quranm◉

Juz 15 سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِيٓ أَسۡرَىٰ بِعَبۡدِهِۦ

Range
from 17:1 to 18:74
Surahs covered
Okuvvuunula
185 Okuvvuunula

◉

17:1

سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِيٓ أَسۡرَىٰ بِعَبۡدِهِۦ لَيۡلٗا مِّنَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ إِلَى ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡأَقۡصَا ٱلَّذِي بَٰرَكۡنَا حَوۡلَهُۥ لِنُرِيَهُۥ مِنۡ ءَايَٰتِنَآۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ ﴿1﴾

. Musukkulumu nnyo oyo eyatambuza omudduwe ekiro okumuggya ku muzikiti ogw'emizizo (Makkah) naagenda ku muzikiti ogusinga okuba ogw'ewala (Jerusalemu), ogwo ebitundu ebigwetoolodde bye twawa omukisa, olwo nno tumulage obumu ku bubonero bwaffe. Mazima yye (Katonda) y'awulira ennyo alaba.

17:2

وَءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلۡنَٰهُ هُدٗى لِّبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ أَلَّا تَتَّخِذُواْ مِن دُونِي وَكِيلٗا ﴿2﴾

. Era twawa Musa ekitabo era netukifuula eky'okulungamya eri abaana ba Israil (nga mbagamba) nti nga oggyeko nze temweteerangawo omukuumi omulala yenna.

17:3

ذُرِّيَّةَ مَنۡ حَمَلۡنَا مَعَ نُوحٍۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَبۡدٗا شَكُورٗا ﴿3﴾

. (Abange mmwe) ezadde ly'abo be twatwala ne Nuhu mu lyato (mubeere nga Nuhu), mazima ye yali muddu eyeebaza.

17:4

وَقَضَيۡنَآ إِلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ لَتُفۡسِدُنَّ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَّتَيۡنِ وَلَتَعۡلُنَّ عُلُوّٗا كَبِيرٗا ﴿4﴾

. Era twasalawo ku baana ba Israil mu kitabo nti mugenda kwonoonera ddala mu nsi emirundi ebiri, era mugenda kwe kuluntaza olwekuluntaza oluyiritivu.

17:5

فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ أُولَىٰهُمَا بَعَثۡنَا عَلَيۡكُمۡ عِبَادٗا لَّنَآ أُوْلِي بَأۡسٖ شَدِيدٖ فَجَاسُواْ خِلَٰلَ ٱلدِّيَارِۚ وَكَانَ وَعۡدٗا مَّفۡعُولٗا ﴿5﴾

. Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa.

17:6

ثُمَّ رَدَدۡنَا لَكُمُ ٱلۡكَرَّةَ عَلَيۡهِمۡ وَأَمۡدَدۡنَٰكُم بِأَمۡوَٰلٖ وَبَنِينَ وَجَعَلۡنَٰكُمۡ أَكۡثَرَ نَفِيرًا ﴿6﴾

. Oluvanyuma twabaddiza mmwe amaanyi ku bo (nemubawangula) era netubawa emmaali, n'abaana era netubafuula mmwe nga mwe musinga obungi.

17:7

إِنۡ أَحۡسَنتُمۡ أَحۡسَنتُمۡ لِأَنفُسِكُمۡۖ وَإِنۡ أَسَأۡتُمۡ فَلَهَاۚ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ ٱلۡأٓخِرَةِ لِيَسُـُٔواْ وُجُوهَكُمۡ وَلِيَدۡخُلُواْ ٱلۡمَسۡجِدَ كَمَا دَخَلُوهُ أَوَّلَ مَرَّةٖ وَلِيُتَبِّرُواْ مَا عَلَوۡاْ تَتۡبِيرًا ﴿7﴾

. (Netubagamba nti) bwe mulongoosa mulongoseza myoyo gya mmwe, naye bwe mwonoona era gye mwonoonera, endagaano y'enkomerero bwelijja (tulibasindikira abantu) boonoone ebyenyi bya mmwe (babakkakkanye), era bagenda kuyingira omuzikiti (Jerusalemu) nga bwe baaguyingira omulundi ogwasooka, olwo nno bye baliba bawangudde babibetente olubetenta.

17:8

عَسَىٰ رَبُّكُمۡ أَن يَرۡحَمَكُمۡۚ وَإِنۡ عُدتُّمۡ عُدۡنَاۚ وَجَعَلۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ حَصِيرًا ﴿8﴾

. Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama omulabirizi wa mmwe okubasaasira, naye bwe muddamu naffe nga tuddamu, ate nga omuliro Jahannama twagufuula ekkomera lya bakaafiiri.

17:9

إِنَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ يَهۡدِي لِلَّتِي هِيَ أَقۡوَمُ وَيُبَشِّرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرٗا كَبِيرٗا ﴿9﴾

. Mazima Kur’ani eno erungamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu.

17:10

وَأَنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ أَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿10﴾

. Era nti mazima ddala abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabagerekera ebibonerezo ebiruma ennyo.

17:11

وَيَدۡعُ ٱلۡإِنسَٰنُ بِٱلشَّرِّ دُعَآءَهُۥ بِٱلۡخَيۡرِۖ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ عَجُولٗا ﴿11﴾

. Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu ayanguyiriza.

17:12

وَجَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ ءَايَتَيۡنِۖ فَمَحَوۡنَآ ءَايَةَ ٱلَّيۡلِ وَجَعَلۡنَآ ءَايَةَ ٱلنَّهَارِ مُبۡصِرَةٗ لِّتَبۡتَغُواْ فَضۡلٗا مِّن رَّبِّكُمۡ وَلِتَعۡلَمُواْ عَدَدَ ٱلسِّنِينَ وَٱلۡحِسَابَۚ وَكُلَّ شَيۡءٖ فَصَّلۡنَٰهُ تَفۡصِيلٗا ﴿12﴾

. Era twassaawo ekiro n'emisana, nga bubonero bubiri, olwo nno tujjawo akabonero k'ekiro netussaawo akabonero k'emisana, nekabasobozesa okulaba mulyoke musobole okumanya ebigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe, era musobole okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, era buli kintu twakinnyonnyola olunnyonnyola olumala.

17:13

وَكُلَّ إِنسَٰنٍ أَلۡزَمۡنَٰهُ طَـٰٓئِرَهُۥ فِي عُنُقِهِۦۖ وَنُخۡرِجُ لَهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ كِتَٰبٗا يَلۡقَىٰهُ مَنشُورًا ﴿13﴾

. Era buli muntu twamukakasaako emirimugye mu nsingoye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule.

17:14

ٱقۡرَأۡ كِتَٰبَكَ كَفَىٰ بِنَفۡسِكَ ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكَ حَسِيبٗا ﴿14﴾

. Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabokyo, kimala bumazi okuba nti olwa leero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala.

17:15

مَّنِ ٱهۡتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهۡتَدِي لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيۡهَاۚ وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۗ وَمَا كُنَّا مُعَذِّبِينَ حَتَّىٰ نَبۡعَثَ رَسُولٗا ﴿15﴾

. Oyo yenna alungama alungamira mwoyogwe, ate abula omwoyogwe gwaba aleetedde obuzibu bw'okubula, tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kyonoono kya mwoyo mwonoonyi mulala, era tetusobola kubonereza okugyako nga tutumye omubaka.

17:16

وَإِذَآ أَرَدۡنَآ أَن نُّهۡلِكَ قَرۡيَةً أَمَرۡنَا مُتۡرَفِيهَا فَفَسَقُواْ فِيهَا فَحَقَّ عَلَيۡهَا ٱلۡقَوۡلُ فَدَمَّرۡنَٰهَا تَدۡمِيرٗا ﴿16﴾

. Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula.

17:17

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِنَ ٱلۡقُرُونِ مِنۢ بَعۡدِ نُوحٖۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ بِذُنُوبِ عِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿17﴾

. Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuhu (nga mingi!), Mukama omulabiriziwo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo bya baddube, okuba nti amanyidde ddala alaba.

17:18

مَّن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡعَاجِلَةَ عَجَّلۡنَا لَهُۥ فِيهَا مَا نَشَآءُ لِمَن نُّرِيدُ ثُمَّ جَعَلۡنَا لَهُۥ جَهَنَّمَ يَصۡلَىٰهَا مَذۡمُومٗا مَّدۡحُورٗا ﴿18﴾

. Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Katonda).

17:19

وَمَنۡ أَرَادَ ٱلۡأٓخِرَةَ وَسَعَىٰ لَهَا سَعۡيَهَا وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَـٰٓئِكَ كَانَ سَعۡيُهُم مَّشۡكُورٗا ﴿19﴾

. Ate omuntu ayagala enkomerero era naakola ebyetaagisa ku yo, era nga mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa.

17:20

كُلّٗا نُّمِدُّ هَـٰٓؤُلَآءِ وَهَـٰٓؤُلَآءِ مِنۡ عَطَآءِ رَبِّكَۚ وَمَا كَانَ عَطَآءُ رَبِّكَ مَحۡظُورًا ﴿20﴾

. Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi).

17:21

ٱنظُرۡ كَيۡفَ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ وَلَلۡأٓخِرَةُ أَكۡبَرُ دَرَجَٰتٖ وَأَكۡبَرُ تَفۡضِيلٗا ﴿21﴾

. Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi.

17:22

لَّا تَجۡعَلۡ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَقۡعُدَ مَذۡمُومٗا مَّخۡذُولٗا ﴿22﴾

. Katonda tomussangako ba katonda balala, olwo nno nekikufuula avumirirwa aboolebwa.

17:23

وَقَضَىٰ رَبُّكَ أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّآ إِيَّاهُ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنًاۚ إِمَّا يَبۡلُغَنَّ عِندَكَ ٱلۡكِبَرَ أَحَدُهُمَآ أَوۡ كِلَاهُمَا فَلَا تَقُل لَّهُمَآ أُفّٖ وَلَا تَنۡهَرۡهُمَا وَقُل لَّهُمَا قَوۡلٗا كَرِيمٗا ﴿23﴾

. Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.

17:24

وَٱخۡفِضۡ لَهُمَا جَنَاحَ ٱلذُّلِّ مِنَ ٱلرَّحۡمَةِ وَقُل رَّبِّ ٱرۡحَمۡهُمَا كَمَا رَبَّيَانِي صَغِيرٗا ﴿24﴾

. Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.

17:25

رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا فِي نُفُوسِكُمۡۚ إِن تَكُونُواْ صَٰلِحِينَ فَإِنَّهُۥ كَانَ لِلۡأَوَّـٰبِينَ غَفُورٗا ﴿25﴾

. Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.

17:26

وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا ﴿26﴾

. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.

17:27

إِنَّ ٱلۡمُبَذِّرِينَ كَانُوٓاْ إِخۡوَٰنَ ٱلشَّيَٰطِينِۖ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِرَبِّهِۦ كَفُورٗا ﴿27﴾

. Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe.

17:28

وَإِمَّا تُعۡرِضَنَّ عَنۡهُمُ ٱبۡتِغَآءَ رَحۡمَةٖ مِّن رَّبِّكَ تَرۡجُوهَا فَقُل لَّهُمۡ قَوۡلٗا مَّيۡسُورٗا ﴿28﴾

. Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu.

17:29

وَلَا تَجۡعَلۡ يَدَكَ مَغۡلُولَةً إِلَىٰ عُنُقِكَ وَلَا تَبۡسُطۡهَا كُلَّ ٱلۡبَسۡطِ فَتَقۡعُدَ مَلُومٗا مَّحۡسُورًا ﴿29﴾

. Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.

17:30

إِنَّ رَبَّكَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿30﴾

. Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.

17:31

وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُمۡ خَشۡيَةَ إِمۡلَٰقٖۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُهُمۡ وَإِيَّاكُمۡۚ إِنَّ قَتۡلَهُمۡ كَانَ خِطۡـٔٗا كَبِيرٗا ﴿31﴾

. Era temuttanga abaana ba mmwe olw'okutya obwavu (okubalumba), ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi kiyitirivu.

17:32

وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلزِّنَىٰٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَسَآءَ سَبِيلٗا ﴿32﴾

. Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi.

17:33

وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَمَن قُتِلَ مَظۡلُومٗا فَقَدۡ جَعَلۡنَا لِوَلِيِّهِۦ سُلۡطَٰنٗا فَلَا يُسۡرِف فِّي ٱلۡقَتۡلِۖ إِنَّهُۥ كَانَ مَنصُورٗا ﴿33﴾

. Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).

17:34

وَلَا تَقۡرَبُواْ مَالَ ٱلۡيَتِيمِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ أَشُدَّهُۥۚ وَأَوۡفُواْ بِٱلۡعَهۡدِۖ إِنَّ ٱلۡعَهۡدَ كَانَ مَسۡـُٔولٗا ﴿34﴾

. Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okugyako lwa kugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwasajjakula.Era mutuukirizenga endagaano mazima endagaano yaakukubuuzibwa.

17:35

وَأَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ إِذَا كِلۡتُمۡ وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ وَأَحۡسَنُ تَأۡوِيلٗا ﴿35﴾

. Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo kye kirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi.

17:36

وَلَا تَقۡفُ مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌۚ إِنَّ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡبَصَرَ وَٱلۡفُؤَادَ كُلُّ أُوْلَـٰٓئِكَ كَانَ عَنۡهُ مَسۡـُٔولٗا ﴿36﴾

. Tewessanga ku kintu kyotalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima. Ebyo byonna buli kimu kigenda kubuuzibwa.

17:37

وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّكَ لَن تَخۡرِقَ ٱلۡأَرۡضَ وَلَن تَبۡلُغَ ٱلۡجِبَالَ طُولٗا ﴿37﴾

. Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu.

17:38

كُلُّ ذَٰلِكَ كَانَ سَيِّئُهُۥ عِندَ رَبِّكَ مَكۡرُوهٗا ﴿38﴾

. Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa ewa Mukama omulabiriziwo.

17:39

ذَٰلِكَ مِمَّآ أَوۡحَىٰٓ إِلَيۡكَ رَبُّكَ مِنَ ٱلۡحِكۡمَةِۗ وَلَا تَجۡعَلۡ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتُلۡقَىٰ فِي جَهَنَّمَ مَلُومٗا مَّدۡحُورًا ﴿39﴾

. Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda.

17:40

أَفَأَصۡفَىٰكُمۡ رَبُّكُم بِٱلۡبَنِينَ وَٱتَّخَذَ مِنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنَٰثًاۚ إِنَّكُمۡ لَتَقُولُونَ قَوۡلًا عَظِيمٗا ﴿40﴾

. (Abange mmwe abatakkiriza), Mukama omulabirizi wa mmwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate yye neyeewa abawala mu ba Malayika! mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo.

17:41

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِيَذَّكَّرُواْ وَمَا يَزِيدُهُمۡ إِلَّا نُفُورٗا ﴿41﴾

. Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima).

17:42

قُل لَّوۡ كَانَ مَعَهُۥٓ ءَالِهَةٞ كَمَا يَقُولُونَ إِذٗا لَّٱبۡتَغَوۡاْ إِلَىٰ ذِي ٱلۡعَرۡشِ سَبِيلٗا ﴿42﴾

. Bagambe (Ggwe Muhammad) singa Katonda aliko ba katonda abalala nga bwe bagamba, olwo nno (ba katonda abo) bandibadde beetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) nnyini Arish.

17:43

سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يَقُولُونَ عُلُوّٗا كَبِيرٗا ﴿43﴾

. Yeesamba naasukkuluma ebyo bye bagamba olusukkuluma olusuffu.

17:44

تُسَبِّحُ لَهُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ ٱلسَّبۡعُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهِنَّۚ وَإِن مِّن شَيۡءٍ إِلَّا يُسَبِّحُ بِحَمۡدِهِۦ وَلَٰكِن لَّا تَفۡقَهُونَ تَسۡبِيحَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ حَلِيمًا غَفُورٗا ﴿44﴾

. Ku lulwe eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendobye naye temutegeera ngeri ya kutendereza kwabyo, mazima yye bulijjo alumirwa musonyiyi.

17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿45﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

17:46

وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِذَا ذَكَرۡتَ رَبَّكَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِ وَحۡدَهُۥ وَلَّوۡاْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِمۡ نُفُورٗا ﴿46﴾

. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.

17:47

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَسۡتَمِعُونَ بِهِۦٓ إِذۡ يَسۡتَمِعُونَ إِلَيۡكَ وَإِذۡ هُمۡ نَجۡوَىٰٓ إِذۡ يَقُولُ ٱلظَّـٰلِمُونَ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلٗا مَّسۡحُورًا ﴿47﴾

. Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge.

17:48

ٱنظُرۡ كَيۡفَ ضَرَبُواْ لَكَ ٱلۡأَمۡثَالَ فَضَلُّواْ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ سَبِيلٗا ﴿48﴾

. Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi nebatuuka okubula nebatasobola kulaba kkubo (libazza eri amazima).

17:49

وَقَالُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا وَرُفَٰتًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ خَلۡقٗا جَدِيدٗا ﴿49﴾

. Era bagamba nti bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) netufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya!.

17:50

قُلۡ كُونُواْ حِجَارَةً أَوۡ حَدِيدًا ﴿50﴾

. Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa).

17:51

أَوۡ خَلۡقٗا مِّمَّا يَكۡبُرُ فِي صُدُورِكُمۡۚ فَسَيَقُولُونَ مَن يُعِيدُنَاۖ قُلِ ٱلَّذِي فَطَرَكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٖۚ فَسَيُنۡغِضُونَ إِلَيۡكَ رُءُوسَهُمۡ وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هُوَۖ قُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ قَرِيبٗا ﴿51﴾

. Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi.

17:52

يَوۡمَ يَدۡعُوكُمۡ فَتَسۡتَجِيبُونَ بِحَمۡدِهِۦ وَتَظُنُّونَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿52﴾

. (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono.

17:53

وَقُل لِّعِبَادِي يَقُولُواْ ٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ يَنزَغُ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٗا مُّبِينٗا ﴿53﴾

. Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu.

17:54

رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِكُمۡۖ إِن يَشَأۡ يَرۡحَمۡكُمۡ أَوۡ إِن يَشَأۡ يُعَذِّبۡكُمۡۚ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا ﴿54﴾

. Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bwayagala abasaasira, oba bwaba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okola ku nsonga zaabwe.

17:55

وَرَبُّكَ أَعۡلَمُ بِمَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ فَضَّلۡنَا بَعۡضَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ عَلَىٰ بَعۡضٖۖ وَءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ زَبُورٗا ﴿55﴾

. Era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa ba Nabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nabbi) Dauda Zaburi.

17:56

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِهِۦ فَلَا يَمۡلِكُونَ كَشۡفَ ٱلضُّرِّ عَنكُمۡ وَلَا تَحۡوِيلًا ﴿56﴾

. Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala

17:57

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ يَبۡتَغُونَ إِلَىٰ رَبِّهِمُ ٱلۡوَسِيلَةَ أَيُّهُمۡ أَقۡرَبُ وَيَرۡجُونَ رَحۡمَتَهُۥ وَيَخَافُونَ عَذَابَهُۥٓۚ إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ كَانَ مَحۡذُورٗا ﴿57﴾

. Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa.

17:58

وَإِن مِّن قَرۡيَةٍ إِلَّا نَحۡنُ مُهۡلِكُوهَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَوۡ مُعَذِّبُوهَا عَذَابٗا شَدِيدٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا ﴿58﴾

. Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo.

17:59

وَمَا مَنَعَنَآ أَن نُّرۡسِلَ بِٱلۡأٓيَٰتِ إِلَّآ أَن كَذَّبَ بِهَا ٱلۡأَوَّلُونَۚ وَءَاتَيۡنَا ثَمُودَ ٱلنَّاقَةَ مُبۡصِرَةٗ فَظَلَمُواْ بِهَاۚ وَمَا نُرۡسِلُ بِٱلۡأٓيَٰتِ إِلَّا تَخۡوِيفٗا ﴿59﴾

. Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okugyako okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamud engamiya nga kyamagero eky'olwatu, nebeeyisa bubi ku yo, era tewali kituweerezesa byamagero okugyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu).

17:60

وَإِذۡ قُلۡنَا لَكَ إِنَّ رَبَّكَ أَحَاطَ بِٱلنَّاسِۚ وَمَا جَعَلۡنَا ٱلرُّءۡيَا ٱلَّتِيٓ أَرَيۡنَٰكَ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلنَّاسِ وَٱلشَّجَرَةَ ٱلۡمَلۡعُونَةَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِۚ وَنُخَوِّفُهُمۡ فَمَا يَزِيدُهُمۡ إِلَّا طُغۡيَٰنٗا كَبِيرٗا ﴿60﴾

. Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama omulabiriziwo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era tetwaleeta ndooto eyo gye twakulaga okugyako olw'okugezesa abantu era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kur’ani nakyo kigezo era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku lunaku lw'enkomerero naye tebibongera okugyako okubula okuyitirivu.

17:61

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ قَالَ ءَأَسۡجُدُ لِمَنۡ خَلَقۡتَ طِينٗا ﴿61﴾

. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okugyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire oyo gwe watonda mu ttaka!.

17:62

قَالَ أَرَءَيۡتَكَ هَٰذَا ٱلَّذِي كَرَّمۡتَ عَلَيَّ لَئِنۡ أَخَّرۡتَنِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَأَحۡتَنِكَنَّ ذُرِّيَّتَهُۥٓ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿62﴾

. Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo.

17:63

قَالَ ٱذۡهَبۡ فَمَن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ فَإِنَّ جَهَنَّمَ جَزَآؤُكُمۡ جَزَآءٗ مَّوۡفُورٗا ﴿63﴾

. Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu.

17:64

وَٱسۡتَفۡزِزۡ مَنِ ٱسۡتَطَعۡتَ مِنۡهُم بِصَوۡتِكَ وَأَجۡلِبۡ عَلَيۡهِم بِخَيۡلِكَ وَرَجِلِكَ وَشَارِكۡهُمۡ فِي ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَوۡلَٰدِ وَعِدۡهُمۡۚ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿64﴾

. Era sikiriza n'eddoboozilyo oyo yenna gwoba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggyeryo eryembalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli kyoyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okugyako ebigayaaza.

17:65

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٞۚ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ وَكِيلٗا ﴿65﴾

. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi.

17:66

رَّبُّكُمُ ٱلَّذِي يُزۡجِي لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ فِي ٱلۡبَحۡرِ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِكُمۡ رَحِيمٗا ﴿66﴾

. Mukama Katonda wa mmwe yooyo abatambuliza amaato mu nyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwabye, mazima yye ku mmwe musaasizi nnyo.

17:67

وَإِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فِي ٱلۡبَحۡرِ ضَلَّ مَن تَدۡعُونَ إِلَّآ إِيَّاهُۖ فَلَمَّا نَجَّىٰكُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ أَعۡرَضۡتُمۡۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ كَفُورًا ﴿67﴾

. Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi.

17:68

أَفَأَمِنتُمۡ أَن يَخۡسِفَ بِكُمۡ جَانِبَ ٱلۡبَرِّ أَوۡ يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبٗا ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ وَكِيلًا ﴿68﴾

. Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna.

17:69

أَمۡ أَمِنتُمۡ أَن يُعِيدَكُمۡ فِيهِ تَارَةً أُخۡرَىٰ فَيُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ قَاصِفٗا مِّنَ ٱلرِّيحِ فَيُغۡرِقَكُم بِمَا كَفَرۡتُمۡ ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ عَلَيۡنَا بِهِۦ تَبِيعٗا ﴿69﴾

. Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola.

17:70

وَلَقَدۡ كَرَّمۡنَا بَنِيٓ ءَادَمَ وَحَمَلۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّمَّنۡ خَلَقۡنَا تَفۡضِيلٗا ﴿70﴾

. Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.

17:71

يَوۡمَ نَدۡعُواْ كُلَّ أُنَاسِۭ بِإِمَٰمِهِمۡۖ فَمَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَقۡرَءُونَ كِتَٰبَهُمۡ وَلَا يُظۡلَمُونَ فَتِيلٗا ﴿71﴾

. (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono.

17:72

وَمَن كَانَ فِي هَٰذِهِۦٓ أَعۡمَىٰ فَهُوَ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ أَعۡمَىٰ وَأَضَلُّ سَبِيلٗا ﴿72﴾

. Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo.

17:73

وَإِن كَادُواْ لَيَفۡتِنُونَكَ عَنِ ٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ لِتَفۡتَرِيَ عَلَيۡنَا غَيۡرَهُۥۖ وَإِذٗا لَّٱتَّخَذُوكَ خَلِيلٗا ﴿73﴾

. Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe.

17:74

وَلَوۡلَآ أَن ثَبَّتۡنَٰكَ لَقَدۡ كِدتَّ تَرۡكَنُ إِلَيۡهِمۡ شَيۡـٔٗا قَلِيلًا ﴿74﴾

. Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali.

17:75

إِذٗا لَّأَذَقۡنَٰكَ ضِعۡفَ ٱلۡحَيَوٰةِ وَضِعۡفَ ٱلۡمَمَاتِ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ عَلَيۡنَا نَصِيرٗا ﴿75﴾

. Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.

17:76

وَإِن كَادُواْ لَيَسۡتَفِزُّونَكَ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ لِيُخۡرِجُوكَ مِنۡهَاۖ وَإِذٗا لَّا يَلۡبَثُونَ خِلَٰفَكَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿76﴾

. Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono.

17:77

سُنَّةَ مَن قَدۡ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ مِن رُّسُلِنَاۖ وَلَا تَجِدُ لِسُنَّتِنَا تَحۡوِيلًا ﴿77﴾

. Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe.

17:78

أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِدُلُوكِ ٱلشَّمۡسِ إِلَىٰ غَسَقِ ٱلَّيۡلِ وَقُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِۖ إِنَّ قُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِ كَانَ مَشۡهُودٗا ﴿78﴾

. Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako.

17:79

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَتَهَجَّدۡ بِهِۦ نَافِلَةٗ لَّكَ عَسَىٰٓ أَن يَبۡعَثَكَ رَبُّكَ مَقَامٗا مَّحۡمُودٗا ﴿79﴾

. Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa.

17:80

وَقُل رَّبِّ أَدۡخِلۡنِي مُدۡخَلَ صِدۡقٖ وَأَخۡرِجۡنِي مُخۡرَجَ صِدۡقٖ وَٱجۡعَل لِّي مِن لَّدُنكَ سُلۡطَٰنٗا نَّصِيرٗا ﴿80﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira.

17:81

وَقُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَزَهَقَ ٱلۡبَٰطِلُۚ إِنَّ ٱلۡبَٰطِلَ كَانَ زَهُوقٗا ﴿81﴾

. Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo.

17:82

وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا ﴿82﴾

. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.

17:83

وَإِذَآ أَنۡعَمۡنَا عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ أَعۡرَضَ وَنَـَٔا بِجَانِبِهِۦ وَإِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ كَانَ يَـُٔوسٗا ﴿83﴾

. Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira.

17:84

قُلۡ كُلّٞ يَعۡمَلُ عَلَىٰ شَاكِلَتِهِۦ فَرَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَنۡ هُوَ أَهۡدَىٰ سَبِيلٗا ﴿84﴾

. Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu.

17:85

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلرُّوحِۖ قُلِ ٱلرُّوحُ مِنۡ أَمۡرِ رَبِّي وَمَآ أُوتِيتُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿85﴾

. Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono.

17:86

وَلَئِن شِئۡنَا لَنَذۡهَبَنَّ بِٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ بِهِۦ عَلَيۡنَا وَكِيلًا ﴿86﴾

. Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza.

17:87

إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّ فَضۡلَهُۥ كَانَ عَلَيۡكَ كَبِيرٗا ﴿87﴾

. (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu.

17:88

قُل لَّئِنِ ٱجۡتَمَعَتِ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَىٰٓ أَن يَأۡتُواْ بِمِثۡلِ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لَا يَأۡتُونَ بِمِثۡلِهِۦ وَلَوۡ كَانَ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٖ ظَهِيرٗا ﴿88﴾

. Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.

17:89

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا ﴿89﴾

. Mazima twannyonnyola abantu mu Kur’ani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi bagaana (okugyako okusigala) mu bukafiiri.

17:90

وَقَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ لَكَ حَتَّىٰ تَفۡجُرَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَرۡضِ يَنۢبُوعًا ﴿90﴾

. Era nebagamba nti tetugenda kukkiriza okugyako nga otufukumulire amazzi okuva mu ttaka.

17:91

أَوۡ تَكُونَ لَكَ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَعِنَبٖ فَتُفَجِّرَ ٱلۡأَنۡهَٰرَ خِلَٰلَهَا تَفۡجِيرًا ﴿91﴾

. Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende ne Nzabibu. Olwo nno noofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula.

17:92

أَوۡ تُسۡقِطَ ٱلسَّمَآءَ كَمَا زَعَمۡتَ عَلَيۡنَا كِسَفًا أَوۡ تَأۡتِيَ بِٱللَّهِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ قَبِيلًا ﴿92﴾

. Oba otusuuleko eggulu nga bwogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Katonda ne ba Malayika tubalabe maaso ku maaso.

17:93

أَوۡ يَكُونَ لَكَ بَيۡتٞ مِّن زُخۡرُفٍ أَوۡ تَرۡقَىٰ فِي ٱلسَّمَآءِ وَلَن نُّؤۡمِنَ لِرُقِيِّكَ حَتَّىٰ تُنَزِّلَ عَلَيۡنَا كِتَٰبٗا نَّقۡرَؤُهُۥۗ قُلۡ سُبۡحَانَ رَبِّي هَلۡ كُنتُ إِلَّا بَشَرٗا رَّسُولٗا ﴿93﴾

. Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka!.

17:94

وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَبَعَثَ ٱللَّهُ بَشَرٗا رَّسُولٗا ﴿94﴾

. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka.

17:95

قُل لَّوۡ كَانَ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَلَـٰٓئِكَةٞ يَمۡشُونَ مُطۡمَئِنِّينَ لَنَزَّلۡنَا عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَلَكٗا رَّسُولٗا ﴿95﴾

. Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.

17:96

قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿96﴾

. Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube.

17:97

وَمَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُمۡ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِهِۦۖ وَنَحۡشُرُهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ عُمۡيٗا وَبُكۡمٗا وَصُمّٗاۖ مَّأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ كُلَّمَا خَبَتۡ زِدۡنَٰهُمۡ سَعِيرٗا ﴿97﴾

. Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.

17:98

ذَٰلِكَ جَزَآؤُهُم بِأَنَّهُمۡ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا وَرُفَٰتًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ خَلۡقٗا جَدِيدًا ﴿98﴾

. Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya ebigambo byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba engumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa netutondebwa bupya!.

17:99

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ قَادِرٌ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۡ وَجَعَلَ لَهُمۡ أَجَلٗا لَّا رَيۡبَ فِيهِ فَأَبَى ٱلظَّـٰلِمُونَ إِلَّا كُفُورٗا ﴿99﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri.

17:100

قُل لَّوۡ أَنتُمۡ تَمۡلِكُونَ خَزَآئِنَ رَحۡمَةِ رَبِّيٓ إِذٗا لَّأَمۡسَكۡتُمۡ خَشۡيَةَ ٱلۡإِنفَاقِۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ قَتُورٗا ﴿100﴾

. Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza.

17:101

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ تِسۡعَ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۖ فَسۡـَٔلۡ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ إِذۡ جَآءَهُمۡ فَقَالَ لَهُۥ فِرۡعَوۡنُ إِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰمُوسَىٰ مَسۡحُورٗا ﴿101﴾

. Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Israil (ebyaliwo) mu kiseera weyabajjira (aba Misiri), Firawo naamugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga ggwe oli mulogo.

17:102

قَالَ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَآ أَنزَلَ هَـٰٓؤُلَآءِ إِلَّا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ بَصَآئِرَ وَإِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰفِرۡعَوۡنُ مَثۡبُورٗا ﴿102﴾

. (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde.

17:103

فَأَرَادَ أَن يَسۡتَفِزَّهُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ فَأَغۡرَقۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ جَمِيعٗا ﴿103﴾

. Olwo nno (Firawo) yayagala okubagoba mu nsi (Misiri), twamuzikiriza n'abo abaali naye.

17:104

وَقُلۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِۦ لِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱسۡكُنُواْ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ ٱلۡأٓخِرَةِ جِئۡنَا بِكُمۡ لَفِيفٗا ﴿104﴾

. Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Israil mutuule mu nsi (eye Sham), endagaano y'olunaku lw'enkomerero bwelituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya.

17:105

وَبِٱلۡحَقِّ أَنزَلۡنَٰهُ وَبِٱلۡحَقِّ نَزَلَۗ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿105﴾

. (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.

17:106

وَقُرۡءَانٗا فَرَقۡنَٰهُ لِتَقۡرَأَهُۥ عَلَى ٱلنَّاسِ عَلَىٰ مُكۡثٖ وَنَزَّلۡنَٰهُ تَنزِيلٗا ﴿106﴾

. Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).

17:107

قُلۡ ءَامِنُواْ بِهِۦٓ أَوۡ لَا تُؤۡمِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهِۦٓ إِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ يَخِرُّونَۤ لِلۡأَذۡقَانِۤ سُجَّدٗاۤ ﴿107﴾

. Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama.

17:108

وَيَقُولُونَ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِن كَانَ وَعۡدُ رَبِّنَا لَمَفۡعُولٗا ﴿108﴾

. Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.

17:109

وَيَخِرُّونَ لِلۡأَذۡقَانِ يَبۡكُونَ وَيَزِيدُهُمۡ خُشُوعٗا۩ ﴿109﴾

. Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.

17:110

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱللَّهَ أَوِ ٱدۡعُواْ ٱلرَّحۡمَٰنَۖ أَيّٗا مَّا تَدۡعُواْ فَلَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَلَا تَجۡهَرۡ بِصَلَاتِكَ وَلَا تُخَافِتۡ بِهَا وَٱبۡتَغِ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلٗا ﴿110﴾

. Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.

17:111

وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلِيّٞ مِّنَ ٱلذُّلِّۖ وَكَبِّرۡهُ تَكۡبِيرَۢا ﴿111﴾

. Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza.

18:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَىٰ عَبۡدِهِ ٱلۡكِتَٰبَ وَلَمۡ يَجۡعَل لَّهُۥ عِوَجَاۜ ﴿1﴾

. Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna.

18:2

قَيِّمٗا لِّيُنذِرَ بَأۡسٗا شَدِيدٗا مِّن لَّدُنۡهُ وَيُبَشِّرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرًا حَسَنٗا ﴿2﴾

. Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi.

18:3

مَّـٰكِثِينَ فِيهِ أَبَدٗا ﴿3﴾

. Baakugibeeramu olubeerera.

18:4

وَيُنذِرَ ٱلَّذِينَ قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗا ﴿4﴾

. Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana.

18:5

مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا ﴿5﴾

. Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.

18:6

فَلَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ إِن لَّمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَسَفًا ﴿6﴾

. Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino.

18:7

إِنَّا جَعَلۡنَا مَا عَلَى ٱلۡأَرۡضِ زِينَةٗ لَّهَا لِنَبۡلُوَهُمۡ أَيُّهُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗا ﴿7﴾

. Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi.

18:8

وَإِنَّا لَجَٰعِلُونَ مَا عَلَيۡهَا صَعِيدٗا جُرُزًا ﴿8﴾

. Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu.

18:9

أَمۡ حَسِبۡتَ أَنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡكَهۡفِ وَٱلرَّقِيمِ كَانُواْ مِنۡ ءَايَٰتِنَا عَجَبًا ﴿9﴾

. Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala.

18:10

إِذۡ أَوَى ٱلۡفِتۡيَةُ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ فَقَالُواْ رَبَّنَآ ءَاتِنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةٗ وَهَيِّئۡ لَنَا مِنۡ أَمۡرِنَا رَشَدٗا ﴿10﴾

. Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu.

18:11

فَضَرَبۡنَا عَلَىٰٓ ءَاذَانِهِمۡ فِي ٱلۡكَهۡفِ سِنِينَ عَدَدٗا ﴿11﴾

. Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi.

18:12

ثُمَّ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِنَعۡلَمَ أَيُّ ٱلۡحِزۡبَيۡنِ أَحۡصَىٰ لِمَا لَبِثُوٓاْ أَمَدٗا ﴿12﴾

. Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu.

18:13

نَّحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ نَبَأَهُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّهُمۡ فِتۡيَةٌ ءَامَنُواْ بِرَبِّهِمۡ وَزِدۡنَٰهُمۡ هُدٗى ﴿13﴾

. Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu.

18:14

وَرَبَطۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ إِذۡ قَامُواْ فَقَالُواْ رَبُّنَا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَن نَّدۡعُوَاْ مِن دُونِهِۦٓ إِلَٰهٗاۖ لَّقَدۡ قُلۡنَآ إِذٗا شَطَطًا ﴿14﴾

. Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi.

18:15

هَـٰٓؤُلَآءِ قَوۡمُنَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ لَّوۡلَا يَأۡتُونَ عَلَيۡهِم بِسُلۡطَٰنِۭ بَيِّنٖۖ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا ﴿15﴾

. Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba.

18:16

وَإِذِ ٱعۡتَزَلۡتُمُوهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ فَأۡوُۥٓاْ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ يَنشُرۡ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَيُهَيِّئۡ لَكُم مِّنۡ أَمۡرِكُم مِّرۡفَقٗا ﴿16﴾

. Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe.

18:17

وَتَرَى ٱلشَّمۡسَ إِذَا طَلَعَت تَّزَٰوَرُ عَن كَهۡفِهِمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَإِذَا غَرَبَت تَّقۡرِضُهُمۡ ذَاتَ ٱلشِّمَالِ وَهُمۡ فِي فَجۡوَةٖ مِّنۡهُۚ ذَٰلِكَ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِۗ مَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ وَلِيّٗا مُّرۡشِدٗا ﴿17﴾

. Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya.

18:18

وَتَحۡسَبُهُمۡ أَيۡقَاظٗا وَهُمۡ رُقُودٞۚ وَنُقَلِّبُهُمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَذَاتَ ٱلشِّمَالِۖ وَكَلۡبُهُم بَٰسِطٞ ذِرَاعَيۡهِ بِٱلۡوَصِيدِۚ لَوِ ٱطَّلَعۡتَ عَلَيۡهِمۡ لَوَلَّيۡتَ مِنۡهُمۡ فِرَارٗا وَلَمُلِئۡتَ مِنۡهُمۡ رُعۡبٗا ﴿18﴾

. Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya.

18:19

وَكَذَٰلِكَ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِيَتَسَآءَلُواْ بَيۡنَهُمۡۚ قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ كَمۡ لَبِثۡتُمۡۖ قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۚ قَالُواْ رَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثۡتُمۡ فَٱبۡعَثُوٓاْ أَحَدَكُم بِوَرِقِكُمۡ هَٰذِهِۦٓ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ فَلۡيَنظُرۡ أَيُّهَآ أَزۡكَىٰ طَعَامٗا فَلۡيَأۡتِكُم بِرِزۡقٖ مِّنۡهُ وَلۡيَتَلَطَّفۡ وَلَا يُشۡعِرَنَّ بِكُمۡ أَحَدًا ﴿19﴾

. Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya.

18:20

إِنَّهُمۡ إِن يَظۡهَرُواْ عَلَيۡكُمۡ يَرۡجُمُوكُمۡ أَوۡ يُعِيدُوكُمۡ فِي مِلَّتِهِمۡ وَلَن تُفۡلِحُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا ﴿20﴾

. Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera.

18:21

وَكَذَٰلِكَ أَعۡثَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ لِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ لَا رَيۡبَ فِيهَآ إِذۡ يَتَنَٰزَعُونَ بَيۡنَهُمۡ أَمۡرَهُمۡۖ فَقَالُواْ ٱبۡنُواْ عَلَيۡهِم بُنۡيَٰنٗاۖ رَّبُّهُمۡ أَعۡلَمُ بِهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ غَلَبُواْ عَلَىٰٓ أَمۡرِهِمۡ لَنَتَّخِذَنَّ عَلَيۡهِم مَّسۡجِدٗا ﴿21﴾

. Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti.

18:22

سَيَقُولُونَ ثَلَٰثَةٞ رَّابِعُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ وَيَقُولُونَ خَمۡسَةٞ سَادِسُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ رَجۡمَۢا بِٱلۡغَيۡبِۖ وَيَقُولُونَ سَبۡعَةٞ وَثَامِنُهُمۡ كَلۡبُهُمۡۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ بِعِدَّتِهِم مَّا يَعۡلَمُهُمۡ إِلَّا قَلِيلٞۗ فَلَا تُمَارِ فِيهِمۡ إِلَّا مِرَآءٗ ظَٰهِرٗا وَلَا تَسۡتَفۡتِ فِيهِم مِّنۡهُمۡ أَحَدٗا ﴿22﴾

. (Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako.

18:23

وَلَا تَقُولَنَّ لِشَاْيۡءٍ إِنِّي فَاعِلٞ ذَٰلِكَ غَدًا ﴿23﴾

. Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya.

18:24

إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ إِذَا نَسِيتَ وَقُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَهۡدِيَنِ رَبِّي لِأَقۡرَبَ مِنۡ هَٰذَا رَشَدٗا ﴿24﴾

. Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange).

18:25

وَلَبِثُواْ فِي كَهۡفِهِمۡ ثَلَٰثَ مِاْئَةٖ سِنِينَ وَٱزۡدَادُواْ تِسۡعٗا ﴿25﴾

. Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi).

18:26

قُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثُواْۖ لَهُۥ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ أَبۡصِرۡ بِهِۦ وَأَسۡمِعۡۚ مَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَلِيّٖ وَلَا يُشۡرِكُ فِي حُكۡمِهِۦٓ أَحَدٗا ﴿26﴾

. Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka).

18:27

وَٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِن كِتَابِ رَبِّكَۖ لَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِهِۦ وَلَن تَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدٗا ﴿27﴾

. Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe.

18:28

وَٱصۡبِرۡ نَفۡسَكَ مَعَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ رَبَّهُم بِٱلۡغَدَوٰةِ وَٱلۡعَشِيِّ يُرِيدُونَ وَجۡهَهُۥۖ وَلَا تَعۡدُ عَيۡنَاكَ عَنۡهُمۡ تُرِيدُ زِينَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَا تُطِعۡ مَنۡ أَغۡفَلۡنَا قَلۡبَهُۥ عَن ذِكۡرِنَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ وَكَانَ أَمۡرُهُۥ فُرُطٗا ﴿28﴾

. Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi.

18:29

وَقُلِ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَن شَآءَ فَلۡيُؤۡمِن وَمَن شَآءَ فَلۡيَكۡفُرۡۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلظَّـٰلِمِينَ نَارًا أَحَاطَ بِهِمۡ سُرَادِقُهَاۚ وَإِن يَسۡتَغِيثُواْ يُغَاثُواْ بِمَآءٖ كَٱلۡمُهۡلِ يَشۡوِي ٱلۡوُجُوهَۚ بِئۡسَ ٱلشَّرَابُ وَسَآءَتۡ مُرۡتَفَقًا ﴿29﴾

. Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi.

18:30

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجۡرَ مَنۡ أَحۡسَنَ عَمَلًا ﴿30﴾

. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu mazima ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu.

18:31

أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمُ ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَيَلۡبَسُونَ ثِيَابًا خُضۡرٗا مِّن سُندُسٖ وَإِسۡتَبۡرَقٖ مُّتَّكِـِٔينَ فِيهَا عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِۚ نِعۡمَ ٱلثَّوَابُ وَحَسُنَتۡ مُرۡتَفَقٗا ﴿31﴾

. Abo nno bagenda kufuna e jjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe. nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga n'obutuulo buliba bulungi.

18:32

وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلٗا رَّجُلَيۡنِ جَعَلۡنَا لِأَحَدِهِمَا جَنَّتَيۡنِ مِنۡ أَعۡنَٰبٖ وَحَفَفۡنَٰهُمَا بِنَخۡلٖ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمَا زَرۡعٗا ﴿32﴾

. Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala.

18:33

كِلۡتَا ٱلۡجَنَّتَيۡنِ ءَاتَتۡ أُكُلَهَا وَلَمۡ تَظۡلِم مِّنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ وَفَجَّرۡنَا خِلَٰلَهُمَا نَهَرٗا ﴿33﴾

. Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga.

18:34

وَكَانَ لَهُۥ ثَمَرٞ فَقَالَ لِصَٰحِبِهِۦ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَنَا۠ أَكۡثَرُ مِنكَ مَالٗا وَأَعَزُّ نَفَرٗا ﴿34﴾

. (Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu.

18:35

وَدَخَلَ جَنَّتَهُۥ وَهُوَ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ قَالَ مَآ أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِۦٓ أَبَدٗا ﴿35﴾

. Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.

18:36

وَمَآ أَظُنُّ ٱلسَّاعَةَ قَآئِمَةٗ وَلَئِن رُّدِدتُّ إِلَىٰ رَبِّي لَأَجِدَنَّ خَيۡرٗا مِّنۡهَا مُنقَلَبٗا ﴿36﴾

. Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino.

18:37

قَالَ لَهُۥ صَاحِبُهُۥ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَكَفَرۡتَ بِٱلَّذِي خَلَقَكَ مِن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ سَوَّىٰكَ رَجُلٗا ﴿37﴾

. Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu.

18:38

لَّـٰكِنَّا۠ هُوَ ٱللَّهُ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا ﴿38﴾

. Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna.

18:39

وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا ﴿39﴾

. Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.

18:40

فَعَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يُؤۡتِيَنِ خَيۡرٗا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرۡسِلَ عَلَيۡهَا حُسۡبَانٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَتُصۡبِحَ صَعِيدٗا زَلَقًا ﴿40﴾

. Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.

18:41

أَوۡ يُصۡبِحَ مَآؤُهَا غَوۡرٗا فَلَن تَسۡتَطِيعَ لَهُۥ طَلَبٗا ﴿41﴾

. Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula.

18:42

وَأُحِيطَ بِثَمَرِهِۦ فَأَصۡبَحَ يُقَلِّبُ كَفَّيۡهِ عَلَىٰ مَآ أَنفَقَ فِيهَا وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَيَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي لَمۡ أُشۡرِكۡ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا ﴿42﴾

. Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange.

18:43

وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ فِئَةٞ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مُنتَصِرًا ﴿43﴾

. Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa.

18:44

هُنَالِكَ ٱلۡوَلَٰيَةُ لِلَّهِ ٱلۡحَقِّۚ هُوَ خَيۡرٞ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ عُقۡبٗا ﴿44﴾

. Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi.

18:45

وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا كَمَآءٍ أَنزَلۡنَٰهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَٱخۡتَلَطَ بِهِۦ نَبَاتُ ٱلۡأَرۡضِ فَأَصۡبَحَ هَشِيمٗا تَذۡرُوهُ ٱلرِّيَٰحُۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ مُّقۡتَدِرًا ﴿45﴾

. Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza.

18:46

ٱلۡمَالُ وَٱلۡبَنُونَ زِينَةُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّـٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ أَمَلٗا ﴿46﴾

. Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.

18:47

وَيَوۡمَ نُسَيِّرُ ٱلۡجِبَالَ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ بَارِزَةٗ وَحَشَرۡنَٰهُمۡ فَلَمۡ نُغَادِرۡ مِنۡهُمۡ أَحَدٗا ﴿47﴾

. Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.

18:48

وَعُرِضُواْ عَلَىٰ رَبِّكَ صَفّٗا لَّقَدۡ جِئۡتُمُونَا كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةِۭۚ بَلۡ زَعَمۡتُمۡ أَلَّن نَّجۡعَلَ لَكُم مَّوۡعِدٗا ﴿48﴾

. Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere.

18:49

وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ فَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُشۡفِقِينَ مِمَّا فِيهِ وَيَقُولُونَ يَٰوَيۡلَتَنَا مَالِ هَٰذَا ٱلۡكِتَٰبِ لَا يُغَادِرُ صَغِيرَةٗ وَلَا كَبِيرَةً إِلَّآ أَحۡصَىٰهَاۚ وَوَجَدُواْ مَا عَمِلُواْ حَاضِرٗاۗ وَلَا يَظۡلِمُ رَبُّكَ أَحَدٗا ﴿49﴾

. Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna.

18:50

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ كَانَ مِنَ ٱلۡجِنِّ فَفَسَقَ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهِۦٓۗ أَفَتَتَّخِذُونَهُۥ وَذُرِّيَّتَهُۥٓ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِي وَهُمۡ لَكُمۡ عَدُوُّۢۚ بِئۡسَ لِلظَّـٰلِمِينَ بَدَلٗا ﴿50﴾

. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola.

18:51

مَّآ أَشۡهَدتُّهُمۡ خَلۡقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَا خَلۡقَ أَنفُسِهِمۡ وَمَا كُنتُ مُتَّخِذَ ٱلۡمُضِلِّينَ عَضُدٗا ﴿51﴾

. Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange).

18:52

وَيَوۡمَ يَقُولُ نَادُواْ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُم مَّوۡبِقٗا ﴿52﴾

. Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula.

18:53

وَرَءَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ٱلنَّارَ فَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مُّوَاقِعُوهَا وَلَمۡ يَجِدُواْ عَنۡهَا مَصۡرِفٗا ﴿53﴾

. Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo.

18:54

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِلنَّاسِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَكۡثَرَ شَيۡءٖ جَدَلٗا ﴿54﴾

. Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka.

18:55

وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّهُمۡ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمۡ سُنَّةُ ٱلۡأَوَّلِينَ أَوۡ يَأۡتِيَهُمُ ٱلۡعَذَابُ قُبُلٗا ﴿55﴾

. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu.

18:56

وَمَا نُرۡسِلُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّا مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَۚ وَيُجَٰدِلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ لِيُدۡحِضُواْ بِهِ ٱلۡحَقَّۖ وَٱتَّخَذُوٓاْ ءَايَٰتِي وَمَآ أُنذِرُواْ هُزُوٗا ﴿56﴾

. Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago.

18:57

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ فَأَعۡرَضَ عَنۡهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُۚ إِنَّا جَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۖ وَإِن تَدۡعُهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ فَلَن يَهۡتَدُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا ﴿57﴾

. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.

18:58

وَرَبُّكَ ٱلۡغَفُورُ ذُو ٱلرَّحۡمَةِۖ لَوۡ يُؤَاخِذُهُم بِمَا كَسَبُواْ لَعَجَّلَ لَهُمُ ٱلۡعَذَابَۚ بَل لَّهُم مَّوۡعِدٞ لَّن يَجِدُواْ مِن دُونِهِۦ مَوۡئِلٗا ﴿58﴾

. Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona.

18:59

وَتِلۡكَ ٱلۡقُرَىٰٓ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ لَمَّا ظَلَمُواْ وَجَعَلۡنَا لِمَهۡلِكِهِم مَّوۡعِدٗا ﴿59﴾

. Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira.

18:60

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِفَتَىٰهُ لَآ أَبۡرَحُ حَتَّىٰٓ أَبۡلُغَ مَجۡمَعَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ أَوۡ أَمۡضِيَ حُقُبٗا ﴿60﴾

. Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale).

18:61

فَلَمَّا بَلَغَا مَجۡمَعَ بَيۡنِهِمَا نَسِيَا حُوتَهُمَا فَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ سَرَبٗا ﴿61﴾

. Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa.

18:62

فَلَمَّا جَاوَزَا قَالَ لِفَتَىٰهُ ءَاتِنَا غَدَآءَنَا لَقَدۡ لَقِينَا مِن سَفَرِنَا هَٰذَا نَصَبٗا ﴿62﴾

. Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo.

18:63

قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا ﴿63﴾

. (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.

18:64

قَالَ ذَٰلِكَ مَا كُنَّا نَبۡغِۚ فَٱرۡتَدَّا عَلَىٰٓ ءَاثَارِهِمَا قَصَصٗا ﴿64﴾

. (Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo).

18:65

فَوَجَدَا عَبۡدٗا مِّنۡ عِبَادِنَآ ءَاتَيۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَعَلَّمۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّا عِلۡمٗا ﴿65﴾

. Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo).

18:66

قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰ هَلۡ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰٓ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمۡتَ رُشۡدٗا ﴿66﴾

. Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?.

18:67

قَالَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا ﴿67﴾

. (Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.

18:68

وَكَيۡفَ تَصۡبِرُ عَلَىٰ مَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ خُبۡرٗا ﴿68﴾

. Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya.

18:69

قَالَ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ صَابِرٗا وَلَآ أَعۡصِي لَكَ أَمۡرٗا ﴿69﴾

. (Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna.

18:70

قَالَ فَإِنِ ٱتَّبَعۡتَنِي فَلَا تَسۡـَٔلۡنِي عَن شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ أُحۡدِثَ لَكَ مِنۡهُ ذِكۡرٗا ﴿70﴾

. (Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako.

18:71

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا رَكِبَا فِي ٱلسَّفِينَةِ خَرَقَهَاۖ قَالَ أَخَرَقۡتَهَا لِتُغۡرِقَ أَهۡلَهَا لَقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـًٔا إِمۡرٗا ﴿71﴾

. Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi.

18:72

قَالَ أَلَمۡ أَقُلۡ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا ﴿72﴾

. (Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.

18:73

قَالَ لَا تُؤَاخِذۡنِي بِمَا نَسِيتُ وَلَا تُرۡهِقۡنِي مِنۡ أَمۡرِي عُسۡرٗا ﴿73﴾

. (Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna.

18:74

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا لَقِيَا غُلَٰمٗا فَقَتَلَهُۥ قَالَ أَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا زَكِيَّةَۢ بِغَيۡرِ نَفۡسٖ لَّقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـٔٗا نُّكۡرٗا ﴿74﴾

. Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve.