quranm◉

Juz 16 ۞قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكَ

Range
from 18:75 to 20:135
Surahs covered
Okuvvuunula
269 Okuvvuunula

◉

18:75

قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا ﴿75﴾

. (Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.

18:76

قَالَ إِن سَأَلۡتُكَ عَن شَيۡءِۭ بَعۡدَهَا فَلَا تُصَٰحِبۡنِيۖ قَدۡ بَلَغۡتَ مِن لَّدُنِّي عُذۡرٗا ﴿76﴾

. (Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze.

18:77

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَآ أَتَيَآ أَهۡلَ قَرۡيَةٍ ٱسۡتَطۡعَمَآ أَهۡلَهَا فَأَبَوۡاْ أَن يُضَيِّفُوهُمَا فَوَجَدَا فِيهَا جِدَارٗا يُرِيدُ أَن يَنقَضَّ فَأَقَامَهُۥۖ قَالَ لَوۡ شِئۡتَ لَتَّخَذۡتَ عَلَيۡهِ أَجۡرٗا ﴿77﴾

. Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa).

18:78

قَالَ هَٰذَا فِرَاقُ بَيۡنِي وَبَيۡنِكَۚ سَأُنَبِّئُكَ بِتَأۡوِيلِ مَا لَمۡ تَسۡتَطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرًا ﴿78﴾

. (Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza.

18:79

أَمَّا ٱلسَّفِينَةُ فَكَانَتۡ لِمَسَٰكِينَ يَعۡمَلُونَ فِي ٱلۡبَحۡرِ فَأَرَدتُّ أَنۡ أَعِيبَهَا وَكَانَ وَرَآءَهُم مَّلِكٞ يَأۡخُذُ كُلَّ سَفِينَةٍ غَصۡبٗا ﴿79﴾

. Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi.

18:80

وَأَمَّا ٱلۡغُلَٰمُ فَكَانَ أَبَوَاهُ مُؤۡمِنَيۡنِ فَخَشِينَآ أَن يُرۡهِقَهُمَا طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗا ﴿80﴾

. Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala.

18:81

فَأَرَدۡنَآ أَن يُبۡدِلَهُمَا رَبُّهُمَا خَيۡرٗا مِّنۡهُ زَكَوٰةٗ وَأَقۡرَبَ رُحۡمٗا ﴿81﴾

. Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi.

18:82

وَأَمَّا ٱلۡجِدَارُ فَكَانَ لِغُلَٰمَيۡنِ يَتِيمَيۡنِ فِي ٱلۡمَدِينَةِ وَكَانَ تَحۡتَهُۥ كَنزٞ لَّهُمَا وَكَانَ أَبُوهُمَا صَٰلِحٗا فَأَرَادَ رَبُّكَ أَن يَبۡلُغَآ أَشُدَّهُمَا وَيَسۡتَخۡرِجَا كَنزَهُمَا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ وَمَا فَعَلۡتُهُۥ عَنۡ أَمۡرِيۚ ذَٰلِكَ تَأۡوِيلُ مَا لَمۡ تَسۡطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرٗا ﴿82﴾

. Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza.

18:83

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَن ذِي ٱلۡقَرۡنَيۡنِۖ قُلۡ سَأَتۡلُواْ عَلَيۡكُم مِّنۡهُ ذِكۡرًا ﴿83﴾

. Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako.

18:84

إِنَّا مَكَّنَّا لَهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِن كُلِّ شَيۡءٖ سَبَبٗا ﴿84﴾

. Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu.

18:85

فَأَتۡبَعَ سَبَبًا ﴿85﴾

. Olwo nno naagoberera enkola (eyo).

18:86

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَغۡرِبَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَغۡرُبُ فِي عَيۡنٍ حَمِئَةٖ وَوَجَدَ عِندَهَا قَوۡمٗاۖ قُلۡنَا يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِمَّآ أَن تُعَذِّبَ وَإِمَّآ أَن تَتَّخِذَ فِيهِمۡ حُسۡنٗا ﴿86﴾

. Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi.

18:87

قَالَ أَمَّا مَن ظَلَمَ فَسَوۡفَ نُعَذِّبُهُۥ ثُمَّ يُرَدُّ إِلَىٰ رَبِّهِۦ فَيُعَذِّبُهُۥ عَذَابٗا نُّكۡرٗا ﴿87﴾

. (Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu.

18:88

وَأَمَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَهُۥ جَزَآءً ٱلۡحُسۡنَىٰۖ وَسَنَقُولُ لَهُۥ مِنۡ أَمۡرِنَا يُسۡرٗا ﴿88﴾

. Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli.

18:89

ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا ﴿89﴾

. Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo.

18:90

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَطۡلِعَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَطۡلُعُ عَلَىٰ قَوۡمٖ لَّمۡ نَجۡعَل لَّهُم مِّن دُونِهَا سِتۡرٗا ﴿90﴾

. Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo.

18:91

كَذَٰلِكَۖ وَقَدۡ أَحَطۡنَا بِمَا لَدَيۡهِ خُبۡرٗا ﴿91﴾

. Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde.

18:92

ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا ﴿92﴾

. Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu.

18:93

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ بَيۡنَ ٱلسَّدَّيۡنِ وَجَدَ مِن دُونِهِمَا قَوۡمٗا لَّا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ قَوۡلٗا ﴿93﴾

. Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna.

18:94

قَالُواْ يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِنَّ يَأۡجُوجَ وَمَأۡجُوجَ مُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَهَلۡ نَجۡعَلُ لَكَ خَرۡجًا عَلَىٰٓ أَن تَجۡعَلَ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَهُمۡ سَدّٗا ﴿94﴾

. Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera.

18:95

قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيۡرٞ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجۡعَلۡ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُمۡ رَدۡمًا ﴿95﴾

. Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu).

18:96

ءَاتُونِي زُبَرَ ٱلۡحَدِيدِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا سَاوَىٰ بَيۡنَ ٱلصَّدَفَيۡنِ قَالَ ٱنفُخُواْۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَعَلَهُۥ نَارٗا قَالَ ءَاتُونِيٓ أُفۡرِغۡ عَلَيۡهِ قِطۡرٗا ﴿96﴾

. Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako.

18:97

فَمَا ٱسۡطَٰعُوٓاْ أَن يَظۡهَرُوهُ وَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ لَهُۥ نَقۡبٗا ﴿97﴾

. (Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli.

18:98

قَالَ هَٰذَا رَحۡمَةٞ مِّن رَّبِّيۖ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ رَبِّي جَعَلَهُۥ دَكَّآءَۖ وَكَانَ وَعۡدُ رَبِّي حَقّٗا ﴿98﴾

. (Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima.

18:99

وَتَرَكۡنَا بَعۡضَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ يَمُوجُ فِي بَعۡضٖۖ وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَجَمَعۡنَٰهُمۡ جَمۡعٗا ﴿99﴾

. Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye.

18:100

وَعَرَضۡنَا جَهَنَّمَ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡكَٰفِرِينَ عَرۡضًا ﴿100﴾

. Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola.

18:101

ٱلَّذِينَ كَانَتۡ أَعۡيُنُهُمۡ فِي غِطَآءٍ عَن ذِكۡرِي وَكَانُواْ لَا يَسۡتَطِيعُونَ سَمۡعًا ﴿101﴾

. Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira.

18:102

أَفَحَسِبَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَن يَتَّخِذُواْ عِبَادِي مِن دُونِيٓ أَوۡلِيَآءَۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ نُزُلٗا ﴿102﴾

. Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri.

18:103

قُلۡ هَلۡ نُنَبِّئُكُم بِٱلۡأَخۡسَرِينَ أَعۡمَٰلًا ﴿103﴾

. Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe.

18:104

ٱلَّذِينَ ضَلَّ سَعۡيُهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّهُمۡ يُحۡسِنُونَ صُنۡعًا ﴿104﴾

. Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi.

18:105

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ وَلِقَآئِهِۦ فَحَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فَلَا نُقِيمُ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَزۡنٗا ﴿105﴾

. Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna.

18:106

ذَٰلِكَ جَزَآؤُهُمۡ جَهَنَّمُ بِمَا كَفَرُواْ وَٱتَّخَذُوٓاْ ءَايَٰتِي وَرُسُلِي هُزُوًا ﴿106﴾

. Bwe kityo nno empeera yaabwe muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era nebafuula obubonero bwange n'ababaka bange ekisekererwa.

18:107

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ كَانَتۡ لَهُمۡ جَنَّـٰتُ ٱلۡفِرۡدَوۡسِ نُزُلًا ﴿107﴾

. Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirongoofu, e jjana eza Firidausi, bwe buliba obutuulo bwa bwe.

18:108

خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يَبۡغُونَ عَنۡهَا حِوَلٗا ﴿108﴾

. Bakuzibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuva mu zo.

18:109

قُل لَّوۡ كَانَ ٱلۡبَحۡرُ مِدَادٗا لِّكَلِمَٰتِ رَبِّي لَنَفِدَ ٱلۡبَحۡرُ قَبۡلَ أَن تَنفَدَ كَلِمَٰتُ رَبِّي وَلَوۡ جِئۡنَا بِمِثۡلِهِۦ مَدَدٗا ﴿109﴾

. Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba.

18:110

قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُوحَىٰٓ إِلَيَّ أَنَّمَآ إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ فَمَن كَانَ يَرۡجُواْ لِقَآءَ رَبِّهِۦ فَلۡيَعۡمَلۡ عَمَلٗا صَٰلِحٗا وَلَا يُشۡرِكۡ بِعِبَادَةِ رَبِّهِۦٓ أَحَدَۢا ﴿110﴾

. Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.

19:1

كٓهيعٓصٓ ﴿1﴾

. Kaaf Haa Yaa Ain Swad.

19:2

ذِكۡرُ رَحۡمَتِ رَبِّكَ عَبۡدَهُۥ زَكَرِيَّآ ﴿2﴾

. Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria.

19:3

إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ نِدَآءً خَفِيّٗا ﴿3﴾

. Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama.

19:4

قَالَ رَبِّ إِنِّي وَهَنَ ٱلۡعَظۡمُ مِنِّي وَٱشۡتَعَلَ ٱلرَّأۡسُ شَيۡبٗا وَلَمۡ أَكُنۢ بِدُعَآئِكَ رَبِّ شَقِيّٗا ﴿4﴾

. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba.

19:5

وَإِنِّي خِفۡتُ ٱلۡمَوَٰلِيَ مِن وَرَآءِي وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا فَهَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا ﴿5﴾

. Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana.

19:6

يَرِثُنِي وَيَرِثُ مِنۡ ءَالِ يَعۡقُوبَۖ وَٱجۡعَلۡهُ رَبِّ رَضِيّٗا ﴿6﴾

. Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange.

19:7

يَٰزَكَرِيَّآ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ ٱسۡمُهُۥ يَحۡيَىٰ لَمۡ نَجۡعَل لَّهُۥ مِن قَبۡلُ سَمِيّٗا ﴿7﴾

. (Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa.

19:8

قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا وَقَدۡ بَلَغۡتُ مِنَ ٱلۡكِبَرِ عِتِيّٗا ﴿8﴾

. (Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge!.

19:9

قَالَ كَذَٰلِكَ قَالَ رَبُّكَ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٞ وَقَدۡ خَلَقۡتُكَ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ تَكُ شَيۡـٔٗا ﴿9﴾

. (Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna.

19:10

قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةٗۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَ لَيَالٖ سَوِيّٗا ﴿10﴾

. (Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu).

19:11

فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنَ ٱلۡمِحۡرَابِ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ أَن سَبِّحُواْ بُكۡرَةٗ وَعَشِيّٗا ﴿11﴾

. Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo.

19:12

يَٰيَحۡيَىٰ خُذِ ٱلۡكِتَٰبَ بِقُوَّةٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحُكۡمَ صَبِيّٗا ﴿12﴾

. (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto.

19:13

وَحَنَانٗا مِّن لَّدُنَّا وَزَكَوٰةٗۖ وَكَانَ تَقِيّٗا ﴿13﴾

. Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda.

19:14

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَيۡهِ وَلَمۡ يَكُن جَبَّارًا عَصِيّٗا ﴿14﴾

. Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu.

19:15

وَسَلَٰمٌ عَلَيۡهِ يَوۡمَ وُلِدَ وَيَوۡمَ يَمُوتُ وَيَوۡمَ يُبۡعَثُ حَيّٗا ﴿15﴾

. Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu.

19:16

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَرۡيَمَ إِذِ ٱنتَبَذَتۡ مِنۡ أَهۡلِهَا مَكَانٗا شَرۡقِيّٗا ﴿16﴾

. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba.

19:17

فَٱتَّخَذَتۡ مِن دُونِهِمۡ حِجَابٗا فَأَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهَا رُوحَنَا فَتَمَثَّلَ لَهَا بَشَرٗا سَوِيّٗا ﴿17﴾

. Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala.

19:18

قَالَتۡ إِنِّيٓ أَعُوذُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ مِنكَ إِن كُنتَ تَقِيّٗا ﴿18﴾

. (Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera).

19:19

قَالَ إِنَّمَآ أَنَا۠ رَسُولُ رَبِّكِ لِأَهَبَ لَكِ غُلَٰمٗا زَكِيّٗا ﴿19﴾

. (Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu.

19:20

قَالَتۡ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٞ وَلَمۡ أَكُ بَغِيّٗا ﴿20﴾

. Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya!.

19:21

قَالَ كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٞۖ وَلِنَجۡعَلَهُۥٓ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِ وَرَحۡمَةٗ مِّنَّاۚ وَكَانَ أَمۡرٗا مَّقۡضِيّٗا ﴿21﴾

. (Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda).

19:22

فَحَمَلَتۡهُ فَٱنتَبَذَتۡ بِهِۦ مَكَانٗا قَصِيّٗا ﴿22﴾

. (Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde.

19:23

فَأَجَآءَهَا ٱلۡمَخَاضُ إِلَىٰ جِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ قَالَتۡ يَٰلَيۡتَنِي مِتُّ قَبۡلَ هَٰذَا وَكُنتُ نَسۡيٗا مَّنسِيّٗا ﴿23﴾

. Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako.

19:24

فَنَادَىٰهَا مِن تَحۡتِهَآ أَلَّا تَحۡزَنِي قَدۡ جَعَلَ رَبُّكِ تَحۡتَكِ سَرِيّٗا ﴿24﴾

. (Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala.

19:25

وَهُزِّيٓ إِلَيۡكِ بِجِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ تُسَٰقِطۡ عَلَيۡكِ رُطَبٗا جَنِيّٗا ﴿25﴾

. Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga.

19:26

فَكُلِي وَٱشۡرَبِي وَقَرِّي عَيۡنٗاۖ فَإِمَّا تَرَيِنَّ مِنَ ٱلۡبَشَرِ أَحَدٗا فَقُولِيٓ إِنِّي نَذَرۡتُ لِلرَّحۡمَٰنِ صَوۡمٗا فَلَنۡ أُكَلِّمَ ٱلۡيَوۡمَ إِنسِيّٗا ﴿26﴾

. Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero.

19:27

فَأَتَتۡ بِهِۦ قَوۡمَهَا تَحۡمِلُهُۥۖ قَالُواْ يَٰمَرۡيَمُ لَقَدۡ جِئۡتِ شَيۡـٔٗا فَرِيّٗا ﴿27﴾

. Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza.

19:28

يَـٰٓأُخۡتَ هَٰرُونَ مَا كَانَ أَبُوكِ ٱمۡرَأَ سَوۡءٖ وَمَا كَانَتۡ أُمُّكِ بَغِيّٗا ﴿28﴾

. Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya!.

19:29

فَأَشَارَتۡ إِلَيۡهِۖ قَالُواْ كَيۡفَ نُكَلِّمُ مَن كَانَ فِي ٱلۡمَهۡدِ صَبِيّٗا ﴿29﴾

. (Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere.

19:30

قَالَ إِنِّي عَبۡدُ ٱللَّهِ ءَاتَىٰنِيَ ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلَنِي نَبِيّٗا ﴿30﴾

. (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi.

19:31

وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا ﴿31﴾

. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.

19:32

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَتِي وَلَمۡ يَجۡعَلۡنِي جَبَّارٗا شَقِيّٗا ﴿32﴾

. Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu.

19:33

وَٱلسَّلَٰمُ عَلَيَّ يَوۡمَ وُلِدتُّ وَيَوۡمَ أَمُوتُ وَيَوۡمَ أُبۡعَثُ حَيّٗا ﴿33﴾

. Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu.

19:34

ذَٰلِكَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ قَوۡلَ ٱلۡحَقِّ ٱلَّذِي فِيهِ يَمۡتَرُونَ ﴿34﴾

. Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa.

19:35

مَا كَانَ لِلَّهِ أَن يَتَّخِذَ مِن وَلَدٖۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿35﴾

. Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba.

19:36

وَإِنَّ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ ﴿36﴾

. Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu.

19:37

فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن مَّشۡهَدِ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ﴿37﴾

. Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako.

19:38

أَسۡمِعۡ بِهِمۡ وَأَبۡصِرۡ يَوۡمَ يَأۡتُونَنَا لَٰكِنِ ٱلظَّـٰلِمُونَ ٱلۡيَوۡمَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿38﴾

. Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu .

19:39

وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡحَسۡرَةِ إِذۡ قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ وَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿39﴾

. Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza.

19:40

إِنَّا نَحۡنُ نَرِثُ ٱلۡأَرۡضَ وَمَنۡ عَلَيۡهَا وَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ ﴿40﴾

. Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa.

19:41

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِبۡرَٰهِيمَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيًّا ﴿41﴾

. Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi.

19:42

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ يَـٰٓأَبَتِ لِمَ تَعۡبُدُ مَا لَا يَسۡمَعُ وَلَا يُبۡصِرُ وَلَا يُغۡنِي عَنكَ شَيۡـٔٗا ﴿42﴾

. Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.

19:43

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطٗا سَوِيّٗا ﴿43﴾

. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.

19:44

يَـٰٓأَبَتِ لَا تَعۡبُدِ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ عَصِيّٗا ﴿44﴾

. Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi.

19:45

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يَمَسَّكَ عَذَابٞ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ فَتَكُونَ لِلشَّيۡطَٰنِ وَلِيّٗا ﴿45﴾

. Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane.

19:46

قَالَ أَرَاغِبٌ أَنتَ عَنۡ ءَالِهَتِي يَـٰٓإِبۡرَٰهِيمُۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ لَأَرۡجُمَنَّكَۖ وَٱهۡجُرۡنِي مَلِيّٗا ﴿46﴾

. (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba.

19:47

قَالَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكَۖ سَأَسۡتَغۡفِرُ لَكَ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ بِي حَفِيّٗا ﴿47﴾

. Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa.

19:48

وَأَعۡتَزِلُكُمۡ وَمَا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَأَدۡعُواْ رَبِّي عَسَىٰٓ أَلَّآ أَكُونَ بِدُعَآءِ رَبِّي شَقِيّٗا ﴿48﴾

. Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange.

19:49

فَلَمَّا ٱعۡتَزَلَهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا نَبِيّٗا ﴿49﴾

. Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi.

19:50

وَوَهَبۡنَا لَهُم مِّن رَّحۡمَتِنَا وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ لِسَانَ صِدۡقٍ عَلِيّٗا ﴿50﴾

. Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu.

19:51

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مُوسَىٰٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ مُخۡلَصٗا وَكَانَ رَسُولٗا نَّبِيّٗا ﴿51﴾

. Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi.

19:52

وَنَٰدَيۡنَٰهُ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنِ وَقَرَّبۡنَٰهُ نَجِيّٗا ﴿52﴾

. Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye.

19:53

وَوَهَبۡنَا لَهُۥ مِن رَّحۡمَتِنَآ أَخَاهُ هَٰرُونَ نَبِيّٗا ﴿53﴾

. Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi.

19:54

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِسۡمَٰعِيلَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صَادِقَ ٱلۡوَعۡدِ وَكَانَ رَسُولٗا نَّبِيّٗا ﴿54﴾

. Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi.

19:55

وَكَانَ يَأۡمُرُ أَهۡلَهُۥ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ وَكَانَ عِندَ رَبِّهِۦ مَرۡضِيّٗا ﴿55﴾

. Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe.

19:56

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِدۡرِيسَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيّٗا ﴿56﴾

. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi.

19:57

وَرَفَعۡنَٰهُ مَكَانًا عَلِيًّا ﴿57﴾

. Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu.

19:58

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِن ذُرِّيَّةِ ءَادَمَ وَمِمَّنۡ حَمَلۡنَا مَعَ نُوحٖ وَمِن ذُرِّيَّةِ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡرَـٰٓءِيلَ وَمِمَّنۡ هَدَيۡنَا وَٱجۡتَبَيۡنَآۚ إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُ ٱلرَّحۡمَٰنِ خَرُّواْۤ سُجَّدٗاۤ وَبُكِيّٗا۩ ﴿58﴾

. Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba.

19:59

فَخَلَفَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ خَلۡفٌ أَضَاعُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَٱتَّبَعُواْ ٱلشَّهَوَٰتِۖ فَسَوۡفَ يَلۡقَوۡنَ غَيًّا ﴿59﴾

. Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira.

19:60

إِلَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ وَلَا يُظۡلَمُونَ شَيۡـٔٗا ﴿60﴾

. Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna.

19:61

جَنَّـٰتِ عَدۡنٍ ٱلَّتِي وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ عِبَادَهُۥ بِٱلۡغَيۡبِۚ إِنَّهُۥ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَأۡتِيّٗا ﴿61﴾

. (Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira.

19:62

لَّا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوًا إِلَّا سَلَٰمٗاۖ وَلَهُمۡ رِزۡقُهُمۡ فِيهَا بُكۡرَةٗ وَعَشِيّٗا ﴿62﴾

. Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo.

19:63

تِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِي نُورِثُ مِنۡ عِبَادِنَا مَن كَانَ تَقِيّٗا ﴿63﴾

. Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda.

19:64

وَمَا نَتَنَزَّلُ إِلَّا بِأَمۡرِ رَبِّكَۖ لَهُۥ مَا بَيۡنَ أَيۡدِينَا وَمَا خَلۡفَنَا وَمَا بَيۡنَ ذَٰلِكَۚ وَمَا كَانَ رَبُّكَ نَسِيّٗا ﴿64﴾

. Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira.

19:65

رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا فَٱعۡبُدۡهُ وَٱصۡطَبِرۡ لِعِبَٰدَتِهِۦۚ هَلۡ تَعۡلَمُ لَهُۥ سَمِيّٗا ﴿65﴾

. (Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana?.

19:66

وَيَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَءِذَا مَا مِتُّ لَسَوۡفَ أُخۡرَجُ حَيًّا ﴿66﴾

. Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu!.

19:67

أَوَلَا يَذۡكُرُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ يَكُ شَيۡـٔٗا ﴿67﴾

. Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna.

19:68

فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيّٗا ﴿68﴾

. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.

19:69

ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيّٗا ﴿69﴾

. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.

19:70

ثُمَّ لَنَحۡنُ أَعۡلَمُ بِٱلَّذِينَ هُمۡ أَوۡلَىٰ بِهَا صِلِيّٗا ﴿70﴾

. Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga.

19:71

وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمٗا مَّقۡضِيّٗا ﴿71﴾

. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.

19:72

ثُمَّ نُنَجِّي ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّنَذَرُ ٱلظَّـٰلِمِينَ فِيهَا جِثِيّٗا ﴿72﴾

. Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye.

19:73

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ قَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَيُّ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ خَيۡرٞ مَّقَامٗا وَأَحۡسَنُ نَدِيّٗا ﴿73﴾

. Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi.

19:74

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَحۡسَنُ أَثَٰثٗا وَرِءۡيٗا ﴿74﴾

. Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi.

19:75

قُلۡ مَن كَانَ فِي ٱلضَّلَٰلَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَدًّاۚ حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ إِمَّا ٱلۡعَذَابَ وَإِمَّا ٱلسَّاعَةَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضۡعَفُ جُندٗا ﴿75﴾

. Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu.

19:76

وَيَزِيدُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ هُدٗىۗ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّـٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٞ مَّرَدًّا ﴿76﴾

. Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi.

19:77

أَفَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي كَفَرَ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالَ لَأُوتَيَنَّ مَالٗا وَوَلَدًا ﴿77﴾

. Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana.

19:78

أَطَّلَعَ ٱلۡغَيۡبَ أَمِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا ﴿78﴾

. Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero).

19:79

كَلَّاۚ سَنَكۡتُبُ مَا يَقُولُ وَنَمُدُّ لَهُۥ مِنَ ٱلۡعَذَابِ مَدّٗا ﴿79﴾

. Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza.

19:80

وَنَرِثُهُۥ مَا يَقُولُ وَيَأۡتِينَا فَرۡدٗا ﴿80﴾

. Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina.

19:81

وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لِّيَكُونُواْ لَهُمۡ عِزّٗا ﴿81﴾

. Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi.

19:82

كَلَّاۚ سَيَكۡفُرُونَ بِعِبَادَتِهِمۡ وَيَكُونُونَ عَلَيۡهِمۡ ضِدًّا ﴿82﴾

. Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe.

19:83

أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزّٗا ﴿83﴾

. Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira.

19:84

فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدّٗا ﴿84﴾

. Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi.

19:85

يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدٗا ﴿85﴾

. (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi.

19:86

وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدٗا ﴿86﴾

. Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi.

19:87

لَّا يَمۡلِكُونَ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَنِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا ﴿87﴾

. Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi.

19:88

وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗا ﴿88﴾

. (Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana.

19:89

لَّقَدۡ جِئۡتُمۡ شَيۡـًٔا إِدّٗا ﴿89﴾

. Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo.

19:90

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِنۡهُ وَتَنشَقُّ ٱلۡأَرۡضُ وَتَخِرُّ ٱلۡجِبَالُ هَدًّا ﴿90﴾

. Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose.

19:91

أَن دَعَوۡاْ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٗا ﴿91﴾

. Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana.

19:92

وَمَا يَنۢبَغِي لِلرَّحۡمَٰنِ أَن يَتَّخِذَ وَلَدًا ﴿92﴾

. Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana.

19:93

إِن كُلُّ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّآ ءَاتِي ٱلرَّحۡمَٰنِ عَبۡدٗا ﴿93﴾

. Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu.

19:94

لَّقَدۡ أَحۡصَىٰهُمۡ وَعَدَّهُمۡ عَدّٗا ﴿94﴾

. Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala.

19:95

وَكُلُّهُمۡ ءَاتِيهِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَرۡدًا ﴿95﴾

. Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu.

19:96

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ سَيَجۡعَلُ لَهُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وُدّٗا ﴿96﴾

. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa.

19:97

فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لِتُبَشِّرَ بِهِ ٱلۡمُتَّقِينَ وَتُنذِرَ بِهِۦ قَوۡمٗا لُّدّٗا ﴿97﴾

. Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya.

19:98

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هَلۡ تُحِسُّ مِنۡهُم مِّنۡ أَحَدٍ أَوۡ تَسۡمَعُ لَهُمۡ رِكۡزَۢا ﴿98﴾

. (Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo.

20:1

طه ﴿1﴾

. Twa-haa.

20:2

مَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لِتَشۡقَىٰٓ ﴿2﴾

. Tetwakussaako Kur’ani obe nga ozitoowererwa.

20:3

إِلَّا تَذۡكِرَةٗ لِّمَن يَخۡشَىٰ ﴿3﴾

. Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda.

20:4

تَنزِيلٗا مِّمَّنۡ خَلَقَ ٱلۡأَرۡضَ وَٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلۡعُلَى ﴿4﴾

. (Kur’ani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise.

20:5

ٱلرَّحۡمَٰنُ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ ٱسۡتَوَىٰ ﴿5﴾

. Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi, yatebenkera ku Arish.

20:6

لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَمَا تَحۡتَ ٱلثَّرَىٰ ﴿6﴾

. Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka.

20:7

وَإِن تَجۡهَرۡ بِٱلۡقَوۡلِ فَإِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلسِّرَّ وَأَخۡفَى ﴿7﴾

. Singa olina ekigambo kyonna kyoyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima yye amanyi ekyekyama n'ekisinga okubeera ekikweke.

20:8

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ ﴿8﴾

. Katonda y'oyo ewatali kisinzibwa kya mazima okugyako yye. Y'alina amannya agasinga obulungi.

20:9

وَهَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ ﴿9﴾

. Abaffe kwakujjira okwogera (ku kyafaayo) kya Musa.

20:10

إِذۡ رَءَا نَارٗا فَقَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِقَبَسٍ أَوۡ أَجِدُ عَلَى ٱلنَّارِ هُدٗى ﴿10﴾

. Mu kiseera weyalabira omuliro alyoke agambe abantube nti (mutuule) wano, mazima nze nengende omuliro (kangendeyo) sikulwa nga mbaleetera okuva gye guli eryanda si nakindi nensanga awali omuliro obulungamu.

20:11

فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ يَٰمُوسَىٰٓ ﴿11﴾

. Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa.

20:12

إِنِّيٓ أَنَا۠ رَبُّكَ فَٱخۡلَعۡ نَعۡلَيۡكَ إِنَّكَ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوٗى ﴿12﴾

. Mazima nze, nze Mukama omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa.

20:13

وَأَنَا ٱخۡتَرۡتُكَ فَٱسۡتَمِعۡ لِمَا يُوحَىٰٓ ﴿13﴾

. Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako.

20:14

إِنَّنِيٓ أَنَا ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدۡنِي وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِذِكۡرِيٓ ﴿14﴾

. Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo.

20:15

إِنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٌ أَكَادُ أُخۡفِيهَا لِتُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا تَسۡعَىٰ ﴿15﴾

. Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira.

20:16

فَلَا يَصُدَّنَّكَ عَنۡهَا مَن لَّا يُؤۡمِنُ بِهَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ فَتَرۡدَىٰ ﴿16﴾

. Kale nno takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, oyo yenna atakikkiriza nga agoberera kwagalakwe (nekikuviirako) okuzikirira.

20:17

وَمَا تِلۡكَ بِيَمِينِكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿17﴾

. Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo?.

20:18

قَالَ هِيَ عَصَايَ أَتَوَكَّؤُاْ عَلَيۡهَا وَأَهُشُّ بِهَا عَلَىٰ غَنَمِي وَلِيَ فِيهَا مَـَٔارِبُ أُخۡرَىٰ ﴿18﴾

. Naagamba nti ogwo muggo gwange, gunyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era nina mugwo emigaso emirala.

20:19

قَالَ أَلۡقِهَا يَٰمُوسَىٰ ﴿19﴾

. Katonda naagamba owange Musa gukasuke wansi.

20:20

فَأَلۡقَىٰهَا فَإِذَا هِيَ حَيَّةٞ تَسۡعَىٰ ﴿20﴾

. Naagukasuka, okugenda okulaba nga gwo musota ogutambula.

20:21

قَالَ خُذۡهَا وَلَا تَخَفۡۖ سَنُعِيدُهَا سِيرَتَهَا ٱلۡأُولَىٰ ﴿21﴾

. Katonga naagamba gukwate, era totya, tujja kuguzza ku mbeera yaagwo ey'abulijjo.

20:22

وَٱضۡمُمۡ يَدَكَ إِلَىٰ جَنَاحِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٍ ءَايَةً أُخۡرَىٰ ﴿22﴾

. Yingiza omukono gwo mu nkwawazo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga ky'amagero kirala.

20:23

لِنُرِيَكَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا ٱلۡكُبۡرَى ﴿23﴾

. Olwo nno tulyoke tukulage obubonero bwaffe obunene.

20:24

ٱذۡهَبۡ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ ﴿24﴾

. Genda ewa Firaawo mazima yye yabula (naafuuka kiwagi).

20:25

قَالَ رَبِّ ٱشۡرَحۡ لِي صَدۡرِي ﴿25﴾

. (Musa) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange, nyanjululiza ekifuba kyange.

20:26

وَيَسِّرۡ لِيٓ أَمۡرِي ﴿26﴾

. Era onsobozese omulimu gwange.

20:27

وَٱحۡلُلۡ عُقۡدَةٗ مِّن لِّسَانِي ﴿27﴾

. Era ojje okwesiba mu lulimi lwange.

20:28

يَفۡقَهُواْ قَوۡلِي ﴿28﴾

. Bategeere ebigambo byange.

20:29

وَٱجۡعَل لِّي وَزِيرٗا مِّنۡ أَهۡلِي ﴿29﴾

. Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange.

20:30

هَٰرُونَ أَخِي ﴿30﴾

. (Nga ye) Haruna muganda wange.

20:31

ٱشۡدُدۡ بِهِۦٓ أَزۡرِي ﴿31﴾

. Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange.

20:32

وَأَشۡرِكۡهُ فِيٓ أَمۡرِي ﴿32﴾

. Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange.

20:33

كَيۡ نُسَبِّحَكَ كَثِيرٗا ﴿33﴾

. Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo.

20:34

وَنَذۡكُرَكَ كَثِيرًا ﴿34﴾

. Era tukwogereko nnyo.

20:35

إِنَّكَ كُنتَ بِنَا بَصِيرٗا ﴿35﴾

. Mazima ggwe bulijjo otulabira ddala.

20:36

قَالَ قَدۡ أُوتِيتَ سُؤۡلَكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿36﴾

. (Katonda) naagamba nti owange Musa, oweereddwa ebisabwa byo.

20:37

وَلَقَدۡ مَنَنَّا عَلَيۡكَ مَرَّةً أُخۡرَىٰٓ ﴿37﴾

. Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (oluberyeberye lwa kino).

20:38

إِذۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّكَ مَا يُوحَىٰٓ ﴿38﴾

. Mu kiseera bwe twatumira eri Maamawo ekyo kye twamutumira.

20:39

أَنِ ٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلتَّابُوتِ فَٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ فَلۡيُلۡقِهِ ٱلۡيَمُّ بِٱلسَّاحِلِ يَأۡخُذۡهُ عَدُوّٞ لِّي وَعَدُوّٞ لَّهُۥۚ وَأَلۡقَيۡتُ عَلَيۡكَ مَحَبَّةٗ مِّنِّي وَلِتُصۡنَعَ عَلَىٰ عَيۡنِيٓ ﴿39﴾

. (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange.

20:40

إِذۡ تَمۡشِيٓ أُخۡتُكَ فَتَقُولُ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ مَن يَكۡفُلُهُۥۖ فَرَجَعۡنَٰكَ إِلَىٰٓ أُمِّكَ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَۚ وَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا فَنَجَّيۡنَٰكَ مِنَ ٱلۡغَمِّ وَفَتَنَّـٰكَ فُتُونٗاۚ فَلَبِثۡتَ سِنِينَ فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ ثُمَّ جِئۡتَ عَلَىٰ قَدَرٖ يَٰمُوسَىٰ ﴿40﴾

. Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (naatuuka ku bantu bo mu maka ga Firaawo), naagamba nti abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo netukuzza ewa Maamawo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula netukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, nootuula emyaka egiwera mu bantu be Madiana. Oluvanyuma owange Musa bwomaze nojja wano Katonda nga bwe yakugerera.

20:41

وَٱصۡطَنَعۡتُكَ لِنَفۡسِي ﴿41﴾

. Era nkwawudde nga oli wange (nkuwadde obubaka).

20:42

ٱذۡهَبۡ أَنتَ وَأَخُوكَ بِـَٔايَٰتِي وَلَا تَنِيَا فِي ذِكۡرِي ﴿42﴾

. Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte obubonero bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako.

20:43

ٱذۡهَبَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ ﴿43﴾

. Mugende mwembiriri ewa Firaawo, mazima yeewaggula.

20:44

فَقُولَا لَهُۥ قَوۡلٗا لَّيِّنٗا لَّعَلَّهُۥ يَتَذَكَّرُ أَوۡ يَخۡشَىٰ ﴿44﴾

. Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye.

20:45

قَالَا رَبَّنَآ إِنَّنَا نَخَافُ أَن يَفۡرُطَ عَلَيۡنَآ أَوۡ أَن يَطۡغَىٰ ﴿45﴾

. (Musa ne Haruna) nebagamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tutya, ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula.

20:46

قَالَ لَا تَخَافَآۖ إِنَّنِي مَعَكُمَآ أَسۡمَعُ وَأَرَىٰ ﴿46﴾

. (Katonda) naagamba nti temutya mazima nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba.

20:47

فَأۡتِيَاهُ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولَا رَبِّكَ فَأَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَلَا تُعَذِّبۡهُمۡۖ قَدۡ جِئۡنَٰكَ بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّكَۖ وَٱلسَّلَٰمُ عَلَىٰ مَنِ ٱتَّبَعَ ٱلۡهُدَىٰٓ ﴿47﴾

. Kale nno mugende gyali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe fembi tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo, tuleke tugende n'abaana ba Israil era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama omulabiriziwo, era bulijjo emirembe gibeera ku oyo agoberera obulungamu.

20:48

إِنَّا قَدۡ أُوحِيَ إِلَيۡنَآ أَنَّ ٱلۡعَذَابَ عَلَىٰ مَن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ ﴿48﴾

. Mazima ffe tuweereddwa obubaka nti, mazima ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa naava ku kituufu.

20:49

قَالَ فَمَن رَّبُّكُمَا يَٰمُوسَىٰ ﴿49﴾

. (Oluvanyuma bombi baatuuka ewa Firaawo), naagamba nti owange Musa olwo ani Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri?.

20:50

قَالَ رَبُّنَا ٱلَّذِيٓ أَعۡطَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ خَلۡقَهُۥ ثُمَّ هَدَىٰ ﴿50﴾

. (Musa) naagamba nti Mukama omulabirizi waffe y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, oluvanyuma naakirungamya (ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu).

20:51

قَالَ فَمَا بَالُ ٱلۡقُرُونِ ٱلۡأُولَىٰ ﴿51﴾

. (Firaawo) naagamba (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya.

20:52

قَالَ عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّي فِي كِتَٰبٖۖ لَّا يَضِلُّ رَبِّي وَلَا يَنسَى ﴿52﴾

. (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira.

20:53

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَسَلَكَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّن نَّبَاتٖ شَتَّىٰ ﴿53﴾

. (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu.

20:54

كُلُواْ وَٱرۡعَوۡاْ أَنۡعَٰمَكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ ﴿54﴾

. (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi.

20:55

مِنۡهَا خَلَقۡنَٰكُمۡ وَفِيهَا نُعِيدُكُمۡ وَمِنۡهَا نُخۡرِجُكُمۡ تَارَةً أُخۡرَىٰ ﴿55﴾

. Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala.

20:56

وَلَقَدۡ أَرَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا كُلَّهَا فَكَذَّبَ وَأَبَىٰ ﴿56﴾

. Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana.

20:57

قَالَ أَجِئۡتَنَا لِتُخۡرِجَنَا مِنۡ أَرۡضِنَا بِسِحۡرِكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿57﴾

. (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo.

20:58

فَلَنَأۡتِيَنَّكَ بِسِحۡرٖ مِّثۡلِهِۦ فَٱجۡعَلۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكَ مَوۡعِدٗا لَّا نُخۡلِفُهُۥ نَحۡنُ وَلَآ أَنتَ مَكَانٗا سُوٗى ﴿58﴾

. Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi).

20:59

قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى ﴿59﴾

. (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi.

20:60

فَتَوَلَّىٰ فِرۡعَوۡنُ فَجَمَعَ كَيۡدَهُۥ ثُمَّ أَتَىٰ ﴿60﴾

. Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye).

20:61

قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ وَيۡلَكُمۡ لَا تَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا فَيُسۡحِتَكُم بِعَذَابٖۖ وَقَدۡ خَابَ مَنِ ٱفۡتَرَىٰ ﴿61﴾

. Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba.

20:62

فَتَنَٰزَعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَىٰ ﴿62﴾

. (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama.

20:63

قَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَٰنِ لَسَٰحِرَٰنِ يُرِيدَانِ أَن يُخۡرِجَاكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِمَا وَيَذۡهَبَا بِطَرِيقَتِكُمُ ٱلۡمُثۡلَىٰ ﴿63﴾

. Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi.

20:64

فَأَجۡمِعُواْ كَيۡدَكُمۡ ثُمَّ ٱئۡتُواْ صَفّٗاۚ وَقَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡيَوۡمَ مَنِ ٱسۡتَعۡلَىٰ ﴿64﴾

. Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye.

20:65

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَلۡقَىٰ ﴿65﴾

. Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula.

20:66

قَالَ بَلۡ أَلۡقُواْۖ فَإِذَا حِبَالُهُمۡ وَعِصِيُّهُمۡ يُخَيَّلُ إِلَيۡهِ مِن سِحۡرِهِمۡ أَنَّهَا تَسۡعَىٰ ﴿66﴾

. (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula.

20:67

فَأَوۡجَسَ فِي نَفۡسِهِۦ خِيفَةٗ مُّوسَىٰ ﴿67﴾

. Musa naafuna okutya mu mutima gwe.

20:68

قُلۡنَا لَا تَخَفۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡأَعۡلَىٰ ﴿68﴾

. Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula.

20:69

وَأَلۡقِ مَا فِي يَمِينِكَ تَلۡقَفۡ مَا صَنَعُوٓاْۖ إِنَّمَا صَنَعُواْ كَيۡدُ سَٰحِرٖۖ وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّاحِرُ حَيۡثُ أَتَىٰ ﴿69﴾

. Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.

20:70

فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سُجَّدٗا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ هَٰرُونَ وَمُوسَىٰ ﴿70﴾

. (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa.

20:71

قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَۖ فَلَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ فِي جُذُوعِ ٱلنَّخۡلِ وَلَتَعۡلَمُنَّ أَيُّنَآ أَشَدُّ عَذَابٗا وَأَبۡقَىٰ ﴿71﴾

. (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo.

20:72

قَالُواْ لَن نُّؤۡثِرَكَ عَلَىٰ مَا جَآءَنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلَّذِي فَطَرَنَاۖ فَٱقۡضِ مَآ أَنتَ قَاضٍۖ إِنَّمَا تَقۡضِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَآ ﴿72﴾

. (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi.

20:73

إِنَّآ ءَامَنَّا بِرَبِّنَا لِيَغۡفِرَ لَنَا خَطَٰيَٰنَا وَمَآ أَكۡرَهۡتَنَا عَلَيۡهِ مِنَ ٱلسِّحۡرِۗ وَٱللَّهُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ ﴿73﴾

. Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo.

20:74

إِنَّهُۥ مَن يَأۡتِ رَبَّهُۥ مُجۡرِمٗا فَإِنَّ لَهُۥ جَهَنَّمَ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ ﴿74﴾

. Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu.

20:75

وَمَن يَأۡتِهِۦ مُؤۡمِنٗا قَدۡ عَمِلَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلدَّرَجَٰتُ ٱلۡعُلَىٰ ﴿75﴾

. Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu.

20:76

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ مَن تَزَكَّىٰ ﴿76﴾

. (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza.

20:77

وَلَقَدۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِي فَٱضۡرِبۡ لَهُمۡ طَرِيقٗا فِي ٱلۡبَحۡرِ يَبَسٗا لَّا تَخَٰفُ دَرَكٗا وَلَا تَخۡشَىٰ ﴿77﴾

. Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo).

20:78

فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ بِجُنُودِهِۦ فَغَشِيَهُم مِّنَ ٱلۡيَمِّ مَا غَشِيَهُمۡ ﴿78﴾

. Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke.

20:79

وَأَضَلَّ فِرۡعَوۡنُ قَوۡمَهُۥ وَمَا هَدَىٰ ﴿79﴾

. Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama.

20:80

يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ قَدۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ عَدُوِّكُمۡ وَوَٰعَدۡنَٰكُمۡ جَانِبَ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنَ وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰ ﴿80﴾

. Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva).

20:81

كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ وَلَا تَطۡغَوۡاْ فِيهِ فَيَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبِيۖ وَمَن يَحۡلِلۡ عَلَيۡهِ غَضَبِي فَقَدۡ هَوَىٰ ﴿81﴾

. (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze.

20:82

وَإِنِّي لَغَفَّارٞ لِّمَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا ثُمَّ ٱهۡتَدَىٰ ﴿82﴾

. Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu.

20:83

وَمَآ أَعۡجَلَكَ عَن قَوۡمِكَ يَٰمُوسَىٰ ﴿83﴾

. (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo.

20:84

قَالَ هُمۡ أُوْلَآءِ عَلَىٰٓ أَثَرِي وَعَجِلۡتُ إِلَيۡكَ رَبِّ لِتَرۡضَىٰ ﴿84﴾

. Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima.

20:85

قَالَ فَإِنَّا قَدۡ فَتَنَّا قَوۡمَكَ مِنۢ بَعۡدِكَ وَأَضَلَّهُمُ ٱلسَّامِرِيُّ ﴿85﴾

. (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza.

20:86

فَرَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَمۡ يَعِدۡكُمۡ رَبُّكُمۡ وَعۡدًا حَسَنًاۚ أَفَطَالَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡعَهۡدُ أَمۡ أَرَدتُّمۡ أَن يَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُم مَّوۡعِدِي ﴿86﴾

. Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange.

20:87

قَالُواْ مَآ أَخۡلَفۡنَا مَوۡعِدَكَ بِمَلۡكِنَا وَلَٰكِنَّا حُمِّلۡنَآ أَوۡزَارٗا مِّن زِينَةِ ٱلۡقَوۡمِ فَقَذَفۡنَٰهَا فَكَذَٰلِكَ أَلۡقَى ٱلسَّامِرِيُّ ﴿87﴾

. Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde.

20:88

فَأَخۡرَجَ لَهُمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٞ فَقَالُواْ هَٰذَآ إِلَٰهُكُمۡ وَإِلَٰهُ مُوسَىٰ فَنَسِيَ ﴿88﴾

. Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano).

20:89

أَفَلَا يَرَوۡنَ أَلَّا يَرۡجِعُ إِلَيۡهِمۡ قَوۡلٗا وَلَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا ﴿89﴾

. Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso.

20:90

وَلَقَدۡ قَالَ لَهُمۡ هَٰرُونُ مِن قَبۡلُ يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا فُتِنتُم بِهِۦۖ وَإِنَّ رَبَّكُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَٱتَّبِعُونِي وَأَطِيعُوٓاْ أَمۡرِي ﴿90﴾

. Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange.

20:91

قَالُواْ لَن نَّبۡرَحَ عَلَيۡهِ عَٰكِفِينَ حَتَّىٰ يَرۡجِعَ إِلَيۡنَا مُوسَىٰ ﴿91﴾

. Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli.

20:92

قَالَ يَٰهَٰرُونُ مَا مَنَعَكَ إِذۡ رَأَيۡتَهُمۡ ضَلُّوٓاْ ﴿92﴾

. (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye.

20:93

أَلَّا تَتَّبِعَنِۖ أَفَعَصَيۡتَ أَمۡرِي ﴿93﴾

. Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange.

20:94

قَالَ يَبۡنَؤُمَّ لَا تَأۡخُذۡ بِلِحۡيَتِي وَلَا بِرَأۡسِيٓۖ إِنِّي خَشِيتُ أَن تَقُولَ فَرَّقۡتَ بَيۡنَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَلَمۡ تَرۡقُبۡ قَوۡلِي ﴿94﴾

. (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange.

20:95

قَالَ فَمَا خَطۡبُكَ يَٰسَٰمِرِيُّ ﴿95﴾

. (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo?.

20:96

قَالَ بَصُرۡتُ بِمَا لَمۡ يَبۡصُرُواْ بِهِۦ فَقَبَضۡتُ قَبۡضَةٗ مِّنۡ أَثَرِ ٱلرَّسُولِ فَنَبَذۡتُهَا وَكَذَٰلِكَ سَوَّلَتۡ لِي نَفۡسِي ﴿96﴾

. (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye.

20:97

قَالَ فَٱذۡهَبۡ فَإِنَّ لَكَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ أَن تَقُولَ لَا مِسَاسَۖ وَإِنَّ لَكَ مَوۡعِدٗا لَّن تُخۡلَفَهُۥۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ إِلَٰهِكَ ٱلَّذِي ظَلۡتَ عَلَيۡهِ عَاكِفٗاۖ لَّنُحَرِّقَنَّهُۥ ثُمَّ لَنَنسِفَنَّهُۥ فِي ٱلۡيَمِّ نَسۡفًا ﴿97﴾

. (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa.

20:98

إِنَّمَآ إِلَٰهُكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَسِعَ كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمٗا ﴿98﴾

. Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya.

20:99

كَذَٰلِكَ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ مَا قَدۡ سَبَقَۚ وَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ مِن لَّدُنَّا ذِكۡرٗا ﴿99﴾

. Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani).

20:100

مَّنۡ أَعۡرَضَ عَنۡهُ فَإِنَّهُۥ يَحۡمِلُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وِزۡرًا ﴿100﴾

. Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro).

20:101

خَٰلِدِينَ فِيهِۖ وَسَآءَ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ حِمۡلٗا ﴿101﴾

. Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi.

20:102

يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا ﴿102﴾

. Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.

20:103

يَتَخَٰفَتُونَ بَيۡنَهُمۡ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا عَشۡرٗا ﴿103﴾

. Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka).

20:104

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَ إِذۡ يَقُولُ أَمۡثَلُهُمۡ طَرِيقَةً إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا يَوۡمٗا ﴿104﴾

. Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka.

20:105

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡجِبَالِ فَقُلۡ يَنسِفُهَا رَبِّي نَسۡفٗا ﴿105﴾

. Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu).

20:106

فَيَذَرُهَا قَاعٗا صَفۡصَفٗا ﴿106﴾

. Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu.

20:107

لَّا تَرَىٰ فِيهَا عِوَجٗا وَلَآ أَمۡتٗا ﴿107﴾

. Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba.

20:108

يَوۡمَئِذٖ يَتَّبِعُونَ ٱلدَّاعِيَ لَا عِوَجَ لَهُۥۖ وَخَشَعَتِ ٱلۡأَصۡوَاتُ لِلرَّحۡمَٰنِ فَلَا تَسۡمَعُ إِلَّا هَمۡسٗا ﴿108﴾

. Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka).

20:109

يَوۡمَئِذٖ لَّا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَرَضِيَ لَهُۥ قَوۡلٗا ﴿109﴾

. Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera.

20:110

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يُحِيطُونَ بِهِۦ عِلۡمٗا ﴿110﴾

. (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo.

20:111

وَعَنَتِ ٱلۡوُجُوهُ لِلۡحَيِّ ٱلۡقَيُّومِۖ وَقَدۡ خَابَ مَنۡ حَمَلَ ظُلۡمٗا ﴿111﴾

. Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi.

20:112

وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا يَخَافُ ظُلۡمٗا وَلَا هَضۡمٗا ﴿112﴾

. Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa.

20:113

وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا عَرَبِيّٗا وَصَرَّفۡنَا فِيهِ مِنَ ٱلۡوَعِيدِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ أَوۡ يُحۡدِثُ لَهُمۡ ذِكۡرٗا ﴿113﴾

. Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa.

20:114

فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۗ وَلَا تَعۡجَلۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مِن قَبۡلِ أَن يُقۡضَىٰٓ إِلَيۡكَ وَحۡيُهُۥۖ وَقُل رَّبِّ زِدۡنِي عِلۡمٗا ﴿114﴾

. Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya.

20:115

وَلَقَدۡ عَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ ءَادَمَ مِن قَبۡلُ فَنَسِيَ وَلَمۡ نَجِدۡ لَهُۥ عَزۡمٗا ﴿115﴾

. Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa).

20:116

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ ﴿116﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana.

20:117

فَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ إِنَّ هَٰذَا عَدُوّٞ لَّكَ وَلِزَوۡجِكَ فَلَا يُخۡرِجَنَّكُمَا مِنَ ٱلۡجَنَّةِ فَتَشۡقَىٰٓ ﴿117﴾

. Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka.

20:118

إِنَّ لَكَ أَلَّا تَجُوعَ فِيهَا وَلَا تَعۡرَىٰ ﴿118﴾

. Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere.

20:119

وَأَنَّكَ لَا تَظۡمَؤُاْ فِيهَا وَلَا تَضۡحَىٰ ﴿119﴾

. Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana.

20:120

فَوَسۡوَسَ إِلَيۡهِ ٱلشَّيۡطَٰنُ قَالَ يَـٰٓـَٔادَمُ هَلۡ أَدُلُّكَ عَلَىٰ شَجَرَةِ ٱلۡخُلۡدِ وَمُلۡكٖ لَّا يَبۡلَىٰ ﴿120﴾

. Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo.

20:121

فَأَكَلَا مِنۡهَا فَبَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۚ وَعَصَىٰٓ ءَادَمُ رَبَّهُۥ فَغَوَىٰ ﴿121﴾

. Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula.

20:122

ثُمَّ ٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَتَابَ عَلَيۡهِ وَهَدَىٰ ﴿122﴾

. Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya.

20:123

قَالَ ٱهۡبِطَا مِنۡهَا جَمِيعَۢاۖ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَنِ ٱتَّبَعَ هُدَايَ فَلَا يَضِلُّ وَلَا يَشۡقَىٰ ﴿123﴾

. (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka.

20:124

وَمَنۡ أَعۡرَضَ عَن ذِكۡرِي فَإِنَّ لَهُۥ مَعِيشَةٗ ضَنكٗا وَنَحۡشُرُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَعۡمَىٰ ﴿124﴾

. Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe.

20:125

قَالَ رَبِّ لِمَ حَشَرۡتَنِيٓ أَعۡمَىٰ وَقَدۡ كُنتُ بَصِيرٗا ﴿125﴾

. Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba.

20:126

قَالَ كَذَٰلِكَ أَتَتۡكَ ءَايَٰتُنَا فَنَسِيتَهَاۖ وَكَذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمَ تُنسَىٰ ﴿126﴾

. (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa.

20:127

وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَنۡ أَسۡرَفَ وَلَمۡ يُؤۡمِنۢ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦۚ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَدُّ وَأَبۡقَىٰٓ ﴿127﴾

. Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera.

20:128

أَفَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ ﴿128﴾

. Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi.

20:129

وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَكَانَ لِزَامٗا وَأَجَلٞ مُّسَمّٗى ﴿129﴾

. Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza).

20:130

فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ غُرُوبِهَاۖ وَمِنۡ ءَانَآيِٕ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡ وَأَطۡرَافَ ٱلنَّهَارِ لَعَلَّكَ تَرۡضَىٰ ﴿130﴾

. Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima.

20:131

وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ ﴿131﴾

. Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.

20:132

وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ ﴿132﴾

. Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.

20:133

وَقَالُواْ لَوۡلَا يَأۡتِينَا بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّهِۦٓۚ أَوَلَمۡ تَأۡتِهِم بَيِّنَةُ مَا فِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ ﴿133﴾

. Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka.

20:134

وَلَوۡ أَنَّآ أَهۡلَكۡنَٰهُم بِعَذَابٖ مِّن قَبۡلِهِۦ لَقَالُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ مِن قَبۡلِ أَن نَّذِلَّ وَنَخۡزَىٰ ﴿134﴾

. Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala.

20:135

قُلۡ كُلّٞ مُّتَرَبِّصٞ فَتَرَبَّصُواْۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ أَصۡحَٰبُ ٱلصِّرَٰطِ ٱلسَّوِيِّ وَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ ﴿135﴾

. Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama.