quranm◉

Omuko 458

Range
from 38:84 to 39:5
Surahs covered
Okuvvuunula
10 Okuvvuunula

◉

38:84

قَالَ فَٱلۡحَقُّ وَٱلۡحَقَّ أَقُولُ ﴿84﴾

(Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima.

38:85

لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكَ وَمِمَّن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿85﴾

Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo.

38:86

قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٖ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُتَكَلِّفِينَ ﴿86﴾

Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza.

38:87

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿87﴾

(Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde.

38:88

وَلَتَعۡلَمُنَّ نَبَأَهُۥ بَعۡدَ حِينِۭ ﴿88﴾

Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono.

39:1

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿1﴾

Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

39:2

إِنَّآ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ فَٱعۡبُدِ ٱللَّهَ مُخۡلِصٗا لَّهُ ٱلدِّينَ ﴿2﴾

Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu. Kale sinza Katonda nga eddiini yonna ogikola ku lulwe yekka.

39:3

أَلَا لِلَّهِ ٱلدِّينُ ٱلۡخَالِصُۚ وَٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ مَا نَعۡبُدُهُمۡ إِلَّا لِيُقَرِّبُونَآ إِلَى ٱللَّهِ زُلۡفَىٰٓ إِنَّ ٱللَّهَ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ فِي مَا هُمۡ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَنۡ هُوَ كَٰذِبٞ كَفَّارٞ ﴿3﴾

Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka.

39:4

لَّوۡ أَرَادَ ٱللَّهُ أَن يَتَّخِذَ وَلَدٗا لَّٱصۡطَفَىٰ مِمَّا يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ سُبۡحَٰنَهُۥۖ هُوَ ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ ﴿4﴾

Singa Katonda yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo kyayagadde mwebyo byatonda, naye wabula musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) yye ye Katonda ali omu nantalemwa.

39:5

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۖ يُكَوِّرُ ٱلَّيۡلَ عَلَى ٱلنَّهَارِ وَيُكَوِّرُ ٱلنَّهَارَ عَلَى ٱلَّيۡلِۖ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمًّىۗ أَلَا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّـٰرُ ﴿5﴾

Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bwabikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kyakutambula okumala ebbanga eggere, abange yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo.