quranm◉

Omuko 349

Range
from 23:105 to 23:118
Surahs covered
Okuvvuunula
14 Okuvvuunula

◉

23:105

أَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ ﴿105﴾

. Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa.

23:106

قَالُواْ رَبَّنَا غَلَبَتۡ عَلَيۡنَا شِقۡوَتُنَا وَكُنَّا قَوۡمٗا ضَآلِّينَ ﴿106﴾

. Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula.

23:107

رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡهَا فَإِنۡ عُدۡنَا فَإِنَّا ظَٰلِمُونَ ﴿107﴾

. Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi.

23:108

قَالَ ٱخۡسَـُٔواْ فِيهَا وَلَا تُكَلِّمُونِ ﴿108﴾

. Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange.

23:109

إِنَّهُۥ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡ عِبَادِي يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿109﴾

. Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.

23:110

فَٱتَّخَذۡتُمُوهُمۡ سِخۡرِيًّا حَتَّىٰٓ أَنسَوۡكُمۡ ذِكۡرِي وَكُنتُم مِّنۡهُمۡ تَضۡحَكُونَ ﴿110﴾

. Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera.

23:111

إِنِّي جَزَيۡتُهُمُ ٱلۡيَوۡمَ بِمَا صَبَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ ﴿111﴾

. Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima.

23:112

قَٰلَ كَمۡ لَبِثۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ عَدَدَ سِنِينَ ﴿112﴾

. (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?

23:113

قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖ فَسۡـَٔلِ ٱلۡعَآدِّينَ ﴿113﴾

. Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi.

23:114

قَٰلَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ لَّوۡ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿114﴾

. Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi.

23:115

أَفَحَسِبۡتُمۡ أَنَّمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ عَبَثٗا وَأَنَّكُمۡ إِلَيۡنَا لَا تُرۡجَعُونَ ﴿115﴾

. Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.

23:116

فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡكَرِيمِ ﴿116﴾

. Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.

23:117

وَمَن يَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ لَا بُرۡهَٰنَ لَهُۥ بِهِۦ فَإِنَّمَا حِسَابُهُۥ عِندَ رَبِّهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿117﴾

. Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.

23:118

وَقُل رَّبِّ ٱغۡفِرۡ وَٱرۡحَمۡ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿118﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna.