quranm◉

Omuko 375

Range
from 26:184 to 26:206
Surahs covered
Okuvvuunula
23 Okuvvuunula

◉

26:184

وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلۡجِبِلَّةَ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿184﴾

. Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka.

26:185

قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ ﴿185﴾

. Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge.

26:186

وَمَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَإِن نَّظُنُّكَ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿186﴾

. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba.

26:187

فَأَسۡقِطۡ عَلَيۡنَا كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿187﴾

. Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima.

26:188

قَالَ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿188﴾

. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola.

26:189

فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمِ ٱلظُّلَّةِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ﴿189﴾

. Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito.

26:190

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿190﴾

. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:191

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿191﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:192

وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿192﴾

. Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:193

نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ ﴿193﴾

. Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu).

26:194

عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ ﴿194﴾

. (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi).

26:195

بِلِسَانٍ عَرَبِيّٖ مُّبِينٖ ﴿195﴾

. Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka.

26:196

وَإِنَّهُۥ لَفِي زُبُرِ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿196﴾

. Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka.

26:197

أَوَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ ءَايَةً أَن يَعۡلَمَهُۥ عُلَمَـٰٓؤُاْ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿197﴾

. Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil.

26:198

وَلَوۡ نَزَّلۡنَٰهُ عَلَىٰ بَعۡضِ ٱلۡأَعۡجَمِينَ ﴿198﴾

. Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu.

26:199

فَقَرَأَهُۥ عَلَيۡهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ مُؤۡمِنِينَ ﴿199﴾

. Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza.

26:200

كَذَٰلِكَ سَلَكۡنَٰهُ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿200﴾

. Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi.

26:201

لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ ﴿201﴾

. Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma.

26:202

فَيَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿202﴾

. Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde.

26:203

فَيَقُولُواْ هَلۡ نَحۡنُ مُنظَرُونَ ﴿203﴾

. Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa.

26:204

أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ ﴿204﴾

. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu?.

26:205

أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ ﴿205﴾

. Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera).

26:206

ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ ﴿206﴾

. Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa.