quranm◉

Hizb 36

Range
from 24:35 to 25:52
Surahs covered
Okuvvuunula
82 Okuvvuunula

◉

24:35

ٱللَّهُ نُورُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ مَثَلُ نُورِهِۦ كَمِشۡكَوٰةٖ فِيهَا مِصۡبَاحٌۖ ٱلۡمِصۡبَاحُ فِي زُجَاجَةٍۖ ٱلزُّجَاجَةُ كَأَنَّهَا كَوۡكَبٞ دُرِّيّٞ يُوقَدُ مِن شَجَرَةٖ مُّبَٰرَكَةٖ زَيۡتُونَةٖ لَّا شَرۡقِيَّةٖ وَلَا غَرۡبِيَّةٖ يَكَادُ زَيۡتُهَا يُضِيٓءُ وَلَوۡ لَمۡ تَمۡسَسۡهُ نَارٞۚ نُّورٌ عَلَىٰ نُورٖۚ يَهۡدِي ٱللَّهُ لِنُورِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَيَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَ لِلنَّاسِۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿35﴾

. Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu.

24:36

فِي بُيُوتٍ أَذِنَ ٱللَّهُ أَن تُرۡفَعَ وَيُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ يُسَبِّحُ لَهُۥ فِيهَا بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ ﴿36﴾

. Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo.

24:37

رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿37﴾

. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.

24:38

لِيَجۡزِيَهُمُ ٱللَّهُ أَحۡسَنَ مَا عَمِلُواْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿38﴾

. Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira.

24:39

وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَسَرَابِۭ بِقِيعَةٖ يَحۡسَبُهُ ٱلظَّمۡـَٔانُ مَآءً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَهُۥ لَمۡ يَجِدۡهُ شَيۡـٔٗا وَوَجَدَ ٱللَّهَ عِندَهُۥ فَوَفَّىٰهُ حِسَابَهُۥۗ وَٱللَّهُ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿39﴾

. Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe).

24:40

أَوۡ كَظُلُمَٰتٖ فِي بَحۡرٖ لُّجِّيّٖ يَغۡشَىٰهُ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ سَحَابٞۚ ظُلُمَٰتُۢ بَعۡضُهَا فَوۡقَ بَعۡضٍ إِذَآ أَخۡرَجَ يَدَهُۥ لَمۡ يَكَدۡ يَرَىٰهَاۗ وَمَن لَّمۡ يَجۡعَلِ ٱللَّهُ لَهُۥ نُورٗا فَمَا لَهُۥ مِن نُّورٍ ﴿40﴾

. (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala.

24:41

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُسَبِّحُ لَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلطَّيۡرُ صَـٰٓفَّـٰتٖۖ كُلّٞ قَدۡ عَلِمَ صَلَاتَهُۥ وَتَسۡبِيحَهُۥۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِمَا يَفۡعَلُونَ ﴿41﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

24:42

وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿42﴾

. Bwa Katonda obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era ewa Katonda y'eri obuddo.

24:43

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُزۡجِي سَحَابٗا ثُمَّ يُؤَلِّفُ بَيۡنَهُۥ ثُمَّ يَجۡعَلُهُۥ رُكَامٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦ وَيُنَزِّلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن جِبَالٖ فِيهَا مِنۢ بَرَدٖ فَيُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ وَيَصۡرِفُهُۥ عَن مَّن يَشَآءُۖ يَكَادُ سَنَا بَرۡقِهِۦ يَذۡهَبُ بِٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿43﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda atambuza ebire bwamala naabikungaanya wamu oluvanyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gwaba ayagadde ate n'aguwonya oyo gwaba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kumpi kizibe amaaso (g'abantu).

24:44

يُقَلِّبُ ٱللَّهُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿44﴾

. Katonda akyusakyusa emisana n'ekiro, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abalina amaaso.

24:45

وَٱللَّهُ خَلَقَ كُلَّ دَآبَّةٖ مِّن مَّآءٖۖ فَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ بَطۡنِهِۦ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ رِجۡلَيۡنِ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰٓ أَرۡبَعٖۚ يَخۡلُقُ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿45﴾

. Katonda yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu.

24:46

لَّقَدۡ أَنزَلۡنَآ ءَايَٰتٖ مُّبَيِّنَٰتٖۚ وَٱللَّهُ يَهۡدِي مَن يَشَآءُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿46﴾

. Mazima twassa obubonero obunnyonnyola, bulijjo Katonda alungamya gwaba ayagadde ku kkubo eggolokofu.

24:47

وَيَقُولُونَ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَبِٱلرَّسُولِ وَأَطَعۡنَا ثُمَّ يَتَوَلَّىٰ فَرِيقٞ مِّنۡهُم مِّنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَۚ وَمَآ أُوْلَـٰٓئِكَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿47﴾

. (Abannanfusi) bagamba nti tukkirizza Katonda n'omubaka era ne tugonda ate ekitundu ku bo ne kyekyusa oluvanyuma lw'ekyo, era abo si bakkiriza.

24:48

وَإِذَا دُعُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿48﴾

. Bwe bayitibwa okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati wa bwe ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bakyawukanako.

24:49

وَإِن يَكُن لَّهُمُ ٱلۡحَقُّ يَأۡتُوٓاْ إِلَيۡهِ مُذۡعِنِينَ ﴿49﴾

. Bwe kiba nga amazima gali ku ludda lwa bwe bajja gyali (Nabbi) nga bagonvu.

24:50

أَفِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ أَمِ ٱرۡتَابُوٓاْ أَمۡ يَخَافُونَ أَن يَحِيفَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ وَرَسُولُهُۥۚ بَلۡ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿50﴾

. (Ekibakozesa ekyo) abaffe mu mitima gya bwe mulimu obulwadde oba babuusabuusa (obwa Nabbi bwe), oba batya Katonda n'omubaka we okubasaliriza, si bwekiri abo bbo be beeyisa obubi.

24:51

إِنَّمَا كَانَ قَوۡلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذَا دُعُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ أَن يَقُولُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَاۚ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿51﴾

. Mazima kyalibadde ekigambo kya bakkiriza (kye bandigambye) wonna we babayitira okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati waabwe bandigambye tuwulidde era netugonda era abo bbo be b'okutuuka ku buwanguzi.

24:52

وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَخۡشَ ٱللَّهَ وَيَتَّقۡهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ ﴿52﴾

. Oyo yenna agondera Katonda n'omubakawe n'atya Katonda ne yeeyisa nga Katonda bwayagala abo bbo be bawanguzi.

24:53

وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَئِنۡ أَمَرۡتَهُمۡ لَيَخۡرُجُنَّۖ قُل لَّا تُقۡسِمُواْۖ طَاعَةٞ مَّعۡرُوفَةٌۚ إِنَّ ٱللَّهَ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿53﴾

. Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro bya bwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.

24:54

قُلۡ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَۖ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡهِ مَا حُمِّلَ وَعَلَيۡكُم مَّا حُمِّلۡتُمۡۖ وَإِن تُطِيعُوهُ تَهۡتَدُواْۚ وَمَا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿54﴾

. Bagambe nti: mugondere Katonda era mugondere omubaka, bwe bagaana mazima (Nabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulungama, era omubaka tabanjibwa okugyako okutuusa obubaka okw'olwatu.

24:55

وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَيَسۡتَخۡلِفَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ كَمَا ٱسۡتَخۡلَفَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَلَيُمَكِّنَنَّ لَهُمۡ دِينَهُمُ ٱلَّذِي ٱرۡتَضَىٰ لَهُمۡ وَلَيُبَدِّلَنَّهُم مِّنۢ بَعۡدِ خَوۡفِهِمۡ أَمۡنٗاۚ يَعۡبُدُونَنِي لَا يُشۡرِكُونَ بِي شَيۡـٔٗاۚ وَمَن كَفَرَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿55﴾

. Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza mu mmwe ne bakola e mirimu emirongoofu nti ajja kubawa obuyinza mu nsi, nga bwe yawa abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe era nti ajja kubanywereza e ddiini yaabwe eyo gye yabasiimira, era oluvanyuma lw'okuwangalira mu kutya ajja kubawaanyisizaamu emirembe, babe nga bansinza nga tebangattako kintu kirala kyonna, oyo yenna akola ekimenya amateeka oluvanyuma lw'ekyo abo nno bo be boonoonyi.

24:56

وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿56﴾

. Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.

24:57

لَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَلَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿57﴾

. Abo abaakaafuwala tosuubira nti bayinza okulemesa (Katonda) mu nsi, obuddo bwa bwe muliro era buddo bubi ddala.

24:58

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لِيَسۡتَـٔۡذِنكُمُ ٱلَّذِينَ مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡ وَٱلَّذِينَ لَمۡ يَبۡلُغُواْ ٱلۡحُلُمَ مِنكُمۡ ثَلَٰثَ مَرَّـٰتٖۚ مِّن قَبۡلِ صَلَوٰةِ ٱلۡفَجۡرِ وَحِينَ تَضَعُونَ ثِيَابَكُم مِّنَ ٱلظَّهِيرَةِ وَمِنۢ بَعۡدِ صَلَوٰةِ ٱلۡعِشَآءِۚ ثَلَٰثُ عَوۡرَٰتٖ لَّكُمۡۚ لَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ وَلَا عَلَيۡهِمۡ جُنَاحُۢ بَعۡدَهُنَّۚ طَوَّـٰفُونَ عَلَيۡكُم بَعۡضُكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿58﴾

. Abange mmwe abakkiriza bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gya mmwe egya ddyo, n'abo abatannaba kutuuka myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) e sswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’e sswala ya Isha, (ebyo) biseera bya mmwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwena wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoololeramu ng'abamu musisinkana ba nnammwe, bwatyo (Katonda) bwa bannyonnyola e bigambo anti bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

24:59

وَإِذَا بَلَغَ ٱلۡأَطۡفَٰلُ مِنكُمُ ٱلۡحُلُمَ فَلۡيَسۡتَـٔۡذِنُواْ كَمَا ٱسۡتَـٔۡذَنَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿59﴾

. Abato mu mmwe bwe batuuka e myaka gy'obukulu bateekwa okusaba okukkirizibwa okuyingira nga bwe basaba abo abakulembedde, bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambobye, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

24:60

وَٱلۡقَوَٰعِدُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ ٱلَّـٰتِي لَا يَرۡجُونَ نِكَاحٗا فَلَيۡسَ عَلَيۡهِنَّ جُنَاحٌ أَن يَضَعۡنَ ثِيَابَهُنَّ غَيۡرَ مُتَبَرِّجَٰتِۭ بِزِينَةٖۖ وَأَن يَسۡتَعۡفِفۡنَ خَيۡرٞ لَّهُنَّۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿60﴾

. N'abannyuka eby'obufumbo mu bakyala abo abatakyalina ssuubi mu kufumbirwa, tebalina kabi obuteebikkirira naye nga tebegyagyama na bya kwenyiriza, era okwessaamu ensa kye kisinga obulungi gye bali, era bulijjo Katonda awulira nnyo mumanyi.

24:61

لَّيۡسَ عَلَى ٱلۡأَعۡمَىٰ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡأَعۡرَجِ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡمَرِيضِ حَرَجٞ وَلَا عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ أَن تَأۡكُلُواْ مِنۢ بُيُوتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ ءَابَآئِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أُمَّهَٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ إِخۡوَٰنِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَخَوَٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَعۡمَٰمِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ عَمَّـٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَخۡوَٰلِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ خَٰلَٰتِكُمۡ أَوۡ مَا مَلَكۡتُم مَّفَاتِحَهُۥٓ أَوۡ صَدِيقِكُمۡۚ لَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَن تَأۡكُلُواْ جَمِيعًا أَوۡ أَشۡتَاتٗاۚ فَإِذَا دَخَلۡتُم بُيُوتٗا فَسَلِّمُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ تَحِيَّةٗ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ مُبَٰرَكَةٗ طَيِّبَةٗۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿61﴾

. Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bbo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda ba mmwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga ba kitammwe abato oba mu maka ga ba senga mmwe, oba mu maka ga ba kojjammwe oba mu maka ga ba maama ba mmwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwa mmwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawudde yawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Katonda. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambo (bye) mulyoke mutegeere.

24:62

إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَإِذَا كَانُواْ مَعَهُۥ عَلَىٰٓ أَمۡرٖ جَامِعٖ لَّمۡ يَذۡهَبُواْ حَتَّىٰ يَسۡتَـٔۡذِنُوهُۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَسۡتَـٔۡذِنُونَكَ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ فَإِذَا ٱسۡتَـٔۡذَنُوكَ لِبَعۡضِ شَأۡنِهِمۡ فَأۡذَن لِّمَن شِئۡتَ مِنۡهُمۡ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُمُ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿62﴾

. Mazima abakkiriza beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe era bwe baba naye ku nsonga ebakwatako bonna tebayinza kuvaawo okugyako nga bamaze kumusaba, mazima abo abakusaba okubakkiriza bagende, abo beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe, kale bwe baba bakusabye olw'ezimu ku nsonga zaabwe wa olukusa oyo gwoba oyagadde mu bo era osabe Katonda abawe ekisonyiwo, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

24:63

لَّا تَجۡعَلُواْ دُعَآءَ ٱلرَّسُولِ بَيۡنَكُمۡ كَدُعَآءِ بَعۡضِكُم بَعۡضٗاۚ قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ يَتَسَلَّلُونَ مِنكُمۡ لِوَاذٗاۚ فَلۡيَحۡذَرِ ٱلَّذِينَ يُخَالِفُونَ عَنۡ أَمۡرِهِۦٓ أَن تُصِيبَهُمۡ فِتۡنَةٌ أَوۡ يُصِيبَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿63﴾

. Temufuulanga engeri gye mukoowoola omubaka nga engeri gye mwekoowoolamu mwekka na mwekka, mazima Katonda amanyi abo abeemulula mu mmwe nga bebbirira, abo abaawukana ku kigambokye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo.

24:64

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قَدۡ يَعۡلَمُ مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ وَيَوۡمَ يُرۡجَعُونَ إِلَيۡهِ فَيُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُواْۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ ﴿64﴾

. Abange, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima amanya ekyo kye mubaako era amanyi olunaku lwe baliddizibwa gyali olwonno abategeeze bye bakola era Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.

25:1

تَبَارَكَ ٱلَّذِي نَزَّلَ ٱلۡفُرۡقَانَ عَلَىٰ عَبۡدِهِۦ لِيَكُونَ لِلۡعَٰلَمِينَ نَذِيرًا ﴿1﴾

. Musukkulumu oyo eyassa Kur’ani ku mudduwe eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde.

25:2

ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَخَلَقَ كُلَّ شَيۡءٖ فَقَدَّرَهُۥ تَقۡدِيرٗا ﴿2﴾

. Oyo (Katonda) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era teyeeteerawo mwana era talina amwegattako mu bufuzi era yatonda buli kintu naakikola olukola olukisaanira.

25:3

وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗ لَّا يَخۡلُقُونَ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ وَلَا يَمۡلِكُونَ لِأَنفُسِهِمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا وَلَا يَمۡلِكُونَ مَوۡتٗا وَلَا حَيَوٰةٗ وَلَا نُشُورٗا ﴿3﴾

. Ate (abatakkiriza) bamuvaako ne beeteerawo ba katonda abalala abatalina kintu kyonna kye batonda so ng'ate bbo baatondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira.

25:4

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكٌ ٱفۡتَرَىٰهُ وَأَعَانَهُۥ عَلَيۡهِ قَوۡمٌ ءَاخَرُونَۖ فَقَدۡ جَآءُو ظُلۡمٗا وَزُورٗا ﴿4﴾

. Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.

25:5

وَقَالُوٓاْ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٱكۡتَتَبَهَا فَهِيَ تُمۡلَىٰ عَلَيۡهِ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلٗا ﴿5﴾

. Era ne bagamba nti (byayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo.

25:6

قُلۡ أَنزَلَهُ ٱلَّذِي يَعۡلَمُ ٱلسِّرَّ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿6﴾

. Bagambe nti (Kur’ani) yagissa oyo amanyi ebyama byo mu ggulu omusanvu ne nsi, mazima yye (Katonda) bulijjo musonyiyi musaasizi.

25:7

وَقَالُواْ مَالِ هَٰذَا ٱلرَّسُولِ يَأۡكُلُ ٱلطَّعَامَ وَيَمۡشِي فِي ٱلۡأَسۡوَاقِ لَوۡلَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِ مَلَكٞ فَيَكُونَ مَعَهُۥ نَذِيرًا ﴿7﴾

. Era baagamba nti: ono mubaka wangeriki alya emmere naatambula mu butale!, singa Malayika yassibwa gyali naabeera mutiisa awamu naye (nga amuyambako).

25:8

أَوۡ يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡهِ كَنزٌ أَوۡ تَكُونُ لَهُۥ جَنَّةٞ يَأۡكُلُ مِنۡهَاۚ وَقَالَ ٱلظَّـٰلِمُونَ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلٗا مَّسۡحُورًا ﴿8﴾

. Oba eby'obugagga nebissibwa gyali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina e nnimiro mwalya. Era abeeyisa ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okugyako omusajja omuloge.

25:9

ٱنظُرۡ كَيۡفَ ضَرَبُواْ لَكَ ٱلۡأَمۡثَٰلَ فَضَلُّواْ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ سَبِيلٗا ﴿9﴾

. Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima).

25:10

تَبَارَكَ ٱلَّذِيٓ إِن شَآءَ جَعَلَ لَكَ خَيۡرٗا مِّن ذَٰلِكَ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ وَيَجۡعَل لَّكَ قُصُورَۢا ﴿10﴾

. Musukkulumu oyo singa aba ayagadde yaalikuteereddewo ebirungi okusinga ebyo, (nga nabyo) g'emalimiro agakulukutiramu emigga era naakuteerawo embiri.

25:11

بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلسَّاعَةِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِمَن كَذَّبَ بِٱلسَّاعَةِ سَعِيرًا ﴿11﴾

. Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira.

25:12

إِذَا رَأَتۡهُم مِّن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ سَمِعُواْ لَهَا تَغَيُّظٗا وَزَفِيرٗا ﴿12﴾

. (Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira mu gwo okutokota n'okududuma.

25:13

وَإِذَآ أُلۡقُواْ مِنۡهَا مَكَانٗا ضَيِّقٗا مُّقَرَّنِينَ دَعَوۡاْ هُنَالِكَ ثُبُورٗا ﴿13﴾

. Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye.

25:14

لَّا تَدۡعُواْ ٱلۡيَوۡمَ ثُبُورٗا وَٰحِدٗا وَٱدۡعُواْ ثُبُورٗا كَثِيرٗا ﴿14﴾

. Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi.

25:15

قُلۡ أَذَٰلِكَ خَيۡرٌ أَمۡ جَنَّةُ ٱلۡخُلۡدِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۚ كَانَتۡ لَهُمۡ جَزَآءٗ وَمَصِيرٗا ﴿15﴾

. Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira omuliro) kye kirungi oba e jjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo.

25:16

لَّهُمۡ فِيهَا مَا يَشَآءُونَ خَٰلِدِينَۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ وَعۡدٗا مَّسۡـُٔولٗا ﴿16﴾

. Muyo bagenda kufuna bye baagala baakubeeramu obugenderevu (ekyo) ku Mukama omulabiriziwo ndagaano erina okukuumwa obutiribiri.

25:17

وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ فَيَقُولُ ءَأَنتُمۡ أَضۡلَلۡتُمۡ عِبَادِي هَـٰٓؤُلَآءِ أَمۡ هُمۡ ضَلُّواْ ٱلسَّبِيلَ ﴿17﴾

. N'olunaku lwalibakungaanya n'ebyo bye basinza ne baleka Katonda alibagamba nti mmwe mwabuza abaddu bange abo oba be baabulwa ekkubo.

25:18

قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ مَا كَانَ يَنۢبَغِي لَنَآ أَن نَّتَّخِذَ مِن دُونِكَ مِنۡ أَوۡلِيَآءَ وَلَٰكِن مَّتَّعۡتَهُمۡ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ نَسُواْ ٱلذِّكۡرَ وَكَانُواْ قَوۡمَۢا بُورٗا ﴿18﴾

. Baligamba nti: wasukkuluma Mukama. Tekitugwanirangako kweteerawo bakuumi balala ne tukuvaako, wabula wabeeyagaza ne bakadde baabwe okutuusa lwe beerabira okutendereza ne baba abantu ab'okuzikirira.

25:19

فَقَدۡ كَذَّبُوكُم بِمَا تَقُولُونَ فَمَا تَسۡتَطِيعُونَ صَرۡفٗا وَلَا نَصۡرٗاۚ وَمَن يَظۡلِم مِّنكُمۡ نُذِقۡهُ عَذَابٗا كَبِيرٗا ﴿19﴾

. (Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe.

25:20

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّآ إِنَّهُمۡ لَيَأۡكُلُونَ ٱلطَّعَامَ وَيَمۡشُونَ فِي ٱلۡأَسۡوَاقِۗ وَجَعَلۡنَا بَعۡضَكُمۡ لِبَعۡضٖ فِتۡنَةً أَتَصۡبِرُونَۗ وَكَانَ رَبُّكَ بَصِيرٗا ﴿20﴾

. Era tetwatuma olubereberye lwo babaka okugyako nga mazima bbo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era netufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munagumiikiriza, bulijjo Mukama omulabiriziwo alabira ddala.

25:21

وَقَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ لِقَآءَنَا لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ نَرَىٰ رَبَّنَاۗ لَقَدِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ وَعَتَوۡ عُتُوّٗا كَبِيرٗا ﴿21﴾

. Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.

25:22

يَوۡمَ يَرَوۡنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ لَا بُشۡرَىٰ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُجۡرِمِينَ وَيَقُولُونَ حِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿22﴾

. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).

25:23

وَقَدِمۡنَآ إِلَىٰ مَا عَمِلُواْ مِنۡ عَمَلٖ فَجَعَلۡنَٰهُ هَبَآءٗ مَّنثُورًا ﴿23﴾

. Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.

25:24

أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِ يَوۡمَئِذٍ خَيۡرٞ مُّسۡتَقَرّٗا وَأَحۡسَنُ مَقِيلٗا ﴿24﴾

. Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu .

25:25

وَيَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلسَّمَآءُ بِٱلۡغَمَٰمِ وَنُزِّلَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ تَنزِيلًا ﴿25﴾

. N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.

25:26

ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّ لِلرَّحۡمَٰنِۚ وَكَانَ يَوۡمًا عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ عَسِيرٗا ﴿26﴾

. Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.

25:27

وَيَوۡمَ يَعَضُّ ٱلظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيۡهِ يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي ٱتَّخَذۡتُ مَعَ ٱلرَّسُولِ سَبِيلٗا ﴿27﴾

. Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.

25:28

يَٰوَيۡلَتَىٰ لَيۡتَنِي لَمۡ أَتَّخِذۡ فُلَانًا خَلِيلٗا ﴿28﴾

. Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano.

25:29

لَّقَدۡ أَضَلَّنِي عَنِ ٱلذِّكۡرِ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَنِيۗ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِلۡإِنسَٰنِ خَذُولٗا ﴿29﴾

. Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.

25:30

وَقَالَ ٱلرَّسُولُ يَٰرَبِّ إِنَّ قَوۡمِي ٱتَّخَذُواْ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ مَهۡجُورٗا ﴿30﴾

. Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa.

25:31

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا مِّنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ هَادِيٗا وَنَصِيرٗا ﴿31﴾

. Era bwe kityo buli Nabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga ye mulungamya era omutaasa.

25:32

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ عَلَيۡهِ ٱلۡقُرۡءَانُ جُمۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ كَذَٰلِكَ لِنُثَبِّتَ بِهِۦ فُؤَادَكَۖ وَرَتَّلۡنَٰهُ تَرۡتِيلٗا ﴿32﴾

. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola).

25:33

وَلَا يَأۡتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَأَحۡسَنَ تَفۡسِيرًا ﴿33﴾

. Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.

25:34

ٱلَّذِينَ يُحۡشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُوْلَـٰٓئِكَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضَلُّ سَبِيلٗا ﴿34﴾

. Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.

25:35

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلۡنَا مَعَهُۥٓ أَخَاهُ هَٰرُونَ وَزِيرٗا ﴿35﴾

. Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi.

25:36

فَقُلۡنَا ٱذۡهَبَآ إِلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَدَمَّرۡنَٰهُمۡ تَدۡمِيرٗا ﴿36﴾

. Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza.

25:37

وَقَوۡمَ نُوحٖ لَّمَّا كَذَّبُواْ ٱلرُّسُلَ أَغۡرَقۡنَٰهُمۡ وَجَعَلۡنَٰهُمۡ لِلنَّاسِ ءَايَةٗۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِلظَّـٰلِمِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿37﴾

. N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma.

25:38

وَعَادٗا وَثَمُودَاْ وَأَصۡحَٰبَ ٱلرَّسِّ وَقُرُونَۢا بَيۡنَ ذَٰلِكَ كَثِيرٗا ﴿38﴾

. Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo.

25:39

وَكُلّٗا ضَرَبۡنَا لَهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَۖ وَكُلّٗا تَبَّرۡنَا تَتۡبِيرٗا ﴿39﴾

. Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe).

25:40

وَلَقَدۡ أَتَوۡاْ عَلَى ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِيٓ أُمۡطِرَتۡ مَطَرَ ٱلسَّوۡءِۚ أَفَلَمۡ يَكُونُواْ يَرَوۡنَهَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَرۡجُونَ نُشُورٗا ﴿40﴾

. (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira.

25:41

وَإِذَا رَأَوۡكَ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي بَعَثَ ٱللَّهُ رَسُولًا ﴿41﴾

. Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.

25:42

إِن كَادَ لَيُضِلُّنَا عَنۡ ءَالِهَتِنَا لَوۡلَآ أَن صَبَرۡنَا عَلَيۡهَاۚ وَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ حِينَ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ مَنۡ أَضَلُّ سَبِيلًا ﴿42﴾

. Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu).

25:43

أَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ أَفَأَنتَ تَكُونُ عَلَيۡهِ وَكِيلًا ﴿43﴾

. Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize.

25:44

أَمۡ تَحۡسَبُ أَنَّ أَكۡثَرَهُمۡ يَسۡمَعُونَ أَوۡ يَعۡقِلُونَۚ إِنۡ هُمۡ إِلَّا كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّ سَبِيلًا ﴿44﴾

. Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu.

25:45

أَلَمۡ تَرَ إِلَىٰ رَبِّكَ كَيۡفَ مَدَّ ٱلظِّلَّ وَلَوۡ شَآءَ لَجَعَلَهُۥ سَاكِنٗا ثُمَّ جَعَلۡنَا ٱلشَّمۡسَ عَلَيۡهِ دَلِيلٗا ﴿45﴾

. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.

25:46

ثُمَّ قَبَضۡنَٰهُ إِلَيۡنَا قَبۡضٗا يَسِيرٗا ﴿46﴾

. Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola.

25:47

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِبَاسٗا وَٱلنَّوۡمَ سُبَاتٗا وَجَعَلَ ٱلنَّهَارَ نُشُورٗا ﴿47﴾

. Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya).

25:48

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦۚ وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ طَهُورٗا ﴿48﴾

. Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo.

25:49

لِّنُحۡـِۧيَ بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗا وَنُسۡقِيَهُۥ مِمَّا خَلَقۡنَآ أَنۡعَٰمٗا وَأَنَاسِيَّ كَثِيرٗا ﴿49﴾

. Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi.

25:50

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَٰهُ بَيۡنَهُمۡ لِيَذَّكَّرُواْ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا ﴿50﴾

. Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.

25:51

وَلَوۡ شِئۡنَا لَبَعَثۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٖ نَّذِيرٗا ﴿51﴾

. Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna).

25:52

فَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَجَٰهِدۡهُم بِهِۦ جِهَادٗا كَبِيرٗا ﴿52﴾

. N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi.