quranm◉

Hizb 34

Range
from 22:19 to 23:35
Surahs covered
Okuvvuunula
95 Okuvvuunula

◉

22:19

هَٰذَانِ خَصۡمَانِ ٱخۡتَصَمُواْ فِي رَبِّهِمۡۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قُطِّعَتۡ لَهُمۡ ثِيَابٞ مِّن نَّارٖ يُصَبُّ مِن فَوۡقِ رُءُوسِهِمُ ٱلۡحَمِيمُ ﴿19﴾

. Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama omulabirizi waabwe, kale nekibeera nga, abakaafuwala batungirwa engoye nga za mu muliro nga bagenda kufukirirwa ku mitwe gya bwe amazzi ag'olwegye.

22:20

يُصۡهَرُ بِهِۦ مَا فِي بُطُونِهِمۡ وَٱلۡجُلُودُ ﴿20﴾

. Nga amazzi ago birisaanusibwa nagwo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe.

22:21

وَلَهُم مَّقَٰمِعُ مِنۡ حَدِيدٖ ﴿21﴾

. Era nga bagenda kukubwanga ennyondo ezaakolebwa mu kyuma.

22:22

كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا مِنۡ غَمٍّ أُعِيدُواْ فِيهَا وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿22﴾

. Buli bwe baliba baagala okufuluma mu muliro ogwo ku olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) era mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo by'omuliro ogwokya ennyo.

22:23

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ ﴿23﴾

. Mazima Katonda agenda kuyingiza mu jjana abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne Luulu nga n'engoye zebagenda okwambala ziriba za Siliki.

22:24

وَهُدُوٓاْ إِلَى ٱلطَّيِّبِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ وَهُدُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿24﴾

. Era nga baalungamizibwa (ku nsi) eri ekigambo ekisinga obulungi (eky'okwawula Katonda n'okumusuuta) era nga balungamizibwa eri ekkubo eritenderezebwa.

22:25

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ ٱلَّذِي جَعَلۡنَٰهُ لِلنَّاسِ سَوَآءً ٱلۡعَٰكِفُ فِيهِ وَٱلۡبَادِۚ وَمَن يُرِدۡ فِيهِ بِإِلۡحَادِۭ بِظُلۡمٖ نُّذِقۡهُ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿25﴾

. Mazima abo abaakaafuwala era nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda n’omuzikiti gw'emizizo ogwo gwe twateerawo abantu nga omutuuze weguli n'owewala bonna benkana, omuntu yenna ayagala okukoleramu obukyamu tumukombya ku bibonerezo ebiruma ennyo.

22:26

وَإِذۡ بَوَّأۡنَا لِإِبۡرَٰهِيمَ مَكَانَ ٱلۡبَيۡتِ أَن لَّا تُشۡرِكۡ بِي شَيۡـٔٗا وَطَهِّرۡ بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡقَآئِمِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ ﴿26﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era ne mugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala).

22:27

وَأَذِّن فِي ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَجِّ يَأۡتُوكَ رِجَالٗا وَعَلَىٰ كُلِّ ضَامِرٖ يَأۡتِينَ مِن كُلِّ فَجٍّ عَمِيقٖ ﴿27﴾

. Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda ku kujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo eryewala.

22:28

لِّيَشۡهَدُواْ مَنَٰفِعَ لَهُمۡ وَيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ فِيٓ أَيَّامٖ مَّعۡلُومَٰتٍ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۖ فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡبَآئِسَ ٱلۡفَقِيرَ ﴿28﴾

. Bagende balabe ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu.

22:29

ثُمَّ لۡيَقۡضُواْ تَفَثَهُمۡ وَلۡيُوفُواْ نُذُورَهُمۡ وَلۡيَطَّوَّفُواْ بِٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ ﴿29﴾

. Ekyo nga kiwedde babe nga bamaliriza emikolo gya bwe era batuukirize bye beeyama era betooloole e nyumba kaasangwawo.

22:30

ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ حُرُمَٰتِ ٱللَّهِ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّهُۥ عِندَ رَبِّهِۦۗ وَأُحِلَّتۡ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱجۡتَنِبُواْ ٱلرِّجۡسَ مِنَ ٱلۡأَوۡثَٰنِ وَٱجۡتَنِبُواْ قَوۡلَ ٱلزُّورِ ﴿30﴾

. Ebyo (babikola lwa kuwa Mukama Katonda kitiibwa) era bulijjo buli yenna agulumiza emizizo gya Katonda ekyo kye kirungi gyali mu maaso g'a Mukama omulabiriziwe. Era mwakkirizibwa okulya (ennyama y'e) bisolo ebirundibwa, okugyako ebyo ebibasomerwa mu ngeri y'emu mwewale amasanamu olw'obubi bwago, era mwewale ebigambo ebitemerere.

22:31

حُنَفَآءَ لِلَّهِ غَيۡرَ مُشۡرِكِينَ بِهِۦۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَكَأَنَّمَا خَرَّ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَتَخۡطَفُهُ ٱلطَّيۡرُ أَوۡ تَهۡوِي بِهِ ٱلرِّيحُ فِي مَكَانٖ سَحِيقٖ ﴿31﴾

. Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo.

22:32

ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ شَعَـٰٓئِرَ ٱللَّهِ فَإِنَّهَا مِن تَقۡوَى ٱلۡقُلُوبِ ﴿32﴾

. (Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo biragiro bya Katonda) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Katonda mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egitya Katonda.

22:33

لَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ مَحِلُّهَآ إِلَى ٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ ﴿33﴾

. Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvanyuma ekifo wezirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali e nyumba kaasangwawo.

22:34

وَلِكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكٗا لِّيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۗ فَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَلَهُۥٓ أَسۡلِمُواْۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُخۡبِتِينَ ﴿34﴾

. Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda.)

22:35

ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿35﴾

. (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.

22:36

وَٱلۡبُدۡنَ جَعَلۡنَٰهَا لَكُم مِّن شَعَـٰٓئِرِ ٱللَّهِ لَكُمۡ فِيهَا خَيۡرٞۖ فَٱذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَا صَوَآفَّۖ فَإِذَا وَجَبَتۡ جُنُوبُهَا فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡقَانِعَ وَٱلۡمُعۡتَرَّۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرۡنَٰهَا لَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿36﴾

. Ne ngamiya twazibateerawo nga za mu bubonero bwa Katonda, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko erinnya lya Katonda nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu nezisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embuto zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, bwe tutyo twazibagondeza mube nga mwebaza.

22:37

لَن يَنَالَ ٱللَّهَ لُحُومُهَا وَلَا دِمَآؤُهَا وَلَٰكِن يَنَالُهُ ٱلتَّقۡوَىٰ مِنكُمۡۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرَهَا لَكُمۡ لِتُكَبِّرُواْ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا هَدَىٰكُمۡۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿37﴾

. Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Katonda naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bwatyo yazibagondeza mube nga mutendereza Katonda olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa.

22:38

إِنَّ ٱللَّهَ يُدَٰفِعُ عَنِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ خَوَّانٖ كَفُورٍ ﴿38﴾

. Mazima Katonda alwanirira abo abakkiriza, mazima Katonda tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi.

22:39

أُذِنَ لِلَّذِينَ يُقَٰتَلُونَ بِأَنَّهُمۡ ظُلِمُواْۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ نَصۡرِهِمۡ لَقَدِيرٌ ﴿39﴾

. Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti mazima bo balyazaamaanyizibwa era mazima bulijjo Mukama Katonda asobolera ddala okubataasa.

22:40

ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بِغَيۡرِ حَقٍّ إِلَّآ أَن يَقُولُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّهُدِّمَتۡ صَوَٰمِعُ وَبِيَعٞ وَصَلَوَٰتٞ وَمَسَٰجِدُ يُذۡكَرُ فِيهَا ٱسۡمُ ٱللَّهِ كَثِيرٗاۗ وَلَيَنصُرَنَّ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿40﴾

. (Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono.

22:41

ٱلَّذِينَ إِن مَّكَّنَّـٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَمَرُواْ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَنَهَوۡاْ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۗ وَلِلَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ ﴿41﴾

. (Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda.

22:42

وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَثَمُودُ ﴿42﴾

. Singa bakulimbisa mazima oluberyeberye lwa bwe abantu ba Nuhu na ba A’di na ba Thamud baalimbisa.

22:43

وَقَوۡمُ إِبۡرَٰهِيمَ وَقَوۡمُ لُوطٖ ﴿43﴾

. Nabwekityo n'abantu ba Ibrahim n'abantu ba Luutu.

22:44

وَأَصۡحَٰبُ مَدۡيَنَۖ وَكُذِّبَ مُوسَىٰۖ فَأَمۡلَيۡتُ لِلۡكَٰفِرِينَ ثُمَّ أَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ﴿44﴾

. N'abantu be Madiyana. Ne Musa yalimbisibwa nennindiriza abakaafiiri oluvanyuma nnabakwata, naye okubonereza kwange kwali kutya!.

22:45

فَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ فَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَبِئۡرٖ مُّعَطَّلَةٖ وَقَصۡرٖ مَّشِيدٍ ﴿45﴾

. Ebitundu bimeka bye twazikiriza nga byo biri mu kweyisa bubi! (nga nabuli kati) obusolya bwa byo buguddemu n'enzizi ezitakyakimwako mazzi n'ebizimbe ebyali bizimbiddwa obulungi.

22:46

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَتَكُونَ لَهُمۡ قُلُوبٞ يَعۡقِلُونَ بِهَآ أَوۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۖ فَإِنَّهَا لَا تَعۡمَى ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَلَٰكِن تَعۡمَى ٱلۡقُلُوبُ ٱلَّتِي فِي ٱلصُّدُورِ ﴿46﴾

. Abaffe tebatambulako mu nsi nebafuna emitima gye bategeera nagyo oba amatu ge bawulira nago, mazima amaaso si ge gaziba naye emitima egiri mu bifuba gye giziba.

22:47

وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥۚ وَإِنَّ يَوۡمًا عِندَ رَبِّكَ كَأَلۡفِ سَنَةٖ مِّمَّا تَعُدُّونَ ﴿47﴾

. Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Katonda tayinza kwawukana ku ndagaanoye (ajja kubibatuusaako ku lunaku lw'enkomerero) era mazima olunaku lumu ewa Mukama omulabiriziwo lulinga emyaka lukumi mu mbala ya mmwe.

22:48

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَمۡلَيۡتُ لَهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ ثُمَّ أَخَذۡتُهَا وَإِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ ﴿48﴾

. Era ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvanyuma nembikwata era gyendi yokka y'eri obuddo.

22:49

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّمَآ أَنَا۠ لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿49﴾

. Gamba (Ggwe Muhammad) abange mmwe abantu mazima nze gye muli ndi mutiisa ow'olwatu.

22:50

فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ ﴿50﴾

. Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.

22:51

وَٱلَّذِينَ سَعَوۡاْ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ ﴿51﴾

. Naabo abeewaayo okulemesa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro Jahiimu.

22:52

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٖ وَلَا نَبِيٍّ إِلَّآ إِذَا تَمَنَّىٰٓ أَلۡقَى ٱلشَّيۡطَٰنُ فِيٓ أُمۡنِيَّتِهِۦ فَيَنسَخُ ٱللَّهُ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ ثُمَّ يُحۡكِمُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿52﴾

. Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga.

22:53

لِّيَجۡعَلَ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡقَاسِيَةِ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ ﴿53﴾

. (Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda.

22:54

وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَيُؤۡمِنُواْ بِهِۦ فَتُخۡبِتَ لَهُۥ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿54﴾

. Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu.

22:55

وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةً أَوۡ يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَقِيمٍ ﴿55﴾

. Bulijjo abo abaakaafuwala tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kur’ani) okuutuusa olunaku lwe'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera.

22:56

ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فِي جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿56﴾

. Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Katonda yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera.

22:57

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿57﴾

. Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyoomesa.

22:58

وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ قُتِلُوٓاْ أَوۡ مَاتُواْ لَيَرۡزُقَنَّهُمُ ٱللَّهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿58﴾

. Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna.

22:59

لَيُدۡخِلَنَّهُم مُّدۡخَلٗا يَرۡضَوۡنَهُۥۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَلِيمٌ حَلِيمٞ ﴿59﴾

. Agenda kubayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Katonda mumanyi nnyo wa kisa.

22:60

ذَٰلِكَۖ وَمَنۡ عَاقَبَ بِمِثۡلِ مَا عُوقِبَ بِهِۦ ثُمَّ بُغِيَ عَلَيۡهِ لَيَنصُرَنَّهُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ ﴿60﴾

. Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvanyuma naalumbaganwa, mazima Katonda wa kumutaasiza ddala mazima Katonda mulekezi musonyiyi.

22:61

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ ﴿61﴾

. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era mazima Katonda awulira alaba nnyo.

22:62

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ هُوَ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ ﴿62﴾

. Ekyo bwe kityo bwe kiri lwakuba nti mazima Katonda ye ye mazima, era ddala bye basinza ebitali yye bye bitali bituufu era mazima Katonda yye ye wa waggulu ow'ekitiibwa.

22:63

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَتُصۡبِحُ ٱلۡأَرۡضُ مُخۡضَرَّةًۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ ﴿63﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi ensi neefuuka ya kiragala mazima Katonda alumirwa (ebitonde bye) amanyi ebyekusifu.

22:64

لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿64﴾

. Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Katonda yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa.

22:65

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦ وَيُمۡسِكُ ٱلسَّمَآءَ أَن تَقَعَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿65﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu.

22:66

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ ﴿66﴾

. Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera).

22:67

لِّكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكًا هُمۡ نَاسِكُوهُۖ فَلَا يُنَٰزِعُنَّكَ فِي ٱلۡأَمۡرِۚ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ إِنَّكَ لَعَلَىٰ هُدٗى مُّسۡتَقِيمٖ ﴿67﴾

. Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakaafiiri) tebasaanye ku kuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama omulabiriziwo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulungamu obulambulukufu.

22:68

وَإِن جَٰدَلُوكَ فَقُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿68﴾

. Bwe bakuwakanya gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mukola.

22:69

ٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ ﴿69﴾

. Katonda agenda kusalawo wakati wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu.

22:70

أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ذَٰلِكَ فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿70﴾

. Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi mazima ekyo kiri mu kitabo (kiwandiike okuva edda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.

22:71

وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗا وَمَا لَيۡسَ لَهُم بِهِۦ عِلۡمٞۗ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٖ ﴿71﴾

. Basinza ebitali Katonda byatassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa.

22:72

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمُنكَرَۖ يَكَادُونَ يَسۡطُونَ بِٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۗ قُلۡ أَفَأُنَبِّئُكُم بِشَرّٖ مِّن ذَٰلِكُمُۚ ٱلنَّارُ وَعَدَهَا ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿72﴾

. Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi.

22:73

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ضُرِبَ مَثَلٞ فَٱسۡتَمِعُواْ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَن يَخۡلُقُواْ ذُبَابٗا وَلَوِ ٱجۡتَمَعُواْ لَهُۥۖ وَإِن يَسۡلُبۡهُمُ ٱلذُّبَابُ شَيۡـٔٗا لَّا يَسۡتَنقِذُوهُ مِنۡهُۚ ضَعُفَ ٱلطَّالِبُ وَٱلۡمَطۡلُوبُ ﴿73﴾

. Abange mmwe abantu ekifaananyi kikubiddwa kale mukiwulirize mazima abo be musaba abatali Katonda tebasobola kutonda nsowera ne bwe baba nga beegasse ku lw'ekyo, era ensowera singa ebaggyako ekintu tebasobola kugikiggyako abanja munafu negwebabanja.

22:74

مَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿74﴾

. Tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira mazima Katonda wa maanyi nnyo Nantakubwa ku mukono.

22:75

ٱللَّهُ يَصۡطَفِي مِنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ رُسُلٗا وَمِنَ ٱلنَّاسِۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ ﴿75﴾

. Katonda alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo.

22:76

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿76﴾

. (N’olwekyo) amanyi ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe, n'eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.

22:77

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱرۡكَعُواْ وَٱسۡجُدُواْۤ وَٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمۡ وَٱفۡعَلُواْ ٱلۡخَيۡرَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ۩ ﴿77﴾

. Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama omulabirizi wa mmwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi.

22:78

وَجَٰهِدُواْ فِي ٱللَّهِ حَقَّ جِهَادِهِۦۚ هُوَ ٱجۡتَبَىٰكُمۡ وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖۚ مِّلَّةَ أَبِيكُمۡ إِبۡرَٰهِيمَۚ هُوَ سَمَّىٰكُمُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ مِن قَبۡلُ وَفِي هَٰذَا لِيَكُونَ ٱلرَّسُولُ شَهِيدًا عَلَيۡكُمۡ وَتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِۚ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱعۡتَصِمُواْ بِٱللَّهِ هُوَ مَوۡلَىٰكُمۡۖ فَنِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ ﴿78﴾

. Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Katonda mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, yye (Katonda) ye yabalonda (ku lwe ddiiniye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga ye ddiini ya Mukadde wa mmwe Ibrahimu, yye y'eyabatuuma abasiraamu oluberyeberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kur’ani) eno olwo nno omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo e sswala muwe ne Zakka era mwekwase Katonda yye ye mukuumi wa mmwe, kale mulungi nnyo omukuumi (oyo) era mulungi nnyo omutaasa oyo.

23:1

قَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿1﴾

. Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi.

23:2

ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي صَلَاتِهِمۡ خَٰشِعُونَ ﴿2﴾

. Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe.

23:3

وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَنِ ٱللَّغۡوِ مُعۡرِضُونَ ﴿3﴾

. Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu.

23:4

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِلزَّكَوٰةِ فَٰعِلُونَ ﴿4﴾

. Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka.

23:5

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ ﴿5﴾

. Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe.

23:6

إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ ﴿6﴾

. Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa.

23:7

فَمَنِ ٱبۡتَغَىٰ وَرَآءَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡعَادُونَ ﴿7﴾

. Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda).

23:8

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِأَمَٰنَٰتِهِمۡ وَعَهۡدِهِمۡ رَٰعُونَ ﴿8﴾

. (Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe.

23:9

وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَوَٰتِهِمۡ يُحَافِظُونَ ﴿9﴾

. Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe.

23:10

أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡوَٰرِثُونَ ﴿10﴾

. Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana).

23:11

ٱلَّذِينَ يَرِثُونَ ٱلۡفِرۡدَوۡسَ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿11﴾

. Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu.

23:12

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن سُلَٰلَةٖ مِّن طِينٖ ﴿12﴾

. Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka

23:13

ثُمَّ جَعَلۡنَٰهُ نُطۡفَةٗ فِي قَرَارٖ مَّكِينٖ ﴿13﴾

. Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana).

23:14

ثُمَّ خَلَقۡنَا ٱلنُّطۡفَةَ عَلَقَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡعَلَقَةَ مُضۡغَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡمُضۡغَةَ عِظَٰمٗا فَكَسَوۡنَا ٱلۡعِظَٰمَ لَحۡمٗا ثُمَّ أَنشَأۡنَٰهُ خَلۡقًا ءَاخَرَۚ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ أَحۡسَنُ ٱلۡخَٰلِقِينَ ﴿14﴾

. Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna.

23:15

ثُمَّ إِنَّكُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ لَمَيِّتُونَ ﴿15﴾

. Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa.

23:16

ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ تُبۡعَثُونَ ﴿16﴾

. Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa.

23:17

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا فَوۡقَكُمۡ سَبۡعَ طَرَآئِقَ وَمَا كُنَّا عَنِ ٱلۡخَلۡقِ غَٰفِلِينَ ﴿17﴾

. Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde.

23:18

وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَسۡكَنَّـٰهُ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَإِنَّا عَلَىٰ ذَهَابِۭ بِهِۦ لَقَٰدِرُونَ ﴿18﴾

. Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo.

23:19

فَأَنشَأۡنَا لَكُم بِهِۦ جَنَّـٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ لَّكُمۡ فِيهَا فَوَٰكِهُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ ﴿19﴾

. Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya.

23:20

وَشَجَرَةٗ تَخۡرُجُ مِن طُورِ سَيۡنَآءَ تَنۢبُتُ بِٱلدُّهۡنِ وَصِبۡغٖ لِّلۡأٓكِلِينَ ﴿20﴾

. Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali.

23:21

وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهَا وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ ﴿21﴾

. Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo.

23:22

وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ ﴿22﴾

. Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa.

23:23

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ ﴿23﴾

. Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!.

23:24

فَقَالَ ٱلۡمَلَؤُاْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُرِيدُ أَن يَتَفَضَّلَ عَلَيۡكُمۡ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَنزَلَ مَلَـٰٓئِكَةٗ مَّا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿24﴾

. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka.

23:25

إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلُۢ بِهِۦ جِنَّةٞ فَتَرَبَّصُواْ بِهِۦ حَتَّىٰ حِينٖ ﴿25﴾

. Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa).

23:26

قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ ﴿26﴾

. (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe).

23:27

فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِ أَنِ ٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُنَا وَفَارَ ٱلتَّنُّورُ فَٱسۡلُكۡ فِيهَا مِن كُلّٖ زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَأَهۡلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيۡهِ ٱلۡقَوۡلُ مِنۡهُمۡۖ وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ ﴿27﴾

. Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira.

23:28

فَإِذَا ٱسۡتَوَيۡتَ أَنتَ وَمَن مَّعَكَ عَلَى ٱلۡفُلۡكِ فَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي نَجَّىٰنَا مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿28﴾

. Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi.

23:29

وَقُل رَّبِّ أَنزِلۡنِي مُنزَلٗا مُّبَارَكٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡمُنزِلِينَ ﴿29﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu).

23:30

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ وَإِن كُنَّا لَمُبۡتَلِينَ ﴿30﴾

. Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa.

23:31

ثُمَّ أَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ ﴿31﴾

. Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala.

23:32

فَأَرۡسَلۡنَا فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ ﴿32﴾

. Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)!.

23:33

وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَتۡرَفۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يَأۡكُلُ مِمَّا تَأۡكُلُونَ مِنۡهُ وَيَشۡرَبُ مِمَّا تَشۡرَبُونَ ﴿33﴾

. Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa.

23:34

وَلَئِنۡ أَطَعۡتُم بَشَرٗا مِّثۡلَكُمۡ إِنَّكُمۡ إِذٗا لَّخَٰسِرُونَ ﴿34﴾

. Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa.

23:35

أَيَعِدُكُمۡ أَنَّكُمۡ إِذَا مِتُّمۡ وَكُنتُمۡ تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَنَّكُم مُّخۡرَجُونَ ﴿35﴾

. Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda!.