quranm◉

Juz 9 ۞قَالَ ٱلۡمَلَأُ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ

Range
from 7:88 to 8:40
Surahs covered
Okuvvuunula
159 Okuvvuunula

◉

7:88

قَالَ ٱلۡمَلَأُ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ لَنُخۡرِجَنَّكَ يَٰشُعَيۡبُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَكَ مِن قَرۡيَتِنَآ أَوۡ لَتَعُودُنَّ فِي مِلَّتِنَاۚ قَالَ أَوَلَوۡ كُنَّا كَٰرِهِينَ ﴿88﴾

Abakungu abo abeekuluntaza mu bantube, baagamba nti owange Swaibu tujja kukugoba mu kitundu kyaffe n’abo abakkiriza abali naawe, oba ssi ekyo, oteekeddwa okudda mu ddiini yaffe. Naagamba nti ne bwetuba nga e kyo si kyetwagala.

7:89

قَدِ ٱفۡتَرَيۡنَا عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا إِنۡ عُدۡنَا فِي مِلَّتِكُم بَعۡدَ إِذۡ نَجَّىٰنَا ٱللَّهُ مِنۡهَاۚ وَمَا يَكُونُ لَنَآ أَن نَّعُودَ فِيهَآ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّنَاۚ وَسِعَ رَبُّنَا كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمًاۚ عَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡنَاۚ رَبَّنَا ٱفۡتَحۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَ قَوۡمِنَا بِٱلۡحَقِّ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡفَٰتِحِينَ ﴿89﴾

(Ne tumala tukikola) mazima tunaaba tugunjizza ku Katonda e bigambo e byobulimba singa tudda mu ddiini ya mmwe, oluvanyuma lwa Katonda okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, beppo nga Mukama omulabirizi waffe yaayagadde, Mukama omulabirizi waffe okumanyakwe kubuna buli kintu, ku Katonda kwe twekutte, ayi Mukama omulabirizi waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti ggwe osinga abasalawo bonna.

7:90

وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ لَئِنِ ٱتَّبَعۡتُمۡ شُعَيۡبًا إِنَّكُمۡ إِذٗا لَّخَٰسِرُونَ ﴿90﴾

Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be ne bagamba nti, singa mugoberera Swaibu, olwo nno mazima mmwe, mujja kubeera mu bafaafaaganiddwa.

7:91

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلرَّجۡفَةُ فَأَصۡبَحُواْ فِي دَارِهِمۡ جَٰثِمِينَ ﴿91﴾

Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa nga mirambo e gigangalamye mu mayumba gaabwe.

7:92

ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ شُعَيۡبٗا كَأَن لَّمۡ يَغۡنَوۡاْ فِيهَاۚ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ شُعَيۡبٗا كَانُواْ هُمُ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿92﴾

Abo abaalimbisa Swaibu ne baba nga abateeyagalirangako mu mayumba gaabwe, abo abaalimbisa Swaibu bo be bafaafaaganirwa.

7:93

فَتَوَلَّىٰ عَنۡهُمۡ وَقَالَ يَٰقَوۡمِ لَقَدۡ أَبۡلَغۡتُكُمۡ رِسَٰلَٰتِ رَبِّي وَنَصَحۡتُ لَكُمۡۖ فَكَيۡفَ ءَاسَىٰ عَلَىٰ قَوۡمٖ كَٰفِرِينَ ﴿93﴾

Olwo nno Swaibu n’abavaako (nga takyalina kya ku bakolera) naagamba nti abange bantu bange, mazima nabatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nembabuulirira. Butya bwennyinza okunyolwa olw’abantu abakaafiiri.

7:94

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِي قَرۡيَةٖ مِّن نَّبِيٍّ إِلَّآ أَخَذۡنَآ أَهۡلَهَا بِٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ لَعَلَّهُمۡ يَضَّرَّعُونَ ﴿94﴾

Tewali Nabbi gwe twatuma mu kitundu kyonna okugyako ng’abantu b’omukintu e kyo, (bwe bamulimbisa) tubatuusaako obubenje n’obuzibu, olwo nno balyoke bagonde.

7:95

ثُمَّ بَدَّلۡنَا مَكَانَ ٱلسَّيِّئَةِ ٱلۡحَسَنَةَ حَتَّىٰ عَفَواْ وَّقَالُواْ قَدۡ مَسَّ ءَابَآءَنَا ٱلضَّرَّآءُ وَٱلسَّرَّآءُ فَأَخَذۡنَٰهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿95﴾

Oluvanyuma mu kifo kye kibi ne tuwaanyisaamu e kirungi, okutuusa lwe baayala e mbeera yaabwe neetereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvanyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera.

7:96

وَلَوۡ أَنَّ أَهۡلَ ٱلۡقُرَىٰٓ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَفَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَرَكَٰتٖ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَٰكِن كَذَّبُواْ فَأَخَذۡنَٰهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿96﴾

Singa abantu b’o mu bitundu e byo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo e mikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno netubabonereza olw’ebyo bye baakola.

7:97

أَفَأَمِنَ أَهۡلُ ٱلۡقُرَىٰٓ أَن يَأۡتِيَهُم بَأۡسُنَا بَيَٰتٗا وَهُمۡ نَآئِمُونَ ﴿97﴾

Abaffe abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebase.

7:98

أَوَأَمِنَ أَهۡلُ ٱلۡقُرَىٰٓ أَن يَأۡتِيَهُم بَأۡسُنَا ضُحٗى وَهُمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿98﴾

Oba abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza ku batuukako misana, nga nabo bali mu kutiguka.

7:99

أَفَأَمِنُواْ مَكۡرَ ٱللَّهِۚ فَلَا يَأۡمَنُ مَكۡرَ ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿99﴾

Abaffe baawona okusalawo kw’a Katonda, (e kituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kw’a Katonda okugyako abantu abafaafaaganirwa.

7:100

أَوَلَمۡ يَهۡدِ لِلَّذِينَ يَرِثُونَ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِ أَهۡلِهَآ أَن لَّوۡ نَشَآءُ أَصَبۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡۚ وَنَطۡبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَهُمۡ لَا يَسۡمَعُونَ ﴿100﴾

Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira e nsi oluvanyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’e byonoono bya bwe, ne tuteeka e nvumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira.

7:101

تِلۡكَ ٱلۡقُرَىٰ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآئِهَاۚ وَلَقَدۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَمَا كَانُواْ لِيُؤۡمِنُواْ بِمَا كَذَّبُواْ مِن قَبۡلُۚ كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿101﴾

E bitundu e byo tukutegeeza e bimu ku byafaayo byabyo, era mazima ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo bwatyo Katonda bwazibikira e mitima gy’a bakafiiri.

7:102

وَمَا وَجَدۡنَا لِأَكۡثَرِهِم مِّنۡ عَهۡدٖۖ وَإِن وَجَدۡنَآ أَكۡثَرَهُمۡ لَفَٰسِقِينَ ﴿102﴾

Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi.

7:103

ثُمَّ بَعَثۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِم مُّوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَظَلَمُواْ بِهَاۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿103﴾

Ate oluvanyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Firawo n’abakungube, nga tumuwadde eby’amagero byaffe nebabiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe e nkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali.

7:104

وَقَالَ مُوسَىٰ يَٰفِرۡعَوۡنُ إِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿104﴾

Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.

7:105

حَقِيقٌ عَلَىٰٓ أَن لَّآ أَقُولَ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّۚ قَدۡ جِئۡتُكُم بِبَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَرۡسِلۡ مَعِيَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿105﴾

Kikakafu okuba nga soogera ku Katonda okugyako amazima, mazima mbaleetedde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe obujulizi, n’olwekyo mpa abaana ba Israil (ngende nabo).

7:106

قَالَ إِن كُنتَ جِئۡتَ بِـَٔايَةٖ فَأۡتِ بِهَآ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿106﴾

(Firawo) naagamba nti oba olina obujulizi bwozze nabwo buleete, bwoba nga ddala oli mu boogera amazima.

7:107

فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٞ مُّبِينٞ ﴿107﴾

Awo Musa n’asuula omuggogwe, okugenda okwekanga nga gwo, musota ogwannamaddala.

7:108

وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿108﴾

Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula.

7:109

قَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٞ ﴿109﴾

Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti mazima ono, mulogo kakensa.

7:110

يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُمۡۖ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ ﴿110﴾

Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba.

7:111

قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَأَرۡسِلۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ﴿111﴾

Nebagamba nti, mugambe ne mugandawe balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo).

7:112

يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَٰحِرٍ عَلِيمٖ ﴿112﴾

Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu.

7:113

وَجَآءَ ٱلسَّحَرَةُ فِرۡعَوۡنَ قَالُوٓاْ إِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ﴿113﴾

Era abalogo bajja ewa Firawo ne bagamba nti, mazima tuteekwa okusasulwa, kavuna tuba nga ffe tuwangudde.

7:114

قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ لَمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿114﴾

Naagamba nti weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere.

7:115

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ نَحۡنُ ٱلۡمُلۡقِينَ ﴿115﴾

Nebagamba nti owange Musa ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okussaawo.

7:116

قَالَ أَلۡقُواْۖ فَلَمَّآ أَلۡقَوۡاْ سَحَرُوٓاْ أَعۡيُنَ ٱلنَّاسِ وَٱسۡتَرۡهَبُوهُمۡ وَجَآءُو بِسِحۡرٍ عَظِيمٖ ﴿116﴾

Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu.

7:117

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَلۡقِ عَصَاكَۖ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ ﴿117﴾

Netutumira Musa nti, suula omuggogwo, negutandika okumira byonna, ebyo bye baali bajingiridde.

7:118

فَوَقَعَ ٱلۡحَقُّ وَبَطَلَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿118﴾

Amazima negalabika, byonna bye baali bakola nebifa.

7:119

فَغُلِبُواْ هُنَالِكَ وَٱنقَلَبُواْ صَٰغِرِينَ ﴿119﴾

Bwe batyo nebawangulirwa awo wennyini, nebafuuka abakkakanyiziddwa.

7:120

وَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ ﴿120﴾

Bbo abalogo beesanga nga bateekwa kuvunnama.

7:121

قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿121﴾

Nebagamba nti tukkirizza Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.

7:122

رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ﴿122﴾

Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.

7:123

قَالَ فِرۡعَوۡنُ ءَامَنتُم بِهِۦ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَمَكۡرٞ مَّكَرۡتُمُوهُ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لِتُخۡرِجُواْ مِنۡهَآ أَهۡلَهَاۖ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿123﴾

Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya.

7:124

لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ ثُمَّ لَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿124﴾

Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba.

7:125

قَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ ﴿125﴾

Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.

7:126

وَمَا تَنقِمُ مِنَّآ إِلَّآ أَنۡ ءَامَنَّا بِـَٔايَٰتِ رَبِّنَا لَمَّا جَآءَتۡنَاۚ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَتَوَفَّنَا مُسۡلِمِينَ ﴿126﴾

Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu.

7:127

وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ أَتَذَرُ مُوسَىٰ وَقَوۡمَهُۥ لِيُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَيَذَرَكَ وَءَالِهَتَكَۚ قَالَ سَنُقَتِّلُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَنَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡ وَإِنَّا فَوۡقَهُمۡ قَٰهِرُونَ ﴿127﴾

Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi.

7:128

قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱللَّهِ وَٱصۡبِرُوٓاْۖ إِنَّ ٱلۡأَرۡضَ لِلَّهِ يُورِثُهَا مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۖ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿128﴾

Musa naagamba abantube nti, mwekwate ku Katonda era mugumiikirize, mazima ddala ensi y’aKatonda, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddube, era e nkomerero (e nnungi), y'abo abatya Katonda.

7:129

قَالُوٓاْ أُوذِينَا مِن قَبۡلِ أَن تَأۡتِيَنَا وَمِنۢ بَعۡدِ مَا جِئۡتَنَاۚ قَالَ عَسَىٰ رَبُّكُمۡ أَن يُهۡلِكَ عَدُوَّكُمۡ وَيَسۡتَخۡلِفَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرَ كَيۡفَ تَعۡمَلُونَ ﴿129﴾

Nebagamba nti, mazima twabonyabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) naagamba nti, Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kuzikiriza omulabe wa mmwe, mu kifo kya bwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola.

7:130

وَلَقَدۡ أَخَذۡنَآ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ بِٱلسِّنِينَ وَنَقۡصٖ مِّنَ ٱلثَّمَرَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿130﴾

Mazima twabonereza abantu ba Firawo n’emyaka gy’enjala, n’ekkekwa ly’ebibala, babe nga bajjukira.

7:131

فَإِذَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡحَسَنَةُ قَالُواْ لَنَا هَٰذِهِۦۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةٞ يَطَّيَّرُواْ بِمُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓۗ أَلَآ إِنَّمَا طَـٰٓئِرُهُمۡ عِندَ ٱللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿131﴾

Bwe kyabajjira nga e kirungi baagambanga nti, kino kyaffe, (ffe tukikoze) buli lwe baatukwangako e kibi, nga beekwasa Musa n’abo abaali naye, naye nga ddala e kikwa kyabwe kiri wa Katonda, wabula mazima abasinga obungi mu bo tebamanyi.

7:132

وَقَالُواْ مَهۡمَا تَأۡتِنَا بِهِۦ مِنۡ ءَايَةٖ لِّتَسۡحَرَنَا بِهَا فَمَا نَحۡنُ لَكَ بِمُؤۡمِنِينَ ﴿132﴾

Era nebagamba nti, buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza.

7:133

فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلطُّوفَانَ وَٱلۡجَرَادَ وَٱلۡقُمَّلَ وَٱلضَّفَادِعَ وَٱلدَّمَ ءَايَٰتٖ مُّفَصَّلَٰتٖ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ وَكَانُواْ قَوۡمٗا مُّجۡرِمِينَ ﴿133﴾

Olwo nno netubasindikira amataba, n’enzige, n’ensekere, n’ebikere n’omusaayi nga bubonero obulagiddwa obulungi, wabula ne beekuluntaza, anti era bulijjo baali bantu aboonoonyi.

7:134

وَلَمَّا وَقَعَ عَلَيۡهِمُ ٱلرِّجۡزُ قَالُواْ يَٰمُوسَى ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ بِمَا عَهِدَ عِندَكَۖ لَئِن كَشَفۡتَ عَنَّا ٱلرِّجۡزَ لَنُؤۡمِنَنَّ لَكَ وَلَنُرۡسِلَنَّ مَعَكَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿134﴾

Ekibonerezo bwe kyamala okubatuukako nebagamba nti, owange Musa tusabire Mukama omulabiriziwo, ng’osinziira ku ebyo bye yakuwa, singa otuggyako e kibonerezo kino, ddala tujja kukukkiriza era tugenda kukuweera ddala abaana ba Israil (obatwale).

7:135

فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُمُ ٱلرِّجۡزَ إِلَىٰٓ أَجَلٍ هُم بَٰلِغُوهُ إِذَا هُمۡ يَنكُثُونَ ﴿135﴾

Bwe twamala okubaggyako e kibonerezo nga e bbanga eryali libagereddwa liweddeko, ekyaddirira bo kumenya ndagaano.

7:136

فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّ بِأَنَّهُمۡ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ عَنۡهَا غَٰفِلِينَ ﴿136﴾

Olwo nno netubalaga obusungu bwaffe, netubazikiriza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa e bigambo byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu.

7:137

وَأَوۡرَثۡنَا ٱلۡقَوۡمَ ٱلَّذِينَ كَانُواْ يُسۡتَضۡعَفُونَ مَشَٰرِقَ ٱلۡأَرۡضِ وَمَغَٰرِبَهَا ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۖ وَتَمَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ ٱلۡحُسۡنَىٰ عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ بِمَا صَبَرُواْۖ وَدَمَّرۡنَا مَا كَانَ يَصۡنَعُ فِرۡعَوۡنُ وَقَوۡمُهُۥ وَمَا كَانُواْ يَعۡرِشُونَ ﴿137﴾

Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba.

7:138

وَجَٰوَزۡنَا بِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡبَحۡرَ فَأَتَوۡاْ عَلَىٰ قَوۡمٖ يَعۡكُفُونَ عَلَىٰٓ أَصۡنَامٖ لَّهُمۡۚ قَالُواْ يَٰمُوسَى ٱجۡعَل لَّنَآ إِلَٰهٗا كَمَا لَهُمۡ ءَالِهَةٞۚ قَالَ إِنَّكُمۡ قَوۡمٞ تَجۡهَلُونَ ﴿138﴾

Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera.

7:139

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ مُتَبَّرٞ مَّا هُمۡ فِيهِ وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿139﴾

Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu.

7:140

قَالَ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَبۡغِيكُمۡ إِلَٰهٗا وَهُوَ فَضَّلَكُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿140﴾

Naagamba nti, ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! ate nga yye yabasukkulumya ku bitonde byonna!

7:141

وَإِذۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَسُومُونَكُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يُقَتِّلُونَ أَبۡنَآءَكُمۡ وَيَسۡتَحۡيُونَ نِسَآءَكُمۡۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَآءٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَظِيمٞ ﴿141﴾

(Ebyogeddwa byonna mu aya ezikulembedde okubaawo kyagoberera e kyafaayo e kiddirira e kigamba nti), mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Firawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bwe bibonyobonyo, nga batemula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo bawala ba mmwe, mu ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe.

7:142

وَوَٰعَدۡنَا مُوسَىٰ ثَلَٰثِينَ لَيۡلَةٗ وَأَتۡمَمۡنَٰهَا بِعَشۡرٖ فَتَمَّ مِيقَٰتُ رَبِّهِۦٓ أَرۡبَعِينَ لَيۡلَةٗۚ وَقَالَ مُوسَىٰ لِأَخِيهِ هَٰرُونَ ٱخۡلُفۡنِي فِي قَوۡمِي وَأَصۡلِحۡ وَلَا تَتَّبِعۡ سَبِيلَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿142﴾

Twalagira Musa amale e biro makumi asatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama omulabiriziwe, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama omulabiriziwe kye yamugerera nekituukirira, nga z’ennaku amakumi ana, awo Musa naagamba mugandawe, Haruna nti, nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu e kkubo ly’aboonoonyi.

7:143

وَلَمَّا جَآءَ مُوسَىٰ لِمِيقَٰتِنَا وَكَلَّمَهُۥ رَبُّهُۥ قَالَ رَبِّ أَرِنِيٓ أَنظُرۡ إِلَيۡكَۚ قَالَ لَن تَرَىٰنِي وَلَٰكِنِ ٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡجَبَلِ فَإِنِ ٱسۡتَقَرَّ مَكَانَهُۥ فَسَوۡفَ تَرَىٰنِيۚ فَلَمَّا تَجَلَّىٰ رَبُّهُۥ لِلۡجَبَلِ جَعَلَهُۥ دَكّٗا وَخَرَّ مُوسَىٰ صَعِقٗاۚ فَلَمَّآ أَفَاقَ قَالَ سُبۡحَٰنَكَ تُبۡتُ إِلَيۡكَ وَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿143﴾

Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza.

7:144

قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنِّي ٱصۡطَفَيۡتُكَ عَلَى ٱلنَّاسِ بِرِسَٰلَٰتِي وَبِكَلَٰمِي فَخُذۡ مَآ ءَاتَيۡتُكَ وَكُن مِّنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿144﴾

(Katonda) naagamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde e nkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza.

7:145

وَكَتَبۡنَا لَهُۥ فِي ٱلۡأَلۡوَاحِ مِن كُلِّ شَيۡءٖ مَّوۡعِظَةٗ وَتَفۡصِيلٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ فَخُذۡهَا بِقُوَّةٖ وَأۡمُرۡ قَوۡمَكَ يَأۡخُذُواْ بِأَحۡسَنِهَاۚ سَأُوْرِيكُمۡ دَارَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿145﴾

Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi.

7:146

سَأَصۡرِفُ عَنۡ ءَايَٰتِيَ ٱلَّذِينَ يَتَكَبَّرُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَإِن يَرَوۡاْ كُلَّ ءَايَةٖ لَّا يُؤۡمِنُواْ بِهَا وَإِن يَرَوۡاْ سَبِيلَ ٱلرُّشۡدِ لَا يَتَّخِذُوهُ سَبِيلٗا وَإِن يَرَوۡاْ سَبِيلَ ٱلۡغَيِّ يَتَّخِذُوهُ سَبِيلٗاۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ عَنۡهَا غَٰفِلِينَ ﴿146﴾

Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba.

7:147

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡۚ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿147﴾

Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga!

7:148

وَٱتَّخَذَ قَوۡمُ مُوسَىٰ مِنۢ بَعۡدِهِۦ مِنۡ حُلِيِّهِمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٌۚ أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّهُۥ لَا يُكَلِّمُهُمۡ وَلَا يَهۡدِيهِمۡ سَبِيلًاۘ ٱتَّخَذُوهُ وَكَانُواْ ظَٰلِمِينَ ﴿148﴾

Musa bwe yagenda, abantube, baabumba e nnyana okuva mu by'okwewunda byabwe, nga erabikira ddala nga erina omubiri, n’okungonga engonga, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kw’ogera nabo! era nga tesobola kubalungamya ku kkubo, b’agyeteerawo, era olwekikolwa ekyo nebabeera ab’omu bantu abeeyisa obubi.

7:149

وَلَمَّا سُقِطَ فِيٓ أَيۡدِيهِمۡ وَرَأَوۡاْ أَنَّهُمۡ قَدۡ ضَلُّواْ قَالُواْ لَئِن لَّمۡ يَرۡحَمۡنَا رَبُّنَا وَيَغۡفِرۡ لَنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿149﴾

Bwe beefumiitiriza, nebalaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) nebagamba nti, singa Mukama omulabirizi waffe tatusaasira, naatusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.

7:150

وَلَمَّا رَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗا قَالَ بِئۡسَمَا خَلَفۡتُمُونِي مِنۢ بَعۡدِيٓۖ أَعَجِلۡتُمۡ أَمۡرَ رَبِّكُمۡۖ وَأَلۡقَى ٱلۡأَلۡوَاحَ وَأَخَذَ بِرَأۡسِ أَخِيهِ يَجُرُّهُۥٓ إِلَيۡهِۚ قَالَ ٱبۡنَ أُمَّ إِنَّ ٱلۡقَوۡمَ ٱسۡتَضۡعَفُونِي وَكَادُواْ يَقۡتُلُونَنِي فَلَا تُشۡمِتۡ بِيَ ٱلۡأَعۡدَآءَ وَلَا تَجۡعَلۡنِي مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿150﴾

Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi.

7:151

قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِأَخِي وَأَدۡخِلۡنَا فِي رَحۡمَتِكَۖ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿151﴾

Musa naagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasirakwo, anti bulijjo ggwe musaasizi asinga abasaasizi bonna.

7:152

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ سَيَنَالُهُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَذِلَّةٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُفۡتَرِينَ ﴿152﴾

Mazima abo abeeteerawo e nnyana (bagisinze), bajja kutuukwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama omulabirizi waabwe, mu bulamu obwe nsi, era bwe tutyo bwe tusasula abo abatemerera e bigambo.

7:153

وَٱلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ ثُمَّ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِهَا وَءَامَنُوٓاْ إِنَّ رَبَّكَ مِنۢ بَعۡدِهَا لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿153﴾

Naabo abakola ebibi, ate nebeenenya oluvanyuma lwabyo, era nebakkiriza, mazima ddala Mukama omulabiriziwo, oluvanyuma lwabyo, musonyiyi, musaasizi.

7:154

وَلَمَّا سَكَتَ عَن مُّوسَى ٱلۡغَضَبُ أَخَذَ ٱلۡأَلۡوَاحَۖ وَفِي نُسۡخَتِهَا هُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلَّذِينَ هُمۡ لِرَبِّهِمۡ يَرۡهَبُونَ ﴿154﴾

Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula e mbawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulungamu, n’okusaasira eri abo, bo abatya Mukama omulabirizi waabwe.

7:155

وَٱخۡتَارَ مُوسَىٰ قَوۡمَهُۥ سَبۡعِينَ رَجُلٗا لِّمِيقَٰتِنَاۖ فَلَمَّآ أَخَذَتۡهُمُ ٱلرَّجۡفَةُ قَالَ رَبِّ لَوۡ شِئۡتَ أَهۡلَكۡتَهُم مِّن قَبۡلُ وَإِيَّـٰيَۖ أَتُهۡلِكُنَا بِمَا فَعَلَ ٱلسُّفَهَآءُ مِنَّآۖ إِنۡ هِيَ إِلَّا فِتۡنَتُكَ تُضِلُّ بِهَا مَن تَشَآءُ وَتَهۡدِي مَن تَشَآءُۖ أَنتَ وَلِيُّنَا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَاۖ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡغَٰفِرِينَ ﴿155﴾

Musa yalonda mu bantube, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya mu ffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesakwo, obuza nakwo oyo gwoba oyagadde, ate n’olungamya nakwo, oyo gwoba oyagadde, otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo ggwe asinga abasaasizi bonna.

7:156

وَٱكۡتُبۡ لَنَا فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗ وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِنَّا هُدۡنَآ إِلَيۡكَۚ قَالَ عَذَابِيٓ أُصِيبُ بِهِۦ مَنۡ أَشَآءُۖ وَرَحۡمَتِي وَسِعَتۡ كُلَّ شَيۡءٖۚ فَسَأَكۡتُبُهَا لِلَّذِينَ يَتَّقُونَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلَّذِينَ هُم بِـَٔايَٰتِنَا يُؤۡمِنُونَ ﴿156﴾

Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe.

7:157

ٱلَّذِينَ يَتَّبِعُونَ ٱلرَّسُولَ ٱلنَّبِيَّ ٱلۡأُمِّيَّ ٱلَّذِي يَجِدُونَهُۥ مَكۡتُوبًا عِندَهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَٱلۡإِنجِيلِ يَأۡمُرُهُم بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَىٰهُمۡ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُحِلُّ لَهُمُ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَيُحَرِّمُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَ وَيَضَعُ عَنۡهُمۡ إِصۡرَهُمۡ وَٱلۡأَغۡلَٰلَ ٱلَّتِي كَانَتۡ عَلَيۡهِمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِهِۦ وَعَزَّرُوهُ وَنَصَرُوهُ وَٱتَّبَعُواْ ٱلنُّورَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ مَعَهُۥٓ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿157﴾

Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.

7:158

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُمۡ جَمِيعًا ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِ ٱلنَّبِيِّ ٱلۡأُمِّيِّ ٱلَّذِي يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَكَلِمَٰتِهِۦ وَٱتَّبِعُوهُ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿158﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka w’a Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) oyo bubwe obufuzi bw'eggulu omusanvu ne nsi, tewali kintu kyonna kisinzibwa okugyako yye, awa obulamu, era natta, kale nno mukkirize Katonda n’omubakawe, Nabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambobye, era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye.

7:159

وَمِن قَوۡمِ مُوسَىٰٓ أُمَّةٞ يَهۡدُونَ بِٱلۡحَقِّ وَبِهِۦ يَعۡدِلُونَ ﴿159﴾

Mu bantu ba Musa, mulimu e kibiina nga bakozesa amazima, era nga gebakozesa okukola obwenkanya.

7:160

وَقَطَّعۡنَٰهُمُ ٱثۡنَتَيۡ عَشۡرَةَ أَسۡبَاطًا أُمَمٗاۚ وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ إِذِ ٱسۡتَسۡقَىٰهُ قَوۡمُهُۥٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡحَجَرَۖ فَٱنۢبَجَسَتۡ مِنۡهُ ٱثۡنَتَا عَشۡرَةَ عَيۡنٗاۖ قَدۡ عَلِمَ كُلُّ أُنَاسٖ مَّشۡرَبَهُمۡۚ وَظَلَّلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلۡغَمَٰمَ وَأَنزَلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰۖ كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡۚ وَمَا ظَلَمُونَا وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿160﴾

Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi.

7:161

وَإِذۡ قِيلَ لَهُمُ ٱسۡكُنُواْ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةَ وَكُلُواْ مِنۡهَا حَيۡثُ شِئۡتُمۡ وَقُولُواْ حِطَّةٞ وَٱدۡخُلُواْ ٱلۡبَابَ سُجَّدٗا نَّغۡفِرۡ لَكُمۡ خَطِيٓـَٰٔتِكُمۡۚ سَنَزِيدُ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿161﴾

Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi.

7:162

فَبَدَّلَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡ قَوۡلًا غَيۡرَ ٱلَّذِي قِيلَ لَهُمۡ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِجۡزٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ بِمَا كَانُواْ يَظۡلِمُونَ ﴿162﴾

Abo abeeyisa obubi, baakyusa e kigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi.

7:163

وَسۡـَٔلۡهُمۡ عَنِ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَتۡ حَاضِرَةَ ٱلۡبَحۡرِ إِذۡ يَعۡدُونَ فِي ٱلسَّبۡتِ إِذۡ تَأۡتِيهِمۡ حِيتَانُهُمۡ يَوۡمَ سَبۡتِهِمۡ شُرَّعٗا وَيَوۡمَ لَا يَسۡبِتُونَ لَا تَأۡتِيهِمۡۚ كَذَٰلِكَ نَبۡلُوهُم بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿163﴾

Babuuze ebikwata ku kitundu e kyali ku lubalama lwe nyanja, bwe baamenya e tteeka erikwata ku lunaku lw’omukaaga, olw'okuba e byennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali lw’amukaaga nga tebibajjira, bwe tutyo bwe tubakema olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi.

7:164

وَإِذۡ قَالَتۡ أُمَّةٞ مِّنۡهُمۡ لِمَ تَعِظُونَ قَوۡمًا ٱللَّهُ مُهۡلِكُهُمۡ أَوۡ مُعَذِّبُهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدٗاۖ قَالُواْ مَعۡذِرَةً إِلَىٰ رَبِّكُمۡ وَلَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ ﴿164﴾

Era jjukira e kibiina mu bo bwe kyagamba nti, lwaki mubuulirira e kibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo e bisuffu, bo nebagamba nti tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, ate sinakindi nabo bayinza okutya Katonda.

7:165

فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦٓ أَنجَيۡنَا ٱلَّذِينَ يَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلسُّوٓءِ وَأَخَذۡنَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ بِعَذَابِۭ بَـِٔيسِۭ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿165﴾

Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga.

7:166

فَلَمَّا عَتَوۡاْ عَن مَّا نُهُواْ عَنۡهُ قُلۡنَا لَهُمۡ كُونُواْ قِرَدَةً خَٰسِـِٔينَ ﴿166﴾

Bwe baalemera kw'ebyo e byabagaanibwa twabagamba nti, mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa.

7:167

وَإِذۡ تَأَذَّنَ رَبُّكَ لَيَبۡعَثَنَّ عَلَيۡهِمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَن يَسُومُهُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِۗ إِنَّ رَبَّكَ لَسَرِيعُ ٱلۡعِقَابِ وَإِنَّهُۥ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿167﴾

Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bwe bibonerezo, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, mazima Mukama omulabiriziwo mwangu mu kubonereza, era mazima yye. Musonyiyi nnyo wa kisa.

7:168

وَقَطَّعۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أُمَمٗاۖ مِّنۡهُمُ ٱلصَّـٰلِحُونَ وَمِنۡهُمۡ دُونَ ذَٰلِكَۖ وَبَلَوۡنَٰهُم بِٱلۡحَسَنَٰتِ وَٱلسَّيِّـَٔاتِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿168﴾

Era twabagabanya mu nsi, nebaba e bibiina e byenjawulo, mu bo mulimu abalongoofu, era mu bo mulimu abatali ekyo, era twabagezesa n’ebirungi n’ebibi kibayambe okudda (eri Katonda).

7:169

فَخَلَفَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ خَلۡفٞ وَرِثُواْ ٱلۡكِتَٰبَ يَأۡخُذُونَ عَرَضَ هَٰذَا ٱلۡأَدۡنَىٰ وَيَقُولُونَ سَيُغۡفَرُ لَنَا وَإِن يَأۡتِهِمۡ عَرَضٞ مِّثۡلُهُۥ يَأۡخُذُوهُۚ أَلَمۡ يُؤۡخَذۡ عَلَيۡهِم مِّيثَٰقُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن لَّا يَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّ وَدَرَسُواْ مَا فِيهِۗ وَٱلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ يَتَّقُونَۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿169﴾

Newajja oluvanyuma lwabwe abaabaddira mu bigere, abaasikira e kitabo nebaba nga bakulembeza by’akufuna bya nsi ebitaliimu, era nebagamba nti tulisonyiyibwa, era singa bajjirwa e birala e bibifaanana, nabyo bandibitutte, abaffe tebaakozesebwa ndagaano y’ekitabo okuba nga teboogera ku Katonda okugyako amazima, era nga basoma ebyo ebiri mu kitabo, ate nga ekituufu kiri nti, obutuulo obw'enkomerero bwe bulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera.

7:170

وَٱلَّذِينَ يُمَسِّكُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ ﴿170﴾

Ate abo abeekwata ku kitabo nebayimirizaawo e sswala, mazima ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoofu.

7:171

وَإِذۡ نَتَقۡنَا ٱلۡجَبَلَ فَوۡقَهُمۡ كَأَنَّهُۥ ظُلَّةٞ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُۥ وَاقِعُۢ بِهِمۡ خُذُواْ مَآ ءَاتَيۡنَٰكُم بِقُوَّةٖ وَٱذۡكُرُواْ مَا فِيهِ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ ﴿171﴾

Era jjukira bwe twatengeesa olusozi waggulu waabwe, neruba nga manvuli, nebatuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda.

7:172

وَإِذۡ أَخَذَ رَبُّكَ مِنۢ بَنِيٓ ءَادَمَ مِن ظُهُورِهِمۡ ذُرِّيَّتَهُمۡ وَأَشۡهَدَهُمۡ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ أَلَسۡتُ بِرَبِّكُمۡۖ قَالُواْ بَلَىٰ شَهِدۡنَآۚ أَن تَقُولُواْ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ إِنَّا كُنَّا عَنۡ هَٰذَا غَٰفِلِينَ ﴿172﴾

Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yajja ku migongo gy’abaana ba Adam ezzadde lyabwe, n’abalagira beeweeko obujulizi, (naagamba nti) Sinze Mukama omulabirizi wa mmwe, nebagamba nti, bwe guli, era tukiwaako obujulizi, olwo nno muleme kugamba ku lunaku lw'enkomerero nti, mazima ddala ffe, kino twali tetukimanyi.

7:173

أَوۡ تَقُولُوٓاْ إِنَّمَآ أَشۡرَكَ ءَابَآؤُنَا مِن قَبۡلُ وَكُنَّا ذُرِّيَّةٗ مِّنۢ بَعۡدِهِمۡۖ أَفَتُهۡلِكُنَا بِمَا فَعَلَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ ﴿173﴾

Oba muleme kugamba nti, bakadde baffe beebaakola shiriki ffe nga tetunajja, era ffe twali zzadde eryajja oluvanyuma lwabwe. Otuzikiriza otya olw'ebyo ebyakolebwa aboonoonyi.

7:174

وَكَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ وَلَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿174﴾

Era nno bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo, babe nga badda (eri okusinza Katonda yekka).

7:175

وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ ٱلَّذِيٓ ءَاتَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا فَٱنسَلَخَ مِنۡهَا فَأَتۡبَعَهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ فَكَانَ مِنَ ٱلۡغَاوِينَ ﴿175﴾

Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero bwaffe n'abwesamba, ne Sitane naamunoonya (n'amufuula munne) olwo nno naabeera ow'omu babuze.

7:176

وَلَوۡ شِئۡنَا لَرَفَعۡنَٰهُ بِهَا وَلَٰكِنَّهُۥٓ أَخۡلَدَ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُۚ فَمَثَلُهُۥ كَمَثَلِ ٱلۡكَلۡبِ إِن تَحۡمِلۡ عَلَيۡهِ يَلۡهَثۡ أَوۡ تَتۡرُكۡهُ يَلۡهَثۚ ذَّـٰلِكَ مَثَلُ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَاۚ فَٱقۡصُصِ ٱلۡقَصَصَ لَعَلَّهُمۡ يَتَفَكَّرُونَ ﴿176﴾

Singa twayagala twandimusitudde e ddaala olw'obubonero obwo, naye mazima ddala yye yeemalira ku nsi, era n’agoberera okwagalakwe, olwo nno e kifaananyi kye alinga e mbwa bwogigoba e misinde ewejjawejja, ate nebwogireka eba ewejjawejja, ekyo nno kye kifaananyi kyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo kibayambe ku bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo, kibayambe okwefumiitiriza.

7:177

سَآءَ مَثَلًا ٱلۡقَوۡمُ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَأَنفُسَهُمۡ كَانُواْ يَظۡلِمُونَ ﴿177﴾

Kifaananyi kibi eky’a bantu abaalimbisa e bigambo byaffe, ate nga ekituufu kiri nti emyoyo gyabwe gye baayisanga obubi.

7:178

مَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِيۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿178﴾

Oyo yenna Katonda gw'aba alungamizza ye y’abeera omulungamu, ate gwabuza, abo nno be baafaafaaganirwa.

7:179

وَلَقَدۡ ذَرَأۡنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِۖ لَهُمۡ قُلُوبٞ لَّا يَفۡقَهُونَ بِهَا وَلَهُمۡ أَعۡيُنٞ لَّا يُبۡصِرُونَ بِهَا وَلَهُمۡ ءَاذَانٞ لَّا يَسۡمَعُونَ بِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ ﴿179﴾

Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini).

7:180

وَلِلَّهِ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ فَٱدۡعُوهُ بِهَاۖ وَذَرُواْ ٱلَّذِينَ يُلۡحِدُونَ فِيٓ أَسۡمَـٰٓئِهِۦۚ سَيُجۡزَوۡنَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿180﴾

Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola.

7:181

وَمِمَّنۡ خَلَقۡنَآ أُمَّةٞ يَهۡدُونَ بِٱلۡحَقِّ وَبِهِۦ يَعۡدِلُونَ ﴿181﴾

Mu bantu betwatonda, mulimu e kibiina nga bo bakolera ku mazima, era gebakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu.

7:182

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿182﴾

Naabo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpola, naye tubakwate nga tebamanyi.

7:183

وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ ﴿183﴾

Era mbalindiriza nebeeyagalira (mu byengera) naye nga mazima entegeka yange nnyweevu.

7:184

أَوَلَمۡ يَتَفَكَّرُواْۗ مَا بِصَاحِبِهِم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرٞ مُّبِينٌ ﴿184﴾

Abaffe tebaalowoozaako (n’omulundo n'ogumu) nti munnaabwe ono si mugwi wa ddalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okugyako okuba nti mutiisa ow’olwatu.

7:185

أَوَلَمۡ يَنظُرُواْ فِي مَلَكُوتِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ وَأَنۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ قَدِ ٱقۡتَرَبَ أَجَلُهُمۡۖ فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَهُۥ يُؤۡمِنُونَ ﴿185﴾

Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Katonda kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!.

7:186

مَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَلَا هَادِيَ لَهُۥۚ وَيَذَرُهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ﴿186﴾

Oyo yenna Katonda gwabuza tewali ayinza ku mulungamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.

7:187

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلسَّاعَةِ أَيَّانَ مُرۡسَىٰهَاۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّيۖ لَا يُجَلِّيهَا لِوَقۡتِهَآ إِلَّا هُوَۚ ثَقُلَتۡ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَا تَأۡتِيكُمۡ إِلَّا بَغۡتَةٗۗ يَسۡـَٔلُونَكَ كَأَنَّكَ حَفِيٌّ عَنۡهَاۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ ٱللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿187﴾

Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti lulituuka ddi, gamba nti, mazima ebirukwatako Mukama omulabirizi wange y'abimanyi, tewali ayinza ku kubuulira mu butuufu nti lulituuka ddi? okugyako yye, ebilukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi, terugenda kubajjira okugyako kibwatukira, balukubuuza ng’olinga alumanyiiko ennyo, gamba nti, mazima ebyokumanya olunaku olwo biri wa Katonda, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

7:188

قُل لَّآ أَمۡلِكُ لِنَفۡسِي نَفۡعٗا وَلَا ضَرًّا إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ وَلَوۡ كُنتُ أَعۡلَمُ ٱلۡغَيۡبَ لَٱسۡتَكۡثَرۡتُ مِنَ ٱلۡخَيۡرِ وَمَا مَسَّنِيَ ٱلسُّوٓءُۚ إِنۡ أَنَا۠ إِلَّا نَذِيرٞ وَبَشِيرٞ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿188﴾

Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba e kibi, okugyako Katonda kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okugyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Katonda.

7:189

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَجَعَلَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا لِيَسۡكُنَ إِلَيۡهَاۖ فَلَمَّا تَغَشَّىٰهَا حَمَلَتۡ حَمۡلًا خَفِيفٗا فَمَرَّتۡ بِهِۦۖ فَلَمَّآ أَثۡقَلَت دَّعَوَا ٱللَّهَ رَبَّهُمَا لَئِنۡ ءَاتَيۡتَنَا صَٰلِحٗا لَّنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿189﴾

Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza.

7:190

فَلَمَّآ ءَاتَىٰهُمَا صَٰلِحٗا جَعَلَا لَهُۥ شُرَكَآءَ فِيمَآ ءَاتَىٰهُمَاۚ فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿190﴾

(Naye ate abantu abaddirira) Katonda bwe yabawa omwana omulongoofu, baamugattako e bintu e birala mu ekyo kye yabawala, Katonda w'anjawulo nnyo, kw'ebyo bye bamugattako.

7:191

أَيُشۡرِكُونَ مَا لَا يَخۡلُقُ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ ﴿191﴾

Abaffe bagatta ku Katonda ebyo ebitasobola kutonda kintu kyonna, ng’ate byo byatondebwa.

7:192

وَلَا يَسۡتَطِيعُونَ لَهُمۡ نَصۡرٗا وَلَآ أَنفُسَهُمۡ يَنصُرُونَ ﴿192﴾

Era tebiyinza kubafunira kutaasa wadde bo bennyini okwetaasa.

7:193

وَإِن تَدۡعُوهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ لَا يَتَّبِعُوكُمۡۚ سَوَآءٌ عَلَيۡكُمۡ أَدَعَوۡتُمُوهُمۡ أَمۡ أَنتُمۡ صَٰمِتُونَ ﴿193﴾

Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebabagoberera, kye kimu kamube nga mubayise, oba nga musirise.

7:194

إِنَّ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ عِبَادٌ أَمۡثَالُكُمۡۖ فَٱدۡعُوهُمۡ فَلۡيَسۡتَجِيبُواْ لَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿194﴾

Mazima abo bemusaba nemuva ku Katonda, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima.

7:195

أَلَهُمۡ أَرۡجُلٞ يَمۡشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَيۡدٖ يَبۡطِشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَعۡيُنٞ يُبۡصِرُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۗ قُلِ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ كِيدُونِ فَلَا تُنظِرُونِ ﴿195﴾

Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza.

7:196

إِنَّ وَلِـِّۧيَ ٱللَّهُ ٱلَّذِي نَزَّلَ ٱلۡكِتَٰبَۖ وَهُوَ يَتَوَلَّى ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿196﴾

Mazima omukuumi wange ye Katonda, oyo eyassa e kitabo, era bulijjo yye, ye mukuumi w’abalongoofu.

7:197

وَٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَكُمۡ وَلَآ أَنفُسَهُمۡ يَنصُرُونَ ﴿197﴾

Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa.

7:198

وَإِن تَدۡعُوهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ لَا يَسۡمَعُواْۖ وَتَرَىٰهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ وَهُمۡ لَا يُبۡصِرُونَ ﴿198﴾

Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba.

7:199

خُذِ ٱلۡعَفۡوَ وَأۡمُرۡ بِٱلۡعُرۡفِ وَأَعۡرِضۡ عَنِ ٱلۡجَٰهِلِينَ ﴿199﴾

Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera.

7:200

وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ نَزۡغٞ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿200﴾

Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi.

7:201

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ إِذَا مَسَّهُمۡ طَـٰٓئِفٞ مِّنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ تَذَكَّرُواْ فَإِذَا هُم مُّبۡصِرُونَ ﴿201﴾

Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu.

7:202

وَإِخۡوَٰنُهُمۡ يَمُدُّونَهُمۡ فِي ٱلۡغَيِّ ثُمَّ لَا يُقۡصِرُونَ ﴿202﴾

Naye nga bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera.

7:203

وَإِذَا لَمۡ تَأۡتِهِم بِـَٔايَةٖ قَالُواْ لَوۡلَا ٱجۡتَبَيۡتَهَاۚ قُلۡ إِنَّمَآ أَتَّبِعُ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيَّ مِن رَّبِّيۚ هَٰذَا بَصَآئِرُ مِن رَّبِّكُمۡ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿203﴾

Bwotabaleetera kya magero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza, gamba nti, mazima ngoberera ebyo ebiba bimpereddwa okuva ewa Mukama omulabirizi wange. (Kur’ani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, era bulungamu na kusaasira eri abo abakkiriza.

7:204

وَإِذَا قُرِئَ ٱلۡقُرۡءَانُ فَٱسۡتَمِعُواْ لَهُۥ وَأَنصِتُواْ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿204﴾

Buli Kur’ani lwesomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe.

7:205

وَٱذۡكُر رَّبَّكَ فِي نَفۡسِكَ تَضَرُّعٗا وَخِيفَةٗ وَدُونَ ٱلۡجَهۡرِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ وَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡغَٰفِلِينَ ﴿205﴾

Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu.

7:206

إِنَّ ٱلَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَيُسَبِّحُونَهُۥ وَلَهُۥ يَسۡجُدُونَۤ۩ ﴿206﴾

Mazima abo abali ewa Mukama omulabiriziwo, tebeekuluntaza nebatamusinza, era ba mutendereza, era nga yye yekka, gwebavunnamira.

8:1

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡأَنفَالِۖ قُلِ ٱلۡأَنفَالُ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَصۡلِحُواْ ذَاتَ بَيۡنِكُمۡۖ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿1﴾

Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ebikwata ku minyago, gamba nti e minyago gy’a Katonda n’omubaka, kale nno mutye Katonda, era mulongoose e nkolagana wakati wa mmwe, era mugondere Katonda n’omubakawe bwe muba nga muli bakkiriza.

8:2

إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَإِذَا تُلِيَتۡ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُهُۥ زَادَتۡهُمۡ إِيمَٰنٗا وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ﴿2﴾

Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa.

8:3

ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿3﴾

Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako.

8:4

أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ حَقّٗاۚ لَّهُمۡ دَرَجَٰتٌ عِندَ رَبِّهِمۡ وَمَغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ ﴿4﴾

Abo b’e bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama omulabirizi waabwe n’ekisonyiwo n’okugabirirwa okuyitirivu.

8:5

كَمَآ أَخۡرَجَكَ رَبُّكَ مِنۢ بَيۡتِكَ بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لَكَٰرِهُونَ ﴿5﴾

(Kino kifaanana) nga Mukama omulabiriziwo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe badri), so nga ettengetenge mu bakkirizza baali tebakyagadde.

8:6

يُجَٰدِلُونَكَ فِي ٱلۡحَقِّ بَعۡدَ مَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى ٱلۡمَوۡتِ وَهُمۡ يَنظُرُونَ ﴿6﴾

Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula.

8:7

وَإِذۡ يَعِدُكُمُ ٱللَّهُ إِحۡدَى ٱلطَّآئِفَتَيۡنِ أَنَّهَا لَكُمۡ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيۡرَ ذَاتِ ٱلشَّوۡكَةِ تَكُونُ لَكُمۡ وَيُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُحِقَّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَيَقۡطَعَ دَابِرَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿7﴾

Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri.

8:8

لِيُحِقَّ ٱلۡحَقَّ وَيُبۡطِلَ ٱلۡبَٰطِلَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿8﴾

Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala.

8:9

إِذۡ تَسۡتَغِيثُونَ رَبَّكُمۡ فَٱسۡتَجَابَ لَكُمۡ أَنِّي مُمِدُّكُم بِأَلۡفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُرۡدِفِينَ ﴿9﴾

Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana.

8:10

وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ وَلِتَطۡمَئِنَّ بِهِۦ قُلُوبُكُمۡۚ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ ﴿10﴾

Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

8:11

إِذۡ يُغَشِّيكُمُ ٱلنُّعَاسَ أَمَنَةٗ مِّنۡهُ وَيُنَزِّلُ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ لِّيُطَهِّرَكُم بِهِۦ وَيُذۡهِبَ عَنكُمۡ رِجۡزَ ٱلشَّيۡطَٰنِ وَلِيَرۡبِطَ عَلَىٰ قُلُوبِكُمۡ وَيُثَبِّتَ بِهِ ٱلۡأَقۡدَامَ ﴿11﴾

Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe.

8:12

إِذۡ يُوحِي رَبُّكَ إِلَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَنِّي مَعَكُمۡ فَثَبِّتُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ سَأُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ فَٱضۡرِبُواْ فَوۡقَ ٱلۡأَعۡنَاقِ وَٱضۡرِبُواْ مِنۡهُمۡ كُلَّ بَنَانٖ ﴿12﴾

Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo.

8:13

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَمَن يُشَاقِقِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿13﴾

Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.

8:14

ذَٰلِكُمۡ فَذُوقُوهُ وَأَنَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿14﴾

Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro.

8:15

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ زَحۡفٗا فَلَا تُوَلُّوهُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ﴿15﴾

Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga.

8:16

وَمَن يُوَلِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ دُبُرَهُۥٓ إِلَّا مُتَحَرِّفٗا لِّقِتَالٍ أَوۡ مُتَحَيِّزًا إِلَىٰ فِئَةٖ فَقَدۡ بَآءَ بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿16﴾

Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi.

8:17

فَلَمۡ تَقۡتُلُوهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ قَتَلَهُمۡۚ وَمَا رَمَيۡتَ إِذۡ رَمَيۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ رَمَىٰ وَلِيُبۡلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡهُ بَلَآءً حَسَنًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿17﴾

Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi.

8:18

ذَٰلِكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مُوهِنُ كَيۡدِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿18﴾

E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri.

8:19

إِن تَسۡتَفۡتِحُواْ فَقَدۡ جَآءَكُمُ ٱلۡفَتۡحُۖ وَإِن تَنتَهُواْ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَإِن تَعُودُواْ نَعُدۡ وَلَن تُغۡنِيَ عَنكُمۡ فِئَتُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَوۡ كَثُرَتۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿19﴾

(Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.

8:20

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَلَا تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَأَنتُمۡ تَسۡمَعُونَ ﴿20﴾

Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubakawe, temumuvangako, ate nga muwulira (bya bagamba).

8:21

وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ قَالُواْ سَمِعۡنَا وَهُمۡ لَا يَسۡمَعُونَ ﴿21﴾

Temubeera nga abo ab’agamba nti tuwulidde so nga tebawulira.

8:22

إِنَّ شَرَّ ٱلدَّوَآبِّ عِندَ ٱللَّهِ ٱلصُّمُّ ٱلۡبُكۡمُ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡقِلُونَ ﴿22﴾

Mazima e kiramu e kisinga obubi ewa Katonda, be ba kiggala, ba kasiru abo abatategeera.

8:23

وَلَوۡ عَلِمَ ٱللَّهُ فِيهِمۡ خَيۡرٗا لَّأَسۡمَعَهُمۡۖ وَلَوۡ أَسۡمَعَهُمۡ لَتَوَلَّواْ وَّهُم مُّعۡرِضُونَ ﴿23﴾

Singa Katonda yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse nebava ku mazima.

8:24

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَجِيبُواْ لِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ إِذَا دَعَاكُمۡ لِمَا يُحۡيِيكُمۡۖ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَحُولُ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَقَلۡبِهِۦ وَأَنَّهُۥٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿24﴾

Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Katonda n’omubaka bwabayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Katonda, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutimagwe, so ng’ate bulijjo, mazima gyali gye mugenda okukunganyizibwa.

8:25

وَٱتَّقُواْ فِتۡنَةٗ لَّا تُصِيبَنَّ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنكُمۡ خَآصَّةٗۖ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿25﴾

Mutye e kikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi mu mmwe bokka, era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.

8:26

وَٱذۡكُرُوٓاْ إِذۡ أَنتُمۡ قَلِيلٞ مُّسۡتَضۡعَفُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ تَخَافُونَ أَن يَتَخَطَّفَكُمُ ٱلنَّاسُ فَـَٔاوَىٰكُمۡ وَأَيَّدَكُم بِنَصۡرِهِۦ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿26﴾

Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza.

8:27

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَخُونُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَ وَتَخُونُوٓاْ أَمَٰنَٰتِكُمۡ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿27﴾

Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Katonda n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi.

8:28

وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَأَوۡلَٰدُكُمۡ فِتۡنَةٞ وَأَنَّ ٱللَّهَ عِندَهُۥٓ أَجۡرٌ عَظِيمٞ ﴿28﴾

Era mumanye nti mazima e mmaali ya mmwe, n’abaana ba mmwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Katonda, alina empeera ensukkulumu.

8:29

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تَتَّقُواْ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّكُمۡ فُرۡقَانٗا وَيُكَفِّرۡ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۗ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿29﴾

Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Katonda, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko e byonoono bya mmwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Katonda ye nannyini bigabwa e bisuffu.

8:30

وَإِذۡ يَمۡكُرُ بِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيُثۡبِتُوكَ أَوۡ يَقۡتُلُوكَ أَوۡ يُخۡرِجُوكَۚ وَيَمۡكُرُونَ وَيَمۡكُرُ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ ﴿30﴾

Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe.

8:31

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا قَالُواْ قَدۡ سَمِعۡنَا لَوۡ نَشَآءُ لَقُلۡنَا مِثۡلَ هَٰذَآ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿31﴾

Bwe basomerwa e bigambo byaffe bagamba, nti mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (byoyogera), ebyo tebirina kye biri okugyako okuba enfumo z’a bedda.

8:32

وَإِذۡ قَالُواْ ٱللَّهُمَّ إِن كَانَ هَٰذَا هُوَ ٱلۡحَقَّ مِنۡ عِندِكَ فَأَمۡطِرۡ عَلَيۡنَا حِجَارَةٗ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ أَوِ ٱئۡتِنَا بِعَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿32﴾

Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo.

8:33

وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُعَذِّبَهُمۡ وَأَنتَ فِيهِمۡۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ مُعَذِّبَهُمۡ وَهُمۡ يَسۡتَغۡفِرُونَ ﴿33﴾

Naye Katonda teyali w’akubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Katonda teyali w’akubabonereza nga beegayirira.

8:34

وَمَا لَهُمۡ أَلَّا يُعَذِّبَهُمُ ٱللَّهُ وَهُمۡ يَصُدُّونَ عَنِ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ وَمَا كَانُوٓاْ أَوۡلِيَآءَهُۥٓۚ إِنۡ أَوۡلِيَآؤُهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُتَّقُونَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿34﴾

Kale nga lwaki Katonda teyaalibabonerezza! ng’ate baziyiza (abantu) abakkiriza okutuuka eri omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okugyako abatya Katonda, wabula ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.

8:35

وَمَا كَانَ صَلَاتُهُمۡ عِندَ ٱلۡبَيۡتِ إِلَّا مُكَآءٗ وَتَصۡدِيَةٗۚ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿35﴾

Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga.

8:36

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ لِيَصُدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ فَسَيُنفِقُونَهَا ثُمَّ تَكُونُ عَلَيۡهِمۡ حَسۡرَةٗ ثُمَّ يُغۡلَبُونَۗ وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ يُحۡشَرُونَ ﴿36﴾

Mazima abo abaakaafuwala, bawaayo e mmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya Katonda, kale bajja kugiwaayo, oluvanyuma ebafuukire e ky'okwejjusa, era bawangulwe, ng’ate abo abaakaafuwala, bagenda kukunganyizibwa batwalibwe mu muliro Jahannama.

8:37

لِيَمِيزَ ٱللَّهُ ٱلۡخَبِيثَ مِنَ ٱلطَّيِّبِ وَيَجۡعَلَ ٱلۡخَبِيثَ بَعۡضَهُۥ عَلَىٰ بَعۡضٖ فَيَرۡكُمَهُۥ جَمِيعٗا فَيَجۡعَلَهُۥ فِي جَهَنَّمَۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿37﴾

Olwo nno Katonda abe nga ayawula omubi ku mulungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu muliro Jahannama. Abo nno be baafaafaganirwa.

8:38

قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِن يَنتَهُواْ يُغۡفَرۡ لَهُم مَّا قَدۡ سَلَفَ وَإِن يَعُودُواْ فَقَدۡ مَضَتۡ سُنَّتُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿38﴾

Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa.

8:39

وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ كُلُّهُۥ لِلَّهِۚ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿39﴾

Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola.

8:40

وَإِن تَوَلَّوۡاْ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَوۡلَىٰكُمۡۚ نِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ ﴿40﴾

Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga.