quranm◉

Omuko 379

Range
from 27:23 to 27:35
Surahs covered
Okuvvuunula
13 Okuvvuunula

◉

27:23

إِنِّي وَجَدتُّ ٱمۡرَأَةٗ تَمۡلِكُهُمۡ وَأُوتِيَتۡ مِن كُلِّ شَيۡءٖ وَلَهَا عَرۡشٌ عَظِيمٞ ﴿23﴾

. Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu.

27:24

وَجَدتُّهَا وَقَوۡمَهَا يَسۡجُدُونَ لِلشَّمۡسِ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ فَهُمۡ لَا يَهۡتَدُونَ ﴿24﴾

. Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama.

27:25

أَلَّاۤ يَسۡجُدُواْۤ لِلَّهِ ٱلَّذِي يُخۡرِجُ ٱلۡخَبۡءَ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَيَعۡلَمُ مَا تُخۡفُونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ ﴿25﴾

. Nebatavunnamira Katonda oyo agyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne bye mwolesa.

27:26

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ۩ ﴿26﴾

. Katonda, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.

27:27

قَالَ سَنَنظُرُ أَصَدَقۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿27﴾

. (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba.

27:28

ٱذۡهَب بِّكِتَٰبِي هَٰذَا فَأَلۡقِهۡ إِلَيۡهِمۡ ثُمَّ تَوَلَّ عَنۡهُمۡ فَٱنظُرۡ مَاذَا يَرۡجِعُونَ ﴿28﴾

. Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bwomala baweemu akabanga olabe ki kye baddamu.

27:29

قَالَتۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ إِنِّيٓ أُلۡقِيَ إِلَيَّ كِتَٰبٞ كَرِيمٌ ﴿29﴾

. (Balikiisi) bwe yafuna ebbaluwa naagamba nti abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa.

27:30

إِنَّهُۥ مِن سُلَيۡمَٰنَ وَإِنَّهُۥ بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ ﴿30﴾

. Mazima yyo eva wa Sulaiman era esoma nti ku lw'elinnya lya Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi omusaasizi ow'ekisa eky'enjawulo.

27:31

أَلَّا تَعۡلُواْ عَلَيَّ وَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ ﴿31﴾

. Temunneekuluntalizaako mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda.

27:32

قَالَتۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَفۡتُونِي فِيٓ أَمۡرِي مَا كُنتُ قَاطِعَةً أَمۡرًا حَتَّىٰ تَشۡهَدُونِ ﴿32﴾

. (Balikisi) naagamba nti abange mmwe abakungu mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako).

27:33

قَالُواْ نَحۡنُ أُوْلُواْ قُوَّةٖ وَأُوْلُواْ بَأۡسٖ شَدِيدٖ وَٱلۡأَمۡرُ إِلَيۡكِ فَٱنظُرِي مَاذَا تَأۡمُرِينَ ﴿33﴾

. Nebagamba nti: ffe tuli b'amaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bbwo obuyinza buli gyoli, laba ki kyolagira.

27:34

قَالَتۡ إِنَّ ٱلۡمُلُوكَ إِذَا دَخَلُواْ قَرۡيَةً أَفۡسَدُوهَا وَجَعَلُوٓاْ أَعِزَّةَ أَهۡلِهَآ أَذِلَّةٗۚ وَكَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ ﴿34﴾

. (Balikisi) naagamba nti: mazima abafuzi bwe bayingira e kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona ne bafuula abantu ab'ekitiibwa mu kyo abanyoomebwa era bwe batyo bwe bakola.

27:35

وَإِنِّي مُرۡسِلَةٌ إِلَيۡهِم بِهَدِيَّةٖ فَنَاظِرَةُۢ بِمَ يَرۡجِعُ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿35﴾

. Era mazima nze ngenda kubaweereza ebirabo olwo nno ninde bentumye badda na ki?.