quranm◉

Omuko 106

Range
from 4:176 to 5:2
Surahs covered
Okuvvuunula
3 Okuvvuunula

◉

4:176

يَسۡتَفۡتُونَكَ قُلِ ٱللَّهُ يُفۡتِيكُمۡ فِي ٱلۡكَلَٰلَةِۚ إِنِ ٱمۡرُؤٌاْ هَلَكَ لَيۡسَ لَهُۥ وَلَدٞ وَلَهُۥٓ أُخۡتٞ فَلَهَا نِصۡفُ مَا تَرَكَۚ وَهُوَ يَرِثُهَآ إِن لَّمۡ يَكُن لَّهَا وَلَدٞۚ فَإِن كَانَتَا ٱثۡنَتَيۡنِ فَلَهُمَا ٱلثُّلُثَانِ مِمَّا تَرَكَۚ وَإِن كَانُوٓاْ إِخۡوَةٗ رِّجَالٗا وَنِسَآءٗ فَلِلذَّكَرِ مِثۡلُ حَظِّ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۗ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ أَن تَضِلُّواْۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ ﴿176﴾

Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku muntu afa naataleka bazadde oba abaana wabula nga alese bagandabe, gamba nti Katonda ajja kubannyonnyola ebikwata ku kusikira omuntu oyo, omuntu bwafa nga talina mwana, naye nga alina mwannyina, oyo afuna kimu kyakubiri kwebyo byaba alese, era naye asikira mwannyina singa (Mwannyina afa) nga talese mwana, bannyina bwebaba babiri bafuna bibiri byakusatu kw'ebyo byaba alese, bwebaba b’aluganda nga basajja na bakazi, omusajja afuna omugabo gwabakazi babiri, Katonda abannyonnyola (amateekage) mube nga temubula, bulijjo Katonda mumanyi waabuli kintu.

5:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَوۡفُواْ بِٱلۡعُقُودِۚ أُحِلَّتۡ لَكُم بَهِيمَةُ ٱلۡأَنۡعَٰمِ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ غَيۡرَ مُحِلِّي ٱلصَّيۡدِ وَأَنتُمۡ حُرُمٌۗ إِنَّ ٱللَّهَ يَحۡكُمُ مَا يُرِيدُ ﴿1﴾

Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okugyako e binaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Katonda asalawo kyaaba ayagadde.

5:2

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُحِلُّواْ شَعَـٰٓئِرَ ٱللَّهِ وَلَا ٱلشَّهۡرَ ٱلۡحَرَامَ وَلَا ٱلۡهَدۡيَ وَلَا ٱلۡقَلَـٰٓئِدَ وَلَآ ءَآمِّينَ ٱلۡبَيۡتَ ٱلۡحَرَامَ يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّن رَّبِّهِمۡ وَرِضۡوَٰنٗاۚ وَإِذَا حَلَلۡتُمۡ فَٱصۡطَادُواْۚ وَلَا يَجۡرِمَنَّكُمۡ شَنَـَٔانُ قَوۡمٍ أَن صَدُّوكُمۡ عَنِ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ أَن تَعۡتَدُواْۘ وَتَعَاوَنُواْ عَلَى ٱلۡبِرِّ وَٱلتَّقۡوَىٰۖ وَلَا تَعَاوَنُواْ عَلَى ٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿2﴾

Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Katonda byeyabalambira nti biri Haramu, era nga bwemutaasanye kukyusa myezi gya mizizo nemugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo lyebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga z’abirabo, wadde abantu abagenda okulambula e nyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Katonda, mazima Katonda muyitirivu w’abibonerezo.