ حَنِيفٗا وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿105﴾

Era tereera mu ddiini ya Katonda n'goli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta e bintu e birala ku Katonda.

10:106

وَلَا تَدۡعُ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكَ وَلَا يَضُرُّكَۖ فَإِن فَعَلۡتَ فَإِنَّكَ إِذٗا مِّنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿106﴾

Tolekanga Katonda n'osaba e kintu e kirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi.

10:107

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يُرِدۡكَ بِخَيۡرٖ فَلَا رَآدَّ لِفَضۡلِهِۦۚ يُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿107﴾

Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.

10:108

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَكُمُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهۡتَدِي لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيۡهَاۖ وَمَآ أَنَا۠ عَلَيۡكُم بِوَكِيلٖ ﴿108﴾

Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe.

10:109

وَٱتَّبِعۡ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيۡكَ وَٱصۡبِرۡ حَتَّىٰ يَحۡكُمَ ٱللَّهُۚ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡحَٰكِمِينَ ﴿109﴾

Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna.

11:1

الٓرۚ كِتَٰبٌ أُحۡكِمَتۡ ءَايَٰتُهُۥ ثُمَّ فُصِّلَتۡ مِن لَّدُنۡ حَكِيمٍ خَبِيرٍ ﴿1﴾

Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu.

11:2

أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّا ٱللَّهَۚ إِنَّنِي لَكُم مِّنۡهُ نَذِيرٞ وَبَشِيرٞ ﴿2﴾

Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa).

11:3

وَأَنِ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ ثُمَّ تُوبُوٓاْ إِلَيۡهِ يُمَتِّعۡكُم مَّتَٰعًا حَسَنًا إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى وَيُؤۡتِ كُلَّ ذِي فَضۡلٖ فَضۡلَهُۥۖ وَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٖ كَبِيرٍ ﴿3﴾

(Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu.

11:4

إِلَى ٱللَّهِ مَرۡجِعُكُمۡۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿4﴾

Eri Katonda y'eri obuddo bwa mmwe ate yye nga bulijjo muyinza ku buli kintu.

11:5

أَلَآ إِنَّهُمۡ يَثۡنُونَ صُدُورَهُمۡ لِيَسۡتَخۡفُواْ مِنۡهُۚ أَلَا حِينَ يَسۡتَغۡشُونَ ثِيَابَهُمۡ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿5﴾

Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

11:6

وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِ رِزۡقُهَا وَيَعۡلَمُ مُسۡتَقَرَّهَا وَمُسۡتَوۡدَعَهَاۚ كُلّٞ فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿6﴾

Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu.

11:7

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ وَكَانَ عَرۡشُهُۥ عَلَى ٱلۡمَآءِ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۗ وَلَئِن قُلۡتَ إِنَّكُم مَّبۡعُوثُونَ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡمَوۡتِ لَيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿7﴾

Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu.

11:8

وَلَئِنۡ أَخَّرۡنَا عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابَ إِلَىٰٓ أُمَّةٖ مَّعۡدُودَةٖ لَّيَقُولُنَّ مَا يَحۡبِسُهُۥٓۗ أَلَا يَوۡمَ يَأۡتِيهِمۡ لَيۡسَ مَصۡرُوفًا عَنۡهُمۡ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿8﴾

Singa tulindiriza ku bo ebibonerezo okutuuka ekiseera ekigere bajja kugambira ddala nti ate ki ekibigaana okujja, abange! olunaku lwe biribajjira si bya kubaggyibwako, era biribeetoloola ebyo bye baajeejanga.

11:9

وَلَئِنۡ أَذَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِنَّا رَحۡمَةٗ ثُمَّ نَزَعۡنَٰهَا مِنۡهُ إِنَّهُۥ لَيَـُٔوسٞ كَفُورٞ ﴿9﴾

Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala.

11:10

وَلَئِنۡ أَذَقۡنَٰهُ نَعۡمَآءَ بَعۡدَ ضَرَّآءَ مَسَّتۡهُ لَيَقُولَنَّ ذَهَبَ ٱلسَّيِّـَٔاتُ عَنِّيٓۚ إِنَّهُۥ لَفَرِحٞ فَخُورٌ ﴿10﴾

Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga.

11:11

إِلَّا ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٞ ﴿11﴾

Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene.

11:12

فَلَعَلَّكَ تَارِكُۢ بَعۡضَ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيۡكَ وَضَآئِقُۢ بِهِۦ صَدۡرُكَ أَن يَقُولُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ كَنزٌ أَوۡ جَآءَ مَعَهُۥ مَلَكٌۚ إِنَّمَآ أَنتَ نَذِيرٞۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ وَكِيلٌ ﴿12﴾

Olabika nga oli waakuleka ebimu ebissibwa gyoli, era ekyo nga kikunyiga mu kifubakyo olw'okuba nti bagamba nti singa aweebwa eggwanika oba Malayika najja naye. Mazima ggwe oli mutiisa. Ate nga Katonda ye mweyimirize ku buli kintu.

11:13

أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۖ قُلۡ فَأۡتُواْ بِعَشۡرِ سُوَرٖ مِّثۡلِهِۦ مُفۡتَرَيَٰتٖ وَٱدۡعُواْ مَنِ ٱسۡتَطَعۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿13﴾

Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima.

11:14

فَإِلَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكُمۡ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَآ أُنزِلَ بِعِلۡمِ ٱللَّهِ وَأَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ ﴿14﴾

Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka).

11:15

مَن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتَهَا نُوَفِّ إِلَيۡهِمۡ أَعۡمَٰلَهُمۡ فِيهَا وَهُمۡ فِيهَا لَا يُبۡخَسُونَ ﴿15﴾

Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda kwayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa.

11:16

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَيۡسَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا ٱلنَّارُۖ وَحَبِطَ مَا صَنَعُواْ فِيهَا وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿16﴾

Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu.

11:17

أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّهِۦ وَيَتۡلُوهُ شَاهِدٞ مِّنۡهُ وَمِن قَبۡلِهِۦ كِتَٰبُ مُوسَىٰٓ إِمَامٗا وَرَحۡمَةًۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۚ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ مِنَ ٱلۡأَحۡزَابِ فَٱلنَّارُ مَوۡعِدُهُۥۚ فَلَا تَكُ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُۚ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿17﴾

Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.

11:18

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُعۡرَضُونَ عَلَىٰ رَبِّهِمۡ وَيَقُولُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ هَـٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ كَذَبُواْ عَلَىٰ رَبِّهِمۡۚ أَلَا لَعۡنَةُ ٱللَّهِ عَلَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿18﴾

Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi.

11:19

ٱلَّذِينَ يَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَيَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ كَٰفِرُونَ ﴿19﴾

Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya.

11:20

أُوْلَـٰٓئِكَ لَمۡ يَكُونُواْ مُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كَانَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِنۡ أَوۡلِيَآءَۘ يُضَٰعَفُ لَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ مَا كَانُواْ يَسۡتَطِيعُونَ ٱلسَّمۡعَ وَمَا كَانُواْ يُبۡصِرُونَ ﴿20﴾

Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba.

11:21

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿21﴾

Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga.

11:22

لَا جَرَمَ أَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ هُمُ ٱلۡأَخۡسَرُونَ ﴿22﴾

Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo.

11:23

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَأَخۡبَتُوٓاْ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿23﴾

Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu.