quranm◉

Hizb 32

Range
from 20:55 to 21:28
Surahs covered
Okuvvuunula
109 Okuvvuunula

◉

20:55

مِنۡهَا خَلَقۡنَٰكُمۡ وَفِيهَا نُعِيدُكُمۡ وَمِنۡهَا نُخۡرِجُكُمۡ تَارَةً أُخۡرَىٰ ﴿55﴾

. Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala.

20:56

وَلَقَدۡ أَرَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا كُلَّهَا فَكَذَّبَ وَأَبَىٰ ﴿56﴾

. Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana.

20:57

قَالَ أَجِئۡتَنَا لِتُخۡرِجَنَا مِنۡ أَرۡضِنَا بِسِحۡرِكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿57﴾

. (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo.

20:58

فَلَنَأۡتِيَنَّكَ بِسِحۡرٖ مِّثۡلِهِۦ فَٱجۡعَلۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكَ مَوۡعِدٗا لَّا نُخۡلِفُهُۥ نَحۡنُ وَلَآ أَنتَ مَكَانٗا سُوٗى ﴿58﴾

. Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi).

20:59

قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى ﴿59﴾

. (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi.

20:60

فَتَوَلَّىٰ فِرۡعَوۡنُ فَجَمَعَ كَيۡدَهُۥ ثُمَّ أَتَىٰ ﴿60﴾

. Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye).

20:61

قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ وَيۡلَكُمۡ لَا تَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا فَيُسۡحِتَكُم بِعَذَابٖۖ وَقَدۡ خَابَ مَنِ ٱفۡتَرَىٰ ﴿61﴾

. Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba.

20:62

فَتَنَٰزَعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَىٰ ﴿62﴾

. (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama.

20:63

قَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَٰنِ لَسَٰحِرَٰنِ يُرِيدَانِ أَن يُخۡرِجَاكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِمَا وَيَذۡهَبَا بِطَرِيقَتِكُمُ ٱلۡمُثۡلَىٰ ﴿63﴾

. Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi.

20:64

فَأَجۡمِعُواْ كَيۡدَكُمۡ ثُمَّ ٱئۡتُواْ صَفّٗاۚ وَقَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡيَوۡمَ مَنِ ٱسۡتَعۡلَىٰ ﴿64﴾

. Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye.

20:65

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَلۡقَىٰ ﴿65﴾

. Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula.

20:66

قَالَ بَلۡ أَلۡقُواْۖ فَإِذَا حِبَالُهُمۡ وَعِصِيُّهُمۡ يُخَيَّلُ إِلَيۡهِ مِن سِحۡرِهِمۡ أَنَّهَا تَسۡعَىٰ ﴿66﴾

. (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula.

20:67

فَأَوۡجَسَ فِي نَفۡسِهِۦ خِيفَةٗ مُّوسَىٰ ﴿67﴾

. Musa naafuna okutya mu mutima gwe.

20:68

قُلۡنَا لَا تَخَفۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡأَعۡلَىٰ ﴿68﴾

. Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula.

20:69

وَأَلۡقِ مَا فِي يَمِينِكَ تَلۡقَفۡ مَا صَنَعُوٓاْۖ إِنَّمَا صَنَعُواْ كَيۡدُ سَٰحِرٖۖ وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّاحِرُ حَيۡثُ أَتَىٰ ﴿69﴾

. Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.

20:70

فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سُجَّدٗا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ هَٰرُونَ وَمُوسَىٰ ﴿70﴾

. (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa.

20:71

قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَۖ فَلَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ فِي جُذُوعِ ٱلنَّخۡلِ وَلَتَعۡلَمُنَّ أَيُّنَآ أَشَدُّ عَذَابٗا وَأَبۡقَىٰ ﴿71﴾

. (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo.

20:72

قَالُواْ لَن نُّؤۡثِرَكَ عَلَىٰ مَا جَآءَنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلَّذِي فَطَرَنَاۖ فَٱقۡضِ مَآ أَنتَ قَاضٍۖ إِنَّمَا تَقۡضِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَآ ﴿72﴾

. (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi.

20:73

إِنَّآ ءَامَنَّا بِرَبِّنَا لِيَغۡفِرَ لَنَا خَطَٰيَٰنَا وَمَآ أَكۡرَهۡتَنَا عَلَيۡهِ مِنَ ٱلسِّحۡرِۗ وَٱللَّهُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ ﴿73﴾

. Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo.

20:74

إِنَّهُۥ مَن يَأۡتِ رَبَّهُۥ مُجۡرِمٗا فَإِنَّ لَهُۥ جَهَنَّمَ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ ﴿74﴾

. Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu.

20:75

وَمَن يَأۡتِهِۦ مُؤۡمِنٗا قَدۡ عَمِلَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلدَّرَجَٰتُ ٱلۡعُلَىٰ ﴿75﴾

. Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu.

20:76

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ مَن تَزَكَّىٰ ﴿76﴾

. (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza.

20:77

وَلَقَدۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِي فَٱضۡرِبۡ لَهُمۡ طَرِيقٗا فِي ٱلۡبَحۡرِ يَبَسٗا لَّا تَخَٰفُ دَرَكٗا وَلَا تَخۡشَىٰ ﴿77﴾

. Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo).

20:78

فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ بِجُنُودِهِۦ فَغَشِيَهُم مِّنَ ٱلۡيَمِّ مَا غَشِيَهُمۡ ﴿78﴾

. Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke.

20:79

وَأَضَلَّ فِرۡعَوۡنُ قَوۡمَهُۥ وَمَا هَدَىٰ ﴿79﴾

. Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama.

20:80

يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ قَدۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ عَدُوِّكُمۡ وَوَٰعَدۡنَٰكُمۡ جَانِبَ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنَ وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰ ﴿80﴾

. Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva).

20:81

كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ وَلَا تَطۡغَوۡاْ فِيهِ فَيَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبِيۖ وَمَن يَحۡلِلۡ عَلَيۡهِ غَضَبِي فَقَدۡ هَوَىٰ ﴿81﴾

. (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze.

20:82

وَإِنِّي لَغَفَّارٞ لِّمَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا ثُمَّ ٱهۡتَدَىٰ ﴿82﴾

. Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu.

20:83

وَمَآ أَعۡجَلَكَ عَن قَوۡمِكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿83﴾

. (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo.

20:84

قَالَ هُمۡ أُوْلَآءِ عَلَىٰٓ أَثَرِي وَعَجِلۡتُ إِلَيۡكَ رَبِّ لِتَرۡضَىٰ ﴿84﴾

. Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima.

20:85

قَالَ فَإِنَّا قَدۡ فَتَنَّا قَوۡمَكَ مِنۢ بَعۡدِكَ وَأَضَلَّهُمُ ٱلسَّامِرِيُّ ﴿85﴾

. (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza.

20:86

فَرَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَمۡ يَعِدۡكُمۡ رَبُّكُمۡ وَعۡدًا حَسَنًاۚ أَفَطَالَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡعَهۡدُ أَمۡ أَرَدتُّمۡ أَن يَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُم مَّوۡعِدِي ﴿86﴾

. Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange.

20:87

قَالُواْ مَآ أَخۡلَفۡنَا مَوۡعِدَكَ بِمَلۡكِنَا وَلَٰكِنَّا حُمِّلۡنَآ أَوۡزَارٗا مِّن زِينَةِ ٱلۡقَوۡمِ فَقَذَفۡنَٰهَا فَكَذَٰلِكَ أَلۡقَى ٱلسَّامِرِيُّ ﴿87﴾

. Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde.

20:88

فَأَخۡرَجَ لَهُمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٞ فَقَالُواْ هَٰذَآ إِلَٰهُكُمۡ وَإِلَٰهُ مُوسَىٰ فَنَسِيَ ﴿88﴾

. Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano).

20:89

أَفَلَا يَرَوۡنَ أَلَّا يَرۡجِعُ إِلَيۡهِمۡ قَوۡلٗا وَلَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا ﴿89﴾

. Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso.

20:90

وَلَقَدۡ قَالَ لَهُمۡ هَٰرُونُ مِن قَبۡلُ يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا فُتِنتُم بِهِۦۖ وَإِنَّ رَبَّكُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَٱتَّبِعُونِي وَأَطِيعُوٓاْ أَمۡرِي ﴿90﴾

. Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange.

20:91

قَالُواْ لَن نَّبۡرَحَ عَلَيۡهِ عَٰكِفِينَ حَتَّىٰ يَرۡجِعَ إِلَيۡنَا مُوسَىٰ ﴿91﴾

. Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli.

20:92

قَالَ يَٰهَٰرُونُ مَا مَنَعَكَ إِذۡ رَأَيۡتَهُمۡ ضَلُّوٓاْ ﴿92﴾

. (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye.

20:93

أَلَّا تَتَّبِعَنِۖ أَفَعَصَيۡتَ أَمۡرِي ﴿93﴾

. Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange.

20:94

قَالَ يَبۡنَؤُمَّ لَا تَأۡخُذۡ بِلِحۡيَتِي وَلَا بِرَأۡسِيٓۖ إِنِّي خَشِيتُ أَن تَقُولَ فَرَّقۡتَ بَيۡنَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَلَمۡ تَرۡقُبۡ قَوۡلِي ﴿94﴾

. (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange.

20:95

قَالَ فَمَا خَطۡبُكَ يَٰسَٰمِرِيُّ ﴿95﴾

. (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo?.

20:96

قَالَ بَصُرۡتُ بِمَا لَمۡ يَبۡصُرُواْ بِهِۦ فَقَبَضۡتُ قَبۡضَةٗ مِّنۡ أَثَرِ ٱلرَّسُولِ فَنَبَذۡتُهَا وَكَذَٰلِكَ سَوَّلَتۡ لِي نَفۡسِي ﴿96﴾

. (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye.

20:97

قَالَ فَٱذۡهَبۡ فَإِنَّ لَكَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ أَن تَقُولَ لَا مِسَاسَۖ وَإِنَّ لَكَ مَوۡعِدٗا لَّن تُخۡلَفَهُۥۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ إِلَٰهِكَ ٱلَّذِي ظَلۡتَ عَلَيۡهِ عَاكِفٗاۖ لَّنُحَرِّقَنَّهُۥ ثُمَّ لَنَنسِفَنَّهُۥ فِي ٱلۡيَمِّ نَسۡفًا ﴿97﴾

. (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa.

20:98

إِنَّمَآ إِلَٰهُكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَسِعَ كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمٗا ﴿98﴾

. Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya.

20:99

كَذَٰلِكَ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ مَا قَدۡ سَبَقَۚ وَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ مِن لَّدُنَّا ذِكۡرٗا ﴿99﴾

. Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani).

20:100

مَّنۡ أَعۡرَضَ عَنۡهُ فَإِنَّهُۥ يَحۡمِلُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وِزۡرًا ﴿100﴾

. Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro).

20:101

خَٰلِدِينَ فِيهِۖ وَسَآءَ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ حِمۡلٗا ﴿101﴾

. Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi.

20:102

يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا ﴿102﴾

. Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.

20:103

يَتَخَٰفَتُونَ بَيۡنَهُمۡ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا عَشۡرٗا ﴿103﴾

. Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka).

20:104

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَ إِذۡ يَقُولُ أَمۡثَلُهُمۡ طَرِيقَةً إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا يَوۡمٗا ﴿104﴾

. Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka.

20:105

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡجِبَالِ فَقُلۡ يَنسِفُهَا رَبِّي نَسۡفٗا ﴿105﴾

. Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu).

20:106

فَيَذَرُهَا قَاعٗا صَفۡصَفٗا ﴿106﴾

. Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu.

20:107

لَّا تَرَىٰ فِيهَا عِوَجٗا وَلَآ أَمۡتٗا ﴿107﴾

. Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba.

20:108

يَوۡمَئِذٖ يَتَّبِعُونَ ٱلدَّاعِيَ لَا عِوَجَ لَهُۥۖ وَخَشَعَتِ ٱلۡأَصۡوَاتُ لِلرَّحۡمَٰنِ فَلَا تَسۡمَعُ إِلَّا هَمۡسٗا ﴿108﴾

. Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka).

20:109

يَوۡمَئِذٖ لَّا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَرَضِيَ لَهُۥ قَوۡلٗا ﴿109﴾

. Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera.

20:110

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يُحِيطُونَ بِهِۦ عِلۡمٗا ﴿110﴾

. (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo.

20:111

وَعَنَتِ ٱلۡوُجُوهُ لِلۡحَيِّ ٱلۡقَيُّومِۖ وَقَدۡ خَابَ مَنۡ حَمَلَ ظُلۡمٗا ﴿111﴾

. Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi.

20:112

وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا يَخَافُ ظُلۡمٗا وَلَا هَضۡمٗا ﴿112﴾

. Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa.

20:113

وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا عَرَبِيّٗا وَصَرَّفۡنَا فِيهِ مِنَ ٱلۡوَعِيدِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ أَوۡ يُحۡدِثُ لَهُمۡ ذِكۡرٗا ﴿113﴾

. Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa.

20:114

فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۗ وَلَا تَعۡجَلۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مِن قَبۡلِ أَن يُقۡضَىٰٓ إِلَيۡكَ وَحۡيُهُۥۖ وَقُل رَّبِّ زِدۡنِي عِلۡمٗا ﴿114﴾

. Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya.

20:115

وَلَقَدۡ عَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ ءَادَمَ مِن قَبۡلُ فَنَسِيَ وَلَمۡ نَجِدۡ لَهُۥ عَزۡمٗا ﴿115﴾

. Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa).

20:116

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ ﴿116﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana.

20:117

فَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ إِنَّ هَٰذَا عَدُوّٞ لَّكَ وَلِزَوۡجِكَ فَلَا يُخۡرِجَنَّكُمَا مِنَ ٱلۡجَنَّةِ فَتَشۡقَىٰٓ ﴿117﴾

. Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka.

20:118

إِنَّ لَكَ أَلَّا تَجُوعَ فِيهَا وَلَا تَعۡرَىٰ ﴿118﴾

. Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere.

20:119

وَأَنَّكَ لَا تَظۡمَؤُاْ فِيهَا وَلَا تَضۡحَىٰ ﴿119﴾

. Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana.

20:120

فَوَسۡوَسَ إِلَيۡهِ ٱلشَّيۡطَٰنُ قَالَ يَـٰٓـَٔادَمُ هَلۡ أَدُلُّكَ عَلَىٰ شَجَرَةِ ٱلۡخُلۡدِ وَمُلۡكٖ لَّا يَبۡلَىٰ ﴿120﴾

. Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo.

20:121

فَأَكَلَا مِنۡهَا فَبَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۚ وَعَصَىٰٓ ءَادَمُ رَبَّهُۥ فَغَوَىٰ ﴿121﴾

. Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula.

20:122

ثُمَّ ٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَتَابَ عَلَيۡهِ وَهَدَىٰ ﴿122﴾

. Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya.

20:123

قَالَ ٱهۡبِطَا مِنۡهَا جَمِيعَۢاۖ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَنِ ٱتَّبَعَ هُدَايَ فَلَا يَضِلُّ وَلَا يَشۡقَىٰ ﴿123﴾

. (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka.

20:124

وَمَنۡ أَعۡرَضَ عَن ذِكۡرِي فَإِنَّ لَهُۥ مَعِيشَةٗ ضَنكٗا وَنَحۡشُرُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَعۡمَىٰ ﴿124﴾

. Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe.

20:125

قَالَ رَبِّ لِمَ حَشَرۡتَنِيٓ أَعۡمَىٰ وَقَدۡ كُنتُ بَصِيرٗا ﴿125﴾

. Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba.

20:126

قَالَ كَذَٰلِكَ أَتَتۡكَ ءَايَٰتُنَا فَنَسِيتَهَاۖ وَكَذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمَ تُنسَىٰ ﴿126﴾

. (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa.

20:127

وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَنۡ أَسۡرَفَ وَلَمۡ يُؤۡمِنۢ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦۚ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَدُّ وَأَبۡقَىٰٓ ﴿127﴾

. Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera.

20:128

أَفَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ ﴿128﴾

. Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi.

20:129

وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَكَانَ لِزَامٗا وَأَجَلٞ مُّسَمّٗى ﴿129﴾

. Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza).

20:130

فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ غُرُوبِهَاۖ وَمِنۡ ءَانَآيِٕ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡ وَأَطۡرَافَ ٱلنَّهَارِ لَعَلَّكَ تَرۡضَىٰ ﴿130﴾

. Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima.

20:131

وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ ﴿131﴾

. Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.

20:132

وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ ﴿132﴾

. Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.

20:133

وَقَالُواْ لَوۡلَا يَأۡتِينَا بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّهِۦٓۚ أَوَلَمۡ تَأۡتِهِم بَيِّنَةُ مَا فِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ ﴿133﴾

. Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka.

20:134

وَلَوۡ أَنَّآ أَهۡلَكۡنَٰهُم بِعَذَابٖ مِّن قَبۡلِهِۦ لَقَالُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ مِن قَبۡلِ أَن نَّذِلَّ وَنَخۡزَىٰ ﴿134﴾

. Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala.

20:135

قُلۡ كُلّٞ مُّتَرَبِّصٞ فَتَرَبَّصُواْۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ أَصۡحَٰبُ ٱلصِّرَٰطِ ٱلسَّوِيِّ وَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ ﴿135﴾

. Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama.

21:1

ٱقۡتَرَبَ لِلنَّاسِ حِسَابُهُمۡ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ مُّعۡرِضُونَ ﴿1﴾

. Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume.

21:2

مَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّن رَّبِّهِم مُّحۡدَثٍ إِلَّا ٱسۡتَمَعُوهُ وَهُمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿2﴾

. Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya.

21:3

لَاهِيَةٗ قُلُوبُهُمۡۗ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ هَلۡ هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡۖ أَفَتَأۡتُونَ ٱلسِّحۡرَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ ﴿3﴾

. Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala!.

21:4

قَالَ رَبِّي يَعۡلَمُ ٱلۡقَوۡلَ فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿4﴾

. (Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo.

21:5

بَلۡ قَالُوٓاْ أَضۡغَٰثُ أَحۡلَٰمِۭ بَلِ ٱفۡتَرَىٰهُ بَلۡ هُوَ شَاعِرٞ فَلۡيَأۡتِنَا بِـَٔايَةٖ كَمَآ أُرۡسِلَ ٱلۡأَوَّلُونَ ﴿5﴾

. (Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa.

21:6

مَآ ءَامَنَتۡ قَبۡلَهُم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَآۖ أَفَهُمۡ يُؤۡمِنُونَ ﴿6﴾

. Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza!.

21:7

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿7﴾

. Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.

21:8

وَمَا جَعَلۡنَٰهُمۡ جَسَدٗا لَّا يَأۡكُلُونَ ٱلطَّعَامَ وَمَا كَانُواْ خَٰلِدِينَ ﴿8﴾

. Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera.

21:9

ثُمَّ صَدَقۡنَٰهُمُ ٱلۡوَعۡدَ فَأَنجَيۡنَٰهُمۡ وَمَن نَّشَآءُ وَأَهۡلَكۡنَا ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿9﴾

. Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde.

21:10

لَقَدۡ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ كِتَٰبٗا فِيهِ ذِكۡرُكُمۡۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿10﴾

. Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera!.

21:11

وَكَمۡ قَصَمۡنَا مِن قَرۡيَةٖ كَانَتۡ ظَالِمَةٗ وَأَنشَأۡنَا بَعۡدَهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ ﴿11﴾

. Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe).

21:12

فَلَمَّآ أَحَسُّواْ بَأۡسَنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَرۡكُضُونَ ﴿12﴾

. Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka.

21:13

لَا تَرۡكُضُواْ وَٱرۡجِعُوٓاْ إِلَىٰ مَآ أُتۡرِفۡتُمۡ فِيهِ وَمَسَٰكِنِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡـَٔلُونَ ﴿13﴾

. (Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa.

21:14

قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿14﴾

. Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi.

21:15

فَمَا زَالَت تِّلۡكَ دَعۡوَىٰهُمۡ حَتَّىٰ جَعَلۡنَٰهُمۡ حَصِيدًا خَٰمِدِينَ ﴿15﴾

. Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.

21:16

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ ﴿16﴾

. Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo.

21:17

لَوۡ أَرَدۡنَآ أَن نَّتَّخِذَ لَهۡوٗا لَّٱتَّخَذۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّآ إِن كُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿17﴾

. Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola.

21:18

بَلۡ نَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَى ٱلۡبَٰطِلِ فَيَدۡمَغُهُۥ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٞۚ وَلَكُمُ ٱلۡوَيۡلُ مِمَّا تَصِفُونَ ﴿18﴾

. Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.

21:19

وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَنۡ عِندَهُۥ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَلَا يَسۡتَحۡسِرُونَ ﴿19﴾

. Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa.

21:20

يُسَبِّحُونَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لَا يَفۡتُرُونَ ﴿20﴾

. Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa.

21:21

أَمِ ٱتَّخَذُوٓاْ ءَالِهَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ هُمۡ يُنشِرُونَ ﴿21﴾

. Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu).

21:22

لَوۡ كَانَ فِيهِمَآ ءَالِهَةٌ إِلَّا ٱللَّهُ لَفَسَدَتَاۚ فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿22﴾

. Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.

21:23

لَا يُسۡـَٔلُ عَمَّا يَفۡعَلُ وَهُمۡ يُسۡـَٔلُونَ ﴿23﴾

. Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa.

21:24

أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡۖ هَٰذَا ذِكۡرُ مَن مَّعِيَ وَذِكۡرُ مَن قَبۡلِيۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡحَقَّۖ فَهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿24﴾

. Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.

21:25

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٍ إِلَّا نُوحِيٓ إِلَيۡهِ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدُونِ ﴿25﴾

. Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.

21:26

وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۚ بَلۡ عِبَادٞ مُّكۡرَمُونَ ﴿26﴾

. Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa.

21:27

لَا يَسۡبِقُونَهُۥ بِٱلۡقَوۡلِ وَهُم بِأَمۡرِهِۦ يَعۡمَلُونَ ﴿27﴾

. Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye.

21:28

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يَشۡفَعُونَ إِلَّا لِمَنِ ٱرۡتَضَىٰ وَهُم مِّنۡ خَشۡيَتِهِۦ مُشۡفِقُونَ ﴿28﴾

. Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza.