quranm◉

Hizb 10

Range
from 4:100 to 4:162
Surahs covered
Okuvvuunula
63 Okuvvuunula

◉

4:100

وَمَن يُهَاجِرۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ يَجِدۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُرَٰغَمٗا كَثِيرٗا وَسَعَةٗۚ وَمَن يَخۡرُجۡ مِنۢ بَيۡتِهِۦ مُهَاجِرًا إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ ثُمَّ يُدۡرِكۡهُ ٱلۡمَوۡتُ فَقَدۡ وَقَعَ أَجۡرُهُۥ عَلَى ٱللَّهِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿100﴾

Oyo yenna asenguka olwokuweereza mu kkubo lya Katonda afuna ebifo bingi ebyokubudamamu n'obulamu obulungi, omuntu aleka amaka ge naasenguka ku lwa Katonda n'omubaka we naye naafa (nga tannatuuka) empeera ye eba emaze okukakata ewa Katonda, Katonda bulijjo musonyiyi musaasizi.

4:101

وَإِذَا ضَرَبۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَن تَقۡصُرُواْ مِنَ ٱلصَّلَوٰةِ إِنۡ خِفۡتُمۡ أَن يَفۡتِنَكُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْۚ إِنَّ ٱلۡكَٰفِرِينَ كَانُواْ لَكُمۡ عَدُوّٗا مُّبِينٗا ﴿101﴾

Bwe mubanga mutambudde mu nsi, si kibi okuba nga musala ku sswala kavuna mwekengera nga abo Abaakaafuwala bayinza okubatuusaako akabi, anti bulijjo Abakafiiri balabe ba mmwe aboolwatu.

4:102

وَإِذَا كُنتَ فِيهِمۡ فَأَقَمۡتَ لَهُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَلۡتَقُمۡ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُم مَّعَكَ وَلۡيَأۡخُذُوٓاْ أَسۡلِحَتَهُمۡۖ فَإِذَا سَجَدُواْ فَلۡيَكُونُواْ مِن وَرَآئِكُمۡ وَلۡتَأۡتِ طَآئِفَةٌ أُخۡرَىٰ لَمۡ يُصَلُّواْ فَلۡيُصَلُّواْ مَعَكَ وَلۡيَأۡخُذُواْ حِذۡرَهُمۡ وَأَسۡلِحَتَهُمۡۗ وَدَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ تَغۡفُلُونَ عَنۡ أَسۡلِحَتِكُمۡ وَأَمۡتِعَتِكُمۡ فَيَمِيلُونَ عَلَيۡكُم مَّيۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِن كَانَ بِكُمۡ أَذٗى مِّن مَّطَرٍ أَوۡ كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَن تَضَعُوٓاْ أَسۡلِحَتَكُمۡۖ وَخُذُواْ حِذۡرَكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا ﴿102﴾

Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa.

4:103

فَإِذَا قَضَيۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِكُمۡۚ فَإِذَا ٱطۡمَأۡنَنتُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ كَانَتۡ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ كِتَٰبٗا مَّوۡقُوتٗا ﴿103﴾

Bwemumala e sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale e sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere.

4:104

وَلَا تَهِنُواْ فِي ٱبۡتِغَآءِ ٱلۡقَوۡمِۖ إِن تَكُونُواْ تَأۡلَمُونَ فَإِنَّهُمۡ يَأۡلَمُونَ كَمَا تَأۡلَمُونَۖ وَتَرۡجُونَ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا يَرۡجُونَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمًا ﴿104﴾

Temunafuwa nga mulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwemulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bo kyebatasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga.

4:105

إِنَّآ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ لِتَحۡكُمَ بَيۡنَ ٱلنَّاسِ بِمَآ أَرَىٰكَ ٱللَّهُۚ وَلَا تَكُن لِّلۡخَآئِنِينَ خَصِيمٗا ﴿105﴾

Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu, obe nga olamula wakati w’abantu nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era towolerezanga abakumpanya.

4:106

وَٱسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿106﴾

Era weegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi nnyo waakisa.

4:107

وَلَا تُجَٰدِلۡ عَنِ ٱلَّذِينَ يَخۡتَانُونَ أَنفُسَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ خَوَّانًا أَثِيمٗا ﴿107﴾

Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omwonoonefu.

4:108

يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱلنَّاسِ وَلَا يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱللَّهِ وَهُوَ مَعَهُمۡ إِذۡ يُبَيِّتُونَ مَا لَا يَرۡضَىٰ مِنَ ٱلۡقَوۡلِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطًا ﴿108﴾

Beekweka abantu nebatasonyiwalira Katonda, so nga bulijjo aba nabo bwebasula nga abayiiya ebigambo byatayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola.

4:109

هَـٰٓأَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ جَٰدَلۡتُمۡ عَنۡهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا فَمَن يُجَٰدِلُ ٱللَّهَ عَنۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَم مَّن يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا ﴿109﴾

Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lwokuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe!

4:110

وَمَن يَعۡمَلۡ سُوٓءًا أَوۡ يَظۡلِمۡ نَفۡسَهُۥ ثُمَّ يَسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَ يَجِدِ ٱللَّهَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿110﴾

Omuntu akola ekibi oba neyeeyisa obubi naye neyeegayirira Katonda, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo omusaasizi.

4:111

وَمَن يَكۡسِبۡ إِثۡمٗا فَإِنَّمَا يَكۡسِبُهُۥ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿111﴾

Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.

4:112

وَمَن يَكۡسِبۡ خَطِيٓـَٔةً أَوۡ إِثۡمٗا ثُمَّ يَرۡمِ بِهِۦ بَرِيٓـٔٗا فَقَدِ ٱحۡتَمَلَ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا ﴿112﴾

Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate naakissa ku muntu atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa ekyobulimba era nga kibi ekyolwatu.

4:113

وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ وَرَحۡمَتُهُۥ لَهَمَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ أَن يُضِلُّوكَ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡۖ وَمَا يَضُرُّونَكَ مِن شَيۡءٖۚ وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا ﴿113﴾

Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo.

4:114

لَّا خَيۡرَ فِي كَثِيرٖ مِّن نَّجۡوَىٰهُمۡ إِلَّا مَنۡ أَمَرَ بِصَدَقَةٍ أَوۡ مَعۡرُوفٍ أَوۡ إِصۡلَٰحِۭ بَيۡنَ ٱلنَّاسِۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ فَسَوۡفَ نُؤۡتِيهِ أَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿114﴾

Tewali bulungi mu mboozi zaabwe ezisinga obungi, okugyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.

4:115

وَمَن يُشَاقِقِ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَتَّبِعۡ غَيۡرَ سَبِيلِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ نُوَلِّهِۦ مَا تَوَلَّىٰ وَنُصۡلِهِۦ جَهَنَّمَۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا ﴿115﴾

N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okumweyoleka, naakwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo kyaaba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala.

4:116

إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا ﴿116﴾

Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu.

4:117

إِن يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦٓ إِلَّآ إِنَٰثٗا وَإِن يَدۡعُونَ إِلَّا شَيۡطَٰنٗا مَّرِيدٗا ﴿117﴾

Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula.

4:118

لَّعَنَهُ ٱللَّهُۘ وَقَالَ لَأَتَّخِذَنَّ مِنۡ عِبَادِكَ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا ﴿118﴾

Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo.

4:119

وَلَأُضِلَّنَّهُمۡ وَلَأُمَنِّيَنَّهُمۡ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُبَتِّكُنَّ ءَاذَانَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُغَيِّرُنَّ خَلۡقَ ٱللَّهِۚ وَمَن يَتَّخِذِ ٱلشَّيۡطَٰنَ وَلِيّٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِ فَقَدۡ خَسِرَ خُسۡرَانٗا مُّبِينٗا ﴿119﴾

Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu.

4:120

يَعِدُهُمۡ وَيُمَنِّيهِمۡۖ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿120﴾

(Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu.

4:121

أُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُ وَلَا يَجِدُونَ عَنۡهَا مَحِيصٗا ﴿121﴾

(Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona.

4:122

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ سَنُدۡخِلُهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٗاۚ وَمَنۡ أَصۡدَقُ مِنَ ٱللَّهِ قِيلٗا ﴿122﴾

Naabo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu tujja kubayingiza e jjana nga emigga jikulukutira mu zo, baakuzibeeramu obugenderevu, eyo nga ndagaano ey’amazima Katonda gyabawadde, ate ani asinga Katonda okwogera ebigambo eby’amazima.

4:123

لَّيۡسَ بِأَمَانِيِّكُمۡ وَلَآ أَمَانِيِّ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِۗ مَن يَعۡمَلۡ سُوٓءٗا يُجۡزَ بِهِۦ وَلَا يَجِدۡ لَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿123﴾

(Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.

4:124

وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ وَلَا يُظۡلَمُونَ نَقِيرٗا ﴿124﴾

N’omuntu akola emirimu emirongoofu kaabe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e jjana, era tebagenda kuyisibwa bubi wadde mu kantu akatono.

4:125

وَمَنۡ أَحۡسَنُ دِينٗا مِّمَّنۡ أَسۡلَمَ وَجۡهَهُۥ لِلَّهِ وَهُوَ مُحۡسِنٞ وَٱتَّبَعَ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفٗاۗ وَٱتَّخَذَ ٱللَّهُ إِبۡرَٰهِيمَ خَلِيلٗا ﴿125﴾

Ani ali mu ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewadde ewa Katonda, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera e nkola ya Ibrahim e yobutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Katonda omu, era nga Katonda yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo.

4:126

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٖ مُّحِيطٗا ﴿126﴾

Era bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu.

4:127

وَيَسۡتَفۡتُونَكَ فِي ٱلنِّسَآءِۖ قُلِ ٱللَّهُ يُفۡتِيكُمۡ فِيهِنَّ وَمَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ فِي يَتَٰمَى ٱلنِّسَآءِ ٱلَّـٰتِي لَا تُؤۡتُونَهُنَّ مَا كُتِبَ لَهُنَّ وَتَرۡغَبُونَ أَن تَنكِحُوهُنَّ وَٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلۡوِلۡدَٰنِ وَأَن تَقُومُواْ لِلۡيَتَٰمَىٰ بِٱلۡقِسۡطِۚ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِهِۦ عَلِيمٗا ﴿127﴾

Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bwajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga zaaba mulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okuweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bwajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyidde ddala.

4:128

وَإِنِ ٱمۡرَأَةٌ خَافَتۡ مِنۢ بَعۡلِهَا نُشُوزًا أَوۡ إِعۡرَاضٗا فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَآ أَن يُصۡلِحَا بَيۡنَهُمَا صُلۡحٗاۚ وَٱلصُّلۡحُ خَيۡرٞۗ وَأُحۡضِرَتِ ٱلۡأَنفُسُ ٱلشُّحَّۚ وَإِن تُحۡسِنُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا ﴿128﴾

Omukyala bwatyanga bba okumuyisa obubi, oba okumusuulawo, si kibi ku bombi okukola ekiyinza okubatabaganya era (bulijjo) okutegeeragana kwekusinga obulungi. Naye omuntu bulijjo agwa olubege ku mulugube, naye singa mulongoosezza nemutya Katonda, bulijjo Katonda byemukola abimanyi nnyo.

4:129

وَلَن تَسۡتَطِيعُوٓاْ أَن تَعۡدِلُواْ بَيۡنَ ٱلنِّسَآءِ وَلَوۡ حَرَصۡتُمۡۖ فَلَا تَمِيلُواْ كُلَّ ٱلۡمَيۡلِ فَتَذَرُوهَا كَٱلۡمُعَلَّقَةِۚ وَإِن تُصۡلِحُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿129﴾

Wabula temugenda kusobola kukola bwenkanya wakati wa bakyala (obuli 100%) ne bwe muba nga kye mwandi yagadde, wabula temubasuulira ngawo ddala, omukyala nemumuleka nga alengejja nga omuwanike, naye singa mutegeeraganye, era nemutya Katonda, mazima bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

4:130

وَإِن يَتَفَرَّقَا يُغۡنِ ٱللَّهُ كُلّٗا مِّن سَعَتِهِۦۚ وَكَانَ ٱللَّهُ وَٰسِعًا حَكِيمٗا ﴿130﴾

Naye (omwami n'omukyala abafumbo) singa baawukana buli omu Katonda ajja kumumalira ebyetaagobye nga ajja mu bigabwabye e bingi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mu buli kimu era agoba nsonga.

4:131

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ وَصَّيۡنَا ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَإِيَّاكُمۡ أَنِ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ وَإِن تَكۡفُرُواْ فَإِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَنِيًّا حَمِيدٗا ﴿131﴾

Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebiri mu nsi. Era bulijjo Katonda talina kyeyetaaga era atenderezebwa.

4:132

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلًا ﴿132﴾

Era bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Era bulijo Katonda yaakola ku nsonga z’ebitonde byonna.

4:133

إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ أَيُّهَا ٱلنَّاسُ وَيَأۡتِ بِـَٔاخَرِينَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ ذَٰلِكَ قَدِيرٗا ﴿133﴾

(Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubagyawo abange mmwe abantu naaleeta abalala, bulijjo Katonda kwekyo musobozi.

4:134

مَّن كَانَ يُرِيدُ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا فَعِندَ ٱللَّهِ ثَوَابُ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ سَمِيعَۢا بَصِيرٗا ﴿134﴾

Omuntu ayagala empeera y’okunsi, Katonda yaafuga empeera y’okunsi n'e yokunkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo.

4:135

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُونُواْ قَوَّـٰمِينَ بِٱلۡقِسۡطِ شُهَدَآءَ لِلَّهِ وَلَوۡ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ أَوِ ٱلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَۚ إِن يَكُنۡ غَنِيًّا أَوۡ فَقِيرٗا فَٱللَّهُ أَوۡلَىٰ بِهِمَاۖ فَلَا تَتَّبِعُواْ ٱلۡهَوَىٰٓ أَن تَعۡدِلُواْۚ وَإِن تَلۡوُۥٓاْ أَوۡ تُعۡرِضُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا ﴿135﴾

Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebweba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala byemukola.

4:136

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ ءَامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلَّذِي نَزَّلَ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِن قَبۡلُۚ وَمَن يَكۡفُرۡ بِٱللَّهِ وَمَلَـٰٓئِكَتِهِۦ وَكُتُبِهِۦ وَرُسُلِهِۦ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا ﴿136﴾

Abange mmwe abakkiriza mukkirize Katonda n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu.

4:137

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ثُمَّ كَفَرُواْ ثُمَّ ءَامَنُواْ ثُمَّ كَفَرُواْ ثُمَّ ٱزۡدَادُواْ كُفۡرٗا لَّمۡ يَكُنِ ٱللَّهُ لِيَغۡفِرَ لَهُمۡ وَلَا لِيَهۡدِيَهُمۡ سَبِيلَۢا ﴿137﴾

Mazima abo abakkiriza, ate nebakaafuwala, ate nebakkiriza, oluvanyuma nebakaafuwala, ate nebeeyongerera ddala obwa kiwagi, Katonda si wakubasonyiwa wadde okubalungamya ku kkubo e ggolokofu.

4:138

بَشِّرِ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ بِأَنَّ لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمًا ﴿138﴾

Sanyusa abannanfusi nga obategeeza nti balina ebibonerezo ebiruma.

4:139

ٱلَّذِينَ يَتَّخِذُونَ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ أَيَبۡتَغُونَ عِندَهُمُ ٱلۡعِزَّةَ فَإِنَّ ٱلۡعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا ﴿139﴾

(Abannanfusi) abo abafuula abakafiiri mikwano gyabwe, nebaleka abakkiriza, abaffe baba babanonyaako kitiibwa! Mazima bulijjo ebitiibwa byonna bya Katonda.

4:140

وَقَدۡ نَزَّلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ أَنۡ إِذَا سَمِعۡتُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ يُكۡفَرُ بِهَا وَيُسۡتَهۡزَأُ بِهَا فَلَا تَقۡعُدُواْ مَعَهُمۡ حَتَّىٰ يَخُوضُواْ فِي حَدِيثٍ غَيۡرِهِۦٓ إِنَّكُمۡ إِذٗا مِّثۡلُهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ جَامِعُ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡكَٰفِرِينَ فِي جَهَنَّمَ جَمِيعًا ﴿140﴾

Nga ate mazima (Katonda) yassa ku mmwe mu kitabo nti bwemuwuliranga ebigambo bya Katonda nga biwakanyizibwa, era nga bijolongwa temutuulanga wamu nabo abakola ekyo okutuusa lwebadda ku mboozi endala, (ate nga mazima ddala bulijjo kimanyiddwa nti) mazima Katonda agenda kukunganya abakafiiri n’abananfusi bonna abayingize omuliro Jahannama.

4:141

ٱلَّذِينَ يَتَرَبَّصُونَ بِكُمۡ فَإِن كَانَ لَكُمۡ فَتۡحٞ مِّنَ ٱللَّهِ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَكُن مَّعَكُمۡ وَإِن كَانَ لِلۡكَٰفِرِينَ نَصِيبٞ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَسۡتَحۡوِذۡ عَلَيۡكُمۡ وَنَمۡنَعۡكُم مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ فَٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَلَن يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لِلۡكَٰفِرِينَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ سَبِيلًا ﴿141﴾

(Era Abannanfusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti bulijjo tetuli nammwe, abakafiiri bwebaba nga beebafunyeeyo ku buwanguzi babagamba nti tetwabayamba netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’enkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Bakafiiri kkubo lyebayinza kuwanguliramu Bakkiriza.

4:142

إِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ يُخَٰدِعُونَ ٱللَّهَ وَهُوَ خَٰدِعُهُمۡ وَإِذَا قَامُوٓاْ إِلَى ٱلصَّلَوٰةِ قَامُواْ كُسَالَىٰ يُرَآءُونَ ٱلنَّاسَ وَلَا يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿142﴾

Mazima Abannafunsi bakwenyakwenya Katonda, kale naye waakubakwenyakwenya, era bwebayimirira okusaala bayimirira lwabuwaze, nga bagenderera kulaga bantu era tebatendereza Katonda okugyako katono nnyo.

4:143

مُّذَبۡذَبِينَ بَيۡنَ ذَٰلِكَ لَآ إِلَىٰ هَـٰٓؤُلَآءِ وَلَآ إِلَىٰ هَـٰٓؤُلَآءِۚ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ سَبِيلٗا ﴿143﴾

Ba nampa wengwa (wakati wa Bakkiriza na Bakafiiri) nga tebayinza kubalibwa ku bali oba ku bano, bulijjo omuntu Katonda gwabuza tayinza kumufunira kkubo. (lidda eri bulungamu).

4:144

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ أَتُرِيدُونَ أَن تَجۡعَلُواْ لِلَّهِ عَلَيۡكُمۡ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينًا ﴿144﴾

Abange mmwe abakkiriza temufuula nga abakafiiri mikwano gyammwe nfiira bulago nemuleka abakkiriza, mwandiyagadde okwewaako obujulizi obwolwatu ewa Katonda.

4:145

إِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ فِي ٱلدَّرۡكِ ٱلۡأَسۡفَلِ مِنَ ٱلنَّارِ وَلَن تَجِدَ لَهُمۡ نَصِيرًا ﴿145﴾

Mazima Abannanfusi bagenda kubeera ku mwaliiro ogusemberayo ddala wansi mu muliro, ate nga togenda kubafunira mutaasa.

4:146

إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ وَأَصۡلَحُواْ وَٱعۡتَصَمُواْ بِٱللَّهِ وَأَخۡلَصُواْ دِينَهُمۡ لِلَّهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَسَوۡفَ يُؤۡتِ ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ أَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿146﴾

Okugyako abo abeenenya, nebalongoosa, nebekwata ku Katonda, nga neddiini yaabwe bagikola kulwa Katonda yekka, abo nno bagenda kuba wamu nabakkiriza. Ate nga Katonda abakkiriza agenda kubawa empeera ensukkulumu.

4:147

مَّا يَفۡعَلُ ٱللَّهُ بِعَذَابِكُمۡ إِن شَكَرۡتُمۡ وَءَامَنتُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ شَاكِرًا عَلِيمٗا ﴿147﴾

Singa mwebaza Katonda, era nemukkiriza, ate olwo Katonda aliba ababonerereza lwaki! ate nga bulijjo Katonda mwebaza era mumanyi nnyo.

4:148

لَّا يُحِبُّ ٱللَّهُ ٱلۡجَهۡرَ بِٱلسُّوٓءِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ إِلَّا مَن ظُلِمَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ سَمِيعًا عَلِيمًا ﴿148﴾

Katonda tayagala kwatuukiriza kigambo kibi (ku muntu) okugyako oyo aba alangiddwa obwereere, bulijjo Katonda awulira era amanyi nnyo.

4:149

إِن تُبۡدُواْ خَيۡرًا أَوۡ تُخۡفُوهُ أَوۡ تَعۡفُواْ عَن سُوٓءٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَفُوّٗا قَدِيرًا ﴿149﴾

Bwemwolesa ekirungi, oba nemukikweka, oba nemusonyiwa abayisizza obubi, mazima bulijjo Katonda alekera, muyinza nnyo.

4:150

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡفُرُونَ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَيُرِيدُونَ أَن يُفَرِّقُواْ بَيۡنَ ٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَيَقُولُونَ نُؤۡمِنُ بِبَعۡضٖ وَنَكۡفُرُ بِبَعۡضٖ وَيُرِيدُونَ أَن يَتَّخِذُواْ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلًا ﴿150﴾

Mazima abo abajeemera Katonda n’ababakabe, nebagezaako okwawula wakati wa Katonda n’ababakabe, era nebagamba nti tukkirizaako abamu abalala tetubakkiriza, nebaagala okuteekawo ekkubo wakati weebyo ebibiri, (babe nga mwebatambulira).

4:151

أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ حَقّٗاۚ وَأَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا ﴿151﴾

Abo nno beebatakkiriza abannamaddala. Era nga abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.

4:152

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَلَمۡ يُفَرِّقُواْ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّنۡهُمۡ أُوْلَـٰٓئِكَ سَوۡفَ يُؤۡتِيهِمۡ أُجُورَهُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿152﴾

Ate abo abakkiriza Katonda n'ababaka be nebatayawula wakati w’omu kubo, abo nno Katonda agenda kubawa empeera yaabwe, bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa nnyo.

4:153

يَسۡـَٔلُكَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن تُنَزِّلَ عَلَيۡهِمۡ كِتَٰبٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ فَقَدۡ سَأَلُواْ مُوسَىٰٓ أَكۡبَرَ مِن ذَٰلِكَ فَقَالُوٓاْ أَرِنَا ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّـٰعِقَةُ بِظُلۡمِهِمۡۚ ثُمَّ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَعَفَوۡنَا عَن ذَٰلِكَۚ وَءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا ﴿153﴾

Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).

4:154

وَرَفَعۡنَا فَوۡقَهُمُ ٱلطُّورَ بِمِيثَٰقِهِمۡ وَقُلۡنَا لَهُمُ ٱدۡخُلُواْ ٱلۡبَابَ سُجَّدٗا وَقُلۡنَا لَهُمۡ لَا تَعۡدُواْ فِي ٱلسَّبۡتِ وَأَخَذۡنَا مِنۡهُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا ﴿154﴾

Netuleebeseza waggulu waabwe olusozi, bwebataagoberera, endagaano gyetwabakozesa nti baali bateekwa okugoberera (enjigiriza ya Taurat) netubagamba nti muyingire omulyango gw’ekibuga (Bait Makdis) nga muvunnamye (kyebataakola) era twabalagira obutavuba ku lunaku lwa mukaaga (ekiragiro kyebaamenya) era twabakozesa endagaano enzito.

4:155

فَبِمَا نَقۡضِهِم مِّيثَٰقَهُمۡ وَكُفۡرِهِم بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَقَتۡلِهِمُ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقّٖ وَقَوۡلِهِمۡ قُلُوبُنَا غُلۡفُۢۚ بَلۡ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَيۡهَا بِكُفۡرِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُونَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿155﴾

Ekyabatuusa kwebyo, kuba nti baamenya endagaano zaabwe, n’okuwakanya amateeka g’a Katonda, n’okutta kwabwe ba Nabbi ekitaali kituufu, era nekulwokugamba kwabwe nti, emitima gyaffe mizibikivu, ekituufu kiri nti Katonda yeeyagibikka olw'obukaafiiri bwabwe, tebayinza kukkiriza okugyako kitono nnyo.

4:156

وَبِكُفۡرِهِمۡ وَقَوۡلِهِمۡ عَلَىٰ مَرۡيَمَ بُهۡتَٰنًا عَظِيمٗا ﴿156﴾

Era nekulwobukafiiri bwabwe, n’okutemerera Mariam ekigambo ekinene.

4:157

وَقَوۡلِهِمۡ إِنَّا قَتَلۡنَا ٱلۡمَسِيحَ عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ رَسُولَ ٱللَّهِ وَمَا قَتَلُوهُ وَمَا صَلَبُوهُ وَلَٰكِن شُبِّهَ لَهُمۡۚ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُۚ مَا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٍ إِلَّا ٱتِّبَاعَ ٱلظَّنِّۚ وَمَا قَتَلُوهُ يَقِينَۢا ﴿157﴾

Era nekulwekigambo kyabwe bwebagamba nti, mazima ffe tumaze okutta Masiya Issa Mutabani wa Mariam omubaka wa Katonda so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikiranga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta.

4:158

بَل رَّفَعَهُ ٱللَّهُ إِلَيۡهِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَزِيزًا حَكِيمٗا ﴿158﴾

Wabula Katonda yamusitula n’amutwala gyali, era bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

4:159

وَإِن مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا لَيُؤۡمِنَنَّ بِهِۦ قَبۡلَ مَوۡتِهِۦۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ شَهِيدٗا ﴿159﴾

Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi.

4:160

فَبِظُلۡمٖ مِّنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا عَلَيۡهِمۡ طَيِّبَٰتٍ أُحِلَّتۡ لَهُمۡ وَبِصَدِّهِمۡ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ كَثِيرٗا ﴿160﴾

Okusinziira kukweyisa obubi kwa ba Yudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, ne ku lwo kwekiika kwabwe mu kkubo lya Katonda.

4:161

وَأَخۡذِهِمُ ٱلرِّبَوٰاْ وَقَدۡ نُهُواْ عَنۡهُ وَأَكۡلِهِمۡ أَمۡوَٰلَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡبَٰطِلِۚ وَأَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ مِنۡهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿161﴾

Nekulwokutwalanga kwabwe Ribbah, so ng’ate baagigaanibwa, nekulwokulya kwabwe emmaali y’abantu mu bukyamu, era twateekerateekera abakafiiri mu bo ebibonerezo ebiruma.

4:162

لَّـٰكِنِ ٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ مِنۡهُمۡ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ يُؤۡمِنُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَۚ وَٱلۡمُقِيمِينَ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَٱلۡمُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ أُوْلَـٰٓئِكَ سَنُؤۡتِيهِمۡ أَجۡرًا عَظِيمًا ﴿162﴾

Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu.