quranm◉

Omuko 551

Range
from 60:12 to 61:5
Surahs covered
Okuvvuunula
7 Okuvvuunula

◉

60:12

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِذَا جَآءَكَ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ يُبَايِعۡنَكَ عَلَىٰٓ أَن لَّا يُشۡرِكۡنَ بِٱللَّهِ شَيۡـٔٗا وَلَا يَسۡرِقۡنَ وَلَا يَزۡنِينَ وَلَا يَقۡتُلۡنَ أَوۡلَٰدَهُنَّ وَلَا يَأۡتِينَ بِبُهۡتَٰنٖ يَفۡتَرِينَهُۥ بَيۡنَ أَيۡدِيهِنَّ وَأَرۡجُلِهِنَّ وَلَا يَعۡصِينَكَ فِي مَعۡرُوفٖ فَبَايِعۡهُنَّ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُنَّ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿12﴾

Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era nti tebagenda kuwaayiriza nga bajingirira wakati w'emikono gyabwe n'amagulu gaabwe, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi.

60:13

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَوَلَّوۡاْ قَوۡمًا غَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ قَدۡ يَئِسُواْ مِنَ ٱلۡأٓخِرَةِ كَمَا يَئِسَ ٱلۡكُفَّارُ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡقُبُورِ ﴿13﴾

Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe.

61:1

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿1﴾

Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda. Yye Katonda yemuwanguzi, assa buli kintu mu ssa lyakyo.

61:2

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لِمَ تَقُولُونَ مَا لَا تَفۡعَلُونَ ﴿2﴾

Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola.

61:3

كَبُرَ مَقۡتًا عِندَ ٱللَّهِ أَن تَقُولُواْ مَا لَا تَفۡعَلُونَ ﴿3﴾

Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola.

61:4

إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلَّذِينَ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِهِۦ صَفّٗا كَأَنَّهُم بُنۡيَٰنٞ مَّرۡصُوصٞ ﴿4﴾

Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi.

61:5

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ لِمَ تُؤۡذُونَنِي وَقَد تَّعۡلَمُونَ أَنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُمۡۖ فَلَمَّا زَاغُوٓاْ أَزَاغَ ٱللَّهُ قُلُوبَهُمۡۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿5﴾

Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu.