quranm◉

Omuko 502

Range
from 45:33 to 46:5
Surahs covered
Okuvvuunula
10 Okuvvuunula

◉

45:33

وَبَدَا لَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿33﴾

Era (awo) obubi bwebyo bye bakola buli beeyoleka era biribebungulula ebibonerezo byebyo bye baali bajeeja.

45:34

وَقِيلَ ٱلۡيَوۡمَ نَنسَىٰكُمۡ كَمَا نَسِيتُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَا وَمَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿34﴾

Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, era omuliro bwe butuulo bwa mmwe era temugenda kufuna badduukirize.

45:35

ذَٰلِكُم بِأَنَّكُمُ ٱتَّخَذۡتُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ هُزُوٗا وَغَرَّتۡكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَاۚ فَٱلۡيَوۡمَ لَا يُخۡرَجُونَ مِنۡهَا وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ ﴿35﴾

Ekyo nno mmwe (ekibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe ebigambo bya Katonda mwabifuula bya kujeeja era obulamu bwe nsi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si bakugujjibwamu (omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda.

45:36

فَلِلَّهِ ٱلۡحَمۡدُ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَرَبِّ ٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿36﴾

Ebitendo byonna bya Katonda Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu, era Mukama omulabirizi we nsi, Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna.

45:37

وَلَهُ ٱلۡكِبۡرِيَآءُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿37﴾

Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne nsi bibye yekka, era yye, ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

46:1

حمٓ ﴿1﴾

Ha Miim.

46:2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿2﴾

Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

46:3

مَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَمَّآ أُنذِرُواْ مُعۡرِضُونَ ﴿3﴾

Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo.

46:4

قُلۡ أَرَءَيۡتُم مَّا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُواْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ لَهُمۡ شِرۡكٞ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِۖ ٱئۡتُونِي بِكِتَٰبٖ مِّن قَبۡلِ هَٰذَآ أَوۡ أَثَٰرَةٖ مِّنۡ عِلۡمٍ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿4﴾

Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!.

46:5

وَمَنۡ أَضَلُّ مِمَّن يَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَن لَّا يَسۡتَجِيبُ لَهُۥٓ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَهُمۡ عَن دُعَآئِهِمۡ غَٰفِلُونَ ﴿5﴾

Ani mubuze okusinga oyo alekawo Katonda naasaba oyo atasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabo (be basaba) tebalina kye bamanyi ku kusaba kwabwe.