quranm◉

Hizb 53

Range
from 52:24 to 55:78
Surahs covered
Okuvvuunula
221 Okuvvuunula

◉

52:24

وَيَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ غِلۡمَانٞ لَّهُمۡ كَأَنَّهُمۡ لُؤۡلُؤٞ مَّكۡنُونٞ ﴿24﴾

Era abalenzi abaliba balabika nga l'ulu akuumwa ennyo baliba babetoololamu nga babaweereza.

52:25

وَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَسَآءَلُونَ ﴿25﴾

Era (abaliba mu jjana) abamu balyolekera bannabwe nga bewunaganya.

52:26

قَالُوٓاْ إِنَّا كُنَّا قَبۡلُ فِيٓ أَهۡلِنَا مُشۡفِقِينَ ﴿26﴾

Nga bagamba nti mazima ffe mukusooka twabanga mu bantu baffe nga tutya (ebibonerezo bya Katonda).

52:27

فَمَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا وَوَقَىٰنَا عَذَابَ ٱلسَّمُومِ ﴿27﴾

Katonda natugonnomolako ekyengera, naatuwonya ebibonerezo byo muliro samuumu.

52:28

إِنَّا كُنَّا مِن قَبۡلُ نَدۡعُوهُۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡبَرُّ ٱلرَّحِيمُ ﴿28﴾

(Anti) mazima ffe okusooka twamusabanga (twamusinzanga), mazima yye yaayisa obulungi, omusaasizi ennyo.

52:29

فَذَكِّرۡ فَمَآ أَنتَ بِنِعۡمَتِ رَبِّكَ بِكَاهِنٖ وَلَا مَجۡنُونٍ ﴿29﴾

Kale nno buulirira (ggwe Muhammad) anti ggwe olwe kyengera kya Mukama omulabirizi wo, toli mulaguzi wadde mulalu (nga abamu bwe babijweteka).

52:30

أَمۡ يَقُولُونَ شَاعِرٞ نَّتَرَبَّصُ بِهِۦ رَيۡبَ ٱلۡمَنُونِ ﴿30﴾

Oba bagamba nti (Muhammad) mutontomi gwetulekedde okukwata kwa walumbe.

52:31

قُلۡ تَرَبَّصُواْ فَإِنِّي مَعَكُم مِّنَ ٱلۡمُتَرَبِّصِينَ ﴿31﴾

Bagambe nti mulindirire, anti mazima nze ndi wamu na mmwe mu balindirira.

52:32

أَمۡ تَأۡمُرُهُمۡ أَحۡلَٰمُهُم بِهَٰذَآۚ أَمۡ هُمۡ قَوۡمٞ طَاغُونَ ﴿32﴾

Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula!.

52:33

أَمۡ يَقُولُونَ تَقَوَّلَهُۥۚ بَل لَّا يُؤۡمِنُونَ ﴿33﴾

Oba bagamba nti (Muhammad) yajegunjirawo (Kur’ani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza.

52:34

فَلۡيَأۡتُواْ بِحَدِيثٖ مِّثۡلِهِۦٓ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ ﴿34﴾

(Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima.

52:35

أَمۡ خُلِقُواْ مِنۡ غَيۡرِ شَيۡءٍ أَمۡ هُمُ ٱلۡخَٰلِقُونَ ﴿35﴾

Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali).

52:36

أَمۡ خَلَقُواْ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۚ بَل لَّا يُوقِنُونَ ﴿36﴾

Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza.

52:37

أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَبِّكَ أَمۡ هُمُ ٱلۡمُصَۜيۡطِرُونَ ﴿37﴾

Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu).

52:38

أَمۡ لَهُمۡ سُلَّمٞ يَسۡتَمِعُونَ فِيهِۖ فَلۡيَأۡتِ مُسۡتَمِعُهُم بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ ﴿38﴾

Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu.

52:39

أَمۡ لَهُ ٱلۡبَنَٰتُ وَلَكُمُ ٱلۡبَنُونَ ﴿39﴾

Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi.

52:40

أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرٗا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٖ مُّثۡقَلُونَ ﴿40﴾

Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula.

52:41

أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ ﴿41﴾

Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza).

52:42

أَمۡ يُرِيدُونَ كَيۡدٗاۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هُمُ ٱلۡمَكِيدُونَ ﴿42﴾

Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo).

52:43

أَمۡ لَهُمۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿43﴾

Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako.

52:44

وَإِن يَرَوۡاْ كِسۡفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ سَاقِطٗا يَقُولُواْ سَحَابٞ مَّرۡكُومٞ ﴿44﴾

Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye.

52:45

فَذَرۡهُمۡ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي فِيهِ يُصۡعَقُونَ ﴿45﴾

Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa.

52:46

يَوۡمَ لَا يُغۡنِي عَنۡهُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ ﴿46﴾

Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa.

52:47

وَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ عَذَابٗا دُونَ ذَٰلِكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿47﴾

Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi.

52:48

وَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعۡيُنِنَاۖ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ ﴿48﴾

Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala).

52:49

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَإِدۡبَٰرَ ٱلنُّجُومِ ﴿49﴾

Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira.

53:1

وَٱلنَّجۡمِ إِذَا هَوَىٰ ﴿1﴾

Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde.

53:2

مَا ضَلَّ صَاحِبُكُمۡ وَمَا غَوَىٰ ﴿2﴾

Munammwe (Muhammad) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga.

53:3

وَمَا يَنطِقُ عَنِ ٱلۡهَوَىٰٓ ﴿3﴾

Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe).

53:4

إِنۡ هُوَ إِلَّا وَحۡيٞ يُوحَىٰ ﴿4﴾

Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda).

53:5

عَلَّمَهُۥ شَدِيدُ ٱلۡقُوَىٰ ﴿5﴾

Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu).

53:6

ذُو مِرَّةٖ فَٱسۡتَوَىٰ ﴿6﴾

Nannyini busobozi eyeyoleka.

53:7

وَهُوَ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡأَعۡلَىٰ ﴿7﴾

Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula.

53:8

ثُمَّ دَنَا فَتَدَلَّىٰ ﴿8﴾

Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi).

53:9

فَكَانَ قَابَ قَوۡسَيۡنِ أَوۡ أَدۡنَىٰ ﴿9﴾

Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo.

53:10

فَأَوۡحَىٰٓ إِلَىٰ عَبۡدِهِۦ مَآ أَوۡحَىٰ ﴿10﴾

Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu.

53:11

مَا كَذَبَ ٱلۡفُؤَادُ مَا رَأَىٰٓ ﴿11﴾

Emmeme (ya Nabbi Muhammad) teyalimba kwebyo bye yalaba.

53:12

أَفَتُمَٰرُونَهُۥ عَلَىٰ مَا يَرَىٰ ﴿12﴾

Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba.

53:13

وَلَقَدۡ رَءَاهُ نَزۡلَةً أُخۡرَىٰ ﴿13﴾

Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala.

53:14

عِندَ سِدۡرَةِ ٱلۡمُنتَهَىٰ ﴿14﴾

Mu kifo awali awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa.

53:15

عِندَهَا جَنَّةُ ٱلۡمَأۡوَىٰٓ ﴿15﴾

Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira).

53:16

إِذۡ يَغۡشَى ٱلسِّدۡرَةَ مَا يَغۡشَىٰ ﴿16﴾

Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka.

53:17

مَا زَاغَ ٱلۡبَصَرُ وَمَا طَغَىٰ ﴿17﴾

Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba).

53:18

لَقَدۡ رَأَىٰ مِنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ ﴿18﴾

Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene.

53:19

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱللَّـٰتَ وَٱلۡعُزَّىٰ ﴿19﴾

Abaffe mulaba Latta ne Uzza.

53:20

وَمَنَوٰةَ ٱلثَّالِثَةَ ٱلۡأُخۡرَىٰٓ ﴿20﴾

Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa).

53:21

أَلَكُمُ ٱلذَّكَرُ وَلَهُ ٱلۡأُنثَىٰ ﴿21﴾

Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu).

53:22

تِلۡكَ إِذٗا قِسۡمَةٞ ضِيزَىٰٓ ﴿22﴾

Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira.

53:23

إِنۡ هِيَ إِلَّآ أَسۡمَآءٞ سَمَّيۡتُمُوهَآ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُم مَّآ أَنزَلَ ٱللَّهُ بِهَا مِن سُلۡطَٰنٍۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَمَا تَهۡوَى ٱلۡأَنفُسُۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مِّن رَّبِّهِمُ ٱلۡهُدَىٰٓ ﴿23﴾

(Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe.

53:24

أَمۡ لِلۡإِنسَٰنِ مَا تَمَنَّىٰ ﴿24﴾

Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa).

53:25

فَلِلَّهِ ٱلۡأٓخِرَةُ وَٱلۡأُولَىٰ ﴿25﴾

Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo).

53:26

وَكَم مِّن مَّلَكٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ لَا تُغۡنِي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـًٔا إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ أَن يَأۡذَنَ ٱللَّهُ لِمَن يَشَآءُ وَيَرۡضَىٰٓ ﴿26﴾

Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima.

53:27

إِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ لَيُسَمُّونَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ تَسۡمِيَةَ ٱلۡأُنثَىٰ ﴿27﴾

Mazima abo abatakkiriza nkomerero be bayita ba Malayika amannya ag’ekikazi.

53:28

وَمَا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّۖ وَإِنَّ ٱلظَّنَّ لَا يُغۡنِي مِنَ ٱلۡحَقِّ شَيۡـٔٗا ﴿28﴾

Era nga tebakirinaako kumanya kwonna, tebagoberera okugyako okuteebereza ate nga ddala okuteebereza tekulina kye kugasa awali amazima.

53:29

فَأَعۡرِضۡ عَن مَّن تَوَلَّىٰ عَن ذِكۡرِنَا وَلَمۡ يُرِدۡ إِلَّا ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا ﴿29﴾

N’olwekyo va kwoyo ayawukana nokubulirira kwaffe, naatayagala okugyako obulamu bw'ensi.

53:30

ذَٰلِكَ مَبۡلَغُهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِمَنِ ٱهۡتَدَىٰ ﴿30﴾

Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama.

53:31

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ لِيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ أَسَـٰٓـُٔواْ بِمَا عَمِلُواْ وَيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ بِٱلۡحُسۡنَى ﴿31﴾

Bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi (era yye ye nannyini mateeka kwe bikolera) olwo nno alisasula abo abayonoona olwebyo bye bakola era nga alisasula obulungi abo abalongoosa.

53:32

ٱلَّذِينَ يَجۡتَنِبُونَ كَبَـٰٓئِرَ ٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡفَوَٰحِشَ إِلَّا ٱللَّمَمَۚ إِنَّ رَبَّكَ وَٰسِعُ ٱلۡمَغۡفِرَةِۚ هُوَ أَعۡلَمُ بِكُمۡ إِذۡ أَنشَأَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ وَإِذۡ أَنتُمۡ أَجِنَّةٞ فِي بُطُونِ أُمَّهَٰتِكُمۡۖ فَلَا تُزَكُّوٓاْ أَنفُسَكُمۡۖ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَنِ ٱتَّقَىٰٓ ﴿32﴾

Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya.

53:33

أَفَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي تَوَلَّىٰ ﴿33﴾

Abaffe olabye oyo akyuka (naava ku mazima).

53:34

وَأَعۡطَىٰ قَلِيلٗا وَأَكۡدَىٰٓ ﴿34﴾

Era nawaayo katono bwamala ate nammira ddala.

53:35

أَعِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلۡغَيۡبِ فَهُوَ يَرَىٰٓ ﴿35﴾

Abaffe (ekimukozesa ekyo) lwakuba nti alina okumanya ebyekusifu, olwo nno naaba nga abiraba.

53:36

أَمۡ لَمۡ يُنَبَّأۡ بِمَا فِي صُحُفِ مُوسَىٰ ﴿36﴾

Oba tabuulirwanga ebyo ebiri mu bitabo bya Musa.

53:37

وَإِبۡرَٰهِيمَ ٱلَّذِي وَفَّىٰٓ ﴿37﴾

Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (bwe yalaganyisa Katonda).

53:38

أَلَّا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰ ﴿38﴾

(Ebyo ebigamba nti) tewali mwoyo gulyetikka kibi kya mulala.

53:39

وَأَن لَّيۡسَ لِلۡإِنسَٰنِ إِلَّا مَا سَعَىٰ ﴿39﴾

Era nti omunu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera.

53:40

وَأَنَّ سَعۡيَهُۥ سَوۡفَ يُرَىٰ ﴿40﴾

Era nti mazima okukola kwe kya ddaaki kulirabwa.

53:41

ثُمَّ يُجۡزَىٰهُ ٱلۡجَزَآءَ ٱلۡأَوۡفَىٰ ﴿41﴾

Oluvanyuma alikusasulwamu empeera esinga okuba enzijuvu.

53:42

وَأَنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلۡمُنتَهَىٰ ﴿42﴾

Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu).

53:43

وَأَنَّهُۥ هُوَ أَضۡحَكَ وَأَبۡكَىٰ ﴿43﴾

Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya.

53:44

وَأَنَّهُۥ هُوَ أَمَاتَ وَأَحۡيَا ﴿44﴾

Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu.

53:45

وَأَنَّهُۥ خَلَقَ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰ ﴿45﴾

Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi.

53:46

مِن نُّطۡفَةٍ إِذَا تُمۡنَىٰ ﴿46﴾

Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu).

53:47

وَأَنَّ عَلَيۡهِ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُخۡرَىٰ ﴿47﴾

Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza).

53:48

وَأَنَّهُۥ هُوَ أَغۡنَىٰ وَأَقۡنَىٰ ﴿48﴾

Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza.

53:49

وَأَنَّهُۥ هُوَ رَبُّ ٱلشِّعۡرَىٰ ﴿49﴾

Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga).

53:50

وَأَنَّهُۥٓ أَهۡلَكَ عَادًا ٱلۡأُولَىٰ ﴿50﴾

Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka.

53:51

وَثَمُودَاْ فَمَآ أَبۡقَىٰ ﴿51﴾

Na be kibiina kya Thamud era nga teyalekawo (wadde omu).

53:52

وَقَوۡمَ نُوحٖ مِّن قَبۡلُۖ إِنَّهُمۡ كَانُواْ هُمۡ أَظۡلَمَ وَأَطۡغَىٰ ﴿52﴾

Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula.

53:53

وَٱلۡمُؤۡتَفِكَةَ أَهۡوَىٰ ﴿53﴾

Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora).

53:54

فَغَشَّىٰهَا مَا غَشَّىٰ ﴿54﴾

Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira.

53:55

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكَ تَتَمَارَىٰ ﴿55﴾

Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa!.

53:56

هَٰذَا نَذِيرٞ مِّنَ ٱلنُّذُرِ ٱلۡأُولَىٰٓ ﴿56﴾

Ono (omubaka Muhammad) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera.

53:57

أَزِفَتِ ٱلۡأٓزِفَةُ ﴿57﴾

Enkomerero esembedde.

53:58

لَيۡسَ لَهَا مِن دُونِ ٱللَّهِ كَاشِفَةٌ ﴿58﴾

Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda.

53:59

أَفَمِنۡ هَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ تَعۡجَبُونَ ﴿59﴾

Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera.

53:60

وَتَضۡحَكُونَ وَلَا تَبۡكُونَ ﴿60﴾

Nemuba nga museka nemutakaaba.

53:61

وَأَنتُمۡ سَٰمِدُونَ ﴿61﴾

Nga nammwe muzannya buzannyi.

53:62

فَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ وَٱعۡبُدُواْ۩ ﴿62﴾

Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu).

54:1

ٱقۡتَرَبَتِ ٱلسَّاعَةُ وَٱنشَقَّ ٱلۡقَمَرُ ﴿1﴾

Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu.

54:2

وَإِن يَرَوۡاْ ءَايَةٗ يُعۡرِضُواْ وَيَقُولُواْ سِحۡرٞ مُّسۡتَمِرّٞ ﴿2﴾

Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.

54:3

وَكَذَّبُواْ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَكُلُّ أَمۡرٖ مُّسۡتَقِرّٞ ﴿3﴾

Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi).

54:4

وَلَقَدۡ جَآءَهُم مِّنَ ٱلۡأَنۢبَآءِ مَا فِيهِ مُزۡدَجَرٌ ﴿4﴾

Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda).

54:5

حِكۡمَةُۢ بَٰلِغَةٞۖ فَمَا تُغۡنِ ٱلنُّذُرُ ﴿5﴾

(Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda).

54:6

فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡۘ يَوۡمَ يَدۡعُ ٱلدَّاعِ إِلَىٰ شَيۡءٖ نُّكُرٍ ﴿6﴾

Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa.

54:7

خُشَّعًا أَبۡصَٰرُهُمۡ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ كَأَنَّهُمۡ جَرَادٞ مُّنتَشِرٞ ﴿7﴾

Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye.

54:8

مُّهۡطِعِينَ إِلَى ٱلدَّاعِۖ يَقُولُ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا يَوۡمٌ عَسِرٞ ﴿8﴾

Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito.

54:9

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ فَكَذَّبُواْ عَبۡدَنَا وَقَالُواْ مَجۡنُونٞ وَٱزۡدُجِرَ ﴿9﴾

Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa.

54:10

فَدَعَا رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَغۡلُوبٞ فَٱنتَصِرۡ ﴿10﴾

Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira.

54:11

فَفَتَحۡنَآ أَبۡوَٰبَ ٱلسَّمَآءِ بِمَآءٖ مُّنۡهَمِرٖ ﴿11﴾

Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka.

54:12

وَفَجَّرۡنَا ٱلۡأَرۡضَ عُيُونٗا فَٱلۡتَقَى ٱلۡمَآءُ عَلَىٰٓ أَمۡرٖ قَدۡ قُدِرَ ﴿12﴾

Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda.

54:13

وَحَمَلۡنَٰهُ عَلَىٰ ذَاتِ أَلۡوَٰحٖ وَدُسُرٖ ﴿13﴾

Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbawo ne misumaali.

54:14

تَجۡرِي بِأَعۡيُنِنَا جَزَآءٗ لِّمَن كَانَ كُفِرَ ﴿14﴾

Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa.

54:15

وَلَقَد تَّرَكۡنَٰهَآ ءَايَةٗ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿15﴾

Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde?.

54:16

فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿16﴾

(Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya!.

54:17

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿17﴾

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:18

كَذَّبَتۡ عَادٞ فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿18﴾

Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

54:19

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِيحٗا صَرۡصَرٗا فِي يَوۡمِ نَحۡسٖ مُّسۡتَمِرّٖ ﴿19﴾

Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna.

54:20

تَنزِعُ ٱلنَّاسَ كَأَنَّهُمۡ أَعۡجَازُ نَخۡلٖ مُّنقَعِرٖ ﴿20﴾

Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa.

54:21

فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿21﴾

Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

54:22

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿22﴾

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:23

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِٱلنُّذُرِ ﴿23﴾

Abeekika kya Thamud baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh).

54:24

فَقَالُوٓاْ أَبَشَرٗا مِّنَّا وَٰحِدٗا نَّتَّبِعُهُۥٓ إِنَّآ إِذٗا لَّفِي ضَلَٰلٖ وَسُعُرٍ ﴿24﴾

Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu.

54:25

أَءُلۡقِيَ ٱلذِّكۡرُ عَلَيۡهِ مِنۢ بَيۡنِنَا بَلۡ هُوَ كَذَّابٌ أَشِرٞ ﴿25﴾

Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira.

54:26

سَيَعۡلَمُونَ غَدٗا مَّنِ ٱلۡكَذَّابُ ٱلۡأَشِرُ ﴿26﴾

Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi.

54:27

إِنَّا مُرۡسِلُواْ ٱلنَّاقَةِ فِتۡنَةٗ لَّهُمۡ فَٱرۡتَقِبۡهُمۡ وَٱصۡطَبِرۡ ﴿27﴾

(Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi).

54:28

وَنَبِّئۡهُمۡ أَنَّ ٱلۡمَآءَ قِسۡمَةُۢ بَيۡنَهُمۡۖ كُلُّ شِرۡبٖ مُّحۡتَضَرٞ ﴿28﴾

Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu).

54:29

فَنَادَوۡاْ صَاحِبَهُمۡ فَتَعَاطَىٰ فَعَقَرَ ﴿29﴾

Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya).

54:30

فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿30﴾

Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

54:31

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَكَانُواْ كَهَشِيمِ ٱلۡمُحۡتَظِرِ ﴿31﴾

(Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye).

54:32

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿32﴾

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:33

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطِۭ بِٱلنُّذُرِ ﴿33﴾

Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka.

54:34

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ حَاصِبًا إِلَّآ ءَالَ لُوطٖۖ نَّجَّيۡنَٰهُم بِسَحَرٖ ﴿34﴾

Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi.

54:35

نِّعۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَن شَكَرَ ﴿35﴾

Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza.

54:36

وَلَقَدۡ أَنذَرَهُم بَطۡشَتَنَا فَتَمَارَوۡاْ بِٱلنُّذُرِ ﴿36﴾

Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe).

54:37

وَلَقَدۡ رَٰوَدُوهُ عَن ضَيۡفِهِۦ فَطَمَسۡنَآ أَعۡيُنَهُمۡ فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿37﴾

Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange.

54:38

وَلَقَدۡ صَبَّحَهُم بُكۡرَةً عَذَابٞ مُّسۡتَقِرّٞ ﴿38﴾

Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu.

54:39

فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿39﴾

Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange.

54:40

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿40﴾

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:41

وَلَقَدۡ جَآءَ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ ٱلنُّذُرُ ﴿41﴾

Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo.

54:42

كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا كُلِّهَا فَأَخَذۡنَٰهُمۡ أَخۡذَ عَزِيزٖ مُّقۡتَدِرٍ ﴿42﴾

Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza.

54:43

أَكُفَّارُكُمۡ خَيۡرٞ مِّنۡ أُوْلَـٰٓئِكُمۡ أَمۡ لَكُم بَرَآءَةٞ فِي ٱلزُّبُرِ ﴿43﴾

Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka.

54:44

أَمۡ يَقُولُونَ نَحۡنُ جَمِيعٞ مُّنتَصِرٞ ﴿44﴾

Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa.

54:45

سَيُهۡزَمُ ٱلۡجَمۡعُ وَيُوَلُّونَ ٱلدُّبُرَ ﴿45﴾

(Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke).

54:46

بَلِ ٱلسَّاعَةُ مَوۡعِدُهُمۡ وَٱلسَّاعَةُ أَدۡهَىٰ وَأَمَرُّ ﴿46﴾

(Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu.

54:47

إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي ضَلَٰلٖ وَسُعُرٖ ﴿47﴾

Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu.

54:48

يَوۡمَ يُسۡحَبُونَ فِي ٱلنَّارِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ ذُوقُواْ مَسَّ سَقَرَ ﴿48﴾

(Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara.

54:49

إِنَّا كُلَّ شَيۡءٍ خَلَقۡنَٰهُ بِقَدَرٖ ﴿49﴾

Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba.

54:50

وَمَآ أَمۡرُنَآ إِلَّا وَٰحِدَةٞ كَلَمۡحِۭ بِٱلۡبَصَرِ ﴿50﴾

(Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso.

54:51

وَلَقَدۡ أَهۡلَكۡنَآ أَشۡيَاعَكُمۡ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿51﴾

Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:52

وَكُلُّ شَيۡءٖ فَعَلُوهُ فِي ٱلزُّبُرِ ﴿52﴾

Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo.

54:53

وَكُلُّ صَغِيرٖ وَكَبِيرٖ مُّسۡتَطَرٌ ﴿53﴾

Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa.

54:54

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّـٰتٖ وَنَهَرٖ ﴿54﴾

Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo).

54:55

فِي مَقۡعَدِ صِدۡقٍ عِندَ مَلِيكٖ مُّقۡتَدِرِۭ ﴿55﴾

Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza.

55:1

ٱلرَّحۡمَٰنُ ﴿1﴾

(Katonda) omusaasizi ennyo.

55:2

عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ﴿2﴾

Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.

55:3

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ﴿3﴾

Yatonda omuntu.

55:4

عَلَّمَهُ ٱلۡبَيَانَ ﴿4﴾

Yamuyizigiriza okunnyonnyola.

55:5

ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ بِحُسۡبَانٖ ﴿5﴾

Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa).

55:6

وَٱلنَّجۡمُ وَٱلشَّجَرُ يَسۡجُدَانِ ﴿6﴾

Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda).

55:7

وَٱلسَّمَآءَ رَفَعَهَا وَوَضَعَ ٱلۡمِيزَانَ ﴿7﴾

Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya.

55:8

أَلَّا تَطۡغَوۡاْ فِي ٱلۡمِيزَانِ ﴿8﴾

Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya).

55:9

وَأَقِيمُواْ ٱلۡوَزۡنَ بِٱلۡقِسۡطِ وَلَا تُخۡسِرُواْ ٱلۡمِيزَانَ ﴿9﴾

Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane.

55:10

وَٱلۡأَرۡضَ وَضَعَهَا لِلۡأَنَامِ ﴿10﴾

N'ensi yagiteerawo ebitonde.

55:11

فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَٱلنَّخۡلُ ذَاتُ ٱلۡأَكۡمَامِ ﴿11﴾

Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba.

55:12

وَٱلۡحَبُّ ذُو ٱلۡعَصۡفِ وَٱلرَّيۡحَانُ ﴿12﴾

N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo.

55:13

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿13﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:14

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٖ كَٱلۡفَخَّارِ ﴿14﴾

Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye.

55:15

وَخَلَقَ ٱلۡجَآنَّ مِن مَّارِجٖ مِّن نَّارٖ ﴿15﴾

Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro.

55:16

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿16﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:17

رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ وَرَبُّ ٱلۡمَغۡرِبَيۡنِ ﴿17﴾

Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi.

55:18

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿18﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:19

مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ يَلۡتَقِيَانِ ﴿19﴾

Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana.

55:20

بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٞ لَّا يَبۡغِيَانِ ﴿20﴾

Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula.

55:21

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿21﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:22

يَخۡرُجُ مِنۡهُمَا ٱللُّؤۡلُؤُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿22﴾

Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo).

55:23

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿23﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:24

وَلَهُ ٱلۡجَوَارِ ٱلۡمُنشَـَٔاتُ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿24﴾

Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi.

55:25

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿25﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:26

كُلُّ مَنۡ عَلَيۡهَا فَانٖ ﴿26﴾

Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo.

55:27

وَيَبۡقَىٰ وَجۡهُ رَبِّكَ ذُو ٱلۡجَلَٰلِ وَٱلۡإِكۡرَامِ ﴿27﴾

Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa.

55:28

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿28﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:29

يَسۡـَٔلُهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ كُلَّ يَوۡمٍ هُوَ فِي شَأۡنٖ ﴿29﴾

Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe).

55:30

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿30﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:31

سَنَفۡرُغُ لَكُمۡ أَيُّهَ ٱلثَّقَلَانِ ﴿31﴾

Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu).

55:32

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿32﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:33

يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ إِنِ ٱسۡتَطَعۡتُمۡ أَن تَنفُذُواْ مِنۡ أَقۡطَارِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ فَٱنفُذُواْۚ لَا تَنفُذُونَ إِلَّا بِسُلۡطَٰنٖ ﴿33﴾

Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi.

55:34

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿34﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:35

يُرۡسَلُ عَلَيۡكُمَا شُوَاظٞ مِّن نَّارٖ وَنُحَاسٞ فَلَا تَنتَصِرَانِ ﴿35﴾

Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa).

55:36

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿36﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:37

فَإِذَا ٱنشَقَّتِ ٱلسَّمَآءُ فَكَانَتۡ وَرۡدَةٗ كَٱلدِّهَانِ ﴿37﴾

Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse.

55:38

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿38﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:39

فَيَوۡمَئِذٖ لَّا يُسۡـَٔلُ عَن ذَنۢبِهِۦٓ إِنسٞ وَلَا جَآنّٞ ﴿39﴾

Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni.

55:40

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿40﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:41

يُعۡرَفُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ بِسِيمَٰهُمۡ فَيُؤۡخَذُ بِٱلنَّوَٰصِي وَٱلۡأَقۡدَامِ ﴿41﴾

Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro).

55:42

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿42﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:43

هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي يُكَذِّبُ بِهَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿43﴾

Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa.

55:44

يَطُوفُونَ بَيۡنَهَا وَبَيۡنَ حَمِيمٍ ءَانٖ ﴿44﴾

Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya.

55:45

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿45﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:46

وَلِمَنۡ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِۦ جَنَّتَانِ ﴿46﴾

Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri.

55:47

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿47﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:48

ذَوَاتَآ أَفۡنَانٖ ﴿48﴾

Ezirimu amatabi agalanda.

55:49

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿49﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:50

فِيهِمَا عَيۡنَانِ تَجۡرِيَانِ ﴿50﴾

Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta.

55:51

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿51﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:52

فِيهِمَا مِن كُلِّ فَٰكِهَةٖ زَوۡجَانِ ﴿52﴾

Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri.

55:53

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿53﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:54

مُتَّكِـِٔينَ عَلَىٰ فُرُشِۭ بَطَآئِنُهَا مِنۡ إِسۡتَبۡرَقٖۚ وَجَنَى ٱلۡجَنَّتَيۡنِ دَانٖ ﴿54﴾

(Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga).

55:55

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿55﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:56

فِيهِنَّ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ لَمۡ يَطۡمِثۡهُنَّ إِنسٞ قَبۡلَهُمۡ وَلَا جَآنّٞ ﴿56﴾

Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana).

55:57

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿57﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:58

كَأَنَّهُنَّ ٱلۡيَاقُوتُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿58﴾

(Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo).

55:59

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿59﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:60

هَلۡ جَزَآءُ ٱلۡإِحۡسَٰنِ إِلَّا ٱلۡإِحۡسَٰنُ ﴿60﴾

Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi.

55:61

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿61﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:62

وَمِن دُونِهِمَا جَنَّتَانِ ﴿62﴾

Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri.

55:63

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿63﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:64

مُدۡهَآمَّتَانِ ﴿64﴾

Eza kiragala omukwafu.

55:65

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿65﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:66

فِيهِمَا عَيۡنَانِ نَضَّاخَتَانِ ﴿66﴾

Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi.

55:67

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿67﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:68

فِيهِمَا فَٰكِهَةٞ وَنَخۡلٞ وَرُمَّانٞ ﴿68﴾

Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga.

55:69

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿69﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:70

فِيهِنَّ خَيۡرَٰتٌ حِسَانٞ ﴿70﴾

Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika.

55:71

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿71﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:72

حُورٞ مَّقۡصُورَٰتٞ فِي ٱلۡخِيَامِ ﴿72﴾

Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema.

55:73

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿73﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:74

لَمۡ يَطۡمِثۡهُنَّ إِنسٞ قَبۡلَهُمۡ وَلَا جَآنّٞ ﴿74﴾

Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana).

55:75

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿75﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:76

مُتَّكِـِٔينَ عَلَىٰ رَفۡرَفٍ خُضۡرٖ وَعَبۡقَرِيٍّ حِسَانٖ ﴿76﴾

Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo.

55:77

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿77﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:78

تَبَٰرَكَ ٱسۡمُ رَبِّكَ ذِي ٱلۡجَلَٰلِ وَٱلۡإِكۡرَامِ ﴿78﴾

Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa.