quranm◉

Omuko 308

Range
from 19:39 to 19:51
Surahs covered
Okuvvuunula
13 Okuvvuunula

◉

19:39

وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡحَسۡرَةِ إِذۡ قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ وَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿39﴾

. Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza.

19:40

إِنَّا نَحۡنُ نَرِثُ ٱلۡأَرۡضَ وَمَنۡ عَلَيۡهَا وَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ ﴿40﴾

. Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa.

19:41

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِبۡرَٰهِيمَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيًّا ﴿41﴾

. Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi.

19:42

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ يَـٰٓأَبَتِ لِمَ تَعۡبُدُ مَا لَا يَسۡمَعُ وَلَا يُبۡصِرُ وَلَا يُغۡنِي عَنكَ شَيۡـٔٗا ﴿42﴾

. Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.

19:43

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطٗا سَوِيّٗا ﴿43﴾

. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.

19:44

يَـٰٓأَبَتِ لَا تَعۡبُدِ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ عَصِيّٗا ﴿44﴾

. Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi.

19:45

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يَمَسَّكَ عَذَابٞ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ فَتَكُونَ لِلشَّيۡطَٰنِ وَلِيّٗا ﴿45﴾

. Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane.

19:46

قَالَ أَرَاغِبٌ أَنتَ عَنۡ ءَالِهَتِي يَـٰٓإِبۡرَٰهِيمُۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ لَأَرۡجُمَنَّكَۖ وَٱهۡجُرۡنِي مَلِيّٗا ﴿46﴾

. (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba.

19:47

قَالَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكَۖ سَأَسۡتَغۡفِرُ لَكَ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ بِي حَفِيّٗا ﴿47﴾

. Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa.

19:48

وَأَعۡتَزِلُكُمۡ وَمَا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَأَدۡعُواْ رَبِّي عَسَىٰٓ أَلَّآ أَكُونَ بِدُعَآءِ رَبِّي شَقِيّٗا ﴿48﴾

. Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange.

19:49

فَلَمَّا ٱعۡتَزَلَهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا نَبِيّٗا ﴿49﴾

. Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi.

19:50

وَوَهَبۡنَا لَهُم مِّن رَّحۡمَتِنَا وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ لِسَانَ صِدۡقٍ عَلِيّٗا ﴿50﴾

. Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu.

19:51

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مُوسَىٰٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ مُخۡلَصٗا وَكَانَ رَسُولٗا نَّبِيّٗا ﴿51﴾

. Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi.