quranm◉

Juz 22 ۞وَمَن يَقۡنُتۡ مِنكُنَّ لِلَّهِ

Range
from 33:31 to 36:27
Surahs covered
Okuvvuunula
169 Okuvvuunula

◉

33:31

وَمَن يَقۡنُتۡ مِنكُنَّ لِلَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَتَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا نُّؤۡتِهَآ أَجۡرَهَا مَرَّتَيۡنِ وَأَعۡتَدۡنَا لَهَا رِزۡقٗا كَرِيمٗا ﴿31﴾

. N'oyo yenna mu mmwe (baka Nabbi) agondera Katonda n’omubakawe naakola emirimu emirungi tumuwa empeeraye emirundi ebiri, era twamutegekera riziki eweesa ekitiibwa.

33:32

يَٰنِسَآءَ ٱلنَّبِيِّ لَسۡتُنَّ كَأَحَدٖ مِّنَ ٱلنِّسَآءِ إِنِ ٱتَّقَيۡتُنَّۚ فَلَا تَخۡضَعۡنَ بِٱلۡقَوۡلِ فَيَطۡمَعَ ٱلَّذِي فِي قَلۡبِهِۦ مَرَضٞ وَقُلۡنَ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا ﴿32﴾

. Abange baka Nabbi temufaanana bakyala balala, bwe muba mutidde Katonda kale temugonzanga enjogera olwo nno naakwatibwa amaddu oyo alina obulwadde mu mutima gwe, era (buli lwe mwogera) mwogere ebigambo eby'ensa.

33:33

وَقَرۡنَ فِي بُيُوتِكُنَّ وَلَا تَبَرَّجۡنَ تَبَرُّجَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ ٱلۡأُولَىٰۖ وَأَقِمۡنَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتِينَ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِعۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُذۡهِبَ عَنكُمُ ٱلرِّجۡسَ أَهۡلَ ٱلۡبَيۡتِ وَيُطَهِّرَكُمۡ تَطۡهِيرٗا ﴿33﴾

. Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.

33:34

وَٱذۡكُرۡنَ مَا يُتۡلَىٰ فِي بُيُوتِكُنَّ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱلۡحِكۡمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ لَطِيفًا خَبِيرًا ﴿34﴾

. Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako.

33:35

إِنَّ ٱلۡمُسۡلِمِينَ وَٱلۡمُسۡلِمَٰتِ وَٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡقَٰنِتَٰتِ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلصَّـٰدِقَٰتِ وَٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰبِرَٰتِ وَٱلۡخَٰشِعِينَ وَٱلۡخَٰشِعَٰتِ وَٱلۡمُتَصَدِّقِينَ وَٱلۡمُتَصَدِّقَٰتِ وَٱلصَّـٰٓئِمِينَ وَٱلصَّـٰٓئِمَٰتِ وَٱلۡحَٰفِظِينَ فُرُوجَهُمۡ وَٱلۡحَٰفِظَٰتِ وَٱلذَّـٰكِرِينَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱلذَّـٰكِرَٰتِ أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿35﴾

. Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

33:36

وَمَا كَانَ لِمُؤۡمِنٖ وَلَا مُؤۡمِنَةٍ إِذَا قَضَى ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥٓ أَمۡرًا أَن يَكُونَ لَهُمُ ٱلۡخِيَرَةُ مِنۡ أَمۡرِهِمۡۗ وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلٗا مُّبِينٗا ﴿36﴾

. Tekigwanirangako omukkiriza omusajja oba omukkiriza omukazi, Katonda n’omubaka we okumala okusalawo ekintu ate bo nebaba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.

33:37

وَإِذۡ تَقُولُ لِلَّذِيٓ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَأَنۡعَمۡتَ عَلَيۡهِ أَمۡسِكۡ عَلَيۡكَ زَوۡجَكَ وَٱتَّقِ ٱللَّهَ وَتُخۡفِي فِي نَفۡسِكَ مَا ٱللَّهُ مُبۡدِيهِ وَتَخۡشَى ٱلنَّاسَ وَٱللَّهُ أَحَقُّ أَن تَخۡشَىٰهُۖ فَلَمَّا قَضَىٰ زَيۡدٞ مِّنۡهَا وَطَرٗا زَوَّجۡنَٰكَهَا لِكَيۡ لَا يَكُونَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ حَرَجٞ فِيٓ أَزۡوَٰجِ أَدۡعِيَآئِهِمۡ إِذَا قَضَوۡاْ مِنۡهُنَّ وَطَرٗاۚ وَكَانَ أَمۡرُ ٱللَّهِ مَفۡعُولٗا ﴿37﴾

. Jjukira bwe wagamba oyo Katonda gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyalawo (toyawukana naye) era tya Katonda , ate ggwe nookweka mu mwoyo gwo ekyo Katonda kyanassa mu bbanga, n'oba nga otya abantu ate nga Katonda y'asinga okusaanira okuba nga gwotya, olwo nno Zaidi bwe yamala okumala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu bakkiriza kuwasa baka baana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (nebaba nga tebakyabaagala nebabawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Katonda kiteekwa kussibwa mu nkola.

33:38

مَّا كَانَ عَلَى ٱلنَّبِيِّ مِنۡ حَرَجٖ فِيمَا فَرَضَ ٱللَّهُ لَهُۥۖ سُنَّةَ ٱللَّهِ فِي ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلُۚ وَكَانَ أَمۡرُ ٱللَّهِ قَدَرٗا مَّقۡدُورًا ﴿38﴾

. Tekisaanira Nabbi kuwulira bubi ku ekyo Katonda kyaba amusaliddewo, eyo y'enkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiba kyagerwa ekyasalibwawo edda.

33:39

ٱلَّذِينَ يُبَلِّغُونَ رِسَٰلَٰتِ ٱللَّهِ وَيَخۡشَوۡنَهُۥ وَلَا يَخۡشَوۡنَ أَحَدًا إِلَّا ٱللَّهَۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ حَسِيبٗا ﴿39﴾

. (Obutaba na nkenyera nga Katonda amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Katonda era nebamutya nebaba nga tebatya kintu kyonna okugyako Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda y'agenda okubala.

33:40

مَّا كَانَ مُحَمَّدٌ أَبَآ أَحَدٖ مِّن رِّجَالِكُمۡ وَلَٰكِن رَّسُولَ ٱللَّهِ وَخَاتَمَ ٱلنَّبِيِّـۧنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا ﴿40﴾

. Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.

33:41

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ ذِكۡرٗا كَثِيرٗا ﴿41﴾

. Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda nga mumwogerako nnyo.

33:42

وَسَبِّحُوهُ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلًا ﴿42﴾

. Era mumutendereze enkya n’olweggulo.

33:43

هُوَ ٱلَّذِي يُصَلِّي عَلَيۡكُمۡ وَمَلَـٰٓئِكَتُهُۥ لِيُخۡرِجَكُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۚ وَكَانَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ رَحِيمٗا ﴿43﴾

. Yye yooyo abasaasira nga ne ba Malayika be babasabira, abe nga abaggya mu bizikiza mudde eri ekitangaala. Era bulijjo musaasizi eri abakkiriza.

33:44

تَحِيَّتُهُمۡ يَوۡمَ يَلۡقَوۡنَهُۥ سَلَٰمٞۚ وَأَعَدَّ لَهُمۡ أَجۡرٗا كَرِيمٗا ﴿44﴾

. Salaamu kye kiriba ekiramuso kya bwe (okuva ewa Katonda) olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi.

33:45

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ شَٰهِدٗا وَمُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿45﴾

. Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi, era nga owa amawulire ag'essanyu, era nga owa amawuire agalabula.

33:46

وَدَاعِيًا إِلَى ٱللَّهِ بِإِذۡنِهِۦ وَسِرَاجٗا مُّنِيرٗا ﴿46﴾

. Era nga okoowoola (abantu) okudda eri Katonda ku lwe'kiragirokye era nga oli ttaala emulisa.

33:47

وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ بِأَنَّ لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ فَضۡلٗا كَبِيرٗا ﴿47﴾

. Era sanyusa abakkiriza nti mazima bagenda kufuna okuva eri Katonda ebirungi ebisuffu.

33:48

وَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَدَعۡ أَذَىٰهُمۡ وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا ﴿48﴾

. Era togondera abakaafiiri n'abannanfusi era tofa ku binyiizo bya bwe era weekwate bulijjo ku Katonda, anti amala okuba nga ye mukuumi.

33:49

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نَكَحۡتُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ طَلَّقۡتُمُوهُنَّ مِن قَبۡلِ أَن تَمَسُّوهُنَّ فَمَا لَكُمۡ عَلَيۡهِنَّ مِنۡ عِدَّةٖ تَعۡتَدُّونَهَاۖ فَمَتِّعُوهُنَّ وَسَرِّحُوهُنَّ سَرَاحٗا جَمِيلٗا ﴿49﴾

. Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala abakkiriza ate nemubata nga temunnabakwatako (nga temunnatuuka gye bali), temubalinaako Idda zebatuula (nga tebannafumbirwa basajja balala), olwo nno mubasibirire ekyo ekibasanyusa era mubaleke oluleka olulungi.

33:50

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِنَّآ أَحۡلَلۡنَا لَكَ أَزۡوَٰجَكَ ٱلَّـٰتِيٓ ءَاتَيۡتَ أُجُورَهُنَّ وَمَا مَلَكَتۡ يَمِينُكَ مِمَّآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ وَبَنَاتِ عَمِّكَ وَبَنَاتِ عَمَّـٰتِكَ وَبَنَاتِ خَالِكَ وَبَنَاتِ خَٰلَٰتِكَ ٱلَّـٰتِي هَاجَرۡنَ مَعَكَ وَٱمۡرَأَةٗ مُّؤۡمِنَةً إِن وَهَبَتۡ نَفۡسَهَا لِلنَّبِيِّ إِنۡ أَرَادَ ٱلنَّبِيُّ أَن يَسۡتَنكِحَهَا خَالِصَةٗ لَّكَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۗ قَدۡ عَلِمۡنَا مَا فَرَضۡنَا عَلَيۡهِمۡ فِيٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ وَمَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ لِكَيۡلَا يَكُونَ عَلَيۡكَ حَرَجٞۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿50﴾

. Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo bewawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwa ddyo begufuga nga bajjira mu ebyo Katonda byaba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba Kitaawo omuto ne bawala ba ba sengabo, ne bawala ba Kojja wo ne bawala ba Maama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna omukkiriza bwaba nga yeewadde Nabbi, Nabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so ssi abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gya bwe egya ddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.

33:51

تُرۡجِي مَن تَشَآءُ مِنۡهُنَّ وَتُـٔۡوِيٓ إِلَيۡكَ مَن تَشَآءُۖ وَمَنِ ٱبۡتَغَيۡتَ مِمَّنۡ عَزَلۡتَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكَۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن تَقَرَّ أَعۡيُنُهُنَّ وَلَا يَحۡزَنَّ وَيَرۡضَيۡنَ بِمَآ ءَاتَيۡتَهُنَّ كُلُّهُنَّۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَلِيمٗا ﴿51﴾

. Olindiriza oyo gwoba oyagadde ku bo ate nootwala oyo gwoba oyagadde ate oyo gwoba osazeewo mu abo boolindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo noomutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna nebasiima ebyo byoba obawadde, era Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gya mmwe, anti bilijjo Katonda mumanyi nnyo wa kisa.

33:52

لَّا يَحِلُّ لَكَ ٱلنِّسَآءُ مِنۢ بَعۡدُ وَلَآ أَن تَبَدَّلَ بِهِنَّ مِنۡ أَزۡوَٰجٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَكَ حُسۡنُهُنَّ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ يَمِينُكَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ رَّقِيبٗا ﴿52﴾

. Tokkirizibwa bakyala balala oluvanyuma lw'abo (boolina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okugyako abo omukono gwo ogwa ddyo begufuga, era bulijjo Katonda mulondoozi wa buli kintu.

33:53

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَدۡخُلُواْ بُيُوتَ ٱلنَّبِيِّ إِلَّآ أَن يُؤۡذَنَ لَكُمۡ إِلَىٰ طَعَامٍ غَيۡرَ نَٰظِرِينَ إِنَىٰهُ وَلَٰكِنۡ إِذَا دُعِيتُمۡ فَٱدۡخُلُواْ فَإِذَا طَعِمۡتُمۡ فَٱنتَشِرُواْ وَلَا مُسۡتَـٔۡنِسِينَ لِحَدِيثٍۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ يُؤۡذِي ٱلنَّبِيَّ فَيَسۡتَحۡيِۦ مِنكُمۡۖ وَٱللَّهُ لَا يَسۡتَحۡيِۦ مِنَ ٱلۡحَقِّۚ وَإِذَا سَأَلۡتُمُوهُنَّ مَتَٰعٗا فَسۡـَٔلُوهُنَّ مِن وَرَآءِ حِجَابٖۚ ذَٰلِكُمۡ أَطۡهَرُ لِقُلُوبِكُمۡ وَقُلُوبِهِنَّۚ وَمَا كَانَ لَكُمۡ أَن تُؤۡذُواْ رَسُولَ ٱللَّهِ وَلَآ أَن تَنكِحُوٓاْ أَزۡوَٰجَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦٓ أَبَدًاۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ عِندَ ٱللَّهِ عَظِيمًا ﴿53﴾

. Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga e nyumba za Nabbi okugyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Katonda takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno kyekisinga obutukuvu eri emitima gya mmwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza omubaka wa Katonda era tekibagwanira kuwasa bakyalabe oluvanyumalwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Katonda.

33:54

إِن تُبۡدُواْ شَيۡـًٔا أَوۡ تُخۡفُوهُ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا ﴿54﴾

. Kamube nga mwolesezza ekintu oba nga mukikwese mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala ekifa ku buli kintu.

33:55

لَّا جُنَاحَ عَلَيۡهِنَّ فِيٓ ءَابَآئِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآئِهِنَّ وَلَآ إِخۡوَٰنِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآءِ إِخۡوَٰنِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآءِ أَخَوَٰتِهِنَّ وَلَا نِسَآئِهِنَّ وَلَا مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُنَّۗ وَٱتَّقِينَ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدًا ﴿55﴾

. (Bakyala ba Nabbi) tebalina kibi (obuteebikka) nga bali ne ba kitaabwe, wadde abaana baabwe wadde bannyinaabwe, wadde abaana ba bannyinaabwe, wadde abakyala nga bbo, wadde emikono gyabwe egya ddyo begifuga, bateekeddwa okutya Katonda, mazima Katonda bulijjo aba buli kintu kyonna wekikolerwa.

33:56

إِنَّ ٱللَّهَ وَمَلَـٰٓئِكَتَهُۥ يُصَلُّونَ عَلَى ٱلنَّبِيِّۚ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ صَلُّواْ عَلَيۡهِ وَسَلِّمُواْ تَسۡلِيمًا ﴿56﴾

. Mazima Katonda neba Malayikabe basaasira Nabbi, abange mmwe abakkiriza mumusabirenga era mumulamuse olulamusa (olumuwa ekitiibwa).

33:57

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَأَعَدَّ لَهُمۡ عَذَابٗا مُّهِينٗا ﴿57﴾

. Mazima abo abanyiiza Katonda n’omubakawe, Katonda yabakolimira ku nsi ne ku nkomerero era naabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.

33:58

وَٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ بِغَيۡرِ مَا ٱكۡتَسَبُواْ فَقَدِ ٱحۡتَمَلُواْ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا ﴿58﴾

. Ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu.

33:59

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ وَبَنَاتِكَ وَنِسَآءِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ يُدۡنِينَ عَلَيۡهِنَّ مِن جَلَٰبِيبِهِنَّۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن يُعۡرَفۡنَ فَلَا يُؤۡذَيۡنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿59﴾

. Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.

33:60

لَّئِن لَّمۡ يَنتَهِ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡمُرۡجِفُونَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لَنُغۡرِيَنَّكَ بِهِمۡ ثُمَّ لَا يُجَاوِرُونَكَ فِيهَآ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿60﴾

. Abannanfusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo okugyako ekiseera kitono.

33:61

مَّلۡعُونِينَۖ أَيۡنَمَا ثُقِفُوٓاْ أُخِذُواْ وَقُتِّلُواْ تَقۡتِيلٗا ﴿61﴾

. Bakolimirwa, wonna webasangibwa bakwatibwa nebattibwa olutta.

33:62

سُنَّةَ ٱللَّهِ فِي ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلُۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّةِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗا ﴿62﴾

. (Tebasaasirwa) ekyo ye nkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye, ate toyinza kusanga kukyuka mu nkola ya Katonda.

33:63

يَسۡـَٔلُكَ ٱلنَّاسُ عَنِ ٱلسَّاعَةِۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ ٱللَّهِۚ وَمَا يُدۡرِيكَ لَعَلَّ ٱلسَّاعَةَ تَكُونُ قَرِيبًا ﴿63﴾

. Abantu bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero bagambe nti: mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Katonda, ye omanya otya oba olunaku lw'enkomerero luli kumpi!.

33:64

إِنَّ ٱللَّهَ لَعَنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَأَعَدَّ لَهُمۡ سَعِيرًا ﴿64﴾

. Mazima Katonda yakolimira abakaafiiri era naabategekera omuliro Sai-ir.

33:65

خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ لَّا يَجِدُونَ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿65﴾

. Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna wa mukwano oba omutaasa.

33:66

يَوۡمَ تُقَلَّبُ وُجُوهُهُمۡ فِي ٱلنَّارِ يَقُولُونَ يَٰلَيۡتَنَآ أَطَعۡنَا ٱللَّهَ وَأَطَعۡنَا ٱلرَّسُولَا۠ ﴿66﴾

. Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Katonda era netugondera omubaka.

33:67

وَقَالُواْ رَبَّنَآ إِنَّآ أَطَعۡنَا سَادَتَنَا وَكُبَرَآءَنَا فَأَضَلُّونَا ٱلسَّبِيلَا۠ ﴿67﴾

. Era ne bagamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno nebatubuza ekkubo.

33:68

رَبَّنَآ ءَاتِهِمۡ ضِعۡفَيۡنِ مِنَ ٱلۡعَذَابِ وَٱلۡعَنۡهُمۡ لَعۡنٗا كَبِيرٗا ﴿68﴾

. Ayi Mukama omulabirizi waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene.

33:69

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ ءَاذَوۡاْ مُوسَىٰ فَبَرَّأَهُ ٱللَّهُ مِمَّا قَالُواْۚ وَكَانَ عِندَ ٱللَّهِ وَجِيهٗا ﴿69﴾

. Abange mmwe abakkiriza temubeeranga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubirigwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Katonda yamutukuza ku ekyo kye baagamba era bulijjo wa kitiibwa ewa Katonda.

33:70

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَقُولُواْ قَوۡلٗا سَدِيدٗا ﴿70﴾

. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo ebituufu.

33:71

يُصۡلِحۡ لَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۗ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَقَدۡ فَازَ فَوۡزًا عَظِيمًا ﴿71﴾

. Ajja kubalongooseza emirimu gya mmwe era abasonyiwe ebyonoono bya mmwe, era bulijjo omuntu agondera Katonda n’omubakawe aba yeesiimye olwesiima olusuffu.

33:72

إِنَّا عَرَضۡنَا ٱلۡأَمَانَةَ عَلَى ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡجِبَالِ فَأَبَيۡنَ أَن يَحۡمِلۡنَهَا وَأَشۡفَقۡنَ مِنۡهَا وَحَمَلَهَا ٱلۡإِنسَٰنُۖ إِنَّهُۥ كَانَ ظَلُومٗا جَهُولٗا ﴿72﴾

. Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi.

33:73

لِّيُعَذِّبَ ٱللَّهُ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقَٰتِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ وَٱلۡمُشۡرِكَٰتِ وَيَتُوبَ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمَۢا ﴿73﴾

. Olwo nno Katonda alyoke abe nga abonereza abannanfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Katonda ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Katonda ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi. Era bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa muyitirivu wa kusaasira.

34:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿1﴾

. Ebitendo byonna bya Katonda, oyo nga bibye yekka, ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era ebitendo byonna bibye ku nkomerero era yye ye mugoba nsonga amanyi ennyo.

34:2

يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۚ وَهُوَ ٱلرَّحِيمُ ٱلۡغَفُورُ ﴿2﴾

. Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mu lyo, era yye ye musaasizi omusonyiyi.

34:3

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَا تَأۡتِينَا ٱلسَّاعَةُۖ قُلۡ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتَأۡتِيَنَّكُمۡ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِۖ لَا يَعۡزُبُ عَنۡهُ مِثۡقَالُ ذَرَّةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَآ أَصۡغَرُ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرُ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿3﴾

. Abo abaakaafuwala bagamba nti enkomerero tegenda kutujjira, bagambe nti nedda ndayidde Mukama omulabirizi wange (enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama omulabirizi wange) omumanyi w'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako kakabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kwako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okugyako nga kiri mu kitabo ekinnyonnyofu.

34:4

لِّيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ ﴿4﴾

. (Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo ne riziki eweesa ekitiibwa.

34:5

وَٱلَّذِينَ سَعَوۡ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٞ ﴿5﴾

. Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa ebigambo byaffe, abo balina ebibonerezo ebiruma olw'ebyonoono (byabwe).

34:6

وَيَرَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ هُوَ ٱلۡحَقَّ وَيَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿6﴾

. Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa.

34:7

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هَلۡ نَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ رَجُلٖ يُنَبِّئُكُمۡ إِذَا مُزِّقۡتُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍ إِنَّكُمۡ لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍ ﴿7﴾

. Abo abaakaafuwala (mu kujereegerera) bagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya.

34:8

أَفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَم بِهِۦ جِنَّةُۢۗ بَلِ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ فِي ٱلۡعَذَابِ وَٱلضَّلَٰلِ ٱلۡبَعِيدِ ﴿8﴾

. Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala.

34:9

أَفَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِن نَّشَأۡ نَخۡسِفۡ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضَ أَوۡ نُسۡقِطۡ عَلَيۡهِمۡ كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّكُلِّ عَبۡدٖ مُّنِيبٖ ﴿9﴾

. Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenyeza Katonda we.

34:10

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ مِنَّا فَضۡلٗاۖ يَٰجِبَالُ أَوِّبِي مَعَهُۥ وَٱلطَّيۡرَۖ وَأَلَنَّا لَهُ ٱلۡحَدِيدَ ﴿10﴾

. Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma.

34:11

أَنِ ٱعۡمَلۡ سَٰبِغَٰتٖ وَقَدِّرۡ فِي ٱلسَّرۡدِۖ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿11﴾

. (Netumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima nze ndabira ddala ebyo bye mukola.

34:12

وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ غُدُوُّهَا شَهۡرٞ وَرَوَاحُهَا شَهۡرٞۖ وَأَسَلۡنَا لَهُۥ عَيۡنَ ٱلۡقِطۡرِۖ وَمِنَ ٱلۡجِنِّ مَن يَعۡمَلُ بَيۡنَ يَدَيۡهِ بِإِذۡنِ رَبِّهِۦۖ وَمَن يَزِغۡ مِنۡهُمۡ عَنۡ أَمۡرِنَا نُذِقۡهُ مِنۡ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ ﴿12﴾

. Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri.

34:13

يَعۡمَلُونَ لَهُۥ مَا يَشَآءُ مِن مَّحَٰرِيبَ وَتَمَٰثِيلَ وَجِفَانٖ كَٱلۡجَوَابِ وَقُدُورٖ رَّاسِيَٰتٍۚ ٱعۡمَلُوٓاْ ءَالَ دَاوُۥدَ شُكۡرٗاۚ وَقَلِيلٞ مِّنۡ عِبَادِيَ ٱلشَّكُورُ ﴿13﴾

. N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange.

34:14

فَلَمَّا قَضَيۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَوۡتَ مَا دَلَّهُمۡ عَلَىٰ مَوۡتِهِۦٓ إِلَّا دَآبَّةُ ٱلۡأَرۡضِ تَأۡكُلُ مِنسَأَتَهُۥۖ فَلَمَّا خَرَّ تَبَيَّنَتِ ٱلۡجِنُّ أَن لَّوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٱلۡغَيۡبَ مَا لَبِثُواْ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلۡمُهِينِ ﴿14﴾

. Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okugyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambula nga nagwo) olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa.

34:15

لَقَدۡ كَانَ لِسَبَإٖ فِي مَسۡكَنِهِمۡ ءَايَةٞۖ جَنَّتَانِ عَن يَمِينٖ وَشِمَالٖۖ كُلُواْ مِن رِّزۡقِ رَبِّكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥۚ بَلۡدَةٞ طَيِّبَةٞ وَرَبٌّ غَفُورٞ ﴿15﴾

. Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi.

34:16

فَأَعۡرَضُواْ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ سَيۡلَ ٱلۡعَرِمِ وَبَدَّلۡنَٰهُم بِجَنَّتَيۡهِمۡ جَنَّتَيۡنِ ذَوَاتَيۡ أُكُلٍ خَمۡطٖ وَأَثۡلٖ وَشَيۡءٖ مِّن سِدۡرٖ قَلِيلٖ ﴿16﴾

. Baava ku kyabalagirwa netubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono.

34:17

ذَٰلِكَ جَزَيۡنَٰهُم بِمَا كَفَرُواْۖ وَهَلۡ نُجَٰزِيٓ إِلَّا ٱلۡكَفُورَ ﴿17﴾

. Ekyo kye twabasasula olw'obukaafiiri bwa bwe, ye ate tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okugyako abakaafiiri.

34:18

وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ ٱلۡقُرَى ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا قُرٗى ظَٰهِرَةٗ وَقَدَّرۡنَا فِيهَا ٱلسَّيۡرَۖ سِيرُواْ فِيهَا لَيَالِيَ وَأَيَّامًا ءَامِنِينَ ﴿18﴾

. Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe.

34:19

فَقَالُواْ رَبَّنَا بَٰعِدۡ بَيۡنَ أَسۡفَارِنَا وَظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَ وَمَزَّقۡنَٰهُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿19﴾

. Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo.

34:20

وَلَقَدۡ صَدَّقَ عَلَيۡهِمۡ إِبۡلِيسُ ظَنَّهُۥ فَٱتَّبَعُوهُ إِلَّا فَرِيقٗا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿20﴾

. Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye nga akozesa bbo, olwo nno ne bamugoberera okugyako ekitundu ku bakkiriza.

34:21

وَمَا كَانَ لَهُۥ عَلَيۡهِم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يُؤۡمِنُ بِٱلۡأٓخِرَةِ مِمَّنۡ هُوَ مِنۡهَا فِي شَكّٖۗ وَرَبُّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَفِيظٞ ﴿21﴾

. Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu.

34:22

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ مِثۡقَالَ ذَرَّةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا لَهُمۡ فِيهِمَا مِن شِرۡكٖ وَمَا لَهُۥ مِنۡهُم مِّن ظَهِيرٖ ﴿22﴾

. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala.

34:23

وَلَا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ عِندَهُۥٓ إِلَّا لِمَنۡ أَذِنَ لَهُۥۚ حَتَّىٰٓ إِذَا فُزِّعَ عَن قُلُوبِهِمۡ قَالُواْ مَاذَا قَالَ رَبُّكُمۡۖ قَالُواْ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ ﴿23﴾

. Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu.

34:24

قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُلِ ٱللَّهُۖ وَإِنَّآ أَوۡ إِيَّاكُمۡ لَعَلَىٰ هُدًى أَوۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿24﴾

. Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu.

34:25

قُل لَّا تُسۡـَٔلُونَ عَمَّآ أَجۡرَمۡنَا وَلَا نُسۡـَٔلُ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿25﴾

. Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola.

34:26

قُلۡ يَجۡمَعُ بَيۡنَنَا رَبُّنَا ثُمَّ يَفۡتَحُ بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَهُوَ ٱلۡفَتَّاحُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿26﴾

. Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo.

34:27

قُلۡ أَرُونِيَ ٱلَّذِينَ أَلۡحَقۡتُم بِهِۦ شُرَكَآءَۖ كَلَّاۚ بَلۡ هُوَ ٱللَّهُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿27﴾

. Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula yye ye Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

34:28

وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا كَآفَّةٗ لِّلنَّاسِ بَشِيرٗا وَنَذِيرٗا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿28﴾

. Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi.

34:29

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿29﴾

. Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!.

34:30

قُل لَّكُم مِّيعَادُ يَوۡمٖ لَّا تَسۡتَـٔۡخِرُونَ عَنۡهُ سَاعَةٗ وَلَا تَسۡتَقۡدِمُونَ ﴿30﴾

. Bagambe nti mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna).

34:31

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن نُّؤۡمِنَ بِهَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ وَلَا بِٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ مَوۡقُوفُونَ عِندَ رَبِّهِمۡ يَرۡجِعُ بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٍ ٱلۡقَوۡلَ يَقُولُ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لَوۡلَآ أَنتُمۡ لَكُنَّا مُؤۡمِنِينَ ﴿31﴾

. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: tetujja kukkiriza Kur’ani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa osobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba aba waggulu nti singa temwali mmwe twandibadde bakkirizza.

34:32

قَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُوٓاْ أَنَحۡنُ صَدَدۡنَٰكُمۡ عَنِ ٱلۡهُدَىٰ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَكُمۖ بَلۡ كُنتُم مُّجۡرِمِينَ ﴿32﴾

. Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulungamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi.

34:33

وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ بَلۡ مَكۡرُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ إِذۡ تَأۡمُرُونَنَآ أَن نَّكۡفُرَ بِٱللَّهِ وَنَجۡعَلَ لَهُۥٓ أَندَادٗاۚ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَغۡلَٰلَ فِيٓ أَعۡنَاقِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿33﴾

. N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Katonda netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola.

34:34

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِي قَرۡيَةٖ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ ﴿34﴾

. Era tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya nga bagamba nti mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo.

34:35

وَقَالُواْ نَحۡنُ أَكۡثَرُ أَمۡوَٰلٗا وَأَوۡلَٰدٗا وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ ﴿35﴾

. Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa.

34:36

قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿36﴾

. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

34:37

وَمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُكُم بِٱلَّتِي تُقَرِّبُكُمۡ عِندَنَا زُلۡفَىٰٓ إِلَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ جَزَآءُ ٱلضِّعۡفِ بِمَا عَمِلُواْ وَهُمۡ فِي ٱلۡغُرُفَٰتِ ءَامِنُونَ ﴿37﴾

. Era emmaali ya mmwe n’abaana ba mmwe si bye biyamba okusembera gye tuli okugyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nyumba ensitufu.

34:38

وَٱلَّذِينَ يَسۡعَوۡنَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَـٰٓئِكَ فِي ٱلۡعَذَابِ مُحۡضَرُونَ ﴿38﴾

. N'abo abassa amaanyi mu kulemesa ebigambo byaffe bagenda kuleetebwa eri bibonerezo

34:39

قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥۚ وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن شَيۡءٖ فَهُوَ يُخۡلِفُهُۥۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿39﴾

. Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi.

34:40

وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ يَقُولُ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَهَـٰٓؤُلَآءِ إِيَّاكُمۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ﴿40﴾

. Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe.

34:41

قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِمۖ بَلۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٱلۡجِنَّۖ أَكۡثَرُهُم بِهِم مُّؤۡمِنُونَ ﴿41﴾

. Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu.

34:42

فَٱلۡيَوۡمَ لَا يَمۡلِكُ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٖ نَّفۡعٗا وَلَا ضَرّٗا وَنَقُولُ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ ﴿42﴾

. (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.

34:43

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا رَجُلٞ يُرِيدُ أَن يَصُدَّكُمۡ عَمَّا كَانَ يَعۡبُدُ ءَابَآؤُكُمۡ وَقَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكٞ مُّفۡتَرٗىۚ وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿43﴾

. Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu.

34:44

وَمَآ ءَاتَيۡنَٰهُم مِّن كُتُبٖ يَدۡرُسُونَهَاۖ وَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمۡ قَبۡلَكَ مِن نَّذِيرٖ ﴿44﴾

. (Boogera ebyo naye nga) tetubawanga bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna oluberyeberye lwo.

34:45

وَكَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَمَا بَلَغُواْ مِعۡشَارَ مَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ فَكَذَّبُواْ رُسُلِيۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ﴿45﴾

. Era abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa (abaka baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimu kya kkumi kye twawa bali, ate olwo nno nebalimbisa ababaka bange, naye nnababonereza ngeriki?.

34:46

قُلۡ إِنَّمَآ أَعِظُكُم بِوَٰحِدَةٍۖ أَن تَقُومُواْ لِلَّهِ مَثۡنَىٰ وَفُرَٰدَىٰ ثُمَّ تَتَفَكَّرُواْۚ مَا بِصَاحِبِكُم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرٞ لَّكُم بَيۡنَ يَدَيۡ عَذَابٖ شَدِيدٖ ﴿46﴾

. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde.

34:47

قُلۡ مَا سَأَلۡتُكُم مِّنۡ أَجۡرٖ فَهُوَ لَكُمۡۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٞ ﴿47﴾

. Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa.

34:48

قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَّـٰمُ ٱلۡغُيُوبِ ﴿48﴾

. Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange akozesa amazima najjawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu.

34:49

قُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَمَا يُبۡدِئُ ٱلۡبَٰطِلُ وَمَا يُعِيدُ ﴿49﴾

. Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda.

34:50

قُلۡ إِن ضَلَلۡتُ فَإِنَّمَآ أَضِلُّ عَلَىٰ نَفۡسِيۖ وَإِنِ ٱهۡتَدَيۡتُ فَبِمَا يُوحِيٓ إِلَيَّ رَبِّيٓۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٞ قَرِيبٞ ﴿50﴾

. Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala.

34:51

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ فَزِعُواْ فَلَا فَوۡتَ وَأُخِذُواْ مِن مَّكَانٖ قَرِيبٖ ﴿51﴾

. Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala.

34:52

وَقَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦ وَأَنَّىٰ لَهُمُ ٱلتَّنَاوُشُ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ ﴿52﴾

. Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde).

34:53

وَقَدۡ كَفَرُواْ بِهِۦ مِن قَبۡلُۖ وَيَقۡذِفُونَ بِٱلۡغَيۡبِ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ ﴿53﴾

. Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala.

34:54

وَحِيلَ بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ مَا يَشۡتَهُونَ كَمَا فُعِلَ بِأَشۡيَاعِهِم مِّن قَبۡلُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ فِي شَكّٖ مُّرِيبِۭ ﴿54﴾

. Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza).

35:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ جَاعِلِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ رُسُلًا أُوْلِيٓ أَجۡنِحَةٖ مَّثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۚ يَزِيدُ فِي ٱلۡخَلۡقِ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿1﴾

. Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu.

35:2

مَّا يَفۡتَحِ ٱللَّهُ لِلنَّاسِ مِن رَّحۡمَةٖ فَلَا مُمۡسِكَ لَهَاۖ وَمَا يُمۡسِكۡ فَلَا مُرۡسِلَ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿2﴾

. Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

35:3

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ هَلۡ مِنۡ خَٰلِقٍ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿3﴾

. Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.

35:4

وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كُذِّبَتۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿4﴾

. Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa.

35:5

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِٱللَّهِ ٱلۡغَرُورُ ﴿5﴾

. Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda.

35:6

إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لَكُمۡ عَدُوّٞ فَٱتَّخِذُوهُ عَدُوًّاۚ إِنَّمَا يَدۡعُواْ حِزۡبَهُۥ لِيَكُونُواْ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ ﴿6﴾

. Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri.

35:7

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٌ ﴿7﴾

. Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

35:8

أَفَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ فَرَءَاهُ حَسَنٗاۖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۖ فَلَا تَذۡهَبۡ نَفۡسُكَ عَلَيۡهِمۡ حَسَرَٰتٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا يَصۡنَعُونَ ﴿8﴾

. Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

35:9

وَٱللَّهُ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ ٱلرِّيَٰحَ فَتُثِيرُ سَحَابٗا فَسُقۡنَٰهُ إِلَىٰ بَلَدٖ مَّيِّتٖ فَأَحۡيَيۡنَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ كَذَٰلِكَ ٱلنُّشُورُ ﴿9﴾

. Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba).

35:10

مَن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡعِزَّةَ فَلِلَّهِ ٱلۡعِزَّةُ جَمِيعًاۚ إِلَيۡهِ يَصۡعَدُ ٱلۡكَلِمُ ٱلطَّيِّبُ وَٱلۡعَمَلُ ٱلصَّـٰلِحُ يَرۡفَعُهُۥۚ وَٱلَّذِينَ يَمۡكُرُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَمَكۡرُ أُوْلَـٰٓئِكَ هُوَ يَبُورُ ﴿10﴾

. Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka.

35:11

وَٱللَّهُ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ جَعَلَكُمۡ أَزۡوَٰجٗاۚ وَمَا تَحۡمِلُ مِنۡ أُنثَىٰ وَلَا تَضَعُ إِلَّا بِعِلۡمِهِۦۚ وَمَا يُعَمَّرُ مِن مُّعَمَّرٖ وَلَا يُنقَصُ مِنۡ عُمُرِهِۦٓ إِلَّا فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿11﴾

. Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.

35:12

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡبَحۡرَانِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ سَآئِغٞ شَرَابُهُۥ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞۖ وَمِن كُلّٖ تَأۡكُلُونَ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُونَ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ فِيهِ مَوَاخِرَ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿12﴾

. Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza.

35:13

يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡ لَهُ ٱلۡمُلۡكُۚ وَٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ مَا يَمۡلِكُونَ مِن قِطۡمِيرٍ ﴿13﴾

. Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke.

35:14

إِن تَدۡعُوهُمۡ لَا يَسۡمَعُواْ دُعَآءَكُمۡ وَلَوۡ سَمِعُواْ مَا ٱسۡتَجَابُواْ لَكُمۡۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكۡفُرُونَ بِشِرۡكِكُمۡۚ وَلَا يُنَبِّئُكَ مِثۡلُ خَبِيرٖ ﴿14﴾

. Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo.

35:15

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ أَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُ إِلَى ٱللَّهِۖ وَٱللَّهُ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿15﴾

. Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo.

35:16

إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ وَيَأۡتِ بِخَلۡقٖ جَدِيدٖ ﴿16﴾

. (N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya.

35:17

وَمَا ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ بِعَزِيزٖ ﴿17﴾

. Era ekyo ku Katonda si kinene.

35:18

وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۚ وَإِن تَدۡعُ مُثۡقَلَةٌ إِلَىٰ حِمۡلِهَا لَا يُحۡمَلۡ مِنۡهُ شَيۡءٞ وَلَوۡ كَانَ ذَا قُرۡبَىٰٓۗ إِنَّمَا تُنذِرُ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَمَن تَزَكَّىٰ فَإِنَّمَا يَتَزَكَّىٰ لِنَفۡسِهِۦۚ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿18﴾

. Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo.

35:19

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ ﴿19﴾

. Era muzibe n'alaba tebenkana.

35:20

وَلَا ٱلظُّلُمَٰتُ وَلَا ٱلنُّورُ ﴿20﴾

. Wadde ebizikiza n'ekitangaala.

35:21

وَلَا ٱلظِّلُّ وَلَا ٱلۡحَرُورُ ﴿21﴾

. Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana.

35:22

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَحۡيَآءُ وَلَا ٱلۡأَمۡوَٰتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُسۡمِعُ مَن يَشَآءُۖ وَمَآ أَنتَ بِمُسۡمِعٖ مَّن فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿22﴾

. Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli.

35:23

إِنۡ أَنتَ إِلَّا نَذِيرٌ ﴿23﴾

. Ggwe toli okugyako okuba omutiisa.

35:24

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ بَشِيرٗا وَنَذِيرٗاۚ وَإِن مِّنۡ أُمَّةٍ إِلَّا خَلَا فِيهَا نَذِيرٞ ﴿24﴾

. Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu.

35:25

وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَبِٱلزُّبُرِ وَبِٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُنِيرِ ﴿25﴾

. Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza.

35:26

ثُمَّ أَخَذۡتُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ﴿26﴾

. Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya.

35:27

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ ثَمَرَٰتٖ مُّخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهَاۚ وَمِنَ ٱلۡجِبَالِ جُدَدُۢ بِيضٞ وَحُمۡرٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهَا وَغَرَابِيبُ سُودٞ ﴿27﴾

. Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi.

35:28

وَمِنَ ٱلنَّاسِ وَٱلدَّوَآبِّ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مُخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ كَذَٰلِكَۗ إِنَّمَا يَخۡشَى ٱللَّهَ مِنۡ عِبَادِهِ ٱلۡعُلَمَـٰٓؤُاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ غَفُورٌ ﴿28﴾

. Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo.

35:29

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ كِتَٰبَ ٱللَّهِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ يَرۡجُونَ تِجَٰرَةٗ لَّن تَبُورَ ﴿29﴾

. Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba.

35:30

لِيُوَفِّيَهُمۡ أُجُورَهُمۡ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ غَفُورٞ شَكُورٞ ﴿30﴾

. Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza.

35:31

وَٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ هُوَ ٱلۡحَقُّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِعِبَادِهِۦ لَخَبِيرُۢ بَصِيرٞ ﴿31﴾

. N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo.

35:32

ثُمَّ أَوۡرَثۡنَا ٱلۡكِتَٰبَ ٱلَّذِينَ ٱصۡطَفَيۡنَا مِنۡ عِبَادِنَاۖ فَمِنۡهُمۡ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ وَمِنۡهُم مُّقۡتَصِدٞ وَمِنۡهُمۡ سَابِقُۢ بِٱلۡخَيۡرَٰتِ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡكَبِيرُ ﴿32﴾

. Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu.

35:33

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ ﴿33﴾

. (Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik.

35:34

وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَذۡهَبَ عَنَّا ٱلۡحَزَنَۖ إِنَّ رَبَّنَا لَغَفُورٞ شَكُورٌ ﴿34﴾

. Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza.

35:35

ٱلَّذِيٓ أَحَلَّنَا دَارَ ٱلۡمُقَامَةِ مِن فَضۡلِهِۦ لَا يَمَسُّنَا فِيهَا نَصَبٞ وَلَا يَمَسُّنَا فِيهَا لُغُوبٞ ﴿35﴾

. Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa.

35:36

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ نَارُ جَهَنَّمَ لَا يُقۡضَىٰ عَلَيۡهِمۡ فَيَمُوتُواْ وَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُم مِّنۡ عَذَابِهَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي كُلَّ كَفُورٖ ﴿36﴾

. Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima.

35:37

وَهُمۡ يَصۡطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا غَيۡرَ ٱلَّذِي كُنَّا نَعۡمَلُۚ أَوَلَمۡ نُعَمِّرۡكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَآءَكُمُ ٱلنَّذِيرُۖ فَذُوقُواْ فَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٍ ﴿37﴾

. Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna.

35:38

إِنَّ ٱللَّهَ عَٰلِمُ غَيۡبِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿38﴾

. Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

35:39

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَكُمۡ خَلَـٰٓئِفَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ فَمَن كَفَرَ فَعَلَيۡهِ كُفۡرُهُۥۖ وَلَا يَزِيدُ ٱلۡكَٰفِرِينَ كُفۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ إِلَّا مَقۡتٗاۖ وَلَا يَزِيدُ ٱلۡكَٰفِرِينَ كُفۡرُهُمۡ إِلَّا خَسَارٗا ﴿39﴾

. Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa.

35:40

قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ شُرَكَآءَكُمُ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُواْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ لَهُمۡ شِرۡكٞ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ أَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ كِتَٰبٗا فَهُمۡ عَلَىٰ بَيِّنَتٖ مِّنۡهُۚ بَلۡ إِن يَعِدُ ٱلظَّـٰلِمُونَ بَعۡضُهُم بَعۡضًا إِلَّا غُرُورًا ﴿40﴾

. Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza.

35:41

إِنَّ ٱللَّهَ يُمۡسِكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ أَن تَزُولَاۚ وَلَئِن زَالَتَآ إِنۡ أَمۡسَكَهُمَا مِنۡ أَحَدٖ مِّنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ حَلِيمًا غَفُورٗا ﴿41﴾

. Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo.

35:42

وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَئِن جَآءَهُمۡ نَذِيرٞ لَّيَكُونُنَّ أَهۡدَىٰ مِنۡ إِحۡدَى ٱلۡأُمَمِۖ فَلَمَّا جَآءَهُمۡ نَذِيرٞ مَّا زَادَهُمۡ إِلَّا نُفُورًا ﴿42﴾

. (Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka).

35:43

ٱسۡتِكۡبَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَكۡرَ ٱلسَّيِّيِٕۚ وَلَا يَحِيقُ ٱلۡمَكۡرُ ٱلسَّيِّئُ إِلَّا بِأَهۡلِهِۦۚ فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا سُنَّتَ ٱلۡأَوَّلِينَۚ فَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗاۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَحۡوِيلًا ﴿43﴾

. (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa.

35:44

أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَكَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُعۡجِزَهُۥ مِن شَيۡءٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَلِيمٗا قَدِيرٗا ﴿44﴾

. Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza.

35:45

وَلَوۡ يُؤَاخِذُ ٱللَّهُ ٱلنَّاسَ بِمَا كَسَبُواْ مَا تَرَكَ عَلَىٰ ظَهۡرِهَا مِن دَآبَّةٖ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۖ فَإِذَا جَآءَ أَجَلُهُمۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِعِبَادِهِۦ بَصِيرَۢا ﴿45﴾

. Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube.

36:1

يسٓ ﴿1﴾

. Yaasin.

36:2

وَٱلۡقُرۡءَانِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿2﴾

. Ndayidde Kur’ani (eno) ejjudde ebigambo eby'amagezi.

36:3

إِنَّكَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿3﴾

. Mazima ggwe (Muhammad) oli wa mu babaka.

36:4

عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿4﴾

. (Nga oli) ku kkubo eggolokofu.

36:5

تَنزِيلَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ ﴿5﴾

. (Kur’ani eno) yassibwa nantakubwa ku mukono omusaasizi.

36:6

لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أُنذِرَ ءَابَآؤُهُمۡ فَهُمۡ غَٰفِلُونَ ﴿6﴾

. Obe nga otiisa abantu bakadde baabwe abataatiisibwa olwo nno nebaba abeesuulirayo ogwa naggamba (ku bikwata ku Katonda).

36:7

لَقَدۡ حَقَّ ٱلۡقَوۡلُ عَلَىٰٓ أَكۡثَرِهِمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿7﴾

. Mazima kikakase ekigambo (eky'okubonerezebwa) ku basinga obungi mu bo nebaba nga tebagenda kukkiriza.

36:8

إِنَّا جَعَلۡنَا فِيٓ أَعۡنَٰقِهِمۡ أَغۡلَٰلٗا فَهِيَ إِلَى ٱلۡأَذۡقَانِ فَهُم مُّقۡمَحُونَ ﴿8﴾

. Mazima ffe twassa mu nsingo zaabwe enkoligo nga nazo zituukira ddala ku bulevu, olwo nno nebaba nga balalambadde.

36:9

وَجَعَلۡنَا مِنۢ بَيۡنِ أَيۡدِيهِمۡ سَدّٗا وَمِنۡ خَلۡفِهِمۡ سَدّٗا فَأَغۡشَيۡنَٰهُمۡ فَهُمۡ لَا يُبۡصِرُونَ ﴿9﴾

. Netussa mu maaso gaabwe ekiziyiza netussa n'ekiziyiza (ekirala) emabega waabwe, olwo nno netubabikka nga bo tebayinza kulaba.

36:10

وَسَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ ءَأَنذَرۡتَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تُنذِرۡهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿10﴾

. Era kyekimu ku bo obatiisizza oba tobatiisizza si baakukkiriza.

36:11

إِنَّمَا تُنذِرُ مَنِ ٱتَّبَعَ ٱلذِّكۡرَ وَخَشِيَ ٱلرَّحۡمَٰنَ بِٱلۡغَيۡبِۖ فَبَشِّرۡهُ بِمَغۡفِرَةٖ وَأَجۡرٖ كَرِيمٍ ﴿11﴾

. Mazima otiisa oyo agoberera okubuulirira era n'atya (Katonda) omusaasizi ennyo awamu n'okuba nga talabika kale nno musanyuse n'amawulire g’ekisonyiwo n'empeera eyeesiimisa.

36:12

إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَنَكۡتُبُ مَا قَدَّمُواْ وَءَاثَٰرَهُمۡۚ وَكُلَّ شَيۡءٍ أَحۡصَيۡنَٰهُ فِيٓ إِمَامٖ مُّبِينٖ ﴿12﴾

. Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu kitabo e kikulu e kigenda okulaga buli kimu.

36:13

وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلًا أَصۡحَٰبَ ٱلۡقَرۡيَةِ إِذۡ جَآءَهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿13﴾

. Bakubire ekifaanayi ky'abantu bo mu kitundu ekimu bwe bajjirwa ababaka.

36:14

إِذۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمُ ٱثۡنَيۡنِ فَكَذَّبُوهُمَا فَعَزَّزۡنَا بِثَالِثٖ فَقَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَيۡكُم مُّرۡسَلُونَ ﴿14﴾

. Mu kiseera bwe twatumira gye bali ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno netubongera amaanyi n’owokusatu (bonsatule) nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli.

36:15

قَالُواْ مَآ أَنتُمۡ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَمَآ أَنزَلَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا تَكۡذِبُونَ ﴿15﴾

. (Abo mu kitundu ekyo) ne bagamba nti: mmwe temuli okugyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okugyako okuba nga mulimba (bulimbi).

36:16

قَالُواْ رَبُّنَا يَعۡلَمُ إِنَّآ إِلَيۡكُمۡ لَمُرۡسَلُونَ ﴿16﴾

. (Ababaka) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe omanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gye muli.

36:17

وَمَا عَلَيۡنَآ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿17﴾

. Era tetuvunaanyizibwa okugyako okutuusa obubaka mu bunnyonnyofu.

36:18

قَالُوٓاْ إِنَّا تَطَيَّرۡنَا بِكُمۡۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهُواْ لَنَرۡجُمَنَّكُمۡ وَلَيَمَسَّنَّكُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿18﴾

. (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli.

36:19

قَالُواْ طَـٰٓئِرُكُم مَّعَكُمۡ أَئِن ذُكِّرۡتُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ مُّسۡرِفُونَ ﴿19﴾

. (Ababaka) ne bagamba nti okutya kwa mmwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza obubaka bwe muleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona.

36:20

وَجَآءَ مِنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ رَجُلٞ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱتَّبِعُواْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿20﴾

. olwo nno omusajja najja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa naagamba nti: abange bantu bange mugoberere ababaka.

36:21

ٱتَّبِعُواْ مَن لَّا يَسۡـَٔلُكُمۡ أَجۡرٗا وَهُم مُّهۡتَدُونَ ﴿21﴾

. Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balungamu.

36:22

وَمَالِيَ لَآ أَعۡبُدُ ٱلَّذِي فَطَرَنِي وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿22﴾

. Nina ki okuba nti sisinza oyo eyantonda, ate nga gyali gye mulizzibwa!.

36:23

ءَأَتَّخِذُ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةً إِن يُرِدۡنِ ٱلرَّحۡمَٰنُ بِضُرّٖ لَّا تُغۡنِ عَنِّي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يُنقِذُونِ ﴿23﴾

. Ndeke Katonda neeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira.

36:24

إِنِّيٓ إِذٗا لَّفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿24﴾

. (Singa nkikola) mazima nze olwo njakuba mu bubuze obweyolefu.

36:25

إِنِّيٓ ءَامَنتُ بِرَبِّكُمۡ فَٱسۡمَعُونِ ﴿25﴾

. Mazima nze nzikiriza Mukama omulabirizi wa mmwe kale mumpulirize.

36:26

قِيلَ ٱدۡخُلِ ٱلۡجَنَّةَۖ قَالَ يَٰلَيۡتَ قَوۡمِي يَعۡلَمُونَ ﴿26﴾

. Naagambibwa (nga amaze okufa) nti yingira e jjana, naagamba nti kale singa abantu bange bamanyi.

36:27

بِمَا غَفَرَ لِي رَبِّي وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُكۡرَمِينَ ﴿27﴾

. Ekyo Mukama omulabirizi wange kyansonyiyidde era nanteeka mwabo abagabulwa (olwaleero).