quranm◉

Omuko 301

Range
from 18:62 to 18:74
Surahs covered
Okuvvuunula
13 Okuvvuunula

◉

18:62

فَلَمَّا جَاوَزَا قَالَ لِفَتَىٰهُ ءَاتِنَا غَدَآءَنَا لَقَدۡ لَقِينَا مِن سَفَرِنَا هَٰذَا نَصَبٗا ﴿62﴾

. Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo.

18:63

قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا ﴿63﴾

. (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.

18:64

قَالَ ذَٰلِكَ مَا كُنَّا نَبۡغِۚ فَٱرۡتَدَّا عَلَىٰٓ ءَاثَارِهِمَا قَصَصٗا ﴿64﴾

. (Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo).

18:65

فَوَجَدَا عَبۡدٗا مِّنۡ عِبَادِنَآ ءَاتَيۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَعَلَّمۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّا عِلۡمٗا ﴿65﴾

. Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo).

18:66

قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰ هَلۡ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰٓ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمۡتَ رُشۡدٗا ﴿66﴾

. Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?.

18:67

قَالَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا ﴿67﴾

. (Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.

18:68

وَكَيۡفَ تَصۡبِرُ عَلَىٰ مَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ خُبۡرٗا ﴿68﴾

. Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya.

18:69

قَالَ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ صَابِرٗا وَلَآ أَعۡصِي لَكَ أَمۡرٗا ﴿69﴾

. (Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna.

18:70

قَالَ فَإِنِ ٱتَّبَعۡتَنِي فَلَا تَسۡـَٔلۡنِي عَن شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ أُحۡدِثَ لَكَ مِنۡهُ ذِكۡرٗا ﴿70﴾

. (Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako.

18:71

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا رَكِبَا فِي ٱلسَّفِينَةِ خَرَقَهَاۖ قَالَ أَخَرَقۡتَهَا لِتُغۡرِقَ أَهۡلَهَا لَقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـًٔا إِمۡرٗا ﴿71﴾

. Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi.

18:72

قَالَ أَلَمۡ أَقُلۡ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا ﴿72﴾

. (Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.

18:73

قَالَ لَا تُؤَاخِذۡنِي بِمَا نَسِيتُ وَلَا تُرۡهِقۡنِي مِنۡ أَمۡرِي عُسۡرٗا ﴿73﴾

. (Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna.

18:74

فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا لَقِيَا غُلَٰمٗا فَقَتَلَهُۥ قَالَ أَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا زَكِيَّةَۢ بِغَيۡرِ نَفۡسٖ لَّقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـٔٗا نُّكۡرٗا ﴿74﴾

. Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve.