quranm◉

Omuko 346

Range
from 23:60 to 23:74
Surahs covered
Okuvvuunula
15 Okuvvuunula

◉

23:60

وَٱلَّذِينَ يُؤۡتُونَ مَآ ءَاتَواْ وَّقُلُوبُهُمۡ وَجِلَةٌ أَنَّهُمۡ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ رَٰجِعُونَ ﴿60﴾

. Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe.

23:61

أُوْلَـٰٓئِكَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَهُمۡ لَهَا سَٰبِقُونَ ﴿61﴾

. Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera

23:62

وَلَا نُكَلِّفُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۚ وَلَدَيۡنَا كِتَٰبٞ يَنطِقُ بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿62﴾

. Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa.

23:63

بَلۡ قُلُوبُهُمۡ فِي غَمۡرَةٖ مِّنۡ هَٰذَا وَلَهُمۡ أَعۡمَٰلٞ مِّن دُونِ ذَٰلِكَ هُمۡ لَهَا عَٰمِلُونَ ﴿63﴾

. Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere).

23:64

حَتَّىٰٓ إِذَآ أَخَذۡنَا مُتۡرَفِيهِم بِٱلۡعَذَابِ إِذَا هُمۡ يَجۡـَٔرُونَ ﴿64﴾

. Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalajaana.

23:65

لَا تَجۡـَٔرُواْ ٱلۡيَوۡمَۖ إِنَّكُم مِّنَّا لَا تُنصَرُونَ ﴿65﴾

. Temulaajana leero, mazima mmwe temuli ba kututaasibwako.

23:66

قَدۡ كَانَتۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡ تَنكِصُونَ ﴿66﴾

. Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziro bya mmwe ne mubikuba amabega.

23:67

مُسۡتَكۡبِرِينَ بِهِۦ سَٰمِرٗا تَهۡجُرُونَ ﴿67﴾

. Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kur’ani), nga mugyogerako mu ngeri e mbi nga mutudde ku byoto bya mmwe ekiro.

23:68

أَفَلَمۡ يَدَّبَّرُواْ ٱلۡقَوۡلَ أَمۡ جَآءَهُم مَّا لَمۡ يَأۡتِ ءَابَآءَهُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿68﴾

. Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kur’ani ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera.

23:69

أَمۡ لَمۡ يَعۡرِفُواْ رَسُولَهُمۡ فَهُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ ﴿69﴾

. Oba tebaamanya mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya.

23:70

أَمۡ يَقُولُونَ بِهِۦ جِنَّةُۢۚ بَلۡ جَآءَهُم بِٱلۡحَقِّ وَأَكۡثَرُهُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ ﴿70﴾

. Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima.

23:71

وَلَوِ ٱتَّبَعَ ٱلۡحَقُّ أَهۡوَآءَهُمۡ لَفَسَدَتِ ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهِنَّۚ بَلۡ أَتَيۡنَٰهُم بِذِكۡرِهِمۡ فَهُمۡ عَن ذِكۡرِهِم مُّعۡرِضُونَ ﴿71﴾

. Singa amazima gaagoberera okwagala kwa bwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandi yonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kur’ani) naye (eky'ennaku) bbo beesamba ekitiibwa kya bwe.

23:72

أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ خَرۡجٗا فَخَرَاجُ رَبِّكَ خَيۡرٞۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿72﴾

. Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama omulabiriziwo gwe gusinga obulungi era yye y'asinga abagabirizi bonna.

23:73

وَإِنَّكَ لَتَدۡعُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿73﴾

. Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu.

23:74

وَإِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ عَنِ ٱلصِّرَٰطِ لَنَٰكِبُونَ ﴿74﴾

. Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo.