quranm◉

Hizb 27

Range
from 15:50 to 16:74
Surahs covered
Okuvvuunula
124 Okuvvuunula

◉

15:50

وَأَنَّ عَذَابِي هُوَ ٱلۡعَذَابُ ٱلۡأَلِيمُ ﴿50﴾

Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo.

15:51

وَنَبِّئۡهُمۡ عَن ضَيۡفِ إِبۡرَٰهِيمَ ﴿51﴾

Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim.

15:52

إِذۡ دَخَلُواْ عَلَيۡهِ فَقَالُواْ سَلَٰمٗا قَالَ إِنَّا مِنكُمۡ وَجِلُونَ ﴿52﴾

Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde.

15:53

قَالُواْ لَا تَوۡجَلۡ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٖ ﴿53﴾

Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo.

15:54

قَالَ أَبَشَّرۡتُمُونِي عَلَىٰٓ أَن مَّسَّنِيَ ٱلۡكِبَرُ فَبِمَ تُبَشِّرُونَ ﴿54﴾

(Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki?.

15:55

قَالُواْ بَشَّرۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ فَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡقَٰنِطِينَ ﴿55﴾

Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira.

15:56

قَالَ وَمَن يَقۡنَطُ مِن رَّحۡمَةِ رَبِّهِۦٓ إِلَّا ٱلضَّآلُّونَ ﴿56﴾

Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze!.

15:57

قَالَ فَمَا خَطۡبُكُمۡ أَيُّهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿57﴾

Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa?.

15:58

قَالُوٓاْ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمٖ مُّجۡرِمِينَ ﴿58﴾

Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi.

15:59

إِلَّآ ءَالَ لُوطٍ إِنَّا لَمُنَجُّوهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿59﴾

Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya.

15:60

إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ قَدَّرۡنَآ إِنَّهَا لَمِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ﴿60﴾

Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye).

15:61

فَلَمَّا جَآءَ ءَالَ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿61﴾

Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu.

15:62

قَالَ إِنَّكُمۡ قَوۡمٞ مُّنكَرُونَ ﴿62﴾

(Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa.

15:63

قَالُواْ بَلۡ جِئۡنَٰكَ بِمَا كَانُواْ فِيهِ يَمۡتَرُونَ ﴿63﴾

Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa.

15:64

وَأَتَيۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ ﴿64﴾

Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu.

15:65

فَأَسۡرِ بِأَهۡلِكَ بِقِطۡعٖ مِّنَ ٱلَّيۡلِ وَٱتَّبِعۡ أَدۡبَٰرَهُمۡ وَلَا يَلۡتَفِتۡ مِنكُمۡ أَحَدٞ وَٱمۡضُواْ حَيۡثُ تُؤۡمَرُونَ ﴿65﴾

Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa.

15:66

وَقَضَيۡنَآ إِلَيۡهِ ذَٰلِكَ ٱلۡأَمۡرَ أَنَّ دَابِرَ هَـٰٓؤُلَآءِ مَقۡطُوعٞ مُّصۡبِحِينَ ﴿66﴾

Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana.

15:67

وَجَآءَ أَهۡلُ ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡتَبۡشِرُونَ ﴿67﴾

Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo).

15:68

قَالَ إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ ضَيۡفِي فَلَا تَفۡضَحُونِ ﴿68﴾

(Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza.

15:69

وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُخۡزُونِ ﴿69﴾

Era mutye Katonda temunswaza.

15:70

قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ نَنۡهَكَ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿70﴾

Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu!.

15:71

قَالَ هَـٰٓؤُلَآءِ بَنَاتِيٓ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ ﴿71﴾

Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola.

15:72

لَعَمۡرُكَ إِنَّهُمۡ لَفِي سَكۡرَتِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ﴿72﴾

(Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe.

15:73

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُشۡرِقِينَ ﴿73﴾

Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo.

15:74

فَجَعَلۡنَا عَٰلِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ حِجَارَةٗ مِّن سِجِّيلٍ ﴿74﴾

(Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye.

15:75

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡمُتَوَسِّمِينَ ﴿75﴾

Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero.

15:76

وَإِنَّهَا لَبِسَبِيلٖ مُّقِيمٍ ﴿76﴾

Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba).

15:77

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿77﴾

Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza.

15:78

وَإِن كَانَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ لَظَٰلِمِينَ ﴿78﴾

Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi.

15:79

فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ وَإِنَّهُمَا لَبِإِمَامٖ مُّبِينٖ ﴿79﴾

Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo).

15:80

وَلَقَدۡ كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡحِجۡرِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿80﴾

Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh).

15:81

وَءَاتَيۡنَٰهُمۡ ءَايَٰتِنَا فَكَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ ﴿81﴾

Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako.

15:82

وَكَانُواْ يَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتًا ءَامِنِينَ ﴿82﴾

Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe.

15:83

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُصۡبِحِينَ ﴿83﴾

Okubwatuka nekubakwata nga bukya.

15:84

فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿84﴾

Ebyo bye baakolanga tebyabayamba.

15:85

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَإِنَّ ٱلسَّاعَةَ لَأٓتِيَةٞۖ فَٱصۡفَحِ ٱلصَّفۡحَ ٱلۡجَمِيلَ ﴿85﴾

Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi.

15:86

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ ٱلۡخَلَّـٰقُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿86﴾

Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo.

15:87

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ سَبۡعٗا مِّنَ ٱلۡمَثَانِي وَٱلۡقُرۡءَانَ ٱلۡعَظِيمَ ﴿87﴾

Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna).

15:88

لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿88﴾

Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.

15:89

وَقُلۡ إِنِّيٓ أَنَا ٱلنَّذِيرُ ٱلۡمُبِينُ ﴿89﴾

Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu.

15:90

كَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَى ٱلۡمُقۡتَسِمِينَ ﴿90﴾

Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda).

15:91

ٱلَّذِينَ جَعَلُواْ ٱلۡقُرۡءَانَ عِضِينَ ﴿91﴾

Abo abafuula Kur’ani ebiwayi.

15:92

فَوَرَبِّكَ لَنَسۡـَٔلَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿92﴾

Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala.

15:93

عَمَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿93﴾

Ku ebyo bye baakolanga.

15:94

فَٱصۡدَعۡ بِمَا تُؤۡمَرُ وَأَعۡرِضۡ عَنِ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿94﴾

Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala.

15:95

إِنَّا كَفَيۡنَٰكَ ٱلۡمُسۡتَهۡزِءِينَ ﴿95﴾

Mazima ffe twakumalira abajeeja.

15:96

ٱلَّذِينَ يَجۡعَلُونَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ﴿96﴾

Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya.

15:97

وَلَقَدۡ نَعۡلَمُ أَنَّكَ يَضِيقُ صَدۡرُكَ بِمَا يَقُولُونَ ﴿97﴾

Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera.

15:98

فَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ وَكُن مِّنَ ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿98﴾

(Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama.

15:99

وَٱعۡبُدۡ رَبَّكَ حَتَّىٰ يَأۡتِيَكَ ٱلۡيَقِينُ ﴿99﴾

Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira.

16:1

أَتَىٰٓ أَمۡرُ ٱللَّهِ فَلَا تَسۡتَعۡجِلُوهُۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿1﴾

Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako.

16:2

يُنَزِّلُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ بِٱلرُّوحِ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرُوٓاْ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱتَّقُونِ ﴿2﴾

Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye.

16:3

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ تَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿3﴾

Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.

16:4

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ ﴿4﴾

Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu.

16:5

وَٱلۡأَنۡعَٰمَ خَلَقَهَاۖ لَكُمۡ فِيهَا دِفۡءٞ وَمَنَٰفِعُ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ ﴿5﴾

N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya.

16:6

وَلَكُمۡ فِيهَا جَمَالٌ حِينَ تُرِيحُونَ وَحِينَ تَسۡرَحُونَ ﴿6﴾

Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale).

16:7

وَتَحۡمِلُ أَثۡقَالَكُمۡ إِلَىٰ بَلَدٖ لَّمۡ تَكُونُواْ بَٰلِغِيهِ إِلَّا بِشِقِّ ٱلۡأَنفُسِۚ إِنَّ رَبَّكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿7﴾

(Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa.

16:8

وَٱلۡخَيۡلَ وَٱلۡبِغَالَ وَٱلۡحَمِيرَ لِتَرۡكَبُوهَا وَزِينَةٗۚ وَيَخۡلُقُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿8﴾

Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi.

16:9

وَعَلَى ٱللَّهِ قَصۡدُ ٱلسَّبِيلِ وَمِنۡهَا جَآئِرٞۚ وَلَوۡ شَآءَ لَهَدَىٰكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿9﴾

Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza.

16:10

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗۖ لَّكُم مِّنۡهُ شَرَابٞ وَمِنۡهُ شَجَرٞ فِيهِ تُسِيمُونَ ﴿10﴾

Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe.

16:11

يُنۢبِتُ لَكُم بِهِ ٱلزَّرۡعَ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلنَّخِيلَ وَٱلۡأَعۡنَٰبَ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿11﴾

Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza.

16:12

وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ وَٱلنُّجُومُ مُسَخَّرَٰتُۢ بِأَمۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿12﴾

Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera.

16:13

وَمَا ذَرَأَ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهُۥٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ ﴿13﴾

N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya.

16:14

وَهُوَ ٱلَّذِي سَخَّرَ ٱلۡبَحۡرَ لِتَأۡكُلُواْ مِنۡهُ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُواْ مِنۡهُ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ مَوَاخِرَ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿14﴾

Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza.

16:15

وَأَلۡقَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمۡ وَأَنۡهَٰرٗا وَسُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿15﴾

Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama.

16:16

وَعَلَٰمَٰتٖۚ وَبِٱلنَّجۡمِ هُمۡ يَهۡتَدُونَ ﴿16﴾

Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga.

16:17

أَفَمَن يَخۡلُقُ كَمَن لَّا يَخۡلُقُۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ ﴿17﴾

Abange oyo atonda ayinza okuba nga atatonda! abaffe temujjukira.

16:18

وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿18﴾

Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

16:19

وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ ﴿19﴾

Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu.

16:20

وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَخۡلُقُونَ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ ﴿20﴾

Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebatonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa.

16:21

أَمۡوَٰتٌ غَيۡرُ أَحۡيَآءٖۖ وَمَا يَشۡعُرُونَ أَيَّانَ يُبۡعَثُونَ ﴿21﴾

(Bebasaba) bafu ssi balamu era tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa.

16:22

إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۚ فَٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ قُلُوبُهُم مُّنكِرَةٞ وَهُم مُّسۡتَكۡبِرُونَ ﴿22﴾

Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero emitima gyabwe gikiwakanya era nga bo beekuza.

16:23

لَا جَرَمَ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُسۡتَكۡبِرِينَ ﴿23﴾

Tewali kubuusabuusa mazima Katonda amanyi bye bakweka ne bye bakola mu lwatu, era mazima yye tayagala beekuza.

16:24

وَإِذَا قِيلَ لَهُم مَّاذَآ أَنزَلَ رَبُّكُمۡ قَالُوٓاْ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿24﴾

Bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti nfumo za baasooka.

16:25

لِيَحۡمِلُوٓاْ أَوۡزَارَهُمۡ كَامِلَةٗ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَمِنۡ أَوۡزَارِ ٱلَّذِينَ يُضِلُّونَهُم بِغَيۡرِ عِلۡمٍۗ أَلَا سَآءَ مَا يَزِرُونَ ﴿25﴾

Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kumanya, abange kibi kye beetikka.

16:26

قَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَى ٱللَّهُ بُنۡيَٰنَهُم مِّنَ ٱلۡقَوَاعِدِ فَخَرَّ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّقۡفُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿26﴾

Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira.

16:27

ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُخۡزِيهِمۡ وَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تُشَـٰٓقُّونَ فِيهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ إِنَّ ٱلۡخِزۡيَ ٱلۡيَوۡمَ وَٱلسُّوٓءَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿27﴾

Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri.

16:28

ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿28﴾

Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.

16:29

فَٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَلَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿29﴾

Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi.

16:30

وَقِيلَ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ مَاذَآ أَنزَلَ رَبُّكُمۡۚ قَالُواْ خَيۡرٗاۗ لِّلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٞۚ وَلَدَارُ ٱلۡأٓخِرَةِ خَيۡرٞۚ وَلَنِعۡمَ دَارُ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿30﴾

Abo abatya Katonda bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti bulungi bwereere, abo abakola obulungi mu nsi muno bateekwa kusasulwa bulungi ra e nyumba ey'enkomerero ye nnungi, era nga kyengera kinene okuba nga y’enyumba y'abatya Katonda.

16:31

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ لَهُمۡ فِيهَا مَا يَشَآءُونَۚ كَذَٰلِكَ يَجۡزِي ٱللَّهُ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿31﴾

E jjana ey'olubeerera gye baliyingira, nga emigga gikulukutira wansi waayo nga bali mu yo balifuna ebyo bye beetaaga. Bwatyo Katonda bwasasula abamutya.

16:32

ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ طَيِّبِينَ يَقُولُونَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمُ ٱدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿32﴾

Abo ba Malayika bebatusaako entuuko zaabwe nga balungi, nga bagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muyingire e jjana olw'ebyo bye mwakola.

16:33

هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ يَأۡتِيَ أَمۡرُ رَبِّكَۚ كَذَٰلِكَ فَعَلَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ وَمَا ظَلَمَهُمُ ٱللَّهُ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿33﴾

Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.

16:34

فَأَصَابَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿34﴾

Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola.

16:35

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ لَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا عَبَدۡنَا مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖ نَّحۡنُ وَلَآ ءَابَآؤُنَا وَلَا حَرَّمۡنَا مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖۚ كَذَٰلِكَ فَعَلَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ فَهَلۡ عَلَى ٱلرُّسُلِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿35﴾

Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala baagamba singa Katonda yayagala ffe wadde bakadde baffe tetwandisinzizza kintu kirala netulekayo yye, era tetwandizizizza kintu kyonna kyataaziza, mu ngeri y'emu abaaliwo oluberyeberye lwabwe baakola batyo, abaffe ababaka baali balina kye bavunaanyizibwa okugyako okutuukiriza obubaka mu ngeri ennyinyonnyofu.

16:36

وَلَقَدۡ بَعَثۡنَا فِي كُلِّ أُمَّةٖ رَّسُولًا أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱجۡتَنِبُواْ ٱلطَّـٰغُوتَۖ فَمِنۡهُم مَّنۡ هَدَى ٱللَّهُ وَمِنۡهُم مَّنۡ حَقَّتۡ عَلَيۡهِ ٱلضَّلَٰلَةُۚ فَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿36﴾

Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Katonda be yalungamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali.

16:37

إِن تَحۡرِصۡ عَلَىٰ هُدَىٰهُمۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَن يُضِلُّۖ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿37﴾

Bwoba olulunkanira kulungama kwa bwe, mazima Katonda tayinza kulungamya gwe yabuza, ate tebagenda kufuna wa kubadduukirira.

16:38

وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَا يَبۡعَثُ ٱللَّهُ مَن يَمُوتُۚ بَلَىٰ وَعۡدًا عَلَيۡهِ حَقّٗا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿38﴾

Era balayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe nti, Katonda tagenda kuzuukiza oyo afudde, nedda eyo ndagaano ku ye gye yeekakasaako edda (nti agenda kukikola) naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi (nti agenda kubazuukiza).

16:39

لِيُبَيِّنَ لَهُمُ ٱلَّذِي يَخۡتَلِفُونَ فِيهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰذِبِينَ ﴿39﴾

Olwo nno abannyonnyole ekyo kye baawukanamu era abo abaakaafuwala babe nga bamanya nti mazima bbo baali balimba.

16:40

إِنَّمَا قَوۡلُنَا لِشَيۡءٍ إِذَآ أَرَدۡنَٰهُ أَن نَّقُولَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿40﴾

Mazima ekigambo kyaffe eri ekintu bwe tuba tukyagadde (kibeerewo) tukigamba nti ba nekiba.

16:41

وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْ لَنُبَوِّئَنَّهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗۖ وَلَأَجۡرُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿41﴾

Abo abaasenguka ku lwa Katonda oluvanyuma lw'okuyisibwa obubi tujja ku batuuza mu nsi mu bifo ebirungi, naye nga empeera y'olunaku lw'enkomerero yeesinga obunene singa baali bamanyi.

16:42

ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ﴿42﴾

(Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa.

16:43

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿43﴾

Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi.

16:44

بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلزُّبُرِۗ وَأَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلذِّكۡرَ لِتُبَيِّنَ لِلنَّاسِ مَا نُزِّلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَعَلَّهُمۡ يَتَفَكَّرُونَ ﴿44﴾

(Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye bali olwo babe nga beefumiitiriza.

16:45

أَفَأَمِنَ ٱلَّذِينَ مَكَرُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَخۡسِفَ ٱللَّهُ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضَ أَوۡ يَأۡتِيَهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿45﴾

Abo abakola enkwe, balina obwesige okuba nga Katonda tabaseeterezaako nsi oba ebibonerezo okubajjira nga biva gye batamanyi!.

16:46

أَوۡ يَأۡخُذَهُمۡ فِي تَقَلُّبِهِمۡ فَمَا هُم بِمُعۡجِزِينَ ﴿46﴾

(Oba Katonda) naabakwata nga bali mu kwetala kwa bwe (nga bakola emirimu) nga ate tebayinza kulemesa.

16:47

أَوۡ يَأۡخُذَهُمۡ عَلَىٰ تَخَوُّفٖ فَإِنَّ رَبَّكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٌ ﴿47﴾

Oba naabakwata nga bali mu kutya (nti essaawa yonna ebibonerezo bibatuukako). Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa wa kisa.

16:48

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ يَتَفَيَّؤُاْ ظِلَٰلُهُۥ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَٱلشَّمَآئِلِ سُجَّدٗا لِّلَّهِ وَهُمۡ دَٰخِرُونَ ﴿48﴾

Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera.

16:49

وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن دَآبَّةٖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿49﴾

Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza.

16:50

يَخَافُونَ رَبَّهُم مِّن فَوۡقِهِمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ۩ ﴿50﴾

Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa.

16:51

وَقَالَ ٱللَّهُ لَا تَتَّخِذُوٓاْ إِلَٰهَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ إِنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَإِيَّـٰيَ فَٱرۡهَبُونِ ﴿51﴾

Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya.

16:52

وَلَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلدِّينُ وَاصِبًاۚ أَفَغَيۡرَ ٱللَّهِ تَتَّقُونَ ﴿52﴾

Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda!.

16:53

وَمَا بِكُم مِّن نِّعۡمَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ ثُمَّ إِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فَإِلَيۡهِ تَجۡـَٔرُونَ ﴿53﴾

Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa.

16:54

ثُمَّ إِذَا كَشَفَ ٱلضُّرَّ عَنكُمۡ إِذَا فَرِيقٞ مِّنكُم بِرَبِّهِمۡ يُشۡرِكُونَ ﴿54﴾

Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.

16:55

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡۚ فَتَمَتَّعُواْ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿55﴾

Nebawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya.

16:56

وَيَجۡعَلُونَ لِمَا لَا يَعۡلَمُونَ نَصِيبٗا مِّمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡۗ تَٱللَّهِ لَتُسۡـَٔلُنَّ عَمَّا كُنتُمۡ تَفۡتَرُونَ ﴿56﴾

Ebyo bye batamanyi (amasanamu) babiwa omugabo ku ebyo bye tubawa, ndayidde Katonda ddala mugenda kubuuzibwa ku ebyo bye mugunjaawo.

16:57

وَيَجۡعَلُونَ لِلَّهِ ٱلۡبَنَٰتِ سُبۡحَٰنَهُۥ وَلَهُم مَّا يَشۡتَهُونَ ﴿57﴾

Nebateerawo Katonda abaana ab'obuwala, Katonda musukkulumu ku ekyo bo nebeewa be baagala (abalenzi).

16:58

وَإِذَا بُشِّرَ أَحَدُهُم بِٱلۡأُنثَىٰ ظَلَّ وَجۡهُهُۥ مُسۡوَدّٗا وَهُوَ كَظِيمٞ ﴿58﴾

so nga ate omu ku bo bwe bamuwa amawulire ag'okufuna omwana omuwala ekyenyikye kifuuka era n'aba munyikaavu.

16:59

يَتَوَٰرَىٰ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ مِن سُوٓءِ مَا بُشِّرَ بِهِۦٓۚ أَيُمۡسِكُهُۥ عَلَىٰ هُونٍ أَمۡ يَدُسُّهُۥ فِي ٱلتُّرَابِۗ أَلَا سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ﴿59﴾

Nga yeekweka abantu olw'amawulire amabi agamutuuseeko, (nga alowooza eky'okukola) amale gabeera n'ekibi ekyo mu buswavu oba amuziike mu ttaka. Abange kibi ekyo kye baasalangawo.

16:60

لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ مَثَلُ ٱلسَّوۡءِۖ وَلِلَّهِ ٱلۡمَثَلُ ٱلۡأَعۡلَىٰۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿60﴾

Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

16:61

وَلَوۡ يُؤَاخِذُ ٱللَّهُ ٱلنَّاسَ بِظُلۡمِهِم مَّا تَرَكَ عَلَيۡهَا مِن دَآبَّةٖ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۖ فَإِذَا جَآءَ أَجَلُهُمۡ لَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ سَاعَةٗ وَلَا يَسۡتَقۡدِمُونَ ﴿61﴾

Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu.

16:62

وَيَجۡعَلُونَ لِلَّهِ مَا يَكۡرَهُونَۚ وَتَصِفُ أَلۡسِنَتُهُمُ ٱلۡكَذِبَ أَنَّ لَهُمُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ لَا جَرَمَ أَنَّ لَهُمُ ٱلنَّارَ وَأَنَّهُم مُّفۡرَطُونَ ﴿62﴾

(Era abo abatakkiriza) bateeka ku Katonda ekyo bbo kye batamwa, ennimi zaabwe zoogera eby'obulimba (mbu) balina obulungi (ewa Katonda), tewali kubuusabuusa nti mazima bo baakusasulwa muliro, era ddala bo baakulekebwa mu muliro.

16:63

تَٱللَّهِ لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَهُوَ وَلِيُّهُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿63﴾

Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma.

16:64

وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا لِتُبَيِّنَ لَهُمُ ٱلَّذِي ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿64﴾

Tetwakussaako kitabo (kino) wabula lwa kukusobozesa kubannyonnyola ekyo kye baawukanamu, era nga (Kur’ani) bulungamu era nga kusaasira eri abantu abakkiriza.

16:65

وَٱللَّهُ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ ﴿65﴾

Era Katonda yassa enkuba okuva waggulu naawa nayo ettaka obulamu, oluvanyuma lw'okukala kwalyo, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abawulira (nebategeera).

16:66

وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهِۦ مِنۢ بَيۡنِ فَرۡثٖ وَدَمٖ لَّبَنًا خَالِصٗا سَآئِغٗا لِّلشَّـٰرِبِينَ ﴿66﴾

Mazima mulina eky'okuyiga mu bisolo ebirundibwa, tubanywesa ku ebyo ebiri munda wa'byo, amata ameereere nga gava wakati w'obusa n'omusayi agawoomera abanywi.

16:67

وَمِن ثَمَرَٰتِ ٱلنَّخِيلِ وَٱلۡأَعۡنَٰبِ تَتَّخِذُونَ مِنۡهُ سَكَرٗا وَرِزۡقًا حَسَنًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿67﴾

Era ne mu bibala by'emitende ne Nzabibu mwekoleramu eby'okunywa era nemufunamu n'ebyokulya ebirungi. Mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abategeera.

16:68

وَأَوۡحَىٰ رَبُّكَ إِلَى ٱلنَّحۡلِ أَنِ ٱتَّخِذِي مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا وَمِنَ ٱلشَّجَرِ وَمِمَّا يَعۡرِشُونَ ﴿68﴾

Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira.

16:69

ثُمَّ كُلِي مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ فَٱسۡلُكِي سُبُلَ رَبِّكِ ذُلُلٗاۚ يَخۡرُجُ مِنۢ بُطُونِهَا شَرَابٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ فِيهِ شِفَآءٞ لِّلنَّاسِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿69﴾

Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza.

16:70

وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ ثُمَّ يَتَوَفَّىٰكُمۡۚ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡ لَا يَعۡلَمَ بَعۡدَ عِلۡمٖ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٞ قَدِيرٞ ﴿70﴾

Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza.

16:71

وَٱللَّهُ فَضَّلَ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلرِّزۡقِۚ فَمَا ٱلَّذِينَ فُضِّلُواْ بِرَآدِّي رِزۡقِهِمۡ عَلَىٰ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَهُمۡ فِيهِ سَوَآءٌۚ أَفَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿71﴾

Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya!.

16:72

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُم بَنِينَ وَحَفَدَةٗ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ هُمۡ يَكۡفُرُونَ ﴿72﴾

Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya!.

16:73

وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ رِزۡقٗا مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ شَيۡـٔٗا وَلَا يَسۡتَطِيعُونَ ﴿73﴾

Nebatuuka okusinza ebitali Katonda, ebitalina buyinza bwonna ku Riziki yaabwe okuva mu ggulu omusanvu n'ensi, era nga tebiyinza kukisobola.

16:74

فَلَا تَضۡرِبُواْ لِلَّهِ ٱلۡأَمۡثَالَۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿74﴾

Kale nno Katonda temumu kubirangako bifaananyi, anti mazima Katonda amanyi ate mmwe temumanyi.