quranm◉

Hizb 13

Range
from 5:97 to 6:58
Surahs covered
Okuvvuunula
82 Okuvvuunula

◉

5:97

جَعَلَ ٱللَّهُ ٱلۡكَعۡبَةَ ٱلۡبَيۡتَ ٱلۡحَرَامَ قِيَٰمٗا لِّلنَّاسِ وَٱلشَّهۡرَ ٱلۡحَرَامَ وَٱلۡهَدۡيَ وَٱلۡقَلَـٰٓئِدَۚ ذَٰلِكَ لِتَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَأَنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٌ ﴿97﴾

Katonda yassaawo Kaaba e nyumba e y'emizizo nga y’eyimiriddeko e ntambuza y’ebintu byonna e bikwata ku bantu era nateekawo e myezi e gyemizizo n’ebisolo e bitonebwa, nebisolo e birekebwa nga birambiddwa e byo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Katonda amanyi ebyo byonna e biri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.

5:98

ٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ وَأَنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿98﴾

Muteekeddwa okumanya nti mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo era nga ddala bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa.

5:99

مَّا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تُبۡدُونَ وَمَا تَكۡتُمُونَ ﴿99﴾

Omubaka talina kyavunaanwa, okugyako okubatuusaako obubaka, era bulijjo Katonda amanyi byemukola mulwatu ne bye mukweka.

5:100

قُل لَّا يَسۡتَوِي ٱلۡخَبِيثُ وَٱلطَّيِّبُ وَلَوۡ أَعۡجَبَكَ كَثۡرَةُ ٱلۡخَبِيثِۚ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿100﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti) e kibi n'ekirungi tebifaanana newaakubadde nga oluusi osikirizibwa obungi bw'ekibi, kale mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw'enkomerero).

5:101

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَسۡـَٔلُواْ عَنۡ أَشۡيَآءَ إِن تُبۡدَ لَكُمۡ تَسُؤۡكُمۡ وَإِن تَسۡـَٔلُواْ عَنۡهَا حِينَ يُنَزَّلُ ٱلۡقُرۡءَانُ تُبۡدَ لَكُمۡ عَفَا ٱللَّهُ عَنۡهَاۗ وَٱللَّهُ غَفُورٌ حَلِيمٞ ﴿101﴾

Abange mmwe abakkiriza temubuuzanga e bikwata ku bintu, nga singa bibategeezeddwa byandibasudde mu ntata, anti singa mubibuuza nga Kur’ani e kyakka bijja kubategeezebwa (ate bibakaluubirire), so nga Katonda teyabisiinyaako, anti bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa.

5:102

قَدۡ سَأَلَهَا قَوۡمٞ مِّن قَبۡلِكُمۡ ثُمَّ أَصۡبَحُواْ بِهَا كَٰفِرِينَ ﴿102﴾

Mazima abantu b'ebibiina e byabakulembera baabibuuzanga ate oluvanyuma byabakaafuwaza.

5:103

مَا جَعَلَ ٱللَّهُ مِنۢ بَحِيرَةٖ وَلَا سَآئِبَةٖ وَلَا وَصِيلَةٖ وَلَا حَامٖ وَلَٰكِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَۖ وَأَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ ﴿103﴾

Katonda ssi ye yateekawo (e byokulondobamu ebisolo e bimu e birundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bweba e zadde e nzaalo e ziwera, wadde eyo gyebaawulako nga y’alubaale, wadde e kyokwevuma ensolo e zaala e nkazi zokka, wadde e kyokwekwasa seddume w'e ngamiya e zaazisizza e ngamiya e nnyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwa bwe okwo), batemerera Katonda, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera.

5:104

وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ وَإِلَى ٱلرَّسُولِ قَالُواْ حَسۡبُنَا مَا وَجَدۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَآۚ أَوَلَوۡ كَانَ ءَابَآؤُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ شَيۡـٔٗا وَلَا يَهۡتَدُونَ ﴿104﴾

Bwe baba bagambiddwa nti mujje eri e byo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, bagamba nti bye twasangako bakadde baffe bitumala (abaffe bagamba batyo) wadde nga bakadde baabwe baali tebamanyi kintu kyonna era nga tebayinza kulungama.

5:105

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ عَلَيۡكُمۡ أَنفُسَكُمۡۖ لَا يَضُرُّكُم مَّن ضَلَّ إِذَا ٱهۡتَدَيۡتُمۡۚ إِلَى ٱللَّهِ مَرۡجِعُكُمۡ جَمِيعٗا فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿105﴾

Abange mmwe abakkiriza mwefeeko. Oyo e yabula tayinza kubatuusaako kabi kavuna mmwe mulungama, ewa Katonda mwenna yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno alyoke abategeeze byonna byemwali mukola.

5:106

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ شَهَٰدَةُ بَيۡنِكُمۡ إِذَا حَضَرَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ حِينَ ٱلۡوَصِيَّةِ ٱثۡنَانِ ذَوَا عَدۡلٖ مِّنكُمۡ أَوۡ ءَاخَرَانِ مِنۡ غَيۡرِكُمۡ إِنۡ أَنتُمۡ ضَرَبۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَأَصَٰبَتۡكُم مُّصِيبَةُ ٱلۡمَوۡتِۚ تَحۡبِسُونَهُمَا مِنۢ بَعۡدِ ٱلصَّلَوٰةِ فَيُقۡسِمَانِ بِٱللَّهِ إِنِ ٱرۡتَبۡتُمۡ لَا نَشۡتَرِي بِهِۦ ثَمَنٗا وَلَوۡ كَانَ ذَا قُرۡبَىٰ وَلَا نَكۡتُمُ شَهَٰدَةَ ٱللَّهِ إِنَّآ إِذٗا لَّمِنَ ٱلۡأٓثِمِينَ ﴿106﴾

Abange mmwe abakkiriza omu ku mmwe bwawulira, nga ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali ba mu mmwe. Bwe mubanga ku safari nemutuukibwako ekizibu kyokufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvanyuma lw’esswala nebalayira ku linnya lya Katonda, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olwekintu kyonna, newaakubadde nga gwetuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw,okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Katonda anti bwetukikola tubeera mu boonoonyi.

5:107

فَإِنۡ عُثِرَ عَلَىٰٓ أَنَّهُمَا ٱسۡتَحَقَّآ إِثۡمٗا فَـَٔاخَرَانِ يَقُومَانِ مَقَامَهُمَا مِنَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَحَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَوۡلَيَٰنِ فَيُقۡسِمَانِ بِٱللَّهِ لَشَهَٰدَتُنَآ أَحَقُّ مِن شَهَٰدَتِهِمَا وَمَا ٱعۡتَدَيۡنَآ إِنَّآ إِذٗا لَّمِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿107﴾

Bwekizuulwa nti abajulizi beekobanye nebakola ekibi ku nsonga y’obujulizi, olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, nebalayira Katonda (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwetukola ekyo, tuba tugudde mu luse lwa beeyisa obubi.

5:108

ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن يَأۡتُواْ بِٱلشَّهَٰدَةِ عَلَىٰ وَجۡهِهَآ أَوۡ يَخَافُوٓاْ أَن تُرَدَّ أَيۡمَٰنُۢ بَعۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱسۡمَعُواْۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿108﴾

Okukola ekyo, kye kisinga obulungi ku kuyamba okuba nga bawa obujulizi mu butuufu bwa bwo, oba batye e birayiro (byabwe) okugobwa oluvanyuma lw'okulayira kwabwe, mutye Katonda era muwulire, bulijjo Katonda talungamya bantu bajeemu.

5:109

يَوۡمَ يَجۡمَعُ ٱللَّهُ ٱلرُّسُلَ فَيَقُولُ مَاذَآ أُجِبۡتُمۡۖ قَالُواْ لَا عِلۡمَ لَنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ عَلَّـٰمُ ٱلۡغُيُوبِ ﴿109﴾

Mujjukire olunaku Katonda lwalikunganya ababaka nagamba nti abantu baabaanukula batya, ne bagamba nti: tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo ggwe omanyidde ddala e bikusike.

5:110

إِذۡ قَالَ ٱللَّهُ يَٰعِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ٱذۡكُرۡ نِعۡمَتِي عَلَيۡكَ وَعَلَىٰ وَٰلِدَتِكَ إِذۡ أَيَّدتُّكَ بِرُوحِ ٱلۡقُدُسِ تُكَلِّمُ ٱلنَّاسَ فِي ٱلۡمَهۡدِ وَكَهۡلٗاۖ وَإِذۡ عَلَّمۡتُكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَۖ وَإِذۡ تَخۡلُقُ مِنَ ٱلطِّينِ كَهَيۡـَٔةِ ٱلطَّيۡرِ بِإِذۡنِي فَتَنفُخُ فِيهَا فَتَكُونُ طَيۡرَۢا بِإِذۡنِيۖ وَتُبۡرِئُ ٱلۡأَكۡمَهَ وَٱلۡأَبۡرَصَ بِإِذۡنِيۖ وَإِذۡ تُخۡرِجُ ٱلۡمَوۡتَىٰ بِإِذۡنِيۖ وَإِذۡ كَفَفۡتُ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ عَنكَ إِذۡ جِئۡتَهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡهُمۡ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿110﴾

Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu.

5:111

وَإِذۡ أَوۡحَيۡتُ إِلَى ٱلۡحَوَارِيِّـۧنَ أَنۡ ءَامِنُواْ بِي وَبِرَسُولِي قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَٱشۡهَدۡ بِأَنَّنَا مُسۡلِمُونَ ﴿111﴾

Era jjukira bwe nnatumira abayigirizwabo nti munzikirize n’omubaka wange ne bagamba nti tukkirizza, era naawe julira okakase nti mazima ddala tuli basiramu.

5:112

إِذۡ قَالَ ٱلۡحَوَارِيُّونَ يَٰعِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ هَلۡ يَسۡتَطِيعُ رَبُّكَ أَن يُنَزِّلَ عَلَيۡنَا مَآئِدَةٗ مِّنَ ٱلسَّمَآءِۖ قَالَ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿112﴾

Era jjukira abayigirizwa bwe baagamba Isa mutabani wa Mariam nti abaffe Katondawo asobola okutussiza ekijjulo okuva mu ggulu, naagamba nti mutye Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza.

5:113

قَالُواْ نُرِيدُ أَن نَّأۡكُلَ مِنۡهَا وَتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُنَا وَنَعۡلَمَ أَن قَدۡ صَدَقۡتَنَا وَنَكُونَ عَلَيۡهَا مِنَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿113﴾

Nebagamba nti twagala tukiryeko, era e mitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti wewaawo byo tugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo.

5:114

قَالَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ ٱللَّهُمَّ رَبَّنَآ أَنزِلۡ عَلَيۡنَا مَآئِدَةٗ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ تَكُونُ لَنَا عِيدٗا لِّأَوَّلِنَا وَءَاخِرِنَا وَءَايَةٗ مِّنكَۖ وَٱرۡزُقۡنَا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿114﴾

Isa mutabani wa Mariam naagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tussize e kijjulo okuva mu ggulu, kibe e mbaga gyetuli eri abaliwo muffe n’abalijja oluvanyuma, era nga bujulizi okuva gyoli, era tukusaba otugabirire. Ggwe mugabi asinga.

5:115

قَالَ ٱللَّهُ إِنِّي مُنَزِّلُهَا عَلَيۡكُمۡۖ فَمَن يَكۡفُرۡ بَعۡدُ مِنكُمۡ فَإِنِّيٓ أُعَذِّبُهُۥ عَذَابٗا لَّآ أُعَذِّبُهُۥٓ أَحَدٗا مِّنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿115﴾

Katonda naagamba nti mazima nze nja kukibassiza naye oyo yenna anaakaafuwala oluvanyuma lw’okujja kwakyo, mazima ddala ngenda kumubonereza olubonereza lwe ssigenda kubonereza muntu mulala yenna.

5:116

وَإِذۡ قَالَ ٱللَّهُ يَٰعِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ءَأَنتَ قُلۡتَ لِلنَّاسِ ٱتَّخِذُونِي وَأُمِّيَ إِلَٰهَيۡنِ مِن دُونِ ٱللَّهِۖ قَالَ سُبۡحَٰنَكَ مَا يَكُونُ لِيٓ أَنۡ أَقُولَ مَا لَيۡسَ لِي بِحَقٍّۚ إِن كُنتُ قُلۡتُهُۥ فَقَدۡ عَلِمۡتَهُۥۚ تَعۡلَمُ مَا فِي نَفۡسِي وَلَآ أَعۡلَمُ مَا فِي نَفۡسِكَۚ إِنَّكَ أَنتَ عَلَّـٰمُ ٱلۡغُيُوبِ ﴿116﴾

Era jjukira Katonda bwe yagamba nti owange Isa Mutabani wa Mariam ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule ba Katonda, muve ku Katonda. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange oli musukkulumu, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu ggwe, (ekireeta e njawulo eyo) anti mazima ddala ggwe omanyi e byekusifu.

5:117

مَا قُلۡتُ لَهُمۡ إِلَّا مَآ أَمَرۡتَنِي بِهِۦٓ أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمۡۚ وَكُنتُ عَلَيۡهِمۡ شَهِيدٗا مَّا دُمۡتُ فِيهِمۡۖ فَلَمَّا تَوَفَّيۡتَنِي كُنتَ أَنتَ ٱلرَّقِيبَ عَلَيۡهِمۡۚ وَأَنتَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ ﴿117﴾

Ssaabagamba okugyako kye wandagira, e ky’okubagamba nti: musinze Katonda mukama omulabirizi wange era nga ye mukama omulabirizi wa mmwe, era nali mujulizi ku byonna bye baakolanga e bbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo ggwe osobola okumanya e bikwata ku buli kintu.

5:118

إِن تُعَذِّبۡهُمۡ فَإِنَّهُمۡ عِبَادُكَۖ وَإِن تَغۡفِرۡ لَهُمۡ فَإِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿118﴾

Bwoba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

5:119

قَالَ ٱللَّهُ هَٰذَا يَوۡمُ يَنفَعُ ٱلصَّـٰدِقِينَ صِدۡقُهُمۡۚ لَهُمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ رَّضِيَ ٱللَّهُ عَنۡهُمۡ وَرَضُواْ عَنۡهُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿119﴾

(Ku lunaku olwo) Katonda agenda kugamba nti, luno lunaku abaayogera amazima, amazima gaabwe gagenda kubagasa, balina e jjana e zikulukutiramu e migga, bagenda kuzibeeramu olubeerera, Katonda yabasiima nabo nebeeyanza, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu.

5:120

لِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا فِيهِنَّۚ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرُۢ ﴿120﴾

Obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi n'ebirimu bwa Katonda, era bulijjo Katonda musobozi wa buli kintu.

6:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ ٱلظُّلُمَٰتِ وَٱلنُّورَۖ ثُمَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ يَعۡدِلُونَ ﴿1﴾

Ebitendo byonna e birungi bya Katonda oyo eyakola e ggulu omusanvu ne nsi n’assaawo e nzikiza ne kitangaala, wabula abo abagyemera Mukama omulabirizi waabwe bava ku mazima.

6:2

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن طِينٖ ثُمَّ قَضَىٰٓ أَجَلٗاۖ وَأَجَلٞ مُّسَمًّى عِندَهُۥۖ ثُمَّ أَنتُمۡ تَمۡتَرُونَ ﴿2﴾

Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa.

6:3

وَهُوَ ٱللَّهُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ يَعۡلَمُ سِرَّكُمۡ وَجَهۡرَكُمۡ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُونَ ﴿3﴾

Era yye, ye Katonda mu ggulu omusanvu ne nsi, amanya bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanya byonna bye mukola.

6:4

وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ ﴿4﴾

Tewali kabonero konna kabajjira mu bubonero bwa Katonda okugyako bwonna babwawukanako.

6:5

فَقَدۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَسَوۡفَ يَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَـٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿5﴾

Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo e bituufu e bikwata kwebyo bye baajeejanga biri bajjira.

6:6

أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ مَّكَّنَّـٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَا لَمۡ نُمَكِّن لَّكُمۡ وَأَرۡسَلۡنَا ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡهِم مِّدۡرَارٗا وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَنۡهَٰرَ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمۡ فَأَهۡلَكۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡ وَأَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ ﴿6﴾

Abaffe tebalaba e mirembe e meka agyaliwo oluberyeberye lwabwe gyetwazikiriza! twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gyetwawa mmwe okwegazanyizaamu, ne tubawa e ggulu okuba nga libafukirira e nkuba mu bungi, ne tussawo e migga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olwebibi byabwe ne tuleeta oluvanyuma lwabwe omulembe omulala.

6:7

وَلَوۡ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ كِتَٰبٗا فِي قِرۡطَاسٖ فَلَمَسُوهُ بِأَيۡدِيهِمۡ لَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿7﴾

Singa twassa ku ggwe e kitabo e kikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaakaafuwala bandigambye nti, bino temuli okugyako ddogo lyennyini.

6:8

وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ مَلَكٞۖ وَلَوۡ أَنزَلۡنَا مَلَكٗا لَّقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ ثُمَّ لَا يُنظَرُونَ ﴿8﴾

Era nebagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika, naye singa twassa Malayika e nsonga yandiggweredde awo era ne batarindirizibwa.

6:9

وَلَوۡ جَعَلۡنَٰهُ مَلَكٗا لَّجَعَلۡنَٰهُ رَجُلٗا وَلَلَبَسۡنَا عَلَيۡهِم مَّا يَلۡبِسُونَ ﴿9﴾

Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula.

6:10

وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَحَاقَ بِٱلَّذِينَ سَخِرُواْ مِنۡهُم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿10﴾

Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja mu bo ababaka, baatuukwako e bibonerezo by'okujeeja kwabwe.

6:11

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ ٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿11﴾

Gamba nti, mutambule mu nsi olwo nno mulabe e nkomerero y’abaalimbisa yali e tya.

6:12

قُل لِّمَن مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُل لِّلَّهِۚ كَتَبَ عَلَىٰ نَفۡسِهِ ٱلرَّحۡمَةَۚ لَيَجۡمَعَنَّكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِۚ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿12﴾

Gamba nti, byani e byo e biri mu ggulu omusanvu ne nsi (bwomala) gamba nti bya Katonda, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakunganyiza ddala ku lunaku lw’enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa (wabula) abo abafaafaganirwa e myoyo gyabwe tebagenda kukkiriza.

6:13

وَلَهُۥ مَا سَكَنَ فِي ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿13﴾

Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.

6:14

قُلۡ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَتَّخِذُ وَلِيّٗا فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَهُوَ يُطۡعِمُ وَلَا يُطۡعَمُۗ قُلۡ إِنِّيٓ أُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَسۡلَمَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿14﴾

Gamba nti: ndeke Katonda neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Katonda) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala.

6:15

قُلۡ إِنِّيٓ أَخَافُ إِنۡ عَصَيۡتُ رَبِّي عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿15﴾

Gamba, nti mazima nze ntya nnyo e bibonerezo by'olunaku oluzito singa mba njeemedde mukama omulabirizi wange.

6:16

مَّن يُصۡرَفۡ عَنۡهُ يَوۡمَئِذٖ فَقَدۡ رَحِمَهُۥۚ وَذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡمُبِينُ ﴿16﴾

Omuntu alyesambisibwa ku byo olunaku olwo, mazima Katonda aliba amusaasidde era e kyo bwe buwanguzi obwa nnamaddala.

6:17

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يَمۡسَسۡكَ بِخَيۡرٖ فَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿17﴾

Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.

6:18

وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿18﴾

Era yye, ye Nantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti yye ye mugoba nsonga amanyi buli kimu.

6:19

قُلۡ أَيُّ شَيۡءٍ أَكۡبَرُ شَهَٰدَةٗۖ قُلِ ٱللَّهُۖ شَهِيدُۢ بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۚ وَأُوحِيَ إِلَيَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانُ لِأُنذِرَكُم بِهِۦ وَمَنۢ بَلَغَۚ أَئِنَّكُمۡ لَتَشۡهَدُونَ أَنَّ مَعَ ٱللَّهِ ءَالِهَةً أُخۡرَىٰۚ قُل لَّآ أَشۡهَدُۚ قُلۡ إِنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ وَإِنَّنِي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُشۡرِكُونَ ﴿19﴾

Gamba nti kintu ki e kisinga obukulu okuba nga bwe bujulizi, gamba nti Katonda ye mujulizi wakati wange nammwe, era naweebwa Kur’ani eno nga bubaka mbe nga mbatiisa nayo n’abo beerituukako abatali mmwe, ate mmwe muyinza okuleeta obujulizi nti ku Katonda kweyongerako ba katonda abalala, gamba nti mazima ddala yye Katonda ali omu, era mazima ddala neesambye e byo byemugatta ku Katonda.

6:20

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَعۡرِفُونَهُۥ كَمَا يَعۡرِفُونَ أَبۡنَآءَهُمُۘ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿20﴾

Abo be twaawa e kitabo bamutegeera (Nabbi Muhammad) nga bwebategeera abaana baabwe, abo abaafaafaganirwa e myoyo gyabwe (nebatategeera ntegeera ntuufu) abo nno bo tebakkiriza (byo bagamba).

6:21

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِـَٔايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿21﴾

Ani yeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa e bigambo bya Katonda. Anti mazima abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.

6:22

وَيَوۡمَ نَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ نَقُولُ لِلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ أَيۡنَ شُرَكَآؤُكُمُ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ ﴿22﴾

Ku lunaku lwetulibakungaanya bonna era ne tugamba abo abaagatta ku Katonda e bintu e birala nti, ba katonda ba mmwe abo be mwagambanga baluwa.

6:23

ثُمَّ لَمۡ تَكُن فِتۡنَتُهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ وَٱللَّهِ رَبِّنَا مَا كُنَّا مُشۡرِكِينَ ﴿23﴾

Awo nno bwe balimala okugwa mu kizibu (olwo kubuuzibwa e kibuuzo e kyo) tebaliba na kya kukola okugyako okugaana ne bagamba nti, tulayira Katonda Mukama omulabirizi waffe tetubangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.

6:24

ٱنظُرۡ كَيۡفَ كَذَبُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡۚ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿24﴾

Laba e ngeri gye beerimbamu ne bibaggwaako e byo bye baagunjaawo.

6:25

وَمِنۡهُم مَّن يَسۡتَمِعُ إِلَيۡكَۖ وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِن يَرَوۡاْ كُلَّ ءَايَةٖ لَّا يُؤۡمِنُواْ بِهَاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوكَ يُجَٰدِلُونَكَ يَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿25﴾

Era mu bo mulimu abawulira byoyogera, naye nga ku mitima gyabwe twassaako e kibikka ne batasobola kubitegeera n’amatu gaabwe ne tuteekamu e nvumbo, ne bwebalaba e kyamagero kyonna tebakikkiriza, ne batuusa okujja gyali nga bakuwakanya abo abaakaafuwala ne bagamba nti (byonna byayigiriza) tebirina kye biri okugyako okuba nti nfumo z’abedda.

6:26

وَهُمۡ يَنۡهَوۡنَ عَنۡهُ وَيَنۡـَٔوۡنَ عَنۡهُۖ وَإِن يُهۡلِكُونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿26﴾

Nga nabo bagaana abantu okujja eri Nabbi, era nga nabo be nnyini bamwesamba, (mweekyo) tebazikiriza okugyako myoyo gya bwe naye tebategeera.

6:27

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ وُقِفُواْ عَلَى ٱلنَّارِ فَقَالُواْ يَٰلَيۡتَنَا نُرَدُّ وَلَا نُكَذِّبَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّنَا وَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿27﴾

Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku muliro, olwo nno ne bagamba nti nga tulabye singa tuzzibwaayo (ku nsi) ne tutalimbisa bigambo bya Mukama omulabirizi waffe olwo nno tube mu bakkiriza.

6:28

بَلۡ بَدَا لَهُم مَّا كَانُواْ يُخۡفُونَ مِن قَبۡلُۖ وَلَوۡ رُدُّواْ لَعَادُواْ لِمَا نُهُواْ عَنۡهُ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿28﴾

Olwo nno biriba bye yolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwaayo baalizzeemu okukola e kya bagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera).

6:29

وَقَالُوٓاْ إِنۡ هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا وَمَا نَحۡنُ بِمَبۡعُوثِينَ ﴿29﴾

Era bagamba nti tewali bulamu bulala, okugyako buno bwe tuwangala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa.

6:30

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ وُقِفُواْ عَلَىٰ رَبِّهِمۡۚ قَالَ أَلَيۡسَ هَٰذَا بِٱلۡحَقِّۚ قَالُواْ بَلَىٰ وَرَبِّنَاۚ قَالَ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿30﴾

Waalisaanye olabe, e mbeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima, bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama omulabirizi waffe naagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olwe'byo bye mwawakanya.

6:31

قَدۡ خَسِرَ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِلِقَآءِ ٱللَّهِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَتۡهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةٗ قَالُواْ يَٰحَسۡرَتَنَا عَلَىٰ مَا فَرَّطۡنَا فِيهَا وَهُمۡ يَحۡمِلُونَ أَوۡزَارَهُمۡ عَلَىٰ ظُهُورِهِمۡۚ أَلَا سَآءَ مَا يَزِرُونَ ﴿31﴾

Mazima baafaafaganirwa abo abaalimbisa okusisinkana Katonda, okutuusiza ddala olunaku lwe nkomerero lwe lulibatuukako e kibwatukira, ne bagamba nti nga tulabye olw'ebyo bye twayonoona mu nsi, olwo nno nga beetisse e bibi bya bwe ku migongo gyabwe abange bibi ddala bye bakola.

6:32

وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا لَعِبٞ وَلَهۡوٞۖ وَلَلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ يَتَّقُونَۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿32﴾

Obulamu bwe nsi tebuli okugyako muzannyo na kusanyuka, naye mazima ddala e nyumba e yenkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera.

6:33

قَدۡ نَعۡلَمُ إِنَّهُۥ لَيَحۡزُنُكَ ٱلَّذِي يَقُولُونَۖ فَإِنَّهُمۡ لَا يُكَذِّبُونَكَ وَلَٰكِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿33﴾

Mazima tumanyi nti ddala bye boogera bikunyiiza, mazima ddala bo tebakulimbisa naye mazima ddala abeeyisa obubi e bigambo bya Katonda bye bawakanya.

6:34

وَلَقَدۡ كُذِّبَتۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَ فَصَبَرُواْ عَلَىٰ مَا كُذِّبُواْ وَأُوذُواْ حَتَّىٰٓ أَتَىٰهُمۡ نَصۡرُنَاۚ وَلَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِ ٱللَّهِۚ وَلَقَدۡ جَآءَكَ مِن نَّبَإِيْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿34﴾

Mazima ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza ku e byo byebalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa kwaffe lwe kwabajjira era tewali akyusa bigambo bya Katonda. Mazima ojjiddwa e bimu ku bigambo e bikwata ku babaka.

6:35

وَإِن كَانَ كَبُرَ عَلَيۡكَ إِعۡرَاضُهُمۡ فَإِنِ ٱسۡتَطَعۡتَ أَن تَبۡتَغِيَ نَفَقٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ أَوۡ سُلَّمٗا فِي ٱلسَّمَآءِ فَتَأۡتِيَهُم بِـَٔايَةٖۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَجَمَعَهُمۡ عَلَى ٱلۡهُدَىٰۚ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ ﴿35﴾

E ky'okukwawukanako bwe kiba nga kikuyitiriddeko, kale nno bwoba nga osobodde okufuna omukwesese mu ttaka oba amadaala agakutwala waggulu obeere ng’obaleetera e kya magero kyonna (kola e kyo, naye nga tekirina makulu kubanga) singa Katonda yayagala yaali bagattidde ku bulungamu, kale (Nabbi Muhammad) tobeeranga mu batategeera.

6:36

إِنَّمَا يَسۡتَجِيبُ ٱلَّذِينَ يَسۡمَعُونَۘ وَٱلۡمَوۡتَىٰ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ ثُمَّ إِلَيۡهِ يُرۡجَعُونَ ﴿36﴾

Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), sso abafu Katonda agenda kubazuukiza era gyali gye balizzibwa.

6:37

وَقَالُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ عَلَيۡهِ ءَايَةٞ مِّن رَّبِّهِۦۚ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَادِرٌ عَلَىٰٓ أَن يُنَزِّلَ ءَايَةٗ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿37﴾

(Abagatta Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa assiddwaako e kya magero kyonna okuva e wa Mukama omulabirizi we, bagambe nti mazima Katonda asobola okussa e kyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi.

6:38

وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا طَـٰٓئِرٖ يَطِيرُ بِجَنَاحَيۡهِ إِلَّآ أُمَمٌ أَمۡثَالُكُمۚ مَّا فَرَّطۡنَا فِي ٱلۡكِتَٰبِ مِن شَيۡءٖۚ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يُحۡشَرُونَ ﴿38﴾

Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa.

6:39

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا صُمّٞ وَبُكۡمٞ فِي ٱلظُّلُمَٰتِۗ مَن يَشَإِ ٱللَّهُ يُضۡلِلۡهُ وَمَن يَشَأۡ يَجۡعَلۡهُ عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿39﴾

Abo bonna abaalimbisa e bigambo byaffe ba kiggala ba kasiru bali mu bizikiza. Omuntu Katonda gwaba ayagadde abule amubuza, ate gwaba ayagadde okulungamya amusobozesa okulungama eri e kkubo e ggolokofu.

6:40

قُلۡ أَرَءَيۡتَكُمۡ إِنۡ أَتَىٰكُمۡ عَذَابُ ٱللَّهِ أَوۡ أَتَتۡكُمُ ٱلسَّاعَةُ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ تَدۡعُونَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿40﴾

Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mulaba mutya singa biba bibajjidde e bibonerezo bya Katonda oba olunaku lwe nkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Katonda omu bwe muba nga mwogera mazima.

6:41

بَلۡ إِيَّاهُ تَدۡعُونَ فَيَكۡشِفُ مَا تَدۡعُونَ إِلَيۡهِ إِن شَآءَ وَتَنسَوۡنَ مَا تُشۡرِكُونَ ﴿41﴾

E kituufu kiri nti mulaajanira Katonda wa mmwe e yabakola yekka, n'abaggyirawo e kyo kye mumumulaajanidde bwaba nga ayagadde nemwerabira n'okwerabira e byo bye mubadde mumugattako.

6:42

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ لَعَلَّهُمۡ يَتَضَرَّعُونَ ﴿42﴾

Mazima twatuma ababaka eri e bibinja bya bantu oluberyeberyelwo, netubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu).

6:43

فَلَوۡلَآ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَا تَضَرَّعُواْ وَلَٰكِن قَسَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿43﴾

Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola.

6:44

فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦ فَتَحۡنَا عَلَيۡهِمۡ أَبۡوَٰبَ كُلِّ شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ إِذَا فَرِحُواْ بِمَآ أُوتُوٓاْ أَخَذۡنَٰهُم بَغۡتَةٗ فَإِذَا هُم مُّبۡلِسُونَ ﴿44﴾

Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna.

6:45

فَقُطِعَ دَابِرُ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْۚ وَٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿45﴾

Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mwabo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

6:46

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَخَذَ ٱللَّهُ سَمۡعَكُمۡ وَأَبۡصَٰرَكُمۡ وَخَتَمَ عَلَىٰ قُلُوبِكُم مَّنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِهِۗ ٱنظُرۡ كَيۡفَ نُصَرِّفُ ٱلۡأٓيَٰتِ ثُمَّ هُمۡ يَصۡدِفُونَ ﴿46﴾

Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) mulaba mutya singa Katonda abafuula ba kiggala era ba muzibe, naateeka ne nvumbo ku mitima gya mmwe, katonda ani atali Katonda omu ayinza okubibaddiza, laba e ngeri gye tunnyonnyolamu obubonero (bwange) ate bo ne babuvaako.

6:47

قُلۡ أَرَءَيۡتَكُمۡ إِنۡ أَتَىٰكُمۡ عَذَابُ ٱللَّهِ بَغۡتَةً أَوۡ جَهۡرَةً هَلۡ يُهۡلَكُ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿47﴾

Gamba, mmwe mulaba nti singa e bibonerezo bya Katonda bibatuukako e kibwatukira, oba ne bijja nga mutegedde, waliwo abayinza okubonerezebwa abalala okugyako abo abeeyisa obubi.

6:48

وَمَا نُرۡسِلُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّا مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَۖ فَمَنۡ ءَامَنَ وَأَصۡلَحَ فَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿48﴾

Bulijjo tetutuma babaka okugyako nga basanyusa abakozi b’obulungi era nga bwe batiisa abakozi b’ebibi, oyo yenna akkiriza n’akola e mirimu e mirungi abo tebalina kutya, era tebagenda kunakuwala.

6:49

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَمَسُّهُمُ ٱلۡعَذَابُ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿49﴾

Ate abo abalimbisa e bigambo byaffe, e bibonerezo bigenda kubatuukako ol'webyo bye baakola.

6:50

قُل لَّآ أَقُولُ لَكُمۡ عِندِي خَزَآئِنُ ٱللَّهِ وَلَآ أَعۡلَمُ ٱلۡغَيۡبَ وَلَآ أَقُولُ لَكُمۡ إِنِّي مَلَكٌۖ إِنۡ أَتَّبِعُ إِلَّا مَا يُوحَىٰٓ إِلَيَّۚ قُلۡ هَلۡ يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُۚ أَفَلَا تَتَفَكَّرُونَ ﴿50﴾

Gamba ggwe (Nabbi Muhammad nti) si bagamba nti nze nnina amawanika ga Katonda, wadde okubagamba nti manyi e byekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kyengoberera okugyako obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe nooyo alaba benkana, abaffe temufumiitiriza.

6:51

وَأَنذِرۡ بِهِ ٱلَّذِينَ يَخَافُونَ أَن يُحۡشَرُوٓاْ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ لَيۡسَ لَهُم مِّن دُونِهِۦ وَلِيّٞ وَلَا شَفِيعٞ لَّعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ ﴿51﴾

Tiisa nayo (Kur’ani) abo abatya okuzuukizibwa ne bazzibwa eri Mukama omulabirizi waabwe, nga oggyeko yye, tebalina wa mukwano ffa nfe wadde omuwolereza. Olwo nno balyoke babeere mu batya Katonda.

6:52

وَلَا تَطۡرُدِ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ رَبَّهُم بِٱلۡغَدَوٰةِ وَٱلۡعَشِيِّ يُرِيدُونَ وَجۡهَهُۥۖ مَا عَلَيۡكَ مِنۡ حِسَابِهِم مِّن شَيۡءٖ وَمَا مِنۡ حِسَابِكَ عَلَيۡهِم مِّن شَيۡءٖ فَتَطۡرُدَهُمۡ فَتَكُونَ مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿52﴾

Togobanga abo abasinza Mukama omulabirizi waabwe e nkya ne ggulo nga bakikola ku lulwe, e bibavunaanibwa tewali na kimu kikubanjibwa,nga naawe e bikuvunaanibwa tewali kye babanjibwa, olyoke obagobaganye, ekijja okukuteeka mu beeyisa obubi.

6:53

وَكَذَٰلِكَ فَتَنَّا بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لِّيَقُولُوٓاْ أَهَـٰٓؤُلَآءِ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مِّنۢ بَيۡنِنَآۗ أَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِأَعۡلَمَ بِٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿53﴾

Mu ngeri yeemu abantu twabagezesa nga tukozesa bannaabwe (abamu netubafuula abagagga abalala baavu, abamu) nebatuuka okugamba nti abo mu ffe fenna Katonda beyasalawo okugonnomolako e kyengera (e kyobukkiriza), (naye okutuuka okwogera e kyo tebamanyi nti) bulijjo Katonda amanyi nnyo e bikwata ku baddu abeebaza.

6:54

وَإِذَا جَآءَكَ ٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِـَٔايَٰتِنَا فَقُلۡ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡۖ كَتَبَ رَبُّكُمۡ عَلَىٰ نَفۡسِهِ ٱلرَّحۡمَةَ أَنَّهُۥ مَنۡ عَمِلَ مِنكُمۡ سُوٓءَۢا بِجَهَٰلَةٖ ثُمَّ تَابَ مِنۢ بَعۡدِهِۦ وَأَصۡلَحَ فَأَنَّهُۥ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿54﴾

Bwebajja gyoli abo abakkiriza e bigambo bya ffe, gamba nti emirembe gibeere ku mmwe, Mukama omulabirizi wa mmwe yeekakasaako okusaasira, nekiba nti oyo yenna mu mmwe akola ekibi mu butamanya oluvanyuma lwakyo ne yeenenya, era n’akola e mirimu e mirungi, mazima bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.

6:55

وَكَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ وَلِتَسۡتَبِينَ سَبِيلُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿55﴾

Bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo byaffe kisobozese e kkubo lya boonoonyi okweyoleka.

6:56

قُلۡ إِنِّي نُهِيتُ أَنۡ أَعۡبُدَ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ قُل لَّآ أَتَّبِعُ أَهۡوَآءَكُمۡ قَدۡ ضَلَلۡتُ إِذٗا وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿56﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) mazima nze naganibwa okusinza e byo bye musaba nemuleka Katonda omu, gamba nti sijja kugoberera kwagala kwa mmwe, anti bwenakikola njakuba mbuze, era sijja kubeera mu balungamu.

6:57

قُلۡ إِنِّي عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَكَذَّبۡتُم بِهِۦۚ مَا عِندِي مَا تَسۡتَعۡجِلُونَ بِهِۦٓۚ إِنِ ٱلۡحُكۡمُ إِلَّا لِلَّهِۖ يَقُصُّ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡفَٰصِلِينَ ﴿57﴾

Gamba nti mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama omulabirizi wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e kyebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okugyako wa Katonda, byonna byayogera mazima, era bulijjo yaasinga abalamuzi bonna.

6:58

قُل لَّوۡ أَنَّ عِندِي مَا تَسۡتَعۡجِلُونَ بِهِۦ لَقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۗ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿58﴾

Singa nze nnina kye mwagala kijje mangu (kyandizze) e nsonga wakati wange nammwe neggwa, era bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi.