quranm◉

Hizb 57

Range
from 68:1 to 73:19
Surahs covered
Okuvvuunula
223 Okuvvuunula

◉

68:1

نٓۚ وَٱلۡقَلَمِ وَمَا يَسۡطُرُونَ ﴿1﴾

Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa.

68:2

مَآ أَنتَ بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ بِمَجۡنُونٖ ﴿2﴾

Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu.

68:3

وَإِنَّ لَكَ لَأَجۡرًا غَيۡرَ مَمۡنُونٖ ﴿3﴾

Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo.

68:4

وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٖ ﴿4﴾

Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo.

68:5

فَسَتُبۡصِرُ وَيُبۡصِرُونَ ﴿5﴾

Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba.

68:6

بِأَييِّكُمُ ٱلۡمَفۡتُونُ ﴿6﴾

Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu.

68:7

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿7﴾

Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu.

68:8

فَلَا تُطِعِ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿8﴾

Kale nno togondera abo abalimbisa.

68:9

وَدُّواْ لَوۡ تُدۡهِنُ فَيُدۡهِنُونَ ﴿9﴾

Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera.

68:10

وَلَا تُطِعۡ كُلَّ حَلَّافٖ مَّهِينٍ ﴿10﴾

Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa.

68:11

هَمَّازٖ مَّشَّآءِۭ بِنَمِيمٖ ﴿11﴾

Omugeyi atambuza olugambo.

68:12

مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ ﴿12﴾

Omukodo, omulumbaganyi omwononefu.

68:13

عُتُلِّۭ بَعۡدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ ﴿13﴾

Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi.

68:14

أَن كَانَ ذَا مَالٖ وَبَنِينَ ﴿14﴾

Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana.

68:15

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿15﴾

Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda.

68:16

سَنَسِمُهُۥ عَلَى ٱلۡخُرۡطُومِ ﴿16﴾

Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro.

68:17

إِنَّا بَلَوۡنَٰهُمۡ كَمَا بَلَوۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ إِذۡ أَقۡسَمُواْ لَيَصۡرِمُنَّهَا مُصۡبِحِينَ ﴿17﴾

Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala.

68:18

وَلَا يَسۡتَثۡنُونَ ﴿18﴾

Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah.

68:19

فَطَافَ عَلَيۡهَا طَآئِفٞ مِّن رَّبِّكَ وَهُمۡ نَآئِمُونَ ﴿19﴾

Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase.

68:20

فَأَصۡبَحَتۡ كَٱلصَّرِيمِ ﴿20﴾

Okugenda okukya ngankalu nga enkungule.

68:21

فَتَنَادَوۡاْ مُصۡبِحِينَ ﴿21﴾

Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne.

68:22

أَنِ ٱغۡدُواْ عَلَىٰ حَرۡثِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰرِمِينَ ﴿22﴾

Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye.

68:23

فَٱنطَلَقُواْ وَهُمۡ يَتَخَٰفَتُونَ ﴿23﴾

Baatambula nga bogera bwama.

68:24

أَن لَّا يَدۡخُلَنَّهَا ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكُم مِّسۡكِينٞ ﴿24﴾

Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe.

68:25

وَغَدَوۡاْ عَلَىٰ حَرۡدٖ قَٰدِرِينَ ﴿25﴾

Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu.

68:26

فَلَمَّا رَأَوۡهَا قَالُوٓاْ إِنَّا لَضَآلُّونَ ﴿26﴾

Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze.

68:27

بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ ﴿27﴾

Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini.

68:28

قَالَ أَوۡسَطُهُمۡ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ لَوۡلَا تُسَبِّحُونَ ﴿28﴾

Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda.

68:29

قَالُواْ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿29﴾

Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi.

68:30

فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَلَٰوَمُونَ ﴿30﴾

Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe.

68:31

قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا طَٰغِينَ ﴿31﴾

Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu.

68:32

عَسَىٰ رَبُّنَآ أَن يُبۡدِلَنَا خَيۡرٗا مِّنۡهَآ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا رَٰغِبُونَ ﴿32﴾

Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi.

68:33

كَذَٰلِكَ ٱلۡعَذَابُۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿33﴾

Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi.

68:34

إِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿34﴾

Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe

68:35

أَفَنَجۡعَلُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ كَٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿35﴾

Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi.

68:36

مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ ﴿36﴾

Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya!

68:37

أَمۡ لَكُمۡ كِتَٰبٞ فِيهِ تَدۡرُسُونَ ﴿37﴾

Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma.

68:38

إِنَّ لَكُمۡ فِيهِ لَمَا تَخَيَّرُونَ ﴿38﴾

Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero.

68:39

أَمۡ لَكُمۡ أَيۡمَٰنٌ عَلَيۡنَا بَٰلِغَةٌ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ إِنَّ لَكُمۡ لَمَا تَحۡكُمُونَ ﴿39﴾

Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba.

68:40

سَلۡهُمۡ أَيُّهُم بِذَٰلِكَ زَعِيمٌ ﴿40﴾

Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo.

68:41

أَمۡ لَهُمۡ شُرَكَآءُ فَلۡيَأۡتُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ ﴿41﴾

Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima.

68:42

يَوۡمَ يُكۡشَفُ عَن سَاقٖ وَيُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ ﴿42﴾

Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola.

68:43

خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۖ وَقَدۡ كَانُواْ يُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ وَهُمۡ سَٰلِمُونَ ﴿43﴾

Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola.

68:44

فَذَرۡنِي وَمَن يُكَذِّبُ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِۖ سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿44﴾

Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi.

68:45

وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ ﴿45﴾

Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu.

68:46

أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرٗا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٖ مُّثۡقَلُونَ ﴿46﴾

Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula.

68:47

أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ ﴿47﴾

Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi).

68:48

فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٞ ﴿48﴾

Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu.

68:49

لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٞ ﴿49﴾

Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa.

68:50

فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿50﴾

Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu.

68:51

وَإِن يَكَادُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَيُزۡلِقُونَكَ بِأَبۡصَٰرِهِمۡ لَمَّا سَمِعُواْ ٱلذِّكۡرَ وَيَقُولُونَ إِنَّهُۥ لَمَجۡنُونٞ ﴿51﴾

Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu.

68:52

وَمَا هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿52﴾

So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde.

69:1

ٱلۡحَآقَّةُ ﴿1﴾

Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero).

69:2

مَا ٱلۡحَآقَّةُ ﴿2﴾

Olunaku lwokwolesa amazima kyeki.

69:3

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلۡحَآقَّةُ ﴿3﴾

Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki.

69:4

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ وَعَادُۢ بِٱلۡقَارِعَةِ ﴿4﴾

Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa.

69:5

فَأَمَّا ثَمُودُ فَأُهۡلِكُواْ بِٱلطَّاغِيَةِ ﴿5﴾

Abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi.

69:6

وَأَمَّا عَادٞ فَأُهۡلِكُواْ بِرِيحٖ صَرۡصَرٍ عَاتِيَةٖ ﴿6﴾

Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu.

69:7

سَخَّرَهَا عَلَيۡهِمۡ سَبۡعَ لَيَالٖ وَثَمَٰنِيَةَ أَيَّامٍ حُسُومٗاۖ فَتَرَى ٱلۡقَوۡمَ فِيهَا صَرۡعَىٰ كَأَنَّهُمۡ أَعۡجَازُ نَخۡلٍ خَاوِيَةٖ ﴿7﴾

Gweyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso.

69:8

فَهَلۡ تَرَىٰ لَهُم مِّنۢ بَاقِيَةٖ ﴿8﴾

Gwe mu kulaba waliwo eyawona.

69:9

وَجَآءَ فِرۡعَوۡنُ وَمَن قَبۡلَهُۥ وَٱلۡمُؤۡتَفِكَٰتُ بِٱلۡخَاطِئَةِ ﴿9﴾

Farawo, n'abamukulembera, naabo abali kubyalo bya Luutu bayonoona.

69:10

فَعَصَوۡاْ رَسُولَ رَبِّهِمۡ فَأَخَذَهُمۡ أَخۡذَةٗ رَّابِيَةً ﴿10﴾

Ekyatuusa buli bamu okujeemera omubaka Katonda gwe yabatumira. Katonda kye yava abakwata olukwata oluyitirivu.

69:11

إِنَّا لَمَّا طَغَا ٱلۡمَآءُ حَمَلۡنَٰكُمۡ فِي ٱلۡجَارِيَةِ ﴿11﴾

Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato.

69:12

لِنَجۡعَلَهَا لَكُمۡ تَذۡكِرَةٗ وَتَعِيَهَآ أُذُنٞ وَٰعِيَةٞ ﴿12﴾

Olwo nno tulyoke tukibafuulire mmwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera.

69:13

فَإِذَا نُفِخَ فِي ٱلصُّورِ نَفۡخَةٞ وَٰحِدَةٞ ﴿13﴾

Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka.

69:14

وَحُمِلَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ فَدُكَّتَا دَكَّةٗ وَٰحِدَةٗ ﴿14﴾

Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu.

69:15

فَيَوۡمَئِذٖ وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ ﴿15﴾

Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse.

69:16

وَٱنشَقَّتِ ٱلسَّمَآءُ فَهِيَ يَوۡمَئِذٖ وَاهِيَةٞ ﴿16﴾

Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba lyabirivu.

69:17

وَٱلۡمَلَكُ عَلَىٰٓ أَرۡجَآئِهَاۚ وَيَحۡمِلُ عَرۡشَ رَبِّكَ فَوۡقَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ ثَمَٰنِيَةٞ ﴿17﴾

Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo.

69:18

يَوۡمَئِذٖ تُعۡرَضُونَ لَا تَخۡفَىٰ مِنكُمۡ خَافِيَةٞ ﴿18﴾

Ku lunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka.

69:19

فَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ فَيَقُولُ هَآؤُمُ ٱقۡرَءُواْ كِتَٰبِيَهۡ ﴿19﴾

Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange.

69:20

إِنِّي ظَنَنتُ أَنِّي مُلَٰقٍ حِسَابِيَهۡ ﴿20﴾

Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa.

69:21

فَهُوَ فِي عِيشَةٖ رَّاضِيَةٖ ﴿21﴾

Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa.

69:22

فِي جَنَّةٍ عَالِيَةٖ ﴿22﴾

Mu jjana ey'a waggulu.

69:23

قُطُوفُهَا دَانِيَةٞ ﴿23﴾

Ebibala byayo nga birengejjera kumpi.

69:24

كُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ هَنِيٓـَٔۢا بِمَآ أَسۡلَفۡتُمۡ فِي ٱلۡأَيَّامِ ٱلۡخَالِيَةِ ﴿24﴾

Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita.

69:25

وَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِشِمَالِهِۦ فَيَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي لَمۡ أُوتَ كِتَٰبِيَهۡ ﴿25﴾

Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange.

69:26

وَلَمۡ أَدۡرِ مَا حِسَابِيَهۡ ﴿26﴾

Era nessimanya kubalibwa kwange.

69:27

يَٰلَيۡتَهَا كَانَتِ ٱلۡقَاضِيَةَ ﴿27﴾

Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira.

69:28

مَآ أَغۡنَىٰ عَنِّي مَالِيَهۡۜ ﴿28﴾

Ebyobugagga byange tebingasizza.

69:29

هَلَكَ عَنِّي سُلۡطَٰنِيَهۡ ﴿29﴾

Sikyalina byakuwoza.

69:30

خُذُوهُ فَغُلُّوهُ ﴿30﴾

Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje.

69:31

ثُمَّ ٱلۡجَحِيمَ صَلُّوهُ ﴿31﴾

Bwemumala mumukasuke mu muliro.

69:32

ثُمَّ فِي سِلۡسِلَةٖ ذَرۡعُهَا سَبۡعُونَ ذِرَاعٗا فَٱسۡلُكُوهُ ﴿32﴾

Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu.

69:33

إِنَّهُۥ كَانَ لَا يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿33﴾

Anti yali takkiriza Katonda owekitiibwa.

69:34

وَلَا يَحُضُّ عَلَىٰ طَعَامِ ٱلۡمِسۡكِينِ ﴿34﴾

Era nga takubiriza kuliisa banaku.

69:35

فَلَيۡسَ لَهُ ٱلۡيَوۡمَ هَٰهُنَا حَمِيمٞ ﴿35﴾

N'olwekyo olwaleero wano talinawo muntu amulumirwa.

69:36

وَلَا طَعَامٌ إِلَّا مِنۡ غِسۡلِينٖ ﴿36﴾

Nga bwatalina kyakulya okugyako masirasira.

69:37

لَّا يَأۡكُلُهُۥٓ إِلَّا ٱلۡخَٰطِـُٔونَ ﴿37﴾

Ebintu ebitayinza kulibwa okugyako abonoonyi.

69:38

فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَا تُبۡصِرُونَ ﴿38﴾

Tewali kingana kulayira ebyo byemulaba.

69:39

وَمَا لَا تُبۡصِرُونَ ﴿39﴾

Nebyo byemutalaba

69:40

إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ ﴿40﴾

Mazima Kur'ani bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa.

69:41

وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَاعِرٖۚ قَلِيلٗا مَّا تُؤۡمِنُونَ ﴿41﴾

Ssi bigambo bya mutontomi naye Iman yammwe yentono.

69:42

وَلَا بِقَوۡلِ كَاهِنٖۚ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ ﴿42﴾

Era sibigambo bya mulaguzi naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula).

69:43

تَنزِيلٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿43﴾

Byassibwa ku ye okuva eri omulezi w'ebitonde.

69:44

وَلَوۡ تَقَوَّلَ عَلَيۡنَا بَعۡضَ ٱلۡأَقَاوِيلِ ﴿44﴾

Singa yetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma.

69:45

لَأَخَذۡنَا مِنۡهُ بِٱلۡيَمِينِ ﴿45﴾

Twalimukutteko n'amanyi.

69:46

ثُمَّ لَقَطَعۡنَا مِنۡهُ ٱلۡوَتِينَ ﴿46﴾

Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu.

69:47

فَمَا مِنكُم مِّنۡ أَحَدٍ عَنۡهُ حَٰجِزِينَ ﴿47﴾

Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye.

69:48

وَإِنَّهُۥ لَتَذۡكِرَةٞ لِّلۡمُتَّقِينَ ﴿48﴾

Mazima yyo Kur'ani kyakwebuulirira eri abatya Katonda.

69:49

وَإِنَّا لَنَعۡلَمُ أَنَّ مِنكُم مُّكَذِّبِينَ ﴿49﴾

Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (Kur'ani).

69:50

وَإِنَّهُۥ لَحَسۡرَةٌ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿50﴾

Mazima okugirimbisa (Kur'ani) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abakafiiri.

69:51

وَإِنَّهُۥ لَحَقُّ ٱلۡيَقِينِ ﴿51﴾

Mazima yo Kur'ani ge mazima aga namaddala.

69:52

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ ﴿52﴾

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katonda wo owekitiibwa.

70:1

سَأَلَ سَآئِلُۢ بِعَذَابٖ وَاقِعٖ ﴿1﴾

"Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja.

70:2

لِّلۡكَٰفِرِينَ لَيۡسَ لَهُۥ دَافِعٞ ﴿2﴾

Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako.

70:3

مِّنَ ٱللَّهِ ذِي ٱلۡمَعَارِجِ ﴿3﴾

Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu.

70:4

تَعۡرُجُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥ خَمۡسِينَ أَلۡفَ سَنَةٖ ﴿4﴾

Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi).

70:5

فَٱصۡبِرۡ صَبۡرٗا جَمِيلًا ﴿5﴾

Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi.

70:6

إِنَّهُمۡ يَرَوۡنَهُۥ بَعِيدٗا ﴿6﴾

Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala.

70:7

وَنَرَىٰهُ قَرِيبٗا ﴿7﴾

Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi.

70:8

يَوۡمَ تَكُونُ ٱلسَّمَآءُ كَٱلۡمُهۡلِ ﴿8﴾

Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse.

70:9

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ ﴿9﴾

Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa.

70:10

وَلَا يَسۡـَٔلُ حَمِيمٌ حَمِيمٗا ﴿10﴾

Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we.

70:11

يُبَصَّرُونَهُمۡۚ يَوَدُّ ٱلۡمُجۡرِمُ لَوۡ يَفۡتَدِي مِنۡ عَذَابِ يَوۡمِئِذِۭ بِبَنِيهِ ﴿11﴾

Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe.

70:12

وَصَٰحِبَتِهِۦ وَأَخِيهِ ﴿12﴾

Mukyalawe ne mugandawe.

70:13

وَفَصِيلَتِهِ ٱلَّتِي تُـٔۡوِيهِ ﴿13﴾

N'ekika kye ekimukuuma.

70:14

وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا ثُمَّ يُنجِيهِ ﴿14﴾

Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda.

70:15

كَلَّآۖ إِنَّهَا لَظَىٰ ﴿15﴾

Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja.

70:16

نَزَّاعَةٗ لِّلشَّوَىٰ ﴿16﴾

Ogusiriiriza ddala eddiba.

70:17

تَدۡعُواْ مَنۡ أَدۡبَرَ وَتَوَلَّىٰ ﴿17﴾

Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima.

70:18

وَجَمَعَ فَأَوۡعَىٰٓ ﴿18﴾

Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza".

70:19

إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ خُلِقَ هَلُوعًا ﴿19﴾

Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube.

70:20

إِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ جَزُوعٗا ﴿20﴾

Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya.

70:21

وَإِذَا مَسَّهُ ٱلۡخَيۡرُ مَنُوعًا ﴿21﴾

Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo.

70:22

إِلَّا ٱلۡمُصَلِّينَ ﴿22﴾

Okugyako abo abayimirizaawo e sswala.

70:23

ٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ دَآئِمُونَ ﴿23﴾

Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera.

70:24

وَٱلَّذِينَ فِيٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ حَقّٞ مَّعۡلُومٞ ﴿24﴾

Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa.

70:25

لِّلسَّآئِلِ وَٱلۡمَحۡرُومِ ﴿25﴾

Guweebwa abasabi n'abafuna mpola.

70:26

وَٱلَّذِينَ يُصَدِّقُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ ﴿26﴾

Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero.

70:27

وَٱلَّذِينَ هُم مِّنۡ عَذَابِ رَبِّهِم مُّشۡفِقُونَ ﴿27﴾

Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe.

70:28

إِنَّ عَذَابَ رَبِّهِمۡ غَيۡرُ مَأۡمُونٖ ﴿28﴾

Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa.

70:29

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ ﴿29﴾

Era abo abakuuma obwerere bwabwe.

70:30

إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ ﴿30﴾

Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo.

70:31

فَمَنِ ٱبۡتَغَىٰ وَرَآءَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡعَادُونَ ﴿31﴾

Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo.

70:32

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِأَمَٰنَٰتِهِمۡ وَعَهۡدِهِمۡ رَٰعُونَ ﴿32﴾

Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe.

70:33

وَٱلَّذِينَ هُم بِشَهَٰدَٰتِهِمۡ قَآئِمُونَ ﴿33﴾

Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe.

70:34

وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ يُحَافِظُونَ ﴿34﴾

Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu.

70:35

أُوْلَـٰٓئِكَ فِي جَنَّـٰتٖ مُّكۡرَمُونَ ﴿35﴾

Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa.

70:36

فَمَالِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قِبَلَكَ مُهۡطِعِينَ ﴿36﴾

Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa".

70:37

عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَعَنِ ٱلشِّمَالِ عِزِينَ ﴿37﴾

Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja.

70:38

أَيَطۡمَعُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُدۡخَلَ جَنَّةَ نَعِيمٖ ﴿38﴾

Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera.

70:39

كَلَّآۖ إِنَّا خَلَقۡنَٰهُم مِّمَّا يَعۡلَمُونَ ﴿39﴾

Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi.

70:40

فَلَآ أُقۡسِمُ بِرَبِّ ٱلۡمَشَٰرِقِ وَٱلۡمَغَٰرِبِ إِنَّا لَقَٰدِرُونَ ﴿40﴾

Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala.

70:41

عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ خَيۡرٗا مِّنۡهُمۡ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ ﴿41﴾

Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa.

70:42

فَذَرۡهُمۡ يَخُوضُواْ وَيَلۡعَبُواْ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ ﴿42﴾

Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa.

70:43

يَوۡمَ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ سِرَاعٗا كَأَنَّهُمۡ إِلَىٰ نُصُبٖ يُوفِضُونَ ﴿43﴾

Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo.

70:44

خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۚ ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمُ ٱلَّذِي كَانُواْ يُوعَدُونَ ﴿44﴾

Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa.

71:1

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿1﴾

Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo nga ebibonerezo abiruma ennyo tebinabajjira.

71:2

قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ ﴿2﴾

Naabagamba nti mazima nze ndi mutiisa omunnyonnyozi.

71:3

أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ ﴿3﴾

Nti musinze Katonda era mu mutye nange mungondere.

71:4

يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿4﴾

Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Katonda bweziba zituuse tezirindirizibwa singa muba mumanyi.

71:5

قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلٗا وَنَهَارٗا ﴿5﴾

"Awamu nekyo tebakkiriza", Nuhu naagamba nti ayi Katonda wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana.

71:6

فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارٗا ﴿6﴾

Wabula okukowoola kwange tekubongedde okugyako okunnesamba.

71:7

وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارٗا ﴿7﴾

Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza.

71:8

ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارٗا ﴿8﴾

Ate era mazima mbakowodde mulwatu.

71:9

ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارٗا ﴿9﴾

Era njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu.

71:10

فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارٗا ﴿10﴾

Nembagamba nti mwegayirire Katonda wa mmwe anti mazima yye bulijjo musonyiyi.

71:11

يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارٗا ﴿11﴾

Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa.

71:12

وَيُمۡدِدۡكُم بِأَمۡوَٰلٖ وَبَنِينَ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ جَنَّـٰتٖ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ أَنۡهَٰرٗا ﴿12﴾

Era abawe mu bungi emmaali n'abaana abawe n'amasamba abateeremu n'emigga.

71:13

مَّا لَكُمۡ لَا تَرۡجُونَ لِلَّهِ وَقَارٗا ﴿13﴾

Naye lwaki Katonda temumuwa kitiibwa.

71:14

وَقَدۡ خَلَقَكُمۡ أَطۡوَارًا ﴿14﴾

Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera egyenjawulo.

71:15

أَلَمۡ تَرَوۡاْ كَيۡفَ خَلَقَ ٱللَّهُ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗا ﴿15﴾

Abaffe temulaba engeri Katondawo gyeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro.

71:16

وَجَعَلَ ٱلۡقَمَرَ فِيهِنَّ نُورٗا وَجَعَلَ ٱلشَّمۡسَ سِرَاجٗا ﴿16﴾

Nassaamu omwezi nga kitangaala nga bweyassamu enjuba nga eyaka.

71:17

وَٱللَّهُ أَنۢبَتَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ نَبَاتٗا ﴿17﴾

Katonda yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula.

71:18

ثُمَّ يُعِيدُكُمۡ فِيهَا وَيُخۡرِجُكُمۡ إِخۡرَاجٗا ﴿18﴾

Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibagyemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera).

71:19

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ بِسَاطٗا ﴿19﴾

Era Katonda yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako.

71:20

لِّتَسۡلُكُواْ مِنۡهَا سُبُلٗا فِجَاجٗا ﴿20﴾

Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde.

71:21

قَالَ نُوحٞ رَّبِّ إِنَّهُمۡ عَصَوۡنِي وَٱتَّبَعُواْ مَن لَّمۡ يَزِدۡهُ مَالُهُۥ وَوَلَدُهُۥٓ إِلَّا خَسَارٗا ﴿21﴾

Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okugyako okufafaganirwa.

71:22

وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا كُبَّارٗا ﴿22﴾

Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu).

71:23

وَقَالُواْ لَا تَذَرُنَّ ءَالِهَتَكُمۡ وَلَا تَذَرُنَّ وَدّٗا وَلَا سُوَاعٗا وَلَا يَغُوثَ وَيَعُوقَ وَنَسۡرٗا ﴿23﴾

Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yagutha ne Yauka ne Nasira.

71:24

وَقَدۡ أَضَلُّواْ كَثِيرٗاۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا ضَلَٰلٗا ﴿24﴾

Olwekyo baabuza abantu bangi (Nange kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okugyako kubula.

71:25

مِّمَّا خَطِيٓـَٰٔتِهِمۡ أُغۡرِقُواْ فَأُدۡخِلُواْ نَارٗا فَلَمۡ يَجِدُواْ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَنصَارٗا ﴿25﴾

Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa omuliro baali tebayinza kufuna abataasa yenna.

71:26

وَقَالَ نُوحٞ رَّبِّ لَا تَذَرۡ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ دَيَّارًا ﴿26﴾

Ye Nuhu kwekugamba nti, ayi Katonda wange toleka kunsi mukafiiri yenna.

71:27

إِنَّكَ إِن تَذَرۡهُمۡ يُضِلُّواْ عِبَادَكَ وَلَا يَلِدُوٓاْ إِلَّا فَاجِرٗا كَفَّارٗا ﴿27﴾

Anti singa obalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omukafiiri.

71:28

رَّبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيَّ وَلِمَن دَخَلَ بَيۡتِيَ مُؤۡمِنٗا وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا تَبَارَۢا ﴿28﴾

Ayi Mukama Katonda wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange kavuna anaaba nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okugyako okuzikirira.

72:1

قُلۡ أُوحِيَ إِلَيَّ أَنَّهُ ٱسۡتَمَعَ نَفَرٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَقَالُوٓاْ إِنَّا سَمِعۡنَا قُرۡءَانًا عَجَبٗا ﴿1﴾

Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma Kur'ani negagamba nti mazima Kur'ani tugiwulidde nga yewuunyisa.

72:2

يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلرُّشۡدِ فَـَٔامَنَّا بِهِۦۖ وَلَن نُّشۡرِكَ بِرَبِّنَآ أَحَدٗا ﴿2﴾

Ekowoola oyo agiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tugikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta ku Katonda kintu kirala.

72:3

وَأَنَّهُۥ تَعَٰلَىٰ جَدُّ رَبِّنَا مَا ٱتَّخَذَ صَٰحِبَةٗ وَلَا وَلَدٗا ﴿3﴾

Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo mukyala wadde omwana.

72:4

وَأَنَّهُۥ كَانَ يَقُولُ سَفِيهُنَا عَلَى ٱللَّهِ شَطَطٗا ﴿4﴾

Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Katonda ebigambo ebitemerere.

72:5

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن تَقُولَ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا ﴿5﴾

Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Katonda byabulimba.

72:6

وَأَنَّهُۥ كَانَ رِجَالٞ مِّنَ ٱلۡإِنسِ يَعُوذُونَ بِرِجَالٖ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَزَادُوهُمۡ رَهَقٗا ﴿6﴾

Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala.

72:7

وَأَنَّهُمۡ ظَنُّواْ كَمَا ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ أَحَدٗا ﴿7﴾

Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda yali tagenda kutuma mubaka yenna.

72:8

وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسٗا شَدِيدٗا وَشُهُبٗا ﴿8﴾

Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro.

72:9

وَأَنَّا كُنَّا نَقۡعُدُ مِنۡهَا مَقَٰعِدَ لِلسَّمۡعِۖ فَمَن يَسۡتَمِعِ ٱلۡأٓنَ يَجِدۡ لَهُۥ شِهَابٗا رَّصَدٗا ﴿9﴾

Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze.

72:10

وَأَنَّا لَا نَدۡرِيٓ أَشَرٌّ أُرِيدَ بِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ أَرَادَ بِهِمۡ رَبُّهُمۡ رَشَدٗا ﴿10﴾

Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda wabyo yabyagaliza bulungamu.

72:11

وَأَنَّا مِنَّا ٱلصَّـٰلِحُونَ وَمِنَّا دُونَ ذَٰلِكَۖ كُنَّا طَرَآئِقَ قِدَدٗا ﴿11﴾

Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo.

72:12

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن نُّعۡجِزَ ٱللَّهَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَن نُّعۡجِزَهُۥ هَرَبٗا ﴿12﴾

Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Katonda ku nsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako.

72:13

وَأَنَّا لَمَّا سَمِعۡنَا ٱلۡهُدَىٰٓ ءَامَنَّا بِهِۦۖ فَمَن يُؤۡمِنۢ بِرَبِّهِۦ فَلَا يَخَافُ بَخۡسٗا وَلَا رَهَقٗا ﴿13﴾

Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, nga ate oyo yenna akkiriza Mukama Katonda we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa.

72:14

وَأَنَّا مِنَّا ٱلۡمُسۡلِمُونَ وَمِنَّا ٱلۡقَٰسِطُونَۖ فَمَنۡ أَسۡلَمَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ تَحَرَّوۡاْ رَشَدٗا ﴿14﴾

Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza.

72:15

وَأَمَّا ٱلۡقَٰسِطُونَ فَكَانُواْ لِجَهَنَّمَ حَطَبٗا ﴿15﴾

Wabula bo abaabula be bagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama.

72:16

وَأَلَّوِ ٱسۡتَقَٰمُواْ عَلَى ٱلطَّرِيقَةِ لَأَسۡقَيۡنَٰهُم مَّآءً غَدَقٗا ﴿16﴾

Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bungi.

72:17

لِّنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَمَن يُعۡرِضۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِۦ يَسۡلُكۡهُ عَذَابٗا صَعَدٗا ﴿17﴾

Tulyoke tubageseze ngeri ki gye be bazaamu e byengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katondawe agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe.

72:18

وَأَنَّ ٱلۡمَسَٰجِدَ لِلَّهِ فَلَا تَدۡعُواْ مَعَ ٱللَّهِ أَحَدٗا ﴿18﴾

Mazima ddala emizigiti gya kusinzizamu Katonda yekka, kale nno temugatta ku Katonda ekintu kyonna.

72:19

وَأَنَّهُۥ لَمَّا قَامَ عَبۡدُ ٱللَّهِ يَدۡعُوهُ كَادُواْ يَكُونُونَ عَلَيۡهِ لِبَدٗا ﴿19﴾

Era mazima ddala omuddu w'a Katonda (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja.

72:20

قُلۡ إِنَّمَآ أَدۡعُواْ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِهِۦٓ أَحَدٗا ﴿20﴾

Bagambe (Gwe Nabbi Muhammad) nti mazima nze nsinza Katonda wange ate si mugattako kintu kirala kyonna.

72:21

قُلۡ إِنِّي لَآ أَمۡلِكُ لَكُمۡ ضَرّٗا وَلَا رَشَدٗا ﴿21﴾

(Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti tekiri mu mikono gyange okubaggyirawo obuzibu obuba bubatuuseeko nga bwe kitali mu busobozi bwange okubafunira obulungamu.

72:22

قُلۡ إِنِّي لَن يُجِيرَنِي مِنَ ٱللَّهِ أَحَدٞ وَلَنۡ أَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدًا ﴿22﴾

Era bagambe nti mazima nze tewali muntu yenna ayinza kumponya bibonerezo bya Katonda singa mba mujeemedde. Era sisobola kufuna buddukiro nga si bwa Katonda.

72:23

إِلَّا بَلَٰغٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِسَٰلَٰتِهِۦۚ وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ لَهُۥ نَارَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدًا ﴿23﴾

Nekiba nga ekisigadde kubatuusako bubaka obuva eri Katonda, naye abo bonna abajeemera Katonda n'omubakawe baakuyingira omuliro Jahannama, era nga b'akugubeeramu olubeerera.

72:24

حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ أَضۡعَفُ نَاصِرٗا وَأَقَلُّ عَدَدٗا ﴿24﴾

Okutuusizza ddala bwe balibanga balabye ebyo ebyabalagaanyisibwa olwo nno lwe bajja okukakasa nti ani alina omutaasa omunafu neggye ettono.

72:25

قُلۡ إِنۡ أَدۡرِيٓ أَقَرِيبٞ مَّا تُوعَدُونَ أَمۡ يَجۡعَلُ لَهُۥ رَبِّيٓ أَمَدًا ﴿25﴾

Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze simanyi oba e bibonerezo bye mulaganyisibwa biri kumpi oba byakujja oluvanyuma lwebbanga eggwanvu.

72:26

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ فَلَا يُظۡهِرُ عَلَىٰ غَيۡبِهِۦٓ أَحَدًا ﴿26﴾

Ye yekka, Katonda yaamanyi ebitamanyiddwa ng'ate talina yenna gwabikkulira e byamabye.

72:27

إِلَّا مَنِ ٱرۡتَضَىٰ مِن رَّسُولٖ فَإِنَّهُۥ يَسۡلُكُ مِنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ رَصَدٗا ﴿27﴾

Okugyako oyo gwaba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byamabye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako.

72:28

لِّيَعۡلَمَ أَن قَدۡ أَبۡلَغُواْ رِسَٰلَٰتِ رَبِّهِمۡ وَأَحَاطَ بِمَا لَدَيۡهِمۡ وَأَحۡصَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ عَدَدَۢا ﴿28﴾

Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bwamanyi buli kintu kyonna.

73:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُزَّمِّلُ ﴿1﴾

Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka).

73:2

قُمِ ٱلَّيۡلَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿2﴾

Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono.

73:3

نِّصۡفَهُۥٓ أَوِ ٱنقُصۡ مِنۡهُ قَلِيلًا ﴿3﴾

Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono.

73:4

أَوۡ زِدۡ عَلَيۡهِ وَرَتِّلِ ٱلۡقُرۡءَانَ تَرۡتِيلًا ﴿4﴾

Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese.

73:5

إِنَّا سَنُلۡقِي عَلَيۡكَ قَوۡلٗا ثَقِيلًا ﴿5﴾

Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito.

73:6

إِنَّ نَاشِئَةَ ٱلَّيۡلِ هِيَ أَشَدُّ وَطۡـٔٗا وَأَقۡوَمُ قِيلًا ﴿6﴾

Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu.

73:7

إِنَّ لَكَ فِي ٱلنَّهَارِ سَبۡحٗا طَوِيلٗا ﴿7﴾

Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala).

73:8

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلۡ إِلَيۡهِ تَبۡتِيلٗا ﴿8﴾

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe.

73:9

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا ﴿9﴾

Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako.

73:10

وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱهۡجُرۡهُمۡ هَجۡرٗا جَمِيلٗا ﴿10﴾

Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi.

73:11

وَذَرۡنِي وَٱلۡمُكَذِّبِينَ أُوْلِي ٱلنَّعۡمَةِ وَمَهِّلۡهُمۡ قَلِيلًا ﴿11﴾

Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono.

73:12

إِنَّ لَدَيۡنَآ أَنكَالٗا وَجَحِيمٗا ﴿12﴾

Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim.

73:13

وَطَعَامٗا ذَا غُصَّةٖ وَعَذَابًا أَلِيمٗا ﴿13﴾

N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma.

73:14

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ وَكَانَتِ ٱلۡجِبَالُ كَثِيبٗا مَّهِيلًا ﴿14﴾

Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka.

73:15

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ رَسُولٗا شَٰهِدًا عَلَيۡكُمۡ كَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ رَسُولٗا ﴿15﴾

(Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka.

73:16

فَعَصَىٰ فِرۡعَوۡنُ ٱلرَّسُولَ فَأَخَذۡنَٰهُ أَخۡذٗا وَبِيلٗا ﴿16﴾

Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi.

73:17

فَكَيۡفَ تَتَّقُونَ إِن كَفَرۡتُمۡ يَوۡمٗا يَجۡعَلُ ٱلۡوِلۡدَٰنَ شِيبًا ﴿17﴾

Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde.

73:18

ٱلسَّمَآءُ مُنفَطِرُۢ بِهِۦۚ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَفۡعُولًا ﴿18﴾

Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira.

73:19

إِنَّ هَٰذِهِۦ تَذۡكِرَةٞۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلًا ﴿19﴾

(Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we.