quranm◉

Omuko 368

Range
from 26:20 to 26:39
Surahs covered
Okuvvuunula
20 Okuvvuunula

◉

26:20

قَالَ فَعَلۡتُهَآ إِذٗا وَأَنَا۠ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ ﴿20﴾

. (Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze.

26:21

فَفَرَرۡتُ مِنكُمۡ لَمَّا خِفۡتُكُمۡ فَوَهَبَ لِي رَبِّي حُكۡمٗا وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿21﴾

. Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka.

26:22

وَتِلۡكَ نِعۡمَةٞ تَمُنُّهَا عَلَيَّ أَنۡ عَبَّدتَّ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿22﴾

. Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu.

26:23

قَالَ فِرۡعَوۡنُ وَمَا رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿23﴾

. Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani?.

26:24

قَالَ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ ﴿24﴾

. Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu.

26:25

قَالَ لِمَنۡ حَوۡلَهُۥٓ أَلَا تَسۡتَمِعُونَ ﴿25﴾

. (Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka).

26:26

قَالَ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿26﴾

. (Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka.

26:27

قَالَ إِنَّ رَسُولَكُمُ ٱلَّذِيٓ أُرۡسِلَ إِلَيۡكُمۡ لَمَجۡنُونٞ ﴿27﴾

. (Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu.

26:28

قَالَ رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿28﴾

. (Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera.

26:29

قَالَ لَئِنِ ٱتَّخَذۡتَ إِلَٰهًا غَيۡرِي لَأَجۡعَلَنَّكَ مِنَ ٱلۡمَسۡجُونِينَ ﴿29﴾

. (Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa.

26:30

قَالَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكَ بِشَيۡءٖ مُّبِينٖ ﴿30﴾

. (Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba).

26:31

قَالَ فَأۡتِ بِهِۦٓ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿31﴾

. (Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima.

26:32

فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٞ مُّبِينٞ ﴿32﴾

. Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu.

26:33

وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿33﴾

. Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi.

26:34

قَالَ لِلۡمَلَإِ حَوۡلَهُۥٓ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٞ ﴿34﴾

. (Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu.

26:35

يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِۦ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ ﴿35﴾

. Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki.

26:36

قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَٱبۡعَثۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ﴿36﴾

. Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo.

26:37

يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَحَّارٍ عَلِيمٖ ﴿37﴾

. Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa.

26:38

فَجُمِعَ ٱلسَّحَرَةُ لِمِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ ﴿38﴾

. Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa.

26:39

وَقِيلَ لِلنَّاسِ هَلۡ أَنتُم مُّجۡتَمِعُونَ ﴿39﴾

. Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja.