quranm◉

Omuko 442

Range
from 36:28 to 36:40
Surahs covered
Okuvvuunula
13 Okuvvuunula

◉

36:28

وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنۢ بَعۡدِهِۦ مِن جُندٖ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا كُنَّا مُنزِلِينَ ﴿28﴾

. Era tetwassa ku bantu be oluvanyuma lwe ggye lyonna liva mu gggulu (olw'okubazikiriza) era tetwali baakulissa.

36:29

إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ خَٰمِدُونَ ﴿29﴾

. (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu.

36:30

يَٰحَسۡرَةً عَلَى ٱلۡعِبَادِۚ مَا يَأۡتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿30﴾

. Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali mubaka abajjira okugyako bamujeeja.

36:31

أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ أَنَّهُمۡ إِلَيۡهِمۡ لَا يَرۡجِعُونَ ﴿31﴾

. Abaffe tebalaba nti emirembe emeka gyetwazikiriza oluberyeberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gye bali.

36:32

وَإِن كُلّٞ لَّمَّا جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ ﴿32﴾

. Tewali nagumu ku gyonna (emirembe) okugyako nga bonna ba kuleetebwa mu maaso gaffe.

36:33

وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلۡأَرۡضُ ٱلۡمَيۡتَةُ أَحۡيَيۡنَٰهَا وَأَخۡرَجۡنَا مِنۡهَا حَبّٗا فَمِنۡهُ يَأۡكُلُونَ ﴿33﴾

. Ensi efudde (ekaze) kabonero gye bali, tugiwa obulamu (tutonnyesa nkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya.

36:34

وَجَعَلۡنَا فِيهَا جَنَّـٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ وَفَجَّرۡنَا فِيهَا مِنَ ٱلۡعُيُونِ ﴿34﴾

. Netuteeka mu yo amalimiro ag’entende n'e Mizabibu era netufukula mu yo ensulo.

36:35

لِيَأۡكُلُواْ مِن ثَمَرِهِۦ وَمَا عَمِلَتۡهُ أَيۡدِيهِمۡۚ أَفَلَا يَشۡكُرُونَ ﴿35﴾

. Babe nga balya ku bibala byayo ne Ku ebyo emikono gyabwe bye gikola, abaffe tebeebaza!.

36:36

سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَزۡوَٰجَ كُلَّهَا مِمَّا تُنۢبِتُ ٱلۡأَرۡضُ وَمِنۡ أَنفُسِهِمۡ وَمِمَّا لَا يَعۡلَمُونَ ﴿36﴾

. Musukkulumu oyo eyatonda ebimera mu nsi ne mubo bennyini (abantu) ne bye batamanyi, nga byonna biba ekisajja n'ekikazi.

36:37

وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلَّيۡلُ نَسۡلَخُ مِنۡهُ ٱلنَّهَارَ فَإِذَا هُم مُّظۡلِمُونَ ﴿37﴾

. Era ekiro kabonero gye bali anti tukijjako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza.

36:38

وَٱلشَّمۡسُ تَجۡرِي لِمُسۡتَقَرّٖ لَّهَاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿38﴾

. Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) nantakubwa ku mukono amanyi ennyo.

36:39

وَٱلۡقَمَرَ قَدَّرۡنَٰهُ مَنَازِلَ حَتَّىٰ عَادَ كَٱلۡعُرۡجُونِ ٱلۡقَدِيمِ ﴿39﴾

. Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo neguba nga ekikolokomba ekikadde.

36:40

لَا ٱلشَّمۡسُ يَنۢبَغِي لَهَآ أَن تُدۡرِكَ ٱلۡقَمَرَ وَلَا ٱلَّيۡلُ سَابِقُ ٱلنَّهَارِۚ وَكُلّٞ فِي فَلَكٖ يَسۡبَحُونَ ﴿40﴾

. Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga.