quranm◉

Juz 17 ٱقۡتَرَبَ لِلنَّاسِ حِسَابُهُمۡ وَهُمۡ

Range
from 21:1 to 22:78
Surahs covered
Okuvvuunula
190 Okuvvuunula

◉

21:1

ٱقۡتَرَبَ لِلنَّاسِ حِسَابُهُمۡ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ مُّعۡرِضُونَ ﴿1﴾

. Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume.

21:2

مَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّن رَّبِّهِم مُّحۡدَثٍ إِلَّا ٱسۡتَمَعُوهُ وَهُمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿2﴾

. Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya.

21:3

لَاهِيَةٗ قُلُوبُهُمۡۗ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ هَلۡ هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡۖ أَفَتَأۡتُونَ ٱلسِّحۡرَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ ﴿3﴾

. Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala!.

21:4

قَالَ رَبِّي يَعۡلَمُ ٱلۡقَوۡلَ فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿4﴾

. (Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo.

21:5

بَلۡ قَالُوٓاْ أَضۡغَٰثُ أَحۡلَٰمِۭ بَلِ ٱفۡتَرَىٰهُ بَلۡ هُوَ شَاعِرٞ فَلۡيَأۡتِنَا بِـَٔايَةٖ كَمَآ أُرۡسِلَ ٱلۡأَوَّلُونَ ﴿5﴾

. (Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa.

21:6

مَآ ءَامَنَتۡ قَبۡلَهُم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَآۖ أَفَهُمۡ يُؤۡمِنُونَ ﴿6﴾

. Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza!.

21:7

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿7﴾

. Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.

21:8

وَمَا جَعَلۡنَٰهُمۡ جَسَدٗا لَّا يَأۡكُلُونَ ٱلطَّعَامَ وَمَا كَانُواْ خَٰلِدِينَ ﴿8﴾

. Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera.

21:9

ثُمَّ صَدَقۡنَٰهُمُ ٱلۡوَعۡدَ فَأَنجَيۡنَٰهُمۡ وَمَن نَّشَآءُ وَأَهۡلَكۡنَا ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿9﴾

. Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde.

21:10

لَقَدۡ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ كِتَٰبٗا فِيهِ ذِكۡرُكُمۡۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿10﴾

. Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera!.

21:11

وَكَمۡ قَصَمۡنَا مِن قَرۡيَةٖ كَانَتۡ ظَالِمَةٗ وَأَنشَأۡنَا بَعۡدَهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ ﴿11﴾

. Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe).

21:12

فَلَمَّآ أَحَسُّواْ بَأۡسَنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَرۡكُضُونَ ﴿12﴾

. Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka.

21:13

لَا تَرۡكُضُواْ وَٱرۡجِعُوٓاْ إِلَىٰ مَآ أُتۡرِفۡتُمۡ فِيهِ وَمَسَٰكِنِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡـَٔلُونَ ﴿13﴾

. (Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa.

21:14

قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿14﴾

. Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi.

21:15

فَمَا زَالَت تِّلۡكَ دَعۡوَىٰهُمۡ حَتَّىٰ جَعَلۡنَٰهُمۡ حَصِيدًا خَٰمِدِينَ ﴿15﴾

. Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.

21:16

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ ﴿16﴾

. Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo.

21:17

لَوۡ أَرَدۡنَآ أَن نَّتَّخِذَ لَهۡوٗا لَّٱتَّخَذۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّآ إِن كُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿17﴾

. Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola.

21:18

بَلۡ نَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَى ٱلۡبَٰطِلِ فَيَدۡمَغُهُۥ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٞۚ وَلَكُمُ ٱلۡوَيۡلُ مِمَّا تَصِفُونَ ﴿18﴾

. Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.

21:19

وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَنۡ عِندَهُۥ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَلَا يَسۡتَحۡسِرُونَ ﴿19﴾

. Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa.

21:20

يُسَبِّحُونَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لَا يَفۡتُرُونَ ﴿20﴾

. Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa.

21:21

أَمِ ٱتَّخَذُوٓاْ ءَالِهَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ هُمۡ يُنشِرُونَ ﴿21﴾

. Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu).

21:22

لَوۡ كَانَ فِيهِمَآ ءَالِهَةٌ إِلَّا ٱللَّهُ لَفَسَدَتَاۚ فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿22﴾

. Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.

21:23

لَا يُسۡـَٔلُ عَمَّا يَفۡعَلُ وَهُمۡ يُسۡـَٔلُونَ ﴿23﴾

. Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa.

21:24

أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡۖ هَٰذَا ذِكۡرُ مَن مَّعِيَ وَذِكۡرُ مَن قَبۡلِيۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡحَقَّۖ فَهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿24﴾

. Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.

21:25

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٍ إِلَّا نُوحِيٓ إِلَيۡهِ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدُونِ ﴿25﴾

. Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.

21:26

وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۚ بَلۡ عِبَادٞ مُّكۡرَمُونَ ﴿26﴾

. Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa.

21:27

لَا يَسۡبِقُونَهُۥ بِٱلۡقَوۡلِ وَهُم بِأَمۡرِهِۦ يَعۡمَلُونَ ﴿27﴾

. Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye.

21:28

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يَشۡفَعُونَ إِلَّا لِمَنِ ٱرۡتَضَىٰ وَهُم مِّنۡ خَشۡيَتِهِۦ مُشۡفِقُونَ ﴿28﴾

. Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza.

21:29

وَمَن يَقُلۡ مِنۡهُمۡ إِنِّيٓ إِلَٰهٞ مِّن دُونِهِۦ فَذَٰلِكَ نَجۡزِيهِ جَهَنَّمَۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿29﴾

. Oyo yenna mubo agamba nti mazima nze ndi Katonda naaleka Katonda omu, oyo tugenda kumusasula omuliro Jahannama. Bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.

21:30

أَوَلَمۡ يَرَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ كَانَتَا رَتۡقٗا فَفَتَقۡنَٰهُمَاۖ وَجَعَلۡنَا مِنَ ٱلۡمَآءِ كُلَّ شَيۡءٍ حَيٍّۚ أَفَلَا يُؤۡمِنُونَ ﴿30﴾

. Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza!.

21:31

وَجَعَلۡنَا فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِهِمۡ وَجَعَلۡنَا فِيهَا فِجَاجٗا سُبُلٗا لَّعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ ﴿31﴾

. Era netussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era netussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga.

21:32

وَجَعَلۡنَا ٱلسَّمَآءَ سَقۡفٗا مَّحۡفُوظٗاۖ وَهُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهَا مُعۡرِضُونَ ﴿32﴾

. Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu).

21:33

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ فِي فَلَكٖ يَسۡبَحُونَ ﴿33﴾

. Era (Katonda) yye yooyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu kiri mu bbanga (nga byonna) biwuga.

21:34

وَمَا جَعَلۡنَا لِبَشَرٖ مِّن قَبۡلِكَ ٱلۡخُلۡدَۖ أَفَإِيْن مِّتَّ فَهُمُ ٱلۡخَٰلِدُونَ ﴿34﴾

. Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera.

21:35

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَنَبۡلُوكُم بِٱلشَّرِّ وَٱلۡخَيۡرِ فِتۡنَةٗۖ وَإِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ ﴿35﴾

. Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa.

21:36

وَإِذَا رَءَاكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي يَذۡكُرُ ءَالِهَتَكُمۡ وَهُم بِذِكۡرِ ٱلرَّحۡمَٰنِ هُمۡ كَٰفِرُونَ ﴿36﴾

. Abaakaafuwala bwe bakulaba tebakufuula okugyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda ow'ekisa ekingi.

21:37

خُلِقَ ٱلۡإِنسَٰنُ مِنۡ عَجَلٖۚ سَأُوْرِيكُمۡ ءَايَٰتِي فَلَا تَسۡتَعۡجِلُونِ ﴿37﴾

. Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo.

21:38

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿38﴾

. Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.

21:39

لَوۡ يَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ حِينَ لَا يَكُفُّونَ عَن وُجُوهِهِمُ ٱلنَّارَ وَلَا عَن ظُهُورِهِمۡ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ ﴿39﴾

. Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa.

21:40

بَلۡ تَأۡتِيهِم بَغۡتَةٗ فَتَبۡهَتُهُمۡ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ رَدَّهَا وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿40﴾

. Wabula biribatuukako kibwatukira nebibakanga, tebalisobola kubizzayo era si baakulindirizibwa.

21:41

وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَحَاقَ بِٱلَّذِينَ سَخِرُواْ مِنۡهُم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿41﴾

. Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)

21:42

قُلۡ مَن يَكۡلَؤُكُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ مِنَ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ بَلۡ هُمۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِم مُّعۡرِضُونَ ﴿42﴾

. Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe.

21:43

أَمۡ لَهُمۡ ءَالِهَةٞ تَمۡنَعُهُم مِّن دُونِنَاۚ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَ أَنفُسِهِمۡ وَلَا هُم مِّنَّا يُصۡحَبُونَ ﴿43﴾

. Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.

21:44

بَلۡ مَتَّعۡنَا هَـٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ طَالَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۗ أَفَلَا يَرَوۡنَ أَنَّا نَأۡتِي ٱلۡأَرۡضَ نَنقُصُهَا مِنۡ أَطۡرَافِهَآۚ أَفَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ ﴿44﴾

. Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema!.

21:45

قُلۡ إِنَّمَآ أُنذِرُكُم بِٱلۡوَحۡيِۚ وَلَا يَسۡمَعُ ٱلصُّمُّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا مَا يُنذَرُونَ ﴿45﴾

. Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa.

21:46

وَلَئِن مَّسَّتۡهُمۡ نَفۡحَةٞ مِّنۡ عَذَابِ رَبِّكَ لَيَقُولُنَّ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿46﴾

. So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi.

21:47

وَنَضَعُ ٱلۡمَوَٰزِينَ ٱلۡقِسۡطَ لِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَلَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗاۖ وَإِن كَانَ مِثۡقَالَ حَبَّةٖ مِّنۡ خَرۡدَلٍ أَتَيۡنَا بِهَاۗ وَكَفَىٰ بِنَا حَٰسِبِينَ ﴿47﴾

. Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.

21:48

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ٱلۡفُرۡقَانَ وَضِيَآءٗ وَذِكۡرٗا لِّلۡمُتَّقِينَ ﴿48﴾

. Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.

21:49

ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَهُم مِّنَ ٱلسَّاعَةِ مُشۡفِقُونَ ﴿49﴾

. Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero.

21:50

وَهَٰذَا ذِكۡرٞ مُّبَارَكٌ أَنزَلۡنَٰهُۚ أَفَأَنتُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ ﴿50﴾

. Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya?.

21:51

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَآ إِبۡرَٰهِيمَ رُشۡدَهُۥ مِن قَبۡلُ وَكُنَّا بِهِۦ عَٰلِمِينَ ﴿51﴾

. Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako.

21:52

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا هَٰذِهِ ٱلتَّمَاثِيلُ ٱلَّتِيٓ أَنتُمۡ لَهَا عَٰكِفُونَ ﴿52﴾

. Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko!.

21:53

قَالُواْ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا لَهَا عَٰبِدِينَ ﴿53﴾

. Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza.

21:54

قَالَ لَقَدۡ كُنتُمۡ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿54﴾

. (Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu.

21:55

قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا بِٱلۡحَقِّ أَمۡ أَنتَ مِنَ ٱللَّـٰعِبِينَ ﴿55﴾

. Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi.

21:56

قَالَ بَل رَّبُّكُمۡ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ ٱلَّذِي فَطَرَهُنَّ وَأَنَا۠ عَلَىٰ ذَٰلِكُم مِّنَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿56﴾

. Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi.

21:57

وَتَٱللَّهِ لَأَكِيدَنَّ أَصۡنَٰمَكُم بَعۡدَ أَن تُوَلُّواْ مُدۡبِرِينَ ﴿57﴾

. Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga.

21:58

فَجَعَلَهُمۡ جُذَٰذًا إِلَّا كَبِيرٗا لَّهُمۡ لَعَلَّهُمۡ إِلَيۡهِ يَرۡجِعُونَ ﴿58﴾

. (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza).

21:59

قَالُواْ مَن فَعَلَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَآ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿59﴾

. (Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi.

21:60

قَالُواْ سَمِعۡنَا فَتٗى يَذۡكُرُهُمۡ يُقَالُ لَهُۥٓ إِبۡرَٰهِيمُ ﴿60﴾

. Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako.

21:61

قَالُواْ فَأۡتُواْ بِهِۦ عَلَىٰٓ أَعۡيُنِ ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡهَدُونَ ﴿61﴾

. Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi.

21:62

قَالُوٓاْ ءَأَنتَ فَعَلۡتَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَا يَـٰٓإِبۡرَٰهِيمُ ﴿62﴾

. (Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim!.

21:63

قَالَ بَلۡ فَعَلَهُۥ كَبِيرُهُمۡ هَٰذَا فَسۡـَٔلُوهُمۡ إِن كَانُواْ يَنطِقُونَ ﴿63﴾

. Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula.

21:64

فَرَجَعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ فَقَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ أَنتُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿64﴾

. Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi.

21:65

ثُمَّ نُكِسُواْ عَلَىٰ رُءُوسِهِمۡ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَا هَـٰٓؤُلَآءِ يَنطِقُونَ ﴿65﴾

. Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera.

21:66

قَالَ أَفَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يَضُرُّكُمۡ ﴿66﴾

. (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi.

21:67

أُفّٖ لَّكُمۡ وَلِمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿67﴾

. Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!.

21:68

قَالُواْ حَرِّقُوهُ وَٱنصُرُوٓاْ ءَالِهَتَكُمۡ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ ﴿68﴾

. Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola.

21:69

قُلۡنَا يَٰنَارُ كُونِي بَرۡدٗا وَسَلَٰمًا عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ ﴿69﴾

. Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim.

21:70

وَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَخۡسَرِينَ ﴿70﴾

. Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu.

21:71

وَنَجَّيۡنَٰهُ وَلُوطًا إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا لِلۡعَٰلَمِينَ ﴿71﴾

. Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde.

21:72

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ نَافِلَةٗۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا صَٰلِحِينَ ﴿72﴾

. Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu.

21:73

وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِمۡ فِعۡلَ ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَإِقَامَ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءَ ٱلزَّكَوٰةِۖ وَكَانُواْ لَنَا عَٰبِدِينَ ﴿73﴾

. Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza.

21:74

وَلُوطًا ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗا وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَت تَّعۡمَلُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَٰسِقِينَ ﴿74﴾

. Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.

21:75

وَأَدۡخَلۡنَٰهُ فِي رَحۡمَتِنَآۖ إِنَّهُۥ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿75﴾

. Era twamuyingiza mu kusaasira kwaffe mazima yye wa mu balongoofu.

21:76

وَنُوحًا إِذۡ نَادَىٰ مِن قَبۡلُ فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿76﴾

. Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene.

21:77

وَنَصَرۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿77﴾

. Netumutaasa ku bantu abo abaalimbisa ebigambo byaffe, mazima bbo baali bantu ba kibi netubazikiriza bonna.

21:78

وَدَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ إِذۡ يَحۡكُمَانِ فِي ٱلۡحَرۡثِ إِذۡ نَفَشَتۡ فِيهِ غَنَمُ ٱلۡقَوۡمِ وَكُنَّا لِحُكۡمِهِمۡ شَٰهِدِينَ ﴿78﴾

. Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi.

21:79

فَفَهَّمۡنَٰهَا سُلَيۡمَٰنَۚ وَكُلًّا ءَاتَيۡنَا حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَسَخَّرۡنَا مَعَ دَاوُۥدَ ٱلۡجِبَالَ يُسَبِّحۡنَ وَٱلطَّيۡرَۚ وَكُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿79﴾

. (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.

21:80

وَعَلَّمۡنَٰهُ صَنۡعَةَ لَبُوسٖ لَّكُمۡ لِتُحۡصِنَكُم مِّنۢ بَأۡسِكُمۡۖ فَهَلۡ أَنتُمۡ شَٰكِرُونَ ﴿80﴾

. Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza!.

21:81

وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ عَاصِفَةٗ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦٓ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۚ وَكُنَّا بِكُلِّ شَيۡءٍ عَٰلِمِينَ ﴿81﴾

. Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu.

21:82

وَمِنَ ٱلشَّيَٰطِينِ مَن يَغُوصُونَ لَهُۥ وَيَعۡمَلُونَ عَمَلٗا دُونَ ذَٰلِكَۖ وَكُنَّا لَهُمۡ حَٰفِظِينَ ﴿82﴾

. Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.

21:83

وَأَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلضُّرُّ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿83﴾

. Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.

21:84

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَكَشَفۡنَا مَا بِهِۦ مِن ضُرّٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰبِدِينَ ﴿84﴾

. Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).

21:85

وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِدۡرِيسَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ كُلّٞ مِّنَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿85﴾

. Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza.

21:86

وَأَدۡخَلۡنَٰهُمۡ فِي رَحۡمَتِنَآۖ إِنَّهُم مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿86﴾

. Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu.

21:87

وَذَا ٱلنُّونِ إِذ ذَّهَبَ مُغَٰضِبٗا فَظَنَّ أَن لَّن نَّقۡدِرَ عَلَيۡهِ فَنَادَىٰ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ أَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنتَ سُبۡحَٰنَكَ إِنِّي كُنتُ مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿87﴾

. Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.

21:88

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡغَمِّۚ وَكَذَٰلِكَ نُـۨجِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿88﴾

. Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza.

21:89

وَزَكَرِيَّآ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ رَبِّ لَا تَذَرۡنِي فَرۡدٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡوَٰرِثِينَ ﴿89﴾

. Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.

21:90

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَوَهَبۡنَا لَهُۥ يَحۡيَىٰ وَأَصۡلَحۡنَا لَهُۥ زَوۡجَهُۥٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَيَدۡعُونَنَا رَغَبٗا وَرَهَبٗاۖ وَكَانُواْ لَنَا خَٰشِعِينَ ﴿90﴾

. Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.

21:91

وَٱلَّتِيٓ أَحۡصَنَتۡ فَرۡجَهَا فَنَفَخۡنَا فِيهَا مِن رُّوحِنَا وَجَعَلۡنَٰهَا وَٱبۡنَهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿91﴾

. Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.

21:92

إِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُونِ ﴿92﴾

. Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze.

21:93

وَتَقَطَّعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡۖ كُلٌّ إِلَيۡنَا رَٰجِعُونَ ﴿93﴾

. (Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda.

21:94

فَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا كُفۡرَانَ لِسَعۡيِهِۦ وَإِنَّا لَهُۥ كَٰتِبُونَ ﴿94﴾

. Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye).

21:95

وَحَرَٰمٌ عَلَىٰ قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَآ أَنَّهُمۡ لَا يَرۡجِعُونَ ﴿95﴾

. Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda.

21:96

حَتَّىٰٓ إِذَا فُتِحَتۡ يَأۡجُوجُ وَمَأۡجُوجُ وَهُم مِّن كُلِّ حَدَبٖ يَنسِلُونَ ﴿96﴾

. Okutuusa nga Yaajuuja ne Majuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo.

21:97

وَٱقۡتَرَبَ ٱلۡوَعۡدُ ٱلۡحَقُّ فَإِذَا هِيَ شَٰخِصَةٌ أَبۡصَٰرُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَٰوَيۡلَنَا قَدۡ كُنَّا فِي غَفۡلَةٖ مِّنۡ هَٰذَا بَلۡ كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿97﴾

. Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.

21:98

إِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ حَصَبُ جَهَنَّمَ أَنتُمۡ لَهَا وَٰرِدُونَ ﴿98﴾

. Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira.

21:99

لَوۡ كَانَ هَـٰٓؤُلَآءِ ءَالِهَةٗ مَّا وَرَدُوهَاۖ وَكُلّٞ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿99﴾

. Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu.

21:100

لَهُمۡ فِيهَا زَفِيرٞ وَهُمۡ فِيهَا لَا يَسۡمَعُونَ ﴿100﴾

. Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo.

21:101

إِنَّ ٱلَّذِينَ سَبَقَتۡ لَهُم مِّنَّا ٱلۡحُسۡنَىٰٓ أُوْلَـٰٓئِكَ عَنۡهَا مُبۡعَدُونَ ﴿101﴾

. Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro.

21:102

لَا يَسۡمَعُونَ حَسِيسَهَاۖ وَهُمۡ فِي مَا ٱشۡتَهَتۡ أَنفُسُهُمۡ خَٰلِدُونَ ﴿102﴾

. Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu.

21:103

لَا يَحۡزُنُهُمُ ٱلۡفَزَعُ ٱلۡأَكۡبَرُ وَتَتَلَقَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ هَٰذَا يَوۡمُكُمُ ٱلَّذِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ ﴿103﴾

. Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa..

21:104

يَوۡمَ نَطۡوِي ٱلسَّمَآءَ كَطَيِّ ٱلسِّجِلِّ لِلۡكُتُبِۚ كَمَا بَدَأۡنَآ أَوَّلَ خَلۡقٖ نُّعِيدُهُۥۚ وَعۡدًا عَلَيۡنَآۚ إِنَّا كُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿104﴾

. Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola.

21:105

وَلَقَدۡ كَتَبۡنَا فِي ٱلزَّبُورِ مِنۢ بَعۡدِ ٱلذِّكۡرِ أَنَّ ٱلۡأَرۡضَ يَرِثُهَا عِبَادِيَ ٱلصَّـٰلِحُونَ ﴿105﴾

. Mazima twawandiika mu Zaburi oluvanyuma lw'okuwandiika ku Lauhil Mahfuudhwi nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu bange abalongoofu.

21:106

إِنَّ فِي هَٰذَا لَبَلَٰغٗا لِّقَوۡمٍ عَٰبِدِينَ ﴿106﴾

. Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda.

21:107

وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا رَحۡمَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿107﴾

. Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde.

21:108

قُلۡ إِنَّمَا يُوحَىٰٓ إِلَيَّ أَنَّمَآ إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ ﴿108﴾

. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka?.

21:109

فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُلۡ ءَاذَنتُكُمۡ عَلَىٰ سَوَآءٖۖ وَإِنۡ أَدۡرِيٓ أَقَرِيبٌ أَم بَعِيدٞ مَّا تُوعَدُونَ ﴿109﴾

. Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala.

21:110

إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡتُمُونَ ﴿110﴾

. Mazima yye (Katonda) amanyi bye mwolesa nga mwogera era nga bwamanyi n'ebyo bye mukweka.

21:111

وَإِنۡ أَدۡرِي لَعَلَّهُۥ فِتۡنَةٞ لَّكُمۡ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ ﴿111﴾

. Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere.

21:112

قَٰلَ رَبِّ ٱحۡكُم بِٱلۡحَقِّۗ وَرَبُّنَا ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلۡمُسۡتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ ﴿112﴾

. (Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera.

22:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡۚ إِنَّ زَلۡزَلَةَ ٱلسَّاعَةِ شَيۡءٌ عَظِيمٞ ﴿1﴾

. Abange mmwe abantu, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe anti mazima okukankana (kw'ensi) nga enkomerero etuuse kiriba kintu kinene nnyo.

22:2

يَوۡمَ تَرَوۡنَهَا تَذۡهَلُ كُلُّ مُرۡضِعَةٍ عَمَّآ أَرۡضَعَتۡ وَتَضَعُ كُلُّ ذَاتِ حَمۡلٍ حَمۡلَهَا وَتَرَى ٱلنَّاسَ سُكَٰرَىٰ وَمَا هُم بِسُكَٰرَىٰ وَلَٰكِنَّ عَذَابَ ٱللَّهِ شَدِيدٞ ﴿2﴾

. Olunaku lw'olikulaba (okukankana) buli Mukyala muzadde talissa mwoyo ku mwana (gwe yazaala) n'ayonsa, ate buli aliba alina olubuto lugenda kuvaamu, era oliraba abantu nga balinga abatamidde so nga tebatamidde (ekiribatuusa ku ekyo) lwa kuba nti mazima ebibonerezo bya Katonda biyitirivu.

22:3

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّبِعُ كُلَّ شَيۡطَٰنٖ مَّرِيدٖ ﴿3﴾

. Mu ba ntu mulimu awakana ku bikwata ku Katonda nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitane.

22:4

كُتِبَ عَلَيۡهِ أَنَّهُۥ مَن تَوَلَّاهُ فَأَنَّهُۥ يُضِلُّهُۥ وَيَهۡدِيهِ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ ﴿4﴾

. (Sitane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri ebibonerezo by'omuliro.

22:5

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّنَ ٱلۡبَعۡثِ فَإِنَّا خَلَقۡنَٰكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ مِن مُّضۡغَةٖ مُّخَلَّقَةٖ وَغَيۡرِ مُخَلَّقَةٖ لِّنُبَيِّنَ لَكُمۡۚ وَنُقِرُّ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ مَا نَشَآءُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ نُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡۖ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡلَا يَعۡلَمَ مِنۢ بَعۡدِ عِلۡمٖ شَيۡـٔٗاۚ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ هَامِدَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡ وَأَنۢبَتَتۡ مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ ﴿5﴾

. Abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jajja mmwe Adam nga bwe yatondebwa) oluvanyuma (ne tuba nga) tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda noolaba ensi ng'ekaze naye ketugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi.

22:6

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّهُۥ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَأَنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿6﴾

. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu.

22:7

وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡعَثُ مَن فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿7﴾

. Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Katonda agenda kuzuukiza abali mu kabbuli.

22:8

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ ﴿8﴾

. Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Katonda nga tasinziira ku kumanya wadde okulungamizibwa oba ekitabo ekiraga obutangaavu.

22:9

ثَانِيَ عِطۡفِهِۦ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۖ لَهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞۖ وَنُذِيقُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿9﴾

. (Mu ngeri y’okulengezza n’okwekuza) aweta ensingoye abe nga ajja abantu ku kkubo lya Katonda, atuusibwako okuswazibwa mu nsi era tugenda kumukombesa ku lunaku lw'enkomerero ku bibonerezo ebyokya.

22:10

ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ يَدَاكَ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّـٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ ﴿10﴾

. (Aligambibwa nti) ekyo kikutUuseeko olw'ebyo e mikonogyo bye gyakola edda (ku nsi) era mazima Katonda talyazAamaanya baddu.

22:11

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَعۡبُدُ ٱللَّهَ عَلَىٰ حَرۡفٖۖ فَإِنۡ أَصَابَهُۥ خَيۡرٌ ٱطۡمَأَنَّ بِهِۦۖ وَإِنۡ أَصَابَتۡهُ فِتۡنَةٌ ٱنقَلَبَ عَلَىٰ وَجۡهِهِۦ خَسِرَ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡخُسۡرَانُ ٱلۡمُبِينُ ﴿11﴾

. Ne mu bantu mulimu asinza Katonda ng'ali ku ndeboolebo (ya bukkiriza) n'olwekyo bwatuukibwako ekirungi akkalira nakyo ate bwatuukibwako ekikemo oba okugesezebwa atalantuka n'agwira ku kyenyikye (naava ku ddiini) olwo nno naafiirwa ensi n'enkomerero okwo kwe kufaafaaganirwa okw'olwatu.

22:12

يَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُۥ وَمَا لَا يَنفَعُهُۥۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ ﴿12﴾

. Alekawo Katonda n'aasinza ebyo ebitamutuusaako kabi era ebitamutuusaako mugaso okwo kwe kubula okwewala.

22:13

يَدۡعُواْ لَمَن ضَرُّهُۥٓ أَقۡرَبُ مِن نَّفۡعِهِۦۚ لَبِئۡسَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَلَبِئۡسَ ٱلۡعَشِيرُ ﴿13﴾

. Asaba oyo akabiike nga ke kali okumpi okusinga omugasogwe, mubi nnyo asuubirwa okutaasa era mubi nnyo asuubirwa okuba nga ye w'omukwano.

22:14

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يُرِيدُ ﴿14﴾

. Mazima Katonda agenda kuyingiza e jjana abo abaakola emirimu emirungi, nga emigga gikulukutira wansi, waazo, mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.

22:15

مَن كَانَ يَظُنُّ أَن لَّن يَنصُرَهُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ بِسَبَبٍ إِلَى ٱلسَّمَآءِ ثُمَّ لۡيَقۡطَعۡ فَلۡيَنظُرۡ هَلۡ يُذۡهِبَنَّ كَيۡدُهُۥ مَا يَغِيظُ ﴿15﴾

. Omuntu alowooza nti Katonda tagenda kutaasa Mubakawe kuno ku nsi ne ku nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvanyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe byakola bisobola okumuwonya byatayagala.

22:16

وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖ وَأَنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يُرِيدُ ﴿16﴾

. (Katonda nga bwe yannyonnyola obuyinzabwe mu kusobola okuzuukiza abafu), mu ngeri y'emu annyonnyola engeri gye yassaamu Kur’ani naagamba nti) era bwe tutyo twagissa (Kur'ani) nga bigambo ebinnyonnyola (obulungi) era mazima Katonda alungamya gwaba ayagadde.

22:17

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّـٰبِـِٔينَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلۡمَجُوسَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ ﴿17﴾

. Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abakkiriza eddiini ye Kiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nabbi Muhammad tannatumwa) n'abakkiriza mu ddiini ye Kikurisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala mazima Katonda agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku lunaku lw'enkomerero. Anti mazima Katonda ku buli kintu mujulizi.

22:18

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَسۡجُدُۤ لَهُۥۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ وَٱلنُّجُومُ وَٱلۡجِبَالُ وَٱلشَّجَرُ وَٱلدَّوَآبُّ وَكَثِيرٞ مِّنَ ٱلنَّاسِۖ وَكَثِيرٌ حَقَّ عَلَيۡهِ ٱلۡعَذَابُۗ وَمَن يُهِنِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّكۡرِمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ۩ ﴿18﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.

22:19

هَٰذَانِ خَصۡمَانِ ٱخۡتَصَمُواْ فِي رَبِّهِمۡۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قُطِّعَتۡ لَهُمۡ ثِيَابٞ مِّن نَّارٖ يُصَبُّ مِن فَوۡقِ رُءُوسِهِمُ ٱلۡحَمِيمُ ﴿19﴾

. Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama omulabirizi waabwe, kale nekibeera nga, abakaafuwala batungirwa engoye nga za mu muliro nga bagenda kufukirirwa ku mitwe gya bwe amazzi ag'olwegye.

22:20

يُصۡهَرُ بِهِۦ مَا فِي بُطُونِهِمۡ وَٱلۡجُلُودُ ﴿20﴾

. Nga amazzi ago birisaanusibwa nagwo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe.

22:21

وَلَهُم مَّقَٰمِعُ مِنۡ حَدِيدٖ ﴿21﴾

. Era nga bagenda kukubwanga ennyondo ezaakolebwa mu kyuma.

22:22

كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا مِنۡ غَمٍّ أُعِيدُواْ فِيهَا وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿22﴾

. Buli bwe baliba baagala okufuluma mu muliro ogwo ku olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) era mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo by'omuliro ogwokya ennyo.

22:23

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ ﴿23﴾

. Mazima Katonda agenda kuyingiza mu jjana abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne Luulu nga n'engoye zebagenda okwambala ziriba za Siliki.

22:24

وَهُدُوٓاْ إِلَى ٱلطَّيِّبِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ وَهُدُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿24﴾

. Era nga baalungamizibwa (ku nsi) eri ekigambo ekisinga obulungi (eky'okwawula Katonda n'okumusuuta) era nga balungamizibwa eri ekkubo eritenderezebwa.

22:25

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ ٱلَّذِي جَعَلۡنَٰهُ لِلنَّاسِ سَوَآءً ٱلۡعَٰكِفُ فِيهِ وَٱلۡبَادِۚ وَمَن يُرِدۡ فِيهِ بِإِلۡحَادِۭ بِظُلۡمٖ نُّذِقۡهُ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿25﴾

. Mazima abo abaakaafuwala era nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda n’omuzikiti gw'emizizo ogwo gwe twateerawo abantu nga omutuuze weguli n'owewala bonna benkana, omuntu yenna ayagala okukoleramu obukyamu tumukombya ku bibonerezo ebiruma ennyo.

22:26

وَإِذۡ بَوَّأۡنَا لِإِبۡرَٰهِيمَ مَكَانَ ٱلۡبَيۡتِ أَن لَّا تُشۡرِكۡ بِي شَيۡـٔٗا وَطَهِّرۡ بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡقَآئِمِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ ﴿26﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era ne mugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala).

22:27

وَأَذِّن فِي ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَجِّ يَأۡتُوكَ رِجَالٗا وَعَلَىٰ كُلِّ ضَامِرٖ يَأۡتِينَ مِن كُلِّ فَجٍّ عَمِيقٖ ﴿27﴾

. Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda ku kujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo eryewala.

22:28

لِّيَشۡهَدُواْ مَنَٰفِعَ لَهُمۡ وَيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ فِيٓ أَيَّامٖ مَّعۡلُومَٰتٍ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۖ فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡبَآئِسَ ٱلۡفَقِيرَ ﴿28﴾

. Bagende balabe ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu.

22:29

ثُمَّ لۡيَقۡضُواْ تَفَثَهُمۡ وَلۡيُوفُواْ نُذُورَهُمۡ وَلۡيَطَّوَّفُواْ بِٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ ﴿29﴾

. Ekyo nga kiwedde babe nga bamaliriza emikolo gya bwe era batuukirize bye beeyama era betooloole e nyumba kaasangwawo.

22:30

ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ حُرُمَٰتِ ٱللَّهِ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّهُۥ عِندَ رَبِّهِۦۗ وَأُحِلَّتۡ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱجۡتَنِبُواْ ٱلرِّجۡسَ مِنَ ٱلۡأَوۡثَٰنِ وَٱجۡتَنِبُواْ قَوۡلَ ٱلزُّورِ ﴿30﴾

. Ebyo (babikola lwa kuwa Mukama Katonda kitiibwa) era bulijjo buli yenna agulumiza emizizo gya Katonda ekyo kye kirungi gyali mu maaso g'a Mukama omulabiriziwe. Era mwakkirizibwa okulya (ennyama y'e) bisolo ebirundibwa, okugyako ebyo ebibasomerwa mu ngeri y'emu mwewale amasanamu olw'obubi bwago, era mwewale ebigambo ebitemerere.

22:31

حُنَفَآءَ لِلَّهِ غَيۡرَ مُشۡرِكِينَ بِهِۦۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَكَأَنَّمَا خَرَّ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَتَخۡطَفُهُ ٱلطَّيۡرُ أَوۡ تَهۡوِي بِهِ ٱلرِّيحُ فِي مَكَانٖ سَحِيقٖ ﴿31﴾

. Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo.

22:32

ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ شَعَـٰٓئِرَ ٱللَّهِ فَإِنَّهَا مِن تَقۡوَى ٱلۡقُلُوبِ ﴿32﴾

. (Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo biragiro bya Katonda) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Katonda mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egitya Katonda.

22:33

لَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ مَحِلُّهَآ إِلَى ٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ ﴿33﴾

. Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvanyuma ekifo wezirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali e nyumba kaasangwawo.

22:34

وَلِكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكٗا لِّيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۗ فَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَلَهُۥٓ أَسۡلِمُواْۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُخۡبِتِينَ ﴿34﴾

. Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda.)

22:35

ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿35﴾

. (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.

22:36

وَٱلۡبُدۡنَ جَعَلۡنَٰهَا لَكُم مِّن شَعَـٰٓئِرِ ٱللَّهِ لَكُمۡ فِيهَا خَيۡرٞۖ فَٱذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَا صَوَآفَّۖ فَإِذَا وَجَبَتۡ جُنُوبُهَا فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡقَانِعَ وَٱلۡمُعۡتَرَّۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرۡنَٰهَا لَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿36﴾

. Ne ngamiya twazibateerawo nga za mu bubonero bwa Katonda, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko erinnya lya Katonda nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu nezisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embuto zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, bwe tutyo twazibagondeza mube nga mwebaza.

22:37

لَن يَنَالَ ٱللَّهَ لُحُومُهَا وَلَا دِمَآؤُهَا وَلَٰكِن يَنَالُهُ ٱلتَّقۡوَىٰ مِنكُمۡۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرَهَا لَكُمۡ لِتُكَبِّرُواْ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا هَدَىٰكُمۡۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿37﴾

. Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Katonda naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bwatyo yazibagondeza mube nga mutendereza Katonda olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa.

22:38

إِنَّ ٱللَّهَ يُدَٰفِعُ عَنِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ خَوَّانٖ كَفُورٍ ﴿38﴾

. Mazima Katonda alwanirira abo abakkiriza, mazima Katonda tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi.

22:39

أُذِنَ لِلَّذِينَ يُقَٰتَلُونَ بِأَنَّهُمۡ ظُلِمُواْۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ نَصۡرِهِمۡ لَقَدِيرٌ ﴿39﴾

. Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti mazima bo balyazaamaanyizibwa era mazima bulijjo Mukama Katonda asobolera ddala okubataasa.

22:40

ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بِغَيۡرِ حَقٍّ إِلَّآ أَن يَقُولُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّهُدِّمَتۡ صَوَٰمِعُ وَبِيَعٞ وَصَلَوَٰتٞ وَمَسَٰجِدُ يُذۡكَرُ فِيهَا ٱسۡمُ ٱللَّهِ كَثِيرٗاۗ وَلَيَنصُرَنَّ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿40﴾

. (Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono.

22:41

ٱلَّذِينَ إِن مَّكَّنَّـٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَمَرُواْ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَنَهَوۡاْ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۗ وَلِلَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ ﴿41﴾

. (Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda.

22:42

وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَثَمُودُ ﴿42﴾

. Singa bakulimbisa mazima oluberyeberye lwa bwe abantu ba Nuhu na ba A’di na ba Thamud baalimbisa.

22:43

وَقَوۡمُ إِبۡرَٰهِيمَ وَقَوۡمُ لُوطٖ ﴿43﴾

. Nabwekityo n'abantu ba Ibrahim n'abantu ba Luutu.

22:44

وَأَصۡحَٰبُ مَدۡيَنَۖ وَكُذِّبَ مُوسَىٰۖ فَأَمۡلَيۡتُ لِلۡكَٰفِرِينَ ثُمَّ أَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ﴿44﴾

. N'abantu be Madiyana. Ne Musa yalimbisibwa nennindiriza abakaafiiri oluvanyuma nnabakwata, naye okubonereza kwange kwali kutya!.

22:45

فَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ فَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَبِئۡرٖ مُّعَطَّلَةٖ وَقَصۡرٖ مَّشِيدٍ ﴿45﴾

. Ebitundu bimeka bye twazikiriza nga byo biri mu kweyisa bubi! (nga nabuli kati) obusolya bwa byo buguddemu n'enzizi ezitakyakimwako mazzi n'ebizimbe ebyali bizimbiddwa obulungi.

22:46

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَتَكُونَ لَهُمۡ قُلُوبٞ يَعۡقِلُونَ بِهَآ أَوۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۖ فَإِنَّهَا لَا تَعۡمَى ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَلَٰكِن تَعۡمَى ٱلۡقُلُوبُ ٱلَّتِي فِي ٱلصُّدُورِ ﴿46﴾

. Abaffe tebatambulako mu nsi nebafuna emitima gye bategeera nagyo oba amatu ge bawulira nago, mazima amaaso si ge gaziba naye emitima egiri mu bifuba gye giziba.

22:47

وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥۚ وَإِنَّ يَوۡمًا عِندَ رَبِّكَ كَأَلۡفِ سَنَةٖ مِّمَّا تَعُدُّونَ ﴿47﴾

. Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Katonda tayinza kwawukana ku ndagaanoye (ajja kubibatuusaako ku lunaku lw'enkomerero) era mazima olunaku lumu ewa Mukama omulabiriziwo lulinga emyaka lukumi mu mbala ya mmwe.

22:48

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَمۡلَيۡتُ لَهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ ثُمَّ أَخَذۡتُهَا وَإِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ ﴿48﴾

. Era ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvanyuma nembikwata era gyendi yokka y'eri obuddo.

22:49

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّمَآ أَنَا۠ لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿49﴾

. Gamba (Ggwe Muhammad) abange mmwe abantu mazima nze gye muli ndi mutiisa ow'olwatu.

22:50

فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ ﴿50﴾

. Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.

22:51

وَٱلَّذِينَ سَعَوۡاْ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ ﴿51﴾

. Naabo abeewaayo okulemesa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro Jahiimu.

22:52

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٖ وَلَا نَبِيٍّ إِلَّآ إِذَا تَمَنَّىٰٓ أَلۡقَى ٱلشَّيۡطَٰنُ فِيٓ أُمۡنِيَّتِهِۦ فَيَنسَخُ ٱللَّهُ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ ثُمَّ يُحۡكِمُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿52﴾

. Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga.

22:53

لِّيَجۡعَلَ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡقَاسِيَةِ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ ﴿53﴾

. (Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda.

22:54

وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَيُؤۡمِنُواْ بِهِۦ فَتُخۡبِتَ لَهُۥ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿54﴾

. Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu.

22:55

وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةً أَوۡ يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَقِيمٍ ﴿55﴾

. Bulijjo abo abaakaafuwala tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kur’ani) okuutuusa olunaku lwe'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera.

22:56

ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فِي جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿56﴾

. Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Katonda yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera.

22:57

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿57﴾

. Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyoomesa.

22:58

وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ قُتِلُوٓاْ أَوۡ مَاتُواْ لَيَرۡزُقَنَّهُمُ ٱللَّهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿58﴾

. Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna.

22:59

لَيُدۡخِلَنَّهُم مُّدۡخَلٗا يَرۡضَوۡنَهُۥۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَلِيمٌ حَلِيمٞ ﴿59﴾

. Agenda kubayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Katonda mumanyi nnyo wa kisa.

22:60

ذَٰلِكَۖ وَمَنۡ عَاقَبَ بِمِثۡلِ مَا عُوقِبَ بِهِۦ ثُمَّ بُغِيَ عَلَيۡهِ لَيَنصُرَنَّهُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ ﴿60﴾

. Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvanyuma naalumbaganwa, mazima Katonda wa kumutaasiza ddala mazima Katonda mulekezi musonyiyi.

22:61

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ ﴿61﴾

. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era mazima Katonda awulira alaba nnyo.

22:62

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ هُوَ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ ﴿62﴾

. Ekyo bwe kityo bwe kiri lwakuba nti mazima Katonda ye ye mazima, era ddala bye basinza ebitali yye bye bitali bituufu era mazima Katonda yye ye wa waggulu ow'ekitiibwa.

22:63

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَتُصۡبِحُ ٱلۡأَرۡضُ مُخۡضَرَّةًۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ ﴿63﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi ensi neefuuka ya kiragala mazima Katonda alumirwa (ebitonde bye) amanyi ebyekusifu.

22:64

لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿64﴾

. Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Katonda yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa.

22:65

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦ وَيُمۡسِكُ ٱلسَّمَآءَ أَن تَقَعَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿65﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu.

22:66

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ ﴿66﴾

. Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera).

22:67

لِّكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكًا هُمۡ نَاسِكُوهُۖ فَلَا يُنَٰزِعُنَّكَ فِي ٱلۡأَمۡرِۚ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ إِنَّكَ لَعَلَىٰ هُدٗى مُّسۡتَقِيمٖ ﴿67﴾

. Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakaafiiri) tebasaanye ku kuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama omulabiriziwo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulungamu obulambulukufu.

22:68

وَإِن جَٰدَلُوكَ فَقُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿68﴾

. Bwe bakuwakanya gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mukola.

22:69

ٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ ﴿69﴾

. Katonda agenda kusalawo wakati wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu.

22:70

أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ذَٰلِكَ فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿70﴾

. Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi mazima ekyo kiri mu kitabo (kiwandiike okuva edda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.

22:71

وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗا وَمَا لَيۡسَ لَهُم بِهِۦ عِلۡمٞۗ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٖ ﴿71﴾

. Basinza ebitali Katonda byatassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa.

22:72

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمُنكَرَۖ يَكَادُونَ يَسۡطُونَ بِٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۗ قُلۡ أَفَأُنَبِّئُكُم بِشَرّٖ مِّن ذَٰلِكُمُۚ ٱلنَّارُ وَعَدَهَا ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿72﴾

. Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi.

22:73

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ضُرِبَ مَثَلٞ فَٱسۡتَمِعُواْ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَن يَخۡلُقُواْ ذُبَابٗا وَلَوِ ٱجۡتَمَعُواْ لَهُۥۖ وَإِن يَسۡلُبۡهُمُ ٱلذُّبَابُ شَيۡـٔٗا لَّا يَسۡتَنقِذُوهُ مِنۡهُۚ ضَعُفَ ٱلطَّالِبُ وَٱلۡمَطۡلُوبُ ﴿73﴾

. Abange mmwe abantu ekifaananyi kikubiddwa kale mukiwulirize mazima abo be musaba abatali Katonda tebasobola kutonda nsowera ne bwe baba nga beegasse ku lw'ekyo, era ensowera singa ebaggyako ekintu tebasobola kugikiggyako abanja munafu negwebabanja.

22:74

مَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿74﴾

. Tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira mazima Katonda wa maanyi nnyo Nantakubwa ku mukono.

22:75

ٱللَّهُ يَصۡطَفِي مِنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ رُسُلٗا وَمِنَ ٱلنَّاسِۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ ﴿75﴾

. Katonda alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo.

22:76

يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿76﴾

. (N’olwekyo) amanyi ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe, n'eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.

22:77

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱرۡكَعُواْ وَٱسۡجُدُواْۤ وَٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمۡ وَٱفۡعَلُواْ ٱلۡخَيۡرَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ۩ ﴿77﴾

. Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama omulabirizi wa mmwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi.

22:78

وَجَٰهِدُواْ فِي ٱللَّهِ حَقَّ جِهَادِهِۦۚ هُوَ ٱجۡتَبَىٰكُمۡ وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖۚ مِّلَّةَ أَبِيكُمۡ إِبۡرَٰهِيمَۚ هُوَ سَمَّىٰكُمُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ مِن قَبۡلُ وَفِي هَٰذَا لِيَكُونَ ٱلرَّسُولُ شَهِيدًا عَلَيۡكُمۡ وَتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِۚ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱعۡتَصِمُواْ بِٱللَّهِ هُوَ مَوۡلَىٰكُمۡۖ فَنِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ ﴿78﴾

. Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Katonda mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, yye (Katonda) ye yabalonda (ku lwe ddiiniye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga ye ddiini ya Mukadde wa mmwe Ibrahimu, yye y'eyabatuuma abasiraamu oluberyeberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kur’ani) eno olwo nno omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo e sswala muwe ne Zakka era mwekwase Katonda yye ye mukuumi wa mmwe, kale mulungi nnyo omukuumi (oyo) era mulungi nnyo omutaasa oyo.