quranm◉

Hizb 56

Range
from 63:4 to 67:30
Surahs covered
Okuvvuunula
80 Okuvvuunula

◉

63:4

وَإِذَا رَأَيۡتَهُمۡ تُعۡجِبُكَ أَجۡسَامُهُمۡۖ وَإِن يَقُولُواْ تَسۡمَعۡ لِقَوۡلِهِمۡۖ كَأَنَّهُمۡ خُشُبٞ مُّسَنَّدَةٞۖ يَحۡسَبُونَ كُلَّ صَيۡحَةٍ عَلَيۡهِمۡۚ هُمُ ٱلۡعَدُوُّ فَٱحۡذَرۡهُمۡۚ قَٰتَلَهُمُ ٱللَّهُۖ أَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿4﴾

Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima.

63:5

وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ يَسۡتَغۡفِرۡ لَكُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ لَوَّوۡاْ رُءُوسَهُمۡ وَرَأَيۡتَهُمۡ يَصُدُّونَ وَهُم مُّسۡتَكۡبِرُونَ ﴿5﴾

Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Katonda abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza.

63:6

سَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ أَسۡتَغۡفَرۡتَ لَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تَسۡتَغۡفِرۡ لَهُمۡ لَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿6﴾

Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi.

63:7

هُمُ ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ لَا تُنفِقُواْ عَلَىٰ مَنۡ عِندَ رَسُولِ ٱللَّهِ حَتَّىٰ يَنفَضُّواْۗ وَلِلَّهِ خَزَآئِنُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَٰكِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ لَا يَفۡقَهُونَ ﴿7﴾

Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Katonda. Naye mazima abananfusi tebategeera.

63:8

يَقُولُونَ لَئِن رَّجَعۡنَآ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ لَيُخۡرِجَنَّ ٱلۡأَعَزُّ مِنۡهَا ٱلۡأَذَلَّۚ وَلِلَّهِ ٱلۡعِزَّةُ وَلِرَسُولِهِۦ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَٰكِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿8﴾

Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madinah (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi.

63:9

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُلۡهِكُمۡ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُكُمۡ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿9﴾

Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa.

63:10

وَأَنفِقُواْ مِن مَّا رَزَقۡنَٰكُم مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ فَيَقُولَ رَبِّ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنِيٓ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖ فَأَصَّدَّقَ وَأَكُن مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿10﴾

Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu.

63:11

وَلَن يُؤَخِّرَ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِذَا جَآءَ أَجَلُهَاۚ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿11﴾

Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola.

64:1

يُسَبِّحُ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿1﴾

Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu.

64:2

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ فَمِنكُمۡ كَافِرٞ وَمِنكُم مُّؤۡمِنٞۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ﴿2﴾

Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abakafiiri na bandi bakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola.

64:3

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّ وَصَوَّرَكُمۡ فَأَحۡسَنَ صُوَرَكُمۡۖ وَإِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿3﴾

Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda.

64:4

يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَيَعۡلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعۡلِنُونَۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿4﴾

Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba.

64:5

أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ نَبَؤُاْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَبۡلُ فَذَاقُواْ وَبَالَ أَمۡرِهِمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿5﴾

Abaffe amawulire gaabo abaakafuwala oluberyeberye lwa mmwe tegaabatuukako, ekyabaviirako okuba nga bakomba ku bukaawu bwo bukafiri bwabwe. Era bagenda kutuukwakwo e bibonerezo ebiruma.

64:6

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُۥ كَانَت تَّأۡتِيهِمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَقَالُوٓاْ أَبَشَرٞ يَهۡدُونَنَا فَكَفَرُواْ وَتَوَلَّواْۖ وَّٱسۡتَغۡنَى ٱللَّهُۚ وَٱللَّهُ غَنِيٌّ حَمِيدٞ ﴿6﴾

Olwe'nsonga nti ababaka baabwe baabaleeteranga obubaka obujjudde obunnyonnyofu, bo ne bagamba nti omuntu obuntu yajja atulungamye! ekyo ne kibakaafuwaza, ne baba nga tebakyayagala kuwulira kikwata ku bubaka, ne Katonda naaba nga takyabeetaaga. Anti Katonda bulijjo talina kye yataaga, era nga bulijjo atenderezebwa.

64:7

زَعَمَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَن لَّن يُبۡعَثُواْۚ قُلۡ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتُبۡعَثُنَّ ثُمَّ لَتُنَبَّؤُنَّ بِمَا عَمِلۡتُمۡۚ وَذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿7﴾

Abatakkiriza Katonda beerimba nga bagamba nti tebagenda kuzuukizibwa. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad (ﷺ)) nti ssi bwekiri. Ndayira Katonda omulezi wange ddala mujja kuzuukizibwa, oluvanyuma mujja kutegeezebwa ddala ebyo bye mwakola, nekyo nno kyangu nnyo ku Katonda.

64:8

فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَٱلنُّورِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلۡنَاۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿8﴾

Kale nno mukkirize Katonda n'omubakawe n'ekitangaala (Kur'ani) kye twassa, ne Katonda bulijjo mumanyi nnyo weebyo bye mukola.

64:9

يَوۡمَ يَجۡمَعُكُمۡ لِيَوۡمِ ٱلۡجَمۡعِۖ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلتَّغَابُنِۗ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ وَيَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا يُكَفِّرۡ عَنۡهُ سَيِّـَٔاتِهِۦ وَيُدۡخِلۡهُ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿9﴾

Mujjukire olunaku Katonda lwa libakunganya ku lunaku lwe kiyaama, olwo lwe lunaku oluliraga okufaafaganirwa (eri abakafiiri), oyo yenna akkiriza Katonda naakola e mirimu emirungi, Katonda amusangulako ebibibye, era agenda kumuyingiza e jjana ezikulukutiramu e migga, nga baakuzibeeramu lubeerera. Okwo nno kwe kwe siima okuyitirivu.

64:10

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿10﴾

Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi.

64:11

مَآ أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ يَهۡدِ قَلۡبَهُۥۚ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿11﴾

Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu.

64:12

وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَۚ فَإِن تَوَلَّيۡتُمۡ فَإِنَّمَا عَلَىٰ رَسُولِنَا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿12﴾

Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu.

64:13

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿13﴾

Katonda ye yekka asinzibwa, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka.

64:14

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ مِنۡ أَزۡوَٰجِكُمۡ وَأَوۡلَٰدِكُمۡ عَدُوّٗا لَّكُمۡ فَٱحۡذَرُوهُمۡۚ وَإِن تَعۡفُواْ وَتَصۡفَحُواْ وَتَغۡفِرُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿14﴾

Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala ba mmwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo.

64:15

إِنَّمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَأَوۡلَٰدُكُمۡ فِتۡنَةٞۚ وَٱللَّهُ عِندَهُۥٓ أَجۡرٌ عَظِيمٞ ﴿15﴾

Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Katonda we wali empeera ensukkulumu.

64:16

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُمۡ وَٱسۡمَعُواْ وَأَطِيعُواْ وَأَنفِقُواْ خَيۡرٗا لِّأَنفُسِكُمۡۗ وَمَن يُوقَ شُحَّ نَفۡسِهِۦ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿16﴾

Kale nno mutye Katonda nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa.

64:17

إِن تُقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا يُضَٰعِفۡهُ لَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ شَكُورٌ حَلِيمٌ ﴿17﴾

Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa.

64:18

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿18﴾

(Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga asinziira ku nsonga.

65:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِذَا طَلَّقۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ وَأَحۡصُواْ ٱلۡعِدَّةَۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ رَبَّكُمۡۖ لَا تُخۡرِجُوهُنَّ مِنۢ بُيُوتِهِنَّ وَلَا يَخۡرُجۡنَ إِلَّآ أَن يَأۡتِينَ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖۚ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۚ وَمَن يَتَعَدَّ حُدُودَ ٱللَّهِ فَقَدۡ ظَلَمَ نَفۡسَهُۥۚ لَا تَدۡرِي لَعَلَّ ٱللَّهَ يُحۡدِثُ بَعۡدَ ذَٰلِكَ أَمۡرٗا ﴿1﴾

Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala, mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidh), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba ku kkirizibwa kuddamu kufumbirwa). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Katonda. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Katonda naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo.

65:2

فَإِذَا بَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَأَمۡسِكُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٍ أَوۡ فَارِقُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٖ وَأَشۡهِدُواْ ذَوَيۡ عَدۡلٖ مِّنكُمۡ وَأَقِيمُواْ ٱلشَّهَٰدَةَ لِلَّهِۚ ذَٰلِكُمۡ يُوعَظُ بِهِۦ مَن كَانَ يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ وَمَن يَتَّقِ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّهُۥ مَخۡرَجٗا ﴿2﴾

Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu.

65:3

وَيَرۡزُقۡهُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَحۡتَسِبُۚ وَمَن يَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِ فَهُوَ حَسۡبُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بَٰلِغُ أَمۡرِهِۦۚ قَدۡ جَعَلَ ٱللَّهُ لِكُلِّ شَيۡءٖ قَدۡرٗا ﴿3﴾

Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Katonda, Katonda amumala, anti Katonda ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Katonda yategeka ekigero kya buli kintu.

65:4

وَٱلَّـٰٓـِٔي يَئِسۡنَ مِنَ ٱلۡمَحِيضِ مِن نِّسَآئِكُمۡ إِنِ ٱرۡتَبۡتُمۡ فَعِدَّتُهُنَّ ثَلَٰثَةُ أَشۡهُرٖ وَٱلَّـٰٓـِٔي لَمۡ يَحِضۡنَۚ وَأُوْلَٰتُ ٱلۡأَحۡمَالِ أَجَلُهُنَّ أَن يَضَعۡنَ حَمۡلَهُنَّۚ وَمَن يَتَّقِ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّهُۥ مِنۡ أَمۡرِهِۦ يُسۡرٗا ﴿4﴾

Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga za Heidh, bw emutankananga ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu. Wabula abo abatanayingira mu nsonga za Haidh Idda yaabwe emyezi esatu. Naye abo abali embuto ebbanga lyabwe kumala kuzaala. Oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu mu buli kintu.

65:5

ذَٰلِكَ أَمۡرُ ٱللَّهِ أَنزَلَهُۥٓ إِلَيۡكُمۡۚ وَمَن يَتَّقِ ٱللَّهَ يُكَفِّرۡ عَنۡهُ سَيِّـَٔاتِهِۦ وَيُعۡظِمۡ لَهُۥٓ أَجۡرًا ﴿5﴾

Ekyo kiragiro kya Katonda kye yassa gye muli, oyo yenna atya Katonda amusangulako e bibibye ate naamwongeza e mpeera.

65:6

أَسۡكِنُوهُنَّ مِنۡ حَيۡثُ سَكَنتُم مِّن وُجۡدِكُمۡ وَلَا تُضَآرُّوهُنَّ لِتُضَيِّقُواْ عَلَيۡهِنَّۚ وَإِن كُنَّ أُوْلَٰتِ حَمۡلٖ فَأَنفِقُواْ عَلَيۡهِنَّ حَتَّىٰ يَضَعۡنَ حَمۡلَهُنَّۚ فَإِنۡ أَرۡضَعۡنَ لَكُمۡ فَـَٔاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ وَأۡتَمِرُواْ بَيۡنَكُم بِمَعۡرُوفٖۖ وَإِن تَعَاسَرۡتُمۡ فَسَتُرۡضِعُ لَهُۥٓ أُخۡرَىٰ ﴿6﴾

(Abakyala abaweereddwa ttalaka) mu basuzenga mu mayumba mwe musula okusinziira ku busobozi bwa mmwe, temubatulugunyanga, nga ekigendererwa kubanyigiriza (balemererwe), naye bwe babanga bali mbuto mubalabirirenga okutuusa lwe bazaala. Ate (bwe babanga bazadde) nebabayonseza abaana, mubasasulenga. Era mukkiriziganye mu ngeri e nnungi, naye bwe mubanga mulemaganye olwo nno munoonye omulala anaayonsa.

65:7

لِيُنفِقۡ ذُو سَعَةٖ مِّن سَعَتِهِۦۖ وَمَن قُدِرَ عَلَيۡهِ رِزۡقُهُۥ فَلۡيُنفِقۡ مِمَّآ ءَاتَىٰهُ ٱللَّهُۚ لَا يُكَلِّفُ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِلَّا مَآ ءَاتَىٰهَاۚ سَيَجۡعَلُ ٱللَّهُ بَعۡدَ عُسۡرٖ يُسۡرٗا ﴿7﴾

Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Katonda gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Katonda bwe yamuwa, Katonda tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Katonda ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lwo buzito.

65:8

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ عَتَتۡ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهَا وَرُسُلِهِۦ فَحَاسَبۡنَٰهَا حِسَابٗا شَدِيدٗا وَعَذَّبۡنَٰهَا عَذَابٗا نُّكۡرٗا ﴿8﴾

Ebitundu bimeka nga abantu baayo bajeemera Katonda omulezi waabwe n'ababaka beyabatumiranga, ne tubibala olubala oluyitirivu era ne tubibonereza olubonereza olukambwe.

65:9

فَذَاقَتۡ وَبَالَ أَمۡرِهَا وَكَانَ عَٰقِبَةُ أَمۡرِهَا خُسۡرًا ﴿9﴾

(Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa.

65:10

أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدٗاۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ قَدۡ أَنزَلَ ٱللَّهُ إِلَيۡكُمۡ ذِكۡرٗا ﴿10﴾

Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, kale nno mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agategeera, abange mmwe abakkiriza. Anti Katonda yassa gye muli obubaka obujjukiza (Kur'ani).

65:11

رَّسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ مُبَيِّنَٰتٖ لِّيُخۡرِجَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۚ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ وَيَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا يُدۡخِلۡهُ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ قَدۡ أَحۡسَنَ ٱللَّهُ لَهُۥ رِزۡقًا ﴿11﴾

Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma).

65:12

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ وَمِنَ ٱلۡأَرۡضِ مِثۡلَهُنَّۖ يَتَنَزَّلُ ٱلۡأَمۡرُ بَيۡنَهُنَّ لِتَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ وَأَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَحَاطَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عِلۡمَۢا ﴿12﴾

Katonda yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, obubaka bwa Katonda bukka wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Katonda musobozi ku buli kintu, era mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.

66:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ لِمَ تُحَرِّمُ مَآ أَحَلَّ ٱللَّهُ لَكَۖ تَبۡتَغِي مَرۡضَاتَ أَزۡوَٰجِكَۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿1﴾

Owange ggwe Nabbi lwaki oziza ebyo Katonda bye yakukkiriza, nga onoonya okusiimisa bakyalabo. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.

66:2

قَدۡ فَرَضَ ٱللَّهُ لَكُمۡ تَحِلَّةَ أَيۡمَٰنِكُمۡۚ وَٱللَّهُ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿2﴾

Katonda yabateerawo engeri gye muva mu birayiro byemuba mukoze, anti bulijjo aba nammwe, ate nga yye muyitirivu wa kumanya, buli kyakola akikola lwa nsonga.

66:3

وَإِذۡ أَسَرَّ ٱلنَّبِيُّ إِلَىٰ بَعۡضِ أَزۡوَٰجِهِۦ حَدِيثٗا فَلَمَّا نَبَّأَتۡ بِهِۦ وَأَظۡهَرَهُ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ عَرَّفَ بَعۡضَهُۥ وَأَعۡرَضَ عَنۢ بَعۡضٖۖ فَلَمَّا نَبَّأَهَا بِهِۦ قَالَتۡ مَنۡ أَنۢبَأَكَ هَٰذَاۖ قَالَ نَبَّأَنِيَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿3﴾

Era jjukira Nabbi bwe yabuulira omu ku bakyalabe (Hafuswa) ekyama, omukyala oyo bwe yamala okwogera ekyama ekyo, ate Katonda n'akitegeeza Nabbi. Nabbi n'amubuulirako ebimu ebirala n'abireka. Nabbi olwa kibuulira omukyala oyo (omukyala n'amubuuza) nti ani yakikugambye (Nabbi n'amuddamu nti) eyakintegeezezza ye muyitirivu w'okumanya omukenkufu (Katonda).

66:4

إِن تَتُوبَآ إِلَى ٱللَّهِ فَقَدۡ صَغَتۡ قُلُوبُكُمَاۖ وَإِن تَظَٰهَرَا عَلَيۡهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ هُوَ مَوۡلَىٰهُ وَجِبۡرِيلُ وَصَٰلِحُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَعۡدَ ذَٰلِكَ ظَهِيرٌ ﴿4﴾

Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako.

66:5

عَسَىٰ رَبُّهُۥٓ إِن طَلَّقَكُنَّ أَن يُبۡدِلَهُۥٓ أَزۡوَٰجًا خَيۡرٗا مِّنكُنَّ مُسۡلِمَٰتٖ مُّؤۡمِنَٰتٖ قَٰنِتَٰتٖ تَـٰٓئِبَٰتٍ عَٰبِدَٰتٖ سَـٰٓئِحَٰتٖ ثَيِّبَٰتٖ وَأَبۡكَارٗا ﴿5﴾

Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako.

66:6

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ وَأَهۡلِيكُمۡ نَارٗا وَقُودُهَا ٱلنَّاسُ وَٱلۡحِجَارَةُ عَلَيۡهَا مَلَـٰٓئِكَةٌ غِلَاظٞ شِدَادٞ لَّا يَعۡصُونَ ٱللَّهَ مَآ أَمَرَهُمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ ﴿6﴾

Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa.

66:7

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَا تَعۡتَذِرُواْ ٱلۡيَوۡمَۖ إِنَّمَا تُجۡزَوۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿7﴾

(Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baligambibwa nti) Abange mmwe abakafiiri temwetonda olwaleero, mazima mugenda kusasulwa ebyo bye mwakola.

66:8

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ تُوبُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ تَوۡبَةٗ نَّصُوحًا عَسَىٰ رَبُّكُمۡ أَن يُكَفِّرَ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَيُدۡخِلَكُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ يَوۡمَ لَا يُخۡزِي ٱللَّهُ ٱلنَّبِيَّ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥۖ نُورُهُمۡ يَسۡعَىٰ بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَبِأَيۡمَٰنِهِمۡ يَقُولُونَ رَبَّنَآ أَتۡمِمۡ لَنَا نُورَنَا وَٱغۡفِرۡ لَنَآۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿8﴾

Abange mmwe abakkiriza mwenenyeze Katonda olwenenya olwa namaddala. Omulezi wa mmwe Katonda kikakafu ajja ku basangulako ebyonoono bya mmwe era abayingize e jjana ezikulukutirwamu e migga. Olunaku Katonda lwataliweebuula Nabbi na bakkiriza abali naye. E kitangaala kyabwe nga kibeetoolodde mu maaso ne ku ddyo waabwe, nga bagamba nti ayi omulezi waffe tulekerewo e kitangaala kyaffe era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) anti mazima ggwe oli musobozi ku buli kintu.

66:9

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ جَٰهِدِ ٱلۡكُفَّارَ وَٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱغۡلُظۡ عَلَيۡهِمۡۚ وَمَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿9﴾

Owange ggwe Nabbi funvubira mu kulwanyisa abakafiiri n'abannanfusi era obazitoowereze. Obuddo bwabwe muliro Jahannama, ate obuddo obwo bubi nnyo.

66:10

ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱمۡرَأَتَ نُوحٖ وَٱمۡرَأَتَ لُوطٖۖ كَانَتَا تَحۡتَ عَبۡدَيۡنِ مِنۡ عِبَادِنَا صَٰلِحَيۡنِ فَخَانَتَاهُمَا فَلَمۡ يُغۡنِيَا عَنۡهُمَا مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗا وَقِيلَ ٱدۡخُلَا ٱلنَّارَ مَعَ ٱلدَّـٰخِلِينَ ﴿10﴾

Katonda yakubira abakafiiri ekifananyi kya muka Nuhu ne muka Luutu. Baali bakyala b'a baddu ababiri mu baddu baffe abalongoofu, naye nno ne babakumpanya (n'obutakkiriza Katonda). Nabbi Nuhu ne Luutu tebaalina kye baagasa bakyala baabwe ewa Katonda. Ne bagambwa (Abakyala bombi) nti muyingire omuliro awamu naabo abaguyingira.

66:11

وَضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱمۡرَأَتَ فِرۡعَوۡنَ إِذۡ قَالَتۡ رَبِّ ٱبۡنِ لِي عِندَكَ بَيۡتٗا فِي ٱلۡجَنَّةِ وَنَجِّنِي مِن فِرۡعَوۡنَ وَعَمَلِهِۦ وَنَجِّنِي مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿11﴾

Era Katonda yakubira abakkiriza e kifaananyi kya muka Firawo mu kiseera weyasabira (Katonda) nti: Ayi omulezi wange nzimbirayo e nyumba gyoli mu jjana era omponye Firawo n'ebikolwabye, omponye n'abantu abeeyisa obubi.

66:12

وَمَرۡيَمَ ٱبۡنَتَ عِمۡرَٰنَ ٱلَّتِيٓ أَحۡصَنَتۡ فَرۡجَهَا فَنَفَخۡنَا فِيهِ مِن رُّوحِنَا وَصَدَّقَتۡ بِكَلِمَٰتِ رَبِّهَا وَكُتُبِهِۦ وَكَانَتۡ مِنَ ٱلۡقَٰنِتِينَ ﴿12﴾

Era Katonda yakuba e kifananyi kya Mariyamu muwala wa Imran oyo eyeekuuma kale netufuuwa mu ye omwoyo ogwava gye tuli era Mariam nakkiriza ebigambo bya Katondawe n'ebitabobye, n'abeera nga ali mu basinza Katonda abagonvu.

67:1

تَبَٰرَكَ ٱلَّذِي بِيَدِهِ ٱلۡمُلۡكُ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿1﴾

Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu.

67:2

ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡمَوۡتَ وَٱلۡحَيَوٰةَ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفُورُ ﴿2﴾

Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi.

67:3

ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗاۖ مَّا تَرَىٰ فِي خَلۡقِ ٱلرَّحۡمَٰنِ مِن تَفَٰوُتٖۖ فَٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ هَلۡ تَرَىٰ مِن فُطُورٖ ﴿3﴾

Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna.

67:4

ثُمَّ ٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ كَرَّتَيۡنِ يَنقَلِبۡ إِلَيۡكَ ٱلۡبَصَرُ خَاسِئٗا وَهُوَ حَسِيرٞ ﴿4﴾

Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo.

67:5

وَلَقَدۡ زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَجَعَلۡنَٰهَا رُجُومٗا لِّلشَّيَٰطِينِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابَ ٱلسَّعِيرِ ﴿5﴾

Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.

67:6

وَلِلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿6﴾

Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi.

67:7

إِذَآ أُلۡقُواْ فِيهَا سَمِعُواْ لَهَا شَهِيقٗا وَهِيَ تَفُورُ ﴿7﴾

Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa.

67:8

تَكَادُ تَمَيَّزُ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۖ كُلَّمَآ أُلۡقِيَ فِيهَا فَوۡجٞ سَأَلَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ نَذِيرٞ ﴿8﴾

Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)?

67:9

قَالُواْ بَلَىٰ قَدۡ جَآءَنَا نَذِيرٞ فَكَذَّبۡنَا وَقُلۡنَا مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ كَبِيرٖ ﴿9﴾

Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu.

67:10

وَقَالُواْ لَوۡ كُنَّا نَسۡمَعُ أَوۡ نَعۡقِلُ مَا كُنَّا فِيٓ أَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ ﴿10﴾

Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro.

67:11

فَٱعۡتَرَفُواْ بِذَنۢبِهِمۡ فَسُحۡقٗا لِّأَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ ﴿11﴾

Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro.

67:12

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٞ ﴿12﴾

Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

67:13

وَأَسِرُّواْ قَوۡلَكُمۡ أَوِ ٱجۡهَرُواْ بِهِۦٓۖ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿13﴾

Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba

67:14

أَلَا يَعۡلَمُ مَنۡ خَلَقَ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿14﴾

Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo!.

67:15

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ ذَلُولٗا فَٱمۡشُواْ فِي مَنَاكِبِهَا وَكُلُواْ مِن رِّزۡقِهِۦۖ وَإِلَيۡهِ ٱلنُّشُورُ ﴿15﴾

Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda.

67:16

ءَأَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يَخۡسِفَ بِكُمُ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا هِيَ تَمُورُ ﴿16﴾

Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse.

67:17

أَمۡ أَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبٗاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ كَيۡفَ نَذِيرِ ﴿17﴾

Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu.

67:18

وَلَقَدۡ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ﴿18﴾

Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako.

67:19

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ فَوۡقَهُمۡ صَـٰٓفَّـٰتٖ وَيَقۡبِضۡنَۚ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱلرَّحۡمَٰنُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءِۭ بَصِيرٌ ﴿19﴾

Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu.

67:20

أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ جُندٞ لَّكُمۡ يَنصُرُكُم مِّن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ إِنِ ٱلۡكَٰفِرُونَ إِلَّا فِي غُرُورٍ ﴿20﴾

Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali.

67:21

أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي يَرۡزُقُكُمۡ إِنۡ أَمۡسَكَ رِزۡقَهُۥۚ بَل لَّجُّواْ فِي عُتُوّٖ وَنُفُورٍ ﴿21﴾

Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula.

67:22

أَفَمَن يَمۡشِي مُكِبًّا عَلَىٰ وَجۡهِهِۦٓ أَهۡدَىٰٓ أَمَّن يَمۡشِي سَوِيًّا عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿22﴾

Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu.

67:23

قُلۡ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَكُمۡ وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ ﴿23﴾

Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono.

67:24

قُلۡ هُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿24﴾

Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali.

67:25

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿25﴾

Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu.

67:26

قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡعِلۡمُ عِندَ ٱللَّهِ وَإِنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿26﴾

Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu.

67:27

فَلَمَّا رَأَوۡهُ زُلۡفَةٗ سِيٓـَٔتۡ وُجُوهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقِيلَ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تَدَّعُونَ ﴿27﴾

Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi.

67:28

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَهۡلَكَنِيَ ٱللَّهُ وَمَن مَّعِيَ أَوۡ رَحِمَنَا فَمَن يُجِيرُ ٱلۡكَٰفِرِينَ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿28﴾

Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma.

67:29

قُلۡ هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ءَامَنَّا بِهِۦ وَعَلَيۡهِ تَوَكَّلۡنَاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿29﴾

Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu.

67:30

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَصۡبَحَ مَآؤُكُمۡ غَوۡرٗا فَمَن يَأۡتِيكُم بِمَآءٖ مَّعِينِۭ ﴿30﴾

Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo.