quranm◉

Hizb 5

Range
from 2:263 to 3:32
Surahs covered
Okuvvuunula
56 Okuvvuunula

◉

2:263

قَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞ وَمَغۡفِرَةٌ خَيۡرٞ مِّن صَدَقَةٖ يَتۡبَعُهَآ أَذٗىۗ وَٱللَّهُ غَنِيٌّ حَلِيمٞ ﴿263﴾

Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi.

2:264

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُبۡطِلُواْ صَدَقَٰتِكُم بِٱلۡمَنِّ وَٱلۡأَذَىٰ كَٱلَّذِي يُنفِقُ مَالَهُۥ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ فَمَثَلُهُۥ كَمَثَلِ صَفۡوَانٍ عَلَيۡهِ تُرَابٞ فَأَصَابَهُۥ وَابِلٞ فَتَرَكَهُۥ صَلۡدٗاۖ لَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّمَّا كَسَبُواْۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿264﴾

Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu.

2:265

وَمَثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمُ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ وَتَثۡبِيتٗا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ كَمَثَلِ جَنَّةِۭ بِرَبۡوَةٍ أَصَابَهَا وَابِلٞ فَـَٔاتَتۡ أُكُلَهَا ضِعۡفَيۡنِ فَإِن لَّمۡ يُصِبۡهَا وَابِلٞ فَطَلّٞۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ﴿265﴾

Kyo ekifaananyi kyabo abawaayo emmaali yaabwe nga banoonya kusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kwabwe Katonda okwa namaddala, baba nga ennimiro eri ku ttaka eggimu neetonnyebwamu namutikwa wenkuba ebibala byayo nebyebazaamu emirundi ebiri nebweba tefunye namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna byemukola.

2:266

أَيَوَدُّ أَحَدُكُمۡ أَن تَكُونَ لَهُۥ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَابٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ لَهُۥ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَأَصَابَهُ ٱلۡكِبَرُ وَلَهُۥ ذُرِّيَّةٞ ضُعَفَآءُ فَأَصَابَهَآ إِعۡصَارٞ فِيهِ نَارٞ فَٱحۡتَرَقَتۡۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَتَفَكَّرُونَ ﴿266﴾

Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera nennimiro eyeemitende nemizabibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ngalina mu yo buli kika kyabibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro naagikuba neggya neggwawo, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo ebigasa musobole okwefumiitiriza.

2:267

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنفِقُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا كَسَبۡتُمۡ وَمِمَّآ أَخۡرَجۡنَا لَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِۖ وَلَا تَيَمَّمُواْ ٱلۡخَبِيثَ مِنۡهُ تُنفِقُونَ وَلَسۡتُم بِـَٔاخِذِيهِ إِلَّآ أَن تُغۡمِضُواْ فِيهِۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٌ ﴿267﴾

Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne mwebyo byetubaggira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu byo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okugyako nga mwefudde abatalaba (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda talina bwetaavu eri kintu kyonna era yaatenderezebwa.

2:268

ٱلشَّيۡطَٰنُ يَعِدُكُمُ ٱلۡفَقۡرَ وَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ وَٱللَّهُ يَعِدُكُم مَّغۡفِرَةٗ مِّنۡهُ وَفَضۡلٗاۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿268﴾

Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.

2:269

يُؤۡتِي ٱلۡحِكۡمَةَ مَن يَشَآءُۚ وَمَن يُؤۡتَ ٱلۡحِكۡمَةَ فَقَدۡ أُوتِيَ خَيۡرٗا كَثِيرٗاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿269﴾

Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo.

2:270

وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن نَّفَقَةٍ أَوۡ نَذَرۡتُم مِّن نَّذۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُهُۥۗ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٍ ﴿270﴾

(Muteekwa mukimanye nti ) buli kyonna kyemuba muwaddeyo oba naziri yonna gyemuba mwetemye mazima Katonda abimanyi. Abeeyisa obubi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda.

2:271

إِن تُبۡدُواْ ٱلصَّدَقَٰتِ فَنِعِمَّا هِيَۖ وَإِن تُخۡفُوهَا وَتُؤۡتُوهَا ٱلۡفُقَرَآءَ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۚ وَيُكَفِّرُ عَنكُم مِّن سَيِّـَٔاتِكُمۡۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿271﴾

Saddaaka bwemuziwa mu lwatu kiba kirungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi, era ekyo kibasonyiyisa ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola.

2:272

لَّيۡسَ عَلَيۡكَ هُدَىٰهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَلِأَنفُسِكُمۡۚ وَمَا تُنفِقُونَ إِلَّا ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ ٱللَّهِۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ ﴿272﴾

(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulungama kwaabwe, wabula Katonda alungamya oyo gwaba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) buli kyonna kyemuwaayo mugenderera kudda eri Katonda, buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamanyizibwa.

2:273

لِلۡفُقَرَآءِ ٱلَّذِينَ أُحۡصِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا يَسۡتَطِيعُونَ ضَرۡبٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ يَحۡسَبُهُمُ ٱلۡجَاهِلُ أَغۡنِيَآءَ مِنَ ٱلتَّعَفُّفِ تَعۡرِفُهُم بِسِيمَٰهُمۡ لَا يَسۡـَٔلُونَ ٱلنَّاسَ إِلۡحَافٗاۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٌ ﴿273﴾

(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutakabana nga banoonya riziki mu nsi. Olwensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga osobola okubamanya olwobubonero bwaabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyira ddala.

2:274

ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿274﴾

Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala.

2:275

ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ ٱلرِّبَوٰاْ لَا يَقُومُونَ إِلَّا كَمَا يَقُومُ ٱلَّذِي يَتَخَبَّطُهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مِنَ ٱلۡمَسِّۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡبَيۡعُ مِثۡلُ ٱلرِّبَوٰاْۗ وَأَحَلَّ ٱللَّهُ ٱلۡبَيۡعَ وَحَرَّمَ ٱلرِّبَوٰاْۚ فَمَن جَآءَهُۥ مَوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ فَٱنتَهَىٰ فَلَهُۥ مَا سَلَفَ وَأَمۡرُهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَنۡ عَادَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿275﴾

Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.

2:276

يَمۡحَقُ ٱللَّهُ ٱلرِّبَوٰاْ وَيُرۡبِي ٱلصَّدَقَٰتِۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ كَفَّارٍ أَثِيمٍ ﴿276﴾

Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda).

2:277

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿277﴾

Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.

2:278

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَذَرُواْ مَا بَقِيَ مِنَ ٱلرِّبَوٰٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿278﴾

Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era musazeemu enkolagana ya Ribba gyemubadde mukyalimu bwe muba nga ddala muli bakkiriza.

2:279

فَإِن لَّمۡ تَفۡعَلُواْ فَأۡذَنُواْ بِحَرۡبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۖ وَإِن تُبۡتُمۡ فَلَكُمۡ رُءُوسُ أَمۡوَٰلِكُمۡ لَا تَظۡلِمُونَ وَلَا تُظۡلَمُونَ ﴿279﴾

Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muzigyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa.

2:280

وَإِن كَانَ ذُو عُسۡرَةٖ فَنَظِرَةٌ إِلَىٰ مَيۡسَرَةٖۚ وَأَن تَصَدَّقُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿280﴾

Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi.

2:281

وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا تُرۡجَعُونَ فِيهِ إِلَى ٱللَّهِۖ ثُمَّ تُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿281﴾

Mutye olunaku lwemuliddizibwa ewa Katonda oluvanyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi.

2:282

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا تَدَايَنتُم بِدَيۡنٍ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى فَٱكۡتُبُوهُۚ وَلۡيَكۡتُب بَّيۡنَكُمۡ كَاتِبُۢ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَلَا يَأۡبَ كَاتِبٌ أَن يَكۡتُبَ كَمَا عَلَّمَهُ ٱللَّهُۚ فَلۡيَكۡتُبۡ وَلۡيُمۡلِلِ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥ وَلَا يَبۡخَسۡ مِنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ فَإِن كَانَ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ سَفِيهًا أَوۡ ضَعِيفًا أَوۡ لَا يَسۡتَطِيعُ أَن يُمِلَّ هُوَ فَلۡيُمۡلِلۡ وَلِيُّهُۥ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَٱسۡتَشۡهِدُواْ شَهِيدَيۡنِ مِن رِّجَالِكُمۡۖ فَإِن لَّمۡ يَكُونَا رَجُلَيۡنِ فَرَجُلٞ وَٱمۡرَأَتَانِ مِمَّن تَرۡضَوۡنَ مِنَ ٱلشُّهَدَآءِ أَن تَضِلَّ إِحۡدَىٰهُمَا فَتُذَكِّرَ إِحۡدَىٰهُمَا ٱلۡأُخۡرَىٰۚ وَلَا يَأۡبَ ٱلشُّهَدَآءُ إِذَا مَا دُعُواْۚ وَلَا تَسۡـَٔمُوٓاْ أَن تَكۡتُبُوهُ صَغِيرًا أَوۡ كَبِيرًا إِلَىٰٓ أَجَلِهِۦۚ ذَٰلِكُمۡ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِ وَأَقۡوَمُ لِلشَّهَٰدَةِ وَأَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَرۡتَابُوٓاْ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً حَاضِرَةٗ تُدِيرُونَهَا بَيۡنَكُمۡ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَلَّا تَكۡتُبُوهَاۗ وَأَشۡهِدُوٓاْ إِذَا تَبَايَعۡتُمۡۚ وَلَا يُضَآرَّ كَاتِبٞ وَلَا شَهِيدٞۚ وَإِن تَفۡعَلُواْ فَإِنَّهُۥ فُسُوقُۢ بِكُمۡۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱللَّهُۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿282﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu.

2:283

وَإِن كُنتُمۡ عَلَىٰ سَفَرٖ وَلَمۡ تَجِدُواْ كَاتِبٗا فَرِهَٰنٞ مَّقۡبُوضَةٞۖ فَإِنۡ أَمِنَ بَعۡضُكُم بَعۡضٗا فَلۡيُؤَدِّ ٱلَّذِي ٱؤۡتُمِنَ أَمَٰنَتَهُۥ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥۗ وَلَا تَكۡتُمُواْ ٱلشَّهَٰدَةَۚ وَمَن يَكۡتُمۡهَا فَإِنَّهُۥٓ ءَاثِمٞ قَلۡبُهُۥۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ ﴿283﴾

Bwe muba nga muli ku lugendo olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesiganganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola.

2:284

لِّلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَإِن تُبۡدُواْ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ أَوۡ تُخۡفُوهُ يُحَاسِبۡكُم بِهِ ٱللَّهُۖ فَيَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿284﴾

Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gwaliba ayagadde era abonereze oyo gwaliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu.

2:285

ءَامَنَ ٱلرَّسُولُ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِ مِن رَّبِّهِۦ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَۚ كُلٌّ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَمَلَـٰٓئِكَتِهِۦ وَكُتُبِهِۦ وَرُسُلِهِۦ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّن رُّسُلِهِۦۚ وَقَالُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَاۖ غُفۡرَانَكَ رَبَّنَا وَإِلَيۡكَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿285﴾

Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be neebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.

2:286

لَا يُكَلِّفُ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۚ لَهَا مَا كَسَبَتۡ وَعَلَيۡهَا مَا ٱكۡتَسَبَتۡۗ رَبَّنَا لَا تُؤَاخِذۡنَآ إِن نَّسِينَآ أَوۡ أَخۡطَأۡنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تَحۡمِلۡ عَلَيۡنَآ إِصۡرٗا كَمَا حَمَلۡتَهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تُحَمِّلۡنَا مَا لَا طَاقَةَ لَنَا بِهِۦۖ وَٱعۡفُ عَنَّا وَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَآۚ أَنتَ مَوۡلَىٰنَا فَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿286﴾

Katonda tawaliriza muntu okugyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olwebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu butanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tugyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, gwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala.

3:1

الٓمٓ ﴿1﴾

Alif Laamu Mimu.

3:2

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُ ﴿2﴾

Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna.

3:3

نَزَّلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَأَنزَلَ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ﴿3﴾

Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili.

3:4

مِن قَبۡلُ هُدٗى لِّلنَّاسِ وَأَنزَلَ ٱلۡفُرۡقَانَۗ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٍ ﴿4﴾

Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza.

3:5

إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَخۡفَىٰ عَلَيۡهِ شَيۡءٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ ﴿5﴾

Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu.

3:6

هُوَ ٱلَّذِي يُصَوِّرُكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ كَيۡفَ يَشَآءُۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿6﴾

Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

3:7

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ مِنۡهُ ءَايَٰتٞ مُّحۡكَمَٰتٌ هُنَّ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ وَأُخَرُ مُتَشَٰبِهَٰتٞۖ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِمۡ زَيۡغٞ فَيَتَّبِعُونَ مَا تَشَٰبَهَ مِنۡهُ ٱبۡتِغَآءَ ٱلۡفِتۡنَةِ وَٱبۡتِغَآءَ تَأۡوِيلِهِۦۖ وَمَا يَعۡلَمُ تَأۡوِيلَهُۥٓ إِلَّا ٱللَّهُۗ وَٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ يَقُولُونَ ءَامَنَّا بِهِۦ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ رَبِّنَاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿7﴾

Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu.

3:8

رَبَّنَا لَا تُزِغۡ قُلُوبَنَا بَعۡدَ إِذۡ هَدَيۡتَنَا وَهَبۡ لَنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةًۚ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ ﴿8﴾

(Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe toggya mitima gyaffe ku bulungamu oluvanyuma lwokuba nti wabutuwa, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna.

3:9

رَبَّنَآ إِنَّكَ جَامِعُ ٱلنَّاسِ لِيَوۡمٖ لَّا رَيۡبَ فِيهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿9﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja kukunganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa.

3:10

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمۡ وَقُودُ ٱلنَّارِ ﴿10﴾

Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo).

3:11

كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿11﴾

Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza.

3:12

قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ سَتُغۡلَبُونَ وَتُحۡشَرُونَ إِلَىٰ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿12﴾

Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo.

3:13

قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٞ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٞ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٞ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿13﴾

Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.

3:14

زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿14﴾

Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.

3:15

قُلۡ أَؤُنَبِّئُكُم بِخَيۡرٖ مِّن ذَٰلِكُمۡۖ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا وَأَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞ وَرِضۡوَٰنٞ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿15﴾

Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be.

3:16

ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ إِنَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿16﴾

(Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro.

3:17

ٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ﴿17﴾

(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.

3:18

شَهِدَ ٱللَّهُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَأُوْلُواْ ٱلۡعِلۡمِ قَآئِمَۢا بِٱلۡقِسۡطِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿18﴾

Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.

3:19

إِنَّ ٱلدِّينَ عِندَ ٱللَّهِ ٱلۡإِسۡلَٰمُۗ وَمَا ٱخۡتَلَفَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿19﴾

Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna olwokwekolera eyewaggula ku bigambo bya Katonda mazima Katonda takaluubirirwa kubala.

3:20

فَإِنۡ حَآجُّوكَ فَقُلۡ أَسۡلَمۡتُ وَجۡهِيَ لِلَّهِ وَمَنِ ٱتَّبَعَنِۗ وَقُل لِّلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡأُمِّيِّـۧنَ ءَأَسۡلَمۡتُمۡۚ فَإِنۡ أَسۡلَمُواْ فَقَدِ ٱهۡتَدَواْۖ وَّإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿20﴾

Bwebaba bakuwakanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli, yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balungamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola).

3:21

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ بِغَيۡرِ حَقّٖ وَيَقۡتُلُونَ ٱلَّذِينَ يَأۡمُرُونَ بِٱلۡقِسۡطِ مِنَ ٱلنَّاسِ فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ﴿21﴾

Mazima abeewaggula kubigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma.

3:22

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿22﴾

Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa.

3:23

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ نَصِيبٗا مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ يُدۡعَوۡنَ إِلَىٰ كِتَٰبِ ٱللَّهِ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ ثُمَّ يَتَوَلَّىٰ فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ وَهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿23﴾

Tolaba abo abaaweebwa omukisa nebafuna ekitabo nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda abalamule, ate ekitundu ku bo, nebatakikola. Mukukola ekyo nebaba nga bavudde ku mazima gebamanyi.

3:24

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَن تَمَسَّنَا ٱلنَّارُ إِلَّآ أَيَّامٗا مَّعۡدُودَٰتٖۖ وَغَرَّهُمۡ فِي دِينِهِم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿24﴾

Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okugyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebeyiyiza nebibagayaaza mu ddiini yaabwe.

3:25

فَكَيۡفَ إِذَا جَمَعۡنَٰهُمۡ لِيَوۡمٖ لَّا رَيۡبَ فِيهِ وَوُفِّيَتۡ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿25﴾

Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi.

3:26

قُلِ ٱللَّهُمَّ مَٰلِكَ ٱلۡمُلۡكِ تُؤۡتِي ٱلۡمُلۡكَ مَن تَشَآءُ وَتَنزِعُ ٱلۡمُلۡكَ مِمَّن تَشَآءُ وَتُعِزُّ مَن تَشَآءُ وَتُذِلُّ مَن تَشَآءُۖ بِيَدِكَ ٱلۡخَيۡرُۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿26﴾

(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu.

3:27

تُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَتُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۖ وَتُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَتُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّۖ وَتَرۡزُقُ مَن تَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿27﴾

Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira.

3:28

لَّا يَتَّخِذِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَلَيۡسَ مِنَ ٱللَّهِ فِي شَيۡءٍ إِلَّآ أَن تَتَّقُواْ مِنۡهُمۡ تُقَىٰةٗۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿28﴾

Abakkiriza tebafuulanga Abakafiiri ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bwatyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okugyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda yeeri obuddo.

3:29

قُلۡ إِن تُخۡفُواْ مَا فِي صُدُورِكُمۡ أَوۡ تُبۡدُوهُ يَعۡلَمۡهُ ٱللَّهُۗ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿29﴾

Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka oba obutakweka ebiri mu bifuba byammwe, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.

3:30

يَوۡمَ تَجِدُ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا عَمِلَتۡ مِنۡ خَيۡرٖ مُّحۡضَرٗا وَمَا عَمِلَتۡ مِن سُوٓءٖ تَوَدُّ لَوۡ أَنَّ بَيۡنَهَا وَبَيۡنَهُۥٓ أَمَدَۢا بَعِيدٗاۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَٱللَّهُ رَءُوفُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿30﴾

(Lowooza) ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa awo, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa awo, nga yeegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda musaasizi eri abamusinza.

3:31

قُلۡ إِن كُنتُمۡ تُحِبُّونَ ٱللَّهَ فَٱتَّبِعُونِي يُحۡبِبۡكُمُ ٱللَّهُ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿31﴾

Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi.

3:32

قُلۡ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَۖ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿32﴾

Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri.