quranm◉

Hizb 51

Range
from 46:21 to 48:29
Surahs covered
Okuvvuunula
82 Okuvvuunula

◉

46:21

وَٱذۡكُرۡ أَخَا عَادٍ إِذۡ أَنذَرَ قَوۡمَهُۥ بِٱلۡأَحۡقَافِ وَقَدۡ خَلَتِ ٱلنُّذُرُ مِنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦٓ أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّا ٱللَّهَ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿21﴾

Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito.

46:22

قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا لِتَأۡفِكَنَا عَنۡ ءَالِهَتِنَا فَأۡتِنَا بِمَا تَعِدُنَآ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿22﴾

Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima.

46:23

قَالَ إِنَّمَا ٱلۡعِلۡمُ عِندَ ٱللَّهِ وَأُبَلِّغُكُم مَّآ أُرۡسِلۡتُ بِهِۦ وَلَٰكِنِّيٓ أَرَىٰكُمۡ قَوۡمٗا تَجۡهَلُونَ ﴿23﴾

Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi.

46:24

فَلَمَّا رَأَوۡهُ عَارِضٗا مُّسۡتَقۡبِلَ أَوۡدِيَتِهِمۡ قَالُواْ هَٰذَا عَارِضٞ مُّمۡطِرُنَاۚ بَلۡ هُوَ مَا ٱسۡتَعۡجَلۡتُم بِهِۦۖ رِيحٞ فِيهَا عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿24﴾

Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo.

46:25

تُدَمِّرُ كُلَّ شَيۡءِۭ بِأَمۡرِ رَبِّهَا فَأَصۡبَحُواْ لَا يُرَىٰٓ إِلَّا مَسَٰكِنُهُمۡۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿25﴾

Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi.

46:26

وَلَقَدۡ مَكَّنَّـٰهُمۡ فِيمَآ إِن مَّكَّنَّـٰكُمۡ فِيهِ وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ سَمۡعٗا وَأَبۡصَٰرٗا وَأَفۡـِٔدَةٗ فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُمۡ سَمۡعُهُمۡ وَلَآ أَبۡصَٰرُهُمۡ وَلَآ أَفۡـِٔدَتُهُم مِّن شَيۡءٍ إِذۡ كَانُواْ يَجۡحَدُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿26﴾

Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe wadde emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga.

46:27

وَلَقَدۡ أَهۡلَكۡنَا مَا حَوۡلَكُم مِّنَ ٱلۡقُرَىٰ وَصَرَّفۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿27﴾

Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala).

46:28

فَلَوۡلَا نَصَرَهُمُ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ قُرۡبَانًا ءَالِهَةَۢۖ بَلۡ ضَلُّواْ عَنۡهُمۡۚ وَذَٰلِكَ إِفۡكُهُمۡ وَمَا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿28﴾

Kale singa baabataasa abo abaaleka Katonda ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwa bwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo.

46:29

وَإِذۡ صَرَفۡنَآ إِلَيۡكَ نَفَرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ يَسۡتَمِعُونَ ٱلۡقُرۡءَانَ فَلَمَّا حَضَرُوهُ قَالُوٓاْ أَنصِتُواْۖ فَلَمَّا قُضِيَ وَلَّوۡاْ إِلَىٰ قَوۡمِهِم مُّنذِرِينَ ﴿29﴾

Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda).

46:30

قَالُواْ يَٰقَوۡمَنَآ إِنَّا سَمِعۡنَا كِتَٰبًا أُنزِلَ مِنۢ بَعۡدِ مُوسَىٰ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلۡحَقِّ وَإِلَىٰ طَرِيقٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿30﴾

Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu.

46:31

يَٰقَوۡمَنَآ أَجِيبُواْ دَاعِيَ ٱللَّهِ وَءَامِنُواْ بِهِۦ يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُجِرۡكُم مِّنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿31﴾

Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo.

46:32

وَمَن لَّا يُجِبۡ دَاعِيَ ٱللَّهِ فَلَيۡسَ بِمُعۡجِزٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَيۡسَ لَهُۥ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءُۚ أُوْلَـٰٓئِكَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿32﴾

Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu.

46:33

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَلَمۡ يَعۡيَ بِخَلۡقِهِنَّ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿33﴾

Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu.

46:34

وَيَوۡمَ يُعۡرَضُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَلَى ٱلنَّارِ أَلَيۡسَ هَٰذَا بِٱلۡحَقِّۖ قَالُواْ بَلَىٰ وَرَبِّنَاۚ قَالَ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿34﴾

Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya.

46:35

فَٱصۡبِرۡ كَمَا صَبَرَ أُوْلُواْ ٱلۡعَزۡمِ مِنَ ٱلرُّسُلِ وَلَا تَسۡتَعۡجِل لَّهُمۡۚ كَأَنَّهُمۡ يَوۡمَ يَرَوۡنَ مَا يُوعَدُونَ لَمۡ يَلۡبَثُوٓاْ إِلَّا سَاعَةٗ مِّن نَّهَارِۭۚ بَلَٰغٞۚ فَهَلۡ يُهۡلَكُ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿35﴾

N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi?.

47:1

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ أَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿1﴾

Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Katonda (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe.

47:2

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَءَامَنُواْ بِمَا نُزِّلَ عَلَىٰ مُحَمَّدٖ وَهُوَ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّهِمۡ كَفَّرَ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَأَصۡلَحَ بَالَهُمۡ ﴿2﴾

Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu era nebakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad, era nga g’emazima agava ewa Mukama omulabirizi waabwe (abo Katonda) yabasangulako ebisobyo byabwe era naalongoosa embeera yaabwe.

47:3

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱتَّبَعُواْ ٱلۡبَٰطِلَ وَأَنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّبَعُواْ ٱلۡحَقَّ مِن رَّبِّهِمۡۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ لِلنَّاسِ أَمۡثَٰلَهُمۡ ﴿3﴾

Ekyo kiri bwekityo lwakuba nti mazima bo abaakafuwala baagoberera ebitali bituufu, ate nga abo abakkiriza baagoberera amazima agava eri Mukama omulabirizi waabwe, bulijjo Katonda bwatyo akubira abantu ebifaananyi byabwe (bagerageranye).

47:4

فَإِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَضَرۡبَ ٱلرِّقَابِ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَثۡخَنتُمُوهُمۡ فَشُدُّواْ ٱلۡوَثَاقَ فَإِمَّا مَنَّۢا بَعۡدُ وَإِمَّا فِدَآءً حَتَّىٰ تَضَعَ ٱلۡحَرۡبُ أَوۡزَارَهَاۚ ذَٰلِكَۖ وَلَوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَٱنتَصَرَ مِنۡهُمۡ وَلَٰكِن لِّيَبۡلُوَاْ بَعۡضَكُم بِبَعۡضٖۗ وَٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَلَن يُضِلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿4﴾

Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa bamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe.

47:5

سَيَهۡدِيهِمۡ وَيُصۡلِحُ بَالَهُمۡ ﴿5﴾

Ajja kubalungamya era alongoose nembeera yaabwe.

47:6

وَيُدۡخِلُهُمُ ٱلۡجَنَّةَ عَرَّفَهَا لَهُمۡ ﴿6﴾

Era abayingize e jjana gyeyabategeeza edda.

47:7

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تَنصُرُواْ ٱللَّهَ يَنصُرۡكُمۡ وَيُثَبِّتۡ أَقۡدَامَكُمۡ ﴿7﴾

Abange mmwe abakkiriza singa mutaasa Katonda, ajja kubataasa, era anyweze ebigere byammwe (abagumye).

47:8

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَتَعۡسٗا لَّهُمۡ وَأَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿8﴾

N'abo abaakafuwala okuzikirira kube ku bo, era Katonda yayonoona emirimu gyabwe.

47:9

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَرِهُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿9﴾

Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe.

47:10

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ دَمَّرَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡۖ وَلِلۡكَٰفِرِينَ أَمۡثَٰلُهَا ﴿10﴾

Abaffe tebatambula mu nsi, olwo nno ne balaba nga bweyali enkomerero yaabo abaaliwo oluberyeberye lwabwe, (anti) Katonda yabazikiriza. Era abo abaakafuwala ba kutuukwako ekiringa ekyo.

47:11

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ مَوۡلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَأَنَّ ٱلۡكَٰفِرِينَ لَا مَوۡلَىٰ لَهُمۡ ﴿11﴾

Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ye mukuumi wa bakkiriza era nga ddala abakafiiri tebalina mukuumi.

47:12

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَتَمَتَّعُونَ وَيَأۡكُلُونَ كَمَا تَأۡكُلُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ وَٱلنَّارُ مَثۡوٗى لَّهُمۡ ﴿12﴾

Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe.

47:13

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ هِيَ أَشَدُّ قُوَّةٗ مِّن قَرۡيَتِكَ ٱلَّتِيٓ أَخۡرَجَتۡكَ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ فَلَا نَاصِرَ لَهُمۡ ﴿13﴾

Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira.

47:14

أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّهِۦ كَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم ﴿14﴾

Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ngooyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe.

47:15

مَّثَلُ ٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۖ فِيهَآ أَنۡهَٰرٞ مِّن مَّآءٍ غَيۡرِ ءَاسِنٖ وَأَنۡهَٰرٞ مِّن لَّبَنٖ لَّمۡ يَتَغَيَّرۡ طَعۡمُهُۥ وَأَنۡهَٰرٞ مِّنۡ خَمۡرٖ لَّذَّةٖ لِّلشَّـٰرِبِينَ وَأَنۡهَٰرٞ مِّنۡ عَسَلٖ مُّصَفّٗىۖ وَلَهُمۡ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَمَغۡفِرَةٞ مِّن رَّبِّهِمۡۖ كَمَنۡ هُوَ خَٰلِدٞ فِي ٱلنَّارِ وَسُقُواْ مَآءً حَمِيمٗا فَقَطَّعَ أَمۡعَآءَهُمۡ ﴿15﴾

(Abaffe) e jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa (egenda kuba nga) erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka nemigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gya asaali omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe.

47:16

وَمِنۡهُم مَّن يَسۡتَمِعُ إِلَيۡكَ حَتَّىٰٓ إِذَا خَرَجُواْ مِنۡ عِندِكَ قَالُواْ لِلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مَاذَا قَالَ ءَانِفًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُمۡ ﴿16﴾

Era mu bo mulimu abakuwuliriza (era nebalaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe.

47:17

وَٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ زَادَهُمۡ هُدٗى وَءَاتَىٰهُمۡ تَقۡوَىٰهُمۡ ﴿17﴾

Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda).

47:18

فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗۖ فَقَدۡ جَآءَ أَشۡرَاطُهَاۚ فَأَنَّىٰ لَهُمۡ إِذَا جَآءَتۡهُمۡ ذِكۡرَىٰهُمۡ ﴿18﴾

Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira!.

47:19

فَٱعۡلَمۡ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مُتَقَلَّبَكُمۡ وَمَثۡوَىٰكُمۡ ﴿19﴾

Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe.

47:20

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡلَا نُزِّلَتۡ سُورَةٞۖ فَإِذَآ أُنزِلَتۡ سُورَةٞ مُّحۡكَمَةٞ وَذُكِرَ فِيهَا ٱلۡقِتَالُ رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ نَظَرَ ٱلۡمَغۡشِيِّ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَأَوۡلَىٰ لَهُمۡ ﴿20﴾

Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali.

47:21

طَاعَةٞ وَقَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞۚ فَإِذَا عَزَمَ ٱلۡأَمۡرُ فَلَوۡ صَدَقُواْ ٱللَّهَ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ ﴿21﴾

(Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali.

47:22

فَهَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن تَوَلَّيۡتُمۡ أَن تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَتُقَطِّعُوٓاْ أَرۡحَامَكُمۡ ﴿22﴾

Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe.

47:23

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُ فَأَصَمَّهُمۡ وَأَعۡمَىٰٓ أَبۡصَٰرَهُمۡ ﴿23﴾

(Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe.

47:24

أَفَلَا يَتَدَبَّرُونَ ٱلۡقُرۡءَانَ أَمۡ عَلَىٰ قُلُوبٍ أَقۡفَالُهَآ ﴿24﴾

Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo.

47:25

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱرۡتَدُّواْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَى ٱلشَّيۡطَٰنُ سَوَّلَ لَهُمۡ وَأَمۡلَىٰ لَهُمۡ ﴿25﴾

Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba.

47:26

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لِلَّذِينَ كَرِهُواْ مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ سَنُطِيعُكُمۡ فِي بَعۡضِ ٱلۡأَمۡرِۖ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ إِسۡرَارَهُمۡ ﴿26﴾

Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe.

47:27

فَكَيۡفَ إِذَا تَوَفَّتۡهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ ﴿27﴾

Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe.

47:28

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱتَّبَعُواْ مَآ أَسۡخَطَ ٱللَّهَ وَكَرِهُواْ رِضۡوَٰنَهُۥ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿28﴾

Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe.

47:29

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ أَن لَّن يُخۡرِجَ ٱللَّهُ أَضۡغَٰنَهُمۡ ﴿29﴾

Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammad).

47:30

وَلَوۡ نَشَآءُ لَأَرَيۡنَٰكَهُمۡ فَلَعَرَفۡتَهُم بِسِيمَٰهُمۡۚ وَلَتَعۡرِفَنَّهُمۡ فِي لَحۡنِ ٱلۡقَوۡلِۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ أَعۡمَٰلَكُمۡ ﴿30﴾

Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe.

47:31

وَلَنَبۡلُوَنَّكُمۡ حَتَّىٰ نَعۡلَمَ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ مِنكُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ وَنَبۡلُوَاْ أَخۡبَارَكُمۡ ﴿31﴾

Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe.

47:32

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَشَآقُّواْ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗا وَسَيُحۡبِطُ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿32﴾

Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe.

47:33

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ وَلَا تُبۡطِلُوٓاْ أَعۡمَٰلَكُمۡ ﴿33﴾

Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe.

47:34

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ مَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٞ فَلَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَهُمۡ ﴿34﴾

Mazima abo abaakafuwala era nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa.

47:35

فَلَا تَهِنُواْ وَتَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱلسَّلۡمِ وَأَنتُمُ ٱلۡأَعۡلَوۡنَ وَٱللَّهُ مَعَكُمۡ وَلَن يَتِرَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ ﴿35﴾

Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe.

47:36

إِنَّمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا لَعِبٞ وَلَهۡوٞۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ يُؤۡتِكُمۡ أُجُورَكُمۡ وَلَا يَسۡـَٔلۡكُمۡ أَمۡوَٰلَكُمۡ ﴿36﴾

Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe.

47:37

إِن يَسۡـَٔلۡكُمُوهَا فَيُحۡفِكُمۡ تَبۡخَلُواْ وَيُخۡرِجۡ أَضۡغَٰنَكُمۡ ﴿37﴾

Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe.

47:38

هَـٰٓأَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ تُدۡعَوۡنَ لِتُنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَمِنكُم مَّن يَبۡخَلُۖ وَمَن يَبۡخَلۡ فَإِنَّمَا يَبۡخَلُ عَن نَّفۡسِهِۦۚ وَٱللَّهُ ٱلۡغَنِيُّ وَأَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُۚ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ يَسۡتَبۡدِلۡ قَوۡمًا غَيۡرَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُونُوٓاْ أَمۡثَٰلَكُم ﴿38﴾

Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe.

48:1

إِنَّا فَتَحۡنَا لَكَ فَتۡحٗا مُّبِينٗا ﴿1﴾

Mazima ffe tukugguliddewo oluggulawo olweyolefu.

48:2

لِّيَغۡفِرَ لَكَ ٱللَّهُ مَا تَقَدَّمَ مِن ذَنۢبِكَ وَمَا تَأَخَّرَ وَيُتِمَّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكَ وَيَهۡدِيَكَ صِرَٰطٗا مُّسۡتَقِيمٗا ﴿2﴾

Katonda alyoke akusonyiwe ebyonoono byo ebyakulembera, n'ebyo ebyoluvanyuma, era ajjuze ekyengera kye kye yakuwa, era akulungamye mu kkubo eggolokofu.

48:3

وَيَنصُرَكَ ٱللَّهُ نَصۡرًا عَزِيزًا ﴿3﴾

Era akutaase olutaasa olwa nnamaddala.

48:4

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِيمَٰنٗا مَّعَ إِيمَٰنِهِمۡۗ وَلِلَّهِ جُنُودُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿4﴾

Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

48:5

لِّيُدۡخِلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا وَيُكَفِّرَ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عِندَ ٱللَّهِ فَوۡزًا عَظِيمٗا ﴿5﴾

Olwo nno ayingize abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi e jjana, nga emigga gikulukutira wansi waazo, ba kutuula mu zo obugenderevu, era abagyeko ebisobyo bya bwe, ekyo ewa Katonda bwe buwanguzi obunene.

48:6

وَيُعَذِّبَ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقَٰتِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ وَٱلۡمُشۡرِكَٰتِ ٱلظَّآنِّينَ بِٱللَّهِ ظَنَّ ٱلسَّوۡءِۚ عَلَيۡهِمۡ دَآئِرَةُ ٱلسَّوۡءِۖ وَغَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ وَلَعَنَهُمۡ وَأَعَدَّ لَهُمۡ جَهَنَّمَۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرٗا ﴿6﴾

Era abonereze abananfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n'abasajja abagatta ebintu ebirala ku Katonda n'abakazi abagatta ebintu ebirala ku Katonda, abalowooza ku Katonda endowooza embi, batukwako enkyukakyuka embi, era Katonda yabasunguwalira nabakolimira era yabategekera omuliro Jahannama (era nga ggwo) buddo bubi.

48:7

وَلِلَّهِ جُنُودُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَزِيزًا حَكِيمًا ﴿7﴾

Era amagye go mu ggulu omusanvu n'ensi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

48:8

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ شَٰهِدٗا وَمُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿8﴾

Era mazima ffe twakutuma (ggwe Nabbi Muhammad) nga oli mujulizi era omusanyusa (olwa mawulire agessanyu gowa abakozi bo bulungi) era omutiisa (olwa mawulire ag’ebibonerezo eri abakozi be bibi).

48:9

لِّتُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَتُعَزِّرُوهُ وَتُوَقِّرُوهُۚ وَتُسَبِّحُوهُ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلًا ﴿9﴾

Mulyoke mukkirize Katonda n’omubaka we, era mu muyambe era mumuwe ekitiibwa era (Katonda) mumutendereze enkya ne ggulo.

48:10

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُبَايِعُونَكَ إِنَّمَا يُبَايِعُونَ ٱللَّهَ يَدُ ٱللَّهِ فَوۡقَ أَيۡدِيهِمۡۚ فَمَن نَّكَثَ فَإِنَّمَا يَنكُثُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦۖ وَمَنۡ أَوۡفَىٰ بِمَا عَٰهَدَ عَلَيۡهُ ٱللَّهَ فَسَيُؤۡتِيهِ أَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿10﴾

Mazima abo abalangirira obuwagizi bwabwe gyoli mazima balangirira buwagizi bwabwe eri Katonda, omukono gwa Katonda guli waggulu wa mikono gya bwe, kale nno oyo anaamenya endagaano mazima mukugimenya aba yeefiriza yekka, nooyo atuukiriza ekyo kye yaweerako Katonda obweyamu ajja kumuwa empeera ensuffu.

48:11

سَيَقُولُ لَكَ ٱلۡمُخَلَّفُونَ مِنَ ٱلۡأَعۡرَابِ شَغَلَتۡنَآ أَمۡوَٰلُنَا وَأَهۡلُونَا فَٱسۡتَغۡفِرۡ لَنَاۚ يَقُولُونَ بِأَلۡسِنَتِهِم مَّا لَيۡسَ فِي قُلُوبِهِمۡۚ قُلۡ فَمَن يَمۡلِكُ لَكُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔا إِنۡ أَرَادَ بِكُمۡ ضَرًّا أَوۡ أَرَادَ بِكُمۡ نَفۡعَۢاۚ بَلۡ كَانَ ٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرَۢا ﴿11﴾

Ba nnamalungu abaasigala (ne batagenda Makkah naawe) bajja kugamba nti emmaali yaffe na b’omumaka gaffe bye bya tulobera okugenda n’olwekyo tusabire ekisonyiwo, boogera ne nnimi zaabwe ebyo ebitali mu mitima gyabwe, bagambe nti olwo nno ani alina obuyinza ewa Katonda ku kintu kyonna ekibakwatako singa aba abaagalizza kabi, oba nga abaagalizza eky'omugaso, wabula Katonda amanyidde ddala ensibuko y'ebyo bye mukola.

48:12

بَلۡ ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَنقَلِبَ ٱلرَّسُولُ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ إِلَىٰٓ أَهۡلِيهِمۡ أَبَدٗا وَزُيِّنَ ذَٰلِكَ فِي قُلُوبِكُمۡ وَظَنَنتُمۡ ظَنَّ ٱلسَّوۡءِ وَكُنتُمۡ قَوۡمَۢا بُورٗا ﴿12﴾

Wabula mwalowooza nti omubaka n’abakkiriza lubeerera tebaali ba kudda eri bantu ba mu maka gaabwe, era ekyo nekinyirizibwa eri emitima gya mmwe, nemulowooza endowooza embi, era nemuba abantu abaggweera mu kubula.

48:13

وَمَن لَّمۡ يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ فَإِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ سَعِيرٗا ﴿13﴾

Oyo yenna atakkiriza Katonda n’omubaka we, (ka kumujjuutuka) anti mazima ffe abakafiiri twabategekera omuliro S’aira.

48:14

وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ يَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿14﴾

Obufuzi obwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, asonyiwa gwaba ayagadde era nabonereza gwaba ayagadde era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

48:15

سَيَقُولُ ٱلۡمُخَلَّفُونَ إِذَا ٱنطَلَقۡتُمۡ إِلَىٰ مَغَانِمَ لِتَأۡخُذُوهَا ذَرُونَا نَتَّبِعۡكُمۡۖ يُرِيدُونَ أَن يُبَدِّلُواْ كَلَٰمَ ٱللَّهِۚ قُل لَّن تَتَّبِعُونَا كَذَٰلِكُمۡ قَالَ ٱللَّهُ مِن قَبۡلُۖ فَسَيَقُولُونَ بَلۡ تَحۡسُدُونَنَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَفۡقَهُونَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿15﴾

Abataagenda (naawe ku lutabaalo lwe Khaibara) bwe mugenda eri eminyago mube nga mugifuna bajja kugamba nti mutuleke tubagoberere, nga baagala okuba nga bakyusa ebigambo bya Katonda (okuba nga eminyago gyabo bokka ebeetaba mu lutabaalo) bagambe nti temutugoberera, bwekityo Katonda bwe yagamba oluberyeberye, olwo nno bajja kugamba nti wabula (mmwe) mutukwatirwa nsaalwa (naye nga si kyekyo) wabula baali tebategeera okugyako katono ddala.

48:16

قُل لِّلۡمُخَلَّفِينَ مِنَ ٱلۡأَعۡرَابِ سَتُدۡعَوۡنَ إِلَىٰ قَوۡمٍ أُوْلِي بَأۡسٖ شَدِيدٖ تُقَٰتِلُونَهُمۡ أَوۡ يُسۡلِمُونَۖ فَإِن تُطِيعُواْ يُؤۡتِكُمُ ٱللَّهُ أَجۡرًا حَسَنٗاۖ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ كَمَا تَوَلَّيۡتُم مِّن قَبۡلُ يُعَذِّبۡكُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿16﴾

Gamba abo abaasigala mu ba nnamalungu, nti lumu mujja kuyitibwa okugenda eri abantu abaamaanyi amayitirivu mube nga mulwanagana nabo oba basiramuke, awo nno singa muligonda (nemutuukiriza ekiragiro) Katonda ajja kubawa empeera ennungi, naye kemulimala muva kwekyo (ne mutalwana) nga bwe mwakyuka oluberyeberye (bwe mutaalwana) agenda kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.

48:17

لَّيۡسَ عَلَى ٱلۡأَعۡمَىٰ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡأَعۡرَجِ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡمَرِيضِ حَرَجٞۗ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ يُدۡخِلۡهُ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَمَن يَتَوَلَّ يُعَذِّبۡهُ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿17﴾

Muzibe taliiko kunenyezebwa, n’omulema taliiko kunenyezebwa, wadde omulwadde naye taliiko kunenyezebwa, oyo yenna agondera Katonda n’omubaka we amuyingiza e jjana, emigga nga gikulukutira wansi waazo, ate oyo yenna akyuka (naatamugondera) agenda ku mubonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.

48:18

لَّقَدۡ رَضِيَ ٱللَّهُ عَنِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ يُبَايِعُونَكَ تَحۡتَ ٱلشَّجَرَةِ فَعَلِمَ مَا فِي قُلُوبِهِمۡ فَأَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ عَلَيۡهِمۡ وَأَثَٰبَهُمۡ فَتۡحٗا قَرِيبٗا ﴿18﴾

Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi.

48:19

وَمَغَانِمَ كَثِيرَةٗ يَأۡخُذُونَهَاۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَزِيزًا حَكِيمٗا ﴿19﴾

N'eminyago mingi gye baafuna, era (bulijjo) Katonda ye nantakubwa ku mukono mugobansonga.

48:20

وَعَدَكُمُ ٱللَّهُ مَغَانِمَ كَثِيرَةٗ تَأۡخُذُونَهَا فَعَجَّلَ لَكُمۡ هَٰذِهِۦ وَكَفَّ أَيۡدِيَ ٱلنَّاسِ عَنكُمۡ وَلِتَكُونَ ءَايَةٗ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَيَهۡدِيَكُمۡ صِرَٰطٗا مُّسۡتَقِيمٗا ﴿20﴾

Katonda yabalagaanyisa eminyago mingi gye mulifuna, naye guno gwo naagubanguyiza era naaziyiza emikono gya bantu obutabatuukako (obutabalwanyisa) era (ebyo) bibeere kya kuyiga eri abakkiriza era abalungamye mu kkubo eggolokofu.

48:21

وَأُخۡرَىٰ لَمۡ تَقۡدِرُواْ عَلَيۡهَا قَدۡ أَحَاطَ ٱللَّهُ بِهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿21﴾

(Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.

48:22

وَلَوۡ قَٰتَلَكُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوَلَّوُاْ ٱلۡأَدۡبَٰرَ ثُمَّ لَا يَجِدُونَ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿22﴾

Era singa abo abakaafuwala babalwanyisa, ddala bandikubyeyo amabega (ne badduka) era nga tebayinza kufuna mukuumi wadde omudduukirize.

48:23

سُنَّةَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلُۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّةِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗا ﴿23﴾

Eyo yenkola ya Katonda ebaddewo okuva oluberyeberye, era enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kukyusibwa.

48:24

وَهُوَ ٱلَّذِي كَفَّ أَيۡدِيَهُمۡ عَنكُمۡ وَأَيۡدِيَكُمۡ عَنۡهُم بِبَطۡنِ مَكَّةَ مِنۢ بَعۡدِ أَنۡ أَظۡفَرَكُمۡ عَلَيۡهِمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرًا ﴿24﴾

Era yye yooyo eyaziyiza emikono gyabwe ku mmwe era naziyiza emikono gya mmwe ku bo (ne mutalwanagana bwe mwasisinkana) mu makkati gomu Makkah, nga yali amaze okubawa obuwanguzi ku bo, era nga Katonda bulijjo alabira ddala ebyo bye mukola.

48:25

هُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّوكُمۡ عَنِ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ وَٱلۡهَدۡيَ مَعۡكُوفًا أَن يَبۡلُغَ مَحِلَّهُۥۚ وَلَوۡلَا رِجَالٞ مُّؤۡمِنُونَ وَنِسَآءٞ مُّؤۡمِنَٰتٞ لَّمۡ تَعۡلَمُوهُمۡ أَن تَطَـُٔوهُمۡ فَتُصِيبَكُم مِّنۡهُم مَّعَرَّةُۢ بِغَيۡرِ عِلۡمٖۖ لِّيُدۡخِلَ ٱللَّهُ فِي رَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۚ لَوۡ تَزَيَّلُواْ لَعَذَّبۡنَا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡهُمۡ عَذَابًا أَلِيمًا ﴿25﴾

Bo beebo abaakafuwala ne babaziyiza okutuuka ku muzigiti ogwe mizizo, nga n'ebirabo biremeseddwa okutuuka mu bifo byabyo, era singa si basajja abakkiriza n'abakazi abakkiriza, be mutaamanya okuba nti mwali muyinza okubatusaako obulabe (ne mubatta), ne mutuukwako akamogo (akokunenyezebwa okubatta) mu butali bugenderevu, Katonda yandibadde akkiriza ne mwambalagana nabo, (ekyo kyali bwekityo) Katonda abe nga ayingiza mu kusaasira kwe oyo gwaba ayagadde, era singa beeyawula (abakkiriza bokka na batakkiriza bokka) era twandibonerezza abo abaakafuwala mu bo ebibonerezo ebiruma.

48:26

إِذۡ جَعَلَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلۡحَمِيَّةَ حَمِيَّةَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ فَأَنزَلَ ٱللَّهُ سَكِينَتَهُۥ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ وَعَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَأَلۡزَمَهُمۡ كَلِمَةَ ٱلتَّقۡوَىٰ وَكَانُوٓاْ أَحَقَّ بِهَا وَأَهۡلَهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا ﴿26﴾

Jjukira abo abaakafuwala bwe bassa mu mitima gyabwe effutwa, effutwa lyo mu biseera eby'obutamanya, olwonno Katonda nassa obukkakkamu ku mubaka we, ne ku bakkiriza nabanywereza ku kigambo kyo kutya Katonda era nga be baali basinga okukisaanira, era nga be baali ba nannyinikyo era bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.

48:27

لَّقَدۡ صَدَقَ ٱللَّهُ رَسُولَهُ ٱلرُّءۡيَا بِٱلۡحَقِّۖ لَتَدۡخُلُنَّ ٱلۡمَسۡجِدَ ٱلۡحَرَامَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ مُحَلِّقِينَ رُءُوسَكُمۡ وَمُقَصِّرِينَ لَا تَخَافُونَۖ فَعَلِمَ مَا لَمۡ تَعۡلَمُواْ فَجَعَلَ مِن دُونِ ذَٰلِكَ فَتۡحٗا قَرِيبًا ﴿27﴾

Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah).

48:28

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ رَسُولَهُۥ بِٱلۡهُدَىٰ وَدِينِ ٱلۡحَقِّ لِيُظۡهِرَهُۥ عَلَى ٱلدِّينِ كُلِّهِۦۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدٗا ﴿28﴾

Katonda yye, yooyo eyatuma omubaka we naleeta obulungamu n'eddiini eya amzima abe ng'alaga ekifo kyaayo ekya waggulu ku madiini gonna, kimala okuba nti Katonda yemujulizi (kw'ekyo).

48:29

مُّحَمَّدٞ رَّسُولُ ٱللَّهِۚ وَٱلَّذِينَ مَعَهُۥٓ أَشِدَّآءُ عَلَى ٱلۡكُفَّارِ رُحَمَآءُ بَيۡنَهُمۡۖ تَرَىٰهُمۡ رُكَّعٗا سُجَّدٗا يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٗاۖ سِيمَاهُمۡ فِي وُجُوهِهِم مِّنۡ أَثَرِ ٱلسُّجُودِۚ ذَٰلِكَ مَثَلُهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِۚ وَمَثَلُهُمۡ فِي ٱلۡإِنجِيلِ كَزَرۡعٍ أَخۡرَجَ شَطۡـَٔهُۥ فَـَٔازَرَهُۥ فَٱسۡتَغۡلَظَ فَٱسۡتَوَىٰ عَلَىٰ سُوقِهِۦ يُعۡجِبُ ٱلزُّرَّاعَ لِيَغِيظَ بِهِمُ ٱلۡكُفَّارَۗ وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِنۡهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمَۢا ﴿29﴾

Muhammad Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bakafiiri, basaasiragana, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu.