quranm◉

Omuko 545

Range
from 58:22 to 59:3
Surahs covered
Okuvvuunula
4 Okuvvuunula

◉

58:22

لَّا تَجِدُ قَوۡمٗا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ يُوَآدُّونَ مَنۡ حَآدَّ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَلَوۡ كَانُوٓاْ ءَابَآءَهُمۡ أَوۡ أَبۡنَآءَهُمۡ أَوۡ إِخۡوَٰنَهُمۡ أَوۡ عَشِيرَتَهُمۡۚ أُوْلَـٰٓئِكَ كَتَبَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلۡإِيمَٰنَ وَأَيَّدَهُم بِرُوحٖ مِّنۡهُۖ وَيُدۡخِلُهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ رَضِيَ ٱللَّهُ عَنۡهُمۡ وَرَضُواْ عَنۡهُۚ أُوْلَـٰٓئِكَ حِزۡبُ ٱللَّهِۚ أَلَآ إِنَّ حِزۡبَ ٱللَّهِ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿22﴾

Tewali bantu bonna abakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero baalibadde batiitiibya abo abawakanya Katonda n'omubakawe, kababe ba kitaabwe, oba baana baabwe, oba baganda baabwe, oba nga baaluganda lwabwe olwokumpi. Abo nno (abatakola ekyo) Katonda yatebenkeza obukkiriza mu mitima gyabwe, naabawagira naamanyi agava gyali era nga agenda kubayingiza e jjana egikulukutira wansi waazo emigga, nga bakubeera mu zo olubeerera. Katonda yabasiima nga nabo bwebaamusiima. Kisaana kimanyike nti mazima abo b'ebantu ba Katonda abokwesiimira ddala.

59:1

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿1﴾

Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo.

59:2

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن دِيَٰرِهِمۡ لِأَوَّلِ ٱلۡحَشۡرِۚ مَا ظَنَنتُمۡ أَن يَخۡرُجُواْۖ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مَّانِعَتُهُمۡ حُصُونُهُم مِّنَ ٱللَّهِ فَأَتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِنۡ حَيۡثُ لَمۡ يَحۡتَسِبُواْۖ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَۚ يُخۡرِبُونَ بُيُوتَهُم بِأَيۡدِيهِمۡ وَأَيۡدِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ فَٱعۡتَبِرُواْ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿2﴾

Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga.

59:3

وَلَوۡلَآ أَن كَتَبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡجَلَآءَ لَعَذَّبَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابُ ٱلنَّارِ ﴿3﴾

Singa tekyali nti Katonda yabasalirawo ku bawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro.