quranm◉

Omuko 376

Range
from 26:207 to 26:227
Surahs covered
Okuvvuunula
21 Okuvvuunula

◉

26:207

مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ ﴿207﴾

. Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu.

26:208

وَمَآ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةٍ إِلَّا لَهَا مُنذِرُونَ ﴿208﴾

. Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi).

26:209

ذِكۡرَىٰ وَمَا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿209﴾

. (Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi.

26:210

وَمَا تَنَزَّلَتۡ بِهِ ٱلشَّيَٰطِينُ ﴿210﴾

. Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani).

26:211

وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ ﴿211﴾

. Era tekizisaanira era nga tezikisobola.

26:212

إِنَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّمۡعِ لَمَعۡزُولُونَ ﴿212﴾

. (Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu.

26:213

فَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُعَذَّبِينَ ﴿213﴾

. (N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa.

26:214

وَأَنذِرۡ عَشِيرَتَكَ ٱلۡأَقۡرَبِينَ ﴿214﴾

. Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi.

26:215

وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿215﴾

. Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza.

26:216

فَإِنۡ عَصَوۡكَ فَقُلۡ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿216﴾

. Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola.

26:217

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ ﴿217﴾

. Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:218

ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ ﴿218﴾

. Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala).

26:219

وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿219﴾

. Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama.

26:220

إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿220﴾

. Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi.

26:221

هَلۡ أُنَبِّئُكُمۡ عَلَىٰ مَن تَنَزَّلُ ٱلشَّيَٰطِينُ ﴿221﴾

. Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani.

26:222

تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ ﴿222﴾

. Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi.

26:223

يُلۡقُونَ ٱلسَّمۡعَ وَأَكۡثَرُهُمۡ كَٰذِبُونَ ﴿223﴾

. Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba.

26:224

وَٱلشُّعَرَآءُ يَتَّبِعُهُمُ ٱلۡغَاوُۥنَ ﴿224﴾

. Era abatontomi, ababuze be babagoberera.

26:225

أَلَمۡ تَرَ أَنَّهُمۡ فِي كُلِّ وَادٖ يَهِيمُونَ ﴿225﴾

. Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi.

26:226

وَأَنَّهُمۡ يَقُولُونَ مَا لَا يَفۡعَلُونَ ﴿226﴾

. Era nti mazima bbo boogera bye batakola.

26:227

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَذَكَرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱنتَصَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَيَّ مُنقَلَبٖ يَنقَلِبُونَ ﴿227﴾

. Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda.