quranm◉

Omuko 129

Range
from 6:9 to 6:18
Surahs covered
Okuvvuunula
10 Okuvvuunula

◉

6:9

وَلَوۡ جَعَلۡنَٰهُ مَلَكٗا لَّجَعَلۡنَٰهُ رَجُلٗا وَلَلَبَسۡنَا عَلَيۡهِم مَّا يَلۡبِسُونَ ﴿9﴾

Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula.

6:10

وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَحَاقَ بِٱلَّذِينَ سَخِرُواْ مِنۡهُم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿10﴾

Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja mu bo ababaka, baatuukwako e bibonerezo by'okujeeja kwabwe.

6:11

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ ٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿11﴾

Gamba nti, mutambule mu nsi olwo nno mulabe e nkomerero y’abaalimbisa yali e tya.

6:12

قُل لِّمَن مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُل لِّلَّهِۚ كَتَبَ عَلَىٰ نَفۡسِهِ ٱلرَّحۡمَةَۚ لَيَجۡمَعَنَّكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِۚ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿12﴾

Gamba nti, byani e byo e biri mu ggulu omusanvu ne nsi (bwomala) gamba nti bya Katonda, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakunganyiza ddala ku lunaku lw’enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa (wabula) abo abafaafaganirwa e myoyo gyabwe tebagenda kukkiriza.

6:13

وَلَهُۥ مَا سَكَنَ فِي ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿13﴾

Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.

6:14

قُلۡ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَتَّخِذُ وَلِيّٗا فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَهُوَ يُطۡعِمُ وَلَا يُطۡعَمُۗ قُلۡ إِنِّيٓ أُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَسۡلَمَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿14﴾

Gamba nti: ndeke Katonda neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Katonda) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala.

6:15

قُلۡ إِنِّيٓ أَخَافُ إِنۡ عَصَيۡتُ رَبِّي عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿15﴾

Gamba, nti mazima nze ntya nnyo e bibonerezo by'olunaku oluzito singa mba njeemedde mukama omulabirizi wange.

6:16

مَّن يُصۡرَفۡ عَنۡهُ يَوۡمَئِذٖ فَقَدۡ رَحِمَهُۥۚ وَذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡمُبِينُ ﴿16﴾

Omuntu alyesambisibwa ku byo olunaku olwo, mazima Katonda aliba amusaasidde era e kyo bwe buwanguzi obwa nnamaddala.

6:17

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يَمۡسَسۡكَ بِخَيۡرٖ فَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿17﴾

Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.

6:18

وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿18﴾

Era yye, ye Nantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti yye ye mugoba nsonga amanyi buli kimu.