quranm◉

Juz 13 ۞وَمَآ أُبَرِّئُ نَفۡسِيٓۚ إِنَّ

Range
from 12:53 to 14:52
Surahs covered
Okuvvuunula
154 Okuvvuunula

◉

12:53

وَمَآ أُبَرِّئُ نَفۡسِيٓۚ إِنَّ ٱلنَّفۡسَ لَأَمَّارَةُۢ بِٱلسُّوٓءِ إِلَّا مَا رَحِمَ رَبِّيٓۚ إِنَّ رَبِّي غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿53﴾

Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.

12:54

وَقَالَ ٱلۡمَلِكُ ٱئۡتُونِي بِهِۦٓ أَسۡتَخۡلِصۡهُ لِنَفۡسِيۖ فَلَمَّا كَلَّمَهُۥ قَالَ إِنَّكَ ٱلۡيَوۡمَ لَدَيۡنَا مَكِينٌ أَمِينٞ ﴿54﴾

Kabaka naagamba nti mumundeetere, mwekomye, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa.

12:55

قَالَ ٱجۡعَلۡنِي عَلَىٰ خَزَآئِنِ ٱلۡأَرۡضِۖ إِنِّي حَفِيظٌ عَلِيمٞ ﴿55﴾

(Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo.

12:56

وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَتَبَوَّأُ مِنۡهَا حَيۡثُ يَشَآءُۚ نُصِيبُ بِرَحۡمَتِنَا مَن نَّشَآءُۖ وَلَا نُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿56﴾

Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi.

12:57

وَلَأَجۡرُ ٱلۡأٓخِرَةِ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَكَانُواْ يَتَّقُونَ ﴿57﴾

Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda.

12:58

وَجَآءَ إِخۡوَةُ يُوسُفَ فَدَخَلُواْ عَلَيۡهِ فَعَرَفَهُمۡ وَهُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ ﴿58﴾

Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera.

12:59

وَلَمَّا جَهَّزَهُم بِجَهَازِهِمۡ قَالَ ٱئۡتُونِي بِأَخٖ لَّكُم مِّنۡ أَبِيكُمۡۚ أَلَا تَرَوۡنَ أَنِّيٓ أُوفِي ٱلۡكَيۡلَ وَأَنَا۠ خَيۡرُ ٱلۡمُنزِلِينَ ﴿59﴾

Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi!.

12:60

فَإِن لَّمۡ تَأۡتُونِي بِهِۦ فَلَا كَيۡلَ لَكُمۡ عِندِي وَلَا تَقۡرَبُونِ ﴿60﴾

Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga.

12:61

قَالُواْ سَنُرَٰوِدُ عَنۡهُ أَبَاهُ وَإِنَّا لَفَٰعِلُونَ ﴿61﴾

Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola.

12:62

وَقَالَ لِفِتۡيَٰنِهِ ٱجۡعَلُواْ بِضَٰعَتَهُمۡ فِي رِحَالِهِمۡ لَعَلَّهُمۡ يَعۡرِفُونَهَآ إِذَا ٱنقَلَبُوٓاْ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمۡ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿62﴾

(Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda.

12:63

فَلَمَّا رَجَعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَبِيهِمۡ قَالُواْ يَـٰٓأَبَانَا مُنِعَ مِنَّا ٱلۡكَيۡلُ فَأَرۡسِلۡ مَعَنَآ أَخَانَا نَكۡتَلۡ وَإِنَّا لَهُۥ لَحَٰفِظُونَ ﴿63﴾

Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma.

12:64

قَالَ هَلۡ ءَامَنُكُمۡ عَلَيۡهِ إِلَّا كَمَآ أَمِنتُكُمۡ عَلَىٰٓ أَخِيهِ مِن قَبۡلُ فَٱللَّهُ خَيۡرٌ حَٰفِظٗاۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿64﴾

Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna.

12:65

وَلَمَّا فَتَحُواْ مَتَٰعَهُمۡ وَجَدُواْ بِضَٰعَتَهُمۡ رُدَّتۡ إِلَيۡهِمۡۖ قَالُواْ يَـٰٓأَبَانَا مَا نَبۡغِيۖ هَٰذِهِۦ بِضَٰعَتُنَا رُدَّتۡ إِلَيۡنَاۖ وَنَمِيرُ أَهۡلَنَا وَنَحۡفَظُ أَخَانَا وَنَزۡدَادُ كَيۡلَ بَعِيرٖۖ ذَٰلِكَ كَيۡلٞ يَسِيرٞ ﴿65﴾

Bwe baasumulula emigugu gya bwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna.

12:66

قَالَ لَنۡ أُرۡسِلَهُۥ مَعَكُمۡ حَتَّىٰ تُؤۡتُونِ مَوۡثِقٗا مِّنَ ٱللَّهِ لَتَأۡتُنَّنِي بِهِۦٓ إِلَّآ أَن يُحَاطَ بِكُمۡۖ فَلَمَّآ ءَاتَوۡهُ مَوۡثِقَهُمۡ قَالَ ٱللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٞ ﴿66﴾

Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Katonda nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.

12:67

وَقَالَ يَٰبَنِيَّ لَا تَدۡخُلُواْ مِنۢ بَابٖ وَٰحِدٖ وَٱدۡخُلُواْ مِنۡ أَبۡوَٰبٖ مُّتَفَرِّقَةٖۖ وَمَآ أُغۡنِي عَنكُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍۖ إِنِ ٱلۡحُكۡمُ إِلَّا لِلَّهِۖ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُۖ وَعَلَيۡهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿67﴾

Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga.

12:68

وَلَمَّا دَخَلُواْ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَهُمۡ أَبُوهُم مَّا كَانَ يُغۡنِي عَنۡهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍ إِلَّا حَاجَةٗ فِي نَفۡسِ يَعۡقُوبَ قَضَىٰهَاۚ وَإِنَّهُۥ لَذُو عِلۡمٖ لِّمَا عَلَّمۡنَٰهُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿68﴾

Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

12:69

وَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَىٰ يُوسُفَ ءَاوَىٰٓ إِلَيۡهِ أَخَاهُۖ قَالَ إِنِّيٓ أَنَا۠ أَخُوكَ فَلَا تَبۡتَئِسۡ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿69﴾

Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga.

12:70

فَلَمَّا جَهَّزَهُم بِجَهَازِهِمۡ جَعَلَ ٱلسِّقَايَةَ فِي رَحۡلِ أَخِيهِ ثُمَّ أَذَّنَ مُؤَذِّنٌ أَيَّتُهَا ٱلۡعِيرُ إِنَّكُمۡ لَسَٰرِقُونَ ﴿70﴾

Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi.

12:71

قَالُواْ وَأَقۡبَلُواْ عَلَيۡهِم مَّاذَا تَفۡقِدُونَ ﴿71﴾

Nebagamba nga boolekedde bali (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko.

12:72

قَالُواْ نَفۡقِدُ صُوَاعَ ٱلۡمَلِكِ وَلِمَن جَآءَ بِهِۦ حِمۡلُ بَعِيرٖ وَأَنَا۠ بِهِۦ زَعِيمٞ ﴿72﴾

Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa empeera ey'etikkibwa e ngamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde.

12:73

قَالُواْ تَٱللَّهِ لَقَدۡ عَلِمۡتُم مَّا جِئۡنَا لِنُفۡسِدَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كُنَّا سَٰرِقِينَ ﴿73﴾

Nebagamba nti tulayira Katonda mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi.

12:74

قَالُواْ فَمَا جَزَـٰٓؤُهُۥٓ إِن كُنتُمۡ كَٰذِبِينَ ﴿74﴾

Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba?.

12:75

قَالُواْ جَزَـٰٓؤُهُۥ مَن وُجِدَ فِي رَحۡلِهِۦ فَهُوَ جَزَـٰٓؤُهُۥۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿75﴾

Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi.

12:76

فَبَدَأَ بِأَوۡعِيَتِهِمۡ قَبۡلَ وِعَآءِ أَخِيهِ ثُمَّ ٱسۡتَخۡرَجَهَا مِن وِعَآءِ أَخِيهِۚ كَذَٰلِكَ كِدۡنَا لِيُوسُفَۖ مَا كَانَ لِيَأۡخُذَ أَخَاهُ فِي دِينِ ٱلۡمَلِكِ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ نَرۡفَعُ دَرَجَٰتٖ مَّن نَّشَآءُۗ وَفَوۡقَ كُلِّ ذِي عِلۡمٍ عَلِيمٞ ﴿76﴾

(Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako).

12:77

قَالُوٓاْ إِن يَسۡرِقۡ فَقَدۡ سَرَقَ أَخٞ لَّهُۥ مِن قَبۡلُۚ فَأَسَرَّهَا يُوسُفُ فِي نَفۡسِهِۦ وَلَمۡ يُبۡدِهَا لَهُمۡۚ قَالَ أَنتُمۡ شَرّٞ مَّكَانٗاۖ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَصِفُونَ ﴿77﴾

Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera.

12:78

قَالُواْ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡعَزِيزُ إِنَّ لَهُۥٓ أَبٗا شَيۡخٗا كَبِيرٗا فَخُذۡ أَحَدَنَا مَكَانَهُۥٓۖ إِنَّا نَرَىٰكَ مِنَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿78﴾

Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi.

12:79

قَالَ مَعَاذَ ٱللَّهِ أَن نَّأۡخُذَ إِلَّا مَن وَجَدۡنَا مَتَٰعَنَا عِندَهُۥٓ إِنَّآ إِذٗا لَّظَٰلِمُونَ ﴿79﴾

(Yusuf) naagamba nti Katonda akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi.

12:80

فَلَمَّا ٱسۡتَيۡـَٔسُواْ مِنۡهُ خَلَصُواْ نَجِيّٗاۖ قَالَ كَبِيرُهُمۡ أَلَمۡ تَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ أَبَاكُمۡ قَدۡ أَخَذَ عَلَيۡكُم مَّوۡثِقٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَمِن قَبۡلُ مَا فَرَّطتُمۡ فِي يُوسُفَۖ فَلَنۡ أَبۡرَحَ ٱلۡأَرۡضَ حَتَّىٰ يَأۡذَنَ لِيٓ أَبِيٓ أَوۡ يَحۡكُمَ ٱللَّهُ لِيۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡحَٰكِمِينَ ﴿80﴾

Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Katonda ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna.

12:81

ٱرۡجِعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَبِيكُمۡ فَقُولُواْ يَـٰٓأَبَانَآ إِنَّ ٱبۡنَكَ سَرَقَ وَمَا شَهِدۡنَآ إِلَّا بِمَا عَلِمۡنَا وَمَا كُنَّا لِلۡغَيۡبِ حَٰفِظِينَ ﴿81﴾

Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu.

12:82

وَسۡـَٔلِ ٱلۡقَرۡيَةَ ٱلَّتِي كُنَّا فِيهَا وَٱلۡعِيرَ ٱلَّتِيٓ أَقۡبَلۡنَا فِيهَاۖ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ ﴿82﴾

Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima.

12:83

قَالَ بَلۡ سَوَّلَتۡ لَكُمۡ أَنفُسُكُمۡ أَمۡرٗاۖ فَصَبۡرٞ جَمِيلٌۖ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَأۡتِيَنِي بِهِمۡ جَمِيعًاۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿83﴾

(Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga.

12:84

وَتَوَلَّىٰ عَنۡهُمۡ وَقَالَ يَـٰٓأَسَفَىٰ عَلَىٰ يُوسُفَ وَٱبۡيَضَّتۡ عَيۡنَاهُ مِنَ ٱلۡحُزۡنِ فَهُوَ كَظِيمٞ ﴿84﴾

Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu.

12:85

قَالُواْ تَٱللَّهِ تَفۡتَؤُاْ تَذۡكُرُ يُوسُفَ حَتَّىٰ تَكُونَ حَرَضًا أَوۡ تَكُونَ مِنَ ٱلۡهَٰلِكِينَ ﴿85﴾

Nebagamba nti amazima ga Katonda era okyajjukira Yusuf okutuusa lwokonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa!.

12:86

قَالَ إِنَّمَآ أَشۡكُواْ بَثِّي وَحُزۡنِيٓ إِلَى ٱللَّهِ وَأَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿86﴾

Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi.

12:87

يَٰبَنِيَّ ٱذۡهَبُواْ فَتَحَسَّسُواْ مِن يُوسُفَ وَأَخِيهِ وَلَا تَاْيۡـَٔسُواْ مِن رَّوۡحِ ٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ لَا يَاْيۡـَٔسُ مِن رَّوۡحِ ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿87﴾

Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Katonda okugyako abantu abakaafiiri.

12:88

فَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَيۡهِ قَالُواْ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡعَزِيزُ مَسَّنَا وَأَهۡلَنَا ٱلضُّرُّ وَجِئۡنَا بِبِضَٰعَةٖ مُّزۡجَىٰةٖ فَأَوۡفِ لَنَا ٱلۡكَيۡلَ وَتَصَدَّقۡ عَلَيۡنَآۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَجۡزِي ٱلۡمُتَصَدِّقِينَ ﴿88﴾

Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka.

12:89

قَالَ هَلۡ عَلِمۡتُم مَّا فَعَلۡتُم بِيُوسُفَ وَأَخِيهِ إِذۡ أَنتُمۡ جَٰهِلُونَ ﴿89﴾

(Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira).

12:90

قَالُوٓاْ أَءِنَّكَ لَأَنتَ يُوسُفُۖ قَالَ أَنَا۠ يُوسُفُ وَهَٰذَآ أَخِيۖ قَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَآۖ إِنَّهُۥ مَن يَتَّقِ وَيَصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿90﴾

Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi.

12:91

قَالُواْ تَٱللَّهِ لَقَدۡ ءَاثَرَكَ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا وَإِن كُنَّا لَخَٰطِـِٔينَ ﴿91﴾

Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya.

12:92

قَالَ لَا تَثۡرِيبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَۖ يَغۡفِرُ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿92﴾

Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna.

12:93

ٱذۡهَبُواْ بِقَمِيصِي هَٰذَا فَأَلۡقُوهُ عَلَىٰ وَجۡهِ أَبِي يَأۡتِ بَصِيرٗا وَأۡتُونِي بِأَهۡلِكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿93﴾

Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna.

12:94

وَلَمَّا فَصَلَتِ ٱلۡعِيرُ قَالَ أَبُوهُمۡ إِنِّي لَأَجِدُ رِيحَ يُوسُفَۖ لَوۡلَآ أَن تُفَنِّدُونِ ﴿94﴾

Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza.

12:95

قَالُواْ تَٱللَّهِ إِنَّكَ لَفِي ضَلَٰلِكَ ٱلۡقَدِيمِ ﴿95﴾

Nebagamba nti tulayira Katonda mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda.

12:96

فَلَمَّآ أَن جَآءَ ٱلۡبَشِيرُ أَلۡقَىٰهُ عَلَىٰ وَجۡهِهِۦ فَٱرۡتَدَّ بَصِيرٗاۖ قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿96﴾

Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi.

12:97

قَالُواْ يَـٰٓأَبَانَا ٱسۡتَغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَآ إِنَّا كُنَّا خَٰطِـِٔينَ ﴿97﴾

Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Katonda atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya.

12:98

قَالَ سَوۡفَ أَسۡتَغۡفِرُ لَكُمۡ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿98﴾

Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.

12:99

فَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَىٰ يُوسُفَ ءَاوَىٰٓ إِلَيۡهِ أَبَوَيۡهِ وَقَالَ ٱدۡخُلُواْ مِصۡرَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ ﴿99﴾

Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde.

12:100

وَرَفَعَ أَبَوَيۡهِ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ وَخَرُّواْ لَهُۥ سُجَّدٗاۖ وَقَالَ يَـٰٓأَبَتِ هَٰذَا تَأۡوِيلُ رُءۡيَٰيَ مِن قَبۡلُ قَدۡ جَعَلَهَا رَبِّي حَقّٗاۖ وَقَدۡ أَحۡسَنَ بِيٓ إِذۡ أَخۡرَجَنِي مِنَ ٱلسِّجۡنِ وَجَآءَ بِكُم مِّنَ ٱلۡبَدۡوِ مِنۢ بَعۡدِ أَن نَّزَغَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بَيۡنِي وَبَيۡنَ إِخۡوَتِيٓۚ إِنَّ رَبِّي لَطِيفٞ لِّمَا يَشَآءُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿100﴾

Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga.

12:101

رَبِّ قَدۡ ءَاتَيۡتَنِي مِنَ ٱلۡمُلۡكِ وَعَلَّمۡتَنِي مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِۚ فَاطِرَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ أَنتَ وَلِيِّۦ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۖ تَوَفَّنِي مُسۡلِمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿101﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi.

12:102

ذَٰلِكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهِ إِلَيۡكَۖ وَمَا كُنتَ لَدَيۡهِمۡ إِذۡ أَجۡمَعُوٓاْ أَمۡرَهُمۡ وَهُمۡ يَمۡكُرُونَ ﴿102﴾

Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammad) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe.

12:103

وَمَآ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ وَلَوۡ حَرَصۡتَ بِمُؤۡمِنِينَ ﴿103﴾

Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza.

12:104

وَمَا تَسۡـَٔلُهُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿104﴾

Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde.

12:105

وَكَأَيِّن مِّنۡ ءَايَةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ يَمُرُّونَ عَلَيۡهَا وَهُمۡ عَنۡهَا مُعۡرِضُونَ ﴿105﴾

Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako.

12:106

وَمَا يُؤۡمِنُ أَكۡثَرُهُم بِٱللَّهِ إِلَّا وَهُم مُّشۡرِكُونَ ﴿106﴾

Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Katonda okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala.

12:107

أَفَأَمِنُوٓاْ أَن تَأۡتِيَهُمۡ غَٰشِيَةٞ مِّنۡ عَذَابِ ٱللَّهِ أَوۡ تَأۡتِيَهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿107﴾

Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Katonda oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde.

12:108

قُلۡ هَٰذِهِۦ سَبِيلِيٓ أَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِۚ عَلَىٰ بَصِيرَةٍ أَنَا۠ وَمَنِ ٱتَّبَعَنِيۖ وَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿108﴾

Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Katonda, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Katonda yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala.

12:109

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِم مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡقُرَىٰٓۗ أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۗ وَلَدَارُ ٱلۡأٓخِرَةِ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿109﴾

Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, e nyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera!.

12:110

حَتَّىٰٓ إِذَا ٱسۡتَيۡـَٔسَ ٱلرُّسُلُ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ قَدۡ كُذِبُواْ جَآءَهُمۡ نَصۡرُنَا فَنُجِّيَ مَن نَّشَآءُۖ وَلَا يُرَدُّ بَأۡسُنَا عَنِ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿110﴾

(Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa.

12:111

لَقَدۡ كَانَ فِي قَصَصِهِمۡ عِبۡرَةٞ لِّأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِۗ مَا كَانَ حَدِيثٗا يُفۡتَرَىٰ وَلَٰكِن تَصۡدِيقَ ٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَتَفۡصِيلَ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿111﴾

13:1

الٓمٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِۗ وَٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ ٱلۡحَقُّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿1﴾

Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kur’ani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza.

13:2

ٱللَّهُ ٱلَّذِي رَفَعَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ بِغَيۡرِ عَمَدٖ تَرَوۡنَهَاۖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَ يُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُم بِلِقَآءِ رَبِّكُمۡ تُوقِنُونَ ﴿2﴾

Katonda yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe.

13:3

وَهُوَ ٱلَّذِي مَدَّ ٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۡهَٰرٗاۖ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ جَعَلَ فِيهَا زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ يُغۡشِي ٱلَّيۡلَ ٱلنَّهَارَۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿3﴾

Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.

13:4

وَفِي ٱلۡأَرۡضِ قِطَعٞ مُّتَجَٰوِرَٰتٞ وَجَنَّـٰتٞ مِّنۡ أَعۡنَٰبٖ وَزَرۡعٞ وَنَخِيلٞ صِنۡوَانٞ وَغَيۡرُ صِنۡوَانٖ يُسۡقَىٰ بِمَآءٖ وَٰحِدٖ وَنُفَضِّلُ بَعۡضَهَا عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلۡأُكُلِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿4﴾

Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi.

13:5

وَإِن تَعۡجَبۡ فَعَجَبٞ قَوۡلُهُمۡ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبًا أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَاقِهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿5﴾

Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.

13:6

وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلسَّيِّئَةِ قَبۡلَ ٱلۡحَسَنَةِ وَقَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهِمُ ٱلۡمَثُلَٰتُۗ وَإِنَّ رَبَّكَ لَذُو مَغۡفِرَةٖ لِّلنَّاسِ عَلَىٰ ظُلۡمِهِمۡۖ وَإِنَّ رَبَّكَ لَشَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿6﴾

Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo.

13:7

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ ءَايَةٞ مِّن رَّبِّهِۦٓۗ إِنَّمَآ أَنتَ مُنذِرٞۖ وَلِكُلِّ قَوۡمٍ هَادٍ ﴿7﴾

Era abo abaakaafuwala bagamba nti: singa aweebwa eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe (wabula) mazima ddala ggwe oli mutiisa. Anti bulijjo buli bantu balina omulungamya waabwe.

13:8

ٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَحۡمِلُ كُلُّ أُنثَىٰ وَمَا تَغِيضُ ٱلۡأَرۡحَامُ وَمَا تَزۡدَادُۚ وَكُلُّ شَيۡءٍ عِندَهُۥ بِمِقۡدَارٍ ﴿8﴾

Katonda amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Katonda kikolera ku kigero (ekyakiweebwa).

13:9

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡكَبِيرُ ٱلۡمُتَعَالِ ﴿9﴾

Amanyi ebyekusifu n'ebirabwako, ow'ekitiibwa ennyo eyeesukulumya yekka.

13:10

سَوَآءٞ مِّنكُم مَّنۡ أَسَرَّ ٱلۡقَوۡلَ وَمَن جَهَرَ بِهِۦ وَمَنۡ هُوَ مُسۡتَخۡفِۭ بِٱلَّيۡلِ وَسَارِبُۢ بِٱلنَّهَارِ ﴿10﴾

Kye kimu (ewa Katonda) mu mmwe oyo aba akweese, ekigambo n'oyo akyatula, n'oyo akukuta ekiro, n'oyo assa ebibye mu musana.

13:11

لَهُۥ مُعَقِّبَٰتٞ مِّنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ يَحۡفَظُونَهُۥ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُغَيِّرُ مَا بِقَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡۗ وَإِذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِقَوۡمٖ سُوٓءٗا فَلَا مَرَدَّ لَهُۥۚ وَمَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَالٍ ﴿11﴾

(Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna.

13:12

هُوَ ٱلَّذِي يُرِيكُمُ ٱلۡبَرۡقَ خَوۡفٗا وَطَمَعٗا وَيُنشِئُ ٱلسَّحَابَ ٱلثِّقَالَ ﴿12﴾

Yye yooyo abalaga ekimyanso waggulu ne muba mu kutya ate nemuba nga muyaayaanira (enkuba), era yassaawo ebire ebizito ebitonnyesa enkuba.

13:13

وَيُسَبِّحُ ٱلرَّعۡدُ بِحَمۡدِهِۦ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ مِنۡ خِيفَتِهِۦ وَيُرۡسِلُ ٱلصَّوَٰعِقَ فَيُصِيبُ بِهَا مَن يَشَآءُ وَهُمۡ يُجَٰدِلُونَ فِي ٱللَّهِ وَهُوَ شَدِيدُ ٱلۡمِحَالِ ﴿13﴾

Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Katonda nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Katonda amaanyige masuffu.

13:14

لَهُۥ دَعۡوَةُ ٱلۡحَقِّۚ وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ لَا يَسۡتَجِيبُونَ لَهُم بِشَيۡءٍ إِلَّا كَبَٰسِطِ كَفَّيۡهِ إِلَى ٱلۡمَآءِ لِيَبۡلُغَ فَاهُ وَمَا هُوَ بِبَٰلِغِهِۦۚ وَمَا دُعَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ ﴿14﴾

Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye, bo abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze.

13:15

وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ طَوۡعٗا وَكَرۡهٗا وَظِلَٰلُهُم بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ۩ ﴿15﴾

Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Katonda mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo).

13:16

قُلۡ مَن رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ قُلِ ٱللَّهُۚ قُلۡ أَفَٱتَّخَذۡتُم مِّن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ لَا يَمۡلِكُونَ لِأَنفُسِهِمۡ نَفۡعٗا وَلَا ضَرّٗاۚ قُلۡ هَلۡ يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ أَمۡ هَلۡ تَسۡتَوِي ٱلظُّلُمَٰتُ وَٱلنُّورُۗ أَمۡ جَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ خَلَقُواْ كَخَلۡقِهِۦ فَتَشَٰبَهَ ٱلۡخَلۡقُ عَلَيۡهِمۡۚ قُلِ ٱللَّهُ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُوَ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّـٰرُ ﴿16﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Katonda ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Katonda bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa.

13:17

أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَسَالَتۡ أَوۡدِيَةُۢ بِقَدَرِهَا فَٱحۡتَمَلَ ٱلسَّيۡلُ زَبَدٗا رَّابِيٗاۖ وَمِمَّا يُوقِدُونَ عَلَيۡهِ فِي ٱلنَّارِ ٱبۡتِغَآءَ حِلۡيَةٍ أَوۡ مَتَٰعٖ زَبَدٞ مِّثۡلُهُۥۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡحَقَّ وَٱلۡبَٰطِلَۚ فَأَمَّا ٱلزَّبَدُ فَيَذۡهَبُ جُفَآءٗۖ وَأَمَّا مَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ فَيَمۡكُثُ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَالَ ﴿17﴾

Atonnyesa enkuba okuva waggulu, amazzi negakulukutira mu nsenyi okusinziira ku bunene bwazo, Mukama naaleeta ebisejja nga bibimbye ate ekifaananyi ekirala ebintu bye bakumako omuliro olw'okwagala okufunamu eby'okwewunda oba eby'okukozesa, mu kukola ekyo namwo muvaamu ebisejja nga biri, bwa tyo Katonda bwa lambika amazima n'obwonoonefu wabula byo ebisejja bifuuka kasasiro, wabula kyo ekigasa abantu kisigala mu ttaka. Bwa tyo Katonda bwakuba ebifaananyi.

13:18

لِلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِرَبِّهِمُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَٱلَّذِينَ لَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُۥ لَوۡ أَنَّ لَهُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا وَمِثۡلَهُۥ مَعَهُۥ لَٱفۡتَدَوۡاْ بِهِۦٓۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ سُوٓءُ ٱلۡحِسَابِ وَمَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿18﴾

Abo abanaayanukula Mukama omulabirizi waabwe balina okufuna obulungi, naye abo abataamwanukule ebiri mu nsi yonna ne bwe byandibadde bya bwe nga balina n'ebirala ebibifaanana awamu nabiri bandyenunudde nabyo (ku lunaku lw'enkomerero), abonno balifuna okubalibwa okubi era omuliro Jahannama bwe buliba obuddo bwa bwe era bwe buliri obusinga obubi.

13:19

أَفَمَن يَعۡلَمُ أَنَّمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ ٱلۡحَقُّ كَمَنۡ هُوَ أَعۡمَىٰٓۚ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿19﴾

Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira.

13:20

ٱلَّذِينَ يُوفُونَ بِعَهۡدِ ٱللَّهِ وَلَا يَنقُضُونَ ٱلۡمِيثَٰقَ ﴿20﴾

(Aba magezi) beebo abatuukiriza endagaano za Katonda nebatamenya bweyamo.

13:21

وَٱلَّذِينَ يَصِلُونَ مَآ أَمَرَ ٱللَّهُ بِهِۦٓ أَن يُوصَلَ وَيَخۡشَوۡنَ رَبَّهُمۡ وَيَخَافُونَ سُوٓءَ ٱلۡحِسَابِ ﴿21﴾

Era abo abayunga ekyo Katonda kyeyalagira okuyunga era ne batya ne babeera nga buli kiseera beeraliikirira Mukama omulabirizi waabwe, era ne batya okubalibwa okubi (okutaliimu kulekera kwonna).

13:22

وَٱلَّذِينَ صَبَرُواْ ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ رَبِّهِمۡ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿22﴾

Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero.

13:23

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا وَمَن صَلَحَ مِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَأَزۡوَٰجِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡۖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَدۡخُلُونَ عَلَيۡهِم مِّن كُلِّ بَابٖ ﴿23﴾

(Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango.

13:24

سَلَٰمٌ عَلَيۡكُم بِمَا صَبَرۡتُمۡۚ فَنِعۡمَ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿24﴾

(Balibagambanga) nti emirembe gibe ku mmwe olw'ebyo bye mwagumiikiriza, ekyengera ekisinga obulungi kye kifo ekyo ekirisiimwa ku nkomerero.

13:25

وَٱلَّذِينَ يَنقُضُونَ عَهۡدَ ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مِيثَٰقِهِۦ وَيَقۡطَعُونَ مَآ أَمَرَ ٱللَّهُ بِهِۦٓ أَن يُوصَلَ وَيُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمُ ٱللَّعۡنَةُ وَلَهُمۡ سُوٓءُ ٱلدَّارِ ﴿25﴾

Ate abo abamenya endagaano za Katonda oluvanyuma lw'okuzikakasa, ne bakutula ekyo Katonda kye yalagira okuyunga era ne boonoona mu nsi abo baliko ekikolimo era bagenda kuweebwa e nyumba embi (ku lunaku lw'enkomerero).

13:26

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ وَفَرِحُواْ بِٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا مَتَٰعٞ ﴿26﴾

Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu.

13:27

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ ءَايَةٞ مِّن رَّبِّهِۦۚ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِيٓ إِلَيۡهِ مَنۡ أَنَابَ ﴿27﴾

Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: singa assibwako (Nabbi Muhammad) eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe. Bagambe nti mazima Katonda abuza oyo gwaba ayagadde naalungamya okudda gyali oyo yenna eyeemenya.

13:28

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَتَطۡمَئِنُّ قُلُوبُهُم بِذِكۡرِ ٱللَّهِۗ أَلَا بِذِكۡرِ ٱللَّهِ تَطۡمَئِنُّ ٱلۡقُلُوبُ ﴿28﴾

(Abeenenya) be bo abakkiriza Katonda, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Katonda. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda.

13:29

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ طُوبَىٰ لَهُمۡ وَحُسۡنُ مَـَٔابٖ ﴿29﴾

Be bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirongoofu, bagenda kufuna okwesiima n'obuddo obulungi.

13:30

كَذَٰلِكَ أَرۡسَلۡنَٰكَ فِيٓ أُمَّةٖ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهَآ أُمَمٞ لِّتَتۡلُوَاْ عَلَيۡهِمُ ٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ وَهُمۡ يَكۡفُرُونَ بِٱلرَّحۡمَٰنِۚ قُلۡ هُوَ رَبِّي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُ وَإِلَيۡهِ مَتَابِ ﴿30﴾

Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Katonda ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, ye gwenneekwasizza era gyali gye njolekeza okwenenya kwange.

13:31

وَلَوۡ أَنَّ قُرۡءَانٗا سُيِّرَتۡ بِهِ ٱلۡجِبَالُ أَوۡ قُطِّعَتۡ بِهِ ٱلۡأَرۡضُ أَوۡ كُلِّمَ بِهِ ٱلۡمَوۡتَىٰۗ بَل لِّلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ جَمِيعًاۗ أَفَلَمۡ يَاْيۡـَٔسِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَهَدَى ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۗ وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُواْ قَارِعَةٌ أَوۡ تَحُلُّ قَرِيبٗا مِّن دَارِهِمۡ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ وَعۡدُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿31﴾

Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano.

13:32

وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَأَمۡلَيۡتُ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ ثُمَّ أَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ عِقَابِ ﴿32﴾

Era mazima ababaka bangi abaagyejebwa oluberyeberyelwo, naye nennindiriza abo abaakaafuwala, oluvanyuma nnabakwata (ggwe) olaba okubonereza kwange kwali kutya.

13:33

أَفَمَنۡ هُوَ قَآئِمٌ عَلَىٰ كُلِّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡۗ وَجَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ قُلۡ سَمُّوهُمۡۚ أَمۡ تُنَبِّـُٔونَهُۥ بِمَا لَا يَعۡلَمُ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَم بِظَٰهِرٖ مِّنَ ٱلۡقَوۡلِۗ بَلۡ زُيِّنَ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ مَكۡرُهُمۡ وَصُدُّواْ عَنِ ٱلسَّبِيلِۗ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ ﴿33﴾

Abaffe oyo alina obuyinza ku buli mwoyo olw'ebyo bye gukola (ayinza okufaanana nga oyo atali bwatyo). Abantu nebatuuka okugatta ku Katonda ebisinzibwa ebirala. Bagambe nti: muboogere (be baani) bwe kitaba ekyo muba nga abamutegeeza ebyo byatamanyi ku nsi, oba mumala gakozesa bigambo ku ngulu kwabyo (nga bwe mulaba), (wabula) ekituufu kiri nti abo abaakaafuwala enkwe zaabwe zaabalabikira okuba nga nnungi olwo nno ne baggyibwa ku kkubo. Oyo yenna Katonda gwaba abuzizza tayinza kubaako alungamya.

13:34

لَّهُمۡ عَذَابٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَقُّۖ وَمَا لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن وَاقٖ ﴿34﴾

Balina ebibonerezo mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali. Tebagenda kufuna mutaasa yenna ku Katonda.

13:35

مَّثَلُ ٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ أُكُلُهَا دَآئِمٞ وَظِلُّهَاۚ تِلۡكَ عُقۡبَى ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْۚ وَّعُقۡبَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ٱلنَّارُ ﴿35﴾

Ekifaananyi kye jjana eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda (efaanana bweti) emigga gikulukutira wansi waayo, eby'okulya byamu bya lubeerera n'ekisiikirize kyamu bwe kityo, eyo y'enkomerero yaabo abatya Katonda so nga enkomerero ya bakaafiiri muliro.

13:36

وَٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَفۡرَحُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَۖ وَمِنَ ٱلۡأَحۡزَابِ مَن يُنكِرُ بَعۡضَهُۥۚ قُلۡ إِنَّمَآ أُمِرۡتُ أَنۡ أَعۡبُدَ ٱللَّهَ وَلَآ أُشۡرِكَ بِهِۦٓۚ إِلَيۡهِ أَدۡعُواْ وَإِلَيۡهِ مَـَٔابِ ﴿36﴾

N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Katonda era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gyali era gyali yeeri obuddo bwange.

13:37

وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ حُكۡمًا عَرَبِيّٗاۚ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم بَعۡدَ مَا جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَكَ مِنَ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا وَاقٖ ﴿37﴾

Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda.

13:38

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَذُرِّيَّةٗۚ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ لِكُلِّ أَجَلٖ كِتَابٞ ﴿38﴾

Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Katonda. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda.

13:39

يَمۡحُواْ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُ وَيُثۡبِتُۖ وَعِندَهُۥٓ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ ﴿39﴾

Katonda asangulawo kyaba ayagadde, ate ebirala naabireka nga bwe yabisalawo, ekitabo ekikulu (Llawuhul – Mahfuzu) ekiwandiikibwamu ebintu byonna yakyesigaliza.

13:40

وَإِن مَّا نُرِيَنَّكَ بَعۡضَ ٱلَّذِي نَعِدُهُمۡ أَوۡ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُ وَعَلَيۡنَا ٱلۡحِسَابُ ﴿40﴾

Oba singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tukulagaanyisa oba netukutuusa ku ntuukoyo (nga tobirabye, byonna kye kimu) ggwe kyoteekwa okukola kwe kubatuusaako obubaka, kwo okubala kuli ku ffe.

13:41

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا نَأۡتِي ٱلۡأَرۡضَ نَنقُصُهَا مِنۡ أَطۡرَافِهَاۚ وَٱللَّهُ يَحۡكُمُ لَا مُعَقِّبَ لِحُكۡمِهِۦۚ وَهُوَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿41﴾

Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Katonda yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala.

13:42

وَقَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَلِلَّهِ ٱلۡمَكۡرُ جَمِيعٗاۖ يَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُ كُلُّ نَفۡسٖۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلۡكُفَّـٰرُ لِمَنۡ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿42﴾

Mazima abo abaabakulembera bakola enkwe naye nga enkwe zonna ziggwera eri Katonda, amanyi buli kyonna omuntu kyakola, abakaafiiri bagenda kumanya nti enkomerero ennungi eriba yaani.

13:43

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَسۡتَ مُرۡسَلٗاۚ قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡ وَمَنۡ عِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلۡكِتَٰبِ ﴿43﴾

Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara).

14:1

الٓرۚ كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ إِلَيۡكَ لِتُخۡرِجَ ٱلنَّاسَ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِ بِإِذۡنِ رَبِّهِمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿1﴾

Alif Laam Raa, kino kitabo twakissa gyoli obe nga oggya abantu mu kizikiza obazze mu kitangaala, ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe (obalungamye) ku kkubo lya nnantakubwa ku mukono atenderezebwa.

14:2

ٱللَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَوَيۡلٞ لِّلۡكَٰفِرِينَ مِنۡ عَذَابٖ شَدِيدٍ ﴿2﴾

Katonda oyo nannyini wa byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi. Era okubonaabona kuliba ku bakaafiiri olw'ebibonerezo ebikakali ebiribatuukako.

14:3

ٱلَّذِينَ يَسۡتَحِبُّونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا عَلَى ٱلۡأٓخِرَةِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَيَبۡغُونَهَا عِوَجًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ فِي ضَلَٰلِۭ بَعِيدٖ ﴿3﴾

Abo abakulembeza obulamu bw'ensi ku bw'enkomerero, nga bagoba abantu okubaggya ku kkubo lya Katonda era nga balyagaliza okuba ekkyamu. Abo bali mu bubuze obweyolefu.

14:4

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن رَّسُولٍ إِلَّا بِلِسَانِ قَوۡمِهِۦ لِيُبَيِّنَ لَهُمۡۖ فَيُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿4﴾

Tetutumanga Mubaka yenna okugyako mu lulimi lwa bantube, alyoke abe nga abannyonnyola (buli nsonga etegeerekeke) olwo nno Katonda abuze gwaba ayagadde era alungamye gwaba ayagadde, anti yye nga bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

14:5

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ أَنۡ أَخۡرِجۡ قَوۡمَكَ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِ وَذَكِّرۡهُم بِأَيَّىٰمِ ٱللَّهِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿5﴾

Mazima twatuma Musa n'obubonero bwaffe (netumugamba) nti: Abantu bo baggye mu bizikiza obazze eri ekitangaala, era obajjukize ennaku za Katonda, (kwe yakolera) ebintu ebiteekwa okujjukirwa mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa (Katonda) eri omugumiikiriza omwebaza owa nnamaddala.

14:6

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ أَنجَىٰكُم مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَسُومُونَكُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ وَيُذَبِّحُونَ أَبۡنَآءَكُمۡ وَيَسۡتَحۡيُونَ نِسَآءَكُمۡۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَآءٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَظِيمٞ ﴿6﴾

Era jjukira Musa bwe yagamba abantube nti mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa, bwe yabawonya abantu ba Firawo nga babakombya ku bibonyobonyo ebikakali, nga batirimbula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo abaana ba mmwe ab'obuwala, mu kukola ekyo mwalimu okugezesebwa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe.

14:7

وَإِذۡ تَأَذَّنَ رَبُّكُمۡ لَئِن شَكَرۡتُمۡ لَأَزِيدَنَّكُمۡۖ وَلَئِن كَفَرۡتُمۡ إِنَّ عَذَابِي لَشَدِيدٞ ﴿7﴾

Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali.

14:8

وَقَالَ مُوسَىٰٓ إِن تَكۡفُرُوٓاْ أَنتُمۡ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا فَإِنَّ ٱللَّهَ لَغَنِيٌّ حَمِيدٌ ﴿8﴾

Musa naagamba nti singa mmwe mukaafuwala n'abantu bonna abali mu nsi, mazima Katonda talina kye yeetaaga eri muntu yenna era yye y'atenderezebwa.

14:9

أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ نَبَؤُاْ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ قَوۡمِ نُوحٖ وَعَادٖ وَثَمُودَ وَٱلَّذِينَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ لَا يَعۡلَمُهُمۡ إِلَّا ٱللَّهُۚ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَرَدُّوٓاْ أَيۡدِيَهُمۡ فِيٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَقَالُوٓاْ إِنَّا كَفَرۡنَا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ وَإِنَّا لَفِي شَكّٖ مِّمَّا تَدۡعُونَنَآ إِلَيۡهِ مُرِيبٖ ﴿9﴾

Abaffe tegaabatuukako amawulire agakwata ku abo abaabakulembera (nga) abantu ba Nuhu, abantu ba A’di ne Thamud, n'abo abaaliwo oluvanyuma lwa bwe tewali abamanyi okugyako Katonda, ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu, nebassa emikono gya bwe ku mimwa gya bwe, era nebabagamba nti mazima ffe tetukkirizza ebyo bye muleese, era mazima ffe tuli mu kubuusabuusa okulimu okutankana ku ebyo bye mutuyita okujja gye biri.

14:10

قَالَتۡ رُسُلُهُمۡ أَفِي ٱللَّهِ شَكّٞ فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ يَدۡعُوكُمۡ لِيَغۡفِرَ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرَكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ قَالُوٓاْ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا تُرِيدُونَ أَن تَصُدُّونَا عَمَّا كَانَ يَعۡبُدُ ءَابَآؤُنَا فَأۡتُونَا بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٖ ﴿10﴾

Ababaka baabwe nebagamba nti abaffe Katonda abuusibwa buusibwa (okuba nti ali omu) omutonzi we ggulu n'ensi, abakoowoola mujje abe nga abasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abalindirize okutuusa ku kiseera ekigere. Nebagamba nti tewali kye muli wabula muli bantu nga ffe, mwagala kutuggya ku ebyo bakadde baffe bye baasinzanga, kale mutuleetere obujulizi obweyolefu.

14:11

قَالَتۡ لَهُمۡ رُسُلُهُمۡ إِن نَّحۡنُ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَمُنُّ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۖ وَمَا كَانَ لَنَآ أَن نَّأۡتِيَكُم بِسُلۡطَٰنٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿11﴾

Ababaka baabwe nebabagamba nti (ye wewaawo) tetuli kirala kyonna wabula tuli bantu nga mmwe, naye mazima Katonda ddala agabira oyo gwaba ayagadde mu baddube era tetusobola kubaleetera bujulizi okugyako, nga Katonda akkirizza. Katonda yekka, abakkiriza gwe bateekwa okwekwasa.

14:12

وَمَا لَنَآ أَلَّا نَتَوَكَّلَ عَلَى ٱللَّهِ وَقَدۡ هَدَىٰنَا سُبُلَنَاۚ وَلَنَصۡبِرَنَّ عَلَىٰ مَآ ءَاذَيۡتُمُونَاۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿12﴾

Tuyinza kwesigulaki netuteekwasa Katonda, nga ate yatulungamya mu makubo gaffe, era ddala tujja kugumiikiriza ku ngeri gye mutuyisaamu obubi, Katonda yekka abeesiga gwe bateekwa okwesiga.

14:13

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِرُسُلِهِمۡ لَنُخۡرِجَنَّكُم مِّنۡ أَرۡضِنَآ أَوۡ لَتَعُودُنَّ فِي مِلَّتِنَاۖ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ رَبُّهُمۡ لَنُهۡلِكَنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿13﴾

Era abo abaakaafuwala nebagamba ababaka baabwe nti: tujja kubagoba mu nsi yaffe, oba ssi ekyo mujja kuddira ddala mu ddiini yaffe. Mukama omulabirizi waabwe naabatumira nti ddala tujja kuzikiriza abeeyisa obubi.

14:14

وَلَنُسۡكِنَنَّكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَافَ مَقَامِي وَخَافَ وَعِيدِ ﴿14﴾

Era ddala mmwe tujja kubatebenkeza mu nsi, oluvanyuma lwa bwe, ekyo kigenda kufunibwa oyo atya okuyimirira mu maaso gange naatya n'ebitiiso byange.

14:15

وَٱسۡتَفۡتَحُواْ وَخَابَ كُلُّ جَبَّارٍ عَنِيدٖ ﴿15﴾

(Ababaka) nebasaba (Katonda) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali.

14:16

مِّن وَرَآئِهِۦ جَهَنَّمُ وَيُسۡقَىٰ مِن مَّآءٖ صَدِيدٖ ﴿16﴾

Oluvanyuma lw'ekyo (omwekuza oyo alindiriddwa) omuliro jahannama era agenda kunywesebwa amazzi ag'amasira ag'olusaayi saayi.

14:17

يَتَجَرَّعُهُۥ وَلَا يَكَادُ يُسِيغُهُۥ وَيَأۡتِيهِ ٱلۡمَوۡتُ مِن كُلِّ مَكَانٖ وَمَا هُوَ بِمَيِّتٖۖ وَمِن وَرَآئِهِۦ عَذَابٌ غَلِيظٞ ﴿17﴾

Agenda kugezaako okuganywa naye nga tagasobola, ate okufa nekumujjira nga kuva mu buli luuyi so nga ate tagenda kufa, nga ate oluvanyuma lw'ekyo alindiriddwa ebibonerezo ebizito.

14:18

مَّثَلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَرَمَادٍ ٱشۡتَدَّتۡ بِهِ ٱلرِّيحُ فِي يَوۡمٍ عَاصِفٖۖ لَّا يَقۡدِرُونَ مِمَّا كَسَبُواْ عَلَىٰ شَيۡءٖۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ ﴿18﴾

Ekifaananyi ky'abo abawakanya Mukama omulabirizi waabwe, (kiri nti) emirimu gya bwe giringa vvu erikungusiddwa empewo ku lunaku olulimu kibuyaga nga mu bye baakola byonna tebalina kye balinako buyinza okwo nno kwe kubula okwewala.

14:19

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ وَيَأۡتِ بِخَلۡقٖ جَدِيدٖ ﴿19﴾

Abaffe tolaba nti mazima Katonda eggulu omusanvu ne nsi yabitonda mu ngeri entuufu. Bwaba ayagadde abajjawo naaleeta ebitonde ebipya.

14:20

وَمَا ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ بِعَزِيزٖ ﴿20﴾

Era ekyo ku Mukama Katonda ssi kinene.

14:21

وَبَرَزُواْ لِلَّهِ جَمِيعٗا فَقَالَ ٱلضُّعَفَـٰٓؤُاْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُوٓاْ إِنَّا كُنَّا لَكُمۡ تَبَعٗا فَهَلۡ أَنتُم مُّغۡنُونَ عَنَّا مِنۡ عَذَابِ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٖۚ قَالُواْ لَوۡ هَدَىٰنَا ٱللَّهُ لَهَدَيۡنَٰكُمۡۖ سَوَآءٌ عَلَيۡنَآ أَجَزِعۡنَآ أَمۡ صَبَرۡنَا مَا لَنَا مِن مَّحِيصٖ ﴿21﴾

Bonna bagenda kweyoleka mu maaso ga Katonda. Abaali abanafu bagenda kugamba abo abeekuza mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mulina ekintu kye muyinza okutuyamba ku bibonerezo bya Katonda, nebagamba nti singa Katonda yatuluingamya twali balungamizza, kye kimu kuffe tutidde oba tugumiikirizza tetulina wa kuddukira.

14:22

وَقَالَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لَمَّا قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ إِنَّ ٱللَّهَ وَعَدَكُمۡ وَعۡدَ ٱلۡحَقِّ وَوَعَدتُّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُكُمۡۖ وَمَا كَانَ لِيَ عَلَيۡكُم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّآ أَن دَعَوۡتُكُمۡ فَٱسۡتَجَبۡتُمۡ لِيۖ فَلَا تَلُومُونِي وَلُومُوٓاْ أَنفُسَكُمۖ مَّآ أَنَا۠ بِمُصۡرِخِكُمۡ وَمَآ أَنتُم بِمُصۡرِخِيَّ إِنِّي كَفَرۡتُ بِمَآ أَشۡرَكۡتُمُونِ مِن قَبۡلُۗ إِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿22﴾

Ekigambo nga kimaze okuggwa (mu ngeri eyo) Sitane aligamba nti mazima Katonda yabalagaanyisa endagaano ey'amazima nange nembalagaanyisa, naye nembaawukanako, era sibangako na buyinza bwonna ku mmwe okugyako okuba nti nnabayita nemunnyanukula. Kale nno temunnenya, mwenenye mwekka, nze siri wa kubataasa nga na mmwe bwe mutali ba kuntaasa, mazima nze neegaanye ebyo bye mwangattamu ne Katonda oluberyeberye. Mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma.

14:23

وَأُدۡخِلَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا بِإِذۡنِ رَبِّهِمۡۖ تَحِيَّتُهُمۡ فِيهَا سَلَٰمٌ ﴿23﴾

Abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu baliyingizibwa e jjana nga emigga gikulukutira wansi waazo, bagenda kuzibeeramu olubeerera olw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe, Salaamu (mirembe) kye kiriba ekiramuso kyabwe nga bali muzo.

14:24

أَلَمۡ تَرَ كَيۡفَ ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا كَلِمَةٗ طَيِّبَةٗ كَشَجَرَةٖ طَيِّبَةٍ أَصۡلُهَا ثَابِتٞ وَفَرۡعُهَا فِي ٱلسَّمَآءِ ﴿24﴾

Abaffe tolaba engeri Katonda gye yakubamu ekifaananyi ky'ekigambo ekirungi (Lla Ilaaha Illa Llahu Muhammad Rasuulu Llah), nga kifaanana omuti omulungi nga ekikolo kyagwo kinywevu nga amatabi g'agwo gali waggulu.

14:25

تُؤۡتِيٓ أُكُلَهَا كُلَّ حِينِۭ بِإِذۡنِ رَبِّهَاۗ وَيَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَالَ لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ﴿25﴾

Guleeta eby'okulya by'agwo buli kiseera ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waagwo, era Katonda akubira abantu ebifaananyi kibasobozese okujjukira.

14:26

وَمَثَلُ كَلِمَةٍ خَبِيثَةٖ كَشَجَرَةٍ خَبِيثَةٍ ٱجۡتُثَّتۡ مِن فَوۡقِ ٱلۡأَرۡضِ مَا لَهَا مِن قَرَارٖ ﴿26﴾

Ate ekifaananyi ky'ekigambo ekibi kiringa omuti omubi ogusindulwa (nga gwamerera) ku ngulu nga tegulina wegunywerera.

14:27

يُثَبِّتُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱلۡقَوۡلِ ٱلثَّابِتِ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَيُضِلُّ ٱللَّهُ ٱلظَّـٰلِمِينَۚ وَيَفۡعَلُ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُ ﴿27﴾

Katonda anyweza abo abakkiriza olw'ekigambo ekinywevu mu bulamu obw'ensi n'obwenkomerero (mu ngeri y'emu), era naabuza abeeyisa obubi. Bulijjo Katonda, akola ekyo kyaba ayagadde.

14:28

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ بَدَّلُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ كُفۡرٗا وَأَحَلُّواْ قَوۡمَهُمۡ دَارَ ٱلۡبَوَارِ ﴿28﴾

Abaffe tolaba abo ekyengera kya Katonda abaakiwaanyisaamu obukaafiiri (olw'ekyo), nebatwala abantu ba bwe mu nyumba ey'okuzikirira.

14:29

جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَاۖ وَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ ﴿29﴾

(Nga nayo) gwe muliro Jahannama, gwe bagenda okwesogga era obwo obuddo bubi.

14:30

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِهِۦۗ قُلۡ تَمَتَّعُواْ فَإِنَّ مَصِيرَكُمۡ إِلَى ٱلنَّارِ ﴿30﴾

Nebateeka ku Katonda ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro.

14:31

قُل لِّعِبَادِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُنفِقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا بَيۡعٞ فِيهِ وَلَا خِلَٰلٌ ﴿31﴾

Gamba abaddu bange abo abakkiriza babe nga bayimirizaawo e sswala era baweeyo mu ebyo bye tubagabira (bakikole) mu kyama ne mu lwatu nga olunaku olutalibaamu bya maguzi wadde ab'emikwano telunnajja.

14:32

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجَ بِهِۦ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ رِزۡقٗا لَّكُمۡۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ لِتَجۡرِيَ فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡأَنۡهَٰرَ ﴿32﴾

Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naatonnyesa okuva waggulu, amazzi n'ameza nago ebibala nga bya kulya bya mmwe, era yabagondeza amaato okuba nga gatambulira ku nyanja ku lw'obuyinzabwe era naabagondeza emigga.

14:33

وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ دَآئِبَيۡنِۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ ﴿33﴾

Era naabagondeza enjuba n'omwezi nga byombi bitambula era naabagondeza ekiro n'omusana.

14:34

وَءَاتَىٰكُم مِّن كُلِّ مَا سَأَلۡتُمُوهُۚ وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَظَلُومٞ كَفَّارٞ ﴿34﴾

Era naabawa ekyo kyonna kye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Katonda temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera.

14:35

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ رَبِّ ٱجۡعَلۡ هَٰذَا ٱلۡبَلَدَ ءَامِنٗا وَٱجۡنُبۡنِي وَبَنِيَّ أَن نَّعۡبُدَ ٱلۡأَصۡنَامَ ﴿35﴾

Era Jjukira Ibrahim bwe yagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange ekibuga kino (Makkah) kifuule kya mirembe, onneekese n'abaana bange okuba nga tusinza amasanamu.

14:36

رَبِّ إِنَّهُنَّ أَضۡلَلۡنَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلنَّاسِۖ فَمَن تَبِعَنِي فَإِنَّهُۥ مِنِّيۖ وَمَنۡ عَصَانِي فَإِنَّكَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿36﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange mazima go gabuzizza abantu bangi, oyo yenna angoberera mazima yye aba wa mu bantu bange, ate oyo yenna anjeemera, mazima ggwe oli musonyiyi musaasizi.

14:37

رَّبَّنَآ إِنِّيٓ أَسۡكَنتُ مِن ذُرِّيَّتِي بِوَادٍ غَيۡرِ ذِي زَرۡعٍ عِندَ بَيۡتِكَ ٱلۡمُحَرَّمِ رَبَّنَا لِيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ فَٱجۡعَلۡ أَفۡـِٔدَةٗ مِّنَ ٱلنَّاسِ تَهۡوِيٓ إِلَيۡهِمۡ وَٱرۡزُقۡهُم مِّنَ ٱلثَّمَرَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡكُرُونَ ﴿37﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima nze nsenzezza abamu ku zzadde lyange mu lusenyi olutaliimu birime awali enyumba yo ey'emizizo, ayi Mukama omulabirizi waffe olwo babe, nga bayimirizaawo e sswala kale nno, fuula emitima gy'abantu egyagala okujja gye bali era obagabirire mu bibala basobole okwebaza.

14:38

رَبَّنَآ إِنَّكَ تَعۡلَمُ مَا نُخۡفِي وَمَا نُعۡلِنُۗ وَمَا يَخۡفَىٰ عَلَى ٱللَّهِ مِن شَيۡءٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ ﴿38﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe, mazima ggwe omanyi bye tukweka ne bye twolesa, ate nga tewali kintu kyonna kyekweka Katonda mu nsi wadde mu ggulu.

14:39

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي وَهَبَ لِي عَلَى ٱلۡكِبَرِ إِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَۚ إِنَّ رَبِّي لَسَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ﴿39﴾

Ebitendo bya Katonda, oyo eyampa Ismail ne Ishaka mu bukadde. Mazima Mukama omulabirizi wange awulirira ddala okusaba.

14:40

رَبِّ ٱجۡعَلۡنِي مُقِيمَ ٱلصَّلَوٰةِ وَمِن ذُرِّيَّتِيۚ رَبَّنَا وَتَقَبَّلۡ دُعَآءِ ﴿40﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo e sswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange.

14:41

رَبَّنَا ٱغۡفِرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيَّ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ يَوۡمَ يَقُومُ ٱلۡحِسَابُ ﴿41﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe onsonyiwanga ne bakadde bange bombi, n'abakkiriza ku lunaku okubala lwe kuliyimirirawo.

14:42

وَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱللَّهَ غَٰفِلًا عَمَّا يَعۡمَلُ ٱلظَّـٰلِمُونَۚ إِنَّمَا يُؤَخِّرُهُمۡ لِيَوۡمٖ تَشۡخَصُ فِيهِ ٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿42﴾

Tosuubiranga Katonda okuba nti tafaayo ku ebyo abeeyisa obubi bye bakola, anti mazima abalindiriza okutuusa olunaku amaaso lwe galilalambala lwe lulituuka.

14:43

مُهۡطِعِينَ مُقۡنِعِي رُءُوسِهِمۡ لَا يَرۡتَدُّ إِلَيۡهِمۡ طَرۡفُهُمۡۖ وَأَفۡـِٔدَتُهُمۡ هَوَآءٞ ﴿43﴾

Baliba banguyirira nga balalambazza emitwe gya bwe, nga amaaso gaabwe tegadda gye bali (kutunula ku kintu kirala) nga n'emitima gya bwe myereere.

14:44

وَأَنذِرِ ٱلنَّاسَ يَوۡمَ يَأۡتِيهِمُ ٱلۡعَذَابُ فَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ رَبَّنَآ أَخِّرۡنَآ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖ نُّجِبۡ دَعۡوَتَكَ وَنَتَّبِعِ ٱلرُّسُلَۗ أَوَلَمۡ تَكُونُوٓاْ أَقۡسَمۡتُم مِّن قَبۡلُ مَا لَكُم مِّن زَوَالٖ ﴿44﴾

Era tiisa abantu olunaku ebibonerezo lwe biribajjira, abo abeeyisa obubi nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulindirize okumala akaseera katono tusobole okwanukula okukoowoola kwo era tugoberere ababaka, (baligamba) abaffe temwalayira oluberyeberye nti temugenda kuva ku nsi.

14:45

وَسَكَنتُمۡ فِي مَسَٰكِنِ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ وَتَبَيَّنَ لَكُمۡ كَيۡفَ فَعَلۡنَا بِهِمۡ وَضَرَبۡنَا لَكُمُ ٱلۡأَمۡثَالَ ﴿45﴾

Nemusenga mu bibanja byabo abeeyisa obubi, era nekibalabikira mu lwatu, ki kye twabakola. Era tubakubidde ebifaananyi (mube nga mumatira).

14:46

وَقَدۡ مَكَرُواْ مَكۡرَهُمۡ وَعِندَ ٱللَّهِ مَكۡرُهُمۡ وَإِن كَانَ مَكۡرُهُمۡ لِتَزُولَ مِنۡهُ ٱلۡجِبَالُ ﴿46﴾

Mazima ddala bakola enkwe zaabwe naye nga enkwe zaabwe zonna ewa Katonda weziggwera, era ensozi tezibangako zaakuvaawo olw'enkwe zaabwe.

14:47

فَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱللَّهَ مُخۡلِفَ وَعۡدِهِۦ رُسُلَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٖ ﴿47﴾

Tokirowoozanga nti Katonda wa kwawukana ku ndagaanoye gye yawa ababakabe (okubataasa). Mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono alina obusobozi bw'okubonereza.

14:48

يَوۡمَ تُبَدَّلُ ٱلۡأَرۡضُ غَيۡرَ ٱلۡأَرۡضِ وَٱلسَّمَٰوَٰتُۖ وَبَرَزُواْ لِلَّهِ ٱلۡوَٰحِدِ ٱلۡقَهَّارِ ﴿48﴾

Ku lunaku ensi lwe likyusibwa neba nga tekyali nsi, nabwekityo eggulu omusanvu, (abantu bonna) ne beeyoleka ewa Katonda omu nantalemwa.

14:49

وَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ مُّقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ ﴿49﴾

Oliraba aboonoonyi ku lunaku olwo nga bagattiddwa ku mpingu.

14:50

سَرَابِيلُهُم مِّن قَطِرَانٖ وَتَغۡشَىٰ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ ﴿50﴾

Engoye zaabwe ziriba zikoleddwa mu bikwata amangu omuliro, era omuliro gulibikka ebyenyi byaabwe.

14:51

لِيَجۡزِيَ ٱللَّهُ كُلَّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿51﴾

Olwo nno Katonda abe nga asasula buli mwoyo ebyo bye gwakola, mazima Katonda mwangu mu kubala.

14:52

هَٰذَا بَلَٰغٞ لِّلنَّاسِ وَلِيُنذَرُواْ بِهِۦ وَلِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ وَلِيَذَّكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿52﴾

Kuno kutuusa (obubaka) eri abantu era babe nga balabulwa nabwo (ebyaziyizibwa), era babe nga bamanya nti mazima yye ali Katonda omu, era abalina amagezi beebuulirire.