quranm◉

Juz 3 ۞تِلۡكَ ٱلرُّسُلُ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ

Range
from 2:253 to 3:92
Surahs covered
Okuvvuunula
126 Okuvvuunula

◉

2:253

تِلۡكَ ٱلرُّسُلُ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۘ مِّنۡهُم مَّن كَلَّمَ ٱللَّهُۖ وَرَفَعَ بَعۡضَهُمۡ دَرَجَٰتٖۚ وَءَاتَيۡنَا عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَأَيَّدۡنَٰهُ بِرُوحِ ٱلۡقُدُسِۗ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا ٱقۡتَتَلَ ٱلَّذِينَ مِنۢ بَعۡدِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ وَلَٰكِنِ ٱخۡتَلَفُواْ فَمِنۡهُم مَّنۡ ءَامَنَ وَمِنۡهُم مَّن كَفَرَۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا ٱقۡتَتَلُواْ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يُرِيدُ ﴿253﴾

Abo ababaka twasukkulumya abamu ku bannaabwe, abamu ku bo Katonda yayogera nabo, nabalala naabasukkulumya mu madaala. Isa mutabani wa Mariam twamuwa obujulizi obwenkukunala era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Jiburilu), Singa Katonda yayagala abaaliwo mu mirembe egyaddako tebandirwanaganye oluvanyuma lwobunnyonnyofu okubajjira naye baayawukana, abamu mu bo bakkiriza naabalala nebajeema, era singa Katonda yayagala tebandirwanaganye, wabula mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.

2:254

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنفِقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰكُم مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا بَيۡعٞ فِيهِ وَلَا خُلَّةٞ وَلَا شَفَٰعَةٞۗ وَٱلۡكَٰفِرُونَ هُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿254﴾

Abange mwe abakkiriza muweeyo kwebyo byetwabagabira, nga olunaku okutaliba kutunda wadde omukwano oba okuwolereza terunatuuka, naye Abakafiiri bebalyazamanyi (olwobutagondera mateeka g’a Katonda).

2:255

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُۚ لَا تَأۡخُذُهُۥ سِنَةٞ وَلَا نَوۡمٞۚ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ مَن ذَا ٱلَّذِي يَشۡفَعُ عِندَهُۥٓ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۖ وَلَا يُحِيطُونَ بِشَيۡءٖ مِّنۡ عِلۡمِهِۦٓ إِلَّا بِمَا شَآءَۚ وَسِعَ كُرۡسِيُّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۖ وَلَا يَـُٔودُهُۥ حِفۡظُهُمَاۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ ﴿255﴾

Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.

2:256

لَآ إِكۡرَاهَ فِي ٱلدِّينِۖ قَد تَّبَيَّنَ ٱلرُّشۡدُ مِنَ ٱلۡغَيِّۚ فَمَن يَكۡفُرۡ بِٱلطَّـٰغُوتِ وَيُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ فَقَدِ ٱسۡتَمۡسَكَ بِٱلۡعُرۡوَةِ ٱلۡوُثۡقَىٰ لَا ٱنفِصَامَ لَهَاۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿256﴾

Tewali kuwaliriza bantu kuyingira mu ddiini anti obulungamu bweyolese okuva ku bubuze, oyo yenna awakanya Sitane nakkiriza Katonda aba yeekutte ku muguwa omugumu ogutakutuka, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna.

2:257

ٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُخۡرِجُهُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡلِيَآؤُهُمُ ٱلطَّـٰغُوتُ يُخۡرِجُونَهُم مِّنَ ٱلنُّورِ إِلَى ٱلظُّلُمَٰتِۗ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿257﴾

Katonda yemweyimirize wa bakkiriza, abaggya mu bizikiza naabazza eri ekitangaala, bo abakafiiri, ebintu bya Sitane ye mweyimirize waabwe, bibaggya mu kitangaala nebibazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera.

2:258

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِي حَآجَّ إِبۡرَٰهِـۧمَ فِي رَبِّهِۦٓ أَنۡ ءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ إِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّيَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ قَالَ أَنَا۠ أُحۡيِۦ وَأُمِيتُۖ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَأۡتِي بِٱلشَّمۡسِ مِنَ ٱلۡمَشۡرِقِ فَأۡتِ بِهَا مِنَ ٱلۡمَغۡرِبِ فَبُهِتَ ٱلَّذِي كَفَرَۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿258﴾

Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahim ku bwomu bwa Katonda we, olwokuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi ekyamuletera okwekuluntaza, Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era natta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim naagamba nti mazima Katonda enjuba agiggya buvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuwakanyi oyo ebigambo nebimuggwako anti bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

2:259

أَوۡ كَٱلَّذِي مَرَّ عَلَىٰ قَرۡيَةٖ وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا قَالَ أَنَّىٰ يُحۡيِۦ هَٰذِهِ ٱللَّهُ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۖ فَأَمَاتَهُ ٱللَّهُ مِاْئَةَ عَامٖ ثُمَّ بَعَثَهُۥۖ قَالَ كَمۡ لَبِثۡتَۖ قَالَ لَبِثۡتُ يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۖ قَالَ بَل لَّبِثۡتَ مِاْئَةَ عَامٖ فَٱنظُرۡ إِلَىٰ طَعَامِكَ وَشَرَابِكَ لَمۡ يَتَسَنَّهۡۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰ حِمَارِكَ وَلِنَجۡعَلَكَ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِۖ وَٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡعِظَامِ كَيۡفَ نُنشِزُهَا ثُمَّ نَكۡسُوهَا لَحۡمٗاۚ فَلَمَّا تَبَيَّنَ لَهُۥ قَالَ أَعۡلَمُ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿259﴾

Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu.

2:260

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿260﴾

Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.

2:261

مَّثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ كَمَثَلِ حَبَّةٍ أَنۢبَتَتۡ سَبۡعَ سَنَابِلَ فِي كُلِّ سُنۢبُلَةٖ مِّاْئَةُ حَبَّةٖۗ وَٱللَّهُ يُضَٰعِفُ لِمَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٌ ﴿261﴾

Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya.

2:262

ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ لَا يُتۡبِعُونَ مَآ أَنفَقُواْ مَنّٗا وَلَآ أَذٗى لَّهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿262﴾

Abo abawaayo e mmaali mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala.

2:263

قَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞ وَمَغۡفِرَةٌ خَيۡرٞ مِّن صَدَقَةٖ يَتۡبَعُهَآ أَذٗىۗ وَٱللَّهُ غَنِيٌّ حَلِيمٞ ﴿263﴾

Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi.

2:264

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُبۡطِلُواْ صَدَقَٰتِكُم بِٱلۡمَنِّ وَٱلۡأَذَىٰ كَٱلَّذِي يُنفِقُ مَالَهُۥ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ فَمَثَلُهُۥ كَمَثَلِ صَفۡوَانٍ عَلَيۡهِ تُرَابٞ فَأَصَابَهُۥ وَابِلٞ فَتَرَكَهُۥ صَلۡدٗاۖ لَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّمَّا كَسَبُواْۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿264﴾

Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu.

2:265

وَمَثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمُ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ وَتَثۡبِيتٗا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ كَمَثَلِ جَنَّةِۭ بِرَبۡوَةٍ أَصَابَهَا وَابِلٞ فَـَٔاتَتۡ أُكُلَهَا ضِعۡفَيۡنِ فَإِن لَّمۡ يُصِبۡهَا وَابِلٞ فَطَلّٞۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ﴿265﴾

Kyo ekifaananyi kyabo abawaayo emmaali yaabwe nga banoonya kusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kwabwe Katonda okwa namaddala, baba nga ennimiro eri ku ttaka eggimu neetonnyebwamu namutikwa wenkuba ebibala byayo nebyebazaamu emirundi ebiri nebweba tefunye namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna byemukola.

2:266

أَيَوَدُّ أَحَدُكُمۡ أَن تَكُونَ لَهُۥ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَابٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ لَهُۥ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَأَصَابَهُ ٱلۡكِبَرُ وَلَهُۥ ذُرِّيَّةٞ ضُعَفَآءُ فَأَصَابَهَآ إِعۡصَارٞ فِيهِ نَارٞ فَٱحۡتَرَقَتۡۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَتَفَكَّرُونَ ﴿266﴾

Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera nennimiro eyeemitende nemizabibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ngalina mu yo buli kika kyabibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro naagikuba neggya neggwawo, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo ebigasa musobole okwefumiitiriza.

2:267

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنفِقُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا كَسَبۡتُمۡ وَمِمَّآ أَخۡرَجۡنَا لَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِۖ وَلَا تَيَمَّمُواْ ٱلۡخَبِيثَ مِنۡهُ تُنفِقُونَ وَلَسۡتُم بِـَٔاخِذِيهِ إِلَّآ أَن تُغۡمِضُواْ فِيهِۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٌ ﴿267﴾

Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne mwebyo byetubaggira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu byo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okugyako nga mwefudde abatalaba (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda talina bwetaavu eri kintu kyonna era yaatenderezebwa.

2:268

ٱلشَّيۡطَٰنُ يَعِدُكُمُ ٱلۡفَقۡرَ وَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ وَٱللَّهُ يَعِدُكُم مَّغۡفِرَةٗ مِّنۡهُ وَفَضۡلٗاۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿268﴾

Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.

2:269

يُؤۡتِي ٱلۡحِكۡمَةَ مَن يَشَآءُۚ وَمَن يُؤۡتَ ٱلۡحِكۡمَةَ فَقَدۡ أُوتِيَ خَيۡرٗا كَثِيرٗاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿269﴾

Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo.

2:270

وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن نَّفَقَةٍ أَوۡ نَذَرۡتُم مِّن نَّذۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُهُۥۗ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٍ ﴿270﴾

(Muteekwa mukimanye nti ) buli kyonna kyemuba muwaddeyo oba naziri yonna gyemuba mwetemye mazima Katonda abimanyi. Abeeyisa obubi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda.

2:271

إِن تُبۡدُواْ ٱلصَّدَقَٰتِ فَنِعِمَّا هِيَۖ وَإِن تُخۡفُوهَا وَتُؤۡتُوهَا ٱلۡفُقَرَآءَ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۚ وَيُكَفِّرُ عَنكُم مِّن سَيِّـَٔاتِكُمۡۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿271﴾

Saddaaka bwemuziwa mu lwatu kiba kirungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi, era ekyo kibasonyiyisa ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola.

2:272

لَّيۡسَ عَلَيۡكَ هُدَىٰهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَلِأَنفُسِكُمۡۚ وَمَا تُنفِقُونَ إِلَّا ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ ٱللَّهِۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ ﴿272﴾

(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulungama kwaabwe, wabula Katonda alungamya oyo gwaba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) buli kyonna kyemuwaayo mugenderera kudda eri Katonda, buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamanyizibwa.

2:273

لِلۡفُقَرَآءِ ٱلَّذِينَ أُحۡصِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا يَسۡتَطِيعُونَ ضَرۡبٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ يَحۡسَبُهُمُ ٱلۡجَاهِلُ أَغۡنِيَآءَ مِنَ ٱلتَّعَفُّفِ تَعۡرِفُهُم بِسِيمَٰهُمۡ لَا يَسۡـَٔلُونَ ٱلنَّاسَ إِلۡحَافٗاۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٌ ﴿273﴾

(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutakabana nga banoonya riziki mu nsi. Olwensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga osobola okubamanya olwobubonero bwaabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyira ddala.

2:274

ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿274﴾

Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala.

2:275

ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ ٱلرِّبَوٰاْ لَا يَقُومُونَ إِلَّا كَمَا يَقُومُ ٱلَّذِي يَتَخَبَّطُهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مِنَ ٱلۡمَسِّۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡبَيۡعُ مِثۡلُ ٱلرِّبَوٰاْۗ وَأَحَلَّ ٱللَّهُ ٱلۡبَيۡعَ وَحَرَّمَ ٱلرِّبَوٰاْۚ فَمَن جَآءَهُۥ مَوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ فَٱنتَهَىٰ فَلَهُۥ مَا سَلَفَ وَأَمۡرُهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَنۡ عَادَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿275﴾

Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.

2:276

يَمۡحَقُ ٱللَّهُ ٱلرِّبَوٰاْ وَيُرۡبِي ٱلصَّدَقَٰتِۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ كَفَّارٍ أَثِيمٍ ﴿276﴾

Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda).

2:277

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿277﴾

Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.

2:278

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَذَرُواْ مَا بَقِيَ مِنَ ٱلرِّبَوٰٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿278﴾

Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era musazeemu enkolagana ya Ribba gyemubadde mukyalimu bwe muba nga ddala muli bakkiriza.

2:279

فَإِن لَّمۡ تَفۡعَلُواْ فَأۡذَنُواْ بِحَرۡبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۖ وَإِن تُبۡتُمۡ فَلَكُمۡ رُءُوسُ أَمۡوَٰلِكُمۡ لَا تَظۡلِمُونَ وَلَا تُظۡلَمُونَ ﴿279﴾

Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muzigyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa.

2:280

وَإِن كَانَ ذُو عُسۡرَةٖ فَنَظِرَةٌ إِلَىٰ مَيۡسَرَةٖۚ وَأَن تَصَدَّقُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿280﴾

Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi.

2:281

وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا تُرۡجَعُونَ فِيهِ إِلَى ٱللَّهِۖ ثُمَّ تُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿281﴾

Mutye olunaku lwemuliddizibwa ewa Katonda oluvanyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi.

2:282

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا تَدَايَنتُم بِدَيۡنٍ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى فَٱكۡتُبُوهُۚ وَلۡيَكۡتُب بَّيۡنَكُمۡ كَاتِبُۢ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَلَا يَأۡبَ كَاتِبٌ أَن يَكۡتُبَ كَمَا عَلَّمَهُ ٱللَّهُۚ فَلۡيَكۡتُبۡ وَلۡيُمۡلِلِ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥ وَلَا يَبۡخَسۡ مِنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ فَإِن كَانَ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ سَفِيهًا أَوۡ ضَعِيفًا أَوۡ لَا يَسۡتَطِيعُ أَن يُمِلَّ هُوَ فَلۡيُمۡلِلۡ وَلِيُّهُۥ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَٱسۡتَشۡهِدُواْ شَهِيدَيۡنِ مِن رِّجَالِكُمۡۖ فَإِن لَّمۡ يَكُونَا رَجُلَيۡنِ فَرَجُلٞ وَٱمۡرَأَتَانِ مِمَّن تَرۡضَوۡنَ مِنَ ٱلشُّهَدَآءِ أَن تَضِلَّ إِحۡدَىٰهُمَا فَتُذَكِّرَ إِحۡدَىٰهُمَا ٱلۡأُخۡرَىٰۚ وَلَا يَأۡبَ ٱلشُّهَدَآءُ إِذَا مَا دُعُواْۚ وَلَا تَسۡـَٔمُوٓاْ أَن تَكۡتُبُوهُ صَغِيرًا أَوۡ كَبِيرًا إِلَىٰٓ أَجَلِهِۦۚ ذَٰلِكُمۡ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِ وَأَقۡوَمُ لِلشَّهَٰدَةِ وَأَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَرۡتَابُوٓاْ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً حَاضِرَةٗ تُدِيرُونَهَا بَيۡنَكُمۡ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَلَّا تَكۡتُبُوهَاۗ وَأَشۡهِدُوٓاْ إِذَا تَبَايَعۡتُمۡۚ وَلَا يُضَآرَّ كَاتِبٞ وَلَا شَهِيدٞۚ وَإِن تَفۡعَلُواْ فَإِنَّهُۥ فُسُوقُۢ بِكُمۡۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱللَّهُۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿282﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu.

2:283

وَإِن كُنتُمۡ عَلَىٰ سَفَرٖ وَلَمۡ تَجِدُواْ كَاتِبٗا فَرِهَٰنٞ مَّقۡبُوضَةٞۖ فَإِنۡ أَمِنَ بَعۡضُكُم بَعۡضٗا فَلۡيُؤَدِّ ٱلَّذِي ٱؤۡتُمِنَ أَمَٰنَتَهُۥ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥۗ وَلَا تَكۡتُمُواْ ٱلشَّهَٰدَةَۚ وَمَن يَكۡتُمۡهَا فَإِنَّهُۥٓ ءَاثِمٞ قَلۡبُهُۥۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ ﴿283﴾

Bwe muba nga muli ku lugendo olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesiganganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola.

2:284

لِّلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَإِن تُبۡدُواْ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ أَوۡ تُخۡفُوهُ يُحَاسِبۡكُم بِهِ ٱللَّهُۖ فَيَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿284﴾

Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gwaliba ayagadde era abonereze oyo gwaliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu.

2:285

ءَامَنَ ٱلرَّسُولُ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِ مِن رَّبِّهِۦ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَۚ كُلٌّ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَمَلَـٰٓئِكَتِهِۦ وَكُتُبِهِۦ وَرُسُلِهِۦ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّن رُّسُلِهِۦۚ وَقَالُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَاۖ غُفۡرَانَكَ رَبَّنَا وَإِلَيۡكَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿285﴾

Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be neebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.

2:286

لَا يُكَلِّفُ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۚ لَهَا مَا كَسَبَتۡ وَعَلَيۡهَا مَا ٱكۡتَسَبَتۡۗ رَبَّنَا لَا تُؤَاخِذۡنَآ إِن نَّسِينَآ أَوۡ أَخۡطَأۡنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تَحۡمِلۡ عَلَيۡنَآ إِصۡرٗا كَمَا حَمَلۡتَهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تُحَمِّلۡنَا مَا لَا طَاقَةَ لَنَا بِهِۦۖ وَٱعۡفُ عَنَّا وَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَآۚ أَنتَ مَوۡلَىٰنَا فَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿286﴾

Katonda tawaliriza muntu okugyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olwebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu butanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tugyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, gwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala.

3:1

الٓمٓ ﴿1﴾

Alif Laamu Mimu.

3:2

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُ ﴿2﴾

Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna.

3:3

نَزَّلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَأَنزَلَ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ﴿3﴾

Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili.

3:4

مِن قَبۡلُ هُدٗى لِّلنَّاسِ وَأَنزَلَ ٱلۡفُرۡقَانَۗ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٍ ﴿4﴾

Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza.

3:5

إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَخۡفَىٰ عَلَيۡهِ شَيۡءٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ ﴿5﴾

Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu.

3:6

هُوَ ٱلَّذِي يُصَوِّرُكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ كَيۡفَ يَشَآءُۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿6﴾

Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

3:7

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ مِنۡهُ ءَايَٰتٞ مُّحۡكَمَٰتٌ هُنَّ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ وَأُخَرُ مُتَشَٰبِهَٰتٞۖ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِمۡ زَيۡغٞ فَيَتَّبِعُونَ مَا تَشَٰبَهَ مِنۡهُ ٱبۡتِغَآءَ ٱلۡفِتۡنَةِ وَٱبۡتِغَآءَ تَأۡوِيلِهِۦۖ وَمَا يَعۡلَمُ تَأۡوِيلَهُۥٓ إِلَّا ٱللَّهُۗ وَٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ يَقُولُونَ ءَامَنَّا بِهِۦ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ رَبِّنَاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿7﴾

Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu.

3:8

رَبَّنَا لَا تُزِغۡ قُلُوبَنَا بَعۡدَ إِذۡ هَدَيۡتَنَا وَهَبۡ لَنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةًۚ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ ﴿8﴾

(Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe toggya mitima gyaffe ku bulungamu oluvanyuma lwokuba nti wabutuwa, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna.

3:9

رَبَّنَآ إِنَّكَ جَامِعُ ٱلنَّاسِ لِيَوۡمٖ لَّا رَيۡبَ فِيهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿9﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja kukunganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa.

3:10

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمۡ وَقُودُ ٱلنَّارِ ﴿10﴾

Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo).

3:11

كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿11﴾

Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza.

3:12

قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ سَتُغۡلَبُونَ وَتُحۡشَرُونَ إِلَىٰ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿12﴾

Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo.

3:13

قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٞ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٞ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٞ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿13﴾

Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.

3:14

زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿14﴾

Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.

3:15

قُلۡ أَؤُنَبِّئُكُم بِخَيۡرٖ مِّن ذَٰلِكُمۡۖ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا وَأَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞ وَرِضۡوَٰنٞ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿15﴾

Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be.

3:16

ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ إِنَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿16﴾

(Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro.

3:17

ٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ﴿17﴾

(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.

3:18

شَهِدَ ٱللَّهُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَأُوْلُواْ ٱلۡعِلۡمِ قَآئِمَۢا بِٱلۡقِسۡطِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿18﴾

Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.

3:19

إِنَّ ٱلدِّينَ عِندَ ٱللَّهِ ٱلۡإِسۡلَٰمُۗ وَمَا ٱخۡتَلَفَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿19﴾

Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna olwokwekolera eyewaggula ku bigambo bya Katonda mazima Katonda takaluubirirwa kubala.

3:20

فَإِنۡ حَآجُّوكَ فَقُلۡ أَسۡلَمۡتُ وَجۡهِيَ لِلَّهِ وَمَنِ ٱتَّبَعَنِۗ وَقُل لِّلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡأُمِّيِّـۧنَ ءَأَسۡلَمۡتُمۡۚ فَإِنۡ أَسۡلَمُواْ فَقَدِ ٱهۡتَدَواْۖ وَّإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿20﴾

Bwebaba bakuwakanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli, yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balungamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola).

3:21

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ بِغَيۡرِ حَقّٖ وَيَقۡتُلُونَ ٱلَّذِينَ يَأۡمُرُونَ بِٱلۡقِسۡطِ مِنَ ٱلنَّاسِ فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ﴿21﴾

Mazima abeewaggula kubigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma.

3:22

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿22﴾

Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa.

3:23

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ نَصِيبٗا مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ يُدۡعَوۡنَ إِلَىٰ كِتَٰبِ ٱللَّهِ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ ثُمَّ يَتَوَلَّىٰ فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ وَهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿23﴾

Tolaba abo abaaweebwa omukisa nebafuna ekitabo nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda abalamule, ate ekitundu ku bo, nebatakikola. Mukukola ekyo nebaba nga bavudde ku mazima gebamanyi.

3:24

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَن تَمَسَّنَا ٱلنَّارُ إِلَّآ أَيَّامٗا مَّعۡدُودَٰتٖۖ وَغَرَّهُمۡ فِي دِينِهِم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿24﴾

Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okugyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebeyiyiza nebibagayaaza mu ddiini yaabwe.

3:25

فَكَيۡفَ إِذَا جَمَعۡنَٰهُمۡ لِيَوۡمٖ لَّا رَيۡبَ فِيهِ وَوُفِّيَتۡ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿25﴾

Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi.

3:26

قُلِ ٱللَّهُمَّ مَٰلِكَ ٱلۡمُلۡكِ تُؤۡتِي ٱلۡمُلۡكَ مَن تَشَآءُ وَتَنزِعُ ٱلۡمُلۡكَ مِمَّن تَشَآءُ وَتُعِزُّ مَن تَشَآءُ وَتُذِلُّ مَن تَشَآءُۖ بِيَدِكَ ٱلۡخَيۡرُۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿26﴾

(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu.

3:27

تُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَتُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۖ وَتُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَتُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّۖ وَتَرۡزُقُ مَن تَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿27﴾

Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira.

3:28

لَّا يَتَّخِذِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَلَيۡسَ مِنَ ٱللَّهِ فِي شَيۡءٍ إِلَّآ أَن تَتَّقُواْ مِنۡهُمۡ تُقَىٰةٗۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿28﴾

Abakkiriza tebafuulanga Abakafiiri ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bwatyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okugyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda yeeri obuddo.

3:29

قُلۡ إِن تُخۡفُواْ مَا فِي صُدُورِكُمۡ أَوۡ تُبۡدُوهُ يَعۡلَمۡهُ ٱللَّهُۗ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿29﴾

Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka oba obutakweka ebiri mu bifuba byammwe, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.

3:30

يَوۡمَ تَجِدُ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا عَمِلَتۡ مِنۡ خَيۡرٖ مُّحۡضَرٗا وَمَا عَمِلَتۡ مِن سُوٓءٖ تَوَدُّ لَوۡ أَنَّ بَيۡنَهَا وَبَيۡنَهُۥٓ أَمَدَۢا بَعِيدٗاۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَٱللَّهُ رَءُوفُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿30﴾

(Lowooza) ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa awo, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa awo, nga yeegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda musaasizi eri abamusinza.

3:31

قُلۡ إِن كُنتُمۡ تُحِبُّونَ ٱللَّهَ فَٱتَّبِعُونِي يُحۡبِبۡكُمُ ٱللَّهُ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿31﴾

Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi.

3:32

قُلۡ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَۖ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿32﴾

Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri.

3:33

إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰٓ ءَادَمَ وَنُوحٗا وَءَالَ إِبۡرَٰهِيمَ وَءَالَ عِمۡرَٰنَ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿33﴾

Mazima Katonda yawa Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran enkizo ku bantu abalala.

3:34

ذُرِّيَّةَۢ بَعۡضُهَا مِنۢ بَعۡضٖۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿34﴾

Nga bazukkulu, abamu bava mu bannabwe, bulijjo Katonda awulira mumanyi nnyo.

3:35

إِذۡ قَالَتِ ٱمۡرَأَتُ عِمۡرَٰنَ رَبِّ إِنِّي نَذَرۡتُ لَكَ مَا فِي بَطۡنِي مُحَرَّرٗا فَتَقَبَّلۡ مِنِّيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿35﴾

Jjukira mukyala wa Imran bweyagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyamye ku lulwo ekiri mu lubuto lwange kibe ekiwebwayo gyoli era nkusaba okkirize ekiwebwayo kyange, anti mazima ddala ggwe ggwe awulira omumanyi ennyo.

3:36

فَلَمَّا وَضَعَتۡهَا قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي وَضَعۡتُهَآ أُنثَىٰ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا وَضَعَتۡ وَلَيۡسَ ٱلذَّكَرُ كَٱلۡأُنثَىٰۖ وَإِنِّي سَمَّيۡتُهَا مَرۡيَمَ وَإِنِّيٓ أُعِيذُهَا بِكَ وَذُرِّيَّتَهَا مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ﴿36﴾

(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo.

3:37

فَتَقَبَّلَهَا رَبُّهَا بِقَبُولٍ حَسَنٖ وَأَنۢبَتَهَا نَبَاتًا حَسَنٗا وَكَفَّلَهَا زَكَرِيَّاۖ كُلَّمَا دَخَلَ عَلَيۡهَا زَكَرِيَّا ٱلۡمِحۡرَابَ وَجَدَ عِندَهَا رِزۡقٗاۖ قَالَ يَٰمَرۡيَمُ أَنَّىٰ لَكِ هَٰذَاۖ قَالَتۡ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ﴿37﴾

Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira.

3:38

هُنَالِكَ دَعَا زَكَرِيَّا رَبَّهُۥۖ قَالَ رَبِّ هَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ ذُرِّيَّةٗ طَيِّبَةًۖ إِنَّكَ سَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ﴿38﴾

Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi.

3:39

فَنَادَتۡهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُوَ قَآئِمٞ يُصَلِّي فِي ٱلۡمِحۡرَابِ أَنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكَ بِيَحۡيَىٰ مُصَدِّقَۢا بِكَلِمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَسَيِّدٗا وَحَصُورٗا وَنَبِيّٗا مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿39﴾

Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu.

3:40

قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَقَدۡ بَلَغَنِيَ ٱلۡكِبَرُ وَٱمۡرَأَتِي عَاقِرٞۖ قَالَ كَذَٰلِكَ ٱللَّهُ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ ﴿40﴾

Zakaria naagamba nti; Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) naagamba nti bwatyo Katonda akola kyaba ayagadde.

3:41

قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةٗۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَةَ أَيَّامٍ إِلَّا رَمۡزٗاۗ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ كَثِيرٗا وَسَبِّحۡ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِبۡكَٰرِ ﴿41﴾

Naagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mpa akabonero. (Malayika) naagamba akabonero ko kwekuba nti tojja kwogera n’abantu okumala ennaku ssatu okugyako ng’okozesa kulaza. Era jjukira Katonda wo era otendereze akawungeezi nenkya.

3:42

وَإِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰكِ وَطَهَّرَكِ وَٱصۡطَفَىٰكِ عَلَىٰ نِسَآءِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿42﴾

Era jjukira Malayika bweyagamba Mariam nti mazima Katonda akulonze naakutukuza naakwawula ku Bakyala abalala bonna.

3:43

يَٰمَرۡيَمُ ٱقۡنُتِي لِرَبِّكِ وَٱسۡجُدِي وَٱرۡكَعِي مَعَ ٱلرَّـٰكِعِينَ ﴿43﴾

Owange Mariam weeweyo eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi nga abalala bwebakutama.

3:44

ذَٰلِكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهِ إِلَيۡكَۚ وَمَا كُنتَ لَدَيۡهِمۡ إِذۡ يُلۡقُونَ أَقۡلَٰمَهُمۡ أَيُّهُمۡ يَكۡفُلُ مَرۡيَمَ وَمَا كُنتَ لَدَيۡهِمۡ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ ﴿44﴾

Ebyo by’ebimu ku bigambo ebyekusifu byetukutegeeza (Ggwe Muhammad) mu bubaka era tewali nabo web’akasukira e kalamu zaabwe ku mazzi ngabanoonya okumanya nti ani ku bo anaakuza Mariam, era tewali nabo bwe baali bakaayagana (ku nsonga eyo).

3:45

إِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكِ بِكَلِمَةٖ مِّنۡهُ ٱسۡمُهُ ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ وَجِيهٗا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿45﴾

Era jjukira ekiseera Malayika bweyagamba Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gyali (ekyokuzaala omwana) ngerinya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku nsi ne ku nkomerero era nga w’amwabo abasembezebwa ewa Katonda.

3:46

وَيُكَلِّمُ ٱلنَّاسَ فِي ٱلۡمَهۡدِ وَكَهۡلٗا وَمِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿46﴾

Era agenda kwogera n'abantu nga ali mu kibaya ne mukusajjakula era wa mu luse lwabalongofu.

3:47

قَالَتۡ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي وَلَدٞ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٞۖ قَالَ كَذَٰلِكِ ٱللَّهُ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿47﴾

(Mariam) naagamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) naagamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Katonda atonda nga bwaba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba.

3:48

وَيُعَلِّمُهُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ﴿48﴾

Era (Katonda) ajja kumuyigiriza amateeka n’okugoba ensonga ne Taurat ne njili.

3:49

وَرَسُولًا إِلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ أَنِّي قَدۡ جِئۡتُكُم بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ أَنِّيٓ أَخۡلُقُ لَكُم مِّنَ ٱلطِّينِ كَهَيۡـَٔةِ ٱلطَّيۡرِ فَأَنفُخُ فِيهِ فَيَكُونُ طَيۡرَۢا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۖ وَأُبۡرِئُ ٱلۡأَكۡمَهَ وَٱلۡأَبۡرَصَ وَأُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۖ وَأُنَبِّئُكُم بِمَا تَأۡكُلُونَ وَمَا تَدَّخِرُونَ فِي بُيُوتِكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿49﴾

Era agenda kubeera mubaka eri abaana ba Israel (ng’abagamba nti) mazima nze mbajjidde n’akabonero okuva eri Mukama Katonda wa mmwe nja kubakolera ekintu ekifaanana nga ekinyonyi okuva mu ttaka, nja kukifuuwamu omukka kibeere ekinyonyi ku lwobuyinza bwa Katonda, era njakuwonya abempoma n’abebigenge, nzuukize naabafu (byonna) kulwobuyinza bwa Katonda, era nja kubategeeza bwemulina okulya nebyemuteekwa okutereka mu mayumba gammwe, mazima ddala mw’ebyo (ebimenyeddwa) mulimu akabonero gyemuli bwe muba nga muli bakkiriza.

3:50

وَمُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيَّ مِنَ ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَلِأُحِلَّ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي حُرِّمَ عَلَيۡكُمۡۚ وَجِئۡتُكُم بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿50﴾

Era mbajjidde nga nkakasa amazima g’ebyo ebyakulembera ebyajjira mu Taurat. Era mbakkirize ebimu kw’ebyo ebyali byabagaanibwa, era mbajjidde n’akabonero okuva eri mukama Katonda wa mmwe nolw’ekyo mutye Katonda era mungondere.

3:51

إِنَّ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ ﴿51﴾

Mazima Katonda ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze. Okukola ekyo lyekkubo eggolokofu.

3:52

فَلَمَّآ أَحَسَّ عِيسَىٰ مِنۡهُمُ ٱلۡكُفۡرَ قَالَ مَنۡ أَنصَارِيٓ إِلَى ٱللَّهِۖ قَالَ ٱلۡحَوَارِيُّونَ نَحۡنُ أَنصَارُ ٱللَّهِ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَٱشۡهَدۡ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ﴿52﴾

Naye Isa bweyamala okulaba obukaafiiri bwabwe naagamba nti; baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Katonda, tukkiriza Katonda. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Katonda.

3:53

رَبَّنَآ ءَامَنَّا بِمَآ أَنزَلۡتَ وَٱتَّبَعۡنَا ٱلرَّسُولَ فَٱكۡتُبۡنَا مَعَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿53﴾

Ayi Mukama Katonda waffe tukkiriza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi.

3:54

وَمَكَرُواْ وَمَكَرَ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ ﴿54﴾

(Abayudaaya) baasala enkwe ne Katonda n’asalawo okulemesa enkwe zaabwe anti bulijjo Katonda mulungi okusinga abo abasala enkwe.

3:55

إِذۡ قَالَ ٱللَّهُ يَٰعِيسَىٰٓ إِنِّي مُتَوَفِّيكَ وَرَافِعُكَ إِلَيَّ وَمُطَهِّرُكَ مِنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَجَاعِلُ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُوكَ فَوۡقَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ ثُمَّ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ ﴿55﴾

Jjukira ekiseera Katonda bweyagamba nti; Owange ggwe Isa nze ngenda kukutuukiririza ekyo kyenakuwandiikako, era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze kwabo abaakaafuwala, abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu waabo abakafuwala okutuusa ku lunaku lw’enkomerero oluvanyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mwebyo byemwayawukanangamu.

3:56

فَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَأُعَذِّبُهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدٗا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿56﴾

Bbo Abaakaafuwala ngenda kubabonereza n’ebibonerezo ebikakali ku nsi ne ku nkomerero, era tebagenda kufuna baakubataasa.

3:57

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَيُوَفِّيهِمۡ أُجُورَهُمۡۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿57﴾

Naye bbo, abo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi (Katonda) agenda kubajjuliza empeera zaabwe, anti bulijjo Katonda tayagala bakozi ba bibi.

3:58

ذَٰلِكَ نَتۡلُوهُ عَلَيۡكَ مِنَ ٱلۡأٓيَٰتِ وَٱلذِّكۡرِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿58﴾

Ebyo tubikusomera Ggwe (Nabbi Muhammad) nga byamububonero n’okubuulirira okwamagezi.

3:59

إِنَّ مَثَلَ عِيسَىٰ عِندَ ٱللَّهِ كَمَثَلِ ءَادَمَۖ خَلَقَهُۥ مِن تُرَابٖ ثُمَّ قَالَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿59﴾

Mazima entondebwa ya Isa ewa Katonda efaanana nentondebwa ya Adam, yamutonda nga amugya mu ttaka oluvanyuma naamugamba nti beera n’aba omuntu.

3:60

ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ ﴿60﴾

Ago nno geemazima agava eri Mukama Katondawo, kale tobeeranga mu babuusabuusa.

3:61

فَمَنۡ حَآجَّكَ فِيهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ فَقُلۡ تَعَالَوۡاْ نَدۡعُ أَبۡنَآءَنَا وَأَبۡنَآءَكُمۡ وَنِسَآءَنَا وَنِسَآءَكُمۡ وَأَنفُسَنَا وَأَنفُسَكُمۡ ثُمَّ نَبۡتَهِلۡ فَنَجۡعَل لَّعۡنَتَ ٱللَّهِ عَلَى ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿61﴾

Singa omuntu yenna akuwakanya kukino, oluvanyuma lwa mazima agakujjidde ggwe gamba nti mujje tuyite abaana baffe n'abaana ba mmwe, bakyala baffe ne bakyala ba mmwe, naffe fennyini nammwe olwo nno tusabe ekikolimo kya Katonda kituuke ku balimba.

3:62

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡقَصَصُ ٱلۡحَقُّۚ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿62﴾

Mazima bino (ebyogeddwa) g’emazima (ku bikwata ku nsonga y’okuzaalibwa kwa Isa), tewali kisinzibwa kyonna (mu mazima) okugyako Katonda omu Allah, era bulijjo Katonda ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

3:63

فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿63﴾

Bwebava ku mazima gano mazima Katonda amanyi byonna ebifa ku bonoonyi.

3:64

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ كَلِمَةٖ سَوَآءِۭ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمۡ أَلَّا نَعۡبُدَ إِلَّا ٱللَّهَ وَلَا نُشۡرِكَ بِهِۦ شَيۡـٔٗا وَلَا يَتَّخِذَ بَعۡضُنَا بَعۡضًا أَرۡبَابٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُولُواْ ٱشۡهَدُواْ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ﴿64﴾

(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda.

3:65

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تُحَآجُّونَ فِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَمَآ أُنزِلَتِ ٱلتَّوۡرَىٰةُ وَٱلۡإِنجِيلُ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿65﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera.

3:66

هَـٰٓأَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ حَٰجَجۡتُمۡ فِيمَا لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞ فَلِمَ تُحَآجُّونَ فِيمَا لَيۡسَ لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿66﴾

(Mwewunyisa) okuba nga mwe mwennyini mwawakana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki muwakana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi.

3:67

مَا كَانَ إِبۡرَٰهِيمُ يَهُودِيّٗا وَلَا نَصۡرَانِيّٗا وَلَٰكِن كَانَ حَنِيفٗا مُّسۡلِمٗا وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿67﴾

Ibrahim tabeerangako mu yudaaya wadde omukulisitayo wabula yali mukkiriza owa nnamaddala eyewaayo ewa Katonda, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.

3:68

إِنَّ أَوۡلَى ٱلنَّاسِ بِإِبۡرَٰهِيمَ لَلَّذِينَ ٱتَّبَعُوهُ وَهَٰذَا ٱلنَّبِيُّ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۗ وَٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿68﴾

Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, beebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza.

3:69

وَدَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يُضِلُّونَكُمۡ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿69﴾

Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera.

3:70

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَأَنتُمۡ تَشۡهَدُونَ ﴿70﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima!

3:71

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَلۡبِسُونَ ٱلۡحَقَّ بِٱلۡبَٰطِلِ وَتَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿71﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu).

3:72

وَقَالَت طَّآئِفَةٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ ءَامِنُواْ بِٱلَّذِيٓ أُنزِلَ عَلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَجۡهَ ٱلنَّهَارِ وَٱكۡفُرُوٓاْ ءَاخِرَهُۥ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿72﴾

Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kwabo abakkiriza kumakya ate mubiwakanye olweggulo oba olyawo ekyo kinaayambako nebakyusa.

3:73

وَلَا تُؤۡمِنُوٓاْ إِلَّا لِمَن تَبِعَ دِينَكُمۡ قُلۡ إِنَّ ٱلۡهُدَىٰ هُدَى ٱللَّهِ أَن يُؤۡتَىٰٓ أَحَدٞ مِّثۡلَ مَآ أُوتِيتُمۡ أَوۡ يُحَآجُّوكُمۡ عِندَ رَبِّكُمۡۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿73﴾

Era temukkirizanga okugyako oyo ali ku ddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulungamu obwannamaddala bulungamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okuvuganya nammwe ku lwekyo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu.

3:74

يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿74﴾

Ayawula gwaba ayagadde mu mmwe naamuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi.

3:75

وَمِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مَنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِقِنطَارٖ يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِدِينَارٖ لَّا يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ إِلَّا مَا دُمۡتَ عَلَيۡهِ قَآئِمٗاۗ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَيۡسَ عَلَيۡنَا فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ سَبِيلٞ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿75﴾

Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu.

3:76

بَلَىٰۚ مَنۡ أَوۡفَىٰ بِعَهۡدِهِۦ وَٱتَّقَىٰ فَإِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿76﴾

Wabula (omuntu asaanira okweyita omwagalwa wa Katonda yandibadde) oyo atuukiriza byeyalagaanyisa era naatya Katonda. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abamutya.

3:77

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَشۡتَرُونَ بِعَهۡدِ ٱللَّهِ وَأَيۡمَٰنِهِمۡ ثَمَنٗا قَلِيلًا أُوْلَـٰٓئِكَ لَا خَلَٰقَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ وَلَا يُكَلِّمُهُمُ ٱللَّهُ وَلَا يَنظُرُ إِلَيۡهِمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَلَا يُزَكِّيهِمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿77﴾

Mazima ddala abo abatunda endagaano ya Katonda nebirayiro byaabwe ku muwendo omutono, tebalina mugabo ku lunaku lw’enkomerero, era Katonda tagenda kwogera nabo era tagenda kubatunulako ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda kubatukuza era bagenda kutuukwaako ebibonerezo ebiruma.

3:78

وَإِنَّ مِنۡهُمۡ لَفَرِيقٗا يَلۡوُۥنَ أَلۡسِنَتَهُم بِٱلۡكِتَٰبِ لِتَحۡسَبُوهُ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَمَا هُوَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَيَقُولُونَ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ وَمَا هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿78﴾

Era mazima mu bo mulimu ekibinja abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, era mazima mulimu ekibinja kyabantu abakozesa ennimi zaabwe nebakyusa ebiri mu kitabo babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Katonda so nga tebivanga wa Katonda, nebaba nga boogedde ku Katonda ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima.

3:79

مَا كَانَ لِبَشَرٍ أَن يُؤۡتِيَهُ ٱللَّهُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ ثُمَّ يَقُولَ لِلنَّاسِ كُونُواْ عِبَادٗا لِّي مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلَٰكِن كُونُواْ رَبَّـٰنِيِّـۧنَ بِمَا كُنتُمۡ تُعَلِّمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ وَبِمَا كُنتُمۡ تَدۡرُسُونَ ﴿79﴾

Tekigwanira muntu yenna okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate naagamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olwokuba nti mubadde mukisoma (n'olwekyo mumanyi ekituufu ekyokukola).

3:80

وَلَا يَأۡمُرَكُمۡ أَن تَتَّخِذُواْ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ أَرۡبَابًاۚ أَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡكُفۡرِ بَعۡدَ إِذۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ ﴿80﴾

Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu.

3:81

وَإِذۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ لَمَآ ءَاتَيۡتُكُم مِّن كِتَٰبٖ وَحِكۡمَةٖ ثُمَّ جَآءَكُمۡ رَسُولٞ مُّصَدِّقٞ لِّمَا مَعَكُمۡ لَتُؤۡمِنُنَّ بِهِۦ وَلَتَنصُرُنَّهُۥۚ قَالَ ءَأَقۡرَرۡتُمۡ وَأَخَذۡتُمۡ عَلَىٰ ذَٰلِكُمۡ إِصۡرِيۖ قَالُوٓاْ أَقۡرَرۡنَاۚ قَالَ فَٱشۡهَدُواْ وَأَنَا۠ مَعَكُم مِّنَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿81﴾

Jjukira Katonda bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvanyuma omubaka (Nabbi Muhammad () naabajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Katonda naagamba nti mukkirizza, era mututte endagaano eno nti ekakase nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda naagamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi.

3:82

فَمَن تَوَلَّىٰ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿82﴾

Oyo yenna aliyawukana kwekyo abo nno be bonoonyi.

3:83

أَفَغَيۡرَ دِينِ ٱللَّهِ يَبۡغُونَ وَلَهُۥٓ أَسۡلَمَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ طَوۡعٗا وَكَرۡهٗا وَإِلَيۡهِ يُرۡجَعُونَ ﴿83﴾

Abaffe abo (abonoonyi) baagala etali ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi mu kugonda ne mu kukakibwa, era nga gyali gyebiggya okuzzibwa.

3:84

قُلۡ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطِ وَمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ وَعِيسَىٰ وَٱلنَّبِيُّونَ مِن رَّبِّهِمۡ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّنۡهُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ ﴿84﴾

Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe.

3:85

وَمَن يَبۡتَغِ غَيۡرَ ٱلۡإِسۡلَٰمِ دِينٗا فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡهُ وَهُوَ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿85﴾

Oyo yenna ayagala okweteerawo eddiini etali busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gyali, era nga yye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mubafaafaganirwa.

3:86

كَيۡفَ يَهۡدِي ٱللَّهُ قَوۡمٗا كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ وَشَهِدُوٓاْ أَنَّ ٱلرَّسُولَ حَقّٞ وَجَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿86﴾

Katonda ayinza atya okulungamya abo abawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa baggyira, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

3:87

أُوْلَـٰٓئِكَ جَزَآؤُهُمۡ أَنَّ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةَ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿87﴾

Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo n'ekya ba Malayika n’ekya bantu bonna.

3:88

خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿88﴾

(Abeeyisa obubi abo) Baakubeera mu muliro olubeerera tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo ate tebagenda kulindirizibwa.

3:89

إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ وَأَصۡلَحُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿89﴾

Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi.

3:90

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ ثُمَّ ٱزۡدَادُواْ كُفۡرٗا لَّن تُقۡبَلَ تَوۡبَتُهُمۡ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلضَّآلُّونَ ﴿90﴾

Mazima abo abaakafuwala oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe, oluvanyuma nebeeyongera okukaafuwala, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa, era abo be babuze abannamaddala.

3:91

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٞ فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡ أَحَدِهِم مِّلۡءُ ٱلۡأَرۡضِ ذَهَبٗا وَلَوِ ٱفۡتَدَىٰ بِهِۦٓۗ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿91﴾

Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna.

3:92

لَن تَنَالُواْ ٱلۡبِرَّ حَتَّىٰ تُنفِقُواْ مِمَّا تُحِبُّونَۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِن شَيۡءٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٞ ﴿92﴾

Temuyinza kutuuka ku ddaala lyokuyitibwa abakozi b’obulungi okugyako nga muwaddeyo kwebyo byemwagala, buli Kintu kyonna kyemuwayo mazima ddala Katonda akimanyi.