quranm◉

Omuko 367

Range
from 26:1 to 26:19
Surahs covered
Okuvvuunula
19 Okuvvuunula

◉

26:1

طسٓمٓ ﴿1﴾

. Twaa Siin Miim.

26:2

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ﴿2﴾

. Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola.

26:3

لَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ أَلَّا يَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ ﴿3﴾

. Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza.

26:4

إِن نَّشَأۡ نُنَزِّلۡ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ ءَايَةٗ فَظَلَّتۡ أَعۡنَٰقُهُمۡ لَهَا خَٰضِعِينَ ﴿4﴾

. Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera.

26:5

وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ مُحۡدَثٍ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهُ مُعۡرِضِينَ ﴿5﴾

. Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya.

26:6

فَقَدۡ كَذَّبُواْ فَسَيَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَـٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿6﴾

. Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja

26:7

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ كَمۡ أَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٖ كَرِيمٍ ﴿7﴾

. Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso.

26:8

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿8﴾

. Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza.

26:9

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿9﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo.

26:10

وَإِذۡ نَادَىٰ رَبُّكَ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱئۡتِ ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿10﴾

. Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi.

26:11

قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَۚ أَلَا يَتَّقُونَ ﴿11﴾

. Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda!.

26:12

قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ ﴿12﴾

. (Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa.

26:13

وَيَضِيقُ صَدۡرِي وَلَا يَنطَلِقُ لِسَانِي فَأَرۡسِلۡ إِلَىٰ هَٰرُونَ ﴿13﴾

. Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko).

26:14

وَلَهُمۡ عَلَيَّ ذَنۢبٞ فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ ﴿14﴾

. Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita.

26:15

قَالَ كَلَّاۖ فَٱذۡهَبَا بِـَٔايَٰتِنَآۖ إِنَّا مَعَكُم مُّسۡتَمِعُونَ ﴿15﴾

. (Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso).

26:16

فَأۡتِيَا فِرۡعَوۡنَ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿16﴾

. Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:17

أَنۡ أَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿17﴾

. (Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo.

26:18

قَالَ أَلَمۡ نُرَبِّكَ فِينَا وَلِيدٗا وَلَبِثۡتَ فِينَا مِنۡ عُمُرِكَ سِنِينَ ﴿18﴾

. (Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo.

26:19

وَفَعَلۡتَ فَعۡلَتَكَ ٱلَّتِي فَعَلۡتَ وَأَنتَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿19﴾

. Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa.