quranm◉

Omuko 235

Range
from 11:118 to 12:4
Surahs covered
Okuvvuunula
10 Okuvvuunula

◉

11:118

وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ لَجَعَلَ ٱلنَّاسَ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗۖ وَلَا يَزَالُونَ مُخۡتَلِفِينَ ﴿118﴾

Singa Mukama omulabiriziwo yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana.

11:119

إِلَّا مَن رَّحِمَ رَبُّكَۚ وَلِذَٰلِكَ خَلَقَهُمۡۗ وَتَمَّتۡ كَلِمَةُ رَبِّكَ لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ ٱلۡجِنَّةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿119﴾

Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu.

11:120

وَكُلّٗا نَّقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلرُّسُلِ مَا نُثَبِّتُ بِهِۦ فُؤَادَكَۚ وَجَآءَكَ فِي هَٰذِهِ ٱلۡحَقُّ وَمَوۡعِظَةٞ وَذِكۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿120﴾

Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza.

11:121

وَقُل لِّلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ ٱعۡمَلُواْ عَلَىٰ مَكَانَتِكُمۡ إِنَّا عَٰمِلُونَ ﴿121﴾

Era gamba abo abakkiriza nti mukolere ku nkola ya mmwe naffe katukole.

11:122

وَٱنتَظِرُوٓاْ إِنَّا مُنتَظِرُونَ ﴿122﴾

Era mulindirire naffe tulindiridde.

11:123

وَلِلَّهِ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ يُرۡجَعُ ٱلۡأَمۡرُ كُلُّهُۥ فَٱعۡبُدۡهُ وَتَوَكَّلۡ عَلَيۡهِۚ وَمَا رَبُّكَ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿123﴾

12:1

الٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ﴿1﴾

Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu.

12:2

إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيّٗا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿2﴾

Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera.

12:3

نَحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ أَحۡسَنَ ٱلۡقَصَصِ بِمَآ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ وَإِن كُنتَ مِن قَبۡلِهِۦ لَمِنَ ٱلۡغَٰفِلِينَ ﴿3﴾

Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi.

12:4

إِذۡ قَالَ يُوسُفُ لِأَبِيهِ يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي رَأَيۡتُ أَحَدَ عَشَرَ كَوۡكَبٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ رَأَيۡتُهُمۡ لِي سَٰجِدِينَ ﴿4﴾

Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde.