quranm◉

Omuko 16

Range
from 2:102 to 2:105
Surahs covered
Okuvvuunula
4 Okuvvuunula

◉

2:102

وَٱتَّبَعُواْ مَا تَتۡلُواْ ٱلشَّيَٰطِينُ عَلَىٰ مُلۡكِ سُلَيۡمَٰنَۖ وَمَا كَفَرَ سُلَيۡمَٰنُ وَلَٰكِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ كَفَرُواْ يُعَلِّمُونَ ٱلنَّاسَ ٱلسِّحۡرَ وَمَآ أُنزِلَ عَلَى ٱلۡمَلَكَيۡنِ بِبَابِلَ هَٰرُوتَ وَمَٰرُوتَۚ وَمَا يُعَلِّمَانِ مِنۡ أَحَدٍ حَتَّىٰ يَقُولَآ إِنَّمَا نَحۡنُ فِتۡنَةٞ فَلَا تَكۡفُرۡۖ فَيَتَعَلَّمُونَ مِنۡهُمَا مَا يُفَرِّقُونَ بِهِۦ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَزَوۡجِهِۦۚ وَمَا هُم بِضَآرِّينَ بِهِۦ مِنۡ أَحَدٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَيَتَعَلَّمُونَ مَا يَضُرُّهُمۡ وَلَا يَنفَعُهُمۡۚ وَلَقَدۡ عَلِمُواْ لَمَنِ ٱشۡتَرَىٰهُ مَا لَهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنۡ خَلَٰقٖۚ وَلَبِئۡسَ مَا شَرَوۡاْ بِهِۦٓ أَنفُسَهُمۡۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿102﴾

Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta.

2:103

وَلَوۡ أَنَّهُمۡ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَمَثُوبَةٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ خَيۡرٞۚ لَّوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿103﴾

Wabula singa bakkiriza (Nabbi Muhammad) era ne batya Katonda, empeera ze baalifunye okuva eri Katonda zaalibadde nnungi gye bali (okusinga eby'eddogo) singa baali bamanyi.

2:104

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَقُولُواْ رَٰعِنَا وَقُولُواْ ٱنظُرۡنَا وَٱسۡمَعُواْۗ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿104﴾

Abange mmwe abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nabbi Muhammad) wabula mugambenga Undhuruna. Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebiruma ennyo.

2:105

مَّا يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَلَا ٱلۡمُشۡرِكِينَ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡكُم مِّنۡ خَيۡرٖ مِّن رَّبِّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿105﴾

Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi.