quranm◉

Sura Al-Inshiqaq الإنشقاق

#
84
↓
M
Aya
25
Okuvvuunula
African Development Foundation

◉

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

84:1

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنشَقَّتۡ ﴿١﴾

Eggulu bwe liryeyasaamu.

84:2

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ ﴿٢﴾

Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde.

84:3

وَإِذَا ٱلۡأَرۡضُ مُدَّتۡ ﴿٣﴾

Ensi bw'eriseeteezebwa.

84:4

وَأَلۡقَتۡ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتۡ ﴿٤﴾

N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere.

84:5

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ ﴿٥﴾

N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde.

84:6

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدۡحٗا فَمُلَٰقِيهِ ﴿٦﴾

Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana.

84:7

فَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ ﴿٧﴾

Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo.

84:8

فَسَوۡفَ يُحَاسَبُ حِسَابٗا يَسِيرٗا ﴿٨﴾

Agenda kubalwa olubala olwangu.

84:9

وَيَنقَلِبُ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورٗا ﴿٩﴾

Era adde eri banne nga musanyufu.

84:10

وَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ وَرَآءَ ظَهۡرِهِۦ ﴿١٠﴾

Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe.

84:11

فَسَوۡفَ يَدۡعُواْ ثُبُورٗا ﴿١١﴾

Agenda kukuba e biwoobe.

84:12

وَيَصۡلَىٰ سَعِيرًا ﴿١٢﴾

Yeesogge omuliro Sa-iira.

84:13

إِنَّهُۥ كَانَ فِيٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورًا ﴿١٣﴾

Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda).

84:14

إِنَّهُۥ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ ﴿١٤﴾

Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira.

84:15

بَلَىٰٓۚ إِنَّ رَبَّهُۥ كَانَ بِهِۦ بَصِيرٗا ﴿١٥﴾

So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba.

84:16

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلشَّفَقِ ﴿١٦﴾

Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa).

84:17

وَٱلَّيۡلِ وَمَا وَسَقَ ﴿١٧﴾

Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya.

84:18

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا ٱتَّسَقَ ﴿١٨﴾

Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde.

84:19

لَتَرۡكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٖ ﴿١٩﴾

Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala).

84:20

فَمَا لَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٢٠﴾

Naye lwaki tebakkiriza!

84:21

وَإِذَا قُرِئَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقُرۡءَانُ لَا يَسۡجُدُونَۤ۩ ﴿٢١﴾

Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama.

84:22

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُكَذِّبُونَ ﴿٢٢﴾

Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani).

84:23

وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يُوعُونَ ﴿٢٣﴾

So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe).

84:24

فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ﴿٢٤﴾

Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma.

84:25

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونِۭ ﴿٢٥﴾

Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo.