quranm◉

Omuko 489

Range
from 42:52 to 43:10
Surahs covered
Okuvvuunula
12 Okuvvuunula

◉

42:52

وَكَذَٰلِكَ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ رُوحٗا مِّنۡ أَمۡرِنَاۚ مَا كُنتَ تَدۡرِي مَا ٱلۡكِتَٰبُ وَلَا ٱلۡإِيمَٰنُ وَلَٰكِن جَعَلۡنَٰهُ نُورٗا نَّهۡدِي بِهِۦ مَن نَّشَآءُ مِنۡ عِبَادِنَاۚ وَإِنَّكَ لَتَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿52﴾

Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu.

42:53

صِرَٰطِ ٱللَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ أَلَآ إِلَى ٱللَّهِ تَصِيرُ ٱلۡأُمُورُ ﴿53﴾

Ekkubo lya Katonda oyo bibye yekka ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Abange eri Katonda ebintu byonna gye bidda.

43:1

حمٓ ﴿1﴾

Ha Miim.

43:2

وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ﴿2﴾

Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu.

43:3

إِنَّا جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيّٗا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿3﴾

Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera.

43:4

وَإِنَّهُۥ فِيٓ أُمِّ ٱلۡكِتَٰبِ لَدَيۡنَا لَعَلِيٌّ حَكِيمٌ ﴿4﴾

Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi.

43:5

أَفَنَضۡرِبُ عَنكُمُ ٱلذِّكۡرَ صَفۡحًا أَن كُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّسۡرِفِينَ ﴿5﴾

Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda).

43:6

وَكَمۡ أَرۡسَلۡنَا مِن نَّبِيّٖ فِي ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿6﴾

Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka?.

43:7

وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن نَّبِيٍّ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿7﴾

Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga.

43:8

فَأَهۡلَكۡنَآ أَشَدَّ مِنۡهُم بَطۡشٗا وَمَضَىٰ مَثَلُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿8﴾

Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga).

43:9

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ خَلَقَهُنَّ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿9﴾

Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.

43:10

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَجَعَلَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿10﴾

Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga).