quranm◉

Juz 20 ۞فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ

Range
from 27:56 to 29:45
Surahs covered
Okuvvuunula
171 Okuvvuunula

◉

27:56

فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَخۡرِجُوٓاْ ءَالَ لُوطٖ مِّن قَرۡيَتِكُمۡۖ إِنَّهُمۡ أُنَاسٞ يَتَطَهَّرُونَ ﴿56﴾

. Tekwali okwanukula kw'abantube okugyako okugamba obugambi nti, muwanganguse abantu abali ne Luutu nga mu baggya mu kitundu kya mmwe anti mazima bbo bantu abeetwala okuba abatukuvu.

27:57

فَأَنجَيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ قَدَّرۡنَٰهَا مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ﴿57﴾

. Olwo nno ne tumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe twamugerera (twamulamulira okubeera) mu b'okuzikirira.

27:58

وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ ﴿58﴾

. Netubafukirira e nkuba, n'eba nkuba mbi nnyo (eyafukirirwa) abantu abaalabubwa.

27:59

قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ وَسَلَٰمٌ عَلَىٰ عِبَادِهِ ٱلَّذِينَ ٱصۡطَفَىٰٓۗ ءَآللَّهُ خَيۡرٌ أَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿59﴾

. (Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti okutenderezebwa okujjuvu kwa Katonda era nti emirembe gibeere ku baddube abo beyawa enkizo (ey'okutuusa obubaka bwe eri abantu), abaffe Katonda omutonzi y'asinga obulungi oba ebyo bye bamugattako!.

27:60

أَمَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَأَنزَلَ لَكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَنۢبَتۡنَا بِهِۦ حَدَآئِقَ ذَاتَ بَهۡجَةٖ مَّا كَانَ لَكُمۡ أَن تُنۢبِتُواْ شَجَرَهَآۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٞ يَعۡدِلُونَ ﴿60﴾

. Abaffe ani yatonda eggulu n'ensi, era n'abatonyeseza okuva waggulu amazzi, ne tumeza nago amalimiro agalabika obulungi, tekibangako mu mikono gyamwe okumeza emiti gyago. Ate oluvanyuma lw'ekyo wabaawo watya ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, wabula (ekibakozesa ekyo) lwa kuba nti bo bantu abenkanya Katonda n'ebintu ebirala.

27:61

أَمَّن جَعَلَ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَجَعَلَ خِلَٰلَهَآ أَنۡهَٰرٗا وَجَعَلَ لَهَا رَوَٰسِيَ وَجَعَلَ بَيۡنَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ حَاجِزًاۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿61﴾

. Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi.

27:62

أَمَّن يُجِيبُ ٱلۡمُضۡطَرَّ إِذَا دَعَاهُ وَيَكۡشِفُ ٱلسُّوٓءَ وَيَجۡعَلُكُمۡ خُلَفَآءَ ٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ ﴿62﴾

. Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono.

27:63

أَمَّن يَهۡدِيكُمۡ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَمَن يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦٓۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ تَعَٰلَى ٱللَّهُ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿63﴾

. Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu ne nnyanja era ani oyo asindika e mpewo nga zireeta essanyu (e nkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasirakwe (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, Katonda musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.

27:64

أَمَّن يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ وَمَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿64﴾

. Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima.

27:65

قُل لَّا يَعۡلَمُ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ ٱلۡغَيۡبَ إِلَّا ٱللَّهُۚ وَمَا يَشۡعُرُونَ أَيَّانَ يُبۡعَثُونَ ﴿65﴾

. Bagambe nti abali mu ggulu omusanvu n'ensi tewali amanyi byekusifu okugyako Katonda, (era n'olwekyo) tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa.

27:66

بَلِ ٱدَّـٰرَكَ عِلۡمُهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّنۡهَاۖ بَلۡ هُم مِّنۡهَا عَمُونَ ﴿66﴾

. Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwa bwe kwamalayo byonna okutuusa ku lunaku lw'enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku lunaku olwo.

27:67

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبٗا وَءَابَآؤُنَآ أَئِنَّا لَمُخۡرَجُونَ ﴿67﴾

. Abo abaakaafuwala bagamba nti bwe tulimala okufuuka ettaka ne bakadde baffe ate tulijjibwayo.

27:68

لَقَدۡ وُعِدۡنَا هَٰذَا نَحۡنُ وَءَابَآؤُنَا مِن قَبۡلُ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿68﴾

. Mazima ffe ne bakadde baffe okuva edda kino kizze kitulagaanyisibwa (nga tewali kibaawo, n'olwekyo) bino tebiri okugyako nfumo z'abaakulembera.

27:69

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿69﴾

. Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe ngeriki enkomerero ya boonoonyi bwe yali.

27:70

وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَلَا تَكُن فِي ضَيۡقٖ مِّمَّا يَمۡكُرُونَ ﴿70﴾

. Tonakuwala ku lwabwe era towulira bubi olw'enkwe ze basala.

27:71

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿71﴾

. Era bagamba nti endagaano eyo erituuka ddi bwe muba nga mwogera mazima.

27:72

قُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ رَدِفَ لَكُم بَعۡضُ ٱلَّذِي تَسۡتَعۡجِلُونَ ﴿72﴾

. Bagambe nti, si kulwa nga musemberedde ebimu ku ebyo bye musaba okubatuukako mu bwangu.

27:73

وَإِنَّ رَبَّكَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿73﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ajjudde ebirungi byagabira abantu, naye abasinga obungi mu bo tebeebaza.

27:74

وَإِنَّ رَبَّكَ لَيَعۡلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمۡ وَمَا يُعۡلِنُونَ ﴿74﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bya bwe bye bikweka n'ebyo bye bakola mu lwatu.

27:75

وَمَا مِنۡ غَآئِبَةٖ فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٍ ﴿75﴾

. Era tewali kyekusifu kyonna mu ggulu ne munsi wabula nga nakyo Kiri mu kitabo ekiraga buli kimu.

27:76

إِنَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ يَقُصُّ عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ أَكۡثَرَ ٱلَّذِي هُمۡ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿76﴾

. Mazima Kur’ani eno etegeeza abaana ba Israil ebisinga obungi ebyo bye baawukanamu.

27:77

وَإِنَّهُۥ لَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿77﴾

. Era mazima yyo bulungamu na kusaasira eri abakkiriza.

27:78

إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُم بِحُكۡمِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿78﴾

. Era Mukama omulabiriziwo alitaawulula wakati wa bwe nga abalamula, era yye ye nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.

27:79

فَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۖ إِنَّكَ عَلَى ٱلۡحَقِّ ٱلۡمُبِينِ ﴿79﴾

. N'olwekyo (ggwe Muhammad) weekwate ku Katonda, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu.

27:80

إِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ ﴿80﴾

. (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega.

27:81

وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِي ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ ﴿81﴾

. Era ggwe tosobola kulungamya ba muzibe noobaggya ku bubuze bwa bwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda.

27:82

وَإِذَا وَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِمۡ أَخۡرَجۡنَا لَهُمۡ دَآبَّةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ تُكَلِّمُهُمۡ أَنَّ ٱلنَّاسَ كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا لَا يُوقِنُونَ ﴿82﴾

. Ekigambo bwe kiribagwaako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa bigambo byaffe.

27:83

وَيَوۡمَ نَحۡشُرُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ فَوۡجٗا مِّمَّن يُكَذِّبُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُمۡ يُوزَعُونَ ﴿83﴾

. Era babuulire olunaku lwe tulikungaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bawalulwa mu miteeko.

27:84

حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُو قَالَ أَكَذَّبۡتُم بِـَٔايَٰتِي وَلَمۡ تُحِيطُواْ بِهَا عِلۡمًا أَمَّاذَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿84﴾

. Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki?.

27:85

وَوَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِم بِمَا ظَلَمُواْ فَهُمۡ لَا يَنطِقُونَ ﴿85﴾

. Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakataako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula.

27:86

أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِيَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿86﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza.

27:87

وَيَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِ فَفَزِعَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۚ وَكُلٌّ أَتَوۡهُ دَٰخِرِينَ ﴿87﴾

. Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa.

27:88

وَتَرَى ٱلۡجِبَالَ تَحۡسَبُهَا جَامِدَةٗ وَهِيَ تَمُرُّ مَرَّ ٱلسَّحَابِۚ صُنۡعَ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ أَتۡقَنَ كُلَّ شَيۡءٍۚ إِنَّهُۥ خَبِيرُۢ بِمَا تَفۡعَلُونَ ﴿88﴾

. Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola.

27:89

مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ خَيۡرٞ مِّنۡهَا وَهُم مِّن فَزَعٖ يَوۡمَئِذٍ ءَامِنُونَ ﴿89﴾

. Oyo yenna alijja n'ekirungi agenda kuweebwa ekirungi ekikisingako, era bbo baliba mirembe ku ntiisa y'olunaku olwo.

27:90

وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَكُبَّتۡ وُجُوهُهُمۡ فِي ٱلنَّارِ هَلۡ تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿90﴾

. N'oyo alijja n'ekibi ebyenyi byabwe bigenda kuvumbikibwa mu muliro, abaffe mulisasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola.

27:91

إِنَّمَآ أُمِرۡتُ أَنۡ أَعۡبُدَ رَبَّ هَٰذِهِ ٱلۡبَلۡدَةِ ٱلَّذِي حَرَّمَهَا وَلَهُۥ كُلُّ شَيۡءٖۖ وَأُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿91﴾

. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima nalagirwa okuba nga nsinza Mukama omulabirizi w'ekibuga kino (Makkah) oyo eyakifuula e ky'emizizo era buli kintu kyonna kikye era nnalagirwa okubeera mu beewa ewa Katonda.

27:92

وَأَنۡ أَتۡلُوَاْ ٱلۡقُرۡءَانَۖ فَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهۡتَدِي لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن ضَلَّ فَقُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ ﴿92﴾

. (Era nnalagirwa) okuba nga nsoma Kur’ani, kale nno oyo yenna alungama alungama ku lulwe, ate oyo abula, bagambe nti mazima nze ndi wa mu batiisa.

27:93

وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ سَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ فَتَعۡرِفُونَهَاۚ وَمَا رَبُّكَ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿93﴾

. Era gamba nti buli kitendo kyonna kya Mukama Katonda ajja kubalaga obubonerobwe muli bumanya (ng'ate tebukyabagasa) Mukama omulabiriziwo tabangako atafaayo ku ebyo bye mukola.

28:1

طسٓمٓ ﴿1﴾

. Twaa Siin Miim.

28:2

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ﴿2﴾

. Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola.

28:3

نَتۡلُواْ عَلَيۡكَ مِن نَّبَإِ مُوسَىٰ وَفِرۡعَوۡنَ بِٱلۡحَقِّ لِقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿3﴾

. Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza.

28:4

إِنَّ فِرۡعَوۡنَ عَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلَ أَهۡلَهَا شِيَعٗا يَسۡتَضۡعِفُ طَآئِفَةٗ مِّنۡهُمۡ يُذَبِّحُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَيَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿4﴾

. Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi.

28:5

وَنُرِيدُ أَن نَّمُنَّ عَلَى ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنَجۡعَلَهُمۡ أَئِمَّةٗ وَنَجۡعَلَهُمُ ٱلۡوَٰرِثِينَ ﴿5﴾

. Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka).

28:6

وَنُمَكِّنَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنُرِيَ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا مِنۡهُم مَّا كَانُواْ يَحۡذَرُونَ ﴿6﴾

. Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka.

28:7

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَرۡضِعِيهِۖ فَإِذَا خِفۡتِ عَلَيۡهِ فَأَلۡقِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ وَلَا تَخَافِي وَلَا تَحۡزَنِيٓۖ إِنَّا رَآدُّوهُ إِلَيۡكِ وَجَاعِلُوهُ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿7﴾

. Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka.

28:8

فَٱلۡتَقَطَهُۥٓ ءَالُ فِرۡعَوۡنَ لِيَكُونَ لَهُمۡ عَدُوّٗا وَحَزَنًاۗ إِنَّ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا كَانُواْ خَٰطِـِٔينَ ﴿8﴾

. Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya.

28:9

وَقَالَتِ ٱمۡرَأَتُ فِرۡعَوۡنَ قُرَّتُ عَيۡنٖ لِّي وَلَكَۖ لَا تَقۡتُلُوهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿9﴾

. Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera).

28:10

وَأَصۡبَحَ فُؤَادُ أُمِّ مُوسَىٰ فَٰرِغًاۖ إِن كَادَتۡ لَتُبۡدِي بِهِۦ لَوۡلَآ أَن رَّبَطۡنَا عَلَىٰ قَلۡبِهَا لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿10﴾

. Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.

28:11

وَقَالَتۡ لِأُخۡتِهِۦ قُصِّيهِۖ فَبَصُرَتۡ بِهِۦ عَن جُنُبٖ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿11﴾

. (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi.

28:12

وَحَرَّمۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَرَاضِعَ مِن قَبۡلُ فَقَالَتۡ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰٓ أَهۡلِ بَيۡتٖ يَكۡفُلُونَهُۥ لَكُمۡ وَهُمۡ لَهُۥ نَٰصِحُونَ ﴿12﴾

. Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira.

28:13

فَرَدَدۡنَٰهُ إِلَىٰٓ أُمِّهِۦ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَ وَلِتَعۡلَمَ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿13﴾

. Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

28:14

وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُۥ وَٱسۡتَوَىٰٓ ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿14﴾

. (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.

28:15

وَدَخَلَ ٱلۡمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفۡلَةٖ مِّنۡ أَهۡلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيۡنِ يَقۡتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِۦ وَهَٰذَا مِنۡ عَدُوِّهِۦۖ فَٱسۡتَغَٰثَهُ ٱلَّذِي مِن شِيعَتِهِۦ عَلَى ٱلَّذِي مِنۡ عَدُوِّهِۦ فَوَكَزَهُۥ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيۡهِۖ قَالَ هَٰذَا مِنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّهُۥ عَدُوّٞ مُّضِلّٞ مُّبِينٞ ﴿15﴾

. (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.

28:16

قَالَ رَبِّ إِنِّي ظَلَمۡتُ نَفۡسِي فَٱغۡفِرۡ لِي فَغَفَرَ لَهُۥٓۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿16﴾

. (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.

28:17

قَالَ رَبِّ بِمَآ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ فَلَنۡ أَكُونَ ظَهِيرٗا لِّلۡمُجۡرِمِينَ ﴿17﴾

. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi.

28:18

فَأَصۡبَحَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُ فَإِذَا ٱلَّذِي ٱسۡتَنصَرَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَسۡتَصۡرِخُهُۥۚ قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰٓ إِنَّكَ لَغَوِيّٞ مُّبِينٞ ﴿18﴾

. Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu.

28:19

فَلَمَّآ أَنۡ أَرَادَ أَن يَبۡطِشَ بِٱلَّذِي هُوَ عَدُوّٞ لَّهُمَا قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ أَتُرِيدُ أَن تَقۡتُلَنِي كَمَا قَتَلۡتَ نَفۡسَۢا بِٱلۡأَمۡسِۖ إِن تُرِيدُ إِلَّآ أَن تَكُونَ جَبَّارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ ﴿19﴾

. Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.

28:20

وَجَآءَ رَجُلٞ مِّنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ ٱلۡمَلَأَ يَأۡتَمِرُونَ بِكَ لِيَقۡتُلُوكَ فَٱخۡرُجۡ إِنِّي لَكَ مِنَ ٱلنَّـٰصِحِينَ ﴿20﴾

. Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira.

28:21

فَخَرَجَ مِنۡهَا خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُۖ قَالَ رَبِّ نَجِّنِي مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿21﴾

. Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.

28:22

وَلَمَّا تَوَجَّهَ تِلۡقَآءَ مَدۡيَنَ قَالَ عَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يَهۡدِيَنِي سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ ﴿22﴾

. Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu.

28:23

وَلَمَّا وَرَدَ مَآءَ مَدۡيَنَ وَجَدَ عَلَيۡهِ أُمَّةٗ مِّنَ ٱلنَّاسِ يَسۡقُونَ وَوَجَدَ مِن دُونِهِمُ ٱمۡرَأَتَيۡنِ تَذُودَانِۖ قَالَ مَا خَطۡبُكُمَاۖ قَالَتَا لَا نَسۡقِي حَتَّىٰ يُصۡدِرَ ٱلرِّعَآءُۖ وَأَبُونَا شَيۡخٞ كَبِيرٞ ﴿23﴾

. Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo.

28:24

فَسَقَىٰ لَهُمَا ثُمَّ تَوَلَّىٰٓ إِلَى ٱلظِّلِّ فَقَالَ رَبِّ إِنِّي لِمَآ أَنزَلۡتَ إِلَيَّ مِنۡ خَيۡرٖ فَقِيرٞ ﴿24﴾

. Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde.

28:25

فَجَآءَتۡهُ إِحۡدَىٰهُمَا تَمۡشِي عَلَى ٱسۡتِحۡيَآءٖ قَالَتۡ إِنَّ أَبِي يَدۡعُوكَ لِيَجۡزِيَكَ أَجۡرَ مَا سَقَيۡتَ لَنَاۚ فَلَمَّا جَآءَهُۥ وَقَصَّ عَلَيۡهِ ٱلۡقَصَصَ قَالَ لَا تَخَفۡۖ نَجَوۡتَ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿25﴾

. (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi.

28:26

قَالَتۡ إِحۡدَىٰهُمَا يَـٰٓأَبَتِ ٱسۡتَـٔۡجِرۡهُۖ إِنَّ خَيۡرَ مَنِ ٱسۡتَـٔۡجَرۡتَ ٱلۡقَوِيُّ ٱلۡأَمِينُ ﴿26﴾

. (Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa

28:27

قَالَ إِنِّيٓ أُرِيدُ أَنۡ أُنكِحَكَ إِحۡدَى ٱبۡنَتَيَّ هَٰتَيۡنِ عَلَىٰٓ أَن تَأۡجُرَنِي ثَمَٰنِيَ حِجَجٖۖ فَإِنۡ أَتۡمَمۡتَ عَشۡرٗا فَمِنۡ عِندِكَۖ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أَشُقَّ عَلَيۡكَۚ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿27﴾

. (Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi.

28:28

قَالَ ذَٰلِكَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَۖ أَيَّمَا ٱلۡأَجَلَيۡنِ قَضَيۡتُ فَلَا عُدۡوَٰنَ عَلَيَّۖ وَٱللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٞ ﴿28﴾

. (Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.

28:29

فَلَمَّا قَضَىٰ مُوسَى ٱلۡأَجَلَ وَسَارَ بِأَهۡلِهِۦٓ ءَانَسَ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ نَارٗاۖ قَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِخَبَرٍ أَوۡ جَذۡوَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ لَعَلَّكُمۡ تَصۡطَلُونَ ﴿29﴾

. Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.

28:30

فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ مِن شَٰطِيِٕ ٱلۡوَادِ ٱلۡأَيۡمَنِ فِي ٱلۡبُقۡعَةِ ٱلۡمُبَٰرَكَةِ مِنَ ٱلشَّجَرَةِ أَن يَٰمُوسَىٰٓ إِنِّيٓ أَنَا ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿30﴾

. Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde.

28:31

وَأَنۡ أَلۡقِ عَصَاكَۚ فَلَمَّا رَءَاهَا تَهۡتَزُّ كَأَنَّهَا جَآنّٞ وَلَّىٰ مُدۡبِرٗا وَلَمۡ يُعَقِّبۡۚ يَٰمُوسَىٰٓ أَقۡبِلۡ وَلَا تَخَفۡۖ إِنَّكَ مِنَ ٱلۡأٓمِنِينَ ﴿31﴾

. Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe.

28:32

ٱسۡلُكۡ يَدَكَ فِي جَيۡبِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٖ وَٱضۡمُمۡ إِلَيۡكَ جَنَاحَكَ مِنَ ٱلرَّهۡبِۖ فَذَٰنِكَ بُرۡهَٰنَانِ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ ﴿32﴾

. Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi.

28:33

قَالَ رَبِّ إِنِّي قَتَلۡتُ مِنۡهُمۡ نَفۡسٗا فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ ﴿33﴾

. (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.

28:34

وَأَخِي هَٰرُونُ هُوَ أَفۡصَحُ مِنِّي لِسَانٗا فَأَرۡسِلۡهُ مَعِيَ رِدۡءٗا يُصَدِّقُنِيٓۖ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ ﴿34﴾

. Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa.

28:35

قَالَ سَنَشُدُّ عَضُدَكَ بِأَخِيكَ وَنَجۡعَلُ لَكُمَا سُلۡطَٰنٗا فَلَا يَصِلُونَ إِلَيۡكُمَا بِـَٔايَٰتِنَآۚ أَنتُمَا وَمَنِ ٱتَّبَعَكُمَا ٱلۡغَٰلِبُونَ ﴿35﴾

. Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula.

28:36

فَلَمَّا جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَا بَيِّنَٰتٖ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّفۡتَرٗى وَمَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿36﴾

. Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka

28:37

وَقَالَ مُوسَىٰ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ مِنۡ عِندِهِۦ وَمَن تَكُونُ لَهُۥ عَٰقِبَةُ ٱلدَّارِۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿37﴾

. Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi.

28:38

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَأُ مَا عَلِمۡتُ لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرِي فَأَوۡقِدۡ لِي يَٰهَٰمَٰنُ عَلَى ٱلطِّينِ فَٱجۡعَل لِّي صَرۡحٗا لَّعَلِّيٓ أَطَّلِعُ إِلَىٰٓ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُۥ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿38﴾

. Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba.

28:39

وَٱسۡتَكۡبَرَ هُوَ وَجُنُودُهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ إِلَيۡنَا لَا يُرۡجَعُونَ ﴿39﴾

. Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli.

28:40

فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿40﴾

. Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali.

28:41

وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلنَّارِۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا يُنصَرُونَ ﴿41﴾

. Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa.

28:42

وَأَتۡبَعۡنَٰهُمۡ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا لَعۡنَةٗۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ هُم مِّنَ ٱلۡمَقۡبُوحِينَ ﴿42﴾

. Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi.

28:43

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَهۡلَكۡنَا ٱلۡقُرُونَ ٱلۡأُولَىٰ بَصَآئِرَ لِلنَّاسِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لَّعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ﴿43﴾

. Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira.

28:44

وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلۡغَرۡبِيِّ إِذۡ قَضَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَى ٱلۡأَمۡرَ وَمَا كُنتَ مِنَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿44﴾

. Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo).

28:45

وَلَٰكِنَّآ أَنشَأۡنَا قُرُونٗا فَتَطَاوَلَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۚ وَمَا كُنتَ ثَاوِيٗا فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ تَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَا وَلَٰكِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ ﴿45﴾

. Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka.

28:46

وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلطُّورِ إِذۡ نَادَيۡنَا وَلَٰكِن رَّحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أَتَىٰهُم مِّن نَّذِيرٖ مِّن قَبۡلِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ﴿46﴾

. Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira.

28:47

وَلَوۡلَآ أَن تُصِيبَهُم مُّصِيبَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ فَيَقُولُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ وَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿47﴾

. (Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza.

28:48

فَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ مِنۡ عِندِنَا قَالُواْ لَوۡلَآ أُوتِيَ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ مُوسَىٰٓۚ أَوَلَمۡ يَكۡفُرُواْ بِمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ مِن قَبۡلُۖ قَالُواْ سِحۡرَانِ تَظَٰهَرَا وَقَالُوٓاْ إِنَّا بِكُلّٖ كَٰفِرُونَ ﴿48﴾

. Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo.

28:49

قُلۡ فَأۡتُواْ بِكِتَٰبٖ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ هُوَ أَهۡدَىٰ مِنۡهُمَآ أَتَّبِعۡهُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿49﴾

. Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima.

28:50

فَإِن لَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكَ فَٱعۡلَمۡ أَنَّمَا يَتَّبِعُونَ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَمَنۡ أَضَلُّ مِمَّنِ ٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ بِغَيۡرِ هُدٗى مِّنَ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿50﴾

. Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

28:51

وَلَقَدۡ وَصَّلۡنَا لَهُمُ ٱلۡقَوۡلَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ﴿51﴾

. Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira.

28:52

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِهِۦ هُم بِهِۦ يُؤۡمِنُونَ ﴿52﴾

. Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani).

28:53

وَإِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦٓ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّنَآ إِنَّا كُنَّا مِن قَبۡلِهِۦ مُسۡلِمِينَ ﴿53﴾

. Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu.

28:54

أُوْلَـٰٓئِكَ يُؤۡتَوۡنَ أَجۡرَهُم مَّرَّتَيۡنِ بِمَا صَبَرُواْ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿54﴾

. Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira.

28:55

وَإِذَا سَمِعُواْ ٱللَّغۡوَ أَعۡرَضُواْ عَنۡهُ وَقَالُواْ لَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ لَا نَبۡتَغِي ٱلۡجَٰهِلِينَ ﴿55﴾

. Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera.

28:56

إِنَّكَ لَا تَهۡدِي مَنۡ أَحۡبَبۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿56﴾

. Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu.

28:57

وَقَالُوٓاْ إِن نَّتَّبِعِ ٱلۡهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفۡ مِنۡ أَرۡضِنَآۚ أَوَلَمۡ نُمَكِّن لَّهُمۡ حَرَمًا ءَامِنٗا يُجۡبَىٰٓ إِلَيۡهِ ثَمَرَٰتُ كُلِّ شَيۡءٖ رِّزۡقٗا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿57﴾

. Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

28:58

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةِۭ بَطِرَتۡ مَعِيشَتَهَاۖ فَتِلۡكَ مَسَٰكِنُهُمۡ لَمۡ تُسۡكَن مِّنۢ بَعۡدِهِمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ وَكُنَّا نَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثِينَ ﴿58﴾

. Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira.

28:59

وَمَا كَانَ رَبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ حَتَّىٰ يَبۡعَثَ فِيٓ أُمِّهَا رَسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۚ وَمَا كُنَّا مُهۡلِكِي ٱلۡقُرَىٰٓ إِلَّا وَأَهۡلُهَا ظَٰلِمُونَ ﴿59﴾

. Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi.

28:60

وَمَآ أُوتِيتُم مِّن شَيۡءٖ فَمَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتُهَاۚ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿60﴾

. Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera!.

28:61

أَفَمَن وَعَدۡنَٰهُ وَعۡدًا حَسَنٗا فَهُوَ لَٰقِيهِ كَمَن مَّتَّعۡنَٰهُ مَتَٰعَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ هُوَ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ ﴿61﴾

. Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.

28:62

وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ ﴿62﴾

. Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako.

28:63

قَالَ ٱلَّذِينَ حَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَوۡلُ رَبَّنَا هَـٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ أَغۡوَيۡنَآ أَغۡوَيۡنَٰهُمۡ كَمَا غَوَيۡنَاۖ تَبَرَّأۡنَآ إِلَيۡكَۖ مَا كَانُوٓاْ إِيَّانَا يَعۡبُدُونَ ﴿63﴾

. Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe.

28:64

وَقِيلَ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ لَوۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ يَهۡتَدُونَ ﴿64﴾

. Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama.

28:65

وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ مَاذَآ أَجَبۡتُمُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿65﴾

. Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka.

28:66

فَعَمِيَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَنۢبَآءُ يَوۡمَئِذٖ فَهُمۡ لَا يَتَسَآءَلُونَ ﴿66﴾

. Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya.

28:67

فَأَمَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَعَسَىٰٓ أَن يَكُونَ مِنَ ٱلۡمُفۡلِحِينَ ﴿67﴾

. Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi.

28:68

وَرَبُّكَ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُ وَيَخۡتَارُۗ مَا كَانَ لَهُمُ ٱلۡخِيَرَةُۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿68﴾

. Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.

28:69

وَرَبُّكَ يَعۡلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمۡ وَمَا يُعۡلِنُونَ ﴿69﴾

. Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu.

28:70

وَهُوَ ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأُولَىٰ وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿70﴾

. Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa.

28:71

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلَّيۡلَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِضِيَآءٍۚ أَفَلَا تَسۡمَعُونَ ﴿71﴾

. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!.

28:72

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلنَّهَارَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِلَيۡلٖ تَسۡكُنُونَ فِيهِۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ ﴿72﴾

. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba!.

28:73

وَمِن رَّحۡمَتِهِۦ جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿73﴾

. Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza.

28:74

وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ ﴿74﴾

. Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga.

28:75

وَنَزَعۡنَا مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا فَقُلۡنَا هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ فَعَلِمُوٓاْ أَنَّ ٱلۡحَقَّ لِلَّهِ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿75﴾

. Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga.

28:76

إِنَّ قَٰرُونَ كَانَ مِن قَوۡمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيۡهِمۡۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡكُنُوزِ مَآ إِنَّ مَفَاتِحَهُۥ لَتَنُوٓأُ بِٱلۡعُصۡبَةِ أُوْلِي ٱلۡقُوَّةِ إِذۡ قَالَ لَهُۥ قَوۡمُهُۥ لَا تَفۡرَحۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَرِحِينَ ﴿76﴾

. Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.

28:77

وَٱبۡتَغِ فِيمَآ ءَاتَىٰكَ ٱللَّهُ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَۖ وَلَا تَنسَ نَصِيبَكَ مِنَ ٱلدُّنۡيَاۖ وَأَحۡسِن كَمَآ أَحۡسَنَ ٱللَّهُ إِلَيۡكَۖ وَلَا تَبۡغِ ٱلۡفَسَادَ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿77﴾

. Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi.

28:78

قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمٍ عِندِيٓۚ أَوَلَمۡ يَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَهۡلَكَ مِن قَبۡلِهِۦ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مَنۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرُ جَمۡعٗاۚ وَلَا يُسۡـَٔلُ عَن ذُنُوبِهِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿78﴾

. (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).

28:79

فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ فِي زِينَتِهِۦۖ قَالَ ٱلَّذِينَ يُرِيدُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا يَٰلَيۡتَ لَنَا مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ قَٰرُونُ إِنَّهُۥ لَذُو حَظٍّ عَظِيمٖ ﴿79﴾

. (Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene.

28:80

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَيۡلَكُمۡ ثَوَابُ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لِّمَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗاۚ وَلَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلصَّـٰبِرُونَ ﴿80﴾

. Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza.

28:81

فَخَسَفۡنَا بِهِۦ وَبِدَارِهِ ٱلۡأَرۡضَ فَمَا كَانَ لَهُۥ مِن فِئَةٖ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُنتَصِرِينَ ﴿81﴾

. Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa.

28:82

وَأَصۡبَحَ ٱلَّذِينَ تَمَنَّوۡاْ مَكَانَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَقُولُونَ وَيۡكَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُۖ لَوۡلَآ أَن مَّنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا لَخَسَفَ بِنَاۖ وَيۡكَأَنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿82﴾

. Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi.

28:83

تِلۡكَ ٱلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ نَجۡعَلُهَا لِلَّذِينَ لَا يُرِيدُونَ عُلُوّٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فَسَادٗاۚ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿83﴾

. Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda.

28:84

مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ خَيۡرٞ مِّنۡهَاۖ وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَلَا يُجۡزَى ٱلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿84﴾

. Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola.

28:85

إِنَّ ٱلَّذِي فَرَضَ عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لَرَآدُّكَ إِلَىٰ مَعَادٖۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ مَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ وَمَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿85﴾

. Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu.

28:86

وَمَا كُنتَ تَرۡجُوٓاْ أَن يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبُ إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرٗا لِّلۡكَٰفِرِينَ ﴿86﴾

. Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri.

28:87

وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بَعۡدَ إِذۡ أُنزِلَتۡ إِلَيۡكَۖ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿87﴾

. Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.

28:88

وَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۘ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ كُلُّ شَيۡءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجۡهَهُۥۚ لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿88﴾

. Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.

29:1

الٓمٓ ﴿1﴾

. Alif Laam Miim.

29:2

أَحَسِبَ ٱلنَّاسُ أَن يُتۡرَكُوٓاْ أَن يَقُولُوٓاْ ءَامَنَّا وَهُمۡ لَا يُفۡتَنُونَ ﴿2﴾

. Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa.

29:3

وَلَقَدۡ فَتَنَّا ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ فَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿3﴾

. Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Katonda ajja kumanyira ddala abo ab'esimbu (mu bukkiriza bwa bwe) era ajja kumanyira ddala abalimba.

29:4

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَسۡبِقُونَاۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ﴿4﴾

. Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi.

29:5

مَن كَانَ يَرۡجُواْ لِقَآءَ ٱللَّهِ فَإِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ لَأٓتٖۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿5﴾

. Oyo yenna asuubira okusisinkana Katonda mazima e kiseera kya Katonda (okumusisinkana) kijja, era yye ye muwulizi ennyo omumanyi ennyo.

29:6

وَمَن جَٰهَدَ فَإِنَّمَا يُجَٰهِدُ لِنَفۡسِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَنِيٌّ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿6﴾

. Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde.

29:7

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَنُكَفِّرَنَّ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَحۡسَنَ ٱلَّذِي كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿7﴾

. Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi bya bwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola.

29:8

وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ حُسۡنٗاۖ وَإِن جَٰهَدَاكَ لِتُشۡرِكَ بِي مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٞ فَلَا تُطِعۡهُمَآۚ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿8﴾

. Era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga.

29:9

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَنُدۡخِلَنَّهُمۡ فِي ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿9﴾

. Era abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu.

29:10

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ فَإِذَآ أُوذِيَ فِي ٱللَّهِ جَعَلَ فِتۡنَةَ ٱلنَّاسِ كَعَذَابِ ٱللَّهِۖ وَلَئِن جَآءَ نَصۡرٞ مِّن رَّبِّكَ لَيَقُولُنَّ إِنَّا كُنَّا مَعَكُمۡۚ أَوَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِأَعۡلَمَ بِمَا فِي صُدُورِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿10﴾

. Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde!.

29:11

وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ ﴿11﴾

. Katonda ajja kumanyira ddala abo abakkiriza era nga bwajja okumanyira ddala abannanfusi.

29:12

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّبِعُواْ سَبِيلَنَا وَلۡنَحۡمِلۡ خَطَٰيَٰكُمۡ وَمَا هُم بِحَٰمِلِينَ مِنۡ خَطَٰيَٰهُم مِّن شَيۡءٍۖ إِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿12﴾

. Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba.

29:13

وَلَيَحۡمِلُنَّ أَثۡقَالَهُمۡ وَأَثۡقَالٗا مَّعَ أَثۡقَالِهِمۡۖ وَلَيُسۡـَٔلُنَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَمَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿13﴾

. Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye baatemereranga.

29:14

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَلَبِثَ فِيهِمۡ أَلۡفَ سَنَةٍ إِلَّا خَمۡسِينَ عَامٗا فَأَخَذَهُمُ ٱلطُّوفَانُ وَهُمۡ ظَٰلِمُونَ ﴿14﴾

. Mazima twatuma Nuuhu eri abantube naamala mu bo emyaka lukumi okugyako emyaka ataano, olwo nno amataba negabakwata nga nabo bali mu kweyisa bubi.

29:15

فَأَنجَيۡنَٰهُ وَأَصۡحَٰبَ ٱلسَّفِينَةِ وَجَعَلۡنَٰهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿15﴾

. Netumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu.

29:16

وَإِبۡرَٰهِيمَ إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُۖ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿16﴾

. Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibrahim bwe yagamba abantube nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi.

29:17

إِنَّمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنٗا وَتَخۡلُقُونَ إِفۡكًاۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ لَكُمۡ رِزۡقٗا فَٱبۡتَغُواْ عِندَ ٱللَّهِ ٱلرِّزۡقَ وَٱعۡبُدُوهُ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥٓۖ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿17﴾

. Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa.

29:18

وَإِن تُكَذِّبُواْ فَقَدۡ كَذَّبَ أُمَمٞ مِّن قَبۡلِكُمۡۖ وَمَا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿18﴾

. Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa oluberyeberye lwa mmwe, ate omubaka tavunaanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka) okweyolefu.

29:19

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ كَيۡفَ يُبۡدِئُ ٱللَّهُ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥٓۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿19﴾

. Abaffe tebalaba engeri Katonda gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvanyuma n'abizzaawo mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.

29:20

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ بَدَأَ ٱلۡخَلۡقَۚ ثُمَّ ٱللَّهُ يُنشِئُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأٓخِرَةَۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿20﴾

. Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Katonda agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Katonda muyinza ku buli kintu.

29:21

يُعَذِّبُ مَن يَشَآءُ وَيَرۡحَمُ مَن يَشَآءُۖ وَإِلَيۡهِ تُقۡلَبُونَ ﴿21﴾

. Abonereza oyo gwaba ayagadde era n'asaasira oyo gwaba ayagadde era gyali gye mulikyusibwa okudda.

29:22

وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِۖ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٖ ﴿22﴾

. Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa.

29:23

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَلِقَآئِهِۦٓ أُوْلَـٰٓئِكَ يَئِسُواْ مِن رَّحۡمَتِي وَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿23﴾

. Abo abawakanya ebigambo bya Katonda n'okumusisinkana abo baakutuka n'okusuubira okusaasira kwange era abo balina ebibonerezo e biruma ennyo.

29:24

فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱقۡتُلُوهُ أَوۡ حَرِّقُوهُ فَأَنجَىٰهُ ٱللَّهُ مِنَ ٱلنَّارِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿24﴾

. Okwanukula kwa bantube tekwali okugyako okugamba nti: mumutte oba mumwokye awo nno Katonda naamuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.

29:25

وَقَالَ إِنَّمَا ٱتَّخَذۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنٗا مَّوَدَّةَ بَيۡنِكُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكۡفُرُ بَعۡضُكُم بِبَعۡضٖ وَيَلۡعَنُ بَعۡضُكُم بَعۡضٗا وَمَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿25﴾

. (Ibrahim) naabagamba nti mulese Katonda ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wa mmwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwa mmwe muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira).

29:26

فَـَٔامَنَ لَهُۥ لُوطٞۘ وَقَالَ إِنِّي مُهَاجِرٌ إِلَىٰ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿26﴾

. Olwo nno Luutu naamukkiriza era naagamba nti mazima nze ngenda kusenguka nzire ewa Mukama omulabirizi wange, mazima yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

29:27

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَجَعَلۡنَا فِي ذُرِّيَّتِهِ ٱلنُّبُوَّةَ وَٱلۡكِتَٰبَ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَجۡرَهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَإِنَّهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ لَمِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿27﴾

. Era (Ibrahim) ne tumugabira Ishaaka ne Yakub era netussa mu zzadderye obwa Nabbi n'ebitabo (Taurat, Zaburi, Injiiri, Kur’ani) era twamuwa empeeraye ku nsi era mazima yye ku nkomerero wa mu bakozi ba bulungi.

29:28

وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ إِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مَا سَبَقَكُم بِهَا مِنۡ أَحَدٖ مِّنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿28﴾

. Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantube nti mazima mmwe mukola ekivve awatabanga muntu n'omu yakibasookako.

29:29

أَئِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلرِّجَالَ وَتَقۡطَعُونَ ٱلسَّبِيلَ وَتَأۡتُونَ فِي نَادِيكُمُ ٱلۡمُنكَرَۖ فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱئۡتِنَا بِعَذَابِ ٱللَّهِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿29﴾

. Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne mukutula amakubo (ku bantu nga mubateega), ne mukola e bitasaana mu bifo bya mmwe wemukunganira. Okwanukula kw'abantube tekwali okugyako okugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Katonda bwoba nga oli mu boogera amazima.

29:30

قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿30﴾

. (Luutu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku bantu abOonoonyi.

29:31

وَلَمَّا جَآءَتۡ رُسُلُنَآ إِبۡرَٰهِيمَ بِٱلۡبُشۡرَىٰ قَالُوٓاْ إِنَّا مُهۡلِكُوٓاْ أَهۡلِ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِۖ إِنَّ أَهۡلَهَا كَانُواْ ظَٰلِمِينَ ﴿31﴾

. Ababaka baffe (ba Malayika) bwe bajja ewa Ibrahim nga bamuleetedde amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala omwana Ishaka) baagamba nti mazima ffe (bwe tuva wano) tugenda kuzikiriza abantu b'omu kitundu kiri mazima abantu baamu babadde beeyisa bubi.

29:32

قَالَ إِنَّ فِيهَا لُوطٗاۚ قَالُواْ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَن فِيهَاۖ لَنُنَجِّيَنَّهُۥ وَأَهۡلَهُۥٓ إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ كَانَتۡ مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ﴿32﴾

. (Ibrahim) naagamba nti mazima mu kyo Luutu mwabeera, ne bagamba nti ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe ali mu abo ab'okusigala.

29:33

وَلَمَّآ أَن جَآءَتۡ رُسُلُنَا لُوطٗا سِيٓءَ بِهِمۡ وَضَاقَ بِهِمۡ ذَرۡعٗاۖ وَقَالُواْ لَا تَخَفۡ وَلَا تَحۡزَنۡ إِنَّا مُنَجُّوكَ وَأَهۡلَكَ إِلَّا ٱمۡرَأَتَكَ كَانَتۡ مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ﴿33﴾

. Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwab bwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantubo okugyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala.

29:34

إِنَّا مُنزِلُونَ عَلَىٰٓ أَهۡلِ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِ رِجۡزٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿34﴾

. Mazima ffe tugenda kussa ku bantu b'ekitundu kino e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye baali boonoona.

29:35

وَلَقَد تَّرَكۡنَا مِنۡهَآ ءَايَةَۢ بَيِّنَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿35﴾

. Era mazima olw'ekikolwa ekyo twaleka a kabonero ak'enkukunala eri abantu abategeera.

29:36

وَإِلَىٰ مَدۡيَنَ أَخَاهُمۡ شُعَيۡبٗا فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱرۡجُواْ ٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ ﴿36﴾

. Era (jjukira) bwe twatumira abantu be Madiyana Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, era mususubire (okusasulwa ku) lunaku lw'enkomerero, temukola ebikyamu mu nsi ne muba aboonoonyi.

29:37

فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلرَّجۡفَةُ فَأَصۡبَحُواْ فِي دَارِهِمۡ جَٰثِمِينَ ﴿37﴾

. Baamulimbisa olwo nno olubwatuka olw'amanyi ne lubatuukako ne bafuuka emirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.

29:38

وَعَادٗا وَثَمُودَاْ وَقَد تَّبَيَّنَ لَكُم مِّن مَّسَٰكِنِهِمۡۖ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ وَكَانُواْ مُسۡتَبۡصِرِينَ ﴿38﴾

. Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya A’di ne Thamud, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe emibi, olwo nno neebaggya ku kkubo so nga ate baali balaba (olwa ba Nabbi be baali bafunye).

29:39

وَقَٰرُونَ وَفِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كَانُواْ سَٰبِقِينَ ﴿39﴾

. Era jjukira Karuna ne Firaawo ne Haamaan, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka.

29:40

فَكُلًّا أَخَذۡنَا بِذَنۢبِهِۦۖ فَمِنۡهُم مَّنۡ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِ حَاصِبٗا وَمِنۡهُم مَّنۡ أَخَذَتۡهُ ٱلصَّيۡحَةُ وَمِنۡهُم مَّنۡ خَسَفۡنَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ وَمِنۡهُم مَّنۡ أَغۡرَقۡنَاۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿40﴾

. Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi.

29:41

مَثَلُ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَ كَمَثَلِ ٱلۡعَنكَبُوتِ ٱتَّخَذَتۡ بَيۡتٗاۖ وَإِنَّ أَوۡهَنَ ٱلۡبُيُوتِ لَبَيۡتُ ٱلۡعَنكَبُوتِۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿41﴾

. Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi.

29:42

إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿42﴾

. Mazima Katonda amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

29:43

وَتِلۡكَ ٱلۡأَمۡثَٰلُ نَضۡرِبُهَا لِلنَّاسِۖ وَمَا يَعۡقِلُهَآ إِلَّا ٱلۡعَٰلِمُونَ ﴿43﴾

. Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi.

29:44

خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿44﴾

. Katonda yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abakkiriza.

29:45

ٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَۖ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ تَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۗ وَلَذِكۡرُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَصۡنَعُونَ ﴿45﴾

. Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola.