quranm◉

Surah Al-'Adiyat (100) recited by Hani ar Rifai

Listen to Hani ar Rifai

Surah ◉

100:1

وَٱلۡعَٰدِيَٰتِ ضَبۡحٗا ﴿1﴾

Ndayira embalaasi ezizinda(ezidduka) nga ziweevuuma.

100:2

فَٱلۡمُورِيَٰتِ قَدۡحٗا ﴿2﴾

Nezimansula e nsasi z’omuliroolw’okukoona enjazi.

100:3

فَٱلۡمُغِيرَٰتِ صُبۡحٗا ﴿3﴾

Ezizinda ku maliiri.

100:4

فَأَثَرۡنَ بِهِۦ نَقۡعٗا ﴿4﴾

Nezisiikuula enfuufu, mu kutyekuula emisinde okwo.

100:5

فَوَسَطۡنَ بِهِۦ جَمۡعًا ﴿5﴾

Neziyingira mu balabe wakati.

100:6

إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لِرَبِّهِۦ لَكَنُودٞ ﴿6﴾

Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe.

100:7

وَإِنَّهُۥ عَلَىٰ ذَٰلِكَ لَشَهِيدٞ ﴿7﴾

Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi.

100:8

وَإِنَّهُۥ لِحُبِّ ٱلۡخَيۡرِ لَشَدِيدٌ ﴿8﴾

Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebyenfuna.

100:9

أَفَلَا يَعۡلَمُ إِذَا بُعۡثِرَ مَا فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿9﴾

Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa.

100:10

وَحُصِّلَ مَا فِي ٱلصُّدُورِ ﴿10﴾

N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa.

100:11

إِنَّ رَبَّهُم بِهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّخَبِيرُۢ ﴿11﴾

Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako.

This surah by other reciters