quranm◉

Hizb 14

Range
from 6:59 to 6:126
Surahs covered
Okuvvuunula
68 Okuvvuunula

◉

6:59

وَعِندَهُۥ مَفَاتِحُ ٱلۡغَيۡبِ لَا يَعۡلَمُهَآ إِلَّا هُوَۚ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۚ وَمَا تَسۡقُطُ مِن وَرَقَةٍ إِلَّا يَعۡلَمُهَا وَلَا حَبَّةٖ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡأَرۡضِ وَلَا رَطۡبٖ وَلَا يَابِسٍ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿59﴾

Era yye y'alina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi e biri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde e kibisi oba e kikalu kyonna okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu.

6:60

وَهُوَ ٱلَّذِي يَتَوَفَّىٰكُم بِٱلَّيۡلِ وَيَعۡلَمُ مَا جَرَحۡتُم بِٱلنَّهَارِ ثُمَّ يَبۡعَثُكُمۡ فِيهِ لِيُقۡضَىٰٓ أَجَلٞ مُّسَمّٗىۖ ثُمَّ إِلَيۡهِ مَرۡجِعُكُمۡ ثُمَّ يُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿60﴾

Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga.

6:61

وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۖ وَيُرۡسِلُ عَلَيۡكُمۡ حَفَظَةً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ تَوَفَّتۡهُ رُسُلُنَا وَهُمۡ لَا يُفَرِّطُونَ ﴿61﴾

Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.

6:62

ثُمَّ رُدُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ مَوۡلَىٰهُمُ ٱلۡحَقِّۚ أَلَا لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَهُوَ أَسۡرَعُ ٱلۡحَٰسِبِينَ ﴿62﴾

Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna.

6:63

قُلۡ مَن يُنَجِّيكُم مِّن ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ تَدۡعُونَهُۥ تَضَرُّعٗا وَخُفۡيَةٗ لَّئِنۡ أَنجَىٰنَا مِنۡ هَٰذِهِۦ لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿63﴾

Gamba ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, nemuba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama nemutuuka n'okugamba nti singa (gwetusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza.

6:64

قُلِ ٱللَّهُ يُنَجِّيكُم مِّنۡهَا وَمِن كُلِّ كَرۡبٖ ثُمَّ أَنتُمۡ تُشۡرِكُونَ ﴿64﴾

(Tebayinza kumufuna n’olwekyo) gamba nti Katonda yajja okubibawonya, na mu buli kizibu kyonna. E kyo bwe kiggwa ate nemugatta ku Katonda e bintu e birala.

6:65

قُلۡ هُوَ ٱلۡقَادِرُ عَلَىٰٓ أَن يَبۡعَثَ عَلَيۡكُمۡ عَذَابٗا مِّن فَوۡقِكُمۡ أَوۡ مِن تَحۡتِ أَرۡجُلِكُمۡ أَوۡ يَلۡبِسَكُمۡ شِيَعٗا وَيُذِيقَ بَعۡضَكُم بَأۡسَ بَعۡضٍۗ ٱنظُرۡ كَيۡفَ نُصَرِّفُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَفۡقَهُونَ ﴿65﴾

Gamba nti yye (Katonda) yaasobola okubasindikira e kibonerezo kyonna, nga kiva wa ggulu ne wansi w'ebigere bya mmwe, n’abafuula e bibinja e byenjawulo n’akombesa abamu mu mmwe ku bukaawu bwa bannaabwe. Weetegereze engeri gyetunnyonnyolamu e bigambo balyoke babe nga bategeera.

6:66

وَكَذَّبَ بِهِۦ قَوۡمُكَ وَهُوَ ٱلۡحَقُّۚ قُل لَّسۡتُ عَلَيۡكُم بِوَكِيلٖ ﴿66﴾

(Kur’ani) abantu bo bagirimbisa, ate nga ddala yo mazima meereere, bagambe nti n’olwekyo si nze mbasalirawo.

6:67

لِّكُلِّ نَبَإٖ مُّسۡتَقَرّٞۚ وَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿67﴾

Buli kintu kibaako e kkomo, (nakino) bwe kirituuka mugenda kumanyira ddala.

6:68

وَإِذَا رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ يَخُوضُونَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ يَخُوضُواْ فِي حَدِيثٍ غَيۡرِهِۦۚ وَإِمَّا يُنسِيَنَّكَ ٱلشَّيۡطَٰنُ فَلَا تَقۡعُدۡ بَعۡدَ ٱلذِّكۡرَىٰ مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿68﴾

Era bwolabanga abo abakinaggukira mu bigambo byaffe, baviire, okutuusa lwe banaayingira mu mboozi e ndala, singa Sitane akwerabiza (n'obeerawo) wonna wojjukirira togenda mu maaso ng’otuula n’abantu abeeyisa obubi.

6:69

وَمَا عَلَى ٱلَّذِينَ يَتَّقُونَ مِنۡ حِسَابِهِم مِّن شَيۡءٖ وَلَٰكِن ذِكۡرَىٰ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ ﴿69﴾

Era abo abatya Katonda tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna kikwata ku bantu abo, (wabula omulimu gwabwe) kubuulirira oba olyawo balyoke batye Katonda.

6:70

وَذَرِ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ دِينَهُمۡ لَعِبٗا وَلَهۡوٗا وَغَرَّتۡهُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَاۚ وَذَكِّرۡ بِهِۦٓ أَن تُبۡسَلَ نَفۡسُۢ بِمَا كَسَبَتۡ لَيۡسَ لَهَا مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٞ وَلَا شَفِيعٞ وَإِن تَعۡدِلۡ كُلَّ عَدۡلٖ لَّا يُؤۡخَذۡ مِنۡهَآۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ أُبۡسِلُواْ بِمَا كَسَبُواْۖ لَهُمۡ شَرَابٞ مِّنۡ حَمِيمٖ وَعَذَابٌ أَلِيمُۢ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿70﴾

Vva kwabo abaafuula e ddiini yaabwe e kintu e kyomuzannyo era e kyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kur’ani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye yakola, tegulina nga oggyeko Katonda, w’amukwano wadde omuwolereza, nebweguliwaayo e nnunuzi e faanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gyeguli, abo beebo abaazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa e byokunywa e by’olweje, era balissibwako e bibonerezo e biruma ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga.

6:71

قُلۡ أَنَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُنَا وَلَا يَضُرُّنَا وَنُرَدُّ عَلَىٰٓ أَعۡقَابِنَا بَعۡدَ إِذۡ هَدَىٰنَا ٱللَّهُ كَٱلَّذِي ٱسۡتَهۡوَتۡهُ ٱلشَّيَٰطِينُ فِي ٱلۡأَرۡضِ حَيۡرَانَ لَهُۥٓ أَصۡحَٰبٞ يَدۡعُونَهُۥٓ إِلَى ٱلۡهُدَى ٱئۡتِنَاۗ قُلۡ إِنَّ هُدَى ٱللَّهِ هُوَ ٱلۡهُدَىٰۖ وَأُمِرۡنَا لِنُسۡلِمَ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿71﴾

Gamba nti, tuleke Katonda tusinze e byo e bitatugasa! era e bitayinza kukutusaako kabi! tutambuzibwe e kyenyumanyuma oluvanyuma lwa Katonda okutulungamya! tufaanane nga oyo Sitane gwezibuza mu nsi, n’asoberwa naaba mu masangazira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obulungamu, (nga bagamba nti) jangu eno (ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okulungamya kwa Katonda, bwe bulungamu bwokka, era twalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.

6:72

وَأَنۡ أَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَٱتَّقُوهُۚ وَهُوَ ٱلَّذِيٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿72﴾

(Era twalagirwa nti) muyimirizeewo e sswala era mutye Katonda era yye yooyo, gyali gyemulikunganyizibwa.

6:73

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۖ وَيَوۡمَ يَقُولُ كُن فَيَكُونُۚ قَوۡلُهُ ٱلۡحَقُّۚ وَلَهُ ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿73﴾

Era yye yooyo, eyakola e ggulu omusanvu n'ensi nga byebyo bye nnyini, era obufuzi buliba bubwe olunaku e ngombe lwelifuyibwa, omumanyi w’ebyekusifu n'ebirabikako, era yye ye mugoba nsonga, omumanyi ennyo.

6:74

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ لِأَبِيهِ ءَازَرَ أَتَتَّخِذُ أَصۡنَامًا ءَالِهَةً إِنِّيٓ أَرَىٰكَ وَقَوۡمَكَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿74﴾

Era jjukira Ibrahim bweyagamba kitaawe Azara nti: amasanamu gofuula Katonda! mazima nze nkulaba n’abantubo nga muli mu bubuze obweyolefu.

6:75

وَكَذَٰلِكَ نُرِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ مَلَكُوتَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلِيَكُونَ مِنَ ٱلۡمُوقِنِينَ ﴿75﴾

Mu ngeri y’emu twalaga Ibrahim ebiri mu bwengula ne nsi (nengeri namateeka kwebitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu bukkiriza.

6:76

فَلَمَّا جَنَّ عَلَيۡهِ ٱلَّيۡلُ رَءَا كَوۡكَبٗاۖ قَالَ هَٰذَا رَبِّيۖ فَلَمَّآ أَفَلَ قَالَ لَآ أُحِبُّ ٱلۡأٓفِلِينَ ﴿76﴾

Ekiro bwe kyamubikka, yalaba e munyenye naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, e munyenye bweyabula (Ibrahim) naagamba nti nze saagala ba katonda babulawo.

6:77

فَلَمَّا رَءَا ٱلۡقَمَرَ بَازِغٗا قَالَ هَٰذَا رَبِّيۖ فَلَمَّآ أَفَلَ قَالَ لَئِن لَّمۡ يَهۡدِنِي رَبِّي لَأَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلضَّآلِّينَ ﴿77﴾

Bweyalaba omwezi nga gwetadde naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, omwezi bwe gwabula (Ibrahim) naagamba nti Mukama omulabirizi wange bwatannungamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze.

6:78

فَلَمَّا رَءَا ٱلشَّمۡسَ بَازِغَةٗ قَالَ هَٰذَا رَبِّي هَٰذَآ أَكۡبَرُۖ فَلَمَّآ أَفَلَتۡ قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُشۡرِكُونَ ﴿78﴾

Ate nno bweyalaba nga e njuba evuddeyo naagamba nti: ono ye Mukama omulabirizi wange, ono ye munene ddala, (Enjuba) bweyagwa naagamba nti abange abantu bange nze e byokugatta ku Katonda e bintu e birala si biriimu.

6:79

إِنِّي وَجَّهۡتُ وَجۡهِيَ لِلَّذِي فَطَرَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ حَنِيفٗاۖ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿79﴾

Mazima nze njolekezza e kyenyi kyange eri oyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala.

6:80

وَحَآجَّهُۥ قَوۡمُهُۥۚ قَالَ أَتُحَـٰٓجُّوٓنِّي فِي ٱللَّهِ وَقَدۡ هَدَىٰنِۚ وَلَآ أَخَافُ مَا تُشۡرِكُونَ بِهِۦٓ إِلَّآ أَن يَشَآءَ رَبِّي شَيۡـٔٗاۚ وَسِعَ رَبِّي كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمًاۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ ﴿80﴾

Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira.

6:81

وَكَيۡفَ أَخَافُ مَآ أَشۡرَكۡتُمۡ وَلَا تَخَافُونَ أَنَّكُمۡ أَشۡرَكۡتُم بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ عَلَيۡكُمۡ سُلۡطَٰنٗاۚ فَأَيُّ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ أَحَقُّ بِٱلۡأَمۡنِۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿81﴾

Nyinza ntya okutya e byo bye mugatta ku Katonda, nga ate mmwe temutya kugatta ku Katonda bintu birala bya tabassizangako bujulizi. ku bibinja byombi (ffe nammwe) kiriwa e kisaanidde okulowooza nti kiri mirembe bwe muba nga mumanyi.

6:82

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَمۡ يَلۡبِسُوٓاْ إِيمَٰنَهُم بِظُلۡمٍ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلۡأَمۡنُ وَهُم مُّهۡتَدُونَ ﴿82﴾

(E kituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula kweyisa bubi (Shirik), mu bukkiriza bwabwe, abo nno be balina e mirembe era abo be baalungamizibwa.

6:83

وَتِلۡكَ حُجَّتُنَآ ءَاتَيۡنَٰهَآ إِبۡرَٰهِيمَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦۚ نَرۡفَعُ دَرَجَٰتٖ مَّن نَّشَآءُۗ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿83﴾

Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo.

6:84

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۚ كُلًّا هَدَيۡنَاۚ وَنُوحًا هَدَيۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَمِن ذُرِّيَّتِهِۦ دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ وَأَيُّوبَ وَيُوسُفَ وَمُوسَىٰ وَهَٰرُونَۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿84﴾

Era twamugabira (Ibrahim) Ishak ne Yakub, bombi twabalungamya nga n’okusooka twalungamya Nuhu, ne mu zadderye twalungamya Dauda ne Sulaiman ne Ayub ne Yusuf ne Musa ne Haruna, na bwekityo nno bwe tusasula abalongoofu.

6:85

وَزَكَرِيَّا وَيَحۡيَىٰ وَعِيسَىٰ وَإِلۡيَاسَۖ كُلّٞ مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿85﴾

Ne Zakariya ne Yahya ne Isa ne Eliasi, buli omu kwabo wa mu bakozi b’emirimu e mirungi.

6:86

وَإِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَيُونُسَ وَلُوطٗاۚ وَكُلّٗا فَضَّلۡنَا عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿86﴾

Ne Ismail ne Iriyasa-a ne Yunus ne Luutu, buli omu ku bo twamusukkulumya ku bantu abalala.

6:87

وَمِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡ وَإِخۡوَٰنِهِمۡۖ وَٱجۡتَبَيۡنَٰهُمۡ وَهَدَيۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿87﴾

Era (twalungamya abantu abalala) nga bava mu bakadde baabo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era netubafuula ab'enjawulo, era netubalungamya ku kubo e ggolokofu.

6:88

ذَٰلِكَ هُدَى ٱللَّهِ يَهۡدِي بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَلَوۡ أَشۡرَكُواْ لَحَبِطَ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿88﴾

Okwo kwe kulungamya kwa Katonda, alungamya na kwo oyo gwaba ayagadde mu baddube, naye singa baagatta e kintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa e byo bye baali bakola.

6:89

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَۚ فَإِن يَكۡفُرۡ بِهَا هَـٰٓؤُلَآءِ فَقَدۡ وَكَّلۡنَا بِهَا قَوۡمٗا لَّيۡسُواْ بِهَا بِكَٰفِرِينَ ﴿89﴾

Abo beebo be twawa e kitabo n’obufuzi n’obwa Nabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya e bintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya.

6:90

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ هَدَى ٱللَّهُۖ فَبِهُدَىٰهُمُ ٱقۡتَدِهۡۗ قُل لَّآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ أَجۡرًاۖ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰلَمِينَ ﴿90﴾

Abo beebo Katonda be yalungamya, obulungamu bwabwe bwoteekwa okugoberera, ogambe nti, (kyenkola) si kibasabirako mpeera kyenkola, tekiri kyo (kintu kirala kyonna) okugyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna.

6:91

وَمَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓ إِذۡ قَالُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَىٰ بَشَرٖ مِّن شَيۡءٖۗ قُلۡ مَنۡ أَنزَلَ ٱلۡكِتَٰبَ ٱلَّذِي جَآءَ بِهِۦ مُوسَىٰ نُورٗا وَهُدٗى لِّلنَّاسِۖ تَجۡعَلُونَهُۥ قَرَاطِيسَ تُبۡدُونَهَا وَتُخۡفُونَ كَثِيرٗاۖ وَعُلِّمۡتُم مَّا لَمۡ تَعۡلَمُوٓاْ أَنتُمۡ وَلَآ ءَابَآؤُكُمۡۖ قُلِ ٱللَّهُۖ ثُمَّ ذَرۡهُمۡ فِي خَوۡضِهِمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿91﴾

(Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya.

6:92

وَهَٰذَا كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ مُبَارَكٞ مُّصَدِّقُ ٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَلِتُنذِرَ أُمَّ ٱلۡقُرَىٰ وَمَنۡ حَوۡلَهَاۚ وَٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۖ وَهُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ يُحَافِظُونَ ﴿92﴾

Kura’ni eno kitabo twakissa nga kya mukisa, nga kikakasa e byo e byakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), maama w'ebibuga, n'abantu bo'mu bitundu e bikyetoolodde. Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza e kitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri.

6:93

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ قَالَ أُوحِيَ إِلَيَّ وَلَمۡ يُوحَ إِلَيۡهِ شَيۡءٞ وَمَن قَالَ سَأُنزِلُ مِثۡلَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي غَمَرَٰتِ ٱلۡمَوۡتِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَاسِطُوٓاْ أَيۡدِيهِمۡ أَخۡرِجُوٓاْ أَنفُسَكُمُۖ ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَكُنتُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهِۦ تَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿93﴾

Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.

6:94

وَلَقَدۡ جِئۡتُمُونَا فُرَٰدَىٰ كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٖ وَتَرَكۡتُم مَّا خَوَّلۡنَٰكُمۡ وَرَآءَ ظُهُورِكُمۡۖ وَمَا نَرَىٰ مَعَكُمۡ شُفَعَآءَكُمُ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُمۡ أَنَّهُمۡ فِيكُمۡ شُرَكَـٰٓؤُاْۚ لَقَد تَّقَطَّعَ بَيۡنَكُمۡ وَضَلَّ عَنكُم مَّا كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ ﴿94﴾

Mutujjidde omu omu, nga bwe twabatonda mu kusooka, byonna bye twabawa mubirese mabega wa mmwe, era tulaba bwe muzze temuleese bawolereza ba mmwe, abo be mwawozanga, nti mazima bo ne Katonda bakolera wamu ku mmwe, e nkolagana ekutuseewo wakati wa mmwe nebababulako abo be mwali mulowooza nti b’akubawolereza.

6:95

إِنَّ ٱللَّهَ فَالِقُ ٱلۡحَبِّ وَٱلنَّوَىٰۖ يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَمُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتِ مِنَ ٱلۡحَيِّۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿95﴾

Mazima Katonda y’ayasa e mpeke n’omuwula (ameza e bimera) aggya e kiramu mu kifu era yagya e kifu mu kiramu oyo nno ye Katonda wa mmwe. Ate muwugulwa mutya.

6:96

فَالِقُ ٱلۡإِصۡبَاحِ وَجَعَلَ ٱلَّيۡلَ سَكَنٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ حُسۡبَانٗاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿96﴾

(Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.

6:97

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلنُّجُومَ لِتَهۡتَدُواْ بِهَا فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿97﴾

Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.

6:98

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ فَمُسۡتَقَرّٞ وَمُسۡتَوۡدَعٞۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَفۡقَهُونَ ﴿98﴾

Era ye yooyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa ba maama ba mmwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde e bigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera.

6:99

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ نَبَاتَ كُلِّ شَيۡءٖ فَأَخۡرَجۡنَا مِنۡهُ خَضِرٗا نُّخۡرِجُ مِنۡهُ حَبّٗا مُّتَرَاكِبٗا وَمِنَ ٱلنَّخۡلِ مِن طَلۡعِهَا قِنۡوَانٞ دَانِيَةٞ وَجَنَّـٰتٖ مِّنۡ أَعۡنَابٖ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلرُّمَّانَ مُشۡتَبِهٗا وَغَيۡرَ مُتَشَٰبِهٍۗ ٱنظُرُوٓاْ إِلَىٰ ثَمَرِهِۦٓ إِذَآ أَثۡمَرَ وَيَنۡعِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكُمۡ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿99﴾

Era yye yooyo atonnyesa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, netumeza nago e bimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo e bya kiragala, nga tuggya mu byo e mpeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina e birimba e bireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’e za zaitun ne nkomamawanga, e bifaanagana n'ebitafaanagana, tunuulira e bibala bya byo bwebiba bissizza n'okwengera kwabyo mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.

6:100

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ ٱلۡجِنَّ وَخَلَقَهُمۡۖ وَخَرَقُواْ لَهُۥ بَنِينَ وَبَنَٰتِۭ بِغَيۡرِ عِلۡمٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿100﴾

Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera.

6:101

بَدِيعُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُۥ وَلَدٞ وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ صَٰحِبَةٞۖ وَخَلَقَ كُلَّ شَيۡءٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿101﴾

(Yye Katonda) ye w’eggulu n’ensi nga tewali kyarabirako, ayinza atya okubeera n’omwana ate nga talina mukyala! era nga ye yatonda buli kintu era nga yye (Katonda) ku buli kintu mumanyi.

6:102

ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ فَٱعۡبُدُوهُۚ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ وَكِيلٞ ﴿102﴾

Oyo nno ye Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno ggwe mubamusinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu.

6:103

لَّا تُدۡرِكُهُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَهُوَ يُدۡرِكُ ٱلۡأَبۡصَٰرَۖ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿103﴾

Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka.

6:104

قَدۡ جَآءَكُم بَصَآئِرُ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَنۡ أَبۡصَرَ فَلِنَفۡسِهِۦۖ وَمَنۡ عَمِيَ فَعَلَيۡهَاۚ وَمَآ أَنَا۠ عَلَيۡكُم بِحَفِيظٖ ﴿104﴾

Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, omuntu anaalaba anaaba ye yambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri wa kuddaawo kubalunda.

6:105

وَكَذَٰلِكَ نُصَرِّفُ ٱلۡأٓيَٰتِ وَلِيَقُولُواْ دَرَسۡتَ وَلِنُبَيِّنَهُۥ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿105﴾

Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo, batuuke n’okugamba nti (Muhammad) wasoma (ku ba Yudaaya okutuuka okumanya bino byonna) era tube nga tubinnyonnyola eri abantu abamanyi.

6:106

ٱتَّبِعۡ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ وَأَعۡرِضۡ عَنِ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿106﴾

(Ggwe Muhammad ky’oba okola) goberera e byo e bissibwa gyoli nga biva ewa Mukama omulabirizi wo, tewali kintu kyonna kirina kusinzibwa okugyako ye, era weesambe abagatta e bintu e birala ku Katonda.

6:107

وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَآ أَشۡرَكُواْۗ وَمَا جَعَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ حَفِيظٗاۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِوَكِيلٖ ﴿107﴾

Singa Katonda yayagala tebandimugasseeko bintu birala, era tetukussangawo obe kalondoozi ku bo, era ggwe toyinza kuba avunaanyizibwa ku nsonga zaabwe.

6:108

وَلَا تَسُبُّواْ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ فَيَسُبُّواْ ٱللَّهَ عَدۡوَۢا بِغَيۡرِ عِلۡمٖۗ كَذَٰلِكَ زَيَّنَّا لِكُلِّ أُمَّةٍ عَمَلَهُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِم مَّرۡجِعُهُمۡ فَيُنَبِّئُهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿108﴾

Temuvumanga ebyo bye basaba ne balekawo Katonda, mu kwesasuza olw'obutamanya bwabwe bajja kuvuma Katonda, bwetutyo nno buli bantu twabawa okulaba e byabwe nga bye bisinga obulungi, oluvanyuma ewa Mukama omulabirizi waabwe yeeri obuddo bwa bwe, olwo nno n’abategeeza byonna bye baakolanga.

6:109

وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَئِن جَآءَتۡهُمۡ ءَايَةٞ لَّيُؤۡمِنُنَّ بِهَاۚ قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡأٓيَٰتُ عِندَ ٱللَّهِۖ وَمَا يُشۡعِرُكُمۡ أَنَّهَآ إِذَا جَآءَتۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿109﴾

Era balayira Katonda ne bakkaatiriza e birayiro bya bwe, ne bagamba nti singa bajjirwa e kyamagero kyonna baalikikkirizza, bagambe: e byamagero byonna bya Katonda, naye mumanyira ku ki nti mazima singa e ky’amagero kijja tebajja kukkiriza.

6:110

وَنُقَلِّبُ أَفۡـِٔدَتَهُمۡ وَأَبۡصَٰرَهُمۡ كَمَا لَمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهِۦٓ أَوَّلَ مَرَّةٖ وَنَذَرُهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ﴿110﴾

Tugenda kukyusa e mitima gyabwe n'okulaba kwabwe nga nabo bwe batakkiriza (Kur’ani) mu kusooka era tubaleke mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.

6:111

وَلَوۡ أَنَّنَا نَزَّلۡنَآ إِلَيۡهِمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ وَكَلَّمَهُمُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَحَشَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ كُلَّ شَيۡءٖ قُبُلٗا مَّا كَانُواْ لِيُؤۡمِنُوٓاْ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ يَجۡهَلُونَ ﴿111﴾

Singa twabassiza ba Malayika , era abafu ne boogeranabo, ne tubakunganyiza buli kintu ne kibaawo, tebandikkirizza okugyako Katonda nga ayagadde wabula mazima ddala abasinga obungi mu bo tebategeera.

6:112

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا شَيَٰطِينَ ٱلۡإِنسِ وَٱلۡجِنِّ يُوحِي بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ زُخۡرُفَ ٱلۡقَوۡلِ غُرُورٗاۚ وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ مَا فَعَلُوهُۖ فَذَرۡهُمۡ وَمَا يَفۡتَرُونَ ﴿112﴾

(Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.

6:113

وَلِتَصۡغَىٰٓ إِلَيۡهِ أَفۡـِٔدَةُ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ وَلِيَرۡضَوۡهُ وَلِيَقۡتَرِفُواْ مَا هُم مُّقۡتَرِفُونَ ﴿113﴾

Era e mitima gy'abo abatakkiriza lunaku lw'enkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola e byo bye bakola.

6:114

أَفَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَبۡتَغِي حَكَمٗا وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ إِلَيۡكُمُ ٱلۡكِتَٰبَ مُفَصَّلٗاۚ وَٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَعۡلَمُونَ أَنَّهُۥ مُنَزَّلٞ مِّن رَّبِّكَ بِٱلۡحَقِّۖ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ ﴿114﴾

Nyinza okuleka Katonda nenfuna omulala ansalirawo! nga ate yye Katonda y'oyo eyassa gye muli e kitabo( kuran) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno betwawa e kitabo( Tawraat n'enjili) bamanyi mazima ddala kyassibwa nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeer mu babuusabuusa.

6:115

وَتَمَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ صِدۡقٗا وَعَدۡلٗاۚ لَّا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِهِۦۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿115﴾

E kigambo kya Mukama omulabirizi wo kituukiridde nga kyonna mazima na bwenkanya, tewali asobola kukyusa bigambo bye era bulijjo yye awulira era amanyi nnyo.

6:116

وَإِن تُطِعۡ أَكۡثَرَ مَن فِي ٱلۡأَرۡضِ يُضِلُّوكَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ ﴿116﴾

Singa on'ogondera abantu abasinga obungi mu nsi bajja kukubuza bakujje ku kkubo lya Katonda (byonna bye bakola temuli) okugyako okuba nti bateebereza, kye bakola tekiri okugyako kuteeba buteebi.

6:117

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ مَن يَضِلُّ عَن سَبِيلِهِۦۖ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿117﴾

Mazima Mukama omulabirizi wo y'asinga okutegeera oyo eyabula ne ava ku kkubo lye, era nga bwali nti yaasinga okutegeera ebikwata ku balungama.

6:118

فَكُلُواْ مِمَّا ذُكِرَ ٱسۡمُ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ إِن كُنتُم بِـَٔايَٰتِهِۦ مُؤۡمِنِينَ ﴿118﴾

Kale nno mulye e byo e biba byogereddwa ku byo e rinnya lya Katonda, bwe muba nga mukkiriza e bigambo bye.

6:119

وَمَا لَكُمۡ أَلَّا تَأۡكُلُواْ مِمَّا ذُكِرَ ٱسۡمُ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ وَقَدۡ فَصَّلَ لَكُم مَّا حَرَّمَ عَلَيۡكُمۡ إِلَّا مَا ٱضۡطُرِرۡتُمۡ إِلَيۡهِۗ وَإِنَّ كَثِيرٗا لَّيُضِلُّونَ بِأَهۡوَآئِهِم بِغَيۡرِ عِلۡمٍۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُعۡتَدِينَ ﴿119﴾

Ate muyinza mutya obutalya e byo e byogereddwako e rinnya lya Katonda nga mazima yabannyonnyola e byo bye yaziyiza ku mmwe, mpozzi e kyo kye muba mukoze olwo buwaze, naye ate mazima ddala abantu bangi babuza (abalala) nga bagoberera okwagala kwa bwe okutaliimu kwesigama ku kumanya, mazima bulijjo Mukama omulabiriziwo amanyi nnyo e bikwata ku basukka e nsaloze.

6:120

وَذَرُواْ ظَٰهِرَ ٱلۡإِثۡمِ وَبَاطِنَهُۥٓۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡسِبُونَ ٱلۡإِثۡمَ سَيُجۡزَوۡنَ بِمَا كَانُواْ يَقۡتَرِفُونَ ﴿120﴾

Muve ku bibi e byomulwatu ne byo'mukyama, mazima ddala abo abakola e bibi bajja kusasulwa ku lwebyo bye baakolanga.

6:121

وَلَا تَأۡكُلُواْ مِمَّا لَمۡ يُذۡكَرِ ٱسۡمُ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ وَإِنَّهُۥ لَفِسۡقٞۗ وَإِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ لَيُوحُونَ إِلَىٰٓ أَوۡلِيَآئِهِمۡ لِيُجَٰدِلُوكُمۡۖ وَإِنۡ أَطَعۡتُمُوهُمۡ إِنَّكُمۡ لَمُشۡرِكُونَ ﴿121﴾

Temulyanga e byo e bitayogereddwaako linnya lya Katonda mazima ddala okukola e kyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitane ziwa mikwano gyaazo e bigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda e bintu e birala.

6:122

أَوَمَن كَانَ مَيۡتٗا فَأَحۡيَيۡنَٰهُ وَجَعَلۡنَا لَهُۥ نُورٗا يَمۡشِي بِهِۦ فِي ٱلنَّاسِ كَمَن مَّثَلُهُۥ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ لَيۡسَ بِخَارِجٖ مِّنۡهَاۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلۡكَٰفِرِينَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿122﴾

Omuntu eyali omufu netumuwa obulamu, netumuwa e kitangaala kyakozesa nga atambula mu bantu, ayinza okufaanana ng’oyo ali mu bizikiza byatasobola kufulumamu. Na bwekityo abakaafiiri balaba nga bye bakola nga bye bisinga obulungi.

6:123

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٍ أَكَٰبِرَ مُجۡرِمِيهَا لِيَمۡكُرُواْ فِيهَاۖ وَمَا يَمۡكُرُونَ إِلَّا بِأَنفُسِهِمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿123﴾

Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi.

6:124

وَإِذَا جَآءَتۡهُمۡ ءَايَةٞ قَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ حَتَّىٰ نُؤۡتَىٰ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ رُسُلُ ٱللَّهِۘ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ حَيۡثُ يَجۡعَلُ رِسَالَتَهُۥۗ سَيُصِيبُ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ صَغَارٌ عِندَ ٱللَّهِ وَعَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا كَانُواْ يَمۡكُرُونَ ﴿124﴾

Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu.

6:125

فَمَن يُرِدِ ٱللَّهُ أَن يَهۡدِيَهُۥ يَشۡرَحۡ صَدۡرَهُۥ لِلۡإِسۡلَٰمِۖ وَمَن يُرِدۡ أَن يُضِلَّهُۥ يَجۡعَلۡ صَدۡرَهُۥ ضَيِّقًا حَرَجٗا كَأَنَّمَا يَصَّعَّدُ فِي ٱلسَّمَآءِۚ كَذَٰلِكَ يَجۡعَلُ ٱللَّهُ ٱلرِّجۡسَ عَلَى ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿125﴾

So nno omuntu Katonda gwaba ayagadde okulungamya ayanjuluza e kifuba kye eri obusiramu, n'oyo gwaba ayagadde okubuza afunza e kifuba kye n'atuuka okuba nga tawulira bulungi n’aba nga oyo agenda wa ggulu (space) bwatyo Katonda bwassa e kibonerezo kwabo abatakkiriza.

6:126

وَهَٰذَا صِرَٰطُ رَبِّكَ مُسۡتَقِيمٗاۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ ﴿126﴾

Lino lye kkubo lya Mukama omulabirizi wo e ggolokofu, mazima e bigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira.