quranm◉

Surah Al-Mutaffifin (83) recited by Saud ash Shuraym

Listen to Saud ash Shuraym

Surah ◉

83:1

وَيۡلٞ لِّلۡمُطَفِّفِينَ ﴿1﴾

Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo.

83:2

ٱلَّذِينَ إِذَا ٱكۡتَالُواْ عَلَى ٱلنَّاسِ يَسۡتَوۡفُونَ ﴿2﴾

Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe.

83:3

وَإِذَا كَالُوهُمۡ أَو وَّزَنُوهُمۡ يُخۡسِرُونَ ﴿3﴾

So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo).

83:4

أَلَا يَظُنُّ أُوْلَـٰٓئِكَ أَنَّهُم مَّبۡعُوثُونَ ﴿4﴾

Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa.

83:5

لِيَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿5﴾

Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero).

83:6

يَوۡمَ يَقُومُ ٱلنَّاسُ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿6﴾

Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde.

83:7

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡفُجَّارِ لَفِي سِجِّينٖ ﴿7﴾

Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin.

83:8

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سِجِّينٞ ﴿8﴾

Naye omanyi Sijjiin kye ki?

83:9

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ ﴿9﴾

Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu.

83:10

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ ﴿10﴾

Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa.

83:11

ٱلَّذِينَ يُكَذِّبُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ ﴿11﴾

Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero).

83:12

وَمَا يُكَذِّبُ بِهِۦٓ إِلَّا كُلُّ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ ﴿12﴾

Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi.

83:13

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿13﴾

Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka.

83:14

كَلَّاۖ بَلۡۜ رَانَ عَلَىٰ قُلُوبِهِم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿14﴾

Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe.

83:15

كَلَّآ إِنَّهُمۡ عَن رَّبِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّمَحۡجُوبُونَ ﴿15﴾

Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda).

83:16

ثُمَّ إِنَّهُمۡ لَصَالُواْ ٱلۡجَحِيمِ ﴿16﴾

Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu.

83:17

ثُمَّ يُقَالُ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ﴿17﴾

Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga.

83:18

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡأَبۡرَارِ لَفِي عِلِّيِّينَ ﴿18﴾

Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina.

83:19

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا عِلِّيُّونَ ﴿19﴾

Naye omanyi Illiyyiina kye ki?

83:20

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ ﴿20﴾

Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu.

83:21

يَشۡهَدُهُ ٱلۡمُقَرَّبُونَ ﴿21﴾

Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda.

83:22

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٍ ﴿22﴾

Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera.

83:23

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ ﴿23﴾

Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde.

83:24

تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِهِمۡ نَضۡرَةَ ٱلنَّعِيمِ ﴿24﴾

Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu.

83:25

يُسۡقَوۡنَ مِن رَّحِيقٖ مَّخۡتُومٍ ﴿25﴾

Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi.

83:26

خِتَٰمُهُۥ مِسۡكٞۚ وَفِي ذَٰلِكَ فَلۡيَتَنَافَسِ ٱلۡمُتَنَٰفِسُونَ ﴿26﴾

(Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye.

83:27

وَمِزَاجُهُۥ مِن تَسۡنِيمٍ ﴿27﴾

Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim.

83:28

عَيۡنٗا يَشۡرَبُ بِهَا ٱلۡمُقَرَّبُونَ ﴿28﴾

Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda.

83:29

إِنَّ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ كَانُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَضۡحَكُونَ ﴿29﴾

Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza.

83:30

وَإِذَا مَرُّواْ بِهِمۡ يَتَغَامَزُونَ ﴿30﴾

Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso.

83:31

وَإِذَا ٱنقَلَبُوٓاْ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمُ ٱنقَلَبُواْ فَكِهِينَ ﴿31﴾

Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana.

83:32

وَإِذَا رَأَوۡهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ لَضَآلُّونَ ﴿32﴾

Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala.

83:33

وَمَآ أُرۡسِلُواْ عَلَيۡهِمۡ حَٰفِظِينَ ﴿33﴾

Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali.

83:34

فَٱلۡيَوۡمَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنَ ٱلۡكُفَّارِ يَضۡحَكُونَ ﴿34﴾

Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza.

83:35

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ ﴿35﴾

(Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka.

83:36

هَلۡ ثُوِّبَ ٱلۡكُفَّارُ مَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ ﴿36﴾

(Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola.

This surah by other reciters