quranm◉

Omuko 23

Range
from 2:146 to 2:153
Surahs covered
Okuvvuunula
8 Okuvvuunula

◉

2:146

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَعۡرِفُونَهُۥ كَمَا يَعۡرِفُونَ أَبۡنَآءَهُمۡۖ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنۡهُمۡ لَيَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿146﴾

Abo betwawa ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ng'ate bamanyi.

2:147

ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ ﴿147﴾

Gano ge mazima agava eri Katonda wo. Tobeereranga ddala n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa.

2:148

وَلِكُلّٖ وِجۡهَةٌ هُوَ مُوَلِّيهَاۖ فَٱسۡتَبِقُواْ ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ أَيۡنَ مَا تَكُونُواْ يَأۡتِ بِكُمُ ٱللَّهُ جَمِيعًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿148﴾

Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Katonda agenda kubaleeta. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu kyonna.

2:149

وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۖ وَإِنَّهُۥ لَلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿149﴾

Na buli wonna wonoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda wo. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda.

2:150

وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَحَيۡثُ مَا كُنتُمۡ فَوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ شَطۡرَهُۥ لِئَلَّا يَكُونَ لِلنَّاسِ عَلَيۡكُمۡ حُجَّةٌ إِلَّا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡ فَلَا تَخۡشَوۡهُمۡ وَٱخۡشَوۡنِي وَلِأُتِمَّ نِعۡمَتِي عَلَيۡكُمۡ وَلَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿150﴾

Na buli wonna won'abanga ogenze yolekeza ekyenyikyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemunaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gyebeekwasa okugyako abo abalyazamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) gwemuba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulungama.

2:151

كَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِيكُمۡ رَسُولٗا مِّنكُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِنَا وَيُزَكِّيكُمۡ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُعَلِّمُكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ ﴿151﴾

Kino kiringa bwe twabatumira omubaka ng'ava mu mmwe n'abeera ng'abasomera ebigambo byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza ekitabo n'abayigiriza n'okunnyonnyola, n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi.

2:152

فَٱذۡكُرُونِيٓ أَذۡكُرۡكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لِي وَلَا تَكۡفُرُونِ ﴿152﴾

Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga.

2:153

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿153﴾

Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza.