quranm◉

Juz 21 ۞وَلَا تُجَٰدِلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ

Range
from 29:46 to 33:30
Surahs covered
Okuvvuunula
178 Okuvvuunula

◉

29:46

وَلَا تُجَٰدِلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ إِلَّا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡۖ وَقُولُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡنَا وَأُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَإِلَٰهُنَا وَإِلَٰهُكُمۡ وَٰحِدٞ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ ﴿46﴾

. Era temuwakananga ne ba nannyini Kitabo okugyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okugyako ku abo abeeyisa obubi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gye tuli ne kyassibwa gye muli, nga Katonda waffe era Katonda wa mmwe ali omu, nga naffe fenna yye yekka gwe tweewa.

29:47

وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَۚ فَٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۖ وَمِنۡ هَـٰٓؤُلَآءِ مَن يُؤۡمِنُ بِهِۦۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿47﴾

. Era bwe tutyo twassa gyoli ekitabo (Kur’ani) abo betwawa ekitabo (nga tetunnakuwa Kur’ani) bagikkiriza ne mu abo (Abawarabu be Makkah), mulimu abo abagikkiriza era tewali awakanya bigambo byeffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abakafiiri.

29:48

وَمَا كُنتَ تَتۡلُواْ مِن قَبۡلِهِۦ مِن كِتَٰبٖ وَلَا تَخُطُّهُۥ بِيَمِينِكَۖ إِذٗا لَّٱرۡتَابَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ ﴿48﴾

. (Ebimu ku bya magerobyo) kwe kuba nti ggwe tosomangako kitabo kyonna oluberyeberye nga Kur’ani tennakuweebwa wadde okuwandiika n'omukonogwo ogwaddyo, singa si bwe kyali ddala aboonoonyi baali buusizzabuusizza.

29:49

بَلۡ هُوَ ءَايَٰتُۢ بَيِّنَٰتٞ فِي صُدُورِ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿49﴾

. Wabula (ekituufu kiri nti) Kur’ani bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, eri mu bifuba byaabo abaaweebwa okumanya tewali awakanya bigambo byaffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abeeyisa obubi.

29:50

وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ ءَايَٰتٞ مِّن رَّبِّهِۦۚ قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡأٓيَٰتُ عِندَ ٱللَّهِ وَإِنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٌ ﴿50﴾

. (Abagatta ku Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa (Muhammad) aweereddwa obubonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, bagambe nti mazima obubonero bwa Katonda, naye mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu.

29:51

أَوَلَمۡ يَكۡفِهِمۡ أَنَّآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَرَحۡمَةٗ وَذِكۡرَىٰ لِقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿51﴾

. Abaffe tekibamala okuba nti twakuwa ekitabo ekibasomerwa, nga mulimu okusaasira n'okubuulirira eri abantu abakkiriza.

29:52

قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡ شَهِيدٗاۖ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ وَكَفَرُواْ بِٱللَّهِ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿52﴾

. Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Katonda ye mujulizi (akakasa nti ndi mubakawe), Katonda y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Katonda abo nno be b'okufaafaaganirwa.

29:53

وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَوۡلَآ أَجَلٞ مُّسَمّٗى لَّجَآءَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ وَلَيَأۡتِيَنَّهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿53﴾

. Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere bibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala e bibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga nabo tebategedde.

29:54

يَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمُحِيطَةُۢ بِٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿54﴾

. Bakusaba obanguyirize e bibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abakaafiiri.

29:55

يَوۡمَ يَغۡشَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۡ وَيَقُولُ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿55﴾

. Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola.

29:56

يَٰعِبَادِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ أَرۡضِي وَٰسِعَةٞ فَإِيَّـٰيَ فَٱعۡبُدُونِ ﴿56﴾

. Abange mmwe abaddu bange abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era nze nzekka nze gwe muba musinza.

29:57

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۖ ثُمَّ إِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ ﴿57﴾

. Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa.

29:58

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَنُبَوِّئَنَّهُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ غُرَفٗا تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ نِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ ﴿58﴾

. Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi.

29:59

ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ﴿59﴾

. Abo abagumiikiriza era nga beesiga Katonda waabwe.

29:60

وَكَأَيِّن مِّن دَآبَّةٖ لَّا تَحۡمِلُ رِزۡقَهَا ٱللَّهُ يَرۡزُقُهَا وَإِيَّاكُمۡۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿60﴾

. Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo.

29:61

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿61﴾

. Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!.

29:62

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿62﴾

. Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo.

29:63

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّن نَّزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِ مَوۡتِهَا لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ ﴿63﴾

. Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera.

29:64

وَمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا لَهۡوٞ وَلَعِبٞۚ وَإِنَّ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَ لَهِيَ ٱلۡحَيَوَانُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿64﴾

. Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi.

29:65

فَإِذَا رَكِبُواْ فِي ٱلۡفُلۡكِ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ فَلَمَّا نَجَّىٰهُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ إِذَا هُمۡ يُشۡرِكُونَ ﴿65﴾

. Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala.

29:66

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ وَلِيَتَمَتَّعُواْۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ﴿66﴾

. Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya.

29:67

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا حَرَمًا ءَامِنٗا وَيُتَخَطَّفُ ٱلنَّاسُ مِنۡ حَوۡلِهِمۡۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَكۡفُرُونَ ﴿67﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda!.

29:68

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُۥٓۚ أَلَيۡسَ فِي جَهَنَّمَ مَثۡوٗى لِّلۡكَٰفِرِينَ ﴿68﴾

. Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri!.

29:69

وَٱلَّذِينَ جَٰهَدُواْ فِينَا لَنَهۡدِيَنَّهُمۡ سُبُلَنَاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَمَعَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿69﴾

. N'abo abalafuubana mu kutuweereza, ddala tujja kubalungamya ku makubo gaffe, era mazima Katonda ali wamu n'abalongoosa.

30:1

الٓمٓ ﴿1﴾

. Alif Laam Miim.

30:2

غُلِبَتِ ٱلرُّومُ ﴿2﴾

. Abaroma bawanguddwa.

30:3

فِيٓ أَدۡنَى ٱلۡأَرۡضِ وَهُم مِّنۢ بَعۡدِ غَلَبِهِمۡ سَيَغۡلِبُونَ ﴿3﴾

. Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shami) ate nabo oluvanyuma lw'okuwangulwa kwa bwe, bajja kuwangula.

30:4

فِي بِضۡعِ سِنِينَۗ لِلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ مِن قَبۡلُ وَمِنۢ بَعۡدُۚ وَيَوۡمَئِذٖ يَفۡرَحُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿4﴾

. Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Katonda oluberyeberye n'oluvanyuma, olunaku olwo abakkiriza bagenda kukyakyankya.

30:5

بِنَصۡرِ ٱللَّهِۚ يَنصُرُ مَن يَشَآءُۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿5﴾

. Ku lw'okutaasa kwa Katonda (Katonda) ataasa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

30:6

وَعۡدَ ٱللَّهِۖ لَا يُخۡلِفُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿6﴾

. Eyo ndagaano ya Katonda, Katonda tayawukana ku ndagaanoye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.

30:7

يَعۡلَمُونَ ظَٰهِرٗا مِّنَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ عَنِ ٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ غَٰفِلُونَ ﴿7﴾

. (Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi.

30:8

أَوَلَمۡ يَتَفَكَّرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۗ مَّا خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَأَجَلٖ مُّسَمّٗىۗ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلنَّاسِ بِلِقَآيِٕ رَبِّهِمۡ لَكَٰفِرُونَ ﴿8﴾

. Abaffe tebafumiitiriza mu myooyo gyabwe (ne bakiraba nti) Katonda teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina e kiseera ekigere naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.

30:9

أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَأَثَارُواْ ٱلۡأَرۡضَ وَعَمَرُوهَآ أَكۡثَرَ مِمَّا عَمَرُوهَا وَجَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ فَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿9﴾

. Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.

30:10

ثُمَّ كَانَ عَٰقِبَةَ ٱلَّذِينَ أَسَـٰٓـُٔواْ ٱلسُّوٓأَىٰٓ أَن كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَكَانُواْ بِهَا يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿10﴾

. Oluvanyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa e bigambo bya Katonda era baali babijeeja.

30:11

ٱللَّهُ يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ ثُمَّ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿11﴾

. Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa.

30:12

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُبۡلِسُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿12﴾

. Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira.

30:13

وَلَمۡ يَكُن لَّهُم مِّن شُرَكَآئِهِمۡ شُفَعَـٰٓؤُاْ وَكَانُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ كَٰفِرِينَ ﴿13﴾

. Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe.

30:14

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَتَفَرَّقُونَ ﴿14﴾

. Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana.

30:15

فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَهُمۡ فِي رَوۡضَةٖ يُحۡبَرُونَ ﴿15﴾

. Bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa.

30:16

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَلِقَآيِٕ ٱلۡأٓخِرَةِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ فِي ٱلۡعَذَابِ مُحۡضَرُونَ ﴿16﴾

. Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe ne balimbisa n'ensisinkano y’olunaku lw'enkomerero, abo bagenda kuteekebwa mu bibonerezo.

30:17

فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ حِينَ تُمۡسُونَ وَحِينَ تُصۡبِحُونَ ﴿17﴾

. N'olwekyo asukkulumizibwe Katonda mu kiseera wemubeerera mu biseera eby'olweggulo ne wemubeerera mu biseera eby'okumakya.

30:18

وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَعَشِيّٗا وَحِينَ تُظۡهِرُونَ ﴿18﴾

. Era okutenderezebwa ku kwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu.

30:19

يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَيُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّ وَيُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ وَكَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ ﴿19﴾

. (Era Katonda) aggya e kiramu mu kifu era naggya e kifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvanyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana.

30:20

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ إِذَآ أَنتُم بَشَرٞ تَنتَشِرُونَ ﴿20﴾

. Era mu bubonerobwe (obulaga obuyinzabwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi.

30:21

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا لِّتَسۡكُنُوٓاْ إِلَيۡهَا وَجَعَلَ بَيۡنَكُم مَّوَدَّةٗ وَرَحۡمَةًۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿21﴾

. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.

30:22

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ خَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفُ أَلۡسِنَتِكُمۡ وَأَلۡوَٰنِكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡعَٰلِمِينَ ﴿22﴾

. Era mu bubonerobwe : okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe n'amabala gammwe mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abamanyi.

30:23

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ مَنَامُكُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱبۡتِغَآؤُكُم مِّن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ ﴿23﴾

. Era mu bubonerobwe : okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwabye mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira.

30:24

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ يُرِيكُمُ ٱلۡبَرۡقَ خَوۡفٗا وَطَمَعٗا وَيُنَزِّلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَيُحۡيِۦ بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿24﴾

. Era mu bubonerobwe : kwe kuba nti abalaga ekimyanso ky'eggulu nga mukitya ate nga mululunkanira (enkuba) era assa okuva waggulu amazzi n'awa nago ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abategeera.

30:25

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَن تَقُومَ ٱلسَّمَآءُ وَٱلۡأَرۡضُ بِأَمۡرِهِۦۚ ثُمَّ إِذَا دَعَاكُمۡ دَعۡوَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ إِذَآ أَنتُمۡ تَخۡرُجُونَ ﴿25﴾

. Era mu bubonerobwe : eggulu n'ensi okubeerawo ku kiragirokye, oluvanyuma bwali bakoowoola olukoowoola nti (muve) mu ttaka, oligenda okulaba nga muvaayo

30:26

وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ كُلّٞ لَّهُۥ قَٰنِتُونَ ﴿26﴾

. Era bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bigondera yye (yekka).

30:27

وَهُوَ ٱلَّذِي يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ وَهُوَ أَهۡوَنُ عَلَيۡهِۚ وَلَهُ ٱلۡمَثَلُ ٱلۡأَعۡلَىٰ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿27﴾

. Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaalibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

30:28

ضَرَبَ لَكُم مَّثَلٗا مِّنۡ أَنفُسِكُمۡۖ هَل لَّكُم مِّن مَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُم مِّن شُرَكَآءَ فِي مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ فَأَنتُمۡ فِيهِ سَوَآءٞ تَخَافُونَهُمۡ كَخِيفَتِكُمۡ أَنفُسَكُمۡۚ كَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿28﴾

. (Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwe nnyini nga agamba nti abaffe mwebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mwabo emikono gyamwe bye gifuga (abaddu ba mmwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bulijjo bw tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera.

30:29

بَلِ ٱتَّبَعَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم بِغَيۡرِ عِلۡمٖۖ فَمَن يَهۡدِي مَنۡ أَضَلَّ ٱللَّهُۖ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿29﴾

. Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa.

30:30

فَأَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ حَنِيفٗاۚ فِطۡرَتَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي فَطَرَ ٱلنَّاسَ عَلَيۡهَاۚ لَا تَبۡدِيلَ لِخَلۡقِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ ٱلدِّينُ ٱلۡقَيِّمُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿30﴾

. Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri eddiini ng'oli mwesimbu. (Olw'okuba eddiini eyo) y'enkola ya Katonda gye yatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini ennambulukufu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.

30:31

مُنِيبِينَ إِلَيۡهِ وَٱتَّقُوهُ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿31﴾

. (N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala.

30:32

مِنَ ٱلَّذِينَ فَرَّقُواْ دِينَهُمۡ وَكَانُواْ شِيَعٗاۖ كُلُّ حِزۡبِۭ بِمَا لَدَيۡهِمۡ فَرِحُونَ ﴿32﴾

. Mu abo abaatemaatema e ddiini yaabwe ne baba bibiina nga buli kibinja kikyakyankya n'ebyo bye kirina.

30:33

وَإِذَا مَسَّ ٱلنَّاسَ ضُرّٞ دَعَوۡاْ رَبَّهُم مُّنِيبِينَ إِلَيۡهِ ثُمَّ إِذَآ أَذَاقَهُم مِّنۡهُ رَحۡمَةً إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُم بِرَبِّهِمۡ يُشۡرِكُونَ ﴿33﴾

. Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama omulabirizi waabwe nga bamwemenyera, oluvanyuma bwabaloza ku kusaasira okuva gyali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.

30:34

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡۚ فَتَمَتَّعُواْ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿34﴾

. Kale beegaane ebyo bye twabawa era mweyagale mmwe (nabo) lumu mulimanya.

30:35

أَمۡ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٗا فَهُوَ يَتَكَلَّمُ بِمَا كَانُواْ بِهِۦ يُشۡرِكُونَ ﴿35﴾

. Abaffe oba twabawa obujulizi nga bwogera ku ebyo bye bagatta ku Katonda (nti bituufu!).

30:36

وَإِذَآ أَذَقۡنَا ٱلنَّاسَ رَحۡمَةٗ فَرِحُواْ بِهَاۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ إِذَا هُمۡ يَقۡنَطُونَ ﴿36﴾

. Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda.

30:37

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿37﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.

30:38

فَـَٔاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ يُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿38﴾

. Kale wa ow'olugandalwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufuna mpola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Katonda era abo bbo be bookutuuka ku kigendererwa.

30:39

وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن رِّبٗا لِّيَرۡبُوَاْ فِيٓ أَمۡوَٰلِ ٱلنَّاسِ فَلَا يَرۡبُواْ عِندَ ٱللَّهِۖ وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن زَكَوٰةٖ تُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُضۡعِفُونَ ﴿39﴾

. Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Katonda, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Katonda abo nno be basaanira ennyongeza.

30:40

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ ثُمَّ رَزَقَكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۖ هَلۡ مِن شُرَكَآئِكُم مَّن يَفۡعَلُ مِن ذَٰلِكُم مِّن شَيۡءٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿40﴾

. Katonda yooyo eyabatonda bwamala naabagabirira bwamala naabatta, oluvanyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Katonda waliwo akola ku ebyo ekintu kyonna? musukkulumu Katonda era yayawukana ku ebyo bye bamugattako.

30:41

ظَهَرَ ٱلۡفَسَادُ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ بِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِي ٱلنَّاسِ لِيُذِيقَهُم بَعۡضَ ٱلَّذِي عَمِلُواْ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿41﴾

. Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko.

30:42

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلُۚ كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّشۡرِكِينَ ﴿42﴾

. Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala.

30:43

فَأَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ ٱلۡقَيِّمِ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا مَرَدَّ لَهُۥ مِنَ ٱللَّهِۖ يَوۡمَئِذٖ يَصَّدَّعُونَ ﴿43﴾

. Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja.

30:44

مَن كَفَرَ فَعَلَيۡهِ كُفۡرُهُۥۖ وَمَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا فَلِأَنفُسِهِمۡ يَمۡهَدُونَ ﴿44﴾

. Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe.

30:45

لِيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿45﴾

. Katonda alyoke asasule mu bigabwabye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima yye tayagala bakaafiiri.

30:46

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَن يُرۡسِلَ ٱلرِّيَاحَ مُبَشِّرَٰتٖ وَلِيُذِيقَكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَلِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿46﴾

. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo).

30:47

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ رُسُلًا إِلَىٰ قَوۡمِهِمۡ فَجَآءُوهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱنتَقَمۡنَا مِنَ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْۖ وَكَانَ حَقًّا عَلَيۡنَا نَصۡرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿47﴾

. Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza.

30:48

ٱللَّهُ ٱلَّذِي يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ فَتُثِيرُ سَحَابٗا فَيَبۡسُطُهُۥ فِي ٱلسَّمَآءِ كَيۡفَ يَشَآءُ وَيَجۡعَلُهُۥ كِسَفٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦۖ فَإِذَآ أَصَابَ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ إِذَا هُمۡ يَسۡتَبۡشِرُونَ ﴿48﴾

. Katonda yooyo atambuza empewo, nezifuukuula ebire naabyanjuluza mu bbanga nga bwaba ayagadde, naabifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namutikkwa w'enkuba nga bivaamu, (Katonda) bwagituusa ku abo baaba ayagadde mu baddube ogenda okulaba nga bo basanyuka.

30:49

وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلِ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡهِم مِّن قَبۡلِهِۦ لَمُبۡلِسِينَ ﴿49﴾

. Newaakubadde nga tennaba kubatonnyesebwa oluberyeberye lw'ekyo baali bakutuse n'okusuubira.

30:50

فَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ ءَاثَٰرِ رَحۡمَتِ ٱللَّهِ كَيۡفَ يُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿50﴾

. Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu.

30:51

وَلَئِنۡ أَرۡسَلۡنَا رِيحٗا فَرَأَوۡهُ مُصۡفَرّٗا لَّظَلُّواْ مِنۢ بَعۡدِهِۦ يَكۡفُرُونَ ﴿51﴾

. Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda).

30:52

فَإِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ ﴿52﴾

. (N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega.

30:53

وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِ ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ ﴿53﴾

. Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda.

30:54

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن ضَعۡفٖ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ ضَعۡفٖ قُوَّةٗ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ قُوَّةٖ ضَعۡفٗا وَشَيۡبَةٗۚ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡقَدِيرُ ﴿54﴾

. Katonda yooyo eyatonda mmwe okutandikira mu bunafu, ate oluvanyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvanyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda kyaba ayagadde era yye ye mumanyi ennyo omuyinza.

30:55

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُقۡسِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ مَا لَبِثُواْ غَيۡرَ سَاعَةٖۚ كَذَٰلِكَ كَانُواْ يُؤۡفَكُونَ ﴿55﴾

. Olunaku lw'enkomerero lwe lulituuka aboonoonyi balilayira nti (Ku nsi) tebaatuulako okugyako kaseera katono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa.

30:56

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَٱلۡإِيمَٰنَ لَقَدۡ لَبِثۡتُمۡ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡبَعۡثِۖ فَهَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡبَعۡثِ وَلَٰكِنَّكُمۡ كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿56﴾

. Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi.

30:57

فَيَوۡمَئِذٖ لَّا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَعۡذِرَتُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ ﴿57﴾

. Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwa bwe tekulibagasa era tebagenda kukubirizibwa kwenenya.

30:58

وَلَقَدۡ ضَرَبۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَلَئِن جِئۡتَهُم بِـَٔايَةٖ لَّيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا مُبۡطِلُونَ ﴿58﴾

. Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abakaafuwala bajja kugamba nti temuli mmwe okugyako okuba aboonoonyi.

30:59

كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿59﴾

. Bwatyo Katonda bwazibikira emitima gy'abo abatamanyi.

30:60

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ وَلَا يَسۡتَخِفَّنَّكَ ٱلَّذِينَ لَا يُوقِنُونَ ﴿60﴾

. Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda.

31:1

الٓمٓ ﴿1﴾

. Alif Laam Miim

31:2

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿2﴾

. Ebyo bigambo eby'ekitabo ekijjudde amagezi.

31:3

هُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّلۡمُحۡسِنِينَ ﴿3﴾

. Nga bulungamu era kusaasira eri abalongoosa.

31:4

ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ يُوقِنُونَ ﴿4﴾

. Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka, nabo nga bakakasa olunaku lw'enkomerero.

31:5

أُوْلَـٰٓئِكَ عَلَىٰ هُدٗى مِّن رَّبِّهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿5﴾

. Abo bali ku bulungamu okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe era abo bbo be b'okwesiima.

31:6

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَشۡتَرِي لَهۡوَ ٱلۡحَدِيثِ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّخِذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿6﴾

. Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa.

31:7

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا وَلَّىٰ مُسۡتَكۡبِرٗا كَأَن لَّمۡ يَسۡمَعۡهَا كَأَنَّ فِيٓ أُذُنَيۡهِ وَقۡرٗاۖ فَبَشِّرۡهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ﴿7﴾

. Ebigambo byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatuuge negaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebiruma ennyo.

31:8

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّـٰتُ ٱلنَّعِيمِ ﴿8﴾

. Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezijjudde e byengera.

31:9

خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٗاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿9﴾

. Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

31:10

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ بِغَيۡرِ عَمَدٖ تَرَوۡنَهَاۖ وَأَلۡقَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمۡ وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖۚ وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٖ كَرِيمٍ ﴿10﴾

. Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi zemulaba, ate nassa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kitambula, era netussa okuva waggulu amazzi ne tumeza mu yo mu buli mitindo ebiri ebiri (ebimera) eby'omugaso omusuffu.

31:11

هَٰذَا خَلۡقُ ٱللَّهِ فَأَرُونِي مَاذَا خَلَقَ ٱلَّذِينَ مِن دُونِهِۦۚ بَلِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿11﴾

. Okwo kwe kutonda kwa Katonda, kale mundage abo abatali yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abeeyisa obubi bali mu bubuze obweyolefu.

31:12

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا لُقۡمَٰنَ ٱلۡحِكۡمَةَ أَنِ ٱشۡكُرۡ لِلَّهِۚ وَمَن يَشۡكُرۡ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٞ ﴿12﴾

. Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo.

31:13

وَإِذۡ قَالَ لُقۡمَٰنُ لِٱبۡنِهِۦ وَهُوَ يَعِظُهُۥ يَٰبُنَيَّ لَا تُشۡرِكۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّ ٱلشِّرۡكَ لَظُلۡمٌ عَظِيمٞ ﴿13﴾

. Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo.

31:14

وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ حَمَلَتۡهُ أُمُّهُۥ وَهۡنًا عَلَىٰ وَهۡنٖ وَفِصَٰلُهُۥ فِي عَامَيۡنِ أَنِ ٱشۡكُرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيۡكَ إِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ ﴿14﴾

. Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo.

31:15

وَإِن جَٰهَدَاكَ عَلَىٰٓ أَن تُشۡرِكَ بِي مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٞ فَلَا تُطِعۡهُمَاۖ وَصَاحِبۡهُمَا فِي ٱلدُّنۡيَا مَعۡرُوفٗاۖ وَٱتَّبِعۡ سَبِيلَ مَنۡ أَنَابَ إِلَيَّۚ ثُمَّ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿15﴾

. Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga.

31:16

يَٰبُنَيَّ إِنَّهَآ إِن تَكُ مِثۡقَالَ حَبَّةٖ مِّنۡ خَرۡدَلٖ فَتَكُن فِي صَخۡرَةٍ أَوۡ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ أَوۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَأۡتِ بِهَا ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ ﴿16﴾

. Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo.

31:17

يَٰبُنَيَّ أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ وَأۡمُرۡ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَٱنۡهَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَآ أَصَابَكَۖ إِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ﴿17﴾

. Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu.

31:18

وَلَا تُصَعِّرۡ خَدَّكَ لِلنَّاسِ وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ مُخۡتَالٖ فَخُورٖ ﴿18﴾

. Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize.

31:19

وَٱقۡصِدۡ فِي مَشۡيِكَ وَٱغۡضُضۡ مِن صَوۡتِكَۚ إِنَّ أَنكَرَ ٱلۡأَصۡوَٰتِ لَصَوۡتُ ٱلۡحَمِيرِ ﴿19﴾

. Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi.

31:20

أَلَمۡ تَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَأَسۡبَغَ عَلَيۡكُمۡ نِعَمَهُۥ ظَٰهِرَةٗ وَبَاطِنَةٗۗ وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ ﴿20﴾

. Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.

31:21

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱتَّبِعُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ قَالُواْ بَلۡ نَتَّبِعُ مَا وَجَدۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَآۚ أَوَلَوۡ كَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ يَدۡعُوهُمۡ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ ﴿21﴾

. Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitane ebakoowoola kudda eri omuliro Sairi (bamala gagoberera).

31:22

وَمَن يُسۡلِمۡ وَجۡهَهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِ وَهُوَ مُحۡسِنٞ فَقَدِ ٱسۡتَمۡسَكَ بِٱلۡعُرۡوَةِ ٱلۡوُثۡقَىٰۗ وَإِلَى ٱللَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ ﴿22﴾

. Yye, omuntu awaayo ekyenyikye ewa Katonda era nga mulongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Katonda yeeri enkomerero y'ebigambo.

31:23

وَمَن كَفَرَ فَلَا يَحۡزُنكَ كُفۡرُهُۥٓۚ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ فَنُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿23﴾

. Oyo yenna akaafuwala, okukaafuwalakwe tekukunakuwaza gye tuli yeeri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakola. Mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

31:24

نُمَتِّعُهُمۡ قَلِيلٗا ثُمَّ نَضۡطَرُّهُمۡ إِلَىٰ عَذَابٍ غَلِيظٖ ﴿24﴾

. Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito.

31:25

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿25﴾

. Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi.

31:26

لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿26﴾

. Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa.

31:27

وَلَوۡ أَنَّمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن شَجَرَةٍ أَقۡلَٰمٞ وَٱلۡبَحۡرُ يَمُدُّهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦ سَبۡعَةُ أَبۡحُرٖ مَّا نَفِدَتۡ كَلِمَٰتُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿27﴾

. Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

31:28

مَّا خَلۡقُكُمۡ وَلَا بَعۡثُكُمۡ إِلَّا كَنَفۡسٖ وَٰحِدَةٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٌ ﴿28﴾

. Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala.

31:29

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِيٓ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى وَأَنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿29﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate naayingiza obudde obw'emisana mu kiro era naagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kigenda kudduka okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Katonda amanyidde ddala bye mukola.

31:30

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ ﴿30﴾

. Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa.

31:31

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ لِيُرِيَكُم مِّنۡ ءَايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿31﴾

. Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza.

31:32

وَإِذَا غَشِيَهُم مَّوۡجٞ كَٱلظُّلَلِ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ فَلَمَّا نَجَّىٰهُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ فَمِنۡهُم مُّقۡتَصِدٞۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا كُلُّ خَتَّارٖ كَفُورٖ ﴿32﴾

. (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri.

31:33

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡ وَٱخۡشَوۡاْ يَوۡمٗا لَّا يَجۡزِي وَالِدٌ عَن وَلَدِهِۦ وَلَا مَوۡلُودٌ هُوَ جَازٍ عَن وَالِدِهِۦ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِٱللَّهِ ٱلۡغَرُورُ ﴿33﴾

. Abange mmwe abantu mutye Mukama omulabirizi wa mmwe era mutye olunaku omuzadde lwataligasa mwanawe wadde omwana okuba nti yye y'aligasa mukaddewe ekintu kyonna, mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubabulankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Katonda.

31:34

إِنَّ ٱللَّهَ عِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَيُنَزِّلُ ٱلۡغَيۡثَ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡأَرۡحَامِۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسٞ مَّاذَا تَكۡسِبُ غَدٗاۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسُۢ بِأَيِّ أَرۡضٖ تَمُوتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٌ خَبِيرُۢ ﴿34﴾

. Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo.

32:1

الٓمٓ ﴿1﴾

. Alif Laam Miim.

32:2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَا رَيۡبَ فِيهِ مِن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿2﴾

. Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde.

32:3

أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۚ بَلۡ هُوَ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أَتَىٰهُم مِّن نَّذِيرٖ مِّن قَبۡلِكَ لَعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ ﴿3﴾

. Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama.

32:4

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ مَا لَكُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَلِيّٖ وَلَا شَفِيعٍۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ ﴿4﴾

. Katonda y'oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala naatebenkera ku Arishi, okugyako yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. abaffe temwebuulirira?.

32:5

يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ يَعۡرُجُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥٓ أَلۡفَ سَنَةٖ مِّمَّا تَعُدُّونَ ﴿5﴾

. (Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala.

32:6

ذَٰلِكَ عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿6﴾

. Oyo nno ye mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, nantakubwa ku mukono omusaasizi.

32:7

ٱلَّذِيٓ أَحۡسَنَ كُلَّ شَيۡءٍ خَلَقَهُۥۖ وَبَدَأَ خَلۡقَ ٱلۡإِنسَٰنِ مِن طِينٖ ﴿7﴾

. Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka.

32:8

ثُمَّ جَعَلَ نَسۡلَهُۥ مِن سُلَٰلَةٖ مِّن مَّآءٖ مَّهِينٖ ﴿8﴾

. Ate ezaddelye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa.

32:9

ثُمَّ سَوَّىٰهُ وَنَفَخَ فِيهِ مِن رُّوحِهِۦۖ وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ ﴿9﴾

. Bwe yamala yamussa mu kifaananyi e kimusaanira, naamufuwamu ogumu ku myoyogye (gye yatonda edda) naabassaako amatu, n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono.

32:10

وَقَالُوٓاْ أَءِذَا ضَلَلۡنَا فِي ٱلۡأَرۡضِ أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدِۭۚ بَلۡ هُم بِلِقَآءِ رَبِّهِمۡ كَٰفِرُونَ ﴿10﴾

. Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.

32:11

قُلۡ يَتَوَفَّىٰكُم مَّلَكُ ٱلۡمَوۡتِ ٱلَّذِي وُكِّلَ بِكُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ ﴿11﴾

. Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.

32:12

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلۡمُجۡرِمُونَ نَاكِسُواْ رُءُوسِهِمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ رَبَّنَآ أَبۡصَرۡنَا وَسَمِعۡنَا فَٱرۡجِعۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا إِنَّا مُوقِنُونَ ﴿12﴾

. Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa.

32:13

وَلَوۡ شِئۡنَا لَأٓتَيۡنَا كُلَّ نَفۡسٍ هُدَىٰهَا وَلَٰكِنۡ حَقَّ ٱلۡقَوۡلُ مِنِّي لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ ٱلۡجِنَّةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿13﴾

. Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu.

32:14

فَذُوقُواْ بِمَا نَسِيتُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَآ إِنَّا نَسِينَٰكُمۡۖ وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡخُلۡدِ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿14﴾

. (Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola.

32:15

إِنَّمَا يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُواْ بِهَا خَرُّواْۤ سُجَّدٗاۤ وَسَبَّحُواْ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ۩ ﴿15﴾

. Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza.

32:16

تَتَجَافَىٰ جُنُوبُهُمۡ عَنِ ٱلۡمَضَاجِعِ يَدۡعُونَ رَبَّهُمۡ خَوۡفٗا وَطَمَعٗا وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿16﴾

. Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira.

32:17

فَلَا تَعۡلَمُ نَفۡسٞ مَّآ أُخۡفِيَ لَهُم مِّن قُرَّةِ أَعۡيُنٖ جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿17﴾

. Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola.

32:18

أَفَمَن كَانَ مُؤۡمِنٗا كَمَن كَانَ فَاسِقٗاۚ لَّا يَسۡتَوُۥنَ ﴿18﴾

. Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana.

32:19

أَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَلَهُمۡ جَنَّـٰتُ ٱلۡمَأۡوَىٰ نُزُلَۢا بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿19﴾

. Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga.

32:20

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ فَسَقُواْ فَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَآ أُعِيدُواْ فِيهَا وَقِيلَ لَهُمۡ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ﴿20﴾

. Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.

32:21

وَلَنُذِيقَنَّهُم مِّنَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَدۡنَىٰ دُونَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَكۡبَرِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿21﴾

. Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu).

32:22

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ ثُمَّ أَعۡرَضَ عَنۡهَآۚ إِنَّا مِنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ﴿22﴾

. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi.

32:23

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ فَلَا تَكُن فِي مِرۡيَةٖ مِّن لِّقَآئِهِۦۖ وَجَعَلۡنَٰهُ هُدٗى لِّبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿23﴾

. Era mazima twawa Musa e kitabo (nga Taurat n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu ku kifuna (nga Kur'ani) era twakifuula bulungamu eri abaana ba Israil.

32:24

وَجَعَلۡنَا مِنۡهُمۡ أَئِمَّةٗ يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا لَمَّا صَبَرُواْۖ وَكَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يُوقِنُونَ ﴿24﴾

. Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe.

32:25

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿25﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ajja kusalawo wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu.

32:26

أَوَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٍۚ أَفَلَا يَسۡمَعُونَ ﴿26﴾

. Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira!.

32:27

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا نَسُوقُ ٱلۡمَآءَ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلۡجُرُزِ فَنُخۡرِجُ بِهِۦ زَرۡعٗا تَأۡكُلُ مِنۡهُ أَنۡعَٰمُهُمۡ وَأَنفُسُهُمۡۚ أَفَلَا يُبۡصِرُونَ ﴿27﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima ffe tusundika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, e bisolo bya bwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba!.

32:28

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡفَتۡحُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿28﴾

. Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?.

32:29

قُلۡ يَوۡمَ ٱلۡفَتۡحِ لَا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِيمَٰنُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿29﴾

. Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa.

32:30

فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ وَٱنتَظِرۡ إِنَّهُم مُّنتَظِرُونَ ﴿30﴾

. Kale nno baveeko era ggwe olindirire, mazima bbo bali mu kulindirira.

33:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ ٱتَّقِ ٱللَّهَ وَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقِينَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿1﴾

. Owange gwe Nabbi, tya Katonda era togondera abakaafiiri n'abannafunsi, mazima Katonda bulijjo mumanyi nnyo mugoba nsonga.

33:2

وَٱتَّبِعۡ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا ﴿2﴾

. Era goberera ebyo ebitumwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala bye mukola.

33:3

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا ﴿3﴾

. Era weekwate ku Katonda, Katonda amala okuba nga gweweekwatako.

33:4

مَّا جَعَلَ ٱللَّهُ لِرَجُلٖ مِّن قَلۡبَيۡنِ فِي جَوۡفِهِۦۚ وَمَا جَعَلَ أَزۡوَٰجَكُمُ ٱلَّـٰٓـِٔي تُظَٰهِرُونَ مِنۡهُنَّ أُمَّهَٰتِكُمۡۚ وَمَا جَعَلَ أَدۡعِيَآءَكُمۡ أَبۡنَآءَكُمۡۚ ذَٰلِكُمۡ قَوۡلُكُم بِأَفۡوَٰهِكُمۡۖ وَٱللَّهُ يَقُولُ ٱلۡحَقَّ وَهُوَ يَهۡدِي ٱلسَّبِيلَ ﴿4﴾

. Katonda tateekanga munda wa muntu mitima ebiri, era bakyala ba mmwe abo be mulayira obuteegatta nabo Katonda tabafuulanga ba Maama ba mmwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyammwe, era abaana be mufuula abaana ba mmwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuula baana ba mmwe, ebyo mmwe bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gya mmwe. Era Katonda ayogera mazima, era yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata).

33:5

ٱدۡعُوهُمۡ لِأٓبَآئِهِمۡ هُوَ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِۚ فَإِن لَّمۡ تَعۡلَمُوٓاْ ءَابَآءَهُمۡ فَإِخۡوَٰنُكُمۡ فِي ٱلدِّينِ وَمَوَٰلِيكُمۡۚ وَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٞ فِيمَآ أَخۡطَأۡتُم بِهِۦ وَلَٰكِن مَّا تَعَمَّدَتۡ قُلُوبُكُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمًا ﴿5﴾

. Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Katonda, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda ba mmwe) anti baganda ba mmwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) kyekyo emitima gya mmwe gye kiba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

33:6

ٱلنَّبِيُّ أَوۡلَىٰ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡ أَنفُسِهِمۡۖ وَأَزۡوَٰجُهُۥٓ أُمَّهَٰتُهُمۡۗ وَأُوْلُواْ ٱلۡأَرۡحَامِ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلَىٰ بِبَعۡضٖ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُهَٰجِرِينَ إِلَّآ أَن تَفۡعَلُوٓاْ إِلَىٰٓ أَوۡلِيَآئِكُم مَّعۡرُوفٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا ﴿6﴾

. Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Katonda, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo.

33:7

وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِيثَٰقَهُمۡ وَمِنكَ وَمِن نُّوحٖ وَإِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ وَعِيسَى ٱبۡنِ مَرۡيَمَۖ وَأَخَذۡنَا مِنۡهُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا ﴿7﴾

. Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito.

33:8

لِّيَسۡـَٔلَ ٱلصَّـٰدِقِينَ عَن صِدۡقِهِمۡۚ وَأَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿8﴾

. Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze abakkiriza ab'amazima ku mazima gaabwe, era yateekerateekera abakaafiiri e bibonerezo ebiruma.

33:9

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ جَآءَتۡكُمۡ جُنُودٞ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِيحٗا وَجُنُودٗا لَّمۡ تَرَوۡهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرًا ﴿9﴾

. Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Katonda bye yabagonnomolako amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Katonda alabira ddala bye mukola.

33:10

إِذۡ جَآءُوكُم مِّن فَوۡقِكُمۡ وَمِنۡ أَسۡفَلَ مِنكُمۡ وَإِذۡ زَاغَتِ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَبَلَغَتِ ٱلۡقُلُوبُ ٱلۡحَنَاجِرَ وَتَظُنُّونَ بِٱللَّهِ ٱلظُّنُونَا۠ ﴿10﴾

. Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo.

33:11

هُنَالِكَ ٱبۡتُلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَزُلۡزِلُواْ زِلۡزَالٗا شَدِيدٗا ﴿11﴾

. Nga muli mu mbeera eyo, abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankana olw'amaanyi.

33:12

وَإِذۡ يَقُولُ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ مَّا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥٓ إِلَّا غُرُورٗا ﴿12﴾

. Era mujjukire abannanfusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyaabwe bwe baagamba nti Katonda n’omubakawe tebaatulagaanya wabula (baatulagaanya) bya kutuguyaaguya.

33:13

وَإِذۡ قَالَت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ يَـٰٓأَهۡلَ يَثۡرِبَ لَا مُقَامَ لَكُمۡ فَٱرۡجِعُواْۚ وَيَسۡتَـٔۡذِنُ فَرِيقٞ مِّنۡهُمُ ٱلنَّبِيَّ يَقُولُونَ إِنَّ بُيُوتَنَا عَوۡرَةٞ وَمَا هِيَ بِعَوۡرَةٍۖ إِن يُرِيدُونَ إِلَّا فِرَارٗا ﴿13﴾

. Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka.

33:14

وَلَوۡ دُخِلَتۡ عَلَيۡهِم مِّنۡ أَقۡطَارِهَا ثُمَّ سُئِلُواْ ٱلۡفِتۡنَةَ لَأٓتَوۡهَا وَمَا تَلَبَّثُواْ بِهَآ إِلَّا يَسِيرٗا ﴿14﴾

. Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono.

33:15

وَلَقَدۡ كَانُواْ عَٰهَدُواْ ٱللَّهَ مِن قَبۡلُ لَا يُوَلُّونَ ٱلۡأَدۡبَٰرَۚ وَكَانَ عَهۡدُ ٱللَّهِ مَسۡـُٔولٗا ﴿15﴾

. Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa).

33:16

قُل لَّن يَنفَعَكُمُ ٱلۡفِرَارُ إِن فَرَرۡتُم مِّنَ ٱلۡمَوۡتِ أَوِ ٱلۡقَتۡلِ وَإِذٗا لَّا تُمَتَّعُونَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿16﴾

. Bagambe (gwe Muhammad) bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okugyako akaseera katono.

33:17

قُلۡ مَن ذَا ٱلَّذِي يَعۡصِمُكُم مِّنَ ٱللَّهِ إِنۡ أَرَادَ بِكُمۡ سُوٓءًا أَوۡ أَرَادَ بِكُمۡ رَحۡمَةٗۚ وَلَا يَجِدُونَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿17﴾

. Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa.

33:18

قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلۡمُعَوِّقِينَ مِنكُمۡ وَٱلۡقَآئِلِينَ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ هَلُمَّ إِلَيۡنَاۖ وَلَا يَأۡتُونَ ٱلۡبَأۡسَ إِلَّا قَلِيلًا ﴿18﴾

. Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono.

33:19

أَشِحَّةً عَلَيۡكُمۡۖ فَإِذَا جَآءَ ٱلۡخَوۡفُ رَأَيۡتَهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ تَدُورُ أَعۡيُنُهُمۡ كَٱلَّذِي يُغۡشَىٰ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَإِذَا ذَهَبَ ٱلۡخَوۡفُ سَلَقُوكُم بِأَلۡسِنَةٍ حِدَادٍ أَشِحَّةً عَلَى ٱلۡخَيۡرِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَمۡ يُؤۡمِنُواْ فَأَحۡبَطَ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿19﴾

. Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo.

33:20

يَحۡسَبُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ لَمۡ يَذۡهَبُواْۖ وَإِن يَأۡتِ ٱلۡأَحۡزَابُ يَوَدُّواْ لَوۡ أَنَّهُم بَادُونَ فِي ٱلۡأَعۡرَابِ يَسۡـَٔلُونَ عَنۡ أَنۢبَآئِكُمۡۖ وَلَوۡ كَانُواْ فِيكُم مَّا قَٰتَلُوٓاْ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿20﴾

. (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono.

33:21

لَّقَدۡ كَانَ لَكُمۡ فِي رَسُولِ ٱللَّهِ أُسۡوَةٌ حَسَنَةٞ لِّمَن كَانَ يَرۡجُواْ ٱللَّهَ وَٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَ وَذَكَرَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا ﴿21﴾

. Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza.

33:22

وَلَمَّا رَءَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ قَالُواْ هَٰذَا مَا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَصَدَقَ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥۚ وَمَا زَادَهُمۡ إِلَّآ إِيمَٰنٗا وَتَسۡلِيمٗا ﴿22﴾

. Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino kyekyo Katonda n'omubakawe kye baatulagaanyisa, era Katonda n'omubakawe bayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okugyako obukkiriza n'okwewa Katonda.

33:23

مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ رِجَالٞ صَدَقُواْ مَا عَٰهَدُواْ ٱللَّهَ عَلَيۡهِۖ فَمِنۡهُم مَّن قَضَىٰ نَحۡبَهُۥ وَمِنۡهُم مَّن يَنتَظِرُۖ وَمَا بَدَّلُواْ تَبۡدِيلٗا ﴿23﴾

. Mu bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baaweerako Katonda obweyamu (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda ku twefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamubwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna.

33:24

لِّيَجۡزِيَ ٱللَّهُ ٱلصَّـٰدِقِينَ بِصِدۡقِهِمۡ وَيُعَذِّبَ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ إِن شَآءَ أَوۡ يَتُوبَ عَلَيۡهِمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿24﴾

. Olwo nno Katonda alyoke asasule abaatuukiriza amazima olwa mazima gaabwe, era abonereze abannanfusi bwaliba ayagadde, oba akkirize okwenenya kwa bwe(bwe baliba beenenyezza) mazima Katonda bulijjo musonyiyi nnyo musaasizi.

33:25

وَرَدَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِغَيۡظِهِمۡ لَمۡ يَنَالُواْ خَيۡرٗاۚ وَكَفَى ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلۡقِتَالَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ قَوِيًّا عَزِيزٗا ﴿25﴾

. Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono.

33:26

وَأَنزَلَ ٱلَّذِينَ ظَٰهَرُوهُم مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن صَيَاصِيهِمۡ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَ فَرِيقٗا تَقۡتُلُونَ وَتَأۡسِرُونَ فَرِيقٗا ﴿26﴾

. Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).

33:27

وَأَوۡرَثَكُمۡ أَرۡضَهُمۡ وَدِيَٰرَهُمۡ وَأَمۡوَٰلَهُمۡ وَأَرۡضٗا لَّمۡ تَطَـُٔوهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿27﴾

. Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.

33:28

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ إِن كُنتُنَّ تُرِدۡنَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتَهَا فَتَعَالَيۡنَ أُمَتِّعۡكُنَّ وَأُسَرِّحۡكُنَّ سَرَاحٗا جَمِيلٗا ﴿28﴾

. Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo nti: bwe muba mwagala bulamu bw'ansi na birungi byaayo, kale mujje mbasibirire (mbawe e birungi bye mwagala) era mbate oluta olulungi.

33:29

وَإِن كُنتُنَّ تُرِدۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَ فَإِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡمُحۡسِنَٰتِ مِنكُنَّ أَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿29﴾

. Naye bwe muba nga mwagala Katonda n'omubakawe, ne nyumba ey'enkomerero mazima Katonda yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, e mpeera e nsuffu.

33:30

يَٰنِسَآءَ ٱلنَّبِيِّ مَن يَأۡتِ مِنكُنَّ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖ يُضَٰعَفۡ لَهَا ٱلۡعَذَابُ ضِعۡفَيۡنِۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿30﴾

. Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda.