quranm◉

Omuko 396

Range
from 28:85 to 29:6
Surahs covered
Okuvvuunula
10 Okuvvuunula

◉

28:85

إِنَّ ٱلَّذِي فَرَضَ عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لَرَآدُّكَ إِلَىٰ مَعَادٖۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ مَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ وَمَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿85﴾

. Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu.

28:86

وَمَا كُنتَ تَرۡجُوٓاْ أَن يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبُ إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرٗا لِّلۡكَٰفِرِينَ ﴿86﴾

. Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri.

28:87

وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بَعۡدَ إِذۡ أُنزِلَتۡ إِلَيۡكَۖ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿87﴾

. Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.

28:88

وَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۘ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ كُلُّ شَيۡءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجۡهَهُۥۚ لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿88﴾

. Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.

29:1

الٓمٓ ﴿1﴾

. Alif Laam Miim.

29:2

أَحَسِبَ ٱلنَّاسُ أَن يُتۡرَكُوٓاْ أَن يَقُولُوٓاْ ءَامَنَّا وَهُمۡ لَا يُفۡتَنُونَ ﴿2﴾

. Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa.

29:3

وَلَقَدۡ فَتَنَّا ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ فَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿3﴾

. Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Katonda ajja kumanyira ddala abo ab'esimbu (mu bukkiriza bwa bwe) era ajja kumanyira ddala abalimba.

29:4

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَسۡبِقُونَاۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ﴿4﴾

. Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi.

29:5

مَن كَانَ يَرۡجُواْ لِقَآءَ ٱللَّهِ فَإِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ لَأٓتٖۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿5﴾

. Oyo yenna asuubira okusisinkana Katonda mazima e kiseera kya Katonda (okumusisinkana) kijja, era yye ye muwulizi ennyo omumanyi ennyo.

29:6

وَمَن جَٰهَدَ فَإِنَّمَا يُجَٰهِدُ لِنَفۡسِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَنِيٌّ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿6﴾

. Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde.