quranm◉

Hizb 54

Range
from 56:1 to 58:13
Surahs covered
Okuvvuunula
138 Okuvvuunula

◉

56:1

إِذَا وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ ﴿1﴾

Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka.

56:2

لَيۡسَ لِوَقۡعَتِهَا كَاذِبَةٌ ﴿2﴾

Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa.

56:3

خَافِضَةٞ رَّافِعَةٌ ﴿3﴾

Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi).

56:4

إِذَا رُجَّتِ ٱلۡأَرۡضُ رَجّٗا ﴿4﴾

Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana.

56:5

وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسّٗا ﴿5﴾

N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa.

56:6

فَكَانَتۡ هَبَآءٗ مُّنۢبَثّٗا ﴿6﴾

Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka.

56:7

وَكُنتُمۡ أَزۡوَٰجٗا ثَلَٰثَةٗ ﴿7﴾

Era mmwe nemuba emitendera esatu.

56:8

فَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ ﴿8﴾

Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?.

56:9

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ ﴿9﴾

Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?.

56:10

وَٱلسَّـٰبِقُونَ ٱلسَّـٰبِقُونَ ﴿10﴾

Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu.

56:11

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡمُقَرَّبُونَ ﴿11﴾

Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda).

56:12

فِي جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿12﴾

Nga bali mu jjana ez'ebyengera.

56:13

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿13﴾

Bangi mu bibiina ebyasooka.

56:14

وَقَلِيلٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ ﴿14﴾

Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad).

56:15

عَلَىٰ سُرُرٖ مَّوۡضُونَةٖ ﴿15﴾

(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo.

56:16

مُّتَّكِـِٔينَ عَلَيۡهَا مُتَقَٰبِلِينَ ﴿16﴾

Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya).

56:17

يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ ﴿17﴾

Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu.

56:18

بِأَكۡوَابٖ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٖ مِّن مَّعِينٖ ﴿18﴾

Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo.

56:19

لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ ﴿19﴾

Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira.

56:20

وَفَٰكِهَةٖ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ ﴿20﴾

N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo.

56:21

وَلَحۡمِ طَيۡرٖ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ ﴿21﴾

Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala.

56:22

وَحُورٌ عِينٞ ﴿22﴾

N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana.

56:23

كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ ﴿23﴾

Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri.

56:24

جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿24﴾

(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi).

56:25

لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا تَأۡثِيمًا ﴿25﴾

Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza.

56:26

إِلَّا قِيلٗا سَلَٰمٗا سَلَٰمٗا ﴿26﴾

Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe.

56:27

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ ﴿27﴾

Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?.

56:28

فِي سِدۡرٖ مَّخۡضُودٖ ﴿28﴾

Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa.

56:29

وَطَلۡحٖ مَّنضُودٖ ﴿29﴾

N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye.

56:30

وَظِلّٖ مَّمۡدُودٖ ﴿30﴾

N'ebisikirize ebigazi.

56:31

وَمَآءٖ مَّسۡكُوبٖ ﴿31﴾

N'amazzi agakulukuta awatali kusalako.

56:32

وَفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ ﴿32﴾

N'ebibala ebingi.

56:33

لَّا مَقۡطُوعَةٖ وَلَا مَمۡنُوعَةٖ ﴿33﴾

Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo.

56:34

وَفُرُشٖ مَّرۡفُوعَةٍ ﴿34﴾

N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu.

56:35

إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءٗ ﴿35﴾

Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda.

56:36

فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا ﴿36﴾

Olwo nno twabatonda nga mbeerera.

56:37

عُرُبًا أَتۡرَابٗا ﴿37﴾

Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa.

56:38

لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ﴿38﴾

Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo.

56:39

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿39﴾

Bangi mu bibiina ebyasooka.

56:40

وَثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ ﴿40﴾

Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad).

56:41

وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ ﴿41﴾

Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?.

56:42

فِي سَمُومٖ وَحَمِيمٖ ﴿42﴾

Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze.

56:43

وَظِلّٖ مِّن يَحۡمُومٖ ﴿43﴾

Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya.

56:44

لَّا بَارِدٖ وَلَا كَرِيمٍ ﴿44﴾

Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa.

56:45

إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ ﴿45﴾

Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya.

56:46

وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿46﴾

Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira).

56:47

وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ ﴿47﴾

Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!.

56:48

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ ﴿48﴾

Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!.

56:49

قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ ﴿49﴾

Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma.

56:50

لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ ﴿50﴾

Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa.

56:51

ثُمَّ إِنَّكُمۡ أَيُّهَا ٱلضَّآلُّونَ ٱلۡمُكَذِّبُونَ ﴿51﴾

Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa.

56:52

لَأٓكِلُونَ مِن شَجَرٖ مِّن زَقُّومٖ ﴿52﴾

Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu.

56:53

فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ ﴿53﴾

Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe).

56:54

فَشَٰرِبُونَ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡحَمِيمِ ﴿54﴾

Olwo nno munywereko amazzi ageeseze.

56:55

فَشَٰرِبُونَ شُرۡبَ ٱلۡهِيمِ ﴿55﴾

Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta.

56:56

هَٰذَا نُزُلُهُمۡ يَوۡمَ ٱلدِّينِ ﴿56﴾

Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula.

56:57

نَحۡنُ خَلَقۡنَٰكُمۡ فَلَوۡلَا تُصَدِّقُونَ ﴿57﴾

Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo).

56:58

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ ﴿58﴾

Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana.

56:59

ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ ﴿59﴾

Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!.

56:60

نَحۡنُ قَدَّرۡنَا بَيۡنَكُمُ ٱلۡمَوۡتَ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ ﴿60﴾

Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa.

56:61

عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ أَمۡثَٰلَكُمۡ وَنُنشِئَكُمۡ فِي مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿61﴾

Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi.

56:62

وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُولَىٰ فَلَوۡلَا تَذَكَّرُونَ ﴿62﴾

Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira.

56:63

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَحۡرُثُونَ ﴿63﴾

Abaffe mulaba ebyo bye mulima.

56:64

ءَأَنتُمۡ تَزۡرَعُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلزَّـٰرِعُونَ ﴿64﴾

Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!.

56:65

لَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَٰهُ حُطَٰمٗا فَظَلۡتُمۡ تَفَكَّهُونَ ﴿65﴾

Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya.

56:66

إِنَّا لَمُغۡرَمُونَ ﴿66﴾

(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa.

56:67

بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ ﴿67﴾

(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa.

56:68

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلۡمَآءَ ٱلَّذِي تَشۡرَبُونَ ﴿68﴾

Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa.

56:69

ءَأَنتُمۡ أَنزَلۡتُمُوهُ مِنَ ٱلۡمُزۡنِ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنزِلُونَ ﴿69﴾

Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa.

56:70

لَوۡ نَشَآءُ جَعَلۡنَٰهُ أُجَاجٗا فَلَوۡلَا تَشۡكُرُونَ ﴿70﴾

Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi).

56:71

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي تُورُونَ ﴿71﴾

Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma.

56:72

ءَأَنتُمۡ أَنشَأۡتُمۡ شَجَرَتَهَآ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنشِـُٔونَ ﴿72﴾

Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika.

56:73

نَحۡنُ جَعَلۡنَٰهَا تَذۡكِرَةٗ وَمَتَٰعٗا لِّلۡمُقۡوِينَ ﴿73﴾

Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro).

56:74

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ ﴿74﴾

Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.

56:75

فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ ﴿75﴾

Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye.

56:76

وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٞ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ ﴿76﴾

Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi.

56:77

إِنَّهُۥ لَقُرۡءَانٞ كَرِيمٞ ﴿77﴾

Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa.

56:78

فِي كِتَٰبٖ مَّكۡنُونٖ ﴿78﴾

Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)

56:79

لَّا يَمَسُّهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُطَهَّرُونَ ﴿79﴾

Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza).

56:80

تَنزِيلٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿80﴾

Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.

56:81

أَفَبِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَنتُم مُّدۡهِنُونَ ﴿81﴾

Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira.

56:82

وَتَجۡعَلُونَ رِزۡقَكُمۡ أَنَّكُمۡ تُكَذِّبُونَ ﴿82﴾

Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe.

56:83

فَلَوۡلَآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلۡحُلۡقُومَ ﴿83﴾

Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa).

56:84

وَأَنتُمۡ حِينَئِذٖ تَنظُرُونَ ﴿84﴾

Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula.

56:85

وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنكُمۡ وَلَٰكِن لَّا تُبۡصِرُونَ ﴿85﴾

Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba.

56:86

فَلَوۡلَآ إِن كُنتُمۡ غَيۡرَ مَدِينِينَ ﴿86﴾

Kale singa mwali temufugibwa (Katonda).

56:87

تَرۡجِعُونَهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿87﴾

Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima.

56:88

فَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿88﴾

Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda).

56:89

فَرَوۡحٞ وَرَيۡحَانٞ وَجَنَّتُ نَعِيمٖ ﴿89﴾

Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera.

56:90

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ﴿90﴾

Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.

56:91

فَسَلَٰمٞ لَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ﴿91﴾

(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.

56:92

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٱلضَّآلِّينَ ﴿92﴾

Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze.

56:93

فَنُزُلٞ مِّنۡ حَمِيمٖ ﴿93﴾

(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi.

56:94

وَتَصۡلِيَةُ جَحِيمٍ ﴿94﴾

Nakwesogga muliro Jahiimu.

56:95

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ ٱلۡيَقِينِ ﴿95﴾

Mazima ebyo ge mazima agannamaddala.

56:96

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ ﴿96﴾

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.

57:1

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿1﴾

Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bitendereza Katonda, era yye ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

57:2

لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿2﴾

Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi,awa obulamu era natta, era yemuyinza ku buli kintu.

57:3

هُوَ ٱلۡأَوَّلُ وَٱلۡأٓخِرُ وَٱلظَّـٰهِرُ وَٱلۡبَاطِنُۖ وَهُوَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٌ ﴿3﴾

Yye ye yasooka era ow'enkomerero, era yye yaali waggulu wa buli kintu, era yaasooka wansi, nga wansii we tewali kintu kirala, era yye amanyi ebifa ku buli kintu.

57:4

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۖ وَهُوَ مَعَكُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿4﴾

Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma yatebenkera ku Arish, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.

57:5

لَّهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿5﴾

Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi era eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.

57:6

يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۚ وَهُوَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿6﴾

Abuliza ekiro mu musana, era naabuliza omusana mu kiro, era yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

57:7

ءَامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَأَنفِقُواْ مِمَّا جَعَلَكُم مُّسۡتَخۡلَفِينَ فِيهِۖ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَأَنفَقُواْ لَهُمۡ أَجۡرٞ كَبِيرٞ ﴿7﴾

Mukkirize Katonda n’omubaka we, era mugabe kwebyo bya yabafuula abasigire mu byo, abo nno abakkiriza mu mmwe era ne bagaba, balina empeera ensuffu.

57:8

وَمَا لَكُمۡ لَا تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلرَّسُولُ يَدۡعُوكُمۡ لِتُؤۡمِنُواْ بِرَبِّكُمۡ وَقَدۡ أَخَذَ مِيثَٰقَكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿8﴾

Mwabaaki obutakkiriza Katonda ng’ate omubaka abakowoola mube nga mukkiriza Mukama omulabirizi wa mmwe, ate nga yabakozesa endagaano (kwekyo), bwe muba abakkiriza (nga mukyali ku ndagaano gyeyabakozesa).

57:9

هُوَ ٱلَّذِي يُنَزِّلُ عَلَىٰ عَبۡدِهِۦٓ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖ لِّيُخۡرِجَكُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ بِكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿9﴾

Yye yooyo assa ku mudduwe (Muhammad) ebigambo ebinnyonnyofu, abe nga abagya mu bizikiza mudde eri ekitangaala, era mazima Katonda mukwata mpola ku mmwe, musaasizi nnyo.

57:10

وَمَا لَكُمۡ أَلَّا تُنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَلِلَّهِ مِيرَٰثُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَا يَسۡتَوِي مِنكُم مَّنۡ أَنفَقَ مِن قَبۡلِ ٱلۡفَتۡحِ وَقَٰتَلَۚ أُوْلَـٰٓئِكَ أَعۡظَمُ دَرَجَةٗ مِّنَ ٱلَّذِينَ أَنفَقُواْ مِنۢ بَعۡدُ وَقَٰتَلُواْۚ وَكُلّٗا وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿10﴾

Mutya bwe mutayinza kuwaayo mu kkubo lya Katonda ng’ate obusika bwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, oyo eyawaayo mu mmwe nga obuwanguzi (bwe Makkah) tebunnabaawo, era nalwana (tayinza) kwenkana ne yakikola oluvanyuma) bali (abasoose) be be ddaala erya waggulu okusingaabo abaawaayo oluvanyuma era ne balwana. Naye nga bonna Katonda yabalagaanyisa (okubasasula) ebirungi, Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.

57:11

مَّن ذَا ٱلَّذِي يُقۡرِضُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا فَيُضَٰعِفَهُۥ لَهُۥ وَلَهُۥٓ أَجۡرٞ كَرِيمٞ ﴿11﴾

Ani oyo awola Katonda oluwola olulungi, olwo nno alumubalizeemu, era nga alina empeera eweesa ekitiibwa.

57:12

يَوۡمَ تَرَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ يَسۡعَىٰ نُورُهُم بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَبِأَيۡمَٰنِهِمۖ بُشۡرَىٰكُمُ ٱلۡيَوۡمَ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿12﴾

Olunaku lwoliraba abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, nga ekitangaala kyabwe kibali mu maaso gaabwe, ne ku mikono gyabwe egya ddyo nga ba Malayika babagamba nti ekyessanyu kya mmwe olwaleero ze jjana nga gikulukutira wansi waazo emigg, muli ba kuzibeeramu obugenderevu, ekyo kyo kwe kwesiima okusukkulumu.

57:13

يَوۡمَ يَقُولُ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلۡمُنَٰفِقَٰتُ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱنظُرُونَا نَقۡتَبِسۡ مِن نُّورِكُمۡ قِيلَ ٱرۡجِعُواْ وَرَآءَكُمۡ فَٱلۡتَمِسُواْ نُورٗاۖ فَضُرِبَ بَيۡنَهُم بِسُورٖ لَّهُۥ بَابُۢ بَاطِنُهُۥ فِيهِ ٱلرَّحۡمَةُ وَظَٰهِرُهُۥ مِن قِبَلِهِ ٱلۡعَذَابُ ﴿13﴾

(Fumitiriza) olunaku abananfusi abasajja na bannanfusi abakazi lwe baligamba abo abakkiriza, nti mutulinde tulabise ku kitangaala kya mmwe, walirangirirwa nti mudde emabega wa mmwe (gye muvudde) munoonye ekitangaala, olwo nno waliteekwa wakati waabwe ekikomera nga kiriko omulyango, nga munda waakyo (ku ludda eribeera abakkiriza) waliyo okusaasira, ate nga ebweru waakyo (ku ludda eribeera abananfusi) ebibonerezo gyebiriba bisibuka.

57:14

يُنَادُونَهُمۡ أَلَمۡ نَكُن مَّعَكُمۡۖ قَالُواْ بَلَىٰ وَلَٰكِنَّكُمۡ فَتَنتُمۡ أَنفُسَكُمۡ وَتَرَبَّصۡتُمۡ وَٱرۡتَبۡتُمۡ وَغَرَّتۡكُمُ ٱلۡأَمَانِيُّ حَتَّىٰ جَآءَ أَمۡرُ ٱللَّهِ وَغَرَّكُم بِٱللَّهِ ٱلۡغَرُورُ ﴿14﴾

Balibakowoola (nga bagamba nti mutumma ekitangaala) abaffe tetwali na mmwe, baligamba nti wewaawo, naye mazima mmwe, mwesuula mu bikemo, ne mulindiriza, ne mubuusabuusa ,essuubi ekyavaamu neribagayaaza okutuusa ekigambo kya Katonda lwekyajja era ebigayaaza nebibajja ku Katonda.

57:15

فَٱلۡيَوۡمَ لَا يُؤۡخَذُ مِنكُمۡ فِدۡيَةٞ وَلَا مِنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ مَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُۖ هِيَ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿15﴾

Kale nno olwaleero temuli ba kuggibwako nunuzi, wadde okugiggya kwabo abakaafuwala (mwenna) obuddo bwa mmwe muliro, ggwo gwe gubagyamu, naye nga buddo bubi.

57:16

أَلَمۡ يَأۡنِ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن تَخۡشَعَ قُلُوبُهُمۡ لِذِكۡرِ ٱللَّهِ وَمَا نَزَلَ مِنَ ٱلۡحَقِّ وَلَا يَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلُ فَطَالَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَمَدُ فَقَسَتۡ قُلُوبُهُمۡۖ وَكَثِيرٞ مِّنۡهُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿16﴾

Abaffe ekiseera tekituuse eri abo abakkiriza okuba nga emitima gyabwe gigonda ku lwokwogera ku Katonda, ne ku lwebyo ebyamazima ebisse, baleme kuba nga abo abaweebwa ekitabo (Tauraati ne Injili) oluberyeberye, olwo nno ekiseera ekyayitawo ku bo (wakati waabwe ne ba Nabbi) nekiwanvuwa, emitima gyabwe negikakanyala, era bangi mu bo bonoonyi.

57:17

ٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ قَدۡ بَيَّنَّا لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿17﴾

Mumanye nti mazima Katonda awa obulamu ettaka oluvanyuma lwokufa (okukala) kwalyo, mazima tubannyonnyodde ebigambo (byaffe) mube nga mutegeera.

57:18

إِنَّ ٱلۡمُصَّدِّقِينَ وَٱلۡمُصَّدِّقَٰتِ وَأَقۡرَضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا يُضَٰعَفُ لَهُمۡ وَلَهُمۡ أَجۡرٞ كَرِيمٞ ﴿18﴾

Mazima abasajja abasaddaaka, na bakyala abasaddaaka, era ne bawola Katonda oluwola olulungi, (bye bawaayo) Katonda abibakubisizaamu, era balina empeera eyekitiibwa.

57:19

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦٓ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلصِّدِّيقُونَۖ وَٱلشُّهَدَآءُ عِندَ رَبِّهِمۡ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ وَنُورُهُمۡۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ ﴿19﴾

Era abo abakkiriza Katonda n'ababaka be, abo bbo be bakkiriza abannamaddala, na balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, balina empeera yaabwe n'ekitangaala kyabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, ate abo abakafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro.

57:20

ٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا لَعِبٞ وَلَهۡوٞ وَزِينَةٞ وَتَفَاخُرُۢ بَيۡنَكُمۡ وَتَكَاثُرٞ فِي ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَوۡلَٰدِۖ كَمَثَلِ غَيۡثٍ أَعۡجَبَ ٱلۡكُفَّارَ نَبَاتُهُۥ ثُمَّ يَهِيجُ فَتَرَىٰهُ مُصۡفَرّٗا ثُمَّ يَكُونُ حُطَٰمٗاۖ وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٞ شَدِيدٞ وَمَغۡفِرَةٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٞۚ وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا مَتَٰعُ ٱلۡغُرُورِ ﴿20﴾

Mumanye nti mazima obulamu bwensi muzannyo na binyumo, nakwewunda nakwewaana wakati wa mmwe, nakulaga bungi bwa mmaali na baana, (wabula ebyo tebisaana kubuza muntu) anti bifaananako enkuba (emeza ebirime) ebimera byabyo nebisanyusa abalimi, oluvanyuma nebikula, olwo nno noobiraba nga byengedde, oluvanyuma nebifuuka ebisusunku naye mu bulamu obwenkomerero waliyo ebibonerezo ebikakali. (nga era bwe waliyo) ekisonyiwo n’okusiima ebiva ewa Katonda. Obulamu bwensi tebulina kye buli okugyako okuba okweyagala okugayaaza obugayaaza.

57:21

سَابِقُوٓاْ إِلَىٰ مَغۡفِرَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ وَجَنَّةٍ عَرۡضُهَا كَعَرۡضِ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ أُعِدَّتۡ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۚ ذَٰلِكَ فَضۡلُ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿21﴾

Muvuganye nga mudda eri ekisonyiwo ekiva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (era nga mudda), eri e jjana obugazi bwayo bwenkana obugazi bwe ggulu ne nsi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda nababaka be. Ebyo bigabwa bya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, era Katonda ye nnyini bigabwa ebisuffu.

57:22

مَآ أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مِّن قَبۡلِ أَن نَّبۡرَأَهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿22﴾

Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katuusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda.

57:23

لِّكَيۡلَا تَأۡسَوۡاْ عَلَىٰ مَا فَاتَكُمۡ وَلَا تَفۡرَحُواْ بِمَآ ءَاتَىٰكُمۡۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ مُخۡتَالٖ فَخُورٍ ﴿23﴾

Muleme kukubandeka mwoyo kwekyo ekiba kibasubye, era muleme kusanyuukirira olwekyo kyaba abawadde, Katonda bulijjo tayagala mwerazi omwewulize.

57:24

ٱلَّذِينَ يَبۡخَلُونَ وَيَأۡمُرُونَ ٱلنَّاسَ بِٱلۡبُخۡلِۗ وَمَن يَتَوَلَّ فَإِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿24﴾

(Abantu abo) beebo abakodowala ne bakalaatira n’abantu obukodo, oyo yenna akyuka (naava ku biragiro bya Katonda) mazima Katonda yye yaatali mwetaavu, atenderezebwa.

57:25

لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلَنَا بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَأَنزَلۡنَا مَعَهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمِيزَانَ لِيَقُومَ ٱلنَّاسُ بِٱلۡقِسۡطِۖ وَأَنزَلۡنَا ٱلۡحَدِيدَ فِيهِ بَأۡسٞ شَدِيدٞ وَمَنَٰفِعُ لِلنَّاسِ وَلِيَعۡلَمَ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥ وَرُسُلَهُۥ بِٱلۡغَيۡبِۚ إِنَّ ٱللَّهَ قَوِيٌّ عَزِيزٞ ﴿25﴾

Ddala twatuma ababaka baffe nga baleeta obunnyonnyofu netubassaako ekitabo (nga kirimu amateeka) era netubalagira okukozesa Minzaani, abantu babe nga bayimirizaawo obwenkanya, era netussa (wo) ekyuma nga kirimu amaanyi amasuffu n’emigaso (nfaafa) eri abantu, olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutaasa era nataasa ababaka be, awamu n’okuba nti (Katonda) talabwa. Mazima Katonda wa maanyi, nantakubwa ku mukono.

57:26

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحٗا وَإِبۡرَٰهِيمَ وَجَعَلۡنَا فِي ذُرِّيَّتِهِمَا ٱلنُّبُوَّةَ وَٱلۡكِتَٰبَۖ فَمِنۡهُم مُّهۡتَدٖۖ وَكَثِيرٞ مِّنۡهُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿26﴾

Mazima twatuma Nuhu ne Ibrahim netussa muzadde lyabwe bombi obwa Nabbi n’ekitabo, olwo nno mu bo mulimu omulungamu naye abasinga obungi mu bo bonoonyi.

57:27

ثُمَّ قَفَّيۡنَا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم بِرُسُلِنَا وَقَفَّيۡنَا بِعِيسَى ٱبۡنِ مَرۡيَمَ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡإِنجِيلَۖ وَجَعَلۡنَا فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُوهُ رَأۡفَةٗ وَرَحۡمَةٗۚ وَرَهۡبَانِيَّةً ٱبۡتَدَعُوهَا مَا كَتَبۡنَٰهَا عَلَيۡهِمۡ إِلَّا ٱبۡتِغَآءَ رِضۡوَٰنِ ٱللَّهِ فَمَا رَعَوۡهَا حَقَّ رِعَايَتِهَاۖ فَـَٔاتَيۡنَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنۡهُمۡ أَجۡرَهُمۡۖ وَكَثِيرٞ مِّنۡهُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿27﴾

Oluvanyuma twagobereza ku buufu bwabwe ba Nabbi baffe, kwabo twagoberezaako Isa mutabani wa Mariam, netumuwa ne Injil, era twassa mu mitima gyabo abamugoberera okulumiriganwa n'okusaasira, era bakolera ku bu sosodooti bwe baagunjaawo, tetububawandiikangako (wabula bo bwegunjirawo) mbu nga banoonya okusiima kwa Katonda, olwo nno ate tebabukolerako nga bwekyali kyetaagisa okubukolerako, kale netuwa abo abakkiriza mu bo empeera yaabwe, era abasinga obungi mu bo bonoonyi.

57:28

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَءَامِنُواْ بِرَسُولِهِۦ يُؤۡتِكُمۡ كِفۡلَيۡنِ مِن رَّحۡمَتِهِۦ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ نُورٗا تَمۡشُونَ بِهِۦ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿28﴾

Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mukkirize n’omubaka we, ajja kubawa okusaasira kwe emirundi ebiri, era abateerewo ekitangaala nga kwe mutambulira, era abasonyiwe, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo, musaasizi.

57:29

لِّئَلَّا يَعۡلَمَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَلَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَأَنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿29﴾

(Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Katonda, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda ye nanyini bigabwa ebisuffu.

58:1

قَدۡ سَمِعَ ٱللَّهُ قَوۡلَ ٱلَّتِي تُجَٰدِلُكَ فِي زَوۡجِهَا وَتَشۡتَكِيٓ إِلَى ٱللَّهِ وَٱللَّهُ يَسۡمَعُ تَحَاوُرَكُمَآۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٌ ﴿1﴾

Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba.

58:2

ٱلَّذِينَ يُظَٰهِرُونَ مِنكُم مِّن نِّسَآئِهِم مَّا هُنَّ أُمَّهَٰتِهِمۡۖ إِنۡ أُمَّهَٰتُهُمۡ إِلَّا ٱلَّـٰٓـِٔي وَلَدۡنَهُمۡۚ وَإِنَّهُمۡ لَيَقُولُونَ مُنكَرٗا مِّنَ ٱلۡقَوۡلِ وَزُورٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ ﴿2﴾

Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa.

58:3

وَٱلَّذِينَ يُظَٰهِرُونَ مِن نِّسَآئِهِمۡ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا قَالُواْ فَتَحۡرِيرُ رَقَبَةٖ مِّن قَبۡلِ أَن يَتَمَآسَّاۚ ذَٰلِكُمۡ تُوعَظُونَ بِهِۦۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿3﴾

Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Katonda amanyi nnyo byonna byemukola.

58:4

فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ شَهۡرَيۡنِ مُتَتَابِعَيۡنِ مِن قَبۡلِ أَن يَتَمَآسَّاۖ فَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ فَإِطۡعَامُ سِتِّينَ مِسۡكِينٗاۚ ذَٰلِكَ لِتُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۗ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿4﴾

Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Katonda n'omubakawe, ago mateeka g'aKatonda era bulijjo abawakanya amateeka g'a Katonda bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma.

58:5

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحَآدُّونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ كُبِتُواْ كَمَا كُبِتَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ وَقَدۡ أَنزَلۡنَآ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۚ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿5﴾

Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa.

58:6

يَوۡمَ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ جَمِيعٗا فَيُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوٓاْۚ أَحۡصَىٰهُ ٱللَّهُ وَنَسُوهُۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ ﴿6﴾

Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Katonda yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Katonda mujulizi ku buli kintu.

58:7

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ مَا يَكُونُ مِن نَّجۡوَىٰ ثَلَٰثَةٍ إِلَّا هُوَ رَابِعُهُمۡ وَلَا خَمۡسَةٍ إِلَّا هُوَ سَادِسُهُمۡ وَلَآ أَدۡنَىٰ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡثَرَ إِلَّا هُوَ مَعَهُمۡ أَيۡنَ مَا كَانُواْۖ ثُمَّ يُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُواْ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٌ ﴿7﴾

Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga tewali kafubo konna kakabe k'abasatu okugyako nga yye waakuna, wadde ak'abataano okugyako nga yye w'amukaaga wadde abatono abatenkana basatu oba abali waggulu w'omukaaga okugyako Katonda aba nabo awo wonna webali, oluvanyuma Katonda ku lunaku lw’enkomerero agenda kubategeeza ebyo byonna byebaali bakola. Anti Katonda amanyi buli kintu kyonna.

58:8

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ نُهُواْ عَنِ ٱلنَّجۡوَىٰ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا نُهُواْ عَنۡهُ وَيَتَنَٰجَوۡنَ بِٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِ وَمَعۡصِيَتِ ٱلرَّسُولِۖ وَإِذَا جَآءُوكَ حَيَّوۡكَ بِمَا لَمۡ يُحَيِّكَ بِهِ ٱللَّهُ وَيَقُولُونَ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ لَوۡلَا يُعَذِّبُنَا ٱللَّهُ بِمَا نَقُولُۚ حَسۡبُهُمۡ جَهَنَّمُ يَصۡلَوۡنَهَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿8﴾

Abaffe tolaba abo abagaanibwa okukola obufubo (obwenkwe) oluvanyuma ne baddamu ekyo kyenyini ekyabagaanibwa, nga bogeraganya wakati waabwe mu nkukutu olw'okukola ebikyamu n'obulabe n'okujeemera omubaka. Era nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n'ekiramuso ekitali ekyo Katonda kyeyakutekerawo, nga bwe bagamba mu mitima gyaabwe nti lwaki Katonda tatubonereza olwebyo byetwogera. Omuliro Jahannama gwebagenda okuyingira gubamala. Nayo nno nkomerero mbi.

58:9

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا تَنَٰجَيۡتُمۡ فَلَا تَتَنَٰجَوۡاْ بِٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِ وَمَعۡصِيَتِ ٱلرَّسُولِ وَتَنَٰجَوۡاْ بِٱلۡبِرِّ وَٱلتَّقۡوَىٰۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِيٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿9﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe mubanga muteesa mu kyama temuteesanga okukola ekibi kyonna oba obulabe oba okujeemera omubaka. Muteesenga byakukola bulungi nakutya Katonda. Era mutye Katonda anti gyali gyemugenda okukunganyirizibwa.

58:10

إِنَّمَا ٱلنَّجۡوَىٰ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ لِيَحۡزُنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَيۡسَ بِضَآرِّهِمۡ شَيۡـًٔا إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿10﴾

Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka.

58:11

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَكُمۡ تَفَسَّحُواْ فِي ٱلۡمَجَٰلِسِ فَٱفۡسَحُواْ يَفۡسَحِ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَإِذَا قِيلَ ٱنشُزُواْ فَٱنشُزُواْ يَرۡفَعِ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ دَرَجَٰتٖۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿11﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Katonda ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola.

58:12

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نَٰجَيۡتُمُ ٱلرَّسُولَ فَقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَةٗۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لَّكُمۡ وَأَطۡهَرُۚ فَإِن لَّمۡ تَجِدُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿12﴾

Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa.

58:13

ءَأَشۡفَقۡتُمۡ أَن تُقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَٰتٖۚ فَإِذۡ لَمۡ تَفۡعَلُواْ وَتَابَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿13﴾

Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola.