quranm◉

Juz 4 ۞كُلُّ ٱلطَّعَامِ كَانَ حِلّٗا

Range
from 3:93 to 4:23
Surahs covered
Okuvvuunula
131 Okuvvuunula

◉

3:93

كُلُّ ٱلطَّعَامِ كَانَ حِلّٗا لِّبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ إِلَّا مَا حَرَّمَ إِسۡرَـٰٓءِيلُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ مِن قَبۡلِ أَن تُنَزَّلَ ٱلتَّوۡرَىٰةُۚ قُلۡ فَأۡتُواْ بِٱلتَّوۡرَىٰةِ فَٱتۡلُوهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿93﴾

Ebyokulya byonna byali Halali eri abaana ba Israil okugyako ebyo Israil (Yakubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima.

3:94

فَمَنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿94﴾

Oyo yenna anaatemerera Katonda ebigambo ebyobulimba oluvanyuma lwekyo, abo nno be beeyisa obubi.

3:95

قُلۡ صَدَقَ ٱللَّهُۗ فَٱتَّبِعُواْ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفٗاۖ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿95﴾

Gamba nti Katonda yayogera mazima, kale mugoberere eddiini ya Ibrahim, nga takkiriza kusinza kintu kirala wadde okuba mwabo abagatta ku Katonda ekintu ekirala.

3:96

إِنَّ أَوَّلَ بَيۡتٖ وُضِعَ لِلنَّاسِ لَلَّذِي بِبَكَّةَ مُبَارَكٗا وَهُدٗى لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿96﴾

Mazima ddala e nyumba eyasooka okuterwawo abantu (olwokusinza Katonda) yeeyo eri e Mekka y’amikisa era nga kya kulungamya eri abantu bonna.

3:97

فِيهِ ءَايَٰتُۢ بَيِّنَٰتٞ مَّقَامُ إِبۡرَٰهِيمَۖ وَمَن دَخَلَهُۥ كَانَ ءَامِنٗاۗ وَلِلَّهِ عَلَى ٱلنَّاسِ حِجُّ ٱلۡبَيۡتِ مَنِ ٱسۡتَطَاعَ إِلَيۡهِ سَبِيلٗاۚ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿97﴾

Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, nga ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nyumba eyo kwoyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gyeri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu.

3:98

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا تَعۡمَلُونَ ﴿98﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba.

3:99

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ تَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَأَنتُمۡ شُهَدَآءُۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿99﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola.

3:100

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تُطِيعُواْ فَرِيقٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ يَرُدُّوكُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡ كَٰفِرِينَ ﴿100﴾

Abange Mmwe Abakkiriza bwemunaagondera ekibinja mwabo abaaweebwa ekitabo bajja kubazza mu bukafiiri oluvanyuma lwokuba nga mubadde bakkiriza.

3:101

وَكَيۡفَ تَكۡفُرُونَ وَأَنتُمۡ تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ وَفِيكُمۡ رَسُولُهُۥۗ وَمَن يَعۡتَصِم بِٱللَّهِ فَقَدۡ هُدِيَ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿101﴾

Muyinza mutya okukaafuwala nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alungamiziddwa mu kkubo eggolokofu.

3:102

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ حَقَّ تُقَاتِهِۦ وَلَا تَمُوتُنَّ إِلَّا وَأَنتُم مُّسۡلِمُونَ ﴿102﴾

Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bwokumutya era temufanga okugyako nga muli Basiramu.

3:103

وَٱعۡتَصِمُواْ بِحَبۡلِ ٱللَّهِ جَمِيعٗا وَلَا تَفَرَّقُواْۚ وَٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ كُنتُمۡ أَعۡدَآءٗ فَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِكُمۡ فَأَصۡبَحۡتُم بِنِعۡمَتِهِۦٓ إِخۡوَٰنٗا وَكُنتُمۡ عَلَىٰ شَفَا حُفۡرَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ فَأَنقَذَكُم مِّنۡهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿103﴾

Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama.

3:104

وَلۡتَكُن مِّنكُمۡ أُمَّةٞ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلۡخَيۡرِ وَيَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۚ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿104﴾

Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’enkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda).

3:105

وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ تَفَرَّقُواْ وَٱخۡتَلَفُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿105﴾

Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvanyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi.

3:106

يَوۡمَ تَبۡيَضُّ وُجُوهٞ وَتَسۡوَدُّ وُجُوهٞۚ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱسۡوَدَّتۡ وُجُوهُهُمۡ أَكَفَرۡتُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿106﴾

Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kwekyo lwakuba nti) mwakafuwala oluvanyuma lwokuba nti mwali bakkiriza, n'olwekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olwebyo byemwawakanyanga.

3:107

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱبۡيَضَّتۡ وُجُوهُهُمۡ فَفِي رَحۡمَةِ ٱللَّهِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿107﴾

Bo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bo baakubeeramu obugenderevu.

3:108

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۗ وَمَا ٱللَّهُ يُرِيدُ ظُلۡمٗا لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿108﴾

Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa.

3:109

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿109﴾

Era bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi era eri Katonda ebintu byonna gyebizzibwa.

3:110

كُنتُمۡ خَيۡرَ أُمَّةٍ أُخۡرِجَتۡ لِلنَّاسِ تَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَتَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِۗ وَلَوۡ ءَامَنَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۚ مِّنۡهُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿110﴾

Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu.

3:111

لَن يَضُرُّوكُمۡ إِلَّآ أَذٗىۖ وَإِن يُقَٰتِلُوكُمۡ يُوَلُّوكُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ ﴿111﴾

Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa.

3:112

ضُرِبَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلذِّلَّةُ أَيۡنَ مَا ثُقِفُوٓاْ إِلَّا بِحَبۡلٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَحَبۡلٖ مِّنَ ٱلنَّاسِ وَبَآءُو بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَضُرِبَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَسۡكَنَةُۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانُواْ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقّٖۚ ذَٰلِكَ بِمَا عَصَواْ وَّكَانُواْ يَعۡتَدُونَ ﴿112﴾

B'ateekebwako okunyomebwa wonna webaba bali okugyako nga balina obukuumi bwa Katonda n'obwa basiramu (nebaweebwa omukisa gwokuwangalira mu nsi ya Basiramu nga bali wansi wa mateeka g’obusiraamu,) nebateekebwako obusungu bwa Katonda, nebassibwako okuswazibwa ekyo nno lwakuba nti baali bawakanya ebigambo bya Katonda nebatta ne ba Nabbi mu ngeri etali ntuufu, ekyonno (baakikola nga) olw'obujeemu bwabwe era nga baali babuuka ensalo za mateeka (ga Katonda).

3:113

لَيۡسُواْ سَوَآءٗۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٞ قَآئِمَةٞ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ﴿113﴾

Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.

3:114

يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَيَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿114﴾

Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero nebakubiriza Abantu okweyisa obulungi, nebabakomako kukweyisa obubi era nga banguwa mu kukola ebirungi era abo ba mu luse lwa balongoofu.

3:115

وَمَا يَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَلَن يُكۡفَرُوهُۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلۡمُتَّقِينَ ﴿115﴾

Buli kirungi kyonna kyebakola tekiribalyazamanyizibwa. Katonda amanyidde ddala ebifa ku bamutya.

3:116

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿116﴾

Mazima abo abaakafuwala emmaali yaabwe nabaana baabwe tebigenda kubayamba ewa Katonda naakamu, era abo be bantu b’omumuliro bo b'akugubeeramu obugenderevu.

3:117

مَثَلُ مَا يُنفِقُونَ فِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا كَمَثَلِ رِيحٖ فِيهَا صِرٌّ أَصَابَتۡ حَرۡثَ قَوۡمٖ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَأَهۡلَكَتۡهُۚ وَمَا ظَلَمَهُمُ ٱللَّهُ وَلَٰكِنۡ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿117﴾

Byebawaayo mu bulamu buno obwensi bifaanagana nga kibuyaga alimu muzira eyakuba ebirime bya bantu abeeyisa obubi naabizikiriza, Katonda si ye yabayisa obubi naye bo bennyini be beeyisa obubi.

3:118

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ بِطَانَةٗ مِّن دُونِكُمۡ لَا يَأۡلُونَكُمۡ خَبَالٗا وَدُّواْ مَا عَنِتُّمۡ قَدۡ بَدَتِ ٱلۡبَغۡضَآءُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَمَا تُخۡفِي صُدُورُهُمۡ أَكۡبَرُۚ قَدۡ بَيَّنَّا لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿118﴾

Abange mmwe abakkiriza, abatali ba mu mmwe temubafuulanga ab'emikwano ab'omunda, tebayinza kulekayo kubaagaliza kabi, bulijjo babaagaliza ekyo ekibazitoowereza. Obukyayi bulabika ku mimwa gyabwe (ku nnimi zaabwe) so nga byebakweka mu bifuba byabwe byebisinga obunene, mazima tubannyonnyodde ebigambo bwe muba nga mukozesa amagezi gammwe (bibamala okutegeera ekituufu).

3:119

هَـٰٓأَنتُمۡ أُوْلَآءِ تُحِبُّونَهُمۡ وَلَا يُحِبُّونَكُمۡ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ كُلِّهِۦ وَإِذَا لَقُوكُمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ عَضُّواْ عَلَيۡكُمُ ٱلۡأَنَامِلَ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۚ قُلۡ مُوتُواْ بِغَيۡظِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿119﴾

(Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

3:120

إِن تَمۡسَسۡكُمۡ حَسَنَةٞ تَسُؤۡهُمۡ وَإِن تُصِبۡكُمۡ سَيِّئَةٞ يَفۡرَحُواْ بِهَاۖ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ لَا يَضُرُّكُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـًٔاۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطٞ ﴿120﴾

Bwemutuukwako ekirungi kibanakuwaza, naye bwemugwibwako akabi (olwonno) nebasanyuka nakyo, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde.

3:121

وَإِذۡ غَدَوۡتَ مِنۡ أَهۡلِكَ تُبَوِّئُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مَقَٰعِدَ لِلۡقِتَالِۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿121﴾

Era jjukira (Ggwe Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna.

3:122

إِذۡ هَمَّت طَّآئِفَتَانِ مِنكُمۡ أَن تَفۡشَلَا وَٱللَّهُ وَلِيُّهُمَاۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿122﴾

Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda.

3:123

وَلَقَدۡ نَصَرَكُمُ ٱللَّهُ بِبَدۡرٖ وَأَنتُمۡ أَذِلَّةٞۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿123﴾

Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza.

3:124

إِذۡ تَقُولُ لِلۡمُؤۡمِنِينَ أَلَن يَكۡفِيَكُمۡ أَن يُمِدَّكُمۡ رَبُّكُم بِثَلَٰثَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُنزَلِينَ ﴿124﴾

Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu.

3:125

بَلَىٰٓۚ إِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ وَيَأۡتُوكُم مِّن فَوۡرِهِمۡ هَٰذَا يُمۡدِدۡكُمۡ رَبُّكُم بِخَمۡسَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُسَوِّمِينَ ﴿125﴾

So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba.

3:126

وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ لَكُمۡ وَلِتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُكُم بِهِۦۗ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿126﴾

Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

3:127

لِيَقۡطَعَ طَرَفٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡ يَكۡبِتَهُمۡ فَيَنقَلِبُواْ خَآئِبِينَ ﴿127﴾

(Ekyo Katonda yakikola) abe nga ajjawo ekitundu ekimu ekya baakafiiri oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu.

3:128

لَيۡسَ لَكَ مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٌ أَوۡ يَتُوبَ عَلَيۡهِمۡ أَوۡ يُعَذِّبَهُمۡ فَإِنَّهُمۡ ظَٰلِمُونَ ﴿128﴾

Tekiri mu busobozi bo (ggwe Muhammad), Katonda okubasonyiwa oba okubabonereza, anti mazima bo beeyisa bubi.

3:129

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ يَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿129﴾

Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda. Asonyiwa gwaba ayagadde naabonereza gwaba ayagadde, bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.

3:130

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَأۡكُلُواْ ٱلرِّبَوٰٓاْ أَضۡعَٰفٗا مُّضَٰعَفَةٗۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿130﴾

Abange Abakkiriza temulyanga Riba ekisobola okubatuusa okubazaamu emirundi n’emirundi, bulijjo mutye Katonda kibawe okulokoka ku lunaku lw’enkomerero.

3:131

وَٱتَّقُواْ ٱلنَّارَ ٱلَّتِيٓ أُعِدَّتۡ لِلۡكَٰفِرِينَ ﴿131﴾

Era mutye omuliro ogwo ogwateekerwateekerwa Abakafiiri.

3:132

وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿132﴾

Era mugondere Katonda n'omubaka olwo nno musaasirwe.

3:133

وَسَارِعُوٓاْ إِلَىٰ مَغۡفِرَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ وَجَنَّةٍ عَرۡضُهَا ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ أُعِدَّتۡ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿133﴾

Era mwanguwe nga munoonya okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, ne jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eggulu omusanvu ne nsi, eyateekerwateekerwa abatya Katonda.

3:134

ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ فِي ٱلسَّرَّآءِ وَٱلضَّرَّآءِ وَٱلۡكَٰظِمِينَ ٱلۡغَيۡظَ وَٱلۡعَافِينَ عَنِ ٱلنَّاسِۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿134﴾

Abo be bawaayo mu kkubo lya Katonda, mu biseera ebyessanyu ne by'obuzibu, era ababikka ku busungu, abasonyiwa abantu. bulijjo Katonda ayagala abakozi be birungi.

3:135

وَٱلَّذِينَ إِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةً أَوۡ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ ذَكَرُواْ ٱللَّهَ فَٱسۡتَغۡفَرُواْ لِذُنُوبِهِمۡ وَمَن يَغۡفِرُ ٱلذُّنُوبَ إِلَّا ٱللَّهُ وَلَمۡ يُصِرُّواْ عَلَىٰ مَا فَعَلُواْ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿135﴾

Era abo bwebaba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okugyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu.

3:136

أُوْلَـٰٓئِكَ جَزَآؤُهُم مَّغۡفِرَةٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَجَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَنِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ ﴿136﴾

Abo empeera yaabwe kisonyiwo okuva ewa Mukama Katonda waabwe ne jjana ezikulukutiramu emigga, nga bagenda kuzibeeramu bugenderevu, nga eriba mpera nnungi eri abo abakola emirimu emirongoofu.

3:137

قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِكُمۡ سُنَنٞ فَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿137﴾

Bwebityo ebintu bwebibadde bitambula oluberyeberye lwa mmwe, kale mutambule mu nsi mutunule, mujja kulaba engeri enkomerero yaabalimbisa bweba.

3:138

هَٰذَا بَيَانٞ لِّلنَّاسِ وَهُدٗى وَمَوۡعِظَةٞ لِّلۡمُتَّقِينَ ﴿138﴾

(Kur'an eno) kwe kunnyonnyola okuweereddwa eri Abantu era bulungamu era kwe kubuulirira eri abatya Katonda.

3:139

وَلَا تَهِنُواْ وَلَا تَحۡزَنُواْ وَأَنتُمُ ٱلۡأَعۡلَوۡنَ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿139﴾

Temuterebukanga era temunakuwalanga, ng’ate mmwe muli ku ngulu kavuna muba nga muli bakkiriza abannamaddala.

3:140

إِن يَمۡسَسۡكُمۡ قَرۡحٞ فَقَدۡ مَسَّ ٱلۡقَوۡمَ قَرۡحٞ مِّثۡلُهُۥۚ وَتِلۡكَ ٱلۡأَيَّامُ نُدَاوِلُهَا بَيۡنَ ٱلنَّاسِ وَلِيَعۡلَمَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَيَتَّخِذَ مِنكُمۡ شُهَدَآءَۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿140﴾

Bwe muba mutuukiddwako obuvune (mu lutalo lwe Uhud) nabali baatuukwako obuvune ng’obwo (mu lutalo lwe Badr) nabwekityo bulijjo ennaku tuzikyusakyusa wakati wa bantu (olumu lw’ono, olundi lwa mulala) olwo nno Katonda ayawule abakkiriza, mu ngeri yeemu ajje mu mmwe abafiira mu kulwanirira eddiini era bulijjo Katonda tayagala beeyisa bubi.

3:141

وَلِيُمَحِّصَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَيَمۡحَقَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿141﴾

Era Katonda alyoke asengejje ayawulemu abo Abakkiriza, era azikirize Abakafiiri.

3:142

أَمۡ حَسِبۡتُمۡ أَن تَدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ وَلَمَّا يَعۡلَمِ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ جَٰهَدُواْ مِنكُمۡ وَيَعۡلَمَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿142﴾

Oba mulowooza nti muyinza okuyingira e jjana nga Katonda tannaba kwawula abo abaalwana mu kkubo lye mu mmwe, era naayawula na bagumiikiriza.

3:143

وَلَقَدۡ كُنتُمۡ تَمَنَّوۡنَ ٱلۡمَوۡتَ مِن قَبۡلِ أَن تَلۡقَوۡهُ فَقَدۡ رَأَيۡتُمُوهُ وَأَنتُمۡ تَنظُرُونَ ﴿143﴾

Mwalinga mwegomba okufa nga temunnaba kusisinkana (Mu lutalo lwe Uhud) naye mubutuufu kwabatuukako nga mulabira ddala.

3:144

وَمَا مُحَمَّدٌ إِلَّا رَسُولٞ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهِ ٱلرُّسُلُۚ أَفَإِيْن مَّاتَ أَوۡ قُتِلَ ٱنقَلَبۡتُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡۚ وَمَن يَنقَلِبۡ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِ فَلَن يَضُرَّ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۚ وَسَيَجۡزِي ٱللَّهُ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿144﴾

Muhammad tali okugyako okuba nti Mubaka era nga Ababaka bonna abaamukulembera, kaakano bwaba afudde oba nattibwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe (nemuva mu Busiraamu). Oyo yenna anaakyukira ku bisinziirobye talina kabi konna kaatuusa ku Katonda, era Katonda ajja kusasula abo abeebaza.

3:145

وَمَا كَانَ لِنَفۡسٍ أَن تَمُوتَ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِ كِتَٰبٗا مُّؤَجَّلٗاۗ وَمَن يُرِدۡ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا نُؤۡتِهِۦ مِنۡهَا وَمَن يُرِدۡ ثَوَابَ ٱلۡأٓخِرَةِ نُؤۡتِهِۦ مِنۡهَاۚ وَسَنَجۡزِي ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿145﴾

Era tewali muntu yenna afa okugyako nga Katonda yakkirizza, ekyo nga kiwandiike ekyagererwa ekiseera kyakyo, oyo yenna ayagala empera z’ensi tuzimuwa mu yo, n’oyo ayagala empeera z’enkomerero tulizimuwa ku nkomerero, era tujja kusasula abeebaza.

3:146

وَكَأَيِّن مِّن نَّبِيّٖ قَٰتَلَ مَعَهُۥ رِبِّيُّونَ كَثِيرٞ فَمَا وَهَنُواْ لِمَآ أَصَابَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَمَا ضَعُفُواْ وَمَا ٱسۡتَكَانُواْۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿146﴾

Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza.

3:147

وَمَا كَانَ قَوۡلَهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ رَبَّنَا ٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَإِسۡرَافَنَا فِيٓ أَمۡرِنَا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿147﴾

Ekigambo kyabwe tekyali, okugyako okugamba nti Ayi Mukama omulabirizi waffe tusonyiwe ebyonoono byaffe, era otusonyiwe bwetuba tususse ekkomo mu nsonga zeddiini yaffe, era otunyweze mu kuyimirira kwaffe ku nsonga, era otutaase mu kibiina ku Bakafiiri.

3:148

فَـَٔاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا وَحُسۡنَ ثَوَابِ ٱلۡأٓخِرَةِۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿148﴾

Katonda n’abawa empeera z’okunsi, era nempeera ezisinga okuba ennungi ku lunaku lw’enkomerero, era bulijjo Katonda ayagala abakozi b’obulungi.

3:149

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تُطِيعُواْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَرُدُّوكُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡ فَتَنقَلِبُواْ خَٰسِرِينَ ﴿149﴾

Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abaakafuwala bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abafaafaganiddwa.

3:150

بَلِ ٱللَّهُ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلنَّـٰصِرِينَ ﴿150﴾

Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna

3:151

سَنُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ بِمَآ أَشۡرَكُواْ بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗاۖ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿151﴾

Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi.

3:152

وَلَقَدۡ صَدَقَكُمُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥٓ إِذۡ تَحُسُّونَهُم بِإِذۡنِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَا فَشِلۡتُمۡ وَتَنَٰزَعۡتُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِ وَعَصَيۡتُم مِّنۢ بَعۡدِ مَآ أَرَىٰكُم مَّا تُحِبُّونَۚ مِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلدُّنۡيَا وَمِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلۡأٓخِرَةَۚ ثُمَّ صَرَفَكُمۡ عَنۡهُمۡ لِيَبۡتَلِيَكُمۡۖ وَلَقَدۡ عَفَا عَنكُمۡۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿152﴾

Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olwokukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala ebyokufuna bye nsi, nga bwemwalimu abagala enkomerero, oluvanyuma Katonda yaakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa ate mazima yabasonyiwa mmwe, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi.

3:153

إِذۡ تُصۡعِدُونَ وَلَا تَلۡوُۥنَ عَلَىٰٓ أَحَدٖ وَٱلرَّسُولُ يَدۡعُوكُمۡ فِيٓ أُخۡرَىٰكُمۡ فَأَثَٰبَكُمۡ غَمَّۢا بِغَمّٖ لِّكَيۡلَا تَحۡزَنُواْ عَلَىٰ مَا فَاتَكُمۡ وَلَا مَآ أَصَٰبَكُمۡۗ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿153﴾

Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga omubaka mumulese mabega abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira okwomuddinganwa mube nga temunakuwala olwebyo byemutaafuna, oba olwobuzibu obubatuseeko Katonda amanyidde ddala byonna byemukola.

3:154

ثُمَّ أَنزَلَ عَلَيۡكُم مِّنۢ بَعۡدِ ٱلۡغَمِّ أَمَنَةٗ نُّعَاسٗا يَغۡشَىٰ طَآئِفَةٗ مِّنكُمۡۖ وَطَآئِفَةٞ قَدۡ أَهَمَّتۡهُمۡ أَنفُسُهُمۡ يَظُنُّونَ بِٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ ظَنَّ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِۖ يَقُولُونَ هَل لَّنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ مِن شَيۡءٖۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَمۡرَ كُلَّهُۥ لِلَّهِۗ يُخۡفُونَ فِيٓ أَنفُسِهِم مَّا لَا يُبۡدُونَ لَكَۖ يَقُولُونَ لَوۡ كَانَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٞ مَّا قُتِلۡنَا هَٰهُنَاۗ قُل لَّوۡ كُنتُمۡ فِي بُيُوتِكُمۡ لَبَرَزَ ٱلَّذِينَ كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَتۡلُ إِلَىٰ مَضَاجِعِهِمۡۖ وَلِيَبۡتَلِيَ ٱللَّهُ مَا فِي صُدُورِكُمۡ وَلِيُمَحِّصَ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿154﴾

Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba.

3:155

إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَلَّوۡاْ مِنكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ إِنَّمَا ٱسۡتَزَلَّهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِبَعۡضِ مَا كَسَبُواْۖ وَلَقَدۡ عَفَا ٱللَّهُ عَنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ ﴿155﴾

Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa.

3:156

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ إِذَا ضَرَبُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَوۡ كَانُواْ غُزّٗى لَّوۡ كَانُواْ عِندَنَا مَا مَاتُواْ وَمَا قُتِلُواْ لِيَجۡعَلَ ٱللَّهُ ذَٰلِكَ حَسۡرَةٗ فِي قُلُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿156﴾

Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaakafuwala nebagamba bannaabwe bwebaabanga batambudde mu nsi, oba nga bagenze ku lutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba.

3:157

وَلَئِن قُتِلۡتُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوۡ مُتُّمۡ لَمَغۡفِرَةٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَحۡمَةٌ خَيۡرٞ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ ﴿157﴾

Singa muttibwa nga muli mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya.

3:158

وَلَئِن مُّتُّمۡ أَوۡ قُتِلۡتُمۡ لَإِلَى ٱللَّهِ تُحۡشَرُونَ ﴿158﴾

(Kyekimu) okuba nti mufudde oba muttiddwa ewa Katonda yekka gyemulikunganyiizibwa.

3:159

فَبِمَا رَحۡمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ لِنتَ لَهُمۡۖ وَلَوۡ كُنتَ فَظًّا غَلِيظَ ٱلۡقَلۡبِ لَٱنفَضُّواْ مِنۡ حَوۡلِكَۖ فَٱعۡفُ عَنۡهُمۡ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُمۡ وَشَاوِرۡهُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِۖ فَإِذَا عَزَمۡتَ فَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُتَوَكِّلِينَ ﴿159﴾

Kulwokusaasira kwa Katonda wabagondera (Gwe Muhammad) naye singa wali waboggo omuzito w'omutima bandikudduseeko, kale basonyiwe, obeegayiririre (ewa Katonda) obebuuzengako mu nsonga zonna wabula bwobanga omaliridde (n’osalawo ekyokukola) olwo nno weekwase Katonda, mazima Katonda ayagala abamwekwasa.

3:160

إِن يَنصُرۡكُمُ ٱللَّهُ فَلَا غَالِبَ لَكُمۡۖ وَإِن يَخۡذُلۡكُمۡ فَمَن ذَا ٱلَّذِي يَنصُرُكُم مِّنۢ بَعۡدِهِۦۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿160﴾

Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abavuddemu ani oyo ayinza okubataasa atali yye, bulijjo Abakkiriza bateekwa okwessa mu mikono gya Katonda mu nsonga zonna.

3:161

وَمَا كَانَ لِنَبِيٍّ أَن يَغُلَّۚ وَمَن يَغۡلُلۡ يَأۡتِ بِمَا غَلَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ ثُمَّ تُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿161﴾

Tekisoboka ku Nabbi yenna okuba nga akumpanya eminyago naye omuntu yenna bwakumpanya ku minyago, agenda kujja ku lunaku lw’enkomerero n’ebyo byeyakumpanya oluvanyuma omuntu agenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kyeyakola, nabo tebaliyisibwa bubi.

3:162

أَفَمَنِ ٱتَّبَعَ رِضۡوَٰنَ ٱللَّهِ كَمَنۢ بَآءَ بِسَخَطٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿162﴾

Abaffe, oyo agoberera okusiima kwa Katonda ayinza okufaanana nooyo avuddeyo n’okusunguwalirwa Katonda! nga n’obuddo bwe muliro Jahannama ate nga buddo bubi ddala!

3:163

هُمۡ دَرَجَٰتٌ عِندَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِمَا يَعۡمَلُونَ ﴿163﴾

Abantu abo balina ebifo byanjawulo ewa Katonda, anti era bulijjo Katonda alabira ddala byebakola.

3:164

لَقَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ بَعَثَ فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُزَكِّيهِمۡ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلُ لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿164﴾

Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bweyabatumamu omubaka nga ava mu bo, nga abasomera ebigambo by’a Katonda, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu.

3:165

أَوَلَمَّآ أَصَٰبَتۡكُم مُّصِيبَةٞ قَدۡ أَصَبۡتُم مِّثۡلَيۡهَا قُلۡتُمۡ أَنَّىٰ هَٰذَاۖ قُلۡ هُوَ مِنۡ عِندِ أَنفُسِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿165﴾

Lwaki bwemwatuukwako omuswiba (mu Uhudi) nga ate bo mwabatusaako omuswiba ogwenkana ogwo emirundi ebiri (mu Badr) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo, bagambe (gwe Nabbi Muhammad ()) ekyo kivudde ku mmwe mwennyini mazima Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu .

3:166

وَمَآ أَصَٰبَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿166﴾

N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima.

3:167

وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ نَافَقُواْۚ وَقِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ قَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوِ ٱدۡفَعُواْۖ قَالُواْ لَوۡ نَعۡلَمُ قِتَالٗا لَّٱتَّبَعۡنَٰكُمۡۗ هُمۡ لِلۡكُفۡرِ يَوۡمَئِذٍ أَقۡرَبُ مِنۡهُمۡ لِلۡإِيمَٰنِۚ يَقُولُونَ بِأَفۡوَٰهِهِم مَّا لَيۡسَ فِي قُلُوبِهِمۡۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يَكۡتُمُونَ ﴿167﴾

Mu ngeri yeemu ayawule abo abanafunsi era abaagambibwa nti mujje mulwane mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, ku lunaku olwo nga bali kumpi nnyo n’obukafiiri okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyaabwe ebitava mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka.

3:168

ٱلَّذِينَ قَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ وَقَعَدُواْ لَوۡ أَطَاعُونَا مَا قُتِلُواْۗ قُلۡ فَٱدۡرَءُواْ عَنۡ أَنفُسِكُمُ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿168﴾

Abo (Abananfusi) abagamba bannaabwe (ab’agenda ku lutalo) bo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Gwe Muhammad) nti kale mwewonye okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera.

3:169

وَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتَۢاۚ بَلۡ أَحۡيَآءٌ عِندَ رَبِّهِمۡ يُرۡزَقُونَ ﴿169﴾

Tolowoozanga nti abo abattirwa ku kuweereza mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe.

3:170

فَرِحِينَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ وَيَسۡتَبۡشِرُونَ بِٱلَّذِينَ لَمۡ يَلۡحَقُواْ بِهِم مِّنۡ خَلۡفِهِمۡ أَلَّا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿170﴾

Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawa mubigabwabye, era nga basanyuka olwa bannaabwe bebaleka ku nsi nti tebatuukiddwako kutya, era nga bwebatagenda kunakuwala.

3:171

يَسۡتَبۡشِرُونَ بِنِعۡمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٖ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿171﴾

Nga basanyuka olwebyengera, n’obulungi obungi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo talina bwatayinza kusasula mpeera z’abakkiriza.

3:172

ٱلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَصَابَهُمُ ٱلۡقَرۡحُۚ لِلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ مِنۡهُمۡ وَٱتَّقَوۡاْ أَجۡرٌ عَظِيمٌ ﴿172﴾

Abo abaayanukula (okukowoola kwa)Katonda n'omubaka (nebakkiriza okuddayo okulwana) oluvanyuma lwokutuukibwako obulumi bwolutalo, abeeyisa obulungi mu bo nebatya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi.

3:173

ٱلَّذِينَ قَالَ لَهُمُ ٱلنَّاسُ إِنَّ ٱلنَّاسَ قَدۡ جَمَعُواْ لَكُمۡ فَٱخۡشَوۡهُمۡ فَزَادَهُمۡ إِيمَٰنٗا وَقَالُواْ حَسۡبُنَا ٱللَّهُ وَنِعۡمَ ٱلۡوَكِيلُ ﴿173﴾

Abo abantu (Abagatta Katonda ne bintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi.

3:174

فَٱنقَلَبُواْ بِنِعۡمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٖ لَّمۡ يَمۡسَسۡهُمۡ سُوٓءٞ وَٱتَّبَعُواْ رِضۡوَٰنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَظِيمٍ ﴿174﴾

(Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) baali bayayaanira kusiima kwa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi.

3:175

إِنَّمَا ذَٰلِكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ يُخَوِّفُ أَوۡلِيَآءَهُۥ فَلَا تَخَافُوهُمۡ وَخَافُونِ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿175﴾

Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala.

3:176

وَلَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِۚ إِنَّهُمۡ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۚ يُرِيدُ ٱللَّهُ أَلَّا يَجۡعَلَ لَهُمۡ حَظّٗا فِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ ﴿176﴾

Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi.

3:177

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلۡكُفۡرَ بِٱلۡإِيمَٰنِ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿177﴾

Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma.

3:178

وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ خَيۡرٞ لِّأَنفُسِهِمۡۚ إِنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِثۡمٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿178﴾

Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa.

3:179

مَّا كَانَ ٱللَّهُ لِيَذَرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَىٰ مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ حَتَّىٰ يَمِيزَ ٱلۡخَبِيثَ مِنَ ٱلطَّيِّبِۗ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُطۡلِعَكُمۡ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَجۡتَبِي مِن رُّسُلِهِۦ مَن يَشَآءُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ فَلَكُمۡ أَجۡرٌ عَظِيمٞ ﴿179﴾

Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okugyako ngamaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gwaba ayagadde, kale mukkirize Katonda nababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito.

3:180

وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ يَبۡخَلُونَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ هُوَ خَيۡرٗا لَّهُمۖ بَلۡ هُوَ شَرّٞ لَّهُمۡۖ سَيُطَوَّقُونَ مَا بَخِلُواْ بِهِۦ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ وَلِلَّهِ مِيرَٰثُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿180﴾

Abo abaakodowalira ebyo Katonda byeyababawa mu bigabwabye, tebalowoozanga nti ekyo kirungi gyebali, wabula kyo kibi gyebali ku lunaku lw’enkomerero bagenda kwambazibwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola.

3:181

لَّقَدۡ سَمِعَ ٱللَّهُ قَوۡلَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ فَقِيرٞ وَنَحۡنُ أَغۡنِيَآءُۘ سَنَكۡتُبُ مَا قَالُواْ وَقَتۡلَهُمُ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقّٖ وَنَقُولُ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿181﴾

Mazima Katonda awulidde ekigambo kyabo abagamba nti mazima Katonda mwavu era nga ffe bagagga. Tujja kuwandiika ebyo byeboogera nga bwetujja okuwandiika okutta kwabwe ba Nabbi awatali nsonga, era tugambe nti mukombe ku bibonerezo by’omuliro.

3:182

ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّامٖ لِّلۡعَبِيدِ ﴿182﴾

(Ekyo kigenda kubatuukako) olwebyo emikono gyamwe byegyakola, era mazima ddala Katonda tayisa bubi baddube.

3:183

ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ عَهِدَ إِلَيۡنَآ أَلَّا نُؤۡمِنَ لِرَسُولٍ حَتَّىٰ يَأۡتِيَنَا بِقُرۡبَانٖ تَأۡكُلُهُ ٱلنَّارُۗ قُلۡ قَدۡ جَآءَكُمۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِي بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَبِٱلَّذِي قُلۡتُمۡ فَلِمَ قَتَلۡتُمُوهُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿183﴾

Era beebo abagamba nti mazima Katonda yatulagaanyisa okuba nga tetukkiriza mubaka yenna okugyako nga atuleetedde Saddaaka omuliro negugyokya, bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad ()) ababaka bangi abaabajjira oluberyeberye lwange nga baleese neebyo byemugamba, lwaki ate mwabatta bwe muba nga muli b'amazima mukino kyemugamba.

3:184

فَإِن كَذَّبُوكَ فَقَدۡ كُذِّبَ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَ جَآءُو بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلزُّبُرِ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُنِيرِ ﴿184﴾

(Ggwe Muhammad tobafaako) bwebakulimbisa ababaka bangi abaakulembera abaalimbisibwa, baaleeta obujulizi obwenkukunala n'ebiwandiiko n'ebitabo ebijjudde ekitangaala.

3:185

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَإِنَّمَا تُوَفَّوۡنَ أُجُورَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ فَمَن زُحۡزِحَ عَنِ ٱلنَّارِ وَأُدۡخِلَ ٱلۡجَنَّةَ فَقَدۡ فَازَۗ وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا مَتَٰعُ ٱلۡغُرُورِ ﴿185﴾

Buli muntu yenna wa kukomba ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’enkomerero oyo yenna aliwonyezebwa omuliro naayingizibwa e jjana aliba yeesiimye, obulamu bwensi tebuliimu kantu konna okugyako okweyagala okwokugayaaza.

3:186

لَتُبۡلَوُنَّ فِيٓ أَمۡوَٰلِكُمۡ وَأَنفُسِكُمۡ وَلَتَسۡمَعُنَّ مِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَمِنَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ أَذٗى كَثِيرٗاۚ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ﴿186﴾

Mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe nemubulamu bwa mmwe, era mujja kutuukibwako ebitasanyusa bingi okuva mwabo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye, n'okuva mwabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu ku bintu ebikulu.

3:187

وَإِذۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ لَتُبَيِّنُنَّهُۥ لِلنَّاسِ وَلَا تَكۡتُمُونَهُۥ فَنَبَذُوهُ وَرَآءَ ظُهُورِهِمۡ وَٱشۡتَرَوۡاْ بِهِۦ ثَمَنٗا قَلِيلٗاۖ فَبِئۡسَ مَا يَشۡتَرُونَ ﴿187﴾

Era jjukira ekiseera Katonda bweyakozesa endagaano abo ab'aweebwa ekitabo nti mugenda kukinnyonnyola abantu era temugenda kukikweka wabula (endagaano) baagisuula emabega waabwe nebagiwaanyisaamu eby’okufuna ebitono, bibi nnyo byebaagula.

3:188

لَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡرَحُونَ بِمَآ أَتَواْ وَّيُحِبُّونَ أَن يُحۡمَدُواْ بِمَا لَمۡ يَفۡعَلُواْ فَلَا تَحۡسَبَنَّهُم بِمَفَازَةٖ مِّنَ ٱلۡعَذَابِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿188﴾

Tosuubiriranga abo abasanyuka olwebyo byebawaddeyo era nga baagala okutenderezebwa olwebyo byebaba tebakoze, tolowoolezanga ddala nti bagenda kuwona ebibonerezo, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma.

3:189

وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿189﴾

Obufuzi bwe ggulu ne nsi bwa Katonda, era Katonda muyinza ku buli kintu kyonna.

3:190

إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿190﴾

Mazima mu kutonda eggulu omusanvu ne nsi nokwawukana kwekiro ne misana ddala bubonero eri abo abalina amagezi amalamu.

3:191

ٱلَّذِينَ يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِهِمۡ وَيَتَفَكَّرُونَ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبَّنَا مَا خَلَقۡتَ هَٰذَا بَٰطِلٗا سُبۡحَٰنَكَ فَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿191﴾

Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro.

3:192

رَبَّنَآ إِنَّكَ مَن تُدۡخِلِ ٱلنَّارَ فَقَدۡ أَخۡزَيۡتَهُۥۖ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٖ ﴿192﴾

Ayi mukama Katonda waffe, mazima ggwe omuntu gwoliyingiza omuliro oliba omukkakkanyizza. Abeeyisa obubi tebagenda kufuna mutaasa yenna.

3:193

رَّبَّنَآ إِنَّنَا سَمِعۡنَا مُنَادِيٗا يُنَادِي لِلۡإِيمَٰنِ أَنۡ ءَامِنُواْ بِرَبِّكُمۡ فَـَٔامَنَّاۚ رَبَّنَا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَكَفِّرۡ عَنَّا سَيِّـَٔاتِنَا وَتَوَفَّنَا مَعَ ٱلۡأَبۡرَارِ ﴿193﴾

Ayi Mukama Katonda waffe tuwulidde omukoowooze ayita Abantu okujja eri obukkiriza nga agamba nti mukkirize Mukama Katonda wa mmwe, naffe netukkiriza, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe, otusanguleko ebyonoono byaffe, otuuse okututta nga tuli mu luse lwa baddubo abalongoofu.

3:194

رَبَّنَا وَءَاتِنَا مَا وَعَدتَّنَا عَلَىٰ رُسُلِكَ وَلَا تُخۡزِنَا يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ إِنَّكَ لَا تُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿194﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe tukusaba otuwe byewatulagaanyisa nga biyita ku babaka bo, totufuulanga abanyomebwa ku lunaku lw’enkomerero, mazima ddala ggwe toyawukana ku ndagaano.

3:195

فَٱسۡتَجَابَ لَهُمۡ رَبُّهُمۡ أَنِّي لَآ أُضِيعُ عَمَلَ عَٰمِلٖ مِّنكُم مِّن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰۖ بَعۡضُكُم مِّنۢ بَعۡضٖۖ فَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ وَأُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَأُوذُواْ فِي سَبِيلِي وَقَٰتَلُواْ وَقُتِلُواْ لَأُكَفِّرَنَّ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَأُدۡخِلَنَّهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ ثَوَابٗا مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلثَّوَابِ ﴿195﴾

Mukama omulabirizi waabwe kwekubaanukula nti, siyinza butasasula mulimu omu ku mmwe gwaba akoze kaabe musajja oba mukazi, mwenna muli kyekimu (anti muli basiraamu). Abonno abaasenguka nebagobaganyizibwa mu mayumba gaabwe, nebabonyabonyezebwa ku lwange, ne balwanagana n'omulabe kulwange, ne balwanagana n’omulabe ne battibwa nja kubajjirako ddala ebibi byaabwe era nja kubayingiriza ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, eyonno nga mpeera okuva ewa Katonda, era bulijjo ewa Katonda yeeri empeera ennungi.

3:196

لَا يَغُرَّنَّكَ تَقَلُّبُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ ﴿196﴾

Abakafiiri okwegiriisiza mu nsi tekikuyigulanga ttama.

3:197

مَتَٰعٞ قَلِيلٞ ثُمَّ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿197﴾

Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi.

3:198

لَٰكِنِ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ رَبَّهُمۡ لَهُمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا نُزُلٗا مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۗ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لِّلۡأَبۡرَارِ ﴿198﴾

Naye mazima abo abatya mukama Katonda waabwe baakufuna e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu nga bibanja ebyolubeerera ebiribaweebwa Katonda. Ebiri ewa Katonda byebirungi eri abaddu abalongoofu.

3:199

وَإِنَّ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَمَن يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِمۡ خَٰشِعِينَ لِلَّهِ لَا يَشۡتَرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ ثَمَنٗا قَلِيلًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿199﴾

Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala.

3:200

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱصۡبِرُواْ وَصَابِرُواْ وَرَابِطُواْ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿200﴾

Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olwekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemwekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munyweere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’enkomerero.

4:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَخَلَقَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا وَبَثَّ مِنۡهُمَا رِجَالٗا كَثِيرٗا وَنِسَآءٗۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِي تَسَآءَلُونَ بِهِۦ وَٱلۡأَرۡحَامَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَيۡكُمۡ رَقِيبٗا ﴿1﴾

Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi.

4:2

وَءَاتُواْ ٱلۡيَتَٰمَىٰٓ أَمۡوَٰلَهُمۡۖ وَلَا تَتَبَدَّلُواْ ٱلۡخَبِيثَ بِٱلطَّيِّبِۖ وَلَا تَأۡكُلُوٓاْ أَمۡوَٰلَهُمۡ إِلَىٰٓ أَمۡوَٰلِكُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ حُوبٗا كَبِيرٗا ﴿2﴾

(Bwe mukitegeera nti abataddeko eriiso gyogi kale) ne bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene.

4:3

وَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تُقۡسِطُواْ فِي ٱلۡيَتَٰمَىٰ فَٱنكِحُواْ مَا طَابَ لَكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ مَثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تَعۡدِلُواْ فَوَٰحِدَةً أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَعُولُواْ ﴿3﴾

Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira.

4:4

وَءَاتُواْ ٱلنِّسَآءَ صَدُقَٰتِهِنَّ نِحۡلَةٗۚ فَإِن طِبۡنَ لَكُمۡ عَن شَيۡءٖ مِّنۡهُ نَفۡسٗا فَكُلُوهُ هَنِيٓـٔٗا مَّرِيٓـٔٗا ﴿4﴾

Kikakafu muwe Abakyala Amahare gaabwe, naye bwebaba nga bbo babasonyiye ekintu kyonna ku Mahare mu mwoyo omulungi, ekyo mukirye nga mweyagala, nga muli mirembe.

4:5

وَلَا تُؤۡتُواْ ٱلسُّفَهَآءَ أَمۡوَٰلَكُمُ ٱلَّتِي جَعَلَ ٱللَّهُ لَكُمۡ قِيَٰمٗا وَٱرۡزُقُوهُمۡ فِيهَا وَٱكۡسُوهُمۡ وَقُولُواْ لَهُمۡ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا ﴿5﴾

Abo abatasobola kwemalirira ku kukozesa mmaali, temubawanga emmaali yammwe, eyo Katonda gyeyabateerawo nga yeetambuza obulamu bwa mmwe, era mubawenga ku yo gyebeetaaga ku byokulya era mubambazenga, era mwogerenga nabo ebigambo ebirungi.

4:6

وَٱبۡتَلُواْ ٱلۡيَتَٰمَىٰ حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغُواْ ٱلنِّكَاحَ فَإِنۡ ءَانَسۡتُم مِّنۡهُمۡ رُشۡدٗا فَٱدۡفَعُوٓاْ إِلَيۡهِمۡ أَمۡوَٰلَهُمۡۖ وَلَا تَأۡكُلُوهَآ إِسۡرَافٗا وَبِدَارًا أَن يَكۡبَرُواْۚ وَمَن كَانَ غَنِيّٗا فَلۡيَسۡتَعۡفِفۡۖ وَمَن كَانَ فَقِيرٗا فَلۡيَأۡكُلۡ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ فَإِذَا دَفَعۡتُمۡ إِلَيۡهِمۡ أَمۡوَٰلَهُمۡ فَأَشۡهِدُواْ عَلَيۡهِمۡۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ حَسِيبٗا ﴿6﴾

Mugezese ba mulekwa (mpola mpola) bwebatuuka mu kiseera ekyokuwasa (oba okufumbirwa) bwe mubalabamu obusobozi (bwo kulabirira ebyabwe) olwonno mubawe emmaali yaabwe. (Mu kiseera wemubeerera nga mugibakuumira) temugiryanga mu ngeri ey’okudiibuuda, era n’okugirya eggweewo mangu nga tebannakula. Oyo anaabanga omugagga asaana yesseemu ensa (agyesonyiwe) oyo anaabanga omwavu alyengako mu ngeri y’akintu kiramu. Bwe mutuusanga okubawa emmaali yaabwe muleetengawo abajulizi, kimala okubeera nti Katonda ye mubazi.

4:7

لِّلرِّجَالِ نَصِيبٞ مِّمَّا تَرَكَ ٱلۡوَٰلِدَانِ وَٱلۡأَقۡرَبُونَ وَلِلنِّسَآءِ نَصِيبٞ مِّمَّا تَرَكَ ٱلۡوَٰلِدَانِ وَٱلۡأَقۡرَبُونَ مِمَّا قَلَّ مِنۡهُ أَوۡ كَثُرَۚ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا ﴿7﴾

Abaana ab’obulenzi balina omugabo gwebafuna mwebyo bakadde baabwe bombi byebalese, n’aboluganda byebaba balese, n'abaana ab'obuwala balina omugabo mwebyo bakadde baabwe bombi n'aboluganda byebaba balese, kabibe bitono oba bingi, (buli omu afuna) omugabo omugereke.

4:8

وَإِذَا حَضَرَ ٱلۡقِسۡمَةَ أُوْلُواْ ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينُ فَٱرۡزُقُوهُم مِّنۡهُ وَقُولُواْ لَهُمۡ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا ﴿8﴾

Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebabaawo nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi.

4:9

وَلۡيَخۡشَ ٱلَّذِينَ لَوۡ تَرَكُواْ مِنۡ خَلۡفِهِمۡ ذُرِّيَّةٗ ضِعَٰفًا خَافُواْ عَلَيۡهِمۡ فَلۡيَتَّقُواْ ٱللَّهَ وَلۡيَقُولُواْ قَوۡلٗا سَدِيدًا ﴿9﴾

(Abakuza) bateekwa okutya nti singa baba balese emabega waabwe abaana abato, nga baalibeeraliikirizza, bateekwa okutya Katonda, era boogere ebigambo ebituufu.

4:10

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ أَمۡوَٰلَ ٱلۡيَتَٰمَىٰ ظُلۡمًا إِنَّمَا يَأۡكُلُونَ فِي بُطُونِهِمۡ نَارٗاۖ وَسَيَصۡلَوۡنَ سَعِيرٗا ﴿10﴾

Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saer.

4:11

يُوصِيكُمُ ٱللَّهُ فِيٓ أَوۡلَٰدِكُمۡۖ لِلذَّكَرِ مِثۡلُ حَظِّ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۚ فَإِن كُنَّ نِسَآءٗ فَوۡقَ ٱثۡنَتَيۡنِ فَلَهُنَّ ثُلُثَا مَا تَرَكَۖ وَإِن كَانَتۡ وَٰحِدَةٗ فَلَهَا ٱلنِّصۡفُۚ وَلِأَبَوَيۡهِ لِكُلِّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا ٱلسُّدُسُ مِمَّا تَرَكَ إِن كَانَ لَهُۥ وَلَدٞۚ فَإِن لَّمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلَدٞ وَوَرِثَهُۥٓ أَبَوَاهُ فَلِأُمِّهِ ٱلثُّلُثُۚ فَإِن كَانَ لَهُۥٓ إِخۡوَةٞ فَلِأُمِّهِ ٱلسُّدُسُۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصِي بِهَآ أَوۡ دَيۡنٍۗ ءَابَآؤُكُمۡ وَأَبۡنَآؤُكُمۡ لَا تَدۡرُونَ أَيُّهُمۡ أَقۡرَبُ لَكُمۡ نَفۡعٗاۚ فَرِيضَةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿11﴾

Katonda abakalaatira ku baana ba mmwe, nga omwana omulenzi afuna emigabo gya bawala babiri, bwebaba nga baana bawala nebasukka ku babiri basikira bibiri bya kusatu (2/3 )by’emmaali omufu gyaba alese, bwaba muwala omu afuna kimu kya kubiri (1/2) olwonno bazadde b’omufu, buli omu kubo naafuna kimu kya mukaaga (1/6) ku mmaali gyaba alese bwaba nga aleseewo omwana ow’obulenzi, bwaba nga talina mwana w’abulenzi, abazadde b’ombiriri nebamusikira maamawe aba atwala kimu kya kusatu (1/3), bwaba aleseewo bagandabe olwo maamawe afuna kimu kya mukaaga (1/6), ebyo byonna bikolebwa oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kye yalaama oba ebbanja, bazadde ba mmwe n’abaana ba mmwe temumanyi ani kubonna asinga okuba ow’omugaso gyemuli, eno y’engaba ya Katonda (gye muteekeddwa okugoberera) anti bulijjo mazima ddala Katonda amanyi nnyo ate nga buli kintu akikola kusinziira ku nsonga.

4:12

وَلَكُمۡ نِصۡفُ مَا تَرَكَ أَزۡوَٰجُكُمۡ إِن لَّمۡ يَكُن لَّهُنَّ وَلَدٞۚ فَإِن كَانَ لَهُنَّ وَلَدٞ فَلَكُمُ ٱلرُّبُعُ مِمَّا تَرَكۡنَۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصِينَ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٖۚ وَلَهُنَّ ٱلرُّبُعُ مِمَّا تَرَكۡتُمۡ إِن لَّمۡ يَكُن لَّكُمۡ وَلَدٞۚ فَإِن كَانَ لَكُمۡ وَلَدٞ فَلَهُنَّ ٱلثُّمُنُ مِمَّا تَرَكۡتُمۚ مِّنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ تُوصُونَ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٖۗ وَإِن كَانَ رَجُلٞ يُورَثُ كَلَٰلَةً أَوِ ٱمۡرَأَةٞ وَلَهُۥٓ أَخٌ أَوۡ أُخۡتٞ فَلِكُلِّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا ٱلسُّدُسُۚ فَإِن كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِن ذَٰلِكَ فَهُمۡ شُرَكَآءُ فِي ٱلثُّلُثِۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصَىٰ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٍ غَيۡرَ مُضَآرّٖۚ وَصِيَّةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَلِيمٞ ﴿12﴾

(Mmwe Abasajja) mufuna kimu kya kubiri (1/2) mwebyo bakyala ba mmwe byebaba balese bwebaba nga bafudde tebalese mwana (oba abazzukulu,) bwebaba balese omwana, olwo nno mufuna kimu kyakuna (1/4) mwebyo byebaba balese, (nga bino bikolebwa (oluvanyuma lwe kiraamo kyebaba balaamye oba ebbanja. Nabo abakyala bafuna kimu kya kuna (1/4) kwebyo byemuba mulese bwe mubanga temulina mwana gwemulese. Bwe muba mulina omwana olwonno bafuna kimu kya munaana (1/8) kwebyo byemuba mulese, (Bino bikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kyemuba mulaamye oba ebbanja, omusajja bwaba asikirwa nga talese baana wadde bazadde, naye nga alina mugandawe oba mwannyina (gwalese) buli omu ku bombi afuna kimu kya mukaaga (1/6) bwebaba nga basukkawo olwo bonna beegattira mu kimu kyakusatu (1/3), (kino kikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo ekiba kirekeddwa oba ebbanja, ekitaliimu kunyigiriza (eri abaserikale) bino byonna nga kiraamo gyemuli okuva eri Katonda wa mmwe, era bulijjo Katonda amanyi nnyo waakisa.

4:13

تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۚ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ يُدۡخِلۡهُ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿13﴾

Ago mateeka ga Katonda, omuntu yenna agondera Katonda n’omubakawe alimuyingiza e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu, era okwo kwekwesiima okusukkulumu.

4:14

وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَتَعَدَّ حُدُودَهُۥ يُدۡخِلۡهُ نَارًا خَٰلِدٗا فِيهَا وَلَهُۥ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿14﴾

N’oyo ajeemera Katonda n'omubakawe, naamenya amateekage agenda ku muyingiza omuliro, nga waakugubeeramu obugenderevu, era wa kutuusibwako ebibonerezo ebinyoomesa.

4:15

وَٱلَّـٰتِي يَأۡتِينَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مِن نِّسَآئِكُمۡ فَٱسۡتَشۡهِدُواْ عَلَيۡهِنَّ أَرۡبَعَةٗ مِّنكُمۡۖ فَإِن شَهِدُواْ فَأَمۡسِكُوهُنَّ فِي ٱلۡبُيُوتِ حَتَّىٰ يَتَوَفَّىٰهُنَّ ٱلۡمَوۡتُ أَوۡ يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لَهُنَّ سَبِيلٗا ﴿15﴾

Naabo abakyala ba mmwe ababa bakoze eby’obwenzi mubateekeko abajulizi bana (4) nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda naabateerawo enkola endala.

4:16

وَٱلَّذَانِ يَأۡتِيَٰنِهَا مِنكُمۡ فَـَٔاذُوهُمَاۖ فَإِن تَابَا وَأَصۡلَحَا فَأَعۡرِضُواْ عَنۡهُمَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ تَوَّابٗا رَّحِيمًا ﴿16﴾

Naabo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebeeyisa obulungi mubaleke, mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi.

4:17

إِنَّمَا ٱلتَّوۡبَةُ عَلَى ٱللَّهِ لِلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسُّوٓءَ بِجَهَٰلَةٖ ثُمَّ يَتُوبُونَ مِن قَرِيبٖ فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَتُوبُ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿17﴾

Mazima okwenenya okukkirizibwa ewa Katonda kwekwabantu abo abakola ebibi mu butamanya oluvanyuma nebeenenya mangu ddala abonno Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, anti bulijjo Katonda amanyi nnyo era agoba nsonga.

4:18

وَلَيۡسَتِ ٱلتَّوۡبَةُ لِلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ حَتَّىٰٓ إِذَا حَضَرَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ إِنِّي تُبۡتُ ٱلۡـَٰٔنَ وَلَا ٱلَّذِينَ يَمُوتُونَ وَهُمۡ كُفَّارٌۚ أُوْلَـٰٓئِكَ أَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿18﴾

Okwenenya tekukkirizibwa nga kuva mwabo abakola ebibi okutuusa omu ku bo okufa lwekumusemberera naagamba nti kaakati neenenyezza, wadde abo abafa nga bakafiiri, abo (bonna) twabategekera ebibonerezo ebiruma.

4:19

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا يَحِلُّ لَكُمۡ أَن تَرِثُواْ ٱلنِّسَآءَ كَرۡهٗاۖ وَلَا تَعۡضُلُوهُنَّ لِتَذۡهَبُواْ بِبَعۡضِ مَآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ إِلَّآ أَن يَأۡتِينَ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖۚ وَعَاشِرُوهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ فَإِن كَرِهۡتُمُوهُنَّ فَعَسَىٰٓ أَن تَكۡرَهُواْ شَيۡـٔٗا وَيَجۡعَلَ ٱللَّهُ فِيهِ خَيۡرٗا كَثِيرٗا ﴿19﴾

Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi.

4:20

وَإِنۡ أَرَدتُّمُ ٱسۡتِبۡدَالَ زَوۡجٖ مَّكَانَ زَوۡجٖ وَءَاتَيۡتُمۡ إِحۡدَىٰهُنَّ قِنطَارٗا فَلَا تَأۡخُذُواْ مِنۡهُ شَيۡـًٔاۚ أَتَأۡخُذُونَهُۥ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا ﴿20﴾

Singa mwagadde okuwaanyisa omukyala mu kifo kyomukyala omulala, omu ku bo nebwe muba nga mwamuwa endulundu ye mmaali, temubaggyangako kintu kyonna ku yo, musobole okugitwala mu ngeri yobulimba era nga kivve ekyeyolefu!!

4:21

وَكَيۡفَ تَأۡخُذُونَهُۥ وَقَدۡ أَفۡضَىٰ بَعۡضُكُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ وَأَخَذۡنَ مِنكُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا ﴿21﴾

Ate mugitwala mutya nga buli omu ku mmwe yamala dda okutuuka eri munne! (Abakyala abo) nebaggya ku mmwe endagaano ennyweevu.

4:22

وَلَا تَنكِحُواْ مَا نَكَحَ ءَابَآؤُكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا قَدۡ سَلَفَۚ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَمَقۡتٗا وَسَآءَ سَبِيلًا ﴿22﴾

Temuwasanga abakyala ba kitammwe bebaawasa, okugyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era nga nkola mbi.

4:23

حُرِّمَتۡ عَلَيۡكُمۡ أُمَّهَٰتُكُمۡ وَبَنَاتُكُمۡ وَأَخَوَٰتُكُمۡ وَعَمَّـٰتُكُمۡ وَخَٰلَٰتُكُمۡ وَبَنَاتُ ٱلۡأَخِ وَبَنَاتُ ٱلۡأُخۡتِ وَأُمَّهَٰتُكُمُ ٱلَّـٰتِيٓ أَرۡضَعۡنَكُمۡ وَأَخَوَٰتُكُم مِّنَ ٱلرَّضَٰعَةِ وَأُمَّهَٰتُ نِسَآئِكُمۡ وَرَبَـٰٓئِبُكُمُ ٱلَّـٰتِي فِي حُجُورِكُم مِّن نِّسَآئِكُمُ ٱلَّـٰتِي دَخَلۡتُم بِهِنَّ فَإِن لَّمۡ تَكُونُواْ دَخَلۡتُم بِهِنَّ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ وَحَلَـٰٓئِلُ أَبۡنَآئِكُمُ ٱلَّذِينَ مِنۡ أَصۡلَٰبِكُمۡ وَأَن تَجۡمَعُواْ بَيۡنَ ٱلۡأُخۡتَيۡنِ إِلَّا مَا قَدۡ سَلَفَۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿23﴾

Temukkirizibwa (kiri haramu) okuwasa ba maama ba mmwe, ne bawala ba mmwe ne bannyina mmwe, neba senga mmwe, ne baganda ba bamaama ba mmwe, ne bawala ba baganda ba mmwe, ne bawala ba bannyinammwe, ne ba maama ba mmwe abo abaabayonsa, nebannyinammwe bemwayonka ku bbeere erimu, ne bamaama ba bakyala ba mmwe n’abaana abajja ne bannyabwe abo ababa bakulidde mu maka gammwe, nga bazaalibwa bakyala ba mmwe abo bemwalabagana nabo, bwe muba temwalabaganako nabo, temulina mutawaana (era temukkirizibwa) baka batabani ba mmwe abo abava ku migongo gyammwe, era temukkirizibwa kugatta wakati wa bakyala ab’oluganda okugyako ebyo byemwakola edda emabega, anti bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.