quranm◉

Hizb 29

Range
from 17:23 to 18:16
Surahs covered
Okuvvuunula
105 Okuvvuunula

◉

17:23

وَقَضَىٰ رَبُّكَ أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّآ إِيَّاهُ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنًاۚ إِمَّا يَبۡلُغَنَّ عِندَكَ ٱلۡكِبَرَ أَحَدُهُمَآ أَوۡ كِلَاهُمَا فَلَا تَقُل لَّهُمَآ أُفّٖ وَلَا تَنۡهَرۡهُمَا وَقُل لَّهُمَا قَوۡلٗا كَرِيمٗا ﴿23﴾

. Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.

17:24

وَٱخۡفِضۡ لَهُمَا جَنَاحَ ٱلذُّلِّ مِنَ ٱلرَّحۡمَةِ وَقُل رَّبِّ ٱرۡحَمۡهُمَا كَمَا رَبَّيَانِي صَغِيرٗا ﴿24﴾

. Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.

17:25

رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا فِي نُفُوسِكُمۡۚ إِن تَكُونُواْ صَٰلِحِينَ فَإِنَّهُۥ كَانَ لِلۡأَوَّـٰبِينَ غَفُورٗا ﴿25﴾

. Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.

17:26

وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا ﴿26﴾

. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.

17:27

إِنَّ ٱلۡمُبَذِّرِينَ كَانُوٓاْ إِخۡوَٰنَ ٱلشَّيَٰطِينِۖ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِرَبِّهِۦ كَفُورٗا ﴿27﴾

. Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe.

17:28

وَإِمَّا تُعۡرِضَنَّ عَنۡهُمُ ٱبۡتِغَآءَ رَحۡمَةٖ مِّن رَّبِّكَ تَرۡجُوهَا فَقُل لَّهُمۡ قَوۡلٗا مَّيۡسُورٗا ﴿28﴾

. Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu.

17:29

وَلَا تَجۡعَلۡ يَدَكَ مَغۡلُولَةً إِلَىٰ عُنُقِكَ وَلَا تَبۡسُطۡهَا كُلَّ ٱلۡبَسۡطِ فَتَقۡعُدَ مَلُومٗا مَّحۡسُورًا ﴿29﴾

. Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.

17:30

إِنَّ رَبَّكَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿30﴾

. Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.

17:31

وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُمۡ خَشۡيَةَ إِمۡلَٰقٖۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُهُمۡ وَإِيَّاكُمۡۚ إِنَّ قَتۡلَهُمۡ كَانَ خِطۡـٔٗا كَبِيرٗا ﴿31﴾

. Era temuttanga abaana ba mmwe olw'okutya obwavu (okubalumba), ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi kiyitirivu.

17:32

وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلزِّنَىٰٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَسَآءَ سَبِيلٗا ﴿32﴾

. Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi.

17:33

وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَمَن قُتِلَ مَظۡلُومٗا فَقَدۡ جَعَلۡنَا لِوَلِيِّهِۦ سُلۡطَٰنٗا فَلَا يُسۡرِف فِّي ٱلۡقَتۡلِۖ إِنَّهُۥ كَانَ مَنصُورٗا ﴿33﴾

. Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).

17:34

وَلَا تَقۡرَبُواْ مَالَ ٱلۡيَتِيمِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ أَشُدَّهُۥۚ وَأَوۡفُواْ بِٱلۡعَهۡدِۖ إِنَّ ٱلۡعَهۡدَ كَانَ مَسۡـُٔولٗا ﴿34﴾

. Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okugyako lwa kugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwasajjakula.Era mutuukirizenga endagaano mazima endagaano yaakukubuuzibwa.

17:35

وَأَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ إِذَا كِلۡتُمۡ وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ وَأَحۡسَنُ تَأۡوِيلٗا ﴿35﴾

. Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo kye kirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi.

17:36

وَلَا تَقۡفُ مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌۚ إِنَّ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡبَصَرَ وَٱلۡفُؤَادَ كُلُّ أُوْلَـٰٓئِكَ كَانَ عَنۡهُ مَسۡـُٔولٗا ﴿36﴾

. Tewessanga ku kintu kyotalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima. Ebyo byonna buli kimu kigenda kubuuzibwa.

17:37

وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّكَ لَن تَخۡرِقَ ٱلۡأَرۡضَ وَلَن تَبۡلُغَ ٱلۡجِبَالَ طُولٗا ﴿37﴾

. Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu.

17:38

كُلُّ ذَٰلِكَ كَانَ سَيِّئُهُۥ عِندَ رَبِّكَ مَكۡرُوهٗا ﴿38﴾

. Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa ewa Mukama omulabiriziwo.

17:39

ذَٰلِكَ مِمَّآ أَوۡحَىٰٓ إِلَيۡكَ رَبُّكَ مِنَ ٱلۡحِكۡمَةِۗ وَلَا تَجۡعَلۡ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتُلۡقَىٰ فِي جَهَنَّمَ مَلُومٗا مَّدۡحُورًا ﴿39﴾

. Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda.

17:40

أَفَأَصۡفَىٰكُمۡ رَبُّكُم بِٱلۡبَنِينَ وَٱتَّخَذَ مِنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنَٰثًاۚ إِنَّكُمۡ لَتَقُولُونَ قَوۡلًا عَظِيمٗا ﴿40﴾

. (Abange mmwe abatakkiriza), Mukama omulabirizi wa mmwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate yye neyeewa abawala mu ba Malayika! mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo.

17:41

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِيَذَّكَّرُواْ وَمَا يَزِيدُهُمۡ إِلَّا نُفُورٗا ﴿41﴾

. Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima).

17:42

قُل لَّوۡ كَانَ مَعَهُۥٓ ءَالِهَةٞ كَمَا يَقُولُونَ إِذٗا لَّٱبۡتَغَوۡاْ إِلَىٰ ذِي ٱلۡعَرۡشِ سَبِيلٗا ﴿42﴾

. Bagambe (Ggwe Muhammad) singa Katonda aliko ba katonda abalala nga bwe bagamba, olwo nno (ba katonda abo) bandibadde beetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) nnyini Arish.

17:43

سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يَقُولُونَ عُلُوّٗا كَبِيرٗا ﴿43﴾

. Yeesamba naasukkuluma ebyo bye bagamba olusukkuluma olusuffu.

17:44

تُسَبِّحُ لَهُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ ٱلسَّبۡعُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهِنَّۚ وَإِن مِّن شَيۡءٍ إِلَّا يُسَبِّحُ بِحَمۡدِهِۦ وَلَٰكِن لَّا تَفۡقَهُونَ تَسۡبِيحَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ حَلِيمًا غَفُورٗا ﴿44﴾

. Ku lulwe eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendobye naye temutegeera ngeri ya kutendereza kwabyo, mazima yye bulijjo alumirwa musonyiyi.

17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿45﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

17:46

وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِذَا ذَكَرۡتَ رَبَّكَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِ وَحۡدَهُۥ وَلَّوۡاْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِمۡ نُفُورٗا ﴿46﴾

. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.

17:47

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَسۡتَمِعُونَ بِهِۦٓ إِذۡ يَسۡتَمِعُونَ إِلَيۡكَ وَإِذۡ هُمۡ نَجۡوَىٰٓ إِذۡ يَقُولُ ٱلظَّـٰلِمُونَ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلٗا مَّسۡحُورًا ﴿47﴾

. Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge.

17:48

ٱنظُرۡ كَيۡفَ ضَرَبُواْ لَكَ ٱلۡأَمۡثَالَ فَضَلُّواْ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ سَبِيلٗا ﴿48﴾

. Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi nebatuuka okubula nebatasobola kulaba kkubo (libazza eri amazima).

17:49

وَقَالُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا وَرُفَٰتًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ خَلۡقٗا جَدِيدٗا ﴿49﴾

. Era bagamba nti bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) netufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya!.

17:50

قُلۡ كُونُواْ حِجَارَةً أَوۡ حَدِيدًا ﴿50﴾

. Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa).

17:51

أَوۡ خَلۡقٗا مِّمَّا يَكۡبُرُ فِي صُدُورِكُمۡۚ فَسَيَقُولُونَ مَن يُعِيدُنَاۖ قُلِ ٱلَّذِي فَطَرَكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٖۚ فَسَيُنۡغِضُونَ إِلَيۡكَ رُءُوسَهُمۡ وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هُوَۖ قُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ قَرِيبٗا ﴿51﴾

. Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi.

17:52

يَوۡمَ يَدۡعُوكُمۡ فَتَسۡتَجِيبُونَ بِحَمۡدِهِۦ وَتَظُنُّونَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿52﴾

. (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono.

17:53

وَقُل لِّعِبَادِي يَقُولُواْ ٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ يَنزَغُ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٗا مُّبِينٗا ﴿53﴾

. Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu.

17:54

رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِكُمۡۖ إِن يَشَأۡ يَرۡحَمۡكُمۡ أَوۡ إِن يَشَأۡ يُعَذِّبۡكُمۡۚ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا ﴿54﴾

. Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bwayagala abasaasira, oba bwaba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okola ku nsonga zaabwe.

17:55

وَرَبُّكَ أَعۡلَمُ بِمَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ فَضَّلۡنَا بَعۡضَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ عَلَىٰ بَعۡضٖۖ وَءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ زَبُورٗا ﴿55﴾

. Era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa ba Nabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nabbi) Dauda Zaburi.

17:56

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِهِۦ فَلَا يَمۡلِكُونَ كَشۡفَ ٱلضُّرِّ عَنكُمۡ وَلَا تَحۡوِيلًا ﴿56﴾

. Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala

17:57

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ يَبۡتَغُونَ إِلَىٰ رَبِّهِمُ ٱلۡوَسِيلَةَ أَيُّهُمۡ أَقۡرَبُ وَيَرۡجُونَ رَحۡمَتَهُۥ وَيَخَافُونَ عَذَابَهُۥٓۚ إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ كَانَ مَحۡذُورٗا ﴿57﴾

. Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa.

17:58

وَإِن مِّن قَرۡيَةٍ إِلَّا نَحۡنُ مُهۡلِكُوهَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَوۡ مُعَذِّبُوهَا عَذَابٗا شَدِيدٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا ﴿58﴾

. Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo.

17:59

وَمَا مَنَعَنَآ أَن نُّرۡسِلَ بِٱلۡأٓيَٰتِ إِلَّآ أَن كَذَّبَ بِهَا ٱلۡأَوَّلُونَۚ وَءَاتَيۡنَا ثَمُودَ ٱلنَّاقَةَ مُبۡصِرَةٗ فَظَلَمُواْ بِهَاۚ وَمَا نُرۡسِلُ بِٱلۡأٓيَٰتِ إِلَّا تَخۡوِيفٗا ﴿59﴾

. Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okugyako okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamud engamiya nga kyamagero eky'olwatu, nebeeyisa bubi ku yo, era tewali kituweerezesa byamagero okugyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu).

17:60

وَإِذۡ قُلۡنَا لَكَ إِنَّ رَبَّكَ أَحَاطَ بِٱلنَّاسِۚ وَمَا جَعَلۡنَا ٱلرُّءۡيَا ٱلَّتِيٓ أَرَيۡنَٰكَ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلنَّاسِ وَٱلشَّجَرَةَ ٱلۡمَلۡعُونَةَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِۚ وَنُخَوِّفُهُمۡ فَمَا يَزِيدُهُمۡ إِلَّا طُغۡيَٰنٗا كَبِيرٗا ﴿60﴾

. Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama omulabiriziwo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era tetwaleeta ndooto eyo gye twakulaga okugyako olw'okugezesa abantu era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kur’ani nakyo kigezo era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku lunaku lw'enkomerero naye tebibongera okugyako okubula okuyitirivu.

17:61

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ قَالَ ءَأَسۡجُدُ لِمَنۡ خَلَقۡتَ طِينٗا ﴿61﴾

. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okugyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire oyo gwe watonda mu ttaka!.

17:62

قَالَ أَرَءَيۡتَكَ هَٰذَا ٱلَّذِي كَرَّمۡتَ عَلَيَّ لَئِنۡ أَخَّرۡتَنِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَأَحۡتَنِكَنَّ ذُرِّيَّتَهُۥٓ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿62﴾

. Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo.

17:63

قَالَ ٱذۡهَبۡ فَمَن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ فَإِنَّ جَهَنَّمَ جَزَآؤُكُمۡ جَزَآءٗ مَّوۡفُورٗا ﴿63﴾

. Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu.

17:64

وَٱسۡتَفۡزِزۡ مَنِ ٱسۡتَطَعۡتَ مِنۡهُم بِصَوۡتِكَ وَأَجۡلِبۡ عَلَيۡهِم بِخَيۡلِكَ وَرَجِلِكَ وَشَارِكۡهُمۡ فِي ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَوۡلَٰدِ وَعِدۡهُمۡۚ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿64﴾

. Era sikiriza n'eddoboozilyo oyo yenna gwoba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggyeryo eryembalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli kyoyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okugyako ebigayaaza.

17:65

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٞۚ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ وَكِيلٗا ﴿65﴾

. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi.

17:66

رَّبُّكُمُ ٱلَّذِي يُزۡجِي لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ فِي ٱلۡبَحۡرِ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِكُمۡ رَحِيمٗا ﴿66﴾

. Mukama Katonda wa mmwe yooyo abatambuliza amaato mu nyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwabye, mazima yye ku mmwe musaasizi nnyo.

17:67

وَإِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فِي ٱلۡبَحۡرِ ضَلَّ مَن تَدۡعُونَ إِلَّآ إِيَّاهُۖ فَلَمَّا نَجَّىٰكُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ أَعۡرَضۡتُمۡۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ كَفُورًا ﴿67﴾

. Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi.

17:68

أَفَأَمِنتُمۡ أَن يَخۡسِفَ بِكُمۡ جَانِبَ ٱلۡبَرِّ أَوۡ يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبٗا ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ وَكِيلًا ﴿68﴾

. Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna.

17:69

أَمۡ أَمِنتُمۡ أَن يُعِيدَكُمۡ فِيهِ تَارَةً أُخۡرَىٰ فَيُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ قَاصِفٗا مِّنَ ٱلرِّيحِ فَيُغۡرِقَكُم بِمَا كَفَرۡتُمۡ ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ عَلَيۡنَا بِهِۦ تَبِيعٗا ﴿69﴾

. Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola.

17:70

وَلَقَدۡ كَرَّمۡنَا بَنِيٓ ءَادَمَ وَحَمَلۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّمَّنۡ خَلَقۡنَا تَفۡضِيلٗا ﴿70﴾

. Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.

17:71

يَوۡمَ نَدۡعُواْ كُلَّ أُنَاسِۭ بِإِمَٰمِهِمۡۖ فَمَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَقۡرَءُونَ كِتَٰبَهُمۡ وَلَا يُظۡلَمُونَ فَتِيلٗا ﴿71﴾

. (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono.

17:72

وَمَن كَانَ فِي هَٰذِهِۦٓ أَعۡمَىٰ فَهُوَ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ أَعۡمَىٰ وَأَضَلُّ سَبِيلٗا ﴿72﴾

. Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo.

17:73

وَإِن كَادُواْ لَيَفۡتِنُونَكَ عَنِ ٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ لِتَفۡتَرِيَ عَلَيۡنَا غَيۡرَهُۥۖ وَإِذٗا لَّٱتَّخَذُوكَ خَلِيلٗا ﴿73﴾

. Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe.

17:74

وَلَوۡلَآ أَن ثَبَّتۡنَٰكَ لَقَدۡ كِدتَّ تَرۡكَنُ إِلَيۡهِمۡ شَيۡـٔٗا قَلِيلًا ﴿74﴾

. Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali.

17:75

إِذٗا لَّأَذَقۡنَٰكَ ضِعۡفَ ٱلۡحَيَوٰةِ وَضِعۡفَ ٱلۡمَمَاتِ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ عَلَيۡنَا نَصِيرٗا ﴿75﴾

. Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.

17:76

وَإِن كَادُواْ لَيَسۡتَفِزُّونَكَ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ لِيُخۡرِجُوكَ مِنۡهَاۖ وَإِذٗا لَّا يَلۡبَثُونَ خِلَٰفَكَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿76﴾

. Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono.

17:77

سُنَّةَ مَن قَدۡ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ مِن رُّسُلِنَاۖ وَلَا تَجِدُ لِسُنَّتِنَا تَحۡوِيلًا ﴿77﴾

. Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe.

17:78

أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِدُلُوكِ ٱلشَّمۡسِ إِلَىٰ غَسَقِ ٱلَّيۡلِ وَقُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِۖ إِنَّ قُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِ كَانَ مَشۡهُودٗا ﴿78﴾

. Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako.

17:79

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَتَهَجَّدۡ بِهِۦ نَافِلَةٗ لَّكَ عَسَىٰٓ أَن يَبۡعَثَكَ رَبُّكَ مَقَامٗا مَّحۡمُودٗا ﴿79﴾

. Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa.

17:80

وَقُل رَّبِّ أَدۡخِلۡنِي مُدۡخَلَ صِدۡقٖ وَأَخۡرِجۡنِي مُخۡرَجَ صِدۡقٖ وَٱجۡعَل لِّي مِن لَّدُنكَ سُلۡطَٰنٗا نَّصِيرٗا ﴿80﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira.

17:81

وَقُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَزَهَقَ ٱلۡبَٰطِلُۚ إِنَّ ٱلۡبَٰطِلَ كَانَ زَهُوقٗا ﴿81﴾

. Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo.

17:82

وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا ﴿82﴾

. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.

17:83

وَإِذَآ أَنۡعَمۡنَا عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ أَعۡرَضَ وَنَـَٔا بِجَانِبِهِۦ وَإِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ كَانَ يَـُٔوسٗا ﴿83﴾

. Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira.

17:84

قُلۡ كُلّٞ يَعۡمَلُ عَلَىٰ شَاكِلَتِهِۦ فَرَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَنۡ هُوَ أَهۡدَىٰ سَبِيلٗا ﴿84﴾

. Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu.

17:85

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلرُّوحِۖ قُلِ ٱلرُّوحُ مِنۡ أَمۡرِ رَبِّي وَمَآ أُوتِيتُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿85﴾

. Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono.

17:86

وَلَئِن شِئۡنَا لَنَذۡهَبَنَّ بِٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ بِهِۦ عَلَيۡنَا وَكِيلًا ﴿86﴾

. Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza.

17:87

إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّ فَضۡلَهُۥ كَانَ عَلَيۡكَ كَبِيرٗا ﴿87﴾

. (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu.

17:88

قُل لَّئِنِ ٱجۡتَمَعَتِ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَىٰٓ أَن يَأۡتُواْ بِمِثۡلِ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لَا يَأۡتُونَ بِمِثۡلِهِۦ وَلَوۡ كَانَ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٖ ظَهِيرٗا ﴿88﴾

. Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.

17:89

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا ﴿89﴾

. Mazima twannyonnyola abantu mu Kur’ani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi bagaana (okugyako okusigala) mu bukafiiri.

17:90

وَقَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ لَكَ حَتَّىٰ تَفۡجُرَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَرۡضِ يَنۢبُوعًا ﴿90﴾

. Era nebagamba nti tetugenda kukkiriza okugyako nga otufukumulire amazzi okuva mu ttaka.

17:91

أَوۡ تَكُونَ لَكَ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَعِنَبٖ فَتُفَجِّرَ ٱلۡأَنۡهَٰرَ خِلَٰلَهَا تَفۡجِيرًا ﴿91﴾

. Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende ne Nzabibu. Olwo nno noofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula.

17:92

أَوۡ تُسۡقِطَ ٱلسَّمَآءَ كَمَا زَعَمۡتَ عَلَيۡنَا كِسَفًا أَوۡ تَأۡتِيَ بِٱللَّهِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ قَبِيلًا ﴿92﴾

. Oba otusuuleko eggulu nga bwogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Katonda ne ba Malayika tubalabe maaso ku maaso.

17:93

أَوۡ يَكُونَ لَكَ بَيۡتٞ مِّن زُخۡرُفٍ أَوۡ تَرۡقَىٰ فِي ٱلسَّمَآءِ وَلَن نُّؤۡمِنَ لِرُقِيِّكَ حَتَّىٰ تُنَزِّلَ عَلَيۡنَا كِتَٰبٗا نَّقۡرَؤُهُۥۗ قُلۡ سُبۡحَانَ رَبِّي هَلۡ كُنتُ إِلَّا بَشَرٗا رَّسُولٗا ﴿93﴾

. Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka!.

17:94

وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَبَعَثَ ٱللَّهُ بَشَرٗا رَّسُولٗا ﴿94﴾

. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka.

17:95

قُل لَّوۡ كَانَ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَلَـٰٓئِكَةٞ يَمۡشُونَ مُطۡمَئِنِّينَ لَنَزَّلۡنَا عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَلَكٗا رَّسُولٗا ﴿95﴾

. Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.

17:96

قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿96﴾

. Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube.

17:97

وَمَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُمۡ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِهِۦۖ وَنَحۡشُرُهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ عُمۡيٗا وَبُكۡمٗا وَصُمّٗاۖ مَّأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ كُلَّمَا خَبَتۡ زِدۡنَٰهُمۡ سَعِيرٗا ﴿97﴾

. Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.

17:98

ذَٰلِكَ جَزَآؤُهُم بِأَنَّهُمۡ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا وَرُفَٰتًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ خَلۡقٗا جَدِيدًا ﴿98﴾

. Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya ebigambo byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba engumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa netutondebwa bupya!.

17:99

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ قَادِرٌ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۡ وَجَعَلَ لَهُمۡ أَجَلٗا لَّا رَيۡبَ فِيهِ فَأَبَى ٱلظَّـٰلِمُونَ إِلَّا كُفُورٗا ﴿99﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri.

17:100

قُل لَّوۡ أَنتُمۡ تَمۡلِكُونَ خَزَآئِنَ رَحۡمَةِ رَبِّيٓ إِذٗا لَّأَمۡسَكۡتُمۡ خَشۡيَةَ ٱلۡإِنفَاقِۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ قَتُورٗا ﴿100﴾

. Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza.

17:101

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ تِسۡعَ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۖ فَسۡـَٔلۡ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ إِذۡ جَآءَهُمۡ فَقَالَ لَهُۥ فِرۡعَوۡنُ إِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰمُوسَىٰ مَسۡحُورٗا ﴿101﴾

. Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Israil (ebyaliwo) mu kiseera weyabajjira (aba Misiri), Firawo naamugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga ggwe oli mulogo.

17:102

قَالَ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَآ أَنزَلَ هَـٰٓؤُلَآءِ إِلَّا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ بَصَآئِرَ وَإِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰفِرۡعَوۡنُ مَثۡبُورٗا ﴿102﴾

. (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde.

17:103

فَأَرَادَ أَن يَسۡتَفِزَّهُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ فَأَغۡرَقۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ جَمِيعٗا ﴿103﴾

. Olwo nno (Firawo) yayagala okubagoba mu nsi (Misiri), twamuzikiriza n'abo abaali naye.

17:104

وَقُلۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِۦ لِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱسۡكُنُواْ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ ٱلۡأٓخِرَةِ جِئۡنَا بِكُمۡ لَفِيفٗا ﴿104﴾

. Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Israil mutuule mu nsi (eye Sham), endagaano y'olunaku lw'enkomerero bwelituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya.

17:105

وَبِٱلۡحَقِّ أَنزَلۡنَٰهُ وَبِٱلۡحَقِّ نَزَلَۗ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿105﴾

. (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.

17:106

وَقُرۡءَانٗا فَرَقۡنَٰهُ لِتَقۡرَأَهُۥ عَلَى ٱلنَّاسِ عَلَىٰ مُكۡثٖ وَنَزَّلۡنَٰهُ تَنزِيلٗا ﴿106﴾

. Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).

17:107

قُلۡ ءَامِنُواْ بِهِۦٓ أَوۡ لَا تُؤۡمِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهِۦٓ إِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ يَخِرُّونَۤ لِلۡأَذۡقَانِۤ سُجَّدٗاۤ ﴿107﴾

. Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama.

17:108

وَيَقُولُونَ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِن كَانَ وَعۡدُ رَبِّنَا لَمَفۡعُولٗا ﴿108﴾

. Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.

17:109

وَيَخِرُّونَ لِلۡأَذۡقَانِ يَبۡكُونَ وَيَزِيدُهُمۡ خُشُوعٗا۩ ﴿109﴾

. Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.

17:110

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱللَّهَ أَوِ ٱدۡعُواْ ٱلرَّحۡمَٰنَۖ أَيّٗا مَّا تَدۡعُواْ فَلَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَلَا تَجۡهَرۡ بِصَلَاتِكَ وَلَا تُخَافِتۡ بِهَا وَٱبۡتَغِ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلٗا ﴿110﴾

. Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.

17:111

وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلِيّٞ مِّنَ ٱلذُّلِّۖ وَكَبِّرۡهُ تَكۡبِيرَۢا ﴿111﴾

. Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza.

18:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَىٰ عَبۡدِهِ ٱلۡكِتَٰبَ وَلَمۡ يَجۡعَل لَّهُۥ عِوَجَاۜ ﴿1﴾

. Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna.

18:2

قَيِّمٗا لِّيُنذِرَ بَأۡسٗا شَدِيدٗا مِّن لَّدُنۡهُ وَيُبَشِّرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرًا حَسَنٗا ﴿2﴾

. Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi.

18:3

مَّـٰكِثِينَ فِيهِ أَبَدٗا ﴿3﴾

. Baakugibeeramu olubeerera.

18:4

وَيُنذِرَ ٱلَّذِينَ قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗا ﴿4﴾

. Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana.

18:5

مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا ﴿5﴾

. Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.

18:6

فَلَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ إِن لَّمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَسَفًا ﴿6﴾

. Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino.

18:7

إِنَّا جَعَلۡنَا مَا عَلَى ٱلۡأَرۡضِ زِينَةٗ لَّهَا لِنَبۡلُوَهُمۡ أَيُّهُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗا ﴿7﴾

. Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi.

18:8

وَإِنَّا لَجَٰعِلُونَ مَا عَلَيۡهَا صَعِيدٗا جُرُزًا ﴿8﴾

. Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu.

18:9

أَمۡ حَسِبۡتَ أَنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡكَهۡفِ وَٱلرَّقِيمِ كَانُواْ مِنۡ ءَايَٰتِنَا عَجَبًا ﴿9﴾

. Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala.

18:10

إِذۡ أَوَى ٱلۡفِتۡيَةُ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ فَقَالُواْ رَبَّنَآ ءَاتِنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةٗ وَهَيِّئۡ لَنَا مِنۡ أَمۡرِنَا رَشَدٗا ﴿10﴾

. Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu.

18:11

فَضَرَبۡنَا عَلَىٰٓ ءَاذَانِهِمۡ فِي ٱلۡكَهۡفِ سِنِينَ عَدَدٗا ﴿11﴾

. Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi.

18:12

ثُمَّ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِنَعۡلَمَ أَيُّ ٱلۡحِزۡبَيۡنِ أَحۡصَىٰ لِمَا لَبِثُوٓاْ أَمَدٗا ﴿12﴾

. Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu.

18:13

نَّحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ نَبَأَهُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّهُمۡ فِتۡيَةٌ ءَامَنُواْ بِرَبِّهِمۡ وَزِدۡنَٰهُمۡ هُدٗى ﴿13﴾

. Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu.

18:14

وَرَبَطۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ إِذۡ قَامُواْ فَقَالُواْ رَبُّنَا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَن نَّدۡعُوَاْ مِن دُونِهِۦٓ إِلَٰهٗاۖ لَّقَدۡ قُلۡنَآ إِذٗا شَطَطًا ﴿14﴾

. Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi.

18:15

هَـٰٓؤُلَآءِ قَوۡمُنَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ لَّوۡلَا يَأۡتُونَ عَلَيۡهِم بِسُلۡطَٰنِۭ بَيِّنٖۖ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا ﴿15﴾

. Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba.

18:16

وَإِذِ ٱعۡتَزَلۡتُمُوهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ فَأۡوُۥٓاْ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ يَنشُرۡ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَيُهَيِّئۡ لَكُم مِّنۡ أَمۡرِكُم مِّرۡفَقٗا ﴿16﴾

. Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe.