quranm◉

Omuko 348

Range
from 23:90 to 23:104
Surahs covered
Okuvvuunula
15 Okuvvuunula

◉

23:90

بَلۡ أَتَيۡنَٰهُم بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿90﴾

. Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba.

23:91

مَا ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ مِن وَلَدٖ وَمَا كَانَ مَعَهُۥ مِنۡ إِلَٰهٍۚ إِذٗا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهِۭ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿91﴾

. Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera.

23:92

عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿92﴾

. (Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.

23:93

قُل رَّبِّ إِمَّا تُرِيَنِّي مَا يُوعَدُونَ ﴿93﴾

. Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa.

23:94

رَبِّ فَلَا تَجۡعَلۡنِي فِي ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿94﴾

. Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi.

23:95

وَإِنَّا عَلَىٰٓ أَن نُّرِيَكَ مَا نَعِدُهُمۡ لَقَٰدِرُونَ ﴿95﴾

. Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala.

23:96

ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ ٱلسَّيِّئَةَۚ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَصِفُونَ ﴿96﴾

. Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera.

23:97

وَقُل رَّبِّ أَعُوذُ بِكَ مِنۡ هَمَزَٰتِ ٱلشَّيَٰطِينِ ﴿97﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane.

23:98

وَأَعُوذُ بِكَ رَبِّ أَن يَحۡضُرُونِ ﴿98﴾

. Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera.

23:99

حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ رَبِّ ٱرۡجِعُونِ ﴿99﴾

. (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi).

23:100

لَعَلِّيٓ أَعۡمَلُ صَٰلِحٗا فِيمَا تَرَكۡتُۚ كَلَّآۚ إِنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَآئِلُهَاۖ وَمِن وَرَآئِهِم بَرۡزَخٌ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ﴿100﴾

. Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.

23:101

فَإِذَا نُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَلَآ أَنسَابَ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ وَلَا يَتَسَآءَلُونَ ﴿101﴾

. Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya.

23:102

فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿102﴾

. Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima.

23:103

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فِي جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ ﴿103﴾

. Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama.

23:104

تَلۡفَحُ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ وَهُمۡ فِيهَا كَٰلِحُونَ ﴿104﴾

. Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde.